[{"id":1,"verses":[{"id":1,"translation":"Ku lw’Erinnya lya Allah (Katonda) Omusaasizi Oweekisa ekingi ekibuna buli kitonde, Omusaasizi Oweekisa eky'enjawulo ekyeyawulidde Abamukkiriza bokka"},{"id":2,"translation":"Amatendo gonna (amajjuvu) ga Allah Omulezi W’ebitonde."},{"id":3,"translation":"Nnannyini kusaasira okungi ennyo asaasira ebitonde Bye."},{"id":4,"translation":"Nnannyini buyinza Yekka ku Lunaku lw'okusasula (Olunaku lw'Enkomerero)."},{"id":5,"translation":"Ggwe Wekka Ggwe tusinza era Ggwe Wekka Ggwe tusaba okutuyamba."},{"id":6,"translation":"Tulunngamye mu kkubo eggolokofu."},{"id":7,"translation":"Ekkubo ly’abo be wagabira ebyengera, abatali abo be wasunguwalira era abatali abo abaabula."}]},{"id":2,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Miim."},{"id":2,"translation":"Ekitabo ekyo (Kulaani) tekiriimu kubuusabuusa wabula bulunngamu eri abo abatya Katonda."},{"id":3,"translation":"Abo abakkiriza ebitalabikako ne bayimirizaawo esswala, era ne bawaayo mw'ebyo byetubagabirira."},{"id":4,"translation":"Era b’ebo abakkiriza ebyakussibwako n'ebyo ebyassibwa ku Babaka abaakusooka, era nga bakakasa Olunaku lw'Enkomerero."},{"id":5,"translation":"Abo be bali ku bulunngamu okuva eri Omulezi Waabwe (Allah), era abo be b'okwesiima ."},{"id":6,"translation":"Mazima abo abatakkiriza (Bubaka obwassibwa ku Nnabbi Muhammadi) kyenkanankana gyebali, obatiisizza oba tobatiisizza si ba kukkiriza."},{"id":7,"translation":"Allah yazibikira emitima gyabwe n’okuwulira kwabwe, era ne ku maaso gaabwe kuliko ekibikka, era balina ebibonerezo ebinene."},{"id":8,"translation":"Era mu bantu mulimu abagamba nti tukkiriza Allah n'Olunaku lw'Enkomerero, ate nga si Bakkiriza."},{"id":9,"translation":"Bakwenyakwenya Allah n'Abakkiriza so nga bakwenyakwenya myoyo gyabwe nga tebamanyi."},{"id":10,"translation":"mu mitima gyabwe mulimu obulwade, ne Allah n'abongera obulwadde, era balina ebibonerezo ebirumya olw'ebyo bye baalimbanga."},{"id":11,"translation":"Bwe bagambibwa nti temwonoona mu nsi, bagamba nti: mazima ddala ffe tuli abalongoosa."},{"id":12,"translation":"So nga mazima ddala bo be boonoonyi naye tebakitegeera."},{"id":13,"translation":"Era bwe baba bagambiddwa nti mukkirize nga abantu (abalala) bwe bakkiriza, baddamu (mungeri yokukakkanya) nti: tukkirize nga ababuyabuya bwe bakkiriza?! Abange mazima ddala bo be babuyabuya naye tebamanyi."},{"id":14,"translation":"Bwe basisinkana Abakkiriza bagamba nti tukkirizza, naye bwe baddayo nga beeyawudde n'abakulembeze baabwe bagamba nti mazima ddala ffe tuli wamu nammwe. Mazima ffe okuba na bali tuba tuli mu ku bakongoola na kubasekerera."},{"id":15,"translation":"Allah naye abasasula kyebakola Abakkiriza mu kubajeeja era n'abongerayo mu bubuze bwabwe nga basamaaliridde babulubuuta."},{"id":16,"translation":"Abonno beebo abaagula obubuze mu bulunngamu. Okusuubula kwabwe tekwakola magoba, era tebaali baakulunngama."},{"id":17,"translation":"Ekifaananyi kyabwe (abannanfuusi) bafaanana nga omuntu akumye omuliro, bwe gumala okwaka era ne gumulisa ebimwetoolodde, olwo Allah n'aggyawo ekitangaala kyabwe n'abaleka mu nzikiza, nga tebakyalaba."},{"id":18,"translation":"Abantu abo bakiggala, bakassiru, era bamuzibe, tebayinza kudda (ku kkubo ggolokofu)."},{"id":19,"translation":"Ekifaananyi kyabwe ekyamazzi balinga abantu abali mu nkuba etonnya ng'erimu e kizikiza ekikutte nga mulimu n'okubwatuka kw'eggulu, n'okumyansa kw'obumyanso, ne nebatuuka okussa ennwe zaabwe mu matu gaabwe olw'okutya okubwatuka nga batya okufa. Nebatamanya nti Allah yeetoolodde abawakanya amateeka Ge."},{"id":20,"translation":"Obumyanso olw'amaanyi gaabwo bubulako katono okuziba amaaso gaabwe. Buli lwe bubamulisiza nga batambula mu nkuba, ate bwe buzikira ne bukoma nga bayimirira olw'obutalaba gye balaga, era singa Allah aba ayagadde yaalibaggyeko okuwulira kwabwe, n'okulaba kwabwe. Mazima Allah Muyinza ku buli kintu."},{"id":21,"translation":"Abange mmwe abantu musinze Omulezi Wammwe eyabatonda n'atonda n'abo abaabakulembera mulyoke mumutye mu ngeri eyannamaddala."},{"id":22,"translation":"(Omulezi wammwe) Oyo eyabakolera ensi nga mwaliiro (eteredde) era n'abakolera eggulu nga kasolya, era n'assa amazzi (enkuba) okuva waggulu mu bire n'ameza nayo e bibala nga byakulya byammwe. Kale nno Allah (Katonda) temumuteekangako e bintu e birala, ate nga mumanyi nti Yye Yekka y'ateekwa okusinzibwa."},{"id":23,"translation":"Era bwe muba mubuusabuusa mu bye twassa ku muddu Waffe (Nnabbi Muhammadi) okusaasira kwa Allah n'emirembe bimubeereko), kale muleeteeyo essuula emu efaananako nga Kulaani, muyite abajulizi bammwe be mulowooza nti bayinza okubayamba awatali Allah, bwe muba nga muli baamazima."},{"id":24,"translation":"Bwe muba nga temukikoze era nga temugenda kusobola kukikola; kale mutye Omuliro era mugwewale (kubanga) enku zaagwo bantu n'amayinja, gwategekerwa abawakanya Allah n'Amateeka Ge."},{"id":25,"translation":"Era sanyusa abo Abakkiriza ne bakola emirimu emirungi nti mazima ddala bajja kufuna Ejjana ezikulukutiramu emigga. buli lwe banaaweebwanga ekibala kyonna mu Jjana bajja kugambanga nti ekyo kyatuweebwako dda (nga tuli ku nsi), binaabaweebwanga nga mundabika bifaanana na biri eby'okunsi naye nga mu buwoomi byanjawulo era baliweebwa abali mu Jjana abakyala abaatukuzibwa, (nabwekityo abakyala balifuna mu Jjana abaami abaatukuzibwa) era baakugibeeramu lubeerera."},{"id":26,"translation":"Mazima Katonda takwatibwa nsonyi kukuba kyakulabirako kyonna newakubadde nga kyansiri n'ekintu ekirala ekigisingako. Wabula bo Abakkiriza bamanyira ddala nti ago ge mazima agaava eri Omulezi waabwe, kyokka ab'agaana okukkiriza bagamba nti Katonda yagenderera ki mu ky'okulabirako kino!. N'olw'ekyo aleka bangi ne babula olw'ekyokulabirako kino so nga ate alunngamya nakyo bangi. Era b'abuza nakyobe boonoonefu abatakkiriza Allah n'Omubaka we Muhammadi- okusaasira kwa Allah n'emirembe bimubeereko-."},{"id":27,"translation":"Abo abamenya Endagaano ya Allah oluvannyuma lw'okugikakasa, ne bakutula ebyo Allah bye yalagira okuyunga, era ne boonoona mu nsi, abonno be b'okufaafaaganirwa."},{"id":28,"translation":"Muwakanya mutya Allah (era ne mutamukkiriza) nga mwali bafu temwaliwo n'abawa obulamu, ate oluvannyuma alibatta, ate oluvannyuma alibazuukiza era nga gy'ali gye mugenda okudda!."},{"id":29,"translation":"Oyo Allah (y'Oyo eyabatondera byonna ebiri mu nsi, bwe yamaliriza n'alyoka azzaako eggulu, n'alikola nga lya myaliiro musanvu era kubuli kimu mumanyi."},{"id":30,"translation":"Jjukira ggwe Muhammadi, Omulezi Wo bwe yagamba Bamalayika nti mazima nngenda kuteeka mu nsi omusigire, ne bagamba nti, ogenda okugissaamu (omuntu) anaagyonooneramu n'ayiwa n'omusaayi, nga ate ffe tukutendereza era nga tukugulumiza! (Allah) yaddamu n’abagamba nti Nze mmanyi ebyo bye mutamanyi."},{"id":31,"translation":"Allah (Katonda) N'ayigiriza Adamu amannya g'ebintu byonna oluvanyuma n'abiraga Bamalayika n'abagamba nti; mumbuulire amannya g'ebintu bino bwe mubeera nga mwogera mazima (nti mmwe musaanira okuba abasigire bange ku nsi)."},{"id":32,"translation":"Ne bagamba nga batendereza nti; Oli wanjawulo era wasukkuluma (Allah) ffe tetulina kyetumanyi okuggyako ekyo ky'oba otuyigirizza. Mazima Ggwe Muyitirivu w'okumanya era Omuyitirivu W'amagezi."},{"id":33,"translation":"Allah n'agamba nti; owange Adamu, babuulire amannya gaabyo. Bwe yamaliriza okubattottolera amannya gaabyo, Allah kwe kubagamba nti: Ssaabagambye nti mazima nze mmanyi ebikusike mu nsi ne mu ggulu, era nga mmanyi bye mwolesa n'ebyo bye mukweka?!"},{"id":34,"translation":"Era jjukira we twagambira Bamalayika nti; muvunnamire Adamu. bonna ne bavunnama okuggyako Ibuliisu (Sitaani) yagaana ne yeekuluntaza n'ebeera mu bawakanya Allah."},{"id":35,"translation":"Ne tugamba nti: Owange ggwe Adamu beera mu Jjana ggwe ne mukyala wo era mulye mwegazaanyize wonna we mwagala naye temusembereranga omuti guno ne mubeera mu balyazaamaanyi."},{"id":36,"translation":"Sitaani n'abaseereza okuva mu Jjana era n'abaggya mu birungi bye baalimu. Ne tubagamba nti mukke mu nsi nga buli omu mulabe eri munne, era ku nsi gye mujja okubeeranga n'okweyagalira okutuusa ebbanga eggere."},{"id":37,"translation":"Adamu bwe yamala n'afuna ebigambo ebyokwenenya okuva eri Omulezi We ne yeenenya era Allah n'amusonyiwa n'akkiriza okwenenya kwe. Mazima Yye (Allah) y'akkiriza okwenenya, era Musaasizi."},{"id":38,"translation":"Ne tugamba nti, kale mwenna mugifulume (Ejjana) era mukkirire mu nsi, buli lwonna obulunngamu lwe bunaabajjiranga okuva Gyendi, abo abaligoberera okulunngamya kwange tebaliba na kutya era tebagenda kunakuwala."},{"id":39,"translation":"Naye abo abaligaana okukkiriza Allah n'Ababaka Be ne balimbisa Ebigambo Byaffe be b'okuba mu Muliro obugenderevu."},{"id":40,"translation":"Abange abaana ba Yisirayiri, mujjukire ebyengera Byange bye nnabagabira (mu byebaze). Era mutuukirize Endagaano Yange (ey'okunzikiriza n'okugondera Amateeka Gange), nja kutuukiriza endagaano yammwe (ey'okubayingiza Ejjana). Era Nze Nzekka gwe muba mutya."},{"id":41,"translation":"Era mukkirize ebyo bye nnassa (ku Nnabbi Muhammadi) nga bikakasa ebyo bye mulina (Tawulaati) era temuba abasaale mu kubiwakanya. Era temutundanga Ebigambo Byange omuwendo omutono (olw’emigaso gy'ensi), era mutye Nze Nzekka."},{"id":42,"translation":"Temutabulanga amazima n'ebitali bituufu, ne mukweka amazima nga mumanyi."},{"id":43,"translation":"Muyimirizeewo esswala, mutoole Zzaka, era mukutame n'abo abakutama."},{"id":44,"translation":"Abaffe mulagira mutya abantu okukola obulungi ne mwerabira emyoyo gyammwe, so nga ate mmwe musoma ekitabo (Tawulaati), abange temutegeera?!"},{"id":45,"translation":"Mweyambise obugumiikiriza n'okusaala, wabula yo esswala ekaluubirira nnyo abantu, okuggyako abo abagondera Katonda."},{"id":46,"translation":"Abo abakakasa nti baakusisinkana Omulezi Waabwe Katonda , era Gy'ali gye bagenda okudda."},{"id":47,"translation":"Abange abaana ba Yisirayiri, mujjukire ebyengera Byange bye nnabagabira ne mbasukkulumya ku bantu abalala bonna (olw'okubaggyamu Bannabbi abangi n'ebirala)."},{"id":48,"translation":"Era mutye Olunaku omuntu lw'ataligasa muntu mulala mu kintu kyonna, era lw'atalikkirizibwa kuwolereza wadde okuwa ennunuzi, era abantu abo tebalitaasibwa."},{"id":49,"translation":"Era mujjukire lwe twabawonya abantu ba Falaawo abaabatuusangako ebibonyoobonyo ebikakali, nga basanjaga abaana bammwe ab'obulenzi ne balekawo ab'obuwala. Ekikolwa ekyo kyalimu ekigezo kinene nnyo ekyava eri Mukama Wammwe (Katonda)."},{"id":50,"translation":"Era mujjukire lwe twabakubira ekkubo mu nnyanja ne tubawonya, ate ne tuzikiriza abantu ba Falaawo nga nammwe mulaba."},{"id":51,"translation":"Era mujjukire lwe twalagaanyisa Musa ebiro amakumiana (40) (tulyoke tumuwe Ekitabo Tawulaati) wabula kye mwakola kwe kweteerawo ennyana (ne mugisinza) oluvannyuma lwa Musa okuvaawo, ne mubeera abalyazaamaanyi."},{"id":52,"translation":"Oluvannyuma lw'ebyo twabasonyiwa nga kisuubirwa nti ob'olyawo muneebaza."},{"id":53,"translation":"Era mujjukire we twaweera Musa Ekitabo (Tawulaati), ekyawula wakati w'obutuufu n'obukyamu mulyoke mulunngame."},{"id":54,"translation":"Era mujjukire Musa, we yagambira abantu be nti: Bantu bange, mazima mweryazaamanyizza mwekka olw'okusinza ennyana. N'olw’ekyo mwenenyeze Omutonzi Wammwe. Mu kutuukiriza ekyo muttinngane. Ekyo kye kirungi gyemuli ew'Omutonzi Wa mmwe. Bwe mwakola ekyo Katonda kwe kubasonyiwa, mazima ddala Yye, Yakkiriza okwenenya era Omusaasizi."},{"id":55,"translation":"Era mujjukire we mwagambira Musa nti; Musa, tetujja kukkiriza by'ogamba okuggyako nga Allah tumulabidde ddala Yennyini mu lwatu (amangu ago) okubwatuka okwamaanyi ne kubajjira (ne mufa) nga mutangaaliridde."},{"id":56,"translation":"Oluvannyuma lw'okufa kwa mmwe ne tubazuukiza, mulyoke mwebaze."},{"id":57,"translation":"Era twabasiikiriza n'ebire, ne tubassiza emmere eyitibwa Manna n'enva eziyitibwa Saluwa (enkwale) (Ne tubagamba nti) mulye ku birungi mu bintu bye twabagabirira. Naye (abajeemu mu bo) tebaatulyazaamaanya, wabula beeryazaamaanya bokka."},{"id":58,"translation":"Era mujjukire we twabagambira nti muyingire ekibuga kino, nga muli mu kyo, mulye wonna we mwagala nga mwegazaanya, era muyingire omulyango gwakyo nga muvunnamye nga mugamba nti, twetonze (tusaba otuggyeko ebisobyo byaffe), tulyoke tubasonyiwe ebisobyo byammwe. Era tujja kwongeza abakozi b'ebirungi."},{"id":59,"translation":"Abaajeema (mu bo) baakyusa ekigambo ekyabalagirwa (ne boogeramu kirala). Ne tussa kw'abo abaajeema ekibonerezo ekyava waggulu olw'ebyo (ebyobujeemu) bye baakolanga ."},{"id":60,"translation":"Era mujjukire ekiseera Musa we yasabira Katonda, awe abantu be amazzi, ne tumugamba nti kuba omuggo gwo ku jjinja. (Bwe yagukubako) mwafukumukamu ensulo kkuminabbiri. Buli kika (kya Bayisirayiri) ne kimanya obunywero bwakyo. (Katonda n'abagamba nti) Mulye, munywe mu bigabwa bya Allah, temwewaggulanga mu nsi ne mubeera aboonoonyi."},{"id":61,"translation":"Era mujjukkire we mwagamba Musa nti, tetujja kugumiikiriza mmere ya kika kimu kyokka. Tusabire Omuleziwo (Katonda) atumereze e bimera okuva mu ttaka nga; enkoolimbo, kyukamba, katungulukyumu, ddengu n'obutungulu. (Musa) kwe kugamba nti muwanyisa ebyawansi mu kifo ky'ebirungi. Mugende awantu wonna awasobola okulimwa olwo nno munaafuna ebyo bye musabye. Nebakakasibwako obuswavu n'obunaku, era ne bakakatwako obusungu bwa Katonda. Ekyo nno lwakuba baali bawakanya ebigambo bya Katonda, era nga batta ba Nnabbi awatali nsonga ntuufu. Baakola ebyo byonna olw'obujeemu ne baba nga baasukka ensalo z'Amateeka ga Katonda."},{"id":62,"translation":"Mazima abo abakkiriza (Nnabbi Muhammadi) n'abo abaali ku ddiini y'ekiyudaaya, (ku mulembe gwayo), n'abo abaali ku Ddiini y’ekinaswara (ku mulembe gwayo), ne ba Sswabi-ina (Abo abataasinza masanamu nga Nnbbi Muhammadi tannatumwa), yenna akkiriza Allah n'Olunaku lw'Enkomerero era n'akola emirimu emirungi, abo nno balina empeera yaabwe eri Omulezi Waabwe era tewaliba kutya ku bo era tebagenda kunakuwala."},{"id":63,"translation":"Era mujjukire (mmwe abaana baYisrayiri) we twabakozesa Endagaano. Ne tuwanika waggulu wa mmwe olusozi (ne tubagamba nti) mukwate n'amaanyi ebyo bye tubawadde (Tawulaati). Era mujjukire ebyo ebiri mu yo mulyoke mubeere abatya Katonda."},{"id":64,"translation":"Oluvannyuma ne mubikuba amabega, singa tekyali kyengera kya Allah kye yabawa n'okusaasira Kwe mwandibadde mu bafaafaaganiddwa."},{"id":65,"translation":"Mazima mwamanya (ekyafaayo) ky'abo abamu mu mmwe abaasukka ensalo ne bavuba ku lunaku Olwomukaaga. Ne tubagamba nti: Mufuuke enkobe, mubeere abanyoomebwa."},{"id":66,"translation":"Ne tukifuula ekyokulabula eri abo abaaliwo n'abo abalijja oluvannyuma. Era netukifuula ekyokubuulirira eri abo abatya Katonda."},{"id":67,"translation":"Era mujjukire Musa awo we yagambira abantu be nti; mazima Allah abalagira musale ente. Ne baddamu nti: Otufuula kyakujeeja bujeeja. Musa n'addamu nti: Nsaba Allah antaase okubeera mu bantu abatategeera."},{"id":68,"translation":"Ne bagamba nti; tubuulize Mukama Wo atunnyonnyole ente eyo ya ngeri ki? Musa n'agamba nti; mazima (Allah) agamba nti; ente eyo eteekwa okuba nga si nkadde, ate nga si nto nnyo, eri wakati w'enkadde n'ento. Era muteekwa okukola ekyo kye mulagiddwa."},{"id":69,"translation":"(Abayudaaya) ne bagamba nti; tubuulize Mukama Wo atunnyonnyole (ente eyo) ya langi ki? N'agamba nti; (Katonda) agamba nti ente eyo ya langi eyakyenvu ng’ennyikidde bulungi nnyo, nga esanyusa abalabi."},{"id":70,"translation":"(Abayudaaya) ne bagamba nti; tubuulize Mukama Wo atunnyonnyole nte ki eyo? Mazima ente zonna ze zimu gye tuli. Era mazima ffe Katonda bwan'aba ayagadde, tujja kulungama."},{"id":71,"translation":"(Musa) n'agamba nti: (Katonda) agamba nti; erina kubeera nte etenyoomebwa, nga si nnimi era nga tefukirira nnimiro, nga nnamu bulungi, eteriimu bbala ddala lyonna. Nebagamba nti; kaakati otulaze amazima. Olwo ne balyoka basala ente, naye kaabula kata baleme okukikola."},{"id":72,"translation":"Era mujjukire lwe mwatta omuntu, olwonno ne mwerumiriza okuttibwa kwe. So nga ate Allah yali Waakuggyayo ebyo bye mwali mukisizza."},{"id":73,"translation":"Ne tugamba nti; mumukubeko ebimu ku bitundu by'ente. Bw'atyo Allah bw'alizuukiza abafu, era bulijjo abalaga obubonero Bwe (obulaga obuyinza Bwe) mulyoke mutegeere."},{"id":74,"translation":"Oluvannyuma lw'ebyo emitima gyammwe gyakakanyala negifaananako enjazi oba okusingawo mu bukakanyavu; anti enjazi ezimu zifukumukamu emigga, ne mubaamu ezeeyasaamu ne zivaamu amazzi, n'ezimu ku zo zikka olwokutya Allah. Era Allah tagayaalirira bye mukola."},{"id":75,"translation":"Abaffe (Abakkiriza) mwagala (Abayudaaya) okuba nga bakkiriza Eddiini yammwe, so nga ekiwayi ekimu mu bo bawulira Ebigambo bya Allah oluvannyuma ne babikyusa nga bamaze okubitegeera. Kino nga bakikola mu bugenderevu."},{"id":76,"translation":"(Abayudaaya) bwe baasisinkananga Abakkiriza nga bagamba nti tukkirizza. Kyokka nga bwe baba bokka na bokka, abamu bagamba bannaabwe nti muyinza mutya okubabuulira ebyo Allah bye yababikkulira ate nga bajja kubasingisa nabyo omusango ewa Mukama Wammwe (Katonda), abaffe temutegeera."},{"id":77,"translation":"Abaffe tebamanyi nti mazima Allah amanyi ebyo bye bakisa n'ebyo bye boolesa."},{"id":78,"translation":"Era mu bo (Abayudaaya) mulimu abatasobola kusoma na kuwandiika, nga tebasobola kumanya biri mu kitabo (Taulaati). Wabula babeera ku kwagala kwa mitima gyabwe. Era tebalina kye baliko, okuggyako bateebereza buteebereza."},{"id":79,"translation":"Kaakubajjuutuka abo abawandiika ekitabo n'emikono gyabwe, bwe bamala ne bagamba nti kino kivudde eri Allah, nga kye bagenderera kuwaanyisaamu (byanfuna bya nsi) eby'omuwendo ogwawansi. Zibasanze olw'ebyo emikono gyabwe bye gyawandiika, era zibasanze olw'ebyo bye bapakasa."},{"id":80,"translation":"Era (Abayudaaya) baagamba nti: Omuliro tegugenda kututuukako okuggyako nnaku mbale. Bagambe nti: Abaffe mwakola endagaano ne Allah, Allah alyoke abe nga tagenda kugyawukanako? Oba mwogera ku Allah bye mutamanyi?"},{"id":81,"translation":"Nedda nedda, (ekituufu kiri nti) omuntu bw'akola ekibi, ekyonoono kye ne kimumalawo; abantu abo baakuyingira Omuliro era nga baakugutuulamu olubeerera."},{"id":82,"translation":"Ate bo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi; abo be b'okuyingira Ennyumba ey'emirembe; era baakugituulamu olubeerera."},{"id":83,"translation":"Era mujjukire awo we twakozeseza abaana ba Yisirayiri endagaano nti; temusinzanga ekintu kyonna okuggyako Allah. Bo abazadde ababiri, n'abooluganda olw'okumpi, ne bamulekwa n'abanaku mubayisenga bulungi. Era mwogerenga bulungi n'abantu. Era muteekwa okuyimirizaawo esswala, mutoole ne Zzaka. Wabula (mu kifo ky'okukola ebyo) mwakyuka, okuggyako batono mu mmwe ng'ate mu kukola ekyo mwali muva ku ndagaano."},{"id":84,"translation":"Era mujjukire lwe twabakozesa Endagaano nti: Temuuyiwenga musaayi gwammwe, era temwegobaganyenga mu mayumba. Endagaano mwagikkiriza, era nga mmwe mwennyini ekyo mukiwaako obujulizi."},{"id":85,"translation":"Wabula ate mmwe mwennyini muttinngana era nga mugobaganya abamu ku mmwe mu mayumba gaabwe. Muyamba abamu ku bannammwe mu ngeri emenya amateeka, era mu ngeri y'obulumbaganyi. So nga ate abawambe bwe baba babajjidde mubanunula n'okuwaayo ennunuzi, awamu n'okuba nga eky'okubagobaganya mu mayumba gaabwe kyaziyizibwa. Abaffe mu Kitabo mukkirizaamu bitundu bimu ne muwakanya ebitundu ebirala? Kiki kye musuubira okuba empeera y'omu mu mmwe akola ekikolwa ekyo, okuggyako okuswazibwa mu bulamu obw'ensi ng'ate ne ku Lunaku lw'Enkomerero bagenda kuzzibwa eri ebibonerezo ebisinga okuba ebikakali. Allah tagayaalirira ebyo bye mukola."},{"id":86,"translation":"Abo nno beebo abaawaanyisa obulamu bw'enkomerero ne batwalamu obw'ensi, tebagenda kukendeerezebwa ku bibonerezo wadde okutaasibwa."},{"id":87,"translation":"Mazima twawa Musa ekitabo (Tawulaati) oluvannyuma lwe ne tumugoberezaako Ababaka. Era netuwa Yisa mutabani wa Mariamu obubonero obw'olwatu ne tumuwagira ne Mwoyo Mutukuvu (Malayika Jibuliiru). Abaffe, buli lwonna Omubaka (wa Katonda) lw'abajjira n'ebyo bye mutayagala olwo nga mwekuluntaza! Abamu (ku Babaka) mubalimbisa ate abalala ne mubatta."},{"id":88,"translation":"Ne bagamba nti emitima gyaffe mizibikivu. Wabula Allah yabakolimira. Kalenno bakkiriza kitono nnyo."},{"id":89,"translation":"Ekitabo (Kulaani) okuva ewa Allah bwe kyabajjira nga kikakasa bye baalina, ate nga mu kusooka baali basaba Katonda abataase ku batakkiriza (abe nga abatumira Nnabbi gwe baali balindirira). Wabula bwe yabajjira oyo gwe baali bamanyi, baamuwakanya. Ekikolimo kya Allah kibeere ku batakkiriza."},{"id":90,"translation":"Kibi nnyo ekyo kye baawaanyisaamu emyoyo gyabwe olw'obutakkiriza ebyo Allah bye yassa nga kiva ku nsaalwa okuba nti Allah assa Ekyengera Kye (Obwannabbi) kw'oyo gw'aba ayagadde mu baddu Be. Ekyo kyabatuusa ku kusunguwalirwa Allah, nga kweyongera ku kusunguwalirwa okulala. Abatakkiriza balina ebibonerezo ebibakkakkanya."},{"id":91,"translation":"Bwe baba bagambiddwa nti mukkirize ebyo Allah bye yassa, bagamba nti: tukkiriza ebyo ebyassibwa ku ffe, ate ne bawakanya ekitali byo (ekyajja oluvannyuma). so nga (Kulaani) ge mazima agakakasa ebyo bye balina. Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Lwaki mu kusooka mwattanga Bannabbi ba Allah, bwe muba nga ddala muli Bakkiriza!"},{"id":92,"translation":"Mazima Musa yajja gyemuli n'obunnyonnnyofu wabula ate bwe yavaawo okugenda (okunona amateeka) ne mweteerawo ennyana ne mugisinza. Mu kikolwa ekyo mwali balyazaamaanyi."},{"id":93,"translation":"Era mujjukire lwe twabakozesa Endagaano, era ne tuwanika olusozi waggulu wammwe. Ne tubagamba nti: bye tubawadde mubikwate n'amaanyi era muwulire. Baayanukula ne bagamba nti, tuwulidde ne tujeema. Emitima gyabwe gyabbinkira mu kusinza ennyana olw'obutakkiriza bwabwe. Bagambe nti kibi nnyo enzikiriza yammwe ky'ebalagira bwe muba nga ddala muli Bakkiriza."},{"id":94,"translation":"Bagambe nti: Ennyumba ey'enkomerero bw'eba nga yeeyawulidde mmwe mwekka ewa Allah so si abantu abalala bonna, kale mwegombe okufa bwe muba nga mwogera mazima."},{"id":95,"translation":"Lubeerera tebagenda kukwegomba (okufa) okusinziira kw'ebyo bye baakola. Allah amanyi nnyo abalyazaamaanyi."},{"id":96,"translation":"Era ddala ojja kubasanga nga be basinga abantu bonna okululunkanira obulamu. Era be basinga okubwagalala okusinga ku abo abagatta ebintu ebirala ku Katonda nga n'omu ku bo yeegomba okuwangaala emyaka lukumi, so nga eky'okuwangaala ebbanga eddene tekimuwonya bibonerezo. Allah alaba bulungi bye bakola byonna."},{"id":97,"translation":"Bagambe nti omuntu awalana Jibuliiru, (ateekwa amanye nti) mazima yye (Jibuliiru) yakuleetera Kulaani n'agissa ku mutima gwo nga asinziira ku Kiragiro kya Allah, nga ekakasa Ebitabo ebyagikulembera era nga kyakulunngamya na kusanyusa eri Abakkiriza."},{"id":98,"translation":"Omuntu abeera omulabe wa Allah ne Bamalayika Be, ne Ababaka Be, ne Jibuliiru ne Mikayiri, mazima ddala Allah Mulabe eri abatakkiriza."},{"id":99,"translation":"Mazima twassa gy'oli obubonero obweyolefu, era tewali babuwakanya okuggyako aboonoonefu."},{"id":100,"translation":"Abaffe buli lwonna (Abayudaaya) lwe baakola endagaano, ekibinja mu bo kijaawukanako? Wabula (ekyo bakikola (kubanga) abasinga obungi mu bo tebakkiriza."},{"id":101,"translation":"Era Omubaka (Nnabbi Muhammadi ) bwe yajja gyebali okuva eri Allah nga akakasa ebyo bye baali balina, ekiwayi ekimu mw'abo abaaweebwa Ekitabo (Tawulaati), baasuula ebbali Ekitabo kya Allah nga balinga abatamanyi."},{"id":102,"translation":"Ne bagoberera ebyo Sitaane bye zaayogeranga (eby'eddogo) ku mulembe gw'obufuzi bwa Sulayimaani (nga babalowoozesa nti Sulayimaani lye yakozesanga), so nga Sulaiman tajeemeranga Katonda (alyoke akozese eddogo) wabula Sitaane ze zaajeemera Katonda nga ziyigiriza abantu eddogo n'ebyo ebyassibwa ku Bamalayika ababiri e Babilooni, Haaruuta ne Maaruuta. Te baayigirizanga mu ntu yenna okutuusa nga bamaze okumugamba nti: \"Mazima ffe tuli kigezo tojeemera Allah\". Ne bayiga ku Bamalayika abo kye basobola okwawula nakyo wakati w'omuntu ne mukyala we. Naye baali tebayinza kukosa n'eddogo eryo omuntu yenna okuggyako nga Allah asazeewo. Ne bayiga ebibakosa kyokka nga tebibayamba. Mazima baakitegeera bulungi nti awaanyisa eddogo mu Bigambo bya Allah ku Nkomerero talinaayo mugabo gwonna. Kibi nnyo kye baawaanyisaamu emyoyo gyabwe singa baali bamanyi (tebaalikikoze)."},{"id":103,"translation":"Wabula singa mazima bo bakkiriza Allah era ne bamutya, baalifunye empeera ennungi okuva eri Allah singa baali bamanyi."},{"id":104,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza, temukozesanga ekigambo Raa'ina (nga mwogera ne Nnabbi Muhammadi) wabula mugambenga nti: \"Undhurnaa\". Era mubeerenga bawulize. Bo abo abajeemu balina ebibonerezo ebirumya."},{"id":105,"translation":"Abo abatakkiriza Allah n'Omubaka We mu baaweebwa Ekitabo, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, tebaagalira ddala kalungi konna okuba nga kassibwa gyemuli okuva eri Omulezi Wammwe. So nga Allah assa okusaasira Kwe n'akwawulira oyo gw'aba ayagadde. Era Allah Ye Nnannyini byengera ebingi."},{"id":106,"translation":"Buli Aaya yonna gye tusangulawo oba gye tukwerabiza, tuleetamu egisingako oba egifaanana. Abaffe tomanyi nti mazima ddala Allah Muyinza ku buli kintu?"},{"id":107,"translation":"Abaffe, tomanyi nti mazima ddala obufuzi bw'eggulu (omusanvu) n'ensi bwa Allah, era nga temulinaayo mukuumi yenna wadde omutaasa atali Yye."},{"id":108,"translation":"Wabula mulabika mwagala kubuuza Mubaka Wammwe nga Musa bwe yabuuzibwa olubereberye. Omuntu awaanyisa obutakkiriza mu Bukkiriza aba abuze okuva ku kkubo eryawakati."},{"id":109,"translation":"Bangi mu bantu abaaweebwa Ekitabo baagala babakyuse oluvannyuma lw'Okukkiriza kwammwe babafuule abatakkiriza olw'ensaalwa eri mu mitima gyabwe oluvannyuma lw'amazima okubeeyoleka. Kale (mmwe Abasiraamu) musonyiwe era muleke (abo abaaweebwa Ekitabo) okutuusa Allah lw'anaaleeta Ekiragiro Kye, mazima Allah Muyinza ku buli kintu."},{"id":110,"translation":"Era muyimirizeewo esswala, mutoole ne Zzaka. Na buli kalungi konna ke mwekolera mugenda kukasanga ewa Allah. Mazima Allah alaba mu bujjuvu bye mukola."},{"id":111,"translation":"Era baagamba (nga bakubagana empawa) mpaawo agenda kuyingira Jjana okuggyako abaali mu ddiini y'Abayudaaya oba ey'Abanaswara. Okwo nno kwe kwegomba kwabwe. Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti, muleete obujulizi bwammwe bwe muba nga mwogera mazima."},{"id":112,"translation":"Wabula ekituufu kiri nti omuntu eyeewaayo n'ayolekeza ekyenyi kye eri Allah, era nga alongoosa, waakufuna empeera ye ew'Omutonzi We. Abantu abo tebagenda kufuna kutya wadde okunakuwala."},{"id":113,"translation":"Abayudaaya baagamba nti Abanaswara tebalina kye baliko, n'Abanaswara ne bagamba nti: Abayudaaya tebalina kye baliko, so nga ate bonna basoma Ekitabo. Bwekityo n'abatamanyi kusoma nabo baayogera ekigambo ekifaananako ekya bali. Allah aliramula wakati waabwe ku Lunaku lw’Enkomerero ku ebyo bye baalinga baawukanamu."},{"id":114,"translation":"Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo aziyiza okwogera ku Linnya lya Allah mu mizikiti Gye, ng'afuba okugyonoona. Abo tebasaana kugiyingira wabula nga bali mu kutya. Balina obuswavu mu nsi, nga ne ku Lunaku lw'Enkomerero bagenda kufuna ebibonerezo ebikakali."},{"id":115,"translation":"Obuvanjuba n'obugwanjuba bwa Allah, kale yonna gyemuba mwolekedde nga musaala eyo y'eri obwolekero bwa Allah, mazima Allah Mugazi mu ngeri zonna era Mumanyi nnyo."},{"id":116,"translation":"Baagamba nti Allah alina omwana. Allah ali wala nnyo n'ekyo. Wabula ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna (bitonde Bye) era bimugondera."},{"id":117,"translation":"Ye Mutandisi W'eggulu n'ensi. Bw'aba asazeewo ensonga yonna agamba bugambi nti: \"Ba\" ne kiba."},{"id":118,"translation":"Abo abatalina kye bamanyi baagamba nti: Singa Allah ayogera naffe butereevu, oba ne tuwebwa Ekyamagero. Ekigambo ekyo n'abo abaabasooka baakyogera emitima gyabwe gyafaanagana, (mukitegeere nti) mazima twannyonnyola obujulizi eri abantu abakakasa."},{"id":119,"translation":"Mazima Ffe twakutuma n'amazima nga oli musanyusa era omutiisa era togenda kubuuzibwa ku bantu ba mu Muliro."},{"id":120,"translation":"Abayudaaya wadde Abanaswara tebagenda kukusiima okuggyako nga ogoberedde enzikiriza yaabwe. Bagambe nti mazima okulunngamya kwa Allah kwe kulunngama okwannamaddsla. (Ndayira) Singa onoogoberera bye baagala oluvannyuma lw'okumanya okukujjidde, togenda kufuna waamukwano wadde omutaasa abanaakutaasa ku Allah."},{"id":121,"translation":"Abo be twawa Ekitabo bakisoma mu butuufu bw'okukisoma, abo bakikkiriza, naye abanaakiwakanya beebo ab'okufaafaaganirwa."},{"id":122,"translation":"Abange abaana ba Yisirayiri, mujjukire ebyengera Byange bye nnabagabira era mazima Nze nnabasukkulumya ku bantu abalala bonna (ab'okumulembe gwammwe olw'okubaggyamu Bannabbi abangi)."},{"id":123,"translation":"Era mutye n'Olunaku omuntu lw'ataligasa muntu munne mu kintu kyonna, n'ennunuzi y'omuntu lw'eterikkirizibwa, wadde okuwolereza tekulimugasa, era nga tebagenda kutaasibwa."},{"id":124,"translation":"Jjukira ekiseera Katonda lwe yagezesa Ibraahiimu n'ebiragiro (Ibraahiimu) n'abituukiriza, (Katonda) n'amugamba nti mazima nja kukufuula omukulembeze w'abantu. (Ibraahiimu) n'agamba nti; nsaba ne mu zzadde lyange muveemu abakulembeze. (Katonda) n'amugamba nti Endagaano Yange tetwaliramu balyazaamaanyi."},{"id":125,"translation":"Era jjukira ekiseera we twafuulira Ennyumba (Kaaba) okuba nga bwe buddo bw'abantu era ekifo eky'eddembe, era ne tubalagira nti; ekifo Ibraahiimu mwe yayimirira mukifuule awasaalirwa. Era twalaamira Ibraahiimu ne Ismail nti Ennyumba Yange mugitukulizanga abagyetooloola n'abagituulamu eitkaafu, n'abo abakutama abavunnama."},{"id":126,"translation":"Era Jjukira ekiseera awo Ibraahiimu we yagambira nti: Ayi Mukama Katonda Wange ekibuga kino kifuule kya ddembe era ogabirire abantu baamu ebibala, oyo anakkirizanga Allah n'Olunaku lw'Enkomerero. N'agamba nti: N'oyo atakkiriza (ηŋenda kumugabiriranga mmusanyuse akaseera katono oluvannyuma ηŋenda kumukulubbya eri Ebibonerezo by'Omuliro. Era buddo bubi ddala."},{"id":127,"translation":"Era jjukira ekiseera Ibraahiimu ne Ismail we baasitulira omusingi gw'Ennyumba (Kaaba) nga bagamba nti: Ayi Mukama Katonda Waffe, kkiriza omulimu gwaffe guno, mazima Ggwe Oli Muwulizi era Omumanyi."},{"id":128,"translation":"Ayi Mukama (Katonda) Omulezi Waffe, tufuule ffembi abeewaayo Gy'oli (ne bakugondera) era ne mu zzadde lyaffe oggyemu abalyewaayo Gy'oli (ne bakugondera), era otulage (otumanyise) emikolo gyaffe egy'okusinza bwe tugituukirizaamu (omuli egya Hijja n'emirala). Era tusonyiwe, mazima Ggwe Oli Musonyiyi Omusaasizi."},{"id":129,"translation":"Ayi Mukama Katonda Omulezi Waffe era batumemu Omubaka ng'ava mu bo nga abasomera Ebigambo Byo era nga abayigiriza Ekitabo n'ebintu ebyamagezi era abatukuze. Mazima Ggwe Waamaanyi Omukenkufu."},{"id":130,"translation":"Tewali yaalyegombye okuva ku Ddiini ya Ibraahiimu okuggyako oyo eyeesiriwaza yekka. Ate nga (Ibraahiimu) mazima twamuwa ekifo eky'enkizo mu nsi era mazima ddala yye ku Lunaku lw'Enkomerero waakubeera mu balongoofu."},{"id":131,"translation":"Era jjukira ekiseera Omulezi We (Katonda) we yamugambira nti: Jeemulukuka (siramuka). (Ibraahiimu) n'agamba nti; njeemulukukidde Katonda Omulezi W'ebitonde."},{"id":132,"translation":"Era Ibraahiimu (ekigambo ky'okwewaayo) yakiraamira abaana be, ne Yakuubu naye bwe yakiraamira ababe nti: Baana bange mazima ddala Allah yabasiimira Eddiini, kale nno okufa tekubatuukangako okuggyako nga muli Basiraamu."},{"id":133,"translation":"Abaffe mmwe (Abayudaaya) mwaliwo mu kaseera awo Yakuubu bwe yali anaatera okufa, n'agamba abaana be nti; kiki kye mulisinza oluvannyuma lwange? Ne bagamba nti; tugenda kusinza Katonda Wo era Katonda Wa bakadde bo, Ibraahiimu ne Ismail ne Isihaaka, Katonda Omu Yekka era nga tugenda kumujeemulukukira."},{"id":134,"translation":"Ogwo omulembe gwayita, gulina bye gwapakasa, ate nammwe mulina ebyammwe bye mupakasizza. Era temugenda kubuuzibwa kw'ebyo bye baali bakola."},{"id":135,"translation":"Era (Abayudaaya n'Abanaswara) baagamba nti; mubeere Bayudaaya oba Banaswara lwemunaaluηηama. Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Wabula tugoberera Ddiini ya Ibraahiimu eragira okusinza Katonda omu Yekka, era (Ibraahiimu) tabangako mu bagatta kintu kirala ku Katonda"},{"id":136,"translation":"(Mmwe Abasiraamu) mugambe nti: Tukkiriza Allah, n'ebyassibwa gyetuli, n'ebyassibwa ku Ibrahiimu, ne Ismail, ne Isihaaka, ne Yakuubu n'eri bazzukulu baabwe. N'ebyo ebyaweebwa Musa ne Yisa na byonna ebyaweebwa Bannabbi abalala nga biva eri Mukama Katonda Omulezi Waabwe era tetubaawulayawulamu era nga naffe twewaddeyo Gy'ali (tuli bajeemulukufu Gy'ali)."},{"id":137,"translation":"Bwe banakkiririza okufaanana nga kwemwakkiriza, olwo ban'aba baluηηamye. Naye bwe banaava ku nzikiriza eyo, mazima ddala bbo bajja kubeera mu kuwalaaza mpaka (na kwawukana) nayenno Allah ajja kubakukolerako abakumalire. Era Ye (Katonda) y'Awulira ennyo, era y'Amanyi ennyo."},{"id":138,"translation":"(Mwenyweze) ku Ddiini ya Allah. Ate ani alina Eddiini ennungi okusinga eya Allah, era naffe Gwe tusinza."},{"id":139,"translation":"Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Mutukaayanya ku bikwata ku Allah, ate nga Ye Mulabirizi Waffe era ye Mulabirizi Wammwe, era naffe tulina emirimu gyaffe nammwe mulina emirimu gyammwe, wabula ate ffe tumwawula mu kumusinza."},{"id":140,"translation":"Oba mugamba nti; mazima Ibraahiimu ne Ismail ne Isihaaka ne Yakuubu ne bazzukulu baabwe baali Bayudaaya oba Banaswara. Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti abaffe mmwe musinga okumanya, oba Allah? Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo akweka obujulizi bw'alina obuva eri Allah? Allah ebyo bye mukola tabigayaaliridde."},{"id":141,"translation":"Omulembe ogwo gwayita, gulina bye gwapakasa nammwe mulina bye mupakasizza. Era temugenda kubuuzibwa kw'ebyo bye baakolanga."},{"id":142,"translation":"Ababuyabuya mu bantu bajja kugamba nti kiki ekyabaggya ku bwolekero bwabwe (Baitul-makdis) bwe baaliko, bagambe nti obuvanjuba n'obugwanjuba bwonna bwa Allah. Aluŋŋamya gw'aba ayagadde eri ekkubo eggolokofu."},{"id":143,"translation":"Bwetutyo twabafuula (mmwe) ekibiina ekyenkamu (eky'enkizo), mube nga mmwe muwa obujulizi ku bantu, nga ate mmwe Omubaka (Nnabbi Muhammadi) y'abawaako obujulizi. Tetwateekawo bwolekero (Kibula) Bwe wasooka okwolekera okuggyako lwa kwagala kulaba abagoberezi b'Omubaka abannamaddala obutafaanana n'abo abakyukira ku bisinziiro byabwe. Wabula kino kyali kinene nnyo okuggyako kw'abo Allah be yaluŋŋamya. Era Allah tayinza kwonoona Bukkiriza bwammwe. Mazima Allah alumirirwa abantu era Musaasizi nnyo ku bo."},{"id":144,"translation":"Tulaba nga okyusa ekyenyi kyo nga otunula ku ggulu (ggwe Muhammadi nga olinda Obubaka ku nsonga y'obwolekero (Ekibula). Kalenno tujja kukwolekeza obwolekero bw'oyagala. Kale yolekeza ekyenyi kyo ku luuyi oluliko Omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna we mubeeranga muteekeddwa okwolekeza ebyenyi byammwe oluuyi olwo. Mu mazima abo abaaweebwa Ekitabo bakimanyidde ddala nti bino ge mazima okuva eri Katonda Waabwe. Ate nga Allah talagajjala ku bye mukola."},{"id":145,"translation":"Ndayira abo abaaweebwa Ekitabo ne bw'obaleetera obujulizi obufaanana butya tebagenda kugoberera bwolekero bwo, era naawe togenda kugoberera bwolekero bwabwe. So nga n'abamu mu bo si baakugoberera bwolekero bwa balala. Kale nno singa onoogoberera okwagala kwabwe oluvannyuma lw'okumanya kw'ofunye, mazima ddala ggwe ojja kuba ogenze mu luse lw'abantu abalyazaamaanyi."},{"id":146,"translation":"Abo be twawa Ekitabo bakimanyi bulungi nga bwe bamanyi abaana baabwe. Wabula ekibinja mu bo bakwekera ddala amazima ate nga bamanyi."},{"id":147,"translation":"Gano ge mazima okuva eri Katonda Wo. Ddala Tobeereranga n'omulundi n'ogumu mu abo ababuusabuusa."},{"id":148,"translation":"Buli bantu balina oludda lweboolekera. Kale (mmwe Abakkiriza) muvuganye mu kukola ebirungi. Yonna gye muliba mwenna, Allah agenda kubaleeta. Mazima Allah Muyinza ku buli kintu kyonna."},{"id":149,"translation":"Na buli wonna w'onoogendanga yolekeza obwanga bwo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Era ddala gano ge mazima okuva eri Katonda Wo. Allah si mugayaavu ku bye mukola."},{"id":150,"translation":"Na buli wonna w'onoobanga ogenze yolekeza ekyenyi kyo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna we munaabeeranga mwolekezenga ebyenyi byammwe oluuyi olwo, waleme kubaawo nsonga yonna bantu gye beekwasa okuggyako abo abalyazaamaanyi mu bo. Temubatya, nze (Katonda) Gwe muba mutya. Olwonno mbajjulize ebyengera Byange, nammwe kibabeerere ensonga y'okulunngama."},{"id":151,"translation":"Kino kiri nga bwe twabatumira Omubaka ngr ava mu mmwe n'abeera nga abasomera Ebigambo Byaffe, era nga abatukuza, era nga abayigiriza Ekitabo n'abayigiriza ne Ssunnah, era n'abayigiriza n'ebintu ebirala bye mwali temumanyi."},{"id":152,"translation":"Kale nno munjogerako mboogereko. Era munneebaze, temugaananga okunneebaza."},{"id":153,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza, mweyambise obugumiikiriza n'okusaala olw'okubanga mazima Allah ali wamu n'abagumiikiriza."},{"id":154,"translation":"Era temwogeranga kw'abo abattibwa mu kkubo lya Allah mbu bafu. Wabula eky'amazima baba balamu naye mmwe mutategeera (bulamu bwabwe)."},{"id":155,"translation":"Era ndayira mazima ddala tujja kubagezesa, n'ekintu nga mwe muli okutya, enjala, okukendeera kw'ebyenfuna n'okufa kw'abantu, n'okukendeera kw'ebibala. Wabula sanyusa abagumiikiriza."},{"id":156,"translation":"Abo obuzibu be buba butuuseeko ne bagamba nti: Mazima ffe tuli ba Allah (y'atufuga) era ddala ffe Gy'ali gye tujja okudda."},{"id":157,"translation":"Abo nno balina okusaasirwa okuva eri Mukama Katonda Waabwe, era abo be baluŋŋamu."},{"id":158,"translation":"Mazima akasozi Swafa n'akasozi Maruwa bubalibwa mu bubonero bwa Allah. Kale nno omuntu aba azze okulambula Ennyumba (Kaaba) oba ng'azze kukola mikolo gya Umura talina musango kudduka wakati w'obusozi bwombiriri. N'omuntu akola obulungi bwonna mu ngeri ya kyeyagalire , (mumanye nti) Allah yeebaza (asiima), Mumanyi nnyo."},{"id":159,"translation":"Mazima abo abakweka ebyo bye twassa mu bujulizi n'obulunngamu oluvannyuma nga tumaze okubinnyonnyola abantu mu Kitabo (kyabwe). Abo nno Allah abakolimira n'abakolimi bonna ne babakolimira."},{"id":160,"translation":"Okuggyako abo abeenenya ne balongoosa, nebannyonnyola ebyo (bye baakweka). Abonno nzikiriza okwenenya kwabwe kuba Nze Muyitirivu E'okukkiriza okweneenya era Nze Musaasizi ennyo."},{"id":161,"translation":"Mazima abo abaawakanya ne bafiira ku butakkiriza; Abo baliko Ekikolimo kya Allah ne Bamalayika n'abantu bonna."},{"id":162,"translation":"(Abantu abo) Balibeera mu Kikolimo obugenderevu, era ebibonerezo tebigenda kubakendeerezebwako, era tebagenda kulindirizibwa (kubonerezebwa)."},{"id":163,"translation":"Mazima Katonda Wammwe ali Katonda omu, tewali asinzibwa - mu butuufu- mulala yenna okuggyako Yye, Ye Nnannyini kisa ekingi Omusaasizi."},{"id":164,"translation":"Mazima mu kutonda eggulu (ery'emiko omusanvu) n'ensi, n'okukyukakyuka kw'ekiro n'emisana, n'amaato agatambulira ku nnyanja nga geetisse ebintu ebigasa abantu, n'amazzi Allah g'assa okuva waggulu, n'alamusa nago ensi oluvannyuma lw'okuba nga efudde, n'asasaanya mu nsi buli kiramu, ne mu kukyusa empewo n'ebire, ebyateekebwa wakati w'eggulu n'ensi, bubonero (obulaga okubaawo kwa Katonda n'obuyinza bwe) eri abantu abategeera."},{"id":165,"translation":"Naye mu bantu mulimu abaleka Allah, ne basinza ebintu ebirala, ne babyagala nga bwe baaliyagadde Allah. So nga bo Abakkiriza baagala nnyo Allah Waabwe (Omu) (nga okwagala kwabwe kuli ku Yye Yekka). Singa abagatta ebintu ebirala ku Allah baali basobola okulaba ebibonerezo lwe birituuka, baalibadde bamanya nti amaanyi gonna ga Allah era nga bwe baalibadde bamanya nti ddala Allah Muyitirivu wa kubonereza."},{"id":166,"translation":"Mu kiseera abaagobererwa we balyegaanira abaabagobereranga era ne balaba ku bibonerezo, n'ensonga ezaabagattanga ne zikutukawo."},{"id":167,"translation":"Abaagobereranga baligamba nti: singa tubadde tulina (obusobozi) okudda omulundi omulala ku nsi naffe ne tubeegaana nga bwe batwegaanye. Bw'atyo Allah alibalaga emirimu gyabwe nga kwejjusa gyebali era tebalifuluma kuva mu Muliro."},{"id":168,"translation":"Abange mmwe abantu, mulye kw'ebyo ebiri mu nsi ebyakkirizibwa ebirungi, era temugobereranga amakubo ga Sitaane anti yo mulabe wammwe wa lwatu."},{"id":169,"translation":"Mazima Sitaane abalagira kukola bibi, na bya bugwenyufu, n'okwogera ku Allah ebyo bye mutamanyi."},{"id":170,"translation":"Bwe baba nga bagambiddwa nti: Mugoberere ebyo Allah bye yassa (ku Nnabbi Muhammadi) baddamu nga bagamba nti: ffe tugoberera byetwasangako bakadde baffe. Abaffe ne bwebabanga bakadde baabwe baalinga tebategeera kintu kyonna era nga tebaali baluŋŋamu?"},{"id":171,"translation":"Ekifaananyi ky'abantu abo abatakkiriza (n'oyo abakoowoola okujja eri Obukkiriza) kiringa omulunzi akoowoola ensolo ze ezitawulira zijje gy'ali ne ky'aziyitira, wabula kukoma ku kuwulira okuyita n'okukoowoolwa. (Abatakkiriza abo) Bakiggala, bakasiru, bamuzibe, bo tebategeera n'akatono."},{"id":172,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza, mulye ku birungi mu ebyo byet twabagabirira era mwebaze Allah bwe muba nga ddala Yye, Yekka Gwe musinza."},{"id":173,"translation":"Mazima ddala (Katonda) yabagaana okulya ekifudde kyokka, n'omusaayi , n'ennyama y'embizzi, na buli kyonna ekisaliddwa nga kyogereddwako ekintu ekirala ekitali Allah. Wabula omuntu abeera mu buzibu nga si lwa bujeemu, era n'atasukka kyetaago kye, oyo nno talina musango (bw'aba aliddeko). Mazima Allah Musonyiyi, Musaasizi."},{"id":174,"translation":"Mazima abo abakweka ebyo Allah bye yassa mu Kitabo ne babiwaanyisaamu omuwendo omutono, abo nno buli kye balya guba muliro mu mbuto zaabwe era Allah tagenda kwogera nabo ku Lunaku lw'Enkomerero era tagenda ku batukuza. Erabagenda kussibwako ebibonerezo ebirumya."},{"id":175,"translation":"Abo nno beebo abaawaanyisa obubuze mu bulunngamu, n'okubonerezebwa mu kifo ky'okusonyiyibwa. Baliggya wa obuvumu obugumira Omuliro."},{"id":176,"translation":"Ekyo kye kiriva kiba bwekityo kubanga Allah yassa Ekitabo lwa mazima. Naye nno mazima abo abatakkaanya ku biri mu Kitabo ddala bali mu kwawukana okuli ewala ennyo n'ekituufu."},{"id":177,"translation":"Obulungi obubalibwa eri Allah, tebwemalidde mu kwolekera kwammwe ebuvanjuba oba ebugwanjuba, wabula obulungi ye muntu okukkiriza Allah n'Olunaku lw’Enkomerero, ne Bamalayika n'Ekitabo (Kulaani) ne Bannabi bonna, n'omuntu okuba nga awaayo ebyobugagga bwe (mu kkubo lya Katonda) awamu n'okuba nga abyagala, nga abiwa ab'oluganda olw'okumpi ne bamulekwa n'abanaku n'abatambuze abalemereddwa mu ŋŋendo zaabwe, n'abasabirizi n'abaagala okwenunula okuva mu buwambe. Era n'ayimirizaawo Esswala, n'atoola ne Zzaka mu by'obugagga bwe. N'abo abatuukiriza endagaano zaabwe bwe baba nga balagaanyisizza, n'abagumiikiriza mu buzibu, obubenje ne mu biseera by'entalo. Abo nno be baamazima, era abo be batya Katonda."},{"id":178,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza, mulaalikiddwako okuwoolera eggwanga ku nsonga y'abattibwa nga ekibonerezo ky'oyo aba atemudde kumutta; omwana wa boobwe attibwa olw'okutta omwana wa boobwe, n'omuddu attibwa olw'okutta muddu munne, n'omukazi attibwa ku lwokutta mukazi munne. Asse, bannannyini mufu bwe baba bamusonyiye muganda waabwe ekintu kyonna, ababanja bateekwa okubanja mu ngeri ennungi, n'abasasula basasule mu ngeri y'emu. Okwo kwe kuwewula n'okusaasira, ebyava eri Katonda Wammwe. Oluvannyuma (lw'okusasula) oyo alumba n'atta eyasonyiyiddwa waakufuna ekibonerezo ekirumya."},{"id":179,"translation":"Mulina mu kuwoolera eggwanga (okuwa abatemu ekibonerezo ky'okufa) obulamu, abange mmwe abalina amagezi, oba olyawo munaatya Katonda."},{"id":180,"translation":"Mulaalikiddwako singa (kirabika nti) omu ku mmwe atuuse okufa n'aba nga aleseewo emmaali, ateekwa okulaamira bazadde be bombi n'abooluganda lwe olw'okumpi nga akikola mu ngeri ennungi. Ekyo kikakafu ku batya Katonda."},{"id":181,"translation":"Wabula omuntu akyusa ekiraamo, nga amaze okukiwulira; mazima ddala ekibi ky'okukikyusa kiri kw'abo abakikyusa kubanga Allah Muwulizi nnyo, era Mumanyi nnyo."},{"id":182,"translation":"Naye omuntu bwe yeekengera mu mulaami okwekubiira oba okukola ekikyamu (okwekubiira), ye nalongoosa wakati waabwe (abalaamirwa) oyo tayina musango, Mazima Allah Musonyiyi, Musaasizi."},{"id":183,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza, mulaalikiddwa okusiiba nga bwe kwalaalikibwa kw'abo abaabakulembera mulyoke mutye Katonda."},{"id":184,"translation":"Musiiba ennaku mbale bubazi, naye oyo an'abeeranga omulwadde mu mmwe, oba ng'ali mu lugendo, (akkirizibwa obutasiiba) ennaku ezo (ze yalyamu) azisiibe mu nnaku endala. Bo abo abasiiba nga bazitoowererwa (bayinza obutasiiba) ne bawa engassi nga baliisa abanaku. Bulijjo omuntu bw'akola ekirungi ekisinga kw'ekyo ky'alagiddwa okukola, kye kirungi gy'ali. Wabula singa musiiba kye kisinga obulungi gyemuli bwe muba nga mumanyi."},{"id":185,"translation":"(Ekiseera ekibalaalikiddwako okusiiba gwe) mwezi gwa Lamanzaane, Kulaani mwe yakkira. Nga (Kulaani) kulunngamya eri abantu. Era nga mulimu obujulizi obunnyonnyola obulunngamu era nga mulimu okulaga okwawula wakati w'amazima n'obulimba. N'olw'ekyo omuntu abeeranga atuuse ku mwezi gwa Lamanzaane ateekwa okugusiiba. Naye oyo asangibwa nga mulwadde, oba nga ali ku lugendo ennaku ezo azibale azisiibe mu kiseera ekirala. Bulijjo Allah abaagaliza bwangu so si kubakaluubiriza. Kale nno mujjuze ennaku z'omwezi ogwo era mutendereze allah olw'okubaluŋŋamya, olwo mubeere abeebaza."},{"id":186,"translation":"Abaddu bange bwe baba bakumbuuzizzaako bagambe nti mazima ndi kumpi, nnyanukula okusaba kw'omusabi bw'abeera nga ansabye. Wabula bateekwa okunngondera era banzikirize balyoke batuuke ku bulungamu."},{"id":187,"translation":"Mukkirizibbwa mu kiro ky'okusiiba okukiika eri bakyala bammwe, abakyala abo byambalo byammwe nga nammwe bwe muli ebyambalo byabwe. Allah amanyi nti mazima ddala mmwe mubadde mwebbirira, (Katonda) kwekukkiriza okwenenya kwammwe era n'abasonyiwa. Kaakati mugende gyebali era mukole ekyo Allah kye yabakkiriza. Mulye era munywe okutuusiza ddala ewuzi enjeru (nga ky'ekitangaala) bwe kinaabeeyolekera okuva mu wuzi enzirugavu (nga y'enzikiza) nga okwo kwe kusala kw'emmambya. Olwo nno musiibe okutuusa obudde okuziba. Temukiikanga gye bali nga mutudde Itikaafu mu mizikiti. Ezo z'ensalosalo za Allah, temuzisembereranga. Bw'atyo nno Allah bw'annyonnyola Amateeka Ge eri abantu balyoke bamutye."},{"id":188,"translation":"Temulyanga emmaali yammwe wakati wammwe mu ngeri enkyamu, ne mutuuka n'okugitwala eri abalamuzi musobole okulya ekitundu ku bintu by'abantu mu bwonoonyi, ate nga mumanyi."},{"id":189,"translation":"Bakubuuza (ggwe Nnabbi Muhammadi) (ku mboneekerera y'omwezi) ku nkyukakyuka y'omwezi, bagambe nti ebyo kulaga biseera eri abantu na kumanyirako biseera bya Hijja. Obutuukirivu si kuyingira mayumba gammwe nga muyita waggulu, wabula obutuukirivu ye muntu okutya Katonda. Era amayumba mugayite mu miryango gyago , era mutye Allah musobole okubeera mu b'okwesiima."},{"id":190,"translation":"Mulwane mu kkubo lya Allah nga mulwanyisa abo ababalwanyisa. Wabula temulumbagananga , mazima Allah tayagala balumbaganyi."},{"id":191,"translation":"Era mubatte wonna we mubanga mubagwikirizza, era mubaggye mu bifo ebyo bye baabaggyamu kubanga bulijjo obutakkiriza (n'okukyusa omuntu okumuggya mu Busiraamu) kibi nnyo okusinga okutta. Temubalwanyisizanga mu muzikiti ogw'emizizo okutuusa nga babalwanyisirizzaamu, bwe baba babalwanyisizza mubatte; empeera y'abatakkiriza bw'etyo bw'ebeera."},{"id":192,"translation":"Bwe baba beekomyeko mazima Allah Musonyiyi, Musaasizi."},{"id":193,"translation":"Mubalwanyise okutuusa lwe wataabeewo butakkiriza n'emisanvu gyonna, olwo nno okusinzibwa kwonna kube kwa Allah Yekka. Naye bwe baba beekomyeko olwo nno tewasaanye kubaawo bulumbaganyi okuggyako ku balyazaamaanyi."},{"id":194,"translation":"Omwezi ogw'emizizo gwawaanyisibwamu n'omwezi ogw'emizizo. Omuntu atyoboola ebifo eby'emizizo aweebwa ekibonerezo ekigya mu kikolwa ky'aba akoze. Kale nno omuntu abalumbaganye mumwolekeze obwanga nga bw'aba azze. Mutye Allah era mumanye nti mazima ddala Allah ali wamu n'abamutya."},{"id":195,"translation":"Era muweeyo mu Kkubo lya Allah naye temwesuulanga mmwe mwennyini mu kuzikirira, era mulongoose, kubanga mazima ddala Allah ayagala abalongoosa."},{"id":196,"translation":"Mukole Hijja ne Umra mu bujjuvu ku lwa Allah, naye bwe mulemesebwanga, buli muntu ateekwa okusala ekisolo ekiweebwayo ky'aba asobola, wabula temumwanga mitwe gyammwe okutuusa ekisolo ekiweebwayo nga kituuse mu kifo kyakyo. Naye oyo anaabeeranga omulwadde mu mmwe oba ng'alina ekizibu ekirala ku mutwe gwe oyo ateekeddwa okutoola omutango gw'okusiiba oba okuwaayo saddaaka oba okusala ekisolo. Naye bwe munaabeerangaj mu mirembe, oyo yenna anaakozesanga omukisa gw'okukulembeza Umra ku Hijja ateekeddwa okuwaayo ekirabo ky'aba asobodde, naye oyo atakirina ateekeddwa okusiiba ennaku ssatu nga akyali mu Hijja n'endala musanvu (azisiibe) nga azzeeyo, eryo nno ly'ekkumi (10) erijjudde. Ebyo biba bityo kw'oyo amaka ge nga tegali wali muzikiti ogw'emizizo (Makkah). Mutye Allah, era mumanye nti mazima ddala Allah alina Ebibonerezo ebikakali."},{"id":197,"translation":"Hijja erina emyezi egimanyiddwa, kale nno omuntu eyeekakasangako nti mu myezi egyo ajja kukoleramu Hijja, teyeedibaganga, era tayonoonanga, bw'atyo tawakana ng'ali mu mikolo gya Hijja. Buli kirungi kyonna kye mukola Allah akimanyi. Era muteekeddwa okwesibirira entanda. Naye entanda esinga obulungi kwe kutya Katonda. Kale nno muntye abange mmwe abalina amagezi agasengejja."},{"id":198,"translation":"Temulina kibi bwe muba nga munonyezza ku byengera bya Katonda Wammwe, bwe muvanga mu Arafa mutendereze Allah mu kifo eky'emizizo (Muzidalifah). Era mumutendereze, anti yabaluŋŋamya newaakubadde nga mu kusooka mwali mu babuze."},{"id":199,"translation":"Oluvannyuma mukuluumulukuke mweyiwe awo abantu we beeyiwanga era mwegayirire Allah okubasonyiwa, mazima Allah Musonyiyi, Musaasizi."},{"id":200,"translation":"Bwe mumaliriza emikolo gyammwe (egya Hijja), mw'ogerenga ku Katonda nga bwe mwogera ku bakadde ba mmwe, sinakindi n'okusingawo. Mu bantu mulimu abasaba nga bagamba nti; Mukama Katonda Waffe tuwe ebirungi by'ensi kyokka nga talina mugabo gwonna ku Nkomerero."},{"id":201,"translation":"Ate mu bo mulimu abasaba nga bagamba nti; Mukama Katonda Waffe tuwe obulungi ku nsi, ne ku Nkomerero otuwe obulungi, otuwonye ebibonerezo byOmuliro."},{"id":202,"translation":"Abo nno be balina omugabo omunene olw'ebyo bye baakola, era Allah Mwangu nnyo mu kubala."},{"id":203,"translation":"Mutendereze Allah mu nnaku ezebbalirirwe, omuntu anaayanguwanga n'avaayo mu nnaku bbiri talina musango. N'oyo alinda n'amalayo (ennaku ssatu) talina musango. Ekyo ky'oyo atya Allah. Mutye Allah era mumanye nti mugenda kukuŋŋanyizibwa mudde Gy'ali."},{"id":204,"translation":"Mu bantu mulimu omuntu nga ebigambo bye bikusanyusa mu bulamu obw'ensi era nga ajuliza Allah kw'ekyo ekiri mu mutima gwe, so nga ye mulabe asingira ddala (eri Obusiraamu n'Abasiraamu)."},{"id":205,"translation":"Bw'ava awo assa amaanyi mu kusaasanya obwonoonefu mu nsi, era n'azikiriza ebirime n'ebisolo, so nga ate Allah tayagala bwonoonefu."},{"id":206,"translation":"(Omuntu oyo y'omu) bwe bamugamba nti tya Allah, asunguwala ne yeekuluntaza olw'okwonoona kw'alina. Omuliro Jahannama gwe gumusobola. Ekyo nno kifo kibi nnyo."},{"id":207,"translation":"Era mu bantu mulimu atunda omwoyo gwe nga anoonya okusiima kwa ssh; Katonda musaasizi nnyo eri abaddu Be."},{"id":208,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza, muyingire mu Busiraamu muggweeremu. Temugobereranga makubo ga Sitaane, mazima yye mulabe wa mmwe owoolwatu."},{"id":209,"translation":"Bwe munaaseerera oluvannyuma lw'okujjirwa obunnyonnyofu, mumanye nti Allah wa buyinza, mukenkufu."},{"id":210,"translation":"Tebalina kye balinda, okuggyako balinda Allah okubajjira nga ali mu bisiikirize by'ebire ne Bamalayika bajje ekigambo kiggwe. So nga ate (ebyo we biribeererawo) ebintu by'ensi byonna biriba bikomye), era eri Allah ensonga zonna gye zijja okuzzibwa."},{"id":211,"translation":"Buuza abaana ba Yisirayiri nti, obubonero obunnyonnyofu bumeka bwe nnabawa? Bungi. Naye nno omuntu akyusa ekyengera kya Allah nga amaze okukifuna, mazima ddala Allah Ebibonerezo Bye byamaanyi."},{"id":212,"translation":"Abatakkiriza bawundirwa obulamu bw'e Nsi, era bajeeja Abakkiriza; wabula abatya Katonda bagenda kubabeera waggulu ku lunaku lw’e Nkomerero. Katonda agabira gw'aba ayagadde awatali kubalirira."},{"id":213,"translation":"Abantu baali ku Ddiini emu (ey'okukkiriza Allah Yekka) (naye olw'ensonga emu oba endala ne baawukana) Allah kwe kutuma Bannabbi nga balanga essanyu (eri abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi) era nga batiisa (ebibonerezo ebirituuka ku bajeemu). Allah n'abassaako ekitabo namazima alyoke alamule wakati w'abantu mw'ebyo bye baayawukanamu. Naye tebaayawukana mu kyo (Ekitabo) okuggyako abo bennyini abaakiweebwa, ng'obunnyonnyofu bumaze okubatuukako, Allah kwe kulunngamya abo abakkiriza ku lw'Ekisa Kye eri amazima ge baayawukanamu. Bulijjo Allah aluŋŋamya gw'aba ayagadde eri ekkubo eggolokofu."},{"id":214,"translation":"Nandiki musuubira okuyingira Ejjana nga temutuukiddwako ebiringa ebyo ebyatuuka ku baabakulembera! Baatuukibwako ebizibu n'okubonaabona, era ne bayuuguumizibwa okutuusa Omubaka ne Abakkiriza abaali awamu naye ne bagamba nti Allah atutaasa ddi? Naye, okutaasa kwa Allah kuli kumpi."},{"id":215,"translation":"Bakubuuza biki bye baba bawaayo. Bagambe nti buli kyonna kye muwaayo mu birungi kiweebwa abazadde ababiri, abooluganda, bamulekwa, abeetaavu n'abatambuze. Era (mukimanye) nti buli kalungi konna ke mukola mazima ddala Allah akamanyi."},{"id":216,"translation":"Mulaalikiddwako okulwana (mu Kkubo lya Allah) awamu n'okuba nga temwandikyagadde. Naye, muyinza obutayagala kintu nga ate kye kirungi gyemuli, nga bwe muyinza okwagala ekintu naye nga kibi gyemuli; anti Allah amanyi ate nga mmwe temumanyi."},{"id":217,"translation":"Bakubuuza ku kulamula kw'okulwana mu mwezi ogw'emizizo. Bagambe nti okugulwaniramu kibi kinene,wabula okuziyiza abantu okukola emirimu gya Allah n'okumujeemera n'okuziyiza abantu okutuuka ku Muzikiti Ogw'emizizo n'okugobaganya abantu baamu, bye bisinga obubi mu maaso ga Allah. Kubanga (bulijjo) obutakkiriza bubi nnyo okusinga okutta."},{"id":218,"translation":"Mazima ddala abo Abakkiriza era abaasenguka ne balwana mu Kkubo lya Allah; abo nno be basuubira okusaasira kwa Allah. Era Allah Musonyiyi, Musaasizi."},{"id":219,"translation":"Bakubuuza ebikwata ku mwenge ne zzaala, bagambe nti mu by'ombiriri mulimu ekibi kinene, nga bwe mulimu emigaso eri abantu. Naye ekibi kyabyo kye kinene okusinga emigaso egibirimu. Ate era bakubuuza nti baweeyo kigero ki mu mmaali zaabwe, bagambe nti mugabenga ekyo ekiba kifisse ku byetaago byammwe. Bw'atyo nno Allah bw'abannyonnyola Amateeka Ge mulyoke mufumiitirize."},{"id":220,"translation":"(Musobole okutegeera) ebibagasa mu bulamu buno obw'okunsi n'obw'Enkomerero. Era bakubuuza ku bikwata ku bamulekwa, bagambe nti okubalongooseza emmaali yaabwe ky'ekisinga obulungi, naye singa mugigatta n'eyammwe anti baganda bammwe, era Allah amanyi oyo alongoosa kw'oyo afiiriza. Singa Allah yayagala yandibakaluubirizza. Mazima Allah Waamaanyi Mukenkufu."},{"id":221,"translation":"Temuwasanga abagatta ku Allah ebisinzibwa ebirala okutuusa lwe bakkiriza. Mazima omuzaana Omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Allah ebisinzibwa ebirala k'abeere nga abeewunyisizza. Era temufumbizanga bawala bammwe eri abo abagatta ku Allah ebintu ebirala okutuusa lwe basiramuka. Omuddu Omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Allah ebintu ebirala newaakubadde nga abeewuunyisizza. Abo bakoowoola abantu nga babazza eri Omuliro, so nga ate Allah abakoowoola kubazza eri Jjana n'ekisonyiwo okusinziira ku kwagala Kwe, era annyonnyola abantu Ebigambo Bye balyoke beebuulirire."},{"id":222,"translation":"Era bakubuuza ebikwata ku kusuulumba, bagambe nti kyo kikosa, kale nno mwesambe abakyala nga bali mu kusuulumba, era temubasemberera okutuusa lwe batukula, olwo nno bwe beetukuza mugende gye bali nga muyita mu kkubo eryo Allah lye yabalagira. Mazima ddala bulijjo Allah ayagala abeenenya era nga bw'ayagala abeetukuza."},{"id":223,"translation":"Bakyala ba mmwe nnimiro zammwe n'olw'ekyo mugende mu nnimiro zammwe nga muyita wonna wemuba mwagadde era bulijjo mutegekere emyoyo gyammwe (nga mukola emirimu emirungi) era mutye Allah mumanye nti mazima ddala mugenda kumusisinkana, era sanyusa Abakkiriza."},{"id":224,"translation":"Temufuulanga okulayira erinnya lya Allah ekyekwaso nemutuuka obuteeyisa bulungi n'obutatya Allah ne mutuuka n'obutasobola kulongoosa wakati w'abantu. Bulijjo Allah awulira era Mumanyi nnyo."},{"id":225,"translation":"Allah tabavunaana mu kulayira kwammwe okw'olusaago, wabula abavunaana ebyo emitima gyammwe bye gigenderedde ne bigikakasa, bulijjo Allah Musonyiyi Waakisa."},{"id":226,"translation":"Abo ababa balayidde nti tebagenda kuddayo kulabagana na bakyala baabwe baweebwa ebbanga lya emyezi ena, bwe baddira bakyala baabwe mu myezi egyo mazima ddala Allah Musonyiyi Musaasizi."},{"id":227,"translation":"Naye bwe baba bamaliridde okuta bakyala baabwe, mazima ddala Allah awulira, amanyi nnyo."},{"id":228,"translation":"Abakyala abaweereddwa talaka bateekeddwa okulindirira ebbanga lya nsuulumba ssatu era tebakkirizibwa kukweka ekyo Allah ky'aba atonze mu nnabaana waabwe bwe baba ddala nga bakkiriza Allah n'Olunaku lw’Enkomerero, era mu kiseera ekyo babbaabwe be basaanira okubuzza okubaddira. Ekyo nno bwe baba nga bagenderera kulongoosa. Abakyala abo bateekeddwa okuweebwanga ekyo nabo kyekbateekeddwa okuwaayo mu ngeri ennungi. Kyo abasajja be basinga eddaala. Anti Allah y'asingako okuba ow'obuyinza era nga b'wasinga okuba Owaamagezi."},{"id":229,"translation":"Okuta omukyala (nga omwami aweebwa omukisa okumuddira) kubaawo emirundi ebiri. Mu kiseera ekyo omwami ayinza okusalawo okusigaza mukyala we mu mwoyo mulungi, oba okumuta mu ngeri ennungi. Era temukkirizibwa kuggya ku bakyala bammwe (be mutadde) kintu kyonna kw'ebyo bye mwabawa okuggyako nga beekengedde obutatuukiriza Mateeka ga Allah mu bufumbo. Kati bwe muba nga mutidde (mmwe abatabaganya) nti abafumbo bombi tebajja kusobola kutuukiriza Mateeka ga Allah mu bufumbo, tebalina musango gwonna mu kutwala ekyo omukyala ky'aba yeenunula nakyo. Ago ge Mateeka ga Allah temugasukkanga. Abo bonna abamenya Amateeka ga Allah; abo nno be balyazaamaanyi."},{"id":230,"translation":"Naye omusajja bwaba atadde mukyalawe (talaka ey'okusatu) aba takyakkirizibwa kumuddira mu bufumbo oluvanyuma lwa taraka eyo okutuusa nga amaze okufumbirwa omusajja omulala. Omusajja oyo omulala bw'aba amutadde tewaba musango okuddinngana (N'oli eyasooka okumuta emirundi esatu) kasita basuubira nti bombi banaatuukiriza amateeka g'obufumbo. Ago nno ge Mateeka ga Allah agannyonnyola abantu abategeera."},{"id":231,"translation":"Bwe muba mutadde abakyala (etali ttalaka esembayo) ebbanga lye balina okutuula ne lisemberera okuggwaako mubasigaze n'ekigendererwa ky'okubayisa obulungi oba mwawukane nabo mu ngeri ennungi kyokka temubasigazanga nga mugenderera okubacunya n'okubakolako obulumbaganyi. Omuntu akola ekyo aba yeryazaamaanyizza yekka. Temufuula Amateeka ga Allah ag'olusaago. Mujjukire ekyengera kya Allah kye yabawa n'ebyo bye yabassiza mu Kulaani ne mu njigiriza (ya Nnabbi Muhammadi). Mutye Allah mumanye nti amanyi buli kintu kyonna."},{"id":232,"translation":"Bwe muba nga mutadde abakyala ebbanga lyabwe lyebatuula nga tebannafumbirwa (Idda) ne liggwaako temubagaananga okudda eri babbaabwe bwe baba bakkirizigannyiza mu ngeri ennungi. Etteeka eryo libuulirwa oyo yenna akkiriza Allah n'Olunaku lw'Enkomerero. Ekyo nno kye kisinga okuba ekyensa n'obutukuvu gyemuli. Allah y'asinga okumanya (ekirimu omugaso gyemuli) naye mmwe temumanyi."},{"id":233,"translation":"Abazadde (abakyala) balina okuyonsa abaana baabwe emyaka ebiri egijjudde, eri abo ababa baagadde okuyonsa okujjuvu. Kikakata ku bataata b'abaana okubalabirira n'okubambaza mu ngeri esaana, omuntu taakakibwenga ky'atasobola. N'omukyala taayisibwenga bubi olw'omwana gw'ayonsa. Wadde kitaawe w'omwana naye tasaanidde kuyisibwa bubi olw'omwanawe. N'oyo aba asikidde taata wa baana ayisibwa mu ngeri y'emu. Bwe baba nga bakkiriziganyizza bombi okuggya omwana ku mabeere nga bayise mu kuteesa olwo tewaba musango gwonna. Bwe muba mwagadde omukyala omulala okubayonseza omwana temulina musango gwonna kasita muba nga muwaddeyo ebyo bye mukkiriziganyizzaako mu ngeri ennungi. Mutye Allah, era mumanye nti mazima Allah alaba byonna bye mukola."},{"id":234,"translation":"Ate abo ababa bafudde mu mmwe ne baleka abakyala, abakyala abo bateekwa okwekuuma nga tebannaddamu kufumbirwa ebbanga lya myezi ena n'ennaku kkumi. Ebbanga eryo nga liweddeko, temulina musango mw'ekyo kye baba bakoze mu by'okwewunda (n'okukkiriza abaagala okubawoowa) mu ngeri y'ekintukiramu (etemenya mateeka ga Busiraamu). Allah Mumanyi nnyo ku bye mukola."},{"id":235,"translation":"Era temulina musango olw'ekyo kye muba mwogedde mu kugereesa nga temwatudde nga mugenderera okwogereza abakyala (abo) oba kyemuba mukisizza mu mitima gyammwe. Allah amanyi nti mujja kwogera nabo (ku nsonga y'okubawasa) naye temubalagaanyisanga mu kyama mu ngeri ya kukukuta, okuggyako nga mubagamba ebigambo ebirungi. Temwetantalanga kukola ndagaano ya bufumbo n'abakyala abo (abali mu Idda) okutuusa ebbanga (lya Idda) nga liweddeko. Era musaana mumanye nti mazima Allah amanyi ebiri mu myoyo gyammwe. Mubyegendereze awamu n'ekyo mumanye nti Muyitirivu waa kusonyiwa era Waakisa kingi."},{"id":236,"translation":"Temulina musango singa muta bakyala bammwe nga temunneegatta nabo wadde nga temunnabagerekera Mahare. Naye muteekwa okubasibirira. Omugagga asibirira ekigya mu mbeera ye n’omufunampola asibirira ekimugyamu. Okusibirira kubeera mu ngeri ya buntu bulamu. Ekyo kikakafu ku bakozi b'obulungi."},{"id":237,"translation":"Wabula bwe muba nga mubatadde nga temunnaba kwegatta nabo naye nga mwabagerekera Amahare, mubawe kitundu ky'ago ge mwagereka, okuggyako nga abakyala abo bagasonyiye oba nga asonyiye oyo alina obuyinza okusiba endagaano y'obufumbo (omusajja). Naye bwe muba nga musonyiye, ekyo kye kisinga okuba okumpi n'okutya Allah. Temwerabiranga ebirungi ebibadde wakati wammwe. Mazima Allah alaba ebyo byonna bye mukola."},{"id":238,"translation":"Mwekuume nnyo ku Sswala zonna (ettaano) naddala esswala ey'enkizo; muyimirire mu maaso ga Allah nga muli bagonvu."},{"id":239,"translation":"Wabula bwe muba nga mutidde (omulabe) musaale nga mutambula oba nga mwebagadde. Naye okutya bwe kuba kuvuddewo mutendereze Allah (nga musaala) nga bwe yabayigiriza ebyo bye mwali temumanyi."},{"id":240,"translation":"N'abo abatuukwako okufa mu mmwe ne baleka abakyala, kibakakatako okulaamira bakyala baabwe okulabirirwa omwaka mulamba awatali kubagobaganya mu mayumba g'aba bbaabwe. Wabula bwe bagavaamu kyeyagalire olwo nno muba temulina musango gwonna mw'ekyo kye baba bakoze nga bo mu ngeri ennungi. Bulijjo Allah Waamaanyi, ate nga agoba nsonga."},{"id":241,"translation":"(Mu ngeri y'emu) n'abakyala ababa baweereddwa Talaka (bateereddwa) bateekeddwa okusibirirwa mu ngeri ennungi okusinziira ku kimanyiddwa. Ekyo kikakafu kw'abo abatya Allah."},{"id":242,"translation":"Bw'atyo nno Allah bw'abannyonnyola Ebigambo Bye mulyoke mutegeere."},{"id":243,"translation":"Tolaba abo abadduka mu mayumba gaabwe nga baali nkumi na nkumi nga batya okufa, Allah n'abagamba nti kale mufe, oluvannyuma n'abazuukiza. Mazima Allah agabirira abantu, naye abantu abasinga obungi tebeebaza."},{"id":244,"translation":"Mulwane mu Kkubo lya Allah era mumanye nti mazima ddala Allah awulira nnyo era Muyitirivu wa kumanya."},{"id":245,"translation":"Ani oyo awola Allah okuwola okulungi alyoke abe nga akumukubisizaamu ennyongeza nnyingi. Era Allah afunza era n'agaziya (enfuna y’omuntu) so nga era Gy'ali gye mulizzibwa."},{"id":246,"translation":"Tolaba abakungu mu baana ba Yisirayiri abaaliwo oluvannyuma lwa Musa lwe baatuuka okugamba Nnabbi waabwe nti tuteerewo Kabaka (atukulembere) tusobole okulwana mu Kkubo lya Allah. (Nnabbi) n'abagamba nti ‘kye mugamba nti singa mulaalikiddwako okulwana nga muli ne Kabaka oyo temuugaane kulwana?’ Ne bagamba nti ‘Ate lwaki tetulwana mu Kkubo lya Allah nga twagobaganyizibwa dda ffe n’abaana baffe okuva mu nsi yaffe? Wabula bwe baalaalikibwako okulwana baakyuka okuva ku bigambo byabwe okuggyako abatono mu bo. Wabula nga bulijjo Allah amanyi abalyazaamaanyi."},{"id":247,"translation":"Nabbi waabwe kwe kubaanukula nti mazima Allah ataddewo Twaluuta (Saulo) okuba Kabaka wammwe. Bo kwe kugamba nti ayinza atya okuba Kabaka waffe so nga ffe tusaanira obwakabaka okumusinga, ate nga teyaweebwa bugazi bwa byabugagga. (Nnabbi waabwe) n'abagamba nti Allah gw'abalondedde era n'amwongera obugazi mu kumanya ne mu mubiri. Era Allah awa obufuzi Bwe oyo gw'aba ayagadde. Era Allah Mugazi era Mumanyi."},{"id":248,"translation":"Nnabbi waabwe n'abagamba nti mazima akabonero akakakasa obw’akabaka bwe kwe kuba nti essanduuke ebajjira nga erimu obutebenkevu okuva eri Mukama Katonda Wammwe. Era nga mulimu ebyasigalawo kw'ebyo abantu ba Musa () n’abantu ba Haaruuna () bye baaleka (Essanduuko eyo) ejja kuba nga esituddwa Bamalayika. Mazima ekyo nno ddala kirimu akabonero gyemuli, bwe muba ddala nga muli Bakkiriza."},{"id":249,"translation":"Twaluuta bwe. yafuluma n’eggye yabagamba nti (okugenda tugenda naye mukimanye) Mazima ddala Allah ajja kubagezesa na mugga. Oyo yenna anaagunywako ajja kuba takyali waamuggye lyange. Naye oyo ataalozeeko oyo nno ye wange ddala, mpozzi omuntu asobola okusenayo olusena lumu n'ebibatu bye. Bonna baaganywa okuggyako abatono mu bo. Bwe yamala okugusomoka wamu n'Abakkiriza abaali naye, ne bagamba nti olwaleero luno tetuyinza kusobola Jaaluuta (Goliyaasi) n'eggye lye. Bo abaakakasa nti bagenda kusisinkana Allah kwe kugamba nti bimeka ebibiina ebitono ku lw'obuyinza bwa Allah ebiwangula ebibiina eby'abantu abangi, era bulijjo Allah abeera wamu n'abagumiikiriza."},{"id":250,"translation":"Bwebaayolekaganya obwanga eri Jaaluuta n'eggye lye ne bagamba nti, Ayi Katonda Waffe, tuyiweeko obugumiikiriza onyweze ebigere byaffe, era otutaase ku bantu abatakkiriza nti okusinzibwa Kukwo Wekka."},{"id":251,"translation":"Ne baabawangula olw'Obuyinza bwa Allah . Dauda n'atta Jaaluuta era Allah n'amuwa obufuzi n'okutegeera okwenjawulo era era n'amuyigiriza ebimu kw'ebyo bye yayagala amanye. Singa tekyali nti Allah aggyawo abantu nga akozesa abamu ne bannaabwe, nsi yandyonoonese. Naye mazima ddala Allah ebitonde Bye abigabirira ebyengera."},{"id":252,"translation":"Ebyo nno Bigambo bya Allah tubikusomera na mazima, era mazima ddala ggwe (Nnabbi Muhammadi) oli mu luse lw'Abatume."},{"id":253,"translation":"Abo Ababaka betubagambye ko twasukkulumya abamu ku bannaabwe, abamu ku bbo Katonda yayogera nabo, n'abalala n'abasukkulumya mu madaala. Isa mutabani wa Mariam twamuwa obukakafu era netumuwagira ne mwoyo mutukuvu (Jiburilu), Singa Katonda yayagala abaaliwo oluvanyuma te baalirwanaganye oluvannyuma lw'obunnyonnyofu okubatuukako naye baayawukana, abamu mu bbo bakkiriza ate abalala nebagaana okukkiriza, era singa Katonda yayagala tebandirwanaganye, wabula mazima Katonda akola ekyo ky'aba ayagadde."},{"id":254,"translation":"Abange mmwe abakkiriza muweeyo kw'ebyo byetwabagabira, nga olunaku okutaliba kutunda wadde omukwano oba okuwolereza terunatuuka, naye Abatakkiriza Katonda n'Ababaka be bebalyazaamaanyi (olw'obutagondera mateeka g’a Katonda)."},{"id":255,"translation":"Katonda yekka, y'asinzibwa mu butuufu tewali ateekwa kusinzibwa okuggyako ye, Omulamu obulamu obw'olubeerera Eyeeyimirizaawo yekka awatali kwetaaga buyambi bwonna, takwatibwa kusumagira wadde otulo, bibye byonna ebiri mu Ggulu ne mu Nsi, tewali agenda kwetantala kuwolereza (munne) ewa Katonda okuggyako nga amukkirizza, amanyi ebyo ebiri mumaaso gaabwe n'emabega waabwe ate bbo tebalina kintu kyonna kye bamanyi ku by'amanyi okuggyako ky'aba ayagadde, entebe ye ngazi okumalayo eGgulu n'e Nsi, so nga ate e Ggulu n'e Nsi okubikuuma byombi tekimukaluubirira. Era ye yam'asinga okuba owa waggulu, ow'ekitiibwa ekisuffu."},{"id":256,"translation":"Tewali kuwaliriza bantu kuyingira mu Ddiini anti obulunngamu bweyolese okuva ku bubuze, oyo yenna awakanya Sitane n'akkiriza Katonda aba yeekutte ku muguwa omugumu ogutakutuka, bulijjo Katonda awulira nnyo amanyi nnyo."},{"id":257,"translation":"Katonda yemweyimirize w'abakkiriza, abaggya mu bizikiza n'abazza eri ekitangaala, bbo abatakkiriza, Sitane z'enneeyimirize zaabwe zibaggya mu kitangaala n'ebazza mu nzikiza, abo be bantu b'omu muliro b'akugutuulamu olubeerera."},{"id":258,"translation":"Tolaba oyo eyakaayana ne Ibrahim ku bw'omu bwa Katonda we, olw'okuba nno bambi Katonda yamuwa obufuzi (ekyamuletera okwekuluntaza), Ibrahim bweyamugamba nti Katonda wange yooyo awa obulamu era n'atta, ye naddamu nti nze mpa obulamu era nenzita, Ibrahim n'agamba nti mazima Katonda aggya enjuba ebuvanjuba kale ggwe giggye ebugwanjuba. Awo nno omuw'akanyi oyo n'atangaalirira anti bulijjo Katonda talunngamya bantu balyazaamaamya."},{"id":259,"translation":"Oba wamanyaako afaanana n'oyo eyayita ku kyalo ng'obusolya bwakyo bwagwa n'agamba nti bannyini kyo Katonda agenda kubalamusa atya nga baafa dda! Katonda n'amutta okumala emyaka kikumi oluvannyuma n'amuzuukiza n'amugamba nti omaze bbanga ki nga ofudde? N'amuddamu nti maze olunaku lumu oba ekitundu kyalwo, n'amugamba nti nedda omaze emyaka kikumi, Ggwe tolaba emmere yo n'ebyokunywa byo tebyonoonese!!! Ate tunula ku ndogoyi yo (eweddeko ennyama neeba magumba meerere), nga ekigendererwa tukufuule eky'okulabirako eri abantu. Tunuulira olabe amagumba g'e ndogoyi yo nga bwetugagatta olwo nno netugambaza ennyama, bweyamala okulaba nga bwegutyo bweguli n'agamba nti kaakano nkitegedde Katonda asobola okukola buli kintu."},{"id":260,"translation":"Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gy'olizuukizaamu abafu, Katonda n'agamba nti tokkirizanga! Ibrahim n'agamba nti nakkiriza naye nkisaba omutima gwange gutebenkere, Katonda n'amugamba nti kwata ebinyonyi bina obikunngaanye obitemeteme omale oteeke ku buli lusozi ekitundu, oluvannyuma obikoowoole bijja kujja gy'oli mubwangu, era kitegeere nti mazima Allah nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga."},{"id":261,"translation":"Abo, abawaayo ebimu ku bintu byabwe mu kkubo lya Katonda, bafaananako omuntu asiga empeke emu emera n'eweeka ebirimba musanvu nga buli kirimba kiriko empeke kikumi, bulijjo Katonda ayongeza ebigabwabye eri oyo gw'aba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi mu mbeera ze zonna ate nga muyitirivu wa kumanya."},{"id":262,"translation":"Abo abawaayo e mmaali yaabwe mu kkubo lya Katonda ate kyebawaddeyo nebatakigoberezaako kulaalaasa oba ebinyiiza, abo bagenda kufuna e mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe, era tebagenda kuba nakutya kwonna mu maaso ga Katonda era nga tebagenda kunakuwala."},{"id":263,"translation":"Ekigambo aky'obuntu bulamu n'okusonyiwa ky'ekirungi okusinga Saddaaka egoberezebwako ebigambo ebikosa, bulijjo Katonda si mwetaavu (era) wakisa kingi."},{"id":264,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza temwonoonanga saddaaka zammwe n'okulalaasa n’okunakuwaza ebinyiiza gamba nga omuntu awaayo emmaali ye olw'abantu okumulaba naye nga takkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, omuntu oyo alinga olwazi oluliko ettaka namuttikwa w'enkuba n'alutonnyako n'aluleka nga lukalu, nabwekityo abantu abakola ku lwabandabe byonna byebakola bifuumuuka nebaba nga tebalisobola kufuna mpeera yonna (mumaaso g’a Katonda) mw'ebyo bye baakola bw'atyo nno Katonda talunngamya bantu bajeemu."},{"id":265,"translation":"Ate ekifaananyi ky'abo abawaayo emmaali yaabwe olw'okunoonya okusiima kwa Katonda n'okusinziira ku kukkiriza kw'emitima gyabwe Katonda okwa namaddala, kiringa ennimiro eri ku ttaka ejjimu eriri ku katunnumba neetonnyebwamu namuttikwa wenkuba n'emeza ebibala byayo ebyekubisaamu emirundi ebiri nebweba tetonnyeddwako namutikwa wa nkuba waakiri olufuuyirize. Bulijjo Katonda alabira ddala byonna bye mukola."},{"id":266,"translation":"Abaffe omu ku mmwe yandyagadde okubeera n'ennimiro ey'emitende n'emizabbibu nga emigga gikulukutira wansi waayo ng'alina mu yo buli kika ky'ebibala, obukadde nebumutuukako ate nga alina abaana abakyali abato, kibuyaga nga alimu n'omuliro n'agikuba n'eggya n'eggwawo, bw'atyo nno Katonda bw'abannyonyola ebigambo ebigasa musobole okufumiitiriza."},{"id":267,"translation":"Abange mmwe abakkiriza muweeyo ku birungi byemuba mukoze ne kw'ebyo bye tubaggyira wansi mu ttaka, temulondangamu ebibi mu bbyo mube nga byemuwaayo, so singa biba biweereddwa mmwe temwandibitutte okuggyako nga muzibiridde (nemumala gabitwala) era musaana mukimanye nti mazima Katonda Mugagga talina bwetaavu eri kintu kyonna era y'atenderezebwa."},{"id":268,"translation":"Sitaane ebatiisa okwavuwala bwe munasaddaaka n'ebalagira okukola ebibi so nga Katonda abalagaanyisa kisonyiwo okuva gy'ali nakubawa birungi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mubyagaba mumanyi nnyo."},{"id":269,"translation":"Katonda awa okutegeera ensonga, oyo gw'aba ayagadde era oyo aba aweereddwa okutegeera ensonga aba aweereddwa ebirungi ebiyitirivu. Tewali bayinza kwegasa nakino okuggyako abalina amagezi agakola ennyo."},{"id":270,"translation":"(Muteekwa mukimanye nti ) temulina kyonna kye muwaayo oba naziri yonna gye mwetema mazima Katonda abimanyi. Abalyazaamaanyi nebatatuukiriza kyebateekwa kukola, tebagenda kufuna abataasa ku Katonda."},{"id":271,"translation":"Saddaaka bwemuziwa mu lwatu zibeera nsuffu obulungi naye ate bwe muba muzikisizza (nemuziwa abaavu) mukyama kyekisinga obulungi gyemuli, era ekyo kibasangulako ebibi byammwe, bulijjo Katonda amanyi nnyo byemukola."},{"id":272,"translation":"(Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala okumatiza omuntu) Ssi ggwe ovunaanyizibwa ku kulunngama kwabwe, wabula Katonda alunngamya oyo gw'aba ayagadde, buli kirungi kyemuwaayo kigasa mmwe, (nga abakkiriza) ate temuwaayo okuggyako okunoonya okusiima kwa Katonda, na buli kirungi kyonna kyemuwaayo kigenda kubasasulwa mu bujjuvu era temugenda kulyazaamaanyizibwa."},{"id":273,"translation":"(Saddaaka ziweebwa) abaavu abo abeemalira mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga tebasobola kutambula mu Nsi nga banoonya Riziki. Olw'ensa zaabwe, atamanyi alowooza nti bagagga olw'ensa zebalina osobola okubamanya olwobubonero bwabwe, anti tebabeeba Bantu nga basaba, (n’olwekyo abalina baweeyo) anti buli kalungi konna kemuwaayo Katonda akamanyi."},{"id":274,"translation":"Abo abawaayo e mmaali yaabwe ekiro n'emisana, mu kyama ne mu lwatu, bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe, tebagenda kutuukibwako kutya era tebagenda kunakuwala."},{"id":275,"translation":"Abo abalya Ribba (emaali ey'okuwola okw’okwongeramu) ku lunaku lw'okuzuukira tebagenda kuyimuka mu ntaana wabula nga bayimuka ng'oyo aba akubiddwa Sitaane n'agwa eddalu, ekyo nno lwakuba bagamba nti okusubula ne Ribba tebirina njawulo (anti byonn'a kuwanyisiganya byamaguzi na kufuna magoba) ate nga mazima Katonda yakkiriza okusuubula, ate yo Ribba n'agiziza. Kale nno oyo atuukwako okubuulirira okuva eri Katonda n'ava ku Ribba ebyo byeyakola mukusooka tebimuvunaanwa, n'ensonga ze zisigadde wa Katonda we, naye oyo anaddayo eri Ribba, abo nno, be bantu b'omu muliro ba kugubeeramu obugenderevu."},{"id":276,"translation":"Katonda asaanyaawo Ribba kyokka naayaza emmaali etoolwamu Saddaaka, Katonda tayagala mujeemu yenna awalaaza empaka (alemera ku Ribba aba agugubidde ku kibi n'okujeemera Katonda)."},{"id":277,"translation":"Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirungi nebayimirizaawo e Sswala nebatoola Zzaka bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala."},{"id":278,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era muleke kyonna ekya Ribba ekyasigalayo bwe muba nga ddala muli bakkiriza."},{"id":279,"translation":"Bwemutaakikole mumanye nti Katonda n'omubakawe babalangiriddeko olutalo naye bwe muba mwenenyezza sente zammwe (Capital) zemwassaamu muziggyeeyo, mukino mube nga temufiiriza wadde okufiirizibwa."},{"id":280,"translation":"Abanjibwa bwaba nga mwavu asaanidde alindirizibwe okutuusa lwanabeera nga ali mu mbeera mwasobolera okusasula, (naye mmwe ababanja) singa muba musonyiye bemubanja kyekirungi gyemuli singa mumanyi."},{"id":281,"translation":"Mutye olunaku lwe muliddizibwa ewa Katonda oluvannyuma buli muntu asasulwe ebyo byeyakola era tebagenda kulyazamaanyizibwa."},{"id":282,"translation":"Abange mmwe abakkiriza bwe muba muwolaganye ebbanja lyonna nga liriko ekiseera ekigere mu liwandiikenga, omuwandiisi ateekeddwa okuwandiika endagaano wakati wa mmwe mubwenkanya, omuwandiisi tasaanye kugaana kuwandiika nga Katonda bweyayigiriza, (omuwandiisi) ateekwa awandiike, gwebabanja y'ateekwa okwogera ebiwandiikwa mu ndagaano era mu kukola kino ateekeddwa okutya Katonda mukamaawe, tasaanye kulekayo kintu kyonna kikwata ku bbanja eryo, gwebabanja bw'aba wantegeera nnafu oba nga mwana muto oba nga tasobola kuba nti yaayogera ebiwandiikibwa mu ndagaano olw'obutasobola obuli ku mubiri gwe, amulabirira y'ateekwa okwogera ebiwandiikibwa mu ndagaano nga akikola mu bwesimbu. (Nga mukola endagaano eno) muteekengawo abajulizi babiri nga basajja mu mmwe, bwebataba basajja babiri, kale abe omusajja omu n'abakyala babiri nga mubalonda mw'abo bemulabye nga basaanira okuba abajulizi, olw'okutya omu okwerabira, munne n'abeeranga amujjukiza, abajulizi tebagaananga okujja bwe baba nga bayitiddwa temwekaanyanga okuwandiika ebbanja kalibe ttono oba ddene, muwandiike nga mulaga ekiseera kyalyo wekiggwerayo, okuwandiika ebbanja mu ngeri eyo kiragira ddala obwenkanya obuli mu mateeka ga Katonda, era kyekisinga okuyamba obujulizi obutabula mu ngeri y'emu kyekisinga okubayamba obutabaawo kubuusabuusa (nti ebbanja lyali lye nkanawa oba lyakusasula ddi) okuggyako nga kubadde kugulana okw'ekiggwerawo kwemukolaganamu mu nkola eyabulijjo mw'ekyo tumulina musango bwe muba nga temukoze ndagaano, era ne bwemuba nga mugulaanye musseewo abajulizi (mukimanye) omuwandiisi wendagaano n'omujulizi tebasaanye kuyisibwa bubi, naye nemumala mukikola kiba kikolwa kya bugyemu okuva mu mmwe, bulijjo muteekeddwa okutya Katonda era Katonda bulijjo abayigiriza ebyo ebirimu emigaso gyammwe anti Katonda amanyi buli kintu."},{"id":283,"translation":"Bwe muba nga mutambula olugendo ne mutafuna muwandiisi olwo nno omusingo gukwatibwe naye bwe muba nga mwesigannganye nemutawandiika ndagaano oba okukwata omusingo oyo eyateekebwamu obwesige ateekwa okutuukiriza obwesigwa obwo era ateekeddwa okutya mukama omulabirizi we (bwemutwalibwa nga okuba abajulizi) temukwekanga obujulizi, oyo yenna abukweka omutima gwe guba gukoze ekibi bulijjo Katonda amanyi byonna byemukola."},{"id":284,"translation":"Ebiri mu Ggulu omusanvu ne mu Nsi byonna bya Katonda, kamwolese oba mukweke ebiri mu mitima gyammwe Katonda agenda kubibabalira, olwo nno asonyiwe oyo gw'aliba ayagadde era abonereze oyo gw'aliba ayagadde anti Katonda muyinza wabuli kintu."},{"id":285,"translation":"Omubaka yakkiriza n'akakasa ebyo ebyassibwa kuye nga biva ewa mukama omulabiriziwe Katonda we n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa, buli omu ku bbo yakkiriza Katonda ne ba Malayika be n'ebitabo bye n'ababakabe era nebagamba nti tetwawula wakati wa babakabe era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gy'oli y'eri obuddo."},{"id":286,"translation":"Katonda tawaliriza muntu okuggyako obusobozi bwe webukoma, buli mwoyo gugenda kusasulwa ebirungi byegwakola era nga bwegugenda okuvunaanwa olw'ebibi byegwetikka. Ayi Mukama omulabirizi waffe totuvunaana byetukoze mukwerabira oba mu bu'tanwa, Ayi Mukama omulabirizi waffe totutikka obuzito nga bwewatikka abo abaatukulembera, Ayi Mukama omulabirizi waffe totulagira kukola byetutasobola, tuggyeko ebibi otusonyiwe otusaasire, Ggwe mukuumi waffe tutaase ku bantu Abaakaafuwala."}]},{"id":3,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Miim."},{"id":2,"translation":"Katonda Y'oyo tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako ye, omulamu, (atendebwa n'obulamu obujjuvu obwolubeerera) eyeeyimirizaawo yekka era ayimirizaawo buli kintu kyonna."},{"id":3,"translation":"Yassa gy'oli ggwe (Nabbi Muhammad) ekitabo (Kur’ani) nga kijulira amazima g'ebyo e byakikulembera era ye yassa Taurat ne Enjiri."},{"id":4,"translation":"Oluberyeberye lwa Kur’ani nga kyakulungamya eri abantu, era yassa ebyawula wakati wa mazima n'obulimba, mazima abo abawakanya ebigambo bya Katonda byeyassa balina ebibonerezo ebiyitirivu, Katonda ye nn'atameggwa, nannyini kwesasuza."},{"id":5,"translation":"Katonda tewali kintu kyonna kimwekweka mu Nsi wadde mu Ggulu."},{"id":6,"translation":"Katonda y'oyo abatondera ku bifaananyi byammwe mu nnabaana nga bw'aba ayagadde. tewali kisinzibwa kyonna mu mazima, okuggyako Ye. nn'atameggwa, mugoba nsonga."},{"id":7,"translation":"Ye, Y'oyo eyakussaako (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) mu kkyo mulimu Aaya enyinyonnyofu zo gwemusingi gw' ekitabo (Kur’ani). Ate endala (Aaya) sisuubirwamu amakulu ag'engeri ez'enjawulo (Amatuufu n'agatali matuufu) (nga okuzitegeera kwesigamye ku bitundu bya Aya ezo'musingi gwa Kur’ani) Naye abalina obubuze mu mitima gyabwe (olwebigendererwa byabwe ebibi bo) balondamu Aya eziwa amakulu agafaanagana nga tebeesigamye ku Aya zinannyini musingi gwa Kur’ani, nga ekigendererwa kyabwe kubuza bantu n'olwokwagala okuziggya ku makulu gaazo amatuufu, so nga tewali amanyi makulu gaazo amatuufu okuggyako Katonda, nga abakenkufu mu kumanya bagamba nti tukkiriza Kur’ani, byonna ebigirimu byava wa Mukama omulabirizi waffe era nga tewali ategeera bigirimu okuggyako ba nannyini magezi amasukkulumu."},{"id":8,"translation":"(Era bagamba nti) Ayi Mukama omulabirizi waffe towabya mitima gyaffe ku bulungamu oluvannyuma lw'okutulunngamya, anti mazima, ggwe mugabi wa byonna."},{"id":9,"translation":"Ayi Mukama omulabirizi waffe tukkiriza era nga tukakasa nti ggwe ojja okukunnganya abantu ku lunaku olutaliiko kubuusabuusa, anti mazima Katonda tayawukana kundagaano gye yalagaanyisa."},{"id":10,"translation":"Mazima abo abaakaafuwala emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebigenda kubagasa n'akamu oba okubataasa ku bibonerezo bya Katonda era abo bennyini z'eziriba enku z'omuliro (ku lunaku olwo)."},{"id":11,"translation":"Embeera yaabwe mukulimbisa ebigambo bya Katonda efaanana ey’abantu ba farawo n'abaakulembera, Abantu ba Firaawo abaalimbisa ebigambo bya Katonda, Katonda n'ababonererezaawo olw'ebyonoono byabwe, anti Katonda muyitirivu wa kubonereza."},{"id":12,"translation":"(Ggwe Nabbi), gamba abo abaakaafuwala nti mujja kuwangulwa era mukunganyizibwe mu muliro Jahannama, nabwo bwe buddo obubi ennyo."},{"id":13,"translation":"Mazima mwalina eky'okulabirako ekyenkukunala mu bibinja ebibiri ebyasisinkana (ku lutalo lw'e Badri) ekibinja ekimu (ekya Nabbi () ne banne) nga kirwana kutaasa Ddiini ya Katonda, nga n'ekibinja ekirala kya baakaafiiri. Abakafiiri baalaba abakkiriza mu muwendo nga babakubisaamu emirundi ebiri mu kulaba kw'eriiso, anti Katonda awagira n'okutaasa kwe oyo gw'aba ayagadde, mazima mw'ekyo mulimu ekyokuyiga eri ba nannyini kulaba okutuufu."},{"id":14,"translation":"Abantu baawundirwa okwagala ennyo ebyegombebwa nga be bakyala n'abaana ne ntuumu za zzaabu ne ffeeza ne mbalaasi (ennambe) ezinyirira n'ebisolo ebyawaka n'amasamba ebyo byonna bya kweyagala bya bulamu bwa Nsi, so nga Katonda alina obuddo obusinga obulungi."},{"id":15,"translation":"Bagambe nti mbategeeze ekirungi okusinga ebyo. Abatya Katonda baategekerwa ewa Katonda waabwe e Jjana nga emigga gikulukutira wansi waayo, ba kugibeeramu obugenderevu era baweebwe n'abakyala abatukuvu era baakufuna okusiima kwa Katonda, bulijjo Katonda alaba abaddu be."},{"id":16,"translation":"(Abaddu aboogerwako) beebo abagamba nti; Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tukkirizza n'olw'kyo tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe otwesambise ebibonerezo by’omuliro."},{"id":17,"translation":"(Era beebo) abagumiikiriza ne babeera abakkiriza abaamazima era abagonvu era abasaddaaka era nga beegayirira Katonda amatumbi budde."},{"id":18,"translation":"Katonda yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okuggyako ye neba Malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo nga yayimiriddewi n'obwenkanya, tewali kisinzibwa okuggyako ye nantameggebwa mugobansonga."},{"id":19,"translation":"Mazima obusiraamu y'e Ddiini entuufu ewa Katonda era abaaweebwa e kitabo (Taurat n'e njiili) tebayawukana okuggyako luvannyuma lwakufuna okumanyisibwa okuva eri Katonda kulw'okwekolera ensalwa bokka nabokka n'omuntu yenna anaawakanya ebigambo bya Katonda mazima Katonda ayanguwa nnyo okubabala."},{"id":20,"translation":"Bwebaba bakukaayanyizza, ggwe gamba nti neewaddeyo nzenna ewa Katonda nabuli yenna angoberera ekyo kyakola, era ogambe abo abaaweebwa ekitabo naabo abatalina kitabo (ba mushirikiina) nti nammwe mwewaddeyo bwe beelangirira nti basiramuse olwonno baba balunngamye, bwebatakola batyo, anti ggwe kyoteekwa okukola kubatusaako bubaka era bulijjo Katonda alaba abaddu be (nebyebakola)."},{"id":21,"translation":"Mazima abawakanya ebigambo bya Katonda era ne batta ba Nabbi mubukyamu era ne batta abo abalagira abantu okukola obwenkanya, basanyuse (mu kubakiina) nti bagenda kufuna ebibonerezo ebiruma."},{"id":22,"translation":"Abo beebo emirimu gyabwe gyafaafaagana ku Nsi ne ku Nkomerero era tebagenda kufuna babataasa."},{"id":23,"translation":"Tolaba abo abaaweebwa omugabo mu kumanya ekitabo kyabwe nga bayitibwa okudda eri ekitabo kya Katonda kiramule wakati waabwe, ate ekitundu ku bbo ne kikyuka. Mukukola ekyo nebaba nga bbo bakyesamba ."},{"id":24,"translation":"Ekyo nno lwakuba nti bagamba nti omuliro tegugenda kutwokya okuggyako nnaku mbale bubazi, ebigambo byebaagunja nebibagayaaza mu ddiini yaabwe."},{"id":25,"translation":"Guliba gutya bwetulibakunganya ku lunaku olutaliimu kubuusabuusa! buli muntu n’asasulwa kyeyakola era tebagenda kulyamaanizibwa (ba kusasulwa kye baakola)."},{"id":26,"translation":"(Nabbi Muhammad) gamba nti; Ayi mukama Katonda, omufuzi w'obufuzi bwonna, owa obufuzi oyo gw’oba oyagadde era n’obuggya (n'obusikandula) kw’oyo gw’oba oyagadde, ositula oyo gw’oba oyagadde n’okakkanya oyo gwoba oyagadde. Obulungi bwonna buli mu mukono gwo anti ggwe muyinza ku buli kintu."},{"id":27,"translation":"Oyingiza ekiro mu misana, nga bwoyingiza emisana mu kiro. Era ogpgya ekiramu mu kifu, nga bwoggya ekifu mu kiramu era ogabirulira oyo yenna gw'oba oyagadde awatali kubalirira."},{"id":28,"translation":"Abakkiriza tebafuulanga abatakkiriza ab'emikwano nebalekawo abakkiriza. Omuntu akola bw'atyo talina kintu kyonna ewa Katonda, okuggyako nga mubeekengedde nti bayinza okubatusaako akabi (olwo nno musobola okukolagana ku ngulu) Katonda abalabula mmwe abakkiriza mumwegendereze, anti ewa Katonda y'eri obuddo."},{"id":29,"translation":"Gamba ggwe (Nabbi Muhammad () nti nebwemukweka l ebiri mu bifuba byammwe oba ne mubyolesa, Katonda abimanya era amanyi ebiri mu Ggulu n’ebiri mu Nsi. Bulijjo Katonda muyinza wa buli kintu."},{"id":30,"translation":"Ku lunaku buli muntu lwalisanga buli kyonna kyeyakola mu birungi nga kiteekeddwa, era nabuli kibi kyonna kyeyakola nga kiteekeddwa, alyegomba nti singa wakati we n’ekibi ekyo waliwo ebbanga ddene, Katonda abalabula mmwe abakkiriza okumwegendereza, era Katonda mukwata mpola eri abamusinza."},{"id":31,"translation":"Gamba abantu (ggwe Muhammad () nti bwe muba mwagala Katonda, kale nno mungoberere Katonda ajja kubaagala era abasonyiwe ebyonoono byammwe, bulijjo Katonda musonyoyi musaasizi."},{"id":32,"translation":"Gamba nti mugondere Katonda n'omubaka wabula bwemutakikola mazima Katonda tayagala bakaafiiri."},{"id":33,"translation":"Mazima Katonda yawa enkizo Adam ne Nuhu n’abo mu nyumba ya Ibrahim n’abo mu nyumba ya Imran ku bantu abalala."},{"id":34,"translation":"Nga bazukkulu, abamu bava mu bannabwe, bulijjo Katonda awulira mumanyi nnyo."},{"id":35,"translation":"Jjukira mukyala wa Imran bweyagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nneeyamye ku lulwo ekiri mu lubuto lwange kibe ekiwebwayo gy'oli era nkusaba okkirize ekiwebwayo kyange, anti mazima ddala ggwe ggwe awulira omumanyi ennyo."},{"id":36,"translation":"(Maama wa Mariam) bweyazaala omwana oyo yagamba nti ayi mukama omulabirizi wange muzadde nga muwala, wabula Katonda ye yali asinga okutegeera kyeyali azadde, omusajja talinga mukazi era mazima nze mutuumye erinnya Mariam era mazima nze mukwasa ggwe ne zzadde lye omwesambise obubi bwa Sitaane eyagobwa mu kusaasira kwo."},{"id":37,"translation":"Mukama omulabirizi we yamwanukula olwanukula olwa namaddala era n'amukuza enkuza ennungi era naamukwasa Zakariya abe omukuza, buli Zakariya lwe yayingiranga mu kifo Mariam weyatuulanga olw'okusinza ng’amusanga alina ebyokulya. N'agamba nti: owange Mariam bino obifuna kuva wa, n'amuddamu nti byo biva wa Katonda, mazima Katonda agabirira oyo gw'ayagadde awatali kubalirira."},{"id":38,"translation":"Awo nno Zakaria yasaba Mukama omulabirizi we nga agamba nti Ayi mukama omulabirizi wange ngabira okuva gy'oli ezzadde eddungi anti mazima ggwe owulira okusaba kw'omusabi."},{"id":39,"translation":"Ba kyebaava Malayika bamukowoola bweyali ng’ayimiridde mu ssinzizo ng'asaba ne bamugamba nti mazima Katonda akuwa amawulire amalungi (ag'omwana) Yahaya, anajja ng’akakasa amazima g’ekigambo okuva eri Katonda era nga wa kitiibwa owensa era Nabbi ali mu luse lwa balongoofu."},{"id":40,"translation":"Zakariya n'agamba nti: Mukama wange nnaafuna ntya omwana nga nkaddiye bwenti, era nga ne mukyala wange mugumba! (Malayika) n'agamba nti bw'atyo Allah akola kyaba ayagadde."},{"id":41,"translation":"N'agamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange mpa akabonero. (Malayika) n'agamba akabonero ko kwekuba nti toyogera n’abantu okumala ennaku ssatu okuggyako ng’okozesa kulaza. Era jjukira Katonda wo era otendereze akawungeezi ne kumanya."},{"id":42,"translation":"Era jjukira ba Malayika webaagambira Mariam nti mazima Katonda akulonze n'akutukuza n'akwawula ku Bakyala abalala bonna."},{"id":43,"translation":"Owange Mariam wanvuya okuyimirira eri Mukama omulabirizi wo ovunname era okutame ku maviivi awamu n'abakutami."},{"id":44,"translation":"Ebyo by’ebimu ku bigambo ebyekusifu byetukumanyisizza (Ggwe Muhammad) mu bubaka era tewali nabo web’akasukira e kalamu zaabwe ku mazzi ngabanoonya okumanya nti ani ku bbo an'akuza Mariam, era tewali nabo bwe baali bakaayagana (ku nsonga eyo)."},{"id":45,"translation":"Era jjukira ekiseera ba Malayika webaagambira Mariam nti; mazima Katonda akuwa amawulire agessanyu ag’ekigambo ekiva gy'ali (ekyokuzaala omwana) ngerinnya lye ye Masiihi Isa mutabani wa Mariam aliba ow'ekitiibwa ku Nsi ne ku Nkomerero era nga w’amw'abo abasembezebwa ewa Katonda."},{"id":46,"translation":"Era agenda kwogera n'abantu nga ali mu kibaya ne mukusajjakula era wa mu luse lwabalongofu."},{"id":47,"translation":"(Mariam) n'agamba nti Mukama wange naafuna ntya omwana nga tewali muntu yali ankutteko (Malayika) n'agamba nti bwekityo (bwekijja akuba) Allah atonda nga bw'aba ayagadde bwasalawo ekintu mazima akigamba bugambi nti ba ne kiba."},{"id":48,"translation":"Era (Katonda) ajja kumuyigiriza okuwandiika n’okuteeba ekituufu ne Taurat ne njili."},{"id":49,"translation":"Era agenda kubeera mubaka eri abaana ba Yisrayiri (ng’abagamba nti) mazima nze mbajjidde n’akabonero okuva eri Mukama Katonda wa mmwe nja kubabumbira ekintu ekifaanana nga ekinyonyi okuva mu bumba, nja kukifuuwamu omukka kibeere ekinyonyi ku lw'obuyinza bwa Katonda, era njakuwonya abempoma n’abebigenge, nzuukize n'abafu (byonna) kulw'obuyinza bwa Katonda, era nja kubategeeza bwemulina okulya nebyemutereka mu mayumba gammwe, mazima ddala mw’ebyo (ebimenyeddwa) mulimu akabonero gyemuli bwe muba nga muli bakkiriza."},{"id":50,"translation":"Era mbajjidde nga nkakasa amazima g’ebyo ebyakulembera ebyajjira mu Taurat. Era mbakkirize ebimu kw’ebyo ebyali byabagaanibwa, era mbajjidde n’akabonero okuva eri mukama Katonda wa mmwe n'olw’ekyo mutye Katonda era munngondere."},{"id":51,"translation":"Mazima Katonda ye Mukama wange era Mukama wa mmwe kale mumusinze yekka. (Okukola) ekyo ly'ekkubo eggolokofu."},{"id":52,"translation":"Naye Isa bweyamala okulaba obutakkiriza Katonda bwabwe n'agamba nti; b'ani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda, Abayigirizwa nebagamba nti ffe bataasa ba Katonda, tukkiriza Katonda. Naawe julira nti mazima ffe twewaddeyo ewa Katonda."},{"id":53,"translation":"Ayi Mukama Katonda waffe tukkirizza ebyo byewassa era netugoberera omubaka, kale tuwandiike mu bajulizi."},{"id":54,"translation":"(Abayudaaya) baasala enkwe ne Katonda n’abasasula enkwe zaabwe anti bulijjo Katonda mulungi mukusasula n'okuddiza abasala enkwe."},{"id":55,"translation":"Jjukira ekiseera Katonda weyagambira nti; Owange ggwe Isa nze nngenda okukwata kuggyewo nga oli mulamu, era ngenda kusitula nkuleete gyendi era nkutukuze kw'abo abaawakanya, abo abakugoberera ngenda kubassa waggulu w'abo abawakanya okutuusa ku lunaku lw’e Nkomerero oluvannyuma gyendi mwenna gyemugenda okudda, olwo ndyoke mbalamule mw'ebyo byemwayawukanangamu."},{"id":56,"translation":"Bbo Abaawakanya nngenda kubabonereza n’ebibonerezo ebikakali ku Nsi ne ku Nkomerero, era tebagenda kufuna baakubataasa."},{"id":57,"translation":"Naye bbo, abo Abakkiriza nebakola emirimu emirungi (Katonda) agenda kubajjuliza empeera zaabwe, anti bulijjo Katonda tayagala balyazaamanyi."},{"id":58,"translation":"Ebyo tubikusomera Ggwe (Nabbi Muhammad) nga byamububonero n’okubuulirira okwamagezi ( okwanwezebwe)."},{"id":59,"translation":"Mazima entondebwa ya Isa ewa Katonda efaanana n'entondebwa ya Adam, yamutonda nga amuggya mu ttaka oluvannyuma n'amugamba nti beera n’aba omuntu."},{"id":60,"translation":"Ago nno geemazima agava eri Mukama Katondawo, kale tobeeranga mu babuusabuusa."},{"id":61,"translation":"N'omuntu yenna akuwakanya kukino, oluvannyuma lwa mazima agakujjidde ggwe gamba nti mujje tuyite abaana baffe n'abaana ba mmwe, bakyala baffe ne bakyala ba mmwe, naffe fennyini nammwe olwo nno tusabe ekikolimo kya Katonda kituuke ku balimba."},{"id":62,"translation":"Mazima bino (ebyogeddwa) g’emazima (ku bikwata ku nsonga y’okuzaalibwa kwa Isa), tewali katonda mulala yenna ateekeddwa okusinzibwa okuggyako Katonda omu yekka, era bulijjo Katonda ye nn'atameggwa mugoba nsonga."},{"id":63,"translation":"Bwebava ku mazima gano mazima Katonda amanyi aboonoonyi nabyonna ebibakwatako."},{"id":64,"translation":"(Ggwe Nabbi Muhammad) gamba nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo mujje twegatte ku kigambo ekigatta wakati waffe nammwe, nakyo kwekuba nga tetusinza okuggyako Katonda, era tuleme ku mugattako kintu kyonna, era tube nga tetufuula abamu muffe ebyokusinza netuleka Katonda. Ekyo bwebakivaako, mmwe mubagambe nti (mmwe) mujulire nti mazima ffe tuli Basiramu tukkiririza mu bw'omu bwa Katonda."},{"id":65,"translation":"Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki mukaayana ku bikwata ku Ibrahim so nga Taurat n'e njili tebyajja okuggyako oluvannyumalwe. Abaffe temutegeera."},{"id":66,"translation":"(Mwewunyisa) okuba nga mmwe mwennyini mwakaayana ku kyemulinako okumanya, ate kati lwaki mukaayana ku kintu kyemutalinaako kumanya! so nga Katonda amanyi ate mmwe nga temumanyi."},{"id":67,"translation":"Ibrahim tabeerangako Mu yudaaya wadde Omunaswara wabula yali eyava ku nzikiriza zonna nga Musraamu, era tabeerangako mu bagatta ku Katonda bintu birala."},{"id":68,"translation":"Mazima omuntu asinga okuba okumpi ne Ibrahim, b'ebo abaamugoberera, noono Nabbi n’abo Abakkiriza, bulijjo Katonda abeera munne wabakkiriza."},{"id":69,"translation":"Ekibinja ekimu ku bantu abaaweebwa ekitabo bandyagadde okubabuza, (mu kukola ekyo) tebalina gwebabuza okuggyako myoyo gyabwe naye tebamanyi."},{"id":70,"translation":"Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda ate nga ddala nammwe mukakasa nti g’emazima!"},{"id":71,"translation":"Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki amazima mugatabikamu obulimba! nemukweka amazima nga nammwe mumanyidde ddala (ekituufu)."},{"id":72,"translation":"Ekibinja ekimu mu bantu abaaweebwa ekitabo baagamba nti mukkirize ebyassibwa kw'abo abakkiriza kuntadikwa y'obudde bw'emisana ate mubiwakanye olweggulo oba oly'awo banaagivaako."},{"id":73,"translation":"Era temukakasa okuggyako oyo agoberera Eddiini yammwe, Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti: mazima obulunngamu obwannamaddala bulunngamu bwa Katonda, abaffe ekibakozesa ekyo lwakuba nti temwagala muntu mulala yenna kuweebwa ekiringa kyemwaweebwa (obwa Nabbi)! oba lwakutya nti bayinza okugifuula ensonga gye babawangula nayo mumaaso ga Katonda (Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti mazima ebirungi biri mu mikono gya Katonda, abiwa oyo gw'aba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi nnyo era mumanyi mu buli kintu."},{"id":74,"translation":"Ayawula gw'aba ayagadde mu mmwe n'amuwa okusaasira kwe era Katonda ye nannyini birungi ebingi."},{"id":75,"translation":"Ne mu bantu abaaweebwa ekitabo mulimu, omuntu singa oba omwesize ku mmaali ennyingi nga atuukiriza n'agikuddiza, ate mu bbo mulimu omuntu singa oba omwesize ku dinar emu (busente obutono) nga tatuukiriza ku kuddiza, okuggyako nga omwewuubyeko, ekyo nno lwakuba bbo bagamba nti tetufuna musango nga tulyazaamanyizza abatali basomi (abatali abaweebwa ebitabo) ne baba nga boogera ku Katonda obulimba nga nabo bamanyi ekituufu."},{"id":76,"translation":"Wabula (omuntu asaanira okweyita omwagalwa wa Katonda yandibadde) oyo atuukiriza byeyalagaanyisa era n'atya Katonda. Mazima ddala bulijjo Katonda ayagala abamutya."},{"id":77,"translation":"Mazima ddala abo abatunda endagaano ya Katonda n'ebirayiro byabwe ku muwendo omutono, tebalina mugabo ku lunaku lw’e Nkomerero, era Katonda tagenda kwogera nabo era tagenda kubatunulako ku lunaku lw’e Nkomerero era nga bwatagenda kubatukuza era bagenda kutuukwako ebibonerezo ebirumya."},{"id":78,"translation":"Era mazima mu bbo mulimu ekibinja ky'abantu abakyusakyusa ekitabo ne nnimi zaabwe, babalowoozese nti bya mu kitabo, so nga sibyamu. Era nebagamba nti byo byava wa Katonda so nga tebivanga wa Katonda, nebaba nga boogedde ku Katonda ebyobulimba naye nga nabo bamanyi amazima."},{"id":79,"translation":"Tekigwanira muntu yenna okuba nga Allah amuwa ekitabo n’okumanya ensonga, n'obwa Nabbi, ate n'agamba Abantu nti mubeere baddu bange (munsinze) muve ku Katonda. (kyeyandibagambye kyandibadde nti:) Naye mubeere abasinza Katonda okusinziira ku kuba nti mmwe mubadde muyigiriza abantu abalala ekitabo, era n'olw'okuba nti mubadde mukisoma (n'olw'ekyo mumanyi ekituufu eky'okukola)."},{"id":80,"translation":"Era tabalagira kufuula ba Malayika ne ba Nabbi ba Katonda, abaffe ekyo kijja okuvamuye okuba nti abalagira ebyobuwakanyi oluvannyuma lw'okuba Abasiraamu."},{"id":81,"translation":"Jjukira Katonda bweyakozesa ba Nabbi endagaano nti, lwonna lwembawanga ekitabo n’okumanya ensonga, oluvannyuma omubaka (Nabbi Muhammad () n'abajjira nga ava gyendi) ng’akakasa ebyo byemulina, nti ddala mugenda kumukkiriza, era mugenda kumutaasa. Katonda n'agamba nti mukkirizza, era munaatukiriza endagaano yange eno enzito? nebagamba (ba Nabbi) nti tukkirizza. Katonda n'agamba nti mujulire era nange ndi wamu nammwe mu bajulizi."},{"id":82,"translation":"Oyo yenna aliyawukana kw'ekyo abo nno be bonoonyi."},{"id":83,"translation":"Abaffe abo (abonoonyi) banoonya etali Ddiini ya Katonda (Busiramu?) ate nga kululwe byewaayo (nebisiramuka) byonna ebiri mu Ggulu omusanvu ne Nsi kyeyagalire ne mu kukakibwa, era nga gy'ali gyebijja okuzzibwa."},{"id":84,"translation":"Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti tukkiriza Katonda netukkiriza n'ebyo ebyassibwa gyetuli n'ebyo ebyassibwa ku Ibrahim ne Ismail, ne Is-hak ne Ya'akub ne ku bazzukulube, n'ebyo ebyaweebwa Musa ne Isa n'ebyo byonna ebyassibwa ku ba Nabbi okuva ewa Katonda waabwe, tetulina Nabbi yenna gwetusosola naffe twewaddeyo (mu Busiramu) eri Katonda waffe."},{"id":85,"translation":"Oyo yenna anoonya Eddiini etali Busiramu tegenda kukkirizibwa okuva gy'ali, era nga ye ku lunaku lw’e Nkomerero agenda kubeera mubafaafaganirwa."},{"id":86,"translation":"Katonda ayinza atya okulunmgamya abantu abaawakanya (obubaka bwa Nabbi Muhammad () oluvannyuma lw'okukkiriza kwabwe nebawa n'obujulizi nti omubaka (Muhammad ()) w’amazima era nga n'obujulizi obukakasa obwa Nabbi bwe bwa bajjira, mazima Katonda talunngamya bantu balyazaamaanya."},{"id":87,"translation":"Abo nno okusasulwa kwabwe kuli nti mazima Katonda yabassaako ekikolimo ne ba Malayika n’abantu bonna."},{"id":88,"translation":"(Abantu abo) Baakubeera mu muliro obugenderevu, tebagenda kukendeerezebwa ku bibonerezo ng'era bwebatagenda kulindirizibwa (kubonerezebwa)."},{"id":89,"translation":"Okuggyako abo abeenenya oluvannyuma lwokukafuwala kwabwe era nebalongoosa, anti bulijjo Katonda musonyiyi nnyo era musaasizi."},{"id":90,"translation":"Mazima abo abaawakanya Allah oluvannyuma lw'okukkiriza kwabwe, oluvannyuma nebeeyongera okuwakanya okutuusa lwe balaba okufa, okwenenya kwabwe tekugenda kukkirizibwa olw'okuyita kw'ekiseera kyakwo , era abo be babuze abannamaddala."},{"id":91,"translation":"Mazima abo abaawakanya Katonda nebafiira ku buwakanyi tewali n'omu ku bbo agenda kukkirizibwa kwenunula nebwaliba aleese zaabu ajjuza e Nsi, abo nno balina ebibonerezo ebirumya ennyo ate tebagenda kufuna mutaasa yenna."},{"id":92,"translation":"Temugenda kufuna mpeera y'abakozi b’obulungi mpaka nga muwaddeyo kw'ebyo byemwagala, buli kintu kyonna kyemuwayo mazima ddala Katonda akimanyi."},{"id":93,"translation":"Ebyokulya byonna byali bikkirizibwa eri abaana ba Yisrayiri okuggyako ebyo Yisrayiru (Ya'akuubu) byeyeeziyiza nga Taurat tennaba kussibwa, bagambe nti muleete Taurat mugisome bwe muba nga mwogera mazima."},{"id":94,"translation":"Oyo yenna anaatemerera Katonda ebigambo ebyobulimba oluvannyuma lw'ekyo, abo nno be beebalyazaamaanyi."},{"id":95,"translation":"Gamba nti Katonda yayogera mazima, kale mugoberere Eddiini ya Ibrahim, nga takkiriza kusinza kintu kirala wadde okuba mw'abo abagatta ku Katonda ekintu ekirala."},{"id":96,"translation":"Mazima ddala ennyumba eyasooka okuterwawo abantu (olw'okusinza Katonda) y'eyo eri e Bakka (Makka) y’amikisa era nga kya kulunngamya eri abantu bonna."},{"id":97,"translation":"Mulimu mu yo obubonero obwenkukunala, ng’emikolo gya Hijja ne Umra egikolebwako n'ekifo kya Ibrahim. Oyo yenna agiyingira abeera mirembe, era Katonda alaalise ku bantu okulambula e nnyumba eyo kw'oyo aba asobodde ebyetaagisa okutuuka gy'eri, naye omuntu awakanya (obukakafu bwa Hijja) mazima ddala Katonda talina kyeyeeguya ku bantu."},{"id":98,"translation":"Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda! era bulijjo byemukola Katonda abiraba."},{"id":99,"translation":"Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muziyiza abantu okukwata ekkubo lya Katonda! nemuba nga akkiriza ekikolwakye mukitwala kuba nti kyabubuze, so nga mmwe mwennyini mumanyi ekituufu, Katonda tayinza kuba nga tafaayo kubyemukola."},{"id":100,"translation":"Abange Mmwe Abakkiriza bwemunaagondera ekibinja mw'abo abaaweebwa ekitabo bajja kubazza mu buwakanyi oluvannyuma lw'okuba nga mubadde bakkiriza."},{"id":101,"translation":"Muyinza mutya okuwakanya Katonda nga ate musomerwa ebigambo bya Katonda era nga omubaka we ali mu mmwe, oyo yenna eyeekwata ku Katonda aba alubngamiziddwa eri ekkubo eggolokofu."},{"id":102,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza mutye Katonda mubutuufu bw'okumutya era temufanga okuggyako nga muli Basiramu."},{"id":103,"translation":"Mwekwate ku muguwa gwa Katonda mwenna, temwawukananga era mujjukire ekyengera kya Katonda kyeyabawa bwemwali nga muwalaggana n'atabaganya wakati w'emitima gyammwe olw'ekyengerakye, nemukeesa nga muli baaluganda, mwali mutuuse ku mugo gw'ekinnya ky'omuliro n'agubatasaako, bw'atyo nno Katonda bw'abannyonyola ebigambo bye mube nga mulunngama."},{"id":104,"translation":"Wateekeddwa okuba mu mmwe ekibiina (Nga abakirimu) bakubiriza Abantu okudda eri obulungi era nga bakubiriza Abantu okuyisa obulungi era nga babaziyiza okweyisa obubi era abo be b'okwesiima (ku lunaku lw’e Nkomerero nebawona ebibonerezo bya Katonda)."},{"id":105,"translation":"Temubeera nga abo abeetemamu nebaawukana oluvannyuma lw'obunnyonnyofu okubajjira, n’abo nno balina ebibonerezo ebyamaanyi."},{"id":106,"translation":"Ku lunaku ebyenyi lwebiritemagana ebirala nebisiiwuuka bbo abo abalisiwuuka ebyenyi byabwe (baligambibwa nti ekibatuusizza kw'ekyo lwakuba nti) mwawakanya Katonda oluvannyuma lw'okuba nti mwali bakkiriza, n'olw'ekyo mukombe ku bukaawu bwebibonerezo olw'ebyo byemwawakanyanga."},{"id":107,"translation":"Bbo abo ebiritemagana ebyenyi byabwe baakubeera mu kusaasira kwa Katonda (jjana) bbo baakubeeramu obugenderevu."},{"id":108,"translation":"Ebyo bigambo bya Katonda tubikusomera mu butuufu bwabyo, Katonda tayagaliza bitonde kulyazamanyizibwa."},{"id":109,"translation":"Era bya Katonda ebiri mu Ggulu omusanvu n'ebiri mu Nsi era eri Katonda ebintu byonna gyebizzibwa."},{"id":110,"translation":"Mmwe kibiina ekisinga obulungi ekyaweebwa Abantu, mukubiriza okukola empisa nemuziyiza okukola ebibi, era nga mukkiriza Katonda. Singa abaaweebwa ekitabo bakkiriza kyandibadde kirungi gyebali, (naye) abamu ku bbo bakkiriza nga n’abasinga obungi bajeemu."},{"id":111,"translation":"Tebayinza kubatuusaako buzibu, okuggyako ebinyiizo ebitonotono, naye bwebaba balwanaganye nammwe babakuba amabega ne badduka ate era nga tebataasibwa."},{"id":112,"translation":"B'ateekebwako okunyomebwa wonna webaba bali okuggyako nga balina obukuumi bwa Katonda n'obwa Basiramu (nebaweebwa omukisa gw'okuwangalira mu Nsi ya Basiramu nga bali wansi wa mateeka g’Obusiraamu,) nebateekebwako obusungu bwa Katonda, nebassibwako okuswazibwa ekyo nno lwakuba nti baali bawakanya ebigambo bya Katonda nebatta ne ba Nabbi mu ngeri etali ntuufu, ekyonno (baakikola nga) olw'obujeemu bwabwe era nga baali babuuka ensalo za mateeka (ga Katonda)."},{"id":113,"translation":"Bonna tebali kimu, Mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu ekibinja ekitereevu, abasoma ebigambo bya Katonda, mu biseera by'ekiro era nga bavunnama."},{"id":114,"translation":"Bakkiriza Katonda n’olunaku lw’e Nkomerero nebakubiriza Abantu okweyisa obulungi, nebabakomako kukweyisa obubi era nga banguwa mu kukola ebirungi era abo ba mu luse lwa balongoofu."},{"id":115,"translation":"Buli kirungi kyonna kyebakola tekiribalyazaamanyizibwa. Katonda amanyidde ddala ebifa ku bamutya."},{"id":116,"translation":"Mazima abo abaawakanya Katonda emmaali yaabwe n'abaana baabwe tebigenda kubayamba ewa Katonda n'akamu, era abo be bantu b’omumuliro bbo b'akugubeeramu obugenderevu."},{"id":117,"translation":"Byebawaayo mu bulamu buno obw'e Nsi bifaanagana nga kibuyaga alimu omuzira eyakuba ebirime bya bantu abeeryazaamaanya n'abizikiriza, Katonda te yabalyazaamaanya naye bbo bennyini be beryazaamaanya."},{"id":118,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, abatali ba mu mmwe temubafuulanga ab'emikwano ab'omunda, tebayinza kulekayo kubaagaliza kabi, bulijjo babaagaliza ekyo ekibazitoowereza. Obukyayi bulabika ku mimwa gyabwe (ku nnimi zaabwe) so nga byebakweka mu bifuba byabwe byebisinga obunene, mazima tubannyonnyodde ebigambo bwe muba nga mukozesa amagezi gammwe (bibamale okutegeera ekituufu)."},{"id":119,"translation":"(Buno bwe bujulizi obulaga ensobi gyemukola) Anti mmwe mubaagala sso nga bbo tebabaagala, era mmwe mukkiriza ebitabo byonna! Bwe babasisinkana bagamba nti tukkiriza naye ate bwebava wemuli babalumira ennwe olw'obusungu, gamba (ggwe Muhammad) nti mufe n’obusungu bwa mmwe. mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba."},{"id":120,"translation":"Bwemufuna ekirungi kyonna kibanakuwaza, naye bwemutuukibwako akabi konna kabasanyusa, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda enkwe zaabwe tezigenda kubatuusaako kabi konna, anti mazima Katonda byonna byebakola abyetoolodde."},{"id":121,"translation":"Era jjukira (Ggwe Nabbi Muhammad) bwewakeera n’oleka ab'omumaka go n’ogenda otegekere abakkiriza ebifo mwebanaalwanira, bulijjo Katonda awulira era amanyi byonna."},{"id":122,"translation":"Jjukira ebibiina ebibiri mu mmwe lwebyayagala okufotookerera, Katonda yeeyali omukuumi wa byombi, bulijjo abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda."},{"id":123,"translation":"Mazima Katonda yabataasa e Badr so nga ate mwali banafu, n'olw'ekyo mutye Katonda mulyoke mube abeebaza."},{"id":124,"translation":"Jjukira wewagambira abakkiriza nti tekibamala Katonda wa mmwe okubadduukirira naabassiza ba Malayika enkumi ssatu."},{"id":125,"translation":"Wewaawo, bwemunagumiikiriza nemutya Katonda, ne babajjira mu bwangu obwo, ajja kubadduukirira ne ba Malayika enkumi ttaano abalambe nga balina obubonero obw'enkukunala."},{"id":126,"translation":"Ekyo Katonda teyakibawa wabula lwakubasanyusa, era emitima gyammwe gibe nga ginywera nakyo, naye nga bulijjo okutaasa tekuva okuggyako ewa Katonda n'atawangulwa mugoba nsonga."},{"id":127,"translation":"(Ekyo Katonda yakikola) abe nga aggyawo ekitundu ekimu ekya batakkiriza oba abanakuwaze (Bawangulwe) baddeyo nga baswavu.⁰"},{"id":128,"translation":"Okusalawo ekigambo kyonna tekuli gy'oli (ggwe Muhammadi), okutuusa Katonda lwanaabaddiramu oba okubabonereza, anti mazima bbo balyazaamaanyi."},{"id":129,"translation":"Byonna ebiri mu Ggulu omusanvu ne mu Nsi bya Katonda. Asonyiwa gw'aba ayagadde n'abonereza gw'aba ayagadde, bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi."},{"id":130,"translation":"Abange Abakkiriza temulyanga Riba ennyongeza ekubisibwamu, era mutye Katonda kibawe okwesiima ku lunaku lw’e Nkomerero."},{"id":131,"translation":"Era mutye omuliro ogwo ogwateekerwateekerwa Abatakkiriza Allah n'e Ddiini ye."},{"id":132,"translation":"Era mugondere Katonda n'omubaka olwo nno musaasirwe."},{"id":133,"translation":"Era mweyune eri okusonyiwa kwa Katonda wa mmwe, n'e jjana eyo obugazi bwayo obwenkana eGgulu omusanvu n'e Nsi, yateekerwateekerwa abatya Katonda."},{"id":134,"translation":"Abo abawaayo mu kkubo lya Katonda, mu biseera ebyessanyu n'e by'obuzibu, era abatasiba busungu, n'abasonyiwa abantu. bulijjo Katonda ayagala abalongoosa."},{"id":135,"translation":"N'abo bwebaba bakoze ekivve kyonna oba nebaba nga beeryazaamaanyizza (mu ngeri endala) bajjukira Katonda nebasaba okusonyiyibwa ebyonoono byabwe ate ani yandisonyiye ebyonoono okuggyako Katonda! era nebatalemera kw’ebyo byebaakola ate nga nabo bamanyi."},{"id":136,"translation":"Abo empeera yaabwe kisonyiwo okuva ewa Mukama Katonda waabwe n'e jjana ezikulukutiramu emigga wansi waazo, nga bagenda kuzibeeramu bugenderevu, nga eriba mpera nnungi eri abo abakola emirimu emirongoofu."},{"id":137,"translation":"Bwebityo ebintu bwebibadde bitambula oluberyeberye lwa mmwe, kale mutambule mu Nsi mutunule, mujja kulaba engeri enkomerero y'abalimbisa bw'eba."},{"id":138,"translation":"(Kur'an eno) kwe kunnyonnyola okuweereddwa eri Abantu era bulunngamu era kwe kubuulirira eri abatya Katonda."},{"id":139,"translation":"Temuterebukanga era temunakuwalanga, ng’ate mmwe muli ku ngulu kavuna muba nga muli bakkiriza abannamaddala."},{"id":140,"translation":"Bwe muba mutuukiddwako obuvune (mu lutalo lwe Uhudi) nabali abatakkiriza baatuukwako obuvune ng’obwo (mu lutalo lwe Badri) nabwekityo bulijjo ennaku tuzikyusakyusa wakati wa bantu (olumu lw’ono, olundi lwa mulala) olwo nno Katonda ayawule abakkiriza, mu ngeri yeemu aggye mu mmwe abafiira mu kulwanirira Eddiini era bulijjo Katonda tayagala balyazaamaanyi."},{"id":141,"translation":"Era Katonda alyoke asengejje ayawulemu abo Abakkiriza, era azikirize Abatakkiriza."},{"id":142,"translation":"Oba mulowooza nti muyinza okuyingira e jjana nga Katonda tannaba kwawula abo abaalwana mu kkubo lye mu mmwe, era n'ayawula na bagumiikiriza."},{"id":143,"translation":"mazima Mwalinga mwegomba okufa nga temunnaba ku kusisinkana (Mu lutalo lw'e Uhud). Naye mazima mukulabye nga mutunula nkaliriza."},{"id":144,"translation":"Muhammad tali okuggyako okuba nti Mubaka mazima bamukulembera ababaka, kaakano bw'aba afudde oba n'attibwa olwo nga mukyukira ku bisinziiro byammwe (nemuva mu Busiraamu). Oyo yenna anaakyukira ku bisinziirobye talina kabi konna kaatuusa ku Katonda, era Katonda ajja kusasula abo abeebaza."},{"id":145,"translation":"Era tewali muntu yenna afa okuggyako nga Katonda yakkirizza, ekyo nga kiwandiike ekyagererwa ekiseera kyakyo, oyo yenna ayagala empera z’e Nsi tuzimuwa mu yo, n’oyo ayagala empeera z’e Nkomerero tulizimuwa ku nkomerero, era tujja kusasula abeebaza."},{"id":146,"translation":"Ba Nabbi bangi, ebibinja bya bagoberezi baabwe bingi byabanga nabo mu kulwana, tebaaterebukanga olw'ebizibu ebyabatuukangako mu kulwana mu kkubo lya Katonda tebanafuwa wadde okwewaayo eri omulabe bulijjo Katonda ayagala abagumiikiriza."},{"id":147,"translation":"Ekigambo kyabwe tekyali, okuggyako okugamba nti Ayi Mukama omulabirizi waffe tusonyiwe ebyonoono byaffe, era otusonyiwe bwetuba tususse ekkomo mu nsonga zaffe, era nyweza ebigere byaffe, era tutaase ku kibiina ky'abatakkiriza."},{"id":148,"translation":"Katonda n’abawa empeera z’okunsi, era n'empeera ezisinga okuba ennungi ku lunaku lw’e Nkomerero, era bulijjo Katonda ayagala abalongoosa."},{"id":149,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza bwemunaagondera abo Abatakkiriza bajja kubazzaayo ekyennyumannyuma mukyuke okuva mu bukkiriza, mubeere abasaliddwa."},{"id":150,"translation":"Wabula Katonda yemukuumi wa mmwe era bulijjo yaasinga abataasa bonna"},{"id":151,"translation":"Tujja kussa ensisi ku mitima gy’abo abatakkiriza kulw’okugatta kwabwe ku Katonda ebintu ebirala ebyo byatassaako bukakafu. Era omuliro bwebuddo bwabwe, era bulijjo obuddo bw’abalyazaamaanyi buba bubi."},{"id":152,"translation":"Mazima Katonda yatuukiriza gyemuli endagaanoye bwemwatuuka okubatirimbula olw'okukkirizakwe, mpozzi bwemwatiitiira ne mukaayanagana nga temukyakkaanya ku nsonga, ne mujeema (nemuva ku kasozi) bwemwalaba nti kyemwagala (ekyokuwangula omulabe) kyali kituukirira, mu mmwe mwalimu abaagala eby'okufuna bye Nsi, nga bwemwalimu abaagala e Nkomerero, oluvannyuma Katonda yakyusa obwali obuwanguzi bwa mmwe ku bbo (nebaba nga beebawangula) alyoke abe nga abagezesa mazima yabasonyiwa, bulijjo Katonda abakkiriza abagonnomolako ebirungi."},{"id":153,"translation":"Jjukira ekiseera wemwayambukira olusozi, olwonno nga temukyatunula ku muntu yenna. Nga Omubaka ali mabega wammwe abakowoola, awo nno Katonda kwekubasasula okweraliikirira ng'ayongeza ku kukweraliikirira mube nga temunakuwala olw'ebyo ebyabasuba, wadde olw'ebyo ebizibu ebyabatuukako Katonda amanyidde ddala byonna byemukola."},{"id":154,"translation":"Ate oluvannyuma lw'okweraliikirira Katonda yassa kummwe akalembereza k'okwebakamu okwakwata abamu ku mmwe, ate abalala batiirira nnyo obulamu bwabwe nga balowooleza Katonda ebitali bituufu endowooza ya Jahiliyyah, nga bagamba nti tukyalina obusobozi mu nsonga eno? Gamba nti ebintu byonna biri mu mikono gya Katonda, (Abantu abo) bakweka mu mitima gyabwe bye batakulaga era nga bagamba nti singa tubadde tulina okusalawo ku nsonga eno ekintu kyonna, tetwandittiddwa wano, Bagambe nti nebwemwandibadde mu mayumba gammwe ab'awandiikwako okufa bandigudde mu bifo ebyabawandiikibwako okufiiramu, olwonno Katonda alyoke agezese ebiri mu bifuba byammwe, era asengejje ebiri mu mitima gyammwe, bulijjo Katonda amanyi ebiri mu bifuba."},{"id":155,"translation":"Mazima abo abadduka mu mmwe ku lunaku enjuuyi ebbiri lwe zaasisinkana, mazima Sitane yeeyabaseereza olw'ebimu kw’ebyo byebaakola era mazima Katonda yabasonyiwa anti mazima ddala Katonda musonyiyi w’akisa."},{"id":156,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temubeera ng’abo abaawakanya Katonda ne Nabbi we nebagamba baganda baabwe bwebaabanga batambudde mu Nsi, oba nga babadde abalwana olutalo nti singa baasigala wano naffe tebandifudde wadde okuttibwa, (baafuna endowooza eyo) Katonda alyoke akifuule ekyokwejjusa mu mitima gyabwe naye nga bulijjo Katonda y’awa obulamu era yatta era buli kyonna kyemukola Katonda akiraba."},{"id":157,"translation":"Singa muttibwa nga muli mukulwana mu kkubo lya Katonda, oba nemufa (enfa eyaabulijjo, mu ngeri zombi) okusonyiwa okuva eri Katonda n’okusaasira by’ebirungi okusinga ebyo byebakunganya."},{"id":158,"translation":"(Kyekimu) okuba nti mufudde oba muttiddwa ewa Katonda yekka gye mulikunganyizibwa."},{"id":159,"translation":"Kulwokusaasira kwa Katonda wabagondera (Ggwe Muhammad) naye singa wali waboggo omukakanyavu w'omutima bandikudduseeko, kale basonyiwe, obeegayiririre (ewa Katonda) era obebuuzengako mu nsonga zonna wabula bw'obanga omaliridde (n’osalawo eky'okukola) olwo nno weekwase Katonda, mazima Katonda ayagala abamwekwasa."},{"id":160,"translation":"Katonda bwabataasa teri ayinza kubawangula naye singa aba abaabulidde ani oyo ayinza okubataasa atali ye, ku Allah Abakkiriza kwebaba beesigamira."},{"id":161,"translation":"Tekisoboka ku Nabbi yenna okuba nga yezibika ekintu kyonna ku munyago naye omuntu yenna bwe yeezibika ku minyago, ku lunaku lwamayimirira wakuleeta kye yeezibika oluvannyuma buli muntu agenda kusasulwa mu bujjuvu ekyo kyeyakola, era bbo tebaliryamaanyizibwa."},{"id":162,"translation":"Abaffe, oyo agoberera okusiima kwa Katonda ayinza okufaanana n'oyo avuddeyo n’okusunguwalirwa Katonda! nga n’obuddo bwe muliro Jahannama ate nga buddo bubi nnyo ddala!"},{"id":163,"translation":"Abantu abo bakubeera mu madaala ga njawulo ewa Katonda, anti era bulijjo Katonda alabira ddala byebakola."},{"id":164,"translation":"Mazima Katonda yawa Abakkiriza ekyengera bwe yabatumamu omubaka nga ava mu bbo, nga abasomera ebigambo bye, era nga abatukuza era nga abayigiriza ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebyamagezi (Hadith) newaakubadde nga mu kusooka baali mu bubuze obweyolefu."},{"id":165,"translation":"Lwaki bwemwatuukwako obuzibu (mu Uhudi) nga ate bbo mwabatusaako obuzibu obwenkana obwo emirundi ebiri (mu Badr) mwagamba nti ate lwaki kizze bwekityo, bagambe (ggwe Nabbi Muhammad ekyo kivudde ku mmwe mwennyini mazima Katonda bulijjo muyinza wa buli kintu."},{"id":166,"translation":"N’ekyo ekyabatuukako ku lunaku ebibinja ebibiri lwe byasisinkana kyaliwo ku lwa kukkiriza kwa Katonda, era abe nga ayawula abakkiriza ab'amazima."},{"id":167,"translation":"Mu ngeri y'emu ayawule abo abannaanfunsi era baagambibwa nti mujje mulwane mu kkubo lya Katonda, oba waakiri mujje twetaase tusindiikirize omulabe nebaddamu nti, singa tubadde tukakasa nti waliyo okulwana twaligenze nammwe, bbo ku lunaku olwo baali kumpi nnyo n’obutakkiriza okusinga okubeera n’obukkiriza, boogera nemimwa gyabwe ebitali mu mitima gyabwe, ate nga bulijjo Katonda amanyi nnyo byebakweka."},{"id":168,"translation":"Abo (Abannaanfuusi) abagamba baganda baabwe (abaagenda mu lutalo) bbo nebasigala nga b'etuulidde eka nti singa baatuwuliriza tebandittiddwa. Bagambe (Ggwe Muhammadi) nti kale mweggyeko okufa bwe muba nga muli b'amazima mu byemwogera."},{"id":169,"translation":"Tosuubiranga nti abo abattirwa mu kulwana mu kkubo lya Katonda nti bafu, nedda wabula balamu, era nga bagabirirwa ewa Mukama Katonda waabwe."},{"id":170,"translation":"Nga bajaganya olw’ebyo Katonda byabawadde mubigabwa bye, era nga basanyusa bannaabwe bebaleka ku Nsi nti tebalina kutya kwonna, era nga tebatagenda kunakuwala."},{"id":171,"translation":"Nga basanyuka olw'ebyengera, n’ebirungi ebingi ebivudde ewa Katonda, era mazima ddala Katonda bulijjo tayonoonona mpeera z’abakkiriza."},{"id":172,"translation":"Abo abaayanukula (okukowoola kwa) Katonda n'Omubaka (ne bakkiriza okuddayo okulwana) oluvannyuma lw'okutuukibwako obulumi bw'olutalo, abeeyisa obulungi mu bbo ne batya Katonda bagenda kufuna empeera nnyingi."},{"id":173,"translation":"Abo abantu (Abagatta Katonda n'ebintu ebirala) bebaagamba nti mazima (Abantu bemwalwanye nabo) babeekobaanidde (babeekungidde) baagala kubaddamu nvuunula bibya musaanye mubeegendereze (ekintu ekyandibaleetedde okutya) naye ate kyabongera bukkiriza, era nebagamba nti Katonda atumala era yemukuumi asinga obulungi."},{"id":174,"translation":"(Omulabe yabadduka awatali kulwana kwonna) ate nebadda ewaboobwe nga bafunye ebyengera okuva ewa Katonda n'obulungi obungi awatali kutuukwako kabi konna, (mukukola ebyo byonna) era baagoberera ebibasiimisa Katonda, anti bulijjo Katonda alina obulungi bungi."},{"id":175,"translation":"(Eyali ababuzaabuza obutagenda kulwana) mazima ddala oyo ye Sitane bulijjo abatiisa mikwano gye, kale nno temubatya wabula mutye nze bwe muba muli bakkiriza abannamaddala."},{"id":176,"translation":"Era tebakunakuwaza abo abanguwa okuyingira obuwakanyi, mazima bbo tebayinza kutuusa ku Katonda kabi konna, Katonda ayagala aleme kuteerawo mugabo gwonna ku lunaku lw’e Nkomerero era balina ebibonerezo ebyamaanyi."},{"id":177,"translation":"Mazima abo abaawaanyisa obutakkiriza n'obukkiriza tebagenda kutuusa kabi ku Katonda mu kintu kyonna, era balina ebibonerezo ebirumya."},{"id":178,"translation":"Era abo abatakkiriza Katonda n'Omubaka we tebalowooza nti mazima ffe okubalindiriza kirungi gyebali, mazima tubalindiriza b’eyongere okukola ebibi, era baakufuna ebibonerezo ebinyomesa."},{"id":179,"translation":"Katonda teyali w'akuleka bakkiriza kw’ekyo kyemuliko okutuusa ng'amaze okwawula ababi mu balungi, era Katonda teyali waakubalaga ebyo ebitalabika, naye mazima ddala Katonda alonda mu babaka be oyo gw'aba ayagadde, kale mukkirize Katonda n'ababakabe, ate singa mukkiriza nemutya (Katonda) mujja kufuna empeera enzito."},{"id":180,"translation":"Abo abaakodowalira ebyo Katonda bye yabawa mu bigabwa bye, tebasuubira nti ekyo kirungi gyebali, wabula kkyo kibi gyebali ku lunaku lw’e Nkomerero bagenda kwambikwa mu bulago ebyo byebaakodowaliranga, bya Katonda ebiri mu Ggulu omusanvu ne mu Nsi era bulijjo Katonda amanyi mu bujjuvu byonna byemukola."},{"id":181,"translation":"Mazima Katonda awulidde ekigambo ky'abo abagamba nti mazima Katonda mwavu era nga ffe bagagga. Tujja kuwandiika ebyo byeboogera nga bwetujja okuwandiika okutta kwabwe ba Nabbi awatali nsonga, era tugambe nti muloze ku bibonerezo ebyokya."},{"id":182,"translation":"(Ebyo ebibonerezo bya kubatuukako) olw'ebibi bye mwakola, era mazima ddala Katonda talyazaamaanya baddu be."},{"id":183,"translation":"Era beebo abagamba nti mazima Katonda yatulaamira okuba nga tetukkiriza mubaka yenna okuggyako nga atuleetedde Saddaaka omuliro negugyokya, bagambe (Ggwe Nabbi Muhammadi) mazima ababaka bangi abaabajjira n'obubonero oluberyeberye lwange nga baleese n'ebyo byemugamba, lwaki ate mwabatta bwe muba nga muli b'amazima mukino kyemugamba."},{"id":184,"translation":"(Ggwe Muhammad tobafaako) bwe bakulimbisa ababaka bangi abaakulembera abaalimbisibwa, baaleeta obujulizi obw'enkukunala n'ebiwandiiko n'ebitabo ebijjudde ekitangaala."},{"id":185,"translation":"Buli muntu yenna wa kukuloza ku kufa, era mazima ddala mugenda kusasulwa mu bujjuvu empeera zammwe ku lunaku lw’e Nkomerero oyo yenna alyesambisibwa omuliro n'ayingizibwa e Jjana aliba yeesiimye, tebuli obulamu bw'e Nsi wabula kintu ekigayaaza."},{"id":186,"translation":"Ndayira ddala mazima mujja kugezesebwa nnyo mu mmaali zammwe ne mubulamu bwammwe, era mujja kutuusibwako ebitasanyusa bingi okuva mw'abo ab'aweebwa ekitabo oluberyeberye lwammwe, n'okuva mw'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, naye singa mugumiikiriza ne mutya Katonda mazima ekyo ky'ekimu ku bintu eby'obumalirivu."},{"id":187,"translation":"Era jjukira ekiseera Katonda weyakozesa endagaano abo abaweebwa ekitabo nti ndayira muteekeddwa okukinnyonnyola abantu era temugenda kukikweka wabula (endagaano) baagisuula emabega waabwe ne bagiwanyisaamu eby’okufuna ebitono, bibi nnyo byebawaanyisa."},{"id":188,"translation":"Tosuubiriranga abo abasanyuka olw'ebyo bye bakoze (ebibi) era nga baagala okutenderezebwa olw'ebyo byebaba tebakoze (ebirungi), tobasuubiranga nti bagenda kuwona ebibonerezo, era bagenda kufuna ebibonerezo ebirumya."},{"id":189,"translation":"Obufuzi bwe Ggulu ne Nsi bwa Katonda yekka, era Katonda muyinza ku buli kintu kyonna."},{"id":190,"translation":"Mazima mu kutonda e Ggulu omusanvu n'e Nsi n'okwawukana kw'ekiro n'e misana ddala bubonero eri abo abalina amagezi amalamu."},{"id":191,"translation":"Abo abatendereza Katonda nga bayimiridde era nga batudde, ne kumbiriizi zaabwe nga bagalamidde, nebafumiitiriza mu ngeri e Ggulu omusanvu n'e Nsi gye byatondebwamu, ne bagamba nti Ayi Mukama Katonda waffe ebintu bino tewabitonda mu bukyamu, wasukkuluma ku bintu byonna, n’olw'ekyo tukusaba otukingirize ebibonerezo byomuliro."},{"id":192,"translation":"Ayi mukama Katonda waffe, mazima ggwe omuntu gw'oliyingiza omuliro oliba omukkakkanyizza. Abalyazaamaanya tebagenda kufuna babataasa bonna."},{"id":193,"translation":"Ayi Mukama Katonda waffe tuwulidde omukoowooze ayita Abantu okujja eri obukkiriza nga agamba nti mukkirize Mukama Katonda wa mmwe, naffe netukkiriza, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe, otusanguleko ebyonoono byaffe, otuuse okututta nga tuli mu luse lwa baddubo abalongoofu."},{"id":194,"translation":"Ayi Mukama omulabirizi waffe tukusaba otuwe byewatusuubiza nga biyita ku babaka bo, totufuulanga abanyomebwa ku lunaku lw’e nkomerero, mazima ddala ggwe toyawukana ku ndagaano."},{"id":195,"translation":"Mukama omulabirizi waabwe Allah kwe kubaanukula nti, siyinza kwonoona mulimu omu ku mmwe gw'aba akoze kaabe musajja oba mukazi, mwenna muli kyekimu (anti muli basiraamu). Abonno abaasenguka nebagobaganyizibwa mu mayumba gaabwe, nebabonyabonyezebwa ku lwange, ne balwanagana n'omulabe kulwange, ne balwanagana n’omulabe ne battibwa ndayira nja kubaggyirako ddala ebibi byabwe era ddala nja kubayingiriza e Jjana ezikulukutiramu wansi waazo emigga, eyonno nga mpeera okuva ewa Katonda, era mazima Katonda alina empeera ennungi."},{"id":196,"translation":"Abatakkiriza Katonda n'Omubakawe okwegiriisiza mu Nsi tekikuyigulanga ttama."},{"id":197,"translation":"Ebyo byebalimu byakweyagala kutono, oluvannyuma obuddo bwaabwe muliro Jahannama, era kya kweyalira kibi."},{"id":198,"translation":"Naye mazima abo abatya mukama Katonda waabwe baakufuna e Jjana ezikulukutira wansi waazo emigga, baakuzibeeramu obugenderevu nga mpeera eyabategekerwa okuva ewa Katonda. Ebiri ewa Katonda byebirungi eri abaddu abalongoofu."},{"id":199,"translation":"Mazima ddala mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu abantu abakkiriza Katonda nebakkiriza ebyassibwa gyemuli, n’ebyassibwa gyebali, bagondera Katonda ebigambo bya Katonda tebabitundamu muwendo mutono, abo balina okufuna empeera yaabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, mazima Katonda mwangu wa kubala."},{"id":200,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mugumiikirize (wabula mukimanye nti n’omulabe gwe mulwana naye agumiikiriza) n’olw'ekyo muvuganye naye mu kugumiikiriza (mulabe nga mumuwangula nemw'ekyo kibasobozese okuwangula olutalo) era munywere nga muli mu lutalo era mutye Katonda mulyoke mubeere abalyesiima ku lunaku lw’e Nkomerero."}]},{"id":4,"verses":[{"id":1,"translation":"Abange mmwe abantu mutye Mukama Katonda wa mmwe oyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, (Adam) ate n’atonda nga aggya mu ye mukyalawe (Haawa) ate mu bombi n'aggyamu abasajja n’abakazi bangi, era mutye Katonda oyo gwe musabanngana ku lulwe, era mutye enganda (muzikuume temuzikutula), mazima Katonda buli kiseera abalondoola."},{"id":2,"translation":"(Bwe mukitegeera nti Allah abalondoola) Bamulekwa mubawe emmaali yaabwe, ennungi temugiwaanyisangamu embi, era emmaali yaabwe temugiryanga nga mugigatta mu yammwe, mazima ddala okukola ekyo kibi kinene."},{"id":3,"translation":"Bwe mutyanga obutakola bwenkanya eri bamulekwa (Abawala bemwasigaza okulabirira temubawasa) olwonno muli baddembe okuwasa abakyala abalala abo ababa babasanyusizza oba babiri, oba basatu, oba bana, wabula bwemutyanga obutakola bwenkanya, olwonno omu, oba oyo omuzaana yenna gwemuba mulina mu mikono gyammwe, ekyo kye kisemberedde obuteekubira."},{"id":4,"translation":"Kikakafu muwe Abakyala Amahare gaabwe, naye bwebaba nga babasonyiye ekintu kyonna ku go mu mwoyo omulungi, mukirye nga kinyuvu kisemeekerera."},{"id":5,"translation":"Abatanneetuuka mu ntegeera temubawanga emmaali yammwe, eyo Katonda gye yabateerawo nga y'ebayimirizaawo, era mubawenga mu yo gyebeetaaga ku byokulya mubambazenga, era mubagambe ebigambo ebirungi."},{"id":6,"translation":"Era mugezese ba mulekwa bwebatuuka mu myaka egiwasa (oba egifumbirwa) bwe mubalengeramu obusobozi (bwo kulabirira ebyabwe) olwonno mubawe emmaali yaabwe. (Mu kiseera wemubeerera nga mugibakuumira) temugiryanga mu ngeri ey’okudiibuuda, era n’okugirya eggwewo mangu nga tebannakula. Oyo anaabanga omugagga asaana yesseemu ensa (agyesonyiwe) ate oyo anaabanga omwavu alyengako mu ngeri y’akintu kiramu. Bwe mutuusanga okubawa emmaali yaabwe muleetengawo abajulizi, kimala okubeera nti Katonda ye mubazi."},{"id":7,"translation":"Abaana ab’obulenzi balina omugabo gwebafuna mw'ebyo bakadde baabwe bombi byebalese, n’aboluganda (byebaba balese), n'abaana ab'obuwala balina omugabo mw'ebyo bakadde baabwe bombi n'aboluganda byebaba balese, kabibe bitono bitya oba bingi bitya, (buli omu afuna) omugabo omugereke."},{"id":8,"translation":"Ab’oluganda ab'okumpi ne bamulekwa n’abanaku bwebajja nga emmaali y’omufu egabwa mubagabirenga ko, era mubagambe ebigambo ebirungi."},{"id":9,"translation":"(Abakuza) basaanidde okutya nti singa baba balese emabega waabwe abaana abato, nga baalibeeraliikirizza, bateekwa okutya Katonda, era boogere ebigambo ebituufu."},{"id":10,"translation":"Mazima abo abalya emmaali y’abamulekwa mu ngeri enkyamu, mazima mu mbuto zaabwe balya muliro mwereere, era bagenda kuyingira omuliro oguyitibwa Saer."},{"id":11,"translation":"Katonda abakalaatira ku baana ba mmwe, nga omwana omulenzi afuna emigabo gya bawala babiri, bwebaba nga baana bawala babiri n'okusukkawo basikira bibiri bya kusatu (2/3) by’emmaali omufu gyaba alese, bw'aba muwala omu afuna kimu kya kubiri (1/2) olwonno bazadde b’omufu buli omu kubbo n'afuna kimu kya mukaaga (1/6) ku mmaali gy'aba alese bw'aba nga aleseewo omwana ow’obulenzi, bw'aba nga talina mwana wabulenzi, abazadde bombiriri nebamusikira maamawe aba atwala kimu kya kusatu (1/3), bw'aba aleseewo bagandabe olwo maamawe afuna kimu kya mukaaga (1/6), ebyo byonna bikolebwa oluvannyuma lw'okutuukiriza ekiraamo kye yalaama oba ebbanja, bazadde ba mmwe n’abaana ba mmwe temumanyi ani kubonna asinga okuba ow’omugaso gyemuli, lino tteeka kakafu okuva ewa Katonda anti bulijjo mazima ddala Katonda amanyi nnyo ate nga buli kintu akikola kusinziira ku nsonga."},{"id":12,"translation":"(Mmwe Abasajja) mufuna kimu kya kubiri (1/2) mw'ebyo bakyala ba mmwe byebaba balese bwebaba nga bafudde tebalese mwana (oba abazzukulu,) bwebaba balese omwana, olwo nno mufuna kimu kyakuna (1/4) mw'ebyo byebaba balese, (nga bino bikolebwa (oluvannyuma lwe kiraamo kyebaba balaamye oba ebbanja. Nabo abakyala bafuna kimu kya kuna (1/4) kw'ebyo byemuba mulese bwe mubanga temulina mwana gwemulese. Bwe muba mulina omwana olwonno bafuna kimu kya munaana (1/8) kw'ebyo byemuba mulese, (Bino bikolebwa) oluvannyuma lw'okutuukiriza ekiraamo kyemuba mulaamye oba ebbanja, omusajja bw'aba asikirwa oba omukyala nga ( Kalaala) talese baana wadde bazadde, naye nga alina mugandawe oba mwannyina mu maamawe (gwalese) buli omu ku bombi afuna kimu kya mukaaga (1/6) bwebaba nga basukkawo olwo bonna beegattira mu kimu kya kusatu (1/3), (kino kikolebwa) oluvannyuma lw'okutuukiriza ekiraamo ky'aba yalaama oba ebbanja, ekitaliimu kunyigiriza (eri abasika be) bino byonna nga kiraamo gyemuli okuva eri Katonda wa mmwe, era bulijjo Katonda amanyi nnyo waakisa."},{"id":13,"translation":"Ebyo nsalosalo z'amateeka ga Katonda, omuntu yenna agondera Katonda n’omubakawe alimuyingiza e Jjana ezikulukutiramu wansi waayo emigga, bakuzibeeramu obugenderevu, era okwo kwe kwesiima okusukkulumu."},{"id":14,"translation":"N’oyo ajeemera Katonda n'Omubakawe, n'asukka emsalosalo z'amateekage agenda ku muyingiza omuliro ogw'amaanyi ennyo, nga wakugubeeramu obugenderevu, era wa kufuna ebibonerezo ebinyoomesa."},{"id":15,"translation":"N'abo mu bakyala ba mmwe abakola obwenzi mubanoonyeze abajulizi bana (4) nga bava mu mmwe, bwebabawaako obujulizi olwonno abakyala abo mubasibire mu mayumba okutuusa okufa lwekulibatuukako, oba Katonda n'abateerawo ekkubo eddala."},{"id":16,"translation":"N'abo bombi mu mmwe ababa bakikoze mubabonerezenga, naye bwebeenenya nebalongoosa mubaleke, mazima Katonda akkiriza nnyo okwenenya musaasizi nnyo."},{"id":17,"translation":"Mazima okwenenya okukkirizibwa ewa Katonda (kwe yekakasaako okukukkiriza) kwe kwabantu abo abakola ebibi mu butamanya oluvannyuma nebeenenya mangu ddala abonno Katonda akkiriza okwenenya kwabwe, anti bulijjo Katonda amanyi nnyo era agoba nsonga."},{"id":18,"translation":"Okwenenya tekukkirizibwa mw'abo abakola ebibi okutuusa omu ku bbo obulumi bw'okufa lwe bumusemberera awo n'agamba nti kaakati nenenyezza, wadde abo abafa nga bagaanye okukkiriza, abo (bonna) twabategekera ebibonerezo ebirumya."},{"id":19,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temukkirizibwa kusikira bakyala lwampaka, era temubanyigirizanga mube nga mutwala ebimu kwebyo byemwabawa, mpozzi nga bakoze obwenzi obweyolefu, (bwekiba ssi ekyo) mukolagane nabo mu ngeri ennungi, bwe muba temukyabaagala, muyinza okutamwa ekintu ate Katonda n'akissaamu ebirungi bingi."},{"id":20,"translation":"Singa mwagadde okuwanyisa omukyala mu kifo ky\"omukyala omulala, omu ku bbo nga mwamuwa e mmaali empitirivu, temuggyangako kintu kyonna, okugitwala kuba bulimba era kyonoono kyeyolefu!!"},{"id":21,"translation":"Ate mugitwala mutya nga buli omu ku mmwe yamala dda okutuuka eri munne! (Abakyala abo) nebaggya ku mmwe endagaano ennywevu."},{"id":22,"translation":"Temuwawasanga abakyala ba kitammwe bebaawasako, okuggyako ebyo byemwakola emabega (nga temunnamanya tteeka lino) mazima ekikolwa ekyo kya buwemu, ekisunguwaza Katonda, era kkubo bbi."},{"id":23,"translation":"Temukkirizibwa okuwasa ba nnyammwe, ne bawala ba mmwe ne bannyina mmwe, neba senga mmwe, ne baganda ba bamaama ba mmwe, ne bawala ba baganda ba mmwe, ne bawala ba bannyinammwe, ne ba Maama ba mmwe abo abaabayonsa, nebannyinammwe bemwayonka ku bbeere erimu, ne ba nnazaala ba mmwe n’abaana abajja ne bannyabwe abo ababa bakulidde mu maka gammwe, nga bazaalibwa bakyala ba mmwe abo bemwegatta nabo, bwe muba temwegattangako nabo, temulina mutawaana, era temukkirizibwa baka batabani ba mmwe abo abava ku migongo gyammwe (abava mu ntunbwe zammwe), era temukkirizibwa kugatta wakati wa bakyala ab’oluganda okuggyako ebyo byemwakola edda emabega, anti bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi."},{"id":24,"translation":"Era temukkirizibwa kuwasa bakyala bafumbo okuggyako (abazaana) abo bemuba mufunye mu mikono gyammwe mu ngeri yo bufuge, tteeka lya Katonda lye yabalaalikako. Mukkirizibbwa okuwasa abatali abo, nga mukozesa emmaali yammwe. Mubafune mu bufumbo obutukuvu so ssi mu bwenzi, kye muba mwesanyusizza nabo, mubawe Amahare gaabwe, kiraalike. Temulina kibi kw'ekyo kyemuba mukkaanyizzaako oluvannyuma lw’okugereka Amahare. Mazima ddala Katonda bulijjo mumanyi nnyo ate agoba nsonga."},{"id":25,"translation":"N'oyo aba talina mu mmwe busobozi okuba nga awasa abaana baboobwe abakkiriza (Abasiraamu), awase mw'abo emikono gyammwe begyafuna nga eminyago mu bazaana ba mmwe abakkiriza, Katonda amanyidde ddala obukkiriza bwa mmwe, mwenna abamu bava mu bannaabwe. Wabula mubawase kasita bakama baabwe bakkiriza era mubawe Amahare gaabwe okusinziira ku kimanyiddwa wemuwangaalira, bateekeddwa okuba abensa nga si bamalaaya wadde ab'eteerawo baganzi baabwe, bwebaba bafumbiddwa ate nebakola obwenzi, mubasseeko kitundu kya kibonerezo, ekiweebwa abakyala abaana b'aboobwe. Ekyo nno (ekyokubawasa) ky'oyo aba atidde mu mmwe okugwa mu kibi ky'obwenzi, naye singa muba musobodde okugumiikiriza ekyo kyekisinga obulungi gyemuli, era bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi."},{"id":26,"translation":"Katonda ayagala abannyonnyole era abalunngamye eri enkola y’abo abaabakulembera, era akkirize okwenenya kwa mmwe. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo ate agoba nsonga."},{"id":27,"translation":"Era Katonda ayagala akkirize okwenenya kwa mmwe, ate bbo abagoberera okwagala gyabwe baagala muwuguke oluwuguka olunene ennyo."},{"id":28,"translation":"Katonda ayagala kubawewulirako, anti omuntu yatondebwa nga munafu."},{"id":29,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, temulyanga emmaali yammwe wakati wa mmwe mu bukyamu, okuggyako nga kubadde kusuubulagana nga kusinziira ku kukkaanya wakati wa mmwe, era temwetemulanga. Mazima Katonda bulijjo musaasizi ku mmwe."},{"id":30,"translation":"Omuntu akola ekintu ekyo mu bulumbaganyi n’obulyazaamaanyi, kyaddaaki tugenda kumuyingiza omuliro, era ekyo ku Katonda kigenda kuba kyangu."},{"id":31,"translation":"Bwemwewala ebyonoono ebyannaggomola bye mugaanibwa, tujja kubasangulako ebibi ebitonotono era tubayingize mu kifo ekirungi."},{"id":32,"translation":"Temwegombanga ebyo Katonda byeyasukkulumya nabyo abamu mu mmwe ku balala, Abasajja balina omugabo mw’ebyo byebaba bakoze, nga n’abakyala bwebalina omugabo mw'ebyo byebaba bakoze, era bulijjo musabe Katonda abawe ku birungibye, mazima Katonda mumanyi wa buli kintu."},{"id":33,"translation":"Nabuli omu twamuteerawo abasika abasikira ebyo abazadde ababiri n’aboluganda byebaba balese, n’abo bebyakakatako ebirayiro byammwe (ab'omukago), kale mubawe omugabo gwabwe, mazima ddala Katonda mujulizi ku buli kintu."},{"id":34,"translation":"Abasajja be balabirira Abakyala olw'enkizo Katonda gye yasukkulumya abamu ku bannaabwe, ne ku lw'emmaali Abasajja gye basasaanya, kale nno abakyala abalongoofu baba bawulize ku lwa Katonda, b'ekuumira ba bbaabwe. Kw'ekyo Katonda kye yabakuumisa. Bbo abo bemutya okuba nga bajeema mubabuulirire era mubasenguke mu buliri, era mubakubemu. Bwebaba babagondedde temulina kye mubavunaana, mazima Katonda waawaggulu nnyo wa kitiibwa."},{"id":35,"translation":"Bwe muba nga mutidde enjawukana wakati wa bafumbo ababiri, muweerezeeyo omutabaganya okuva ku ludda lw'omwami n’omutabaganya omulala okuva ku ludda lw'omukyala, bwebaba nga bombi bagenderera kulongoosa, Katonda ajja kukwanaganya wakati waabwe bombi. Mazima Katonda bulijjo amanyi nnyo ategeera buli kyonna ekikwata ku baddube."},{"id":36,"translation":"Era musinze Katonda awatali ku mugattako kintu kyonna, n’abazadde ababiri mubayise bulungi, bwekityo n’aboluganda, ne bamulekwa n’abanaku ne muliraanwa ow’okumpi, ne muliraanwa ow'ewala, ne munno ow'okulusegere n'omutambuze ali mu bwetaavu, n’abo emikono gyammwe begyafuna ng’eminyago, mazima Katonda tayagala muntu yeekuluntaza omwewulize."},{"id":37,"translation":"Abo beebo abakodowala nebalagira na bantu abalala okuba abakodo, nebakweka Katonda byeyabawa mu birungibye. Era Abatakkiriza Katonda twabategekera ebibonerezo ebinyomesa."},{"id":38,"translation":"(Era ebyo by'ebibonerezo) by'abo abawaayo emmaali yaabwe ku lwa bantu okubalaba, era nga tebakkiriza ِAllah wadde olunaku lw’e Nkomerero. Omuntu yenna Sitaane gw'abera nga ye munne, abeera wa mukwano mubi."},{"id":39,"translation":"Kiki ekyandibatuseeko singa bakkiriza Katonda n’olunaku lw’e Nkomerero, ne bagaba kw'ebyo Katonda bye yabagabira. Anti bulijjo Katonda amanyi ebibakwatako."},{"id":40,"translation":"Mazima Katonda talyazaamaanya wadde ekigero ky'akasekerezi, bwekiba kirungi akibazaamu anti bulijjo awa okuva gyali empeera ensukkulumu."},{"id":41,"translation":"Guliba gutya bwe tulireeta mu buli kibiina omujulizi, ggwe netukuleeta ng’omujulizi kw'abo."},{"id":42,"translation":"Ku lunaku olwo Abatakkiriza Katonda nebajeemera Omubaka balyegomba singa ettaka libamira, era tebalisobola kukweka Katonda kigambo kyonna."},{"id":43,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza temusembereranga e Sswala nga mutamidde,(okutuusa lwe gubaggwako) ne muba nga mutegeera bye mwogera (era temusembereranga e sswala) nga mulina Janaba okuggyako ayita obuyisi mu Muzigiti okutuusa nga munaabye, bwe muba abalwadde, oba nga muli mu lugendo, oba omu ku mmwe ng’avudde mu kumala ekyetaago (ekyobutonde) oba nga mwegasse n'abakyala, ne mutafuna mazzi, olwonno mwetukuze nga mukozesa ettaka ettukuvu, musiige ebyenyi byammwe n’ebibatu byammwe, mazima Katonda bulijjo addiramu era asonyiwa."},{"id":44,"translation":"Tolaba abo abaaweebwa omugabo mu kitabo, baasalawo okutwala obubuze era nebaagala nammwe mubulwe ekkubo."},{"id":45,"translation":"Bulijjo Katonda amanyi nnyo ebikwata ku balabe ba mmwe, Katonda amala okuba nga ye mukuumi, era Katonda amala okuba nga ye mutaasa."},{"id":46,"translation":"Mu Bayudaaya, mulimu abakyusa ebigambo ne babiggya mu bifo byabyo, nebaba nga bagamba nti tuwulidde era tujeemye. Wulira naye Katonda aleme kukuwuliza, era siriwala. Nga bakyusakyusa ebigambo n'ennimi zaabwe, n'oikuvvoola mu Ddiini. Singa bagamba nti tuwulidde era tugonze wulira era tugumiikirizemu, kyandibadde kirungi nnyo gyebali era nga kituufu, wabula Katonda yabakolimira olw'obutakkiriza bwabwe, tebakkiriza okuggyako kitono nnyo."},{"id":47,"translation":"Abange mmwe abaaweebwa ekitabo mukkirize ebyo byetwassa nga bikakasa ebyo byemulina, nga tetunnaba kukyusa byenyi netubizza emabega, oba netubakolimira nga bwetwakolimira abantu b’olunaku lwomukaaga. Ekigambo kya Katonda bulijjo kiteekwa okutuukirira."},{"id":48,"translation":"Mazima Katonda tasonyiwa kumugattako kintu kirala asonyiwa ebirala ebiri wansi w'ekyo kw'oyo gw'aba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekinti ekirala, mazima aba agunjizzaawo ekibi kinene nnyo."},{"id":49,"translation":"Tolaba abo abeetukuza! ekituufu kiri nti Katonda atukuza oyo gw'aba ayagadde, era tebagenda kulyazaamaanyizibwa wadde akawuzi akasangibwa kunsigo y'entede."},{"id":50,"translation":"Laba engeri gye batemerera Katonda obulimba, ekyo kimala bumazi okuba nti kibi eky'olwatu."},{"id":51,"translation":"Tolaba abo abaaweebwa omugabo mu kitabo, bakkiririza mu buli kisinzibwa ekitali Katonda era nebakkiririza mu Sitane, era nga bagamba abatakkiriza Katonda nti, abo ekkubo lyabwe ly’erisinga erya bakkiriza okuba ettuufu."},{"id":52,"translation":"Abo nno beebo Katonda beyakolimira, ate nga oyo yenna Katonda gw'akolimira, toyinza kumufunira mutaasa yenna."},{"id":53,"translation":"Nandiki balina omugabo gwonna mu bufuzi! bwekiba bwekityo tebandiwadde muntu yenna kantu konna nebwekandibadde kenkana akatuli k’omulamwa gwe ntende."},{"id":54,"translation":"Oba bakwatibwa ensalwa abantu olw'ebyengera Katonda byeyabawa (ategeeza Nabbi Muhammad n’abamukkiriza) mazima twawa aboolulyo lwa Nabbi Ibrahim ekitabo n’ebigambo ebyamagezi era netubawa obufuzi obugazi."},{"id":55,"translation":"(Ne mw'abo abaaweebwa omugabo mu kitabo) mulimu abakkiriza obubaka bwa Nabbi Muhammad, ate mulimu abaziyiza abantu okubukkiriza, kimala okuba nga Jahannama gwemuliro ogugenda okubookya."},{"id":56,"translation":"Mazima abo abaawakanya ebigambo byaffe, ddala tujja kubayingiza omuliro, buli lwe galisiriira amaliba g’emibiri gyabwe, nga tubassaako amaliba amalala, balyoke bakombe ku bibonerezo. Mazima Katonda bulijjo n'antakubwa ku mukono mugoba nsonga."},{"id":57,"translation":"Ate bbo Abakkiriza nebakola emirimu emirungi, tujja kubayingiza mu Jjana emigga gikulukutira wansi waazo, nga baakubeeramu lubeerera, balina mu zzo Abakyala abatukuvu era tugenda kubakkiriza batuule mu bisiikirize ebisaakaativu."},{"id":58,"translation":"Mazima Katonda abalagira okutuukiriza obuvunaanyizibwa eri bannyini bwo (abo bemuteekwa okubukolera), era bwe mutuula mu nsonga wakati w’abantu mubalamule mu bwenkanya, mazima Katonda kisuffu ky'abakalaatira, mazima Katonda bulijjo awulira ate alaba."},{"id":59,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza mugondere Katonda mugondere n’omubaka n’abakulembeze mu mmwe, bwe mufuna obutakkaanya ku nsonga yonna mugizze eri Katonda n’omubaka, bwe muba mukkiriza Katonda n'olunaku lw’e Nkomerero ekyo kyekirungi era kyekivaamu ebibala ebirungi."},{"id":60,"translation":"Tolaba abo abagamba nti bakkiriza ebyassibwa gy'oli, n’ebyassibwa oluberyeberye lwo, baagala okuba nga beramuza ebintu ebikyamu ebitali mu mateeka g’a Katonda, so nga baalagirwa okubiwakanya, era bulijjo Sitane ayagala ababuze olubula olusuffu."},{"id":61,"translation":"Bwebaba bagambiddwa nti mujje eri ebyo Katonda byeyassa, era mujje eri omubaka, olaba abannaanfuusi nga bakwewala olwewala."},{"id":62,"translation":"Butya nga batuukiddwako omuteeru gwonna olw'ebyo bye baakola, olwonno nebakujjira nga balayira Katonda nti, ekigendererwa kyaffe tekyabadde kirala kyonna okuggyako okulongoosa n'okutereeza."},{"id":63,"translation":"Abo nno beebo, Katonda baamanyi ebiri mu mitima gyabwe, n'olw'ekyo baawukaneko era obabuulirire, era obagambe ekigambo ekiggumivu ekinaabatuuka ku mitima."},{"id":64,"translation":"Tewali Mubaka yenna gwe twatuma okuggyako nga ateekwa kugonderwa kulw'obuyinza bwa Katonda, kale singa bbo awo webaalyazaamaanyira emyoyo gyabwe bajja gy'oli, nebeegayirira Katonda n’omubaka naabasabira ekisonyiwo ewa Katonda, baalisanze Katonda nga akkiriza okwenenya era nga wa kisa."},{"id":65,"translation":"Ndayidde Mukama Katonda wo tebayinza kubeera bakkiriza abannamaddala okuggyako nga ggwe gwebasalawo okubalamula mu buli kintu kyebaba bakaayaganyeko, ate nebatasigaza mu mitima gyabwe kunyolwa ku ngeri gy'oba osazeewo era nebakkiriza olukkiriza olulambulukufu."},{"id":66,"translation":"Singa mazima ddala ffe twalaalika ku bbo nti mwette, oba muve mu mayumba gammwe tebandikikoze okuggyako batono ku bbo, singa baakola ebyo ebibabuulirwa kyandibadde kirungi gyebali, era kyekyalisinze okubanywereza ku bukkiriza."},{"id":67,"translation":"Olwo nno twandibawadde okuva gyetuli empeera ensukkulumu."},{"id":68,"translation":"Era twalibalungamizza mu kkubo eggolokofu."},{"id":69,"translation":"Abantu abagondera Katonda n’omubaka, abo nno beebokubeera awamu naabo Katonda beyawa ebyengera mu ba Nabbi n’abakakasa mazima, n'abafiira mu ntalo z'e Ddiini n'abalongoofu. Abo balungi nnyo okuba nga be bantu b'obeera nabo."},{"id":70,"translation":"Obulungi obwo bwonna buva wa Katonda, kimala bumazi okuba nti Katonda amanyi byonna."},{"id":71,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza mubagalire eby'okulwanyisa byammwe, mutambulire mu bibinja, oba mutambulire wamu mwenna."},{"id":72,"translation":"Mazima mummwe mulimu abeegenyagenya (abasooba), nga singa mutuukwako obuzibu mu lutalo bagamba nti Katonda yannyambye okuba nti ssaabadde nabo mu lutalo."},{"id":73,"translation":"Naye ate singa muba mugonnomoddwako ebirungi okuva ewa Katonda, ajja kugamba nga walinga awatabangawo nkolagana wakati wa mmwe naye nti ye nga ndabye, singa nabadde nabo nenganyulwa oluganyulwa olunene."},{"id":74,"translation":"Bateekeddwa okulwana mu kkubo lya Katonda abo abalekawo obulamu obw'e Nsi nebatwala obw'e Nkomerero, oyo yenna alwanirira eDdiini ya Katonda n'amala attibwa, oba n'awangula, tugenda kumuwa empeera ensukkulumu."},{"id":75,"translation":"Ngeriki bwe mutalwana mu kutaasa Ddiini ya Katonda, n'okutaasa abanyigirizibwa mu basajja n'abakyala n'abaana, abo abalaajana: nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu Nsi eno, abatuuze baayo abalyazaamaanya abanyigiriza bannaabwe, otuteerewo okuva gy'oli omukuumi era otuteerewo okuva gy'oli omutaasa."},{"id":76,"translation":"Abo abakkiriza, balwana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, bbo abatakkiriza balwana mu kuweereza mu kubo ly'obubuze n'obwonoonefu, kale mulwanyise banne ba Sitane, anti bulijjo enkwe za Sitane nafu ddala."},{"id":77,"translation":"Tolaba abo abaagambwa nti mulekere awo okulwana, era muyimirizeewo e Sswala, era mutoole e Zakka, naye ate bwe baalagirwa okulwana, wagenda okulaba ng’abamu mu bbo batya abantu, nga balinga abatya Katonda. Si nakindi n’okusingawo, nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe lwaki otulaaliseeko okulwana, singa otulindirizzaako okumala akaseera katono, gamba Ggwe (Nabbi Muhammad) nti eby'okweyagala kw'e Nsi byabutaliimu, era enkomerero yennungi eri atya Katonda, era nga temugenda kulyazamanyizibwa wadde akabubi k'esigo y'e ntende."},{"id":78,"translation":"Wonna wemuba muli okufa kugenda kubatuukako, newaakubadde nga muli mu mizimbo eminywevu (bankers), abantu abamu bwe batuukwako ekirungi bagamba nti ekyo kivudde wa Katonda, so nga bwe batuukwako ekibi bagamba nti kino kivudde ku ggwe, Gamba (Ggwe Muhammadi) byonna biva wa Katonda, abantu abo bali kumpi babe nga tebategeera kintu kyonna."},{"id":79,"translation":"Buli kirungi ekikutuukako kiva wa Katonda, ate buli kibi ekikutuukako kiva ku ggwe kennyini, era twakutuma eri abantu nga oli Mubaka, bulijjo kimala okuba nga Katonda yemujulizi."},{"id":80,"translation":"Omuntu yenna agondera Omubaka mazima aba agondedde Katonda, n’omuntu ayawukana ku kumugondera tetukutumanga (Ggwe Muhammadi) kubera kalondoozi ku bbo."},{"id":81,"translation":"(Bwe babeera w'oli) bagamba nti bawulize gy'oli, naye bwebava w'oli ekitundu ku bbo nebasula nga basala entotto okwawukana ku bye bayogedde, era Katonda awandiika entotto zonna zebasula bakola, baveeko wekwate ku Katonda, bulijjo kimala okuba nga Katonda ye mukuumi."},{"id":82,"translation":"Abaffe, tebekkenneenya Kur’ani, singa yali teyava wa Katonda bandigisanzeemu okukontana kungi."},{"id":83,"translation":"Bwebajjirwa e kigambo e ky'emirembe oba e ky'entiisa bakiraalaasa, so singa bakizza eri Omubaka oba abakulembeze (abo abakwatibwako ensonga) mu bbo, bandikitegedde abo abalina obusobozi bw'okukenenula amakulu gaayo, singa tebyali birungi Katonda by'abawa n’okusaasira kwe mwandigoberedde Sitaane okuggyako abatono mu mmwe."},{"id":84,"translation":"Kale nno lwana ng’oweereza mu kkubo lya Katonda, towalirizibwa (kutwala muntu yenna ku lutalo) okuggyako mwoyo gwo. Bbo Abakkiriza bakubirize (okulwana) olwo nno Katonda abe nga akomya akabi k'abo abaakaafuwala, bulijjo Katonda y’asinga amaanyi era y’asinga okubonereza."},{"id":85,"translation":"Omuntu akolerera munne afune e kirungi naye afunako omugabo, n’omuntu akolerera munne atuukweko e kibi atukwako e kibi ky'ekyo. Bulijjo Katonda yennyini muyinza ku buli kintu."},{"id":86,"translation":"Bwe muba nga mulamusiddwa n'ekiramuso kyonna mwanukule nga n'ekiramuso ekisingako ku kkyo obulungi, oba mwanukuze n'ekyo kyennyini kye babalamusizza nakyo, bulijjo Katonda asobolera ddala okubala buli kintu."},{"id":87,"translation":"Katonda omutuufu ateekeddwa okusinzibwa ali omu tewali kintu kyonna kisaana kusinzibwa okuggyako ye, mazima ddala agenda kubakunngaanya ku lunaku lw’e Nkomerero tewatali kulubuusabuusaamu, ate bulijjo ani ayogera amazima okusinga Katonda!"},{"id":88,"translation":"Lwaki mwetemyemu mu bannaanfusi ebibinja bibiri (mubalinako e ndaba ya mirundi ebiri), so nga Katonda olw'ebyo bye bakola yabavuunika (nebadda mu bukafiiri) kaakati mmwe mwagala kulunngamya oyo Katonda gwe yabuza oyo yenna Katonda gw'abuza tosobola kumufunira kkubo erimutuusa ku kulunngama."},{"id":89,"translation":"Beegomba nnyo okuba nga mukaafuwala (muwakanya Katonda ne bye yassaako) nga bwe baakaafuwala, olwo nno mufaanagane, temuggya mu bbo ab'emikwano beppo nga basenguse mu kkubo lya Katonda, naye bwe batakikola mubakwate, mubatte wonna wemubagwikiriza, temuggya mu bbo wa mukwano yenna wadde omutaasa."},{"id":90,"translation":"Okuggyako abo ababa baddukidde eri abantu bemulina nabo endagaano (eyobutatabaalagana), oba abo abajja gyemuli nga bawulira bubi okubalwanyisa, oba okulwanyisa abantu baabwe, singa Katonda yayagala yandibabawendulidde nebabalwanyisa. Bweba nga babeesambye nebatabalwanyisa, era nebalangirira emirembe gyemuli, nammwe Katonda kasekeso konna kubalwanyisa (mu buli ngeri yonna tabakkiriza kubalwanyisa)."},{"id":91,"translation":"Ate mujja kusanga abalala nga bbo baagala babe mirembe nammwe, mu kiseera ky'ekimu babe mirembe n'abantu baabwe, buli wonna webaddizibwa eri obukafiiri (obutakkiriza Katonda) babubbinkiramu. Bwebaba tebabavuddeeko era nebalangirira e mirembe ku mmwe, nebaziyiza e mikono gyabwe kummwe, (abo) mubakwate era mubatte wonna wemubagwikiriza, era twabawa olukusa olujjuvu kw'abo okubakolako."},{"id":92,"translation":"Omukkiriza yenna tekimugwanira kutta mukkiriza yenna, okuggyako mu butanwa. Oyo yenna atta omukkiriza mu butanwa ateekwa okuta omuddu omukkiriza, nga ateekwa n'okusasula olufuubanja eri abantu b'omufu okuggyako nga bamusonyiye, singa abadde wa mu bantu bemulina nabo obulabe nga ate ye Mukkiriza, olwo omussi ateekwa okuta omuddu Omukkiriza, naye singa abadde wa mu bantu bemulina nabo endagaano yobutatabaalagana olufubanja luteekwa okuweebwa eri abantu be okwo nga ogasseeko okuta omuddu Omukkiriza, omuntu aba tasobodde kufuna lufuubanja lw'awaayo ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, ebyo bikolebwa kulw'okusaba Katonda ekisonyiwo. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga."},{"id":93,"translation":"Omuntu atta Omukkiriza mu bugenderevu empeera ye muliro Jahannama, wakugubeeramu lubeerera, era Katonda yamusunguwalira, n'amukolimira, era n'amutegekera ebibonerezo ebiyitirivu."},{"id":94,"translation":"Abange mmwe abakkiriza bwe muba nga mutambudde mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, mwetegerezenga, omuntu bwabatooleranga ssalaamu temumugamba nti toli mukkiriza, nga mululunkanira eby'okufuna by'e Nsi (bwegiba minyago) ewa Katonda weewali eminyago emingi, ebyo byemwagala okukola so nno nga nammwe olubereberye bwemutyo bwe mwali, Katonda nabagonnomolako e kyengera (kyo bukkiriza) n'olw'ekyo muteekwa okwetegereza, anti mazima Katonda bulijjo amanyi nnyo bye mukola."},{"id":95,"translation":"Abatagenda ku lutalo mu bakkiriza nga tebalina kisonyiyisa tebayinza kwenkana n'abo abalwana mu kkubo lya Katonda nga bawaayo emmaali yaabwe n’obulamu bwabwe, Katonda yasukkulumya eddaala abalwana mu kkubo lye nga bakozesa emmaali yaabwe n’obulamu bwabwe ku batagenda mu lutalo. Nabuli bamu Katonda yabalagaanyisa okubasasula e birungi. Naye Katonda yasukkulumya abalwana mu kkubolye ku batagenze mu lutalo, nga agenda kubasasula empeera ensuffu."},{"id":96,"translation":"Ebyo byonna nga kuliba kusitulwa madaala nakusonyiwa nakusaasira ebiriva eri Katonda, bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi."},{"id":97,"translation":"Mazima abo ba Malayika be batuusaako okufa nga balyazaamaanya emyoyo gyabwe, ba Malayika babagamba nti mubadde muli kuki, bbo nebaddamu nti tubadde tunyigirizibwa mu Nsi (ba Malayika) nebagamba nti abaffe e Nsi ya Katonda teyali ngazi nemusengukako, abo nno obuddo bwabwe muliro Jahannama era nga buddo bubi ddala."},{"id":98,"translation":"Okuggyako abo abanyigirizibwa mu basajja n'abakazi n'abaana abatalina busobozi, era nga tebamanyi kkubo lye bakwata."},{"id":99,"translation":"Abo nno mazima Katonda abasonyiwa, bulijjo Katonda alekera era musonyiyi nnyo."},{"id":100,"translation":"Oyo yenna asenguka mu kkubo lya Katonda afuna mu Nsi obw'ekyusizo (ebifo bingi eby'okubudamamu) n'obulamu obulungi), omuntu aleka amaka ge naasenguka ku lwa Katonda n'Omubaka we naye n'afa (nga tannatuuka) empeera ye eba emaze okukakata ewa Katonda, Katonda bulijjo musonyiyi musaasizi."},{"id":101,"translation":"Bwe mubanga mutambudde mu Nsi, si kibi okuba nga musala ku Sswala kavuna mwekengera nga abo Abatakiriza Katonda bayinza okubatuusaako akabi, anti bulijjo Abakkiriza Katonda balabe ba mmwe ab'olwatu."},{"id":102,"translation":"Ggwe (Nabbi Muhammad) bw'obanga mu lutalo n’abakkiriza, n'obakulembera mu kusaala, ekibinja ekimu ku bbo kiyimiriranga n'awe musaale, era nga babagalidde eby'okulwanyisa byabwe, bwe bamala okuvunnama bagende bayimirire emabega wa mmwe ate ekibinja ekirala abatannasaala bajje babe nga basaala n'awe, bateekeddwa okuba obulindaala nga babagalidde eby'okulwanyisa byabwe, abo Abatakkiriza Katonda bandyagadde singa mugayaalirira eby'okulwanyisa byammwe n'ebintu byammwe, nebabagwako ekiyiifuyiifu tewali kibi ku mmwe bwe muba nga mulina obuzibu olw'enkuba oba nga mubadde balwadde okuba nga mussa wansi eby'okulwanyisa byammwe naye era mubeere bulindaala, mazima Katonda yategekera Abatakkiriza ebibonerezo ebinyomesa."},{"id":103,"translation":"Bwemumaliriza e Sswala, mutendereze Katonda mu kuyimirira ne mu kutuula ne mu kugalamira, ate bwemuba mu mirembe musaale e Sswala mu ngeri eyaabulijjo. Mazima e Sswala yalaalikibwa ku Bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere."},{"id":104,"translation":"Temunafuwa nga mu kulondoola omulabe, bwe muba nga mulumwa mazima nabo balumwa nga bwe mulumwa, ate nga mmwe musuubira ewa Katonda bbo kye batasuubira, bulijjo Katonda amanyi nnyo era mugoba nsonga."},{"id":105,"translation":"Mazima ffe twassa gy'oli ekitabo lw'amazima, obe nga olamula wakati w’abantu nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era towolerezanga abakumpanya."},{"id":106,"translation":"Era weegayirire Katonda okukusonyiwa, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi nnyo."},{"id":107,"translation":"Towakanira abo abeelyazaamanya, bulijjo Katonda tayagala muntu mukumpanya omukozi w'ebibi."},{"id":108,"translation":"Beekweka abantu kyokka nebateekweka Katonda, so nga bulijjo aba nabo awo webasula nga abayiiya ebigambo by'atayagala, ate nga bulijjo Katonda yetoolodde bye bakola."},{"id":109,"translation":"Abaffe mmwe beebo ababawakanira mu bulamu obwensi kati ani aliboogerera ewa Katonda ku lunaku lw'okuzuukira! oba ani alibeera omweyimirize waabwe!"},{"id":110,"translation":"Omuntu akola ekibi oba neyeryazaamanya kyokka neyeegayirira Katonda okumusonyiwa, asanga Katonda nga musonyiyi nnyo musaasizi nnyo."},{"id":111,"translation":"Omuntu akola ekibi aba akyekoledde, bulijjo Katonda mumanyi nnyo agoba nsonga."},{"id":112,"translation":"Ate omuntu akola ekisobyo, oba ekyonoono ate n'akitemerera atakikoze, mazima aba yeetisse ekikolwa eky'obulimba era nga kibi eky'olwatu."},{"id":113,"translation":"Singa si kisa kya Katonda n'okusaasirakwe by'akulinako, (Ggwe Muhammad) ekibiina mu bbo ky'aliyagadde okukubuza, byonna bye bakola beebuza bokka, tebayinza kukutuusako kabi konna Katonda yakussaako ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebya magezi (Hadith) era nga yakumanyisa n'ebyo byewali tomanyi era bulijjo e birungi bya Katonda byakuwa bingi nnyo."},{"id":114,"translation":"Obufubo bwabwe obusinga obungi temuli kalungi, okuggyako oyo alagira abantu okusaddaaka oba obuntu bulamu oba okutabaganya wakati w’abantu, omuntu akola ebyo nga anoonya kusiima kwa Katonda tugenda kumuwa empeera ensukkulumu."},{"id":115,"translation":"N'omuntu ayawukana ku Mubaka oluvannyuma lwo bulunngamu okumweyoleka, n'akwata ekkubo eritali lya bakkiriza tumulekera ekyo ky'aba asazeewo, era tugenda kumukasuka mu muliro Jahannama, obwo nno buddo bubi ddala."},{"id":116,"translation":"Mazima Katonda tasonyiwa ku mugattako kintu, so nga asonyiwa ekiri wansi w'ekyo eri oyo gw'aba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu aba abuze olubula olw'ewala ennyo."},{"id":117,"translation":"Byonna byebasinza ebitali ye masanamu gebaatuuma amannya ag’ekikazi, era ddala tebainza okuggyako Sitane eyeewaggula."},{"id":118,"translation":"Katonda yagikolimira era n'egamba nti nkulayirira nja kutwala ekitundu ekiwera mu baddubo."},{"id":119,"translation":"Ndayira njakubabuliza ddala, era ndayira nja kubawanga ebisuubizo ebyobulimba, era ndayira nja kubalagirira ddala bawummule amatu g’ebisolo ebirundibwa era ndayira nja kubalagirira nga ddala bakyuse entonda ya Katonda. N’omuntu afuula Sitane mukwanogwe n'aleka Katonda mazima aba afaafaganiddwa olufaafaganirwa olw'olwatu."},{"id":120,"translation":"(Sitane) abalagaanyisa n'abawa n’ebisuubizo ebyo bulimba, Sitane byonna by'abalagaanyisa tebiri okuggyako bya butaliimu."},{"id":121,"translation":"(Abagoberera Sitane) abo obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era nga tebagenda kufuna buddukiro kuguwona."},{"id":122,"translation":"N'abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu tujja kubayingiza e jjana nga emigga jikulukutira mu zzo, baakuzibeeramu obugenderevu, eyo nga ndagaano ey’amazima Katonda gy'abawadde, ate ani asinga Katonda okwogera ebigambo eby’amazima."},{"id":123,"translation":"(Okuyingira e Jjana) tekigenda kusinziira ku kwagala kwa mmwe oba abaaweebwa e kitabo kye baagala, (enkola eri nti) omuntu akola ekibi kiri musasulwa, era nga oggyeko Katonda talifuna mukuumi yenna wadde omutaasa."},{"id":124,"translation":"N’omuntu akola emirimu emirongoofu k'abe musajja oba mukazi nga mukkiriza, abo nno baakuyingira e Jjana, era tebagenda kulyazaamaanyizibwa wadde mu kantu akatono."},{"id":125,"translation":"Ani asinga e Ddiini e nnungi okusinga oyo aba yeewadde ewa Katonda, era nga mukozi wa birungi, era n'agoberera e nkola ya Ibrahim e yobutakkiririza mu bisinzibwa byonna ebitali Katonda omu, era nga Katonda yafuula Ibrahim mukwano gwe owenjawulo."},{"id":126,"translation":"Era bya Katonda byonna ebiri mu Ggulu omusanvu ne Nsi, era bulijjo Katonda amanyi ekifa ku buli kintu."},{"id":127,"translation":"Bakubuuza ku nsonga za bakyala, bagambe nti Katonda ajja kubaanukula ebikwata ku bakyala, era nga bw'ajja okubategeeza ebibasomerwa mu kitabo (Kur’ani) ku nsonga za bamulekwa abakyala, abo bemutawa ekyo ekiteekwa okubaweebwa (Amahare), ate nemwagala okubawasa era abategeeza ebikwata ku baana abato abateesobola, era nga bw'ajja okubategeeza nti muteekwa okukola ku nsonga z’a bamulekwa mu bwesimbu, era mukimanye nti e kirungi kyonna kye mukola Katonda akimanyidde ddala."},{"id":128,"translation":"Omukyala bwe yekengera mu bba okumwematira, oba okumusuulawo, si kibi ku bombi okukola ekiyinza okubatabaganya era (bulijjo) okutegeeragana kwekusinga obulungi. Naye omuntu bulijjo yatonderwa ku mulugube, naye singa mulongoosezza nemutya Katonda, bulijjo Katonda bye mukola abimanyi nnyo."},{"id":129,"translation":"Wabula temugenda kusobola kukola bwenkanya wakati wa bakyala (obuli 100%) ne bwe muba nga kye mwandi yagadde, wabula temubasuulira ngawo ddala, omukyala nemumuleka nga alengejja nga omuwanike, naye singa mutegeeraganye, era nemutya Katonda, mazima bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi."},{"id":130,"translation":"Naye (omwami n'omukyala abafumbo) singa baawukana buli omu Katonda ajja kumumalira ebyetaagobye nga ajja mu bigabwabye e bingi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mu buli kimu era agoba nsonga."},{"id":131,"translation":"Byonna ebiri mu Ggulu omusanvu n'ebiri mu Nsi bya Katonda, era mazima twalaamira abo abaaweebwa ekitabo olubereberye lwa mmwe, nammwe netubalaamira nti mutye Katonda, wabula bwemugyema mazima ddala bya Katonda ebyo ebiri mu Ggulu omusanvu n'ebiri mu Nsi. Era bulijjo Katonda talina kye yeetaaga era atenderezebwa."},{"id":132,"translation":"Era bya Katonda ebyo ebiri mu Ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu Nsi. Era kimala Katonda okubeera eyeesigamirwa."},{"id":133,"translation":"(Okukakasa ekyo) singa aba ayagadde asobola okubaggyawo abange mmwe abantu n'aleeta abalala, bulijjo Katonda kw'ekyo musobozi."},{"id":134,"translation":"Omuntu ayagala empeera y’oku Nsi, Katonda yaafuga empeera y’oku Nsi n'eyoku Nkomerero bulijjo Katonda awulira era alaba nnyo."},{"id":135,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mubeere abanywerera ku bwenkanya, abajulira ku lwa Katonda, ensonga nebw'eba ekwata ku mmwe mwennyini, oba abazadde bombi, n'aboluganda olw'okumpi (aweebwako obujulizi) kaabe mugagga oba mwavu bombi bantu ba Katonda okusinga okuba nti ba mmwe, kale nno temugoberera okwagala kwa mmwe nemutakola bwenkanya. bwe munaakyusa amazima oba nemugaana okuwa obujulizi, mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala bye mukola."},{"id":136,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mukkirize Allah n’Omubakawe, n’ekitabo kyeyassa ku Mubakawe, era n’ekitabo kyeyassa olubereberye, oyo yenna atakkiriza Allah ne ba Malayika be n'ebitabo bye n’ababaka be n’olunaku lw’e Nkomerero aba abuze olubula oluyitirivu."},{"id":137,"translation":"Mazima abo abakkiriza, ate nebawakanya, ate nebakkiriza, oluvannyuma nebawakanya, ate nebeeyongerera ddala obuwakanyi, Katonda si wakubasonyiwa wadde okubalunngamya eri ekkubo e ggolokofu."},{"id":138,"translation":"Sanyusa abannaanfuusi nga obategeeza nti balina ebibonerezo ebirumya."},{"id":139,"translation":"(Abannaanfuusi) abo abafuula abatakkiriza mikwano gyabwe, nebaleka abakkiriza, abaffe baba babanonyaako kitiibwa! Mazima bulijjo ebitiibwa byonna bya Katonda."},{"id":140,"translation":"Nga ate mazima (Katonda) yassaako mu kitabo nti bwe muwuliranga ebigambo bya Katonda nga biwakanyizibwa, era nga bijolongwa (bijeejebwa) temutuulanga wamu n'abo abakola ekyo okutuusa lwebadda ku mboozi endala, (ate nga mazima ddala bulijjo kimanyiddwa nti) mazima Katonda agenda kukunngaanya abatakkiriza n’abannaanfuusi bonna abayingize omuliro Jahannama."},{"id":141,"translation":"(Era Abannaanfuusi) beebo bulijjo abalindirira ekintu ekinaatuuka ku mmwe, bwemufuna obuwanguzi okuva ewa Katonda bagamba nti abaffe tetwabadde nammwe, ate abatakkiriza bwebaba nga balina omugabo gwonna gwe bafunye (ng'obuwanguzi) bagamba nti tetwabayambye netubataasa ku bakkiriza, wabula Katonda agenda kulamula wakati wa mmwe ku lunaku lw’e Nkomerero, ate nga Katonda tagenda kuwa Batakkiriza kkubo lye bayinza kuwanguliramu Bakkiriza."},{"id":142,"translation":"Mazima Abannaanfuusi bakwenyakwenya Katonda, kale naye abakwenyakwenya, era bwebayimirira okusaala bayimirira nga bagayaavu, nga bagenderera kulaga bantu era tebatendereza Katonda okuggyako katono nnyo."},{"id":143,"translation":"Ba nampa wengwa (wakati wa Bakkiriza n'abatakkiriza) nga tebayinza kubalibwa ku bali oba ku bano, bulijjo omuntu Katonda gw'abuza tayinza kumufunira kkubo. (limutuusa eri obulunngamu)."},{"id":144,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temufuula nga abatakkiriza mikwano gyammwe nfiira bulago nemuleka abakkiriza, abaffe mwagala muteekowo eri Allah obujulizi obubalumika obweyolefu."},{"id":145,"translation":"Mazima Abannaanfuusi bagenda kubeera ku mwaliiro ogusemberayo ddala wansi mu muliro, ate nga togenda kubafunira mutaasa yenna."},{"id":146,"translation":"Okuggyako abo abeenenya, nebalongoosa, nebekwata ku Katonda, nga n'emirimu gyabwe bagikola kulwa Katonda yekka, abo nno bagenda kuba wamu n’abakkiriza. Ate nga Katonda abakkiriza agenda kubawa empeera ensukkulumu."},{"id":147,"translation":"Singa mwebaza Katonda, era nemukkiriza, ate olwo Katonda aliba ababonerereza lwaki! ate nga bulijjo Katonda mwebaza era mumanyi nnyo."},{"id":148,"translation":"Allah tayagala kwatuukiriza kigambo kibi (ku muntu) okuggyako oyo aba alangiddwa obwereere, bulijjo Allah awulira era amanyi nnyo."},{"id":149,"translation":"Bwe mwolesa ekirungi, oba ne mukikweka, oba ne musonyiwa abayisizza obubi, mazima bulijjo Allah alekera, Muyinza nnyo."},{"id":150,"translation":"Mazima abo abajeemera Allah n’Ababaka Be, ne bagezaako okwawula wakati wa Allah n’Ababaka Be, era ne bagamba nti tukkirizaako abamu abalala tetubakkiriza, ne baagala okuteekawo ekkubo wakati w'ebyo ebibiri, (babe nga mwebatambulira)."},{"id":151,"translation":"Abo nno be batakkiriza abannamaddala. Era nga abatakkiriza twabategekera ebibonerezo ebinyoomesa."},{"id":152,"translation":"Ate abo abakkiriza Allah n'Ababaka Be ne batayawula wakati w’omu kubo, abo nno Allah agenda kubawa empeera yaabwe, bulijjo Allah Musonyiyi Waakisa nnyo."},{"id":153,"translation":"Abaaweebwa Ekitabo bakusaba okuba nga obassiza Ekitabo okuva mu ggulu, ate nga mazima kye baasaba Musa kyali kinene okusinga ekyo, bwe baagamba nti tulage Allah mu bweyolefu. Olw'okweyisa kwabwe okubi laddu yabakuba (ate oluvanyuma Allah yabaddiza obulamu), ate ne beeteerawo ennyana ne bagisinza, so nga obunnyonyofu bwali bwabajjira dda, ekyo nno nakyo twakisonyiwa, so nga ate twali twawa Musa obujulizi obwenkukunala (obukakasa obwannabbi bwe)."},{"id":154,"translation":"Ne tusitulira waggulu waabwe olusozi, bwe bataagoberera, Ndagaano gye twabakozesa nti baali bateekwa okugoberera (enjigiriza ya Tawulaati) ne tubagamba nti muyingire omulyango gw’ekibuga (Bait Makdis) nga muvunnamye (kye bataakola) era twabalagira obutavuba ku lunaku Olw'omukaaga (Ekiragiro kye baamenya) era twabakozesa Endagaano enzito."},{"id":155,"translation":"Ekyabatuusa kw'ebyo kwe kuba nti baamenya endagaano zaabwe, n’okuwakanya Amateeka ga Allah, n’okutta kwabwe Bannabbi ekitaali kituufu, era n'olwokugamba kwabwe nti, emitima gyaffe mizibikivu, ekituufu kiri nti Allah yagibikka olw'obukaafiiri bwabwe, tebayinza kukkiriza okuggyako ekitono ennyo."},{"id":156,"translation":"Era ne ku lw'obutakkiriza bwabwe, n’okutemerera Mariamu ekigambo ekinene."},{"id":157,"translation":"Era ne kulw'ekigambo kyabwe bwe baagamba nti: Mmazima ffe twatta Masiya Yisa Mutabani wa Mariamu Omubaka wa Allah, so nga tebaamutta, wadde okumukomerera ku musaalaba, wabula kyabalabikira nga abasse yye, naye mazima ddala abaayawukana mu nsonga eno bali mu kubuusabuusa ku bigikwatako, tebalina bukakafu ku yo wabula okugoberera okuteebereza, naye nga ddala tebaamutta."},{"id":158,"translation":"Wabula Allah yamusitula n’amutwala Gy'ali, era bulijjo Allah Ye Nnantameggwa Mugobansonga."},{"id":159,"translation":"Mazima tewali n’omu mw'abo abaaweebwa Ekitabo okuggyako nga agenda kumukkiriza nga tannafa, nga ne ku Lunaku lw’Enkomerero agenda kubawaako obujulizi."},{"id":160,"translation":"Olw'okweyisa obubi kwa Abayudaaya, twaziza ku bo ebirungi ebyali bibakkiriziddwa, n'olwokwekiika kwabwe mu Kkubo lya Allah."},{"id":161,"translation":"Ne kulw'okutwalanga kwabwe Riba, so nga baagigaanibwa, ne ku lw'okulya kwabwe emmaali y’abantu mu bukyamu, era twateekerateekera abatakkiriza mu bo ebibonerezo ebirumya."},{"id":162,"translation":"Wabula abamanyi ba kakensa mu bo n’Abakkiriza ebyassibwa gy'oli, n'ebyassibwa olubereberye lwo, era abayimirizaawo esswala, nebawaayo ne zzaka, era Abakkiriza Allah n’Olunaku lw'Enkomerero, abo nno tugenda kubawa mpeera ensukkulumu."},{"id":163,"translation":"Mazima ffe twakuwa ggwe (Nnabbi Muhammadi) Obubaka nga bwe twawa Nuuhu Obubaka, ne Bannabbi bangi oluvanyuma lwe, era twawa Ibraahiimu Obubaka ne Ismail ne Isihaaka ne Ya'kuubu ne bazzukulu be, ne Yisa ne Ayyuubu ne Yunusu ne Haaruuna ne Sulaiman, ne Dauda ne tumuwa Zabbuli."},{"id":164,"translation":"Waiiwo Ababaka abamu be twakunyumiza edda ate nga Ababaka abalala tetwabakunyumiza, era mazima Allah yayogera ne Musa olwogera (nga tewali Mubaka wakati waabwe)."},{"id":165,"translation":"Ababaka abo bonna bajjanga nga bawa amawulire agasanyusa, nga n'abandi bawa amawulire agalabula, abantu baleme kuba na byekwaso ku Allah kasita yamala okubatumira Ababaka. Bulijjo Allah Ye Nnantakubwakumukono Mugobansonga."},{"id":166,"translation":"(Ekyo kimala abantu okuba nga naawe bakukkiriza naye Abayudaaya n’ababafaanana bwe baba nga tebakukkirizza) kasita Allah akakasa nti (Ekitabo) ekyassibwa ku ggwe kyassibwa ku lwa kumanya kwa Allah n’okusalawo Kwe ne Bamalayika ekyo kyennyini kyebbakakasa, naye nga bulijjo Allah yeemalirira okuwa obujulizi n’okukakasa ekintu kyonna."},{"id":167,"translation":"Mazima abo abaawakanya ne bassa emisanvu mu Kkubo lya Allah, ddala baabula olubula oluyitirivu."},{"id":168,"translation":"Mazima abo abaawakanya era nebeeyisa obubi, Allah talibasonyiwa wadde okubalunngamya mu Kkubo."},{"id":169,"translation":"Mpozzi ekkubo erigenda mu Muliro Jahannama gwe balibeeramu obugenderevu, era bulijjo ekyo ku Allah kyangu nnyo."},{"id":170,"translation":"Abange mmwe abantu, Omubaka yabajjira nga aleeta amazima okuva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe, kale mukkirize, ky'ekirungi gyemuli, naye bwe munaawakanya mazima ddala ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi bya Allah, bulijjo Allah Mumanyi nnyo agoba nsonga."},{"id":171,"translation":"Abange mmwe abaaweebwa Ekitabo, temusukkanga ekyetaagisa, nga mutuukiriza eddiini yammwe, era temwogeranga ku Allah okuggyako amazima, mazima ddala Masiya Yisa mutabani wa Mariamu Mubaka wa Allah, era Kigambo Kye, kye yawa Mariamu, era mwoyo ogwava Gy'ali. Kale temugambanga nti basatu, ekyo mukikomye, ky'ekirungi gyemuli, mazima ddala omusinzibwa ali Katonda Omu, yayawukana (tasaana) kuba na mwana, bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi , bulijjo kimala okuba nti Allah y’ayimiriddeko ensonga ya buli kintu."},{"id":172,"translation":"Masiya tayinza wekuluntaza butayagala kuba muddu wa Allah, wadde Bamalayika abali kumwanjo nabo tebayinza butakyagala, oyo yenna atayagala kuyitibwa muddu wa Allah ne yeekuluntaza, (Allah) ajja kubazuukiza bonna abazze Gy'ali ku Lunaku lw'Enkomerero."},{"id":173,"translation":"Kale nno abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi, Allah ajja kubasasula empeera y’emirimu gyabwe mu bujjuvu, ate abongere n’ebirungi ebirala ebiva Gy'ali, naye abo abawakanya ne bawaganyala, abo alibabonereza n'ebibonerezo ebirumya ennyo, ate tebalifunayo atali Allah nga mukwano gwabwe wadde nga mutaasa."},{"id":174,"translation":"Abange mmwe abantu mazima obubonero obwenkukunala bwabajjira, era nga twassa gyemuli ekitangaala ekyeyolefu (Kulaani)."},{"id":175,"translation":"Bo abakkiriza Allah ne benywereza ku Yye, abo nno agenda kubayingiza (Ejjana) nga kusaasira okuva Gy'ali (era alibawa) ebigabwa (ebirala), era abalunngamyenga eri ekkubo eribatuusa Gy'ali, nga kkubo ggolokofu."},{"id":176,"translation":"Bakubuuza (ggwe Nnabbi Muhammadi) ku muntu afa n'ataleka bazadde oba abaana wabula nga alese baganda be, gamba nti: Allah ajja kubannyonnyola ebikwata ku kusikira omuntu oyo, omuntu bw'afa nga talina mwana, naye nga alina mwannyina, oyo afuna kimukyakubiri kw'ebyo by'aba alese, era naye asikira mwannyina singa (Mwannyina afa) nga talese mwana, bannyina bwebaba babiri bafuna bibiribyakusatu kw'ebyo byaba alese, bwebaba baganda be nga basajja na bakazi, omusajja afuna omugabo gwa bakazi babiri, Allah abannyonnyola (Amateeka Ge) mube nga temubula, bulijjo Allah Mumanyi Wa buli kintu."}]},{"id":5,"verses":[{"id":1,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza mutuukirizenga endagaano, mukkirizibwa okulya ennyama y’ebisolo ebiriibwa byonna okuggyako ebinaabasomerwa, ate nga temukkirizibwa kuyigga nga muli mu mizizo gya (Hijja oba Umurah) mazima Allah asalawo ky'aba ayagadde."},{"id":2,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Halaali ebyo Allah byeyabalambikira nti biri Haraamu, era nga bwe mutaasanye kukyusa myezi gya mizizo ne mugifuula egyokulwaniramu, era temwekiikanga mu kkubo ly'ebirabo ebiba bireetebwa e Makkah wadde ensolo ennambe nga za birabo, wadde abantu abagenda okulambula Ennyumba ey’emizizo, ababa bagenda okunoonya obulungi n’okusiima okuva ewa Katonda Waabwe, naye bwe muba musumulukuse okuva mu mizizo gya (Hijja ne Umurah) olwonno muyiggenga. Olwokuba nti abantu baabaziyiza okutuuka ku muzikiti ogw’emizizo, tekibatuusanga okubayisa obubi, era muyambaganenga ku kukola obulungi n’okutya Katonda, so temuyambagananga ku kukola ebibi n’obulumbaganyi, era mutye Allah, mazima Allah Muyitirivu Wa bibonerezo."},{"id":3,"translation":"Kifuuliddwa kya muzizo kummwe okulya ennyamanfu n’omusaayi (Kaffecce) n'ennyama y’embizzi n’ekyo ekiba kyogereddwakoerinnya eritali lya Allah nga kisalibwa, n’ekifudde olw’okukubwa, n’ekifudde olwokugwa, n’ekitomeddwa kinnaakyo, n’ekiriiriddwako ensolo enkambwe, okuggyako kye muba mwanguyidde ne mukisala, era muziyiziddwa okulya ennyama y’ebisolo ebiba bisaliddwa olwokubiwongera atali Katonda Omu ateekwa okusinzibwa, era muziyiziddwa okweraguza nga mukozesa obusaale. Okukola ekimu kw'ebyo, buba bujeemu, olwaleero abo abaakaafuwala tebakyalina ssuubi kubalemesa Ddiini yammwe, kale temubatya, mutye Nze. Olwaleero mbajjulizza Eddiini yammwe, era ne mbajjuliza ebyengera Byange, era ne mbasiimira Obusiraamu okuba nga y'eddiini (yammwe) kale nno omuntu eyeesanga mu buzibu obw'enjala, so si lwa kugenderera kumenya tteeka (naamala alya ku bigaaniddwa), mazima Allah Musonyiyi Waakisa."},{"id":4,"translation":"Bakubuuza ggwe (Nnabbi Muhammadi) ebibakkirizibwa (okulya), gamba nti mukkirizibwa okulya ebirungi, era (mukkirizibwa) n’okulya ebyo ebikwatiddwa ebiyigga bye mutendese ne muyigiririza ddala okusinziira nga Allah bwe yabayigiriza, bwe kiba bwekityo mulye kw'ebyo bye bibakwatira, era mubyogerereko Erinnya lya Allah (nga mubisindika okugenda okukwata ensolo) era mutye Allah, anti mazima Allah mwangu wa kubala."},{"id":5,"translation":"Olwaleero mukkirizibwa okulya e birungi, nga era n'ennyama esaliddwa abaaweebwa Ekitabo bw'ekkiriziddwa gyemuli, n'ennyama yammwe ekkiriziddwa gye bali, era mukkirizibwa okuwasa ab'ensa mu bakyala abakkiriza nga bwemukkiriziddwa abakyala ab'ensa mw'abo abaaweebwa Ekitabo olubereberye lwammwe, kavuna mubawa Amahare gaabwe nga mubawasa mu bufumbo obutukuvu, so si mu bwenzi wadde okuba nti mubatwala nga bakyala bammwe ab'ebbali, n'omuntu atakolera ku mateeka ga Bukkiriza emirimu gye giba gimufudde, era nga ku Lunaku lw’Enkomerero agenda kubeera mu bafaafaaganiddwa."},{"id":6,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, bwe muba mugenda okusaala muteekeddwa okunaaba ebyenyi byammwe, n’emikono gyammwe okutuusa mu nkokola, era musiige ku mitwe gyammwe, munaabe n’ebigere byammwe okutuuka ku bukongovvule, bwe muba nga mulina Janaba muteekeddwa okunaaba naye bwe mubanga abalwadde, oba nga muli ku lugendo, oba omu ku mmwe nga avudde mu kumala ekyetaago eky'obutonde, oba ne mukwata ku bakyala (mumbera ezo zonna) nemutafuna mazzi, kale nno, mutayammame, nga mukozesa ettaka eddungi, (ekyo mukikola) nga musiiga ku byenyi byammwe n’emikono gyammwe, Allah tayagalangako kubateerawo bukalubo bwonna, naye ayagala kubatukuza era abajjulize ekyengera kye musobole okubeera nga mwebaza."},{"id":7,"translation":"Era mujjukire ekyengera kya Allah kye yabawa ne Endagaano Ye gye yabakozesa bwe mwagamba nti tuwulidde era tugonze. Era mutye Allah, anti mazima Allah amanyidde ddala ebyo ebiri mu bifuba."},{"id":8,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mubeere beesimbu ku lwa Allah, nga muwa obujulizi mu bwenkanya, abantu okuba abalabe bammwe, tekibawugulanga ne mutakola mazima, bulijjo mukole obwenkanya, ekyo ky'ekiri okumpi n'okutya Allah, era mutye Allah, mazima Allah amanyidde ddala bye mukola."},{"id":9,"translation":"Allah yalagaanyisa abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, nti balina ekisonyiwo nempeera ensukkulumu."},{"id":10,"translation":"N'abo abaawakanya ne balimbisa Ebigambo Byaffe, abo be bantu b'Omuliro."},{"id":11,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mujjukire ekyengera kya Allah kye yabawa, abantu abamu bwe baayagala okugolola emikono gyabwe (babalwanyise), n'aziyiza emikono gyabwe ku mmwe, era bulijjo mutye Allah, Allah Yekka Abakkiriza Gwe bateekeddwa okwesiga."},{"id":12,"translation":"Mazima Allah yakozesa abaana ba Yisirayiri Endagaano, era ne tuggya mu bo abakulembeze kkuminababiri, Allah n'agamba nti mazima nja kuba wamu nammwe, bwe munaayimirizaawo esswala, ne mutoola zzaka, ne mukkiriza Ababaka Bange, era ne mubawagira, era ne muwola Allah oluwola olulungi, nja kubasonyiwa ebyonoono byammwe, mbayingirize ddala Ejjana ezikulukutiramu emigga, naye oyo yenna aliwalanya mu mmwe oluvannyuma lw'ekyo, aliba abuze okuva ku kkubo ettuufu."},{"id":13,"translation":"Olw'okumenya kwabwe Endagaano twabakolimira, emitima gyabwe ne tugifuula emikakanyavu ne baba nga bakyusa ebigambo okubiggya ku makulu gaabyo amatuufu, ne basuula ekitundu kinene kw'ebyo ebyabayigirizibwa, bulijjo ojja kugwanga ku nkwe zaabwe okuggyako abatono mu bo, kale basonyiwe era olekere, anti bulijjo mazima Allah ayagala abakozi b’obulungi."},{"id":14,"translation":"Era abamu kw'abo abeeyita Abanaswara twabakozesa Endagaano, era nabo baasuula ekitundu kinene kw'ebyo ebyabayigirizibwa, ne tussa wakati waabwe obulabe n’obukyayi okutuusa Olunaku lw’Enkomerero, olwo nno Allah alyoke abategeeze byonna bye baakolanga."},{"id":15,"translation":"Abange mmwe abaaweebwa Ekitabo, mazima Omubaka Waffe yabajjira abategeeze bingi bye mwali mukweka mu Kitabo, mu ngeri y'emu asonyiwe bingi, mazima ekitangaala kyabajjira n’Ekitabo ekyeyolefu okuva eri Allah."},{"id":16,"translation":"Allah alunngamya nakyo mu kkubo ery'emirembe oyo aba agoberedde okusiima Kwe, era naabaggya mu bizikiza nga abazza eri ekitangaala ku lw'okwagala Kwe, era n'abalunngamya ku Kkubo eggolokofu."},{"id":17,"translation":"Mazima baafuuka abawakanyi abo abaagamba nti ddala Masiya mutabani wa Mariamu ye Katonda, gamba (Ggwe Muhammadi) nti ani ayinza okukolawo ekintu kyonna singa Allah aba asazeewo okuzikiriza Masiya mutabani wa Mariamu ne maama we, n’abantu bonna abali ku nsi, obufuzi bw'eggulu n'ensi na byonna ebiri wakati wa byombi, bwa Allah, atonda ky'aba ayagadde, era Allah bulijjo Muyinza Wa buli kintu."},{"id":18,"translation":"Era Abayudaaya n'Abakulisitaayo baagamba nti ffe tuli baana ba Katonda era mikwano Gye, bagambe nti ate lwaki alibabonereza olw'ebyonoono byammwe, ekituufu kiri nti mmwe muli bantu ng'abalala be yatonda, asonyiwa gw'aba ayagadde, era n'abonereza gw'aba ayagadde, era obufuzi bw'eggulu (omusanvu) n'ensi na byonna ebiri wakati wa byombi bya Allah, ate nga Gy'ali y'eri obuddo."},{"id":19,"translation":"Abange mmwe abaaweebwa Ekitabo, mazima Omubaka Waffe abajjidde nga abayigiriza oluvannyuma lw'okuyitawo akaseera nga tewali Mubaka, muleme kugamba nti tetwajjirwa atuwa mawulire ga ssanyu ag’Ejjana oba okututiisa Omuliro, ekituufu kiri nti yabajjira oyo abawa amawulire ag'essanyu, era nga abatiisa n’Omuliro . Bulijjo Allah Muyinza ku buli kintu."},{"id":20,"translation":"Era mujjukire Musa bwe yagamba abantu be nti abange, bantu bange, mujjukire ekyengera Allah kye yabawa bwe yabassaamu ba Nnabbi (abangi), era mmwe n'abawa obuyinza era n'abawa ebintu by'ataawa muntu mulala yenna mu bitonde."},{"id":21,"translation":"Abange bantu bange (mulwane) muyingire ensi entukuvu eyo Allah gye yabalagaanyisa, temukyukanga ne mukubayo amabega (ne mudduka) ne mufuuka abafaafaaganiddwa."},{"id":22,"translation":"Ne bagamba nti owange Musa mazima ensi eyo, erimu abantu bakirimaanyi, era mazima tetuyinza kuyingira mpozzi nga bagifulumye, bwe bagifuluma olwo ffe nga tuyingira."},{"id":23,"translation":"Abasajja babiri mw'abo abatya allah, nga era Allah yabawa ekyengera ky'Obukkiriza ne bagamba nti: Mubalumbe nga muyita ku mulyango omunene, bwe muyingira mazima ddala mujja kuwangula, naye Allah Yekka Gwe muba mwekwatako, bwe muba nga muli Bakkiriza."},{"id":24,"translation":"Ne bagamba nti owange Musa, mazima ffe tetujja kukiyingira ebbanga lye banaamala nga bakyakirimu, ggwe ne Katonda Wo mugende mulwane ffe tusigadde wano."},{"id":25,"translation":"(Musa) n'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, mazima nze sifuga okuggyako omwoyo gwange ne muganda wange, lamula wakati waffe ne wakati w’abantu aboonoonyi."},{"id":26,"translation":"Allah (n’alamula) wakati waabwe n'agamba nti: Ekyokuyingira kibagaaniddwa okumala emyaka ana, gye baamala nga babulubuutira mu nsi, n’olwekyo tewennyamira olw'abantu abajeemu."},{"id":27,"translation":"Era basomere mu bulambulukufu ebikwata ku baana ba Adamu ababiri bwe baawaayo Saddaaka, ey’omu nekkirizibwa, ate ey’omulala n’etakkirizibwa, kwe kugamba nti nja kukuttira ddala (ye oli) n'agamba nti mazima ddala Allah akkiriza mirimu gy'abo bokka abamutya."},{"id":28,"translation":"(Naye) bw'onongalulira omukono gwo onzite, nze sigenda kukugalulira mukono gwange kukutta, mazima nze ntya Allah Omulabirizi W’ebitonde."},{"id":29,"translation":"Mazima nze njagala ogende n’ekibi kyange n’ekikyo (singa onzita), olwo nno obeere mu bantu b'omu Muliro, era nga bulijjo eyo y'empeera y’abantu abeeyisa obubi."},{"id":30,"translation":"Omwoyo gwe (omubi) ne gumusalirawo okutta muganda we, era n'amutta n'abeera mu baafaafaaganirwa."},{"id":31,"translation":"Olwonno Allah n’asindika Nnamuŋŋoona eyajja nga asima ettaka olwonno amulage engeri gy'anaaziikamu omulambo gwa muganda we, n'agamba nti mbadde ki nze? nnemeddwa okukola nga nnamuŋŋoona bwakoze, mbe nga nziika omulambo gwa muganda wange, awo n'atandika okubeera mu bejjusa."},{"id":32,"translation":"Okusinziira ku ekyo twassa Etteeka ku baana ba Yisirayiri nti mazima oyo atta omuntu atatemudde muntu, oba atakoze bwonoonefu mu nsi, mazima ddala aba nga asse abantu bonna, ate ataasa obulamu bw'omuntu omu aba ng'ataasizza obulamu bw'abantu bonna, (ebyo Abayudaaya baalibadde babitegeera) anti mazima Ababaka Baffe baabaleetera Amateeka amannyonnyofu, naye ate oluvannyuma lw'ekyo mazima bangi ku bo baasigala beeyisa bubi mu nsi."},{"id":33,"translation":"Mazima ddala empeera y’abo abalwanyisa Allah n’Omubaka We nebasaasaanya obwonoonefu mu nsi, (ekibonerezo kyabwe) kuttibwa, kukomererwa ku musaalaba, oba emikono n'amagulu gaabwe kutemwako mu ngeri y’okuwaanyisibwa (nga bwe bamutemako omukono ogwa dddyo, okugulu bamutemako kwa kkono) oba bawaŋŋangusibwe okuva mu nsi yaabwe, ekyo nno nga kubakkakkanya kuno ku nsi era nga ne ku Lunaku lw'Enkomerero bagenda kutuusibwako ebibonerezo ebikakali."},{"id":34,"translation":"Okuggyako abo abeenenya nga temunnabakwata, era mumanye nti mazima ddala Allah Musonyiyi nnyo Omusaasizi."},{"id":35,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mutye Allah era munoonye ekkubo erituuka Gy'ali, era munyiikire nnyo mu kuweereza mu Kkubo Lye, ekiribayamba okubeera mu balituuka ku buwanguzi (ku Lunaku lw’Enkomerero)."},{"id":36,"translation":"Mazima abo abaawakanya singa mazima byonna ebiri mu nsi n’ebiringa byo nga obitadde wamu ne baagala okwenunula nabyo okuwona Ebibonerezo by’Olunaku lw’Enkomerero, tebyandikkiriziddwa okuva gyebali, era baakussibwako ebibonerezo e birumya ennyo."},{"id":37,"translation":"Balyagala okufuluma Omuliro naye tebaligufuluma, bagenda kutuukibwako ebibonerezo eby'olubeerera."},{"id":38,"translation":"Omubbi omusajja n'omubbi omukazi mubatemeko emikono gyabwe bombi, nga mpeera (kibonerezo) yeekyo kyebakoze, era nga kyakulabirako ekyassibwawo Allah ekikanga abalala, bulijjo Allah ye Nnantakubwakumukono Mugobansonga."},{"id":39,"translation":"Oyo yenna eyeenenya oluvannyuma lw'okweyisa kwe obubi n'alongoosa, mazima Allah akkiriza okwenenya kwe, anti bulijjo mazima Allah Musonyiyi Musaasizi."},{"id":40,"translation":"Tomanyi nti mazima ddala obufuzi bw'eggulu (omusanvu) n'e nsi bwa Allah, abonereza gw'aba ayagadde ate n'asonyiwa gw'aba ayagadde, bulijjo Allah Muyinza ku buli kintu kyonna."},{"id":41,"translation":"Owange ggwe Omubaka, tebakunakuwazanga abo abavuganya mu kuwakanya(obwannabbi bwo), mu abo aboogera n'emimwa gyabwe nti tukkirizza so nga emitima gyabwe tegikkiriza. Ne mu Bayudaaya abakkiriza ebigambo by'obulimba, era abawuliriza kulw'abantu abalala ababa tebazze mu nkuŋŋaana zo ne bakyusa e bigambo okubiggya mu bifo byabyo nga bagamba (bannaabwe nti), bwe muweebwa kino mukitwale, bwekitabaweebwa mwekeke, naye Allah gw'aba ayagadde okugezesa toyinza kumuyamba mu kintu kyonna ewa Allah, abo beebo Allah b'ataayagala kutukuza mitima gyabwe, obuswavu buli ku bo kuno ku nsi, era ne ku Lunaku lw’Enkomerero bagenda kussibwako ebibonerezo ebikambwe."},{"id":42,"translation":"Bawuliriza ebigambo eby'obulimba, balya emmaali gye bafuna mu makubo aga haraamu, singa bajja gy'oli (ggwe Muhammadi) lamula wakati waabwe oba baveeko, bwoba obavuddeko tebagenda kukutuusaako kabi, naye bw'obanga osazeewo okubalamula, lamula wakati waabwe n'obwenkanya, anti bulijjo Allah ayagala abakola obwenkanya."},{"id":43,"translation":"Naye lwaki basalawo ggwe obalamule, nga ate balina Tawulaati erimu okulamula kwa Allah, ate oluvannyuma ne bagikuba amabega, abo si bakkiriza (n'akatono)."},{"id":44,"translation":"Mazima ffe twassa Tawulaati nga erimu obuluŋŋamu n'ekitangaala, Bannabbi ba Abayudaaya era nti beewaayo eri Katonda, nga gye bakozesa okulamula Abayudaaya, nga ne bannaddiini n'abakugu mu ddiini nga gye balamuza olw'obwesigwa obwabakwasibwa nga buva mu Kitabo kya Allah babe nga bakuuma Tawulaati, era ku ekyo baali bajulizi kale nno temutyanga abantu, mutye Nze, Ebigambo Byange temubiwanyisangamu omuwendo omutono, era oyo yenna atalamuza ebyo Allah bye yassa, abo nno be bakaafiiri abannamaddala."},{"id":45,"translation":"Era (mu Tawulaati eyo) twabalaalikako nti mazima omuntu attibwa olw'okutta omuntu, n’eriiso liggyibwamu olw’okuggyamu eriiso, nennyindo esalwako olw'okusala ennyindo y'omulala, n'okutu kusalwako olw'okusala okutu kw'omuntu, n'erinnyo balikuulamu olw'okukuula erinnyo ly'omuntu, n'ebiwundu bisasulwa. Wabula omuntu akisonyiwa kimubeerera ensonga y'okumusonyiwa ebibi bye. Era bulijjo omuntu yenna atalamuza Allah bye yassa abo nno be bantu abeeyisa obubi."},{"id":46,"translation":"Mu buwufu bwabwe (Abayudaaya) twagoberezaako Yisa Mutabani wa Mariamu nga akakasa ebyo ebyamukulembera ebiri mu Tawulaati, era yajja nga buluŋŋamu, era eky'okubuulirira eri abo abatya Katonda."},{"id":47,"translation":"Kale nno abantu b'Enjiri bateekeddwa okulamuza ebyo Allah bye yassa mu yo, omuntu yenna atalamuza ebyo Allah bye yassa abo nno be boonoonyi."},{"id":48,"translation":"Era twassa gy'oli (ggwe Muhammadi) Ekitabo, mu bulambulukufu nga kikakasa Ebitabo byonna e byakikulembera era nga kye kibisukkulumye. Kale lamula wakati waabwe nga okozesa ebyo Allah bye yassa naye togezaako okugoberera okwagala kwabwe obe nga oleka amazima agakujjidde, buli bamu mu mmwe twabawa amateeka n'enkola. Singa Allah yayagala yaalibafudde ekibiina kimu naye yayagala okubgezesa olw'ebyo bye yabawa, kale nno muvuganye mu kukola ebirungi. Eri Allah we wali obuddo bwammwe mwenna, gy'alibategeereza ebyo bye mwayawukanangamu."},{"id":49,"translation":"Era lamula wakati waabwe nga okozesa ebyo Allah bye yassa, togobereranga okwagala kwabwe era beegendereze baleme kukuggya ku bimu ku ebyo Allah bye yassa gy'oli, bwe baba bakoze ekikontana n'ekyo, manya nti mazima Allah ayagala okubavunaana olw'ebimu ku byonoono byabwe, wabula bulijjo abantu abasinga obungi boonoonyi."},{"id":50,"translation":"Ennamula y’ebiseera by'obutamanya gye baagala okukozesa! Ani ayinza okuwa okulamula okulungi okusinga okwo okuva ewa Allah eri abo abakozesa amagezi gaabwe mu butuufu!."},{"id":51,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Abayudaaya n'Abakulisitaayo mikwano gyammwe egy'omunda, anti abamu ba nfa nfe b’abalala. Oyo yenna abafuula mikwano gye mu mmwe, mazima yye aba afuuse waamubo, anti mazima Allah taluŋŋamya bantu balyazaamaanyi."},{"id":52,"translation":"Ojja kulaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga babeeyunira nga bagamba nti (ekitukozesa kino) tutya okuba nga tutuukibwako ekitutuusaako obuzibu, naye lumu Allah alireeta obuwanguzi oba ekintu kyonna okuva Gy'ali, balikeesa enkya nga bejjusa olw'ebyo bye baakweka mu mitima gyabwe."},{"id":53,"translation":"Ate bo abakkiriza baligamba nti abo be baalayira Allah nga bakakasa ebirayiro byabwe, bwe baagamba nti mazima ddala bo bali wamu nammwe, bye baakola byonna byabasala, olwo nno ne baba nga bafaafaaganiddwa."},{"id":54,"translation":"Abange mmwe abakkiriza oyo yenna anaava mu Ddiini ye akimanye nti Allah alireeta abantu (abalala) b'ayagala nga nabo bamwagala, abakkakkamu mu maaso ga Abakkiriza, nga baakitiibwa mu maaso ga Abakaafiiri, nga beewaayo mu kuweereza mu Kkubo lya Allah, era nga tebatya kunenya kwa munenyi yenna, ebyo birungi bya Allah abiwa gw'aba ayagadde, bulijjo Allah Mugazi mu buli kintu, Mumanyi nnyo."},{"id":55,"translation":"Mazima Mukwano Gwammwe Owoomunda Ye Allah, n’Omubaka We n'abo abakkiriza, abo abayimirizaawo esswala ne batoola zzaka, era nga bakutama ku maviivi (ne basaala)."},{"id":56,"translation":"Oyo yenna asalawo mukwano gwe ow’omunda okuba Allah n'Omubaka We, n'abo abakkiriza, bulijjo ekibiina kya Allah ky'ekyabawanguzi."},{"id":57,"translation":"Abange abakkiriza temukwananga abo abaafuula Eddiini yammwe eky'olusaago era ekyokuzannyisa mu abo abaaweebwa Ekitabo olubereberye lwa mmwe n’abakaafiiri ne mubafuula banywanyi aboomunda. Bulijjo mutye Allah bwe muba nga muli Bakkiriza."},{"id":58,"translation":"(Mmwe) bwemukoowoola abantu okujja okusaala bakitwala nga kya kusaaga era nga kya muzannyo, bakola batyo lwakuba nti ddala bo bantu abatategeera."},{"id":59,"translation":"Gamba nti: Abange mmwe abaaweebwa Ekitabo, abaffe waliwo ensonga lwaki mutunyiigira okuggyako olw'okuba nti tukkiriza Allah n'ebyo ebyassibwa gyetuli, n'ebyo ebyassibwa olubereberye era ne olw'okuba nti abasinga mu mmwe boonoonyi."},{"id":60,"translation":"Gamba nti: Abaffe mbategeeze oyo alifuna empeera esinga okuba embi ewa Allah? Be bantu Allah be yakolimira n'abasunguwalira, abamu ku bo n'abafuula enkobe n'embizzi n’abamu ne basinza Sitaane, abo nno be balina ekifo ekisinga obubi era be basinga okubula okuva ku Kkubo ettuufu."},{"id":61,"translation":"Bwe bajja gyemuli bagamba nti tukkirizza naye mazima bayingira n’obukaafiiri era ne bafuluma nabwo, Allah amanyi nnyo byonna bye bakweka."},{"id":62,"translation":"Ogenda n'olaba nga bangi mu bo banguyirira nnyo okukola ekibi n'obulumbaganyi n’okulya kwabwe ebya Haraamu, kibi nnyo kye bakola."},{"id":63,"translation":"Waakiri singa bannaddiini n'abakugu mu kumanya eddiini babakomako ku bigambo ebibi n’okulya emmaali eya Haraamu, kibi nnyo kye bakola."},{"id":64,"translation":"Abayudaaya baagamba nti: Omukono gwa Katonda mukolige, emikono gyabwe gye gyakoligibwa, ne bakolimirwa olw'ebyo bye baayogera, ekituufu kiri nti Emikono Gye gyombiriri myanjulukufu agaba nga bw'ayagala, ebyo ebyassibwa gy'oli okuva ewa Mukama Katonda Wo bijja kwongerera ddala bangi mu bo obubuze n'obukaafiiri, era twassa wakati waabwe obulabe n'obukyayi okutuusa ku Lunaku lw'Enkomerero, buli lwonna lwe bakoleeza omuliro gw’olutalo nga Allah aguzikiza, era basaasaanya mu nsi obwonoonefu, naye bulijjo Allah tayagala boonoonyi."},{"id":65,"translation":"So singa ddala abaaweebwa Ekitabo bakkiriza ne batya Allah twandibasonyiye ebyonoono byabwe, era twandibayingizza Ejjana ey’ebyengera."},{"id":66,"translation":"Era mazima singa bo bayimirizaawo Tawulaati ne Enjiri na byonna ebyassibwa gye bali okuva ewa Katonda Waabwe, bandiridde okuva waggulu waabwe ne wansi w'ebigere byabwe, mu bo mulimu abantu abeesimbu naye abangi mu bo bye bakola bibi."},{"id":67,"translation":"Owange ggwe Omubaka, tuusa gyebali ebyo ebyassibwa gy'oli okuva ewa Katonda Wo, bw'otookikole ojja kuba totuukirizza Bubaka Bwe (totya) Allah ajja kukukuuma ku bantu, mazima Allah taluŋŋamya kibiina kya bakaafiiri."},{"id":68,"translation":"Gamba nti: Temulina kyemuliko okuggyako nga muyimirizzaawo Tawulaati ne Enjiri na byonna ebyassibwa gyemuli okuva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe. Ebyo ebyassibwa gy'oli okuva ewa Mukama Omulabirizi Wo bijja kwongera bangi mu bo obubuze n'obukaafiiri, tonakuwala olw'abantu abakaafiiri."},{"id":69,"translation":"Mazima abo abakkiriza, n'Abayudaaya ne ba Swabi-uuna (be bantu abataasinza bintu bitali Allah omu so nga ate tebaalina ddiini yava mu ggulu yonna gye baaliko) n'Abakulisitaayo, oyo yenna eyakkiriza Allah n'Olunaku lw’Enkomerero n'akola emirimu emirungi (abo) tebalina kutya era tebagenda kunakuwala."},{"id":70,"translation":"Twakozesa abaana ba Yisirayiri Endagaano era ne tubatumira Ababaka wabula buli Omubaka lwe yabajjiranga n’ebyo emyoyo gyabwe bye gitayagala nga ekitundu bakirimbisa nga ate abalala babatta."},{"id":71,"translation":"Baalowooza nti ekyo tekijja kuvaako mutawaana, naye ne bafuuka bamuzibe era bakiggala, oluvannyuma Allah yakkiriza okwenenya kwabwe, ate bangi mu bo baddamu ne bafuuka bamuzibe era bakiggala, Allah bulijjo alaba bye bakola."},{"id":72,"translation":"Mazima baawakanya abo abaagamba nti ddala Katonda ye Masiya mutabani wa Mariamu, nga ate Masiya yagamba nti abange abaana ba Yisirayiri musinze Katonda Mukama Wange era nga Ye Mukama Wammwe, mazima ddala oyo agatta ku Katonda ekintu ekirala Katonda yamuziyizaako okuyingira Ejjana, nga obuddo bwe Muliro. Era abalyazaamaanyi tebagenda kuba na mutaasa yenna."},{"id":73,"translation":"Mazima baawakanya abo abagamba nti mazima ddala Allah y'omu ku basatu (abakola Katonda omu) ekituufu kiri nti tewali musinzibwa yenna okuggyako Katonda Omu era bwe bateekomeko ku bye boogera, abo abatakkiriza bajja kutuukwako Ebibonerezo ebirumya."},{"id":74,"translation":"Abaffe, tebayinza kwenenyeza Allah ne bamusaba okubasonyiwa. Ate nga bulijjo Allah Musonyiyi Musaasizi."},{"id":75,"translation":"Masiya mutabani wa Mariamu tagea mu kiti kirala kyonna okuggyako okuba nti Mubaka wa Allah era nga ddala Ababaka bangi baamukulembera, ne Maama we yali mukazi Mukkiriza ow'amazima bombi baalyanga emmere, tunula olabe engeri gye tubannyonnyolamu ebigambo ate tunula olabe engeri gye bawugulwa."},{"id":76,"translation":"Gamba (Ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Abaffe musinza ebintu ebitali Allah, ebitayinza kubatuusaako kabi konna wadde ekirungi, ate nga Allah Yye bulijjo awulira era amanyi nnyo."},{"id":77,"translation":"Gamba (Ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Abange mmwe abaaweebwa Ekitabo temusukkanga ekigero ekyetaagisa nga mukola mu ddiini yammwe eby'obutaliimu, era temugobereranga okwagala kw’abantu, abaasooka abaabula era ne babuza n’abantu bangi, era ne babulira ddala okuva ku kkubo eggolokofu."},{"id":78,"translation":"Abaakaafuwala mu baana ba Yisirayiri baakolimirwa ku lulimi lwa Dauda ne Yisa Mutabani wa Mariamu, ekyo nno kyava ku kujeema kwabw,e era nga bulijjo baasukkanga era balina okukoma."},{"id":79,"translation":"Tebeekomangako ku mize gye baakolanga, kibi ddala ekyo kye baakolanga."},{"id":80,"translation":"Olaba bangi mu bo nga bafuula abakaafiiri mikwano gyabwe egy'omunda, kibi nnyo emyoyo gyabwe kye gyabasalirawo ekyatuusa Allah okubasunguwalira era nga baakutuula bugenderevu mu bibonerezo."},{"id":81,"translation":"Singa baali bakkiriza Allah ne Nnabbi n’ebyassibwa gy'ali tebandibafudde mikwano gyabwe egy'omunda, naye bangi mu bo boonoonyi."},{"id":82,"translation":"Ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'obulabe eri abo abakkiriza be Bayudaaya n'abo abagatta ku Allah ebintu ebirala era ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'omukwano ogw'okumpi eri abo abakkiriza beebo abagamba nti mazima ffe tuli Bakulisitaayo, ekyo nno lwakuba nti mazima ddala mu bo mulimu abayivu mu by'eddiini, na Basosolodooti era n'olwokuba nti bo tebeekuluntaza."},{"id":83,"translation":"Bwe baba bawulidde ebyassibwa ku Mubaka, olaba amaaso gaabwe nga gakulukusa amaziga olw'amazima ge baba bategedde ne bagamba nti: Ayi Mukama Katonda Waffe tukkirizza tuwandiike mu bajulizi."},{"id":84,"translation":"Tuyinza tutya obutakkiriza Allah ku mazima gano agamaze okutujjira! Ate nga era tuyaayaanira okuba nga Mukama Omukuumi Waffe atuyingiza Ejjana awamu n'abantu abalongoofu."},{"id":85,"translation":"Bw'atyo Allah n'abasasula ku lw'ebyo bye baayogera (n'abayingiza) Ejjana ezikulukutiramu emigga, mwe balibeera olubeerera era eyo y'empeera y’abakozi b’obulungi."},{"id":86,"translation":"N'abo abaawakanya ne balimbisa Ebigambo Byaffe, abo be bantu b'Omuliro."},{"id":87,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temuzizanga ebirungi ebyo Allah bye yabakkiriza, mu ngeri y'emu temusukkanga ensalo z'ebyo Allah bye yabagaana, bulijjo mazima Allah tayagala basukka nsalo (z’Amateeka Ge)."},{"id":88,"translation":"Era mulye kw'ebyo Allah bye yabagabirira, mw'ebyo ebyakkirizibwa ate nga birungi, era mutye Allah oyo mmwe Gwe mukkiriza."},{"id":89,"translation":"Allah tabavunaana olw'ebirayiro byammwe byemulayira mu butali bugenderevu, naye abavunaana lw'ebyo bye muba mukakasizza. (E kirayiro omuntu ky'alayira nga akakasa bw'akimenya), omutango gwakyo kuliisa abanaku kkumi nga baliisibwa emmere gyemuliisa abantu abo mu daala eryo mu makkati, (mu kitundu kyammwe) oba okubambaza, oba okuta omuddu. Omuntu aba tafunye ekimu ku ebyo ateekwa okusiiba ennaku ssatu. Ogwo nno gwe mutango gw’ebirayiro byammwe bye munaalayiranga, mwegendereze nnyo okulayira kwammwe. Bwatyo Allah bw'abannyonnyola Ebigambo Bye, musobole okubeera abeebaza."},{"id":90,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, mazima ddala omwenge ne zzaala, n'amasanamu n’okweraguza, n’obusaale bibi bya mu bikolwa bya Sitaane, muteekwa okubyewala kibayambe okuba mu balituuka ku buwanguzi (ku Lunaku lw’Enkomerero)."},{"id":91,"translation":"Mazima ddala Sitaane eyagala okussa wakati wammwe obulabe n’obukyayi nga eyita mu mwenge ne zzaala, era ebawugule ku kutendereza Allah n’okusaala, abaffe ebikolwa e byo munaabireka?"},{"id":92,"translation":"Era mugondere Allah, mugondere n’Omubaka mwewalire ddala e bikolwa ebibi, bwemutakola mutyo olwo nno mumanye nti mazima ddala Omubaka Waffe ky'ateekwa okukola, ky'ekyokutuusa Obubaka mu lwatu."},{"id":93,"translation":"Abo abakkiriza ne bakola e mirimu emirungi tebavunaanwa ku lw'ebyo bye baalya oba bye baanywa edda, kasita batya Allah ne bakkiriza, ne bakola emirimu emirungi ate ne batya Allah ne bakkiriza ate ne batya Allah era ne beeyisa bulungi, bulijjo Allah ayagala abeeyisa obulungi."},{"id":94,"translation":"Abange mmwe abakkiriza (bwe munaabeeranga mu mikolo gya Hijja ne Umura) Allah ajja kubagezesa n’ensonga y’okuyigga ebisolo nga bibali kumpi nnyo mubikwata n’emikono gyammwe, era nga mubifumita n'amafumu gammwe olwo nno Allah alyoke ayoleke oyo amutya mu mmwe, awamu n’okuba nti tamulabako. Naye oyo yenna anaamenya Etteeka lino oluvanyuma lw’okumanya bino agenda kutuusibwako ebibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":95,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temuyigganga, nga muli mu mizizo gya Hijja oba Umrah, oyo yenna mu mmwe atta e kisolo kyo muttale nga agenderedde, ateekwa okuwa omutango, nga awaayo mu nsolo e zirundibwa e yenkana neeri gyeyasse, (nga ekyo okukituukako), kisalibwawo abantu babiri abeesimbu mu mmwe, ekyo nga kirabo e kiteekwa okutuusibwa ku Kaaba. Bwekitaba ekyo, ateekwa okuwa omutango gwokuliisa abanaku, oba okusiiba e nnaku ezenkana omutango ogwo, ebyo byonna biri bwebityo alyoke abe nga akomba ku bukaawu bwekikolwa kye yetantala. Byo e byakulembera Katonda yabisonyiwa, naye oyo addamu Katonda agenda kumubonereza, bulijjo Allah nantakubwa ku mukono asobola okubonereza oyo gw'aba asazeewo okubonereza."},{"id":96,"translation":"Mukkirizibwa okuvuba n'okulya e biva mu nnyanja ku lw'okuyimirizaawo obulamu bwammwe, n'obwabatambuze, naye mugaaniddwa okuyigga ku lukalu ebbanga lye mumala nga muli mu mizizo gya Hijja ne Umura, bulijjo mutye Allah Oyo nga Gy'ali gye mulikunganyizibwa."},{"id":97,"translation":"Allah yassaawo Kaaba Ennyumba ey'emizizo nga y’eyimiriddeko entambuza y’ebintu byonna ebikwata ku bantu era n'ateekawo emyezi egy'emizizo n’ebisolo ebitonebwa, n'ebisolo ebirekebwa nga birambiddwa ebyo byonna bibayambe okumanya nti mazima ddala Allah amanyi ebyo byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi, era nti mazima ddala Allah bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu."},{"id":98,"translation":"Muteekeddwa okumanya nti mazima Allah Muyitirivu Wa Bibonerezo era nga ddala bulijjo Allah Musonyiyi Musaasizi."},{"id":99,"translation":"Omubaka talina kyavunaanwa, okuggyako okubatuusaako Obubaka, era bulijjo Allah amanyi bye mukola mulwatu ne bye mukweka."},{"id":100,"translation":"Gamba (ggwe Nnabbi Muhammadi nti:) e kibi n'ekirungi tebyenkanankana newaakubadde nga oluusi obungi bw'ekibi bukusikiriza, kale mutye Allah abange mmwe abalina amagezi agakola obulungi mulyoke mube mu balituuka ku buwanguzi (ku Lunaku lw'Enkomerero)."},{"id":101,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temubuuzanga ebikwata ku bintu, nga singa bibategeezeddwa byandibasuula mu buzibu olw'obuzito bwabyo , anti singa mubibuuza nga Kulaani ekyakka bijja kubategeezebwa (ate bibakaluubirire), so nga Allah teyabisiinyaako, anti bulijjo Allah Musonyiyi Musaasizi."},{"id":102,"translation":"Mazima abantu b'ebibiina ebyabakulembera baabibuuzanga ate oluvannyuma byabakaafuwaza."},{"id":103,"translation":"Allah si Ye yateekawo (eby'okulondobamu ebisolo ebimu ebirundibwa n’ebiweebwa amasanamu) nga okusalako okutu kw’ensolo bw'eba ezadde enzaalo eziwera, wadde eyo gyebaawulako nga ya lubaale, wadde eky'okwevuma ensolo ezaala enkazi zokka, wadde eky'okwekwasa seddume w'eŋŋamiya ezaazisizza eŋŋamiya ennyingi. Naye mazima ddala abo abaakaafuwala (mu kuwanuuza kwabwe okwo), batemerera Allah, wabula bulijjo bangi mu bo tebategeera."},{"id":104,"translation":"Bwe baba bagambiddwa nti mujje eri e byo Allah bye yassa, era mujje eri Omubaka, bagamba nti bye twasangako bakadde baffe bitumala (abaffe bagamba batyo) wadde nga bakadde baabwe baali tebamanyi kintu kyonna era nga tebayinza kuluŋŋama."},{"id":105,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mwefeeko. Oyo eyabula tayinza kubatuusaako kabi kasita muluŋŋama, ewa Allah y'eri obuddo bwa mmwe mwenna, olwo nno alyoke abategeeze byonna bye mwali mukola."},{"id":106,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, omu ku mmwe bw'awuliranga nti ayinza okuba nga asemberedde okufa, mussengawo abajulizi babiri abeesimbu mu mmwe nga akola ekiraamo, oba abalala babiri abatali Basiraamu singa wabaawo obwetaavu nga Abasiraamu tebafunise. Bwe mubanga mu lugendo ne mutuukibwako ekizibu ky'okufa (abajulizi ababiri) mubatuuza oluvannyuma lw’esswala ne balayira mu Linnya lya Allah, ekyo mukituukako bwe muba nga mufunye okubuusabuusa (era bateekeddwa okugamba nti:) tetugenda kukkiriza kukyusa kiraamo kino olw'ekintu kyonna, newaakubadde nga gwe tuwaako obujulizi wa luganda lwaffe olw'okumpi, era tetugenda kukweka bujulizi bwa Allah anti bwe tukikola tubeera mu boonoonyi."},{"id":107,"translation":"Bwekizuulwa nti abajulizi beekobaanye ne bakola ekibi ku nsonga y’obujulizi (nebalimba), olwo mangu ddala musseewo abalala babiri badde mu kifo kyabwe bombi, nga baggyibwa mu bantu bali ababiri mwe baggyibwa, ne balayira Allah (era nebagamba nti) obujulizi bwaffe bwa maanyi okusinga obwa bali ababiri era tetugenderedde kubaweebuula anti bwe tukola ekyo, tuba tugudde mu luse lw'abalyazaamaa nyi."},{"id":108,"translation":"Okukola ekyo, kye kisinga obulungi ku kuyamba okuba nga bawa obujulizi mu butuufu bwa bwo, oba batye e birayiro (byabwe) okugobwa oluvanyuma lw'okulayira kwabwe, mutye Allah era muwulire, bulijjo Allah taluŋŋamya bantu bajeemu."},{"id":109,"translation":"Mujjukire Olunaku Allah lw'alikuŋŋaanya Ababaka n'agamba nti: Kiki kye mwayanukulwa? Baligamba nti: Tetumanyi bye baagamba anti mazima bulijjo Ggwe omanyidde ddala ebikusike."},{"id":110,"translation":"Era mufumiitirize Allah bw'aligamba nti owange Yisa mutabani wa Mariamu, jjukira ebyengera Byange bye nnakuwa ne bye nnawa Maama wo, bwe nnakuwagira ne Mwoyo Mutukuvu n'oyogera n’abantu ng’okyali mu kibaya, ne bwe wasajjakula, era jjukira bwe nnakuyigiriza okuwandiika n’okukozesa amagezi ne Tawulaati ne Enjiri, era jjukira bwe wasobola okubumba mu ttaka ekibumbe ky'ekinyonyi ku lw’okukkiriza Kwange, n’okifuuwamu ne kiba ekinyonyi kyennyini ku lw'okukkiriza Kwange, era n’osobola okuwonya bamuzibe n’abolukeke, byonna lwa kukkiriza Kwange, era jjukira bwe wasabiranga abafu ne bazuukira olw'okukkiriza Kwange, era jjukira bwe nnakuwonya abaana ba Yisirayiri bwe wabajjira n’obunnyonnyofu, abaakaafuwala mu bo ne bagamba nti bino by'aleese si kirala okuggyako eddogo eryeyolefu."},{"id":111,"translation":"Era jjukira bwe nnatumira abayigirizwabo nti munzikirize n’Omubaka Wange ne bagamba nti tukkirizza, era naawe julira okakase nti mazima ddala tuli Basiraamu."},{"id":112,"translation":"Era jjukira abayigirizwa bwe baagamba Yisa mutabani wa Mariamu nti abaffe Katonda Wo asobola okutussiza ekijjulo okuva mu ggulu, n'agamba nti mutye Katonda bwe muba nga ddala muli bakkiriza."},{"id":113,"translation":"Ne bagamba nti: Twagala tukiryeko, era emitima gyaffe gitebenkere, era tumanye nti weewaawo by'otugamba byonna bya mazima, era naffe tufuuke abajulizi ku ekyo."},{"id":114,"translation":"Yisa mutabani wa Mariamu n'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Waffe, tussize ekijjulo okuva mu ggulu, kibe embaga gyetuli eri abaliwo muffe n’abalijja oluvannyuma, era nga bujulizi okuva Gy'oli, era tukusaba otugabirire. Ggwe Mugabi asinga."},{"id":115,"translation":"Allah n'agamba nti mazima Nze nja kukibassiza naye oyo yenna anaakaafuwala oluvannyuma lw’okujja kwakyo, mazima ddala ŋŋenda kumubonereza olubonereza lwe ssigenda kubonereza muntu mulala yenna."},{"id":116,"translation":"Era jjukira Allah bwe yagamba nti: Owange Yisa Mutabani wa Mariamu, ggwe wagamba abantu nti nze ne Mmange ffembi mutufuule abasinzibwa, muve ku Allah? Aliddamu nti: Mukama Omulabirizi Wange Oli Wayawukana, siyinza kwetantala kwogera kitali kyange, mu butuufu, bwe mba nnakyogera mazima wakimanya, anti omanyi byonna ebiri mu nze atenga nze simanyi biri mu Ggwe, anti mazima ddala Ggwe omanyi ebyekusifu."},{"id":117,"translation":"Ssaabagamba okuggyako kye wandagira, eky’okubategeeza nti: Musinze Allah Mukama Omulabirizi Wange era nga Ye Mukama Omulabirizi Wammwe, era nnali mujulizi ku byonna bye baakolanga ebbanga lye nnamala nga ndi nabo, naye bwe wantwala, Ggwe wasigala omanyi byonna bye bakola. Anti bulijjo Ggwe osobola okumanya ebikwata ku buli kintu."},{"id":118,"translation":"Bwoba wa kubabonereza, mazima bo baddu bo, naye bw'obasonyiwa, mazima ddala ggwe nantakubwa ku mukono mugoba nsonga."},{"id":119,"translation":"(Ku lunaku olwo) Allah agenda kugamba nti, luno lunaku abaayogera amazima, amazima gaabwe lwe gagenda okubagasa, balina Ejjana ezikulukutiramu emigga, bagenda kuzibeeramu olubeerera, Allah yabasiima nabo ne beeyanza, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu."},{"id":120,"translation":"Obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi n'ebirimu bwa Allah, era bulijjo Allah Musobozi Wa buli kintu."}]},{"id":6,"verses":[{"id":1,"translation":"Ebitendo byonna ebirungi bya Allah Oyo eyatonda e ggulu omusanvu n'ensi n’assaawo ebizikiza n'ekitangaala, wabula abo abaajeemera Mukama Omulabirizi Waabwe bava ku mazima."},{"id":2,"translation":"Yye yooyo (Allah) eyabatonda nga abaggya mu ttaka, oluvannyuma n'asalawo buli omu mu mmwe ebbanga ly'anaawangaala, ate n'assaawo ebbanga eddala eggere erimanyiddwa Yye Yekka, ensi lw'erikoma. Ate oluvannyuma mmwe mubuusabuusa."},{"id":3,"translation":"Era Yye, Ye Katonda mu ggulu omusanvu n'ensi, amanyi bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu, era amanyi byonna bye mukola."},{"id":4,"translation":"Anti tewali kabonero mu bubonero bwa Mukama Omulabirizi Waabwe kabajjira okuggyako nga bakaawukanako."},{"id":5,"translation":"Mazima baalimbisa amazima bwe gaabajjira, naye luliba lumu ebigambo ebituufu ebikwata kw'ebyo bye baajeejanga biribajjira."},{"id":6,"translation":"Abaffe tebalaba emirembe emeka agyaliwo olubereberye lwabwe gye twazikiriza! Twabawa okwegazaanyiza mu nsi, okusinga ku ngeri gye twawa mmwe okwegazaanyizaamu, ne tubawa egggulu okuba nga libafukirira enkuba mu bungi, ne tussaawo emigga nga gikulukutira wansi waabwe, naye era ne tubazikiriza olw'ebibi byabwe ne tuleeta oluvannyuma lwabwe omulembe gw'abantu abalala."},{"id":7,"translation":"Singa twassa ku ggwe Ekitabo ekikoleddwa mu mpapula ne bakikwatako n’emikono gyabwe, abo abaawakanya bandigambye nti, bino temuli okuggyako ddogo lyennyini."},{"id":8,"translation":"Era ne bagamba nti singa wassiddwa ku ye Malayika atukakasa amazima ge, naye singa twassa Malayika ensonga yandiggweredde awo era ne batalindirizibwa."},{"id":9,"translation":"Era singa twasalawo okuweereza Malayika twandimuweerezza nga muntu, era e kibatabula kyandibadde kibatabula."},{"id":10,"translation":"Ababaka bangi baajeejebwa nga tonnatumwa, abo abaabajeeja ne baatuukwako ebibonerezo by'okujeeja kwabwe."},{"id":11,"translation":"Gamba nti: Mutambule mu nsi olwo nno mulabe e enkomerero y’abaalimbisa bwe yali."},{"id":12,"translation":"Gamba nti, by'ani ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi (bw'omala) gamba nti bya Allah, yeekakasaako okusaasira era nga agenda kubakuŋŋaanyiza ddala ku Lunaku lw'Enkomerero, tekiriimu kubuusabuusa, (wabula) abo abafaafaaganirwa emyoyo gyabwe tebagenda kukkiriza."},{"id":13,"translation":"Era bibye (Allah) byonna ebibeerawo ekiro n’emisana, anti bulijjo Yye, y'awulira era amanyi ennyo."},{"id":14,"translation":"Gamba nti: ndeke Allah neeteerewo e kintu e kirala kyonna e kitali yye! nga ye mukwano gwange ow’omunda, nga ate yye (Allah) yeeyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, era yye, yaaliisa ng’ate talisiibwa gamba nti, mazima nze nalagirwa okuba omusaale mwabo abeewaayo era tobeeranga mu bagatta Katonda n'ebintu e birala."},{"id":15,"translation":"Gamba ggwe nt: Mazima nze ntya singa mba njeemedde Mukama Omulabirizi Wange (okutuukibwako) ebibonerezo by'olunaku oluzibu."},{"id":16,"translation":"Omuntu alibyesambisibwa ku lunaku olwo, mazima (Katonda) aliba amusaasidde era obwo bwe buwanguzi obweyolefu."},{"id":17,"translation":"Singa Allah akutuusaako akabi tewali ayinza kukakuwonya okuggyako Yye, naye bw'aba akuwadde ebirungi Yye Ye Muyinza wa buli kintu."},{"id":18,"translation":"Era Yye, Ye Nnantalemwa, alina mu mikono gye e nsonga z’abaddu bonna, anti Yye Ye Mugobansonga amanyi buli kimu."},{"id":19,"translation":"Gamba nti: Kintu ki ekisinga obukulu okuba nga bwe bujulizi? Gamba nti: Allah, Ye Mujulizi wakati wange nammwe, era nnaweebwa Kulaani eno nga Bubaka mbe nga mbatiisa nayo n’abo b'erituukako abatali mmwe, ate mmwe muyinza okuleeta obujulizi nti ku Allah kweyongerako bakatonda abalala? Gamba nti: Mazima ddala Yye Allah ali Omu, era mazima ddala nneesambye ebyo bye mugattiriza (ku Katonda)."},{"id":20,"translation":"Abo be twawa Ekitabo bamutegeera (Nnabbi Muhammadi) nga bwe bategeera abaana baabwe. Bo abaadibaga emyoyo gyabwe (ne batategeera ntegeera ntuufu) abo nno bo tebakkiriza (by'obagamba)."},{"id":21,"translation":"Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo atemerera Allah nga ddala amanyi nti alimba! oba n’alimbisa Ebigambo bya Allah. Anti mazima abalyazaamaanyi tebagenda kwesiima."},{"id":22,"translation":"Ku lunaku lwe tulibakuŋŋaanya bonna era ne tugamba abo abaagatta ku Allah ebintu ebirala nti: bakatonda bammwe abo be mwagambanga bali wa?"},{"id":23,"translation":"Awo nno bwe balimala okugwa mu kizibu (olw'okubuuzibwa ekibuuzo ekyo) tebaliba na kya kukola okuggyako okwegaana ne bagamba nti: Tulayira Allah Mukama Omulabirizi Waffe tetubangako mu bagatta ku Katonda bintu birala."},{"id":24,"translation":"Laba e ngeri gye beerimbamu ne bibaggwaako ebyo bye baagunjangawo."},{"id":25,"translation":"Era mu bo mulimu abawuliriza byoyogera, naye nga ku mitima gyabwe twassaako ekibikka ne batasobola kubitegeera n’amatu gaabwe ne tuteekamu envumbo, ne bwe balaba ekyamagero kyonna tebakikkiriza, ne batuusa okujja gy'oli nga bakuwakanya abo abaagana okukkiriza ne bagamba nti (byonna byayigiriza) tebirina kye biri okuggyako okuba nti nfumo z’abedda."},{"id":26,"translation":"Nga bo bagaana abantu okujja eri Nnabbi, era nga nabo bennyini bamwesamba, (mw'ekyo) tebazikiriza okuggyako emyoyo gyabwe naye tebakitegeera."},{"id":27,"translation":"Singa olisobola okubalaba bwe baliyimirizibwa ku Muliro, olwo nno ne bagamba nti: nga zitusanze singa tuzzibwayo (ku nsi) ne tutalimbisa Bigambo bya Mukama Omulabirizi Waffe olwo nno tube mu Bakkiriza."},{"id":28,"translation":"Olwo nno biriba byeyolese gye bali e byo bye baakwekanga mu kusooka, ne bwe baaliziddwayo baalizzeemu okukola ekyabagaanibwa, era bo baliba balimba (mu byonna bye baliba boogera)."},{"id":29,"translation":"Era baagamba nti tewali bulamu bulala, okuggyako buno bwe tuwangaala obw'okunsi, era tetugenda kuzuukizibwa."},{"id":30,"translation":"Waalisaanye olabe, embeera gye balibeeramu nga bayimiriziddwa mu maaso ga Mukama Omulabirizi Waabwe, n’abagamba nti kino kye mulaba si mazima? Bagenda kugamba nti bwe gutyo bwe guli ayi Mukama Omulabirizi Waffe. Alibagamba nti: kale nno mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo olw'ebyo bye mwawakanyanga."},{"id":31,"translation":"Mazima baafaafaaganirwa abo abaalimbisa okusisinkana Allah, Olunaku lw'Enkomerero lwe lulibatuukako ekibwatukira baligamba nti nga tulabye olw'ebyo bye twayonoona mu nsi, olwo nno nga beetisse ebibi byabwe ku migongo gyabwe abange bibi ddala bye bakola."},{"id":32,"translation":"Obulamu bwe nsi tebuli okugyako muzannyo na kusanyuka, naye mazima ddala Ennyumba ey'Enkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Allah , abaffe temutegeera."},{"id":33,"translation":"Mazima tumanyi nti ddala bye boogera bikunyiiza, mazima ddala bo tebakulimbisa naye mazima ddala abslyazaamaanyi Ebigambo bya Allah bye bawakanya."},{"id":34,"translation":"Mazima Ababaka bangi olubereberye lwo baalimbisibwa ne bagumiikiriza kw'ebyo bye baalimbisibwa, era ne bayisibwa bubi okutuusa okutaasa Kwaffe lwe kwabajjira. Tewali akyusa Bigambo bya Allah. Mazima ebimu ku bigambo ebikwata ku Babaka byakujjira."},{"id":35,"translation":"Eky'okukwawukanako bwe kiba nga kikuyitiriddeko, kale nno bw'oba nga osobodde okufuna omukwesese mu ttaka oba amadaala agakutwala waggulu obeere ng’obaleetera ekyamagero kyonna (kola ekyo, naye nga tekirina makulu kubanga) singa Allah yayagala yaalibagattidde ku bulunŋŋamu, kale (Nnabbi Muhammadi) tobeeranga mu batategeera."},{"id":36,"translation":"Abo abawulira okuwulira okutuufu, mazima bajja kwanukula okukoowoola (kwo), so abafu Allah agenda kubazuukiza era Gy'ali gye balizzibwa."},{"id":37,"translation":"(Abagatta ku Allah e bintu ebirala) bagamba nti singa assiddwako ekyamagero kyonna okuva ewa Mukama Omulabirizi O, bagambe nti mazima Allah asobola okussa ekyamagero kyonna ,naye abasinga obungi tebamanyi."},{"id":38,"translation":"Tewali kintu kyonna kitambula ku nsi nga kiramu ka kibe kinyonyi ekibuuka n'ebiwawaatiro byakyo okuggyako nabyo bibalibwa mu bika by'ebitonde nga mmwe, tewali kintu kyonna kye twaleka okuggyako nga twakiwandiika ku Lubaawo lukuumibwa obutiribiro Lauh Mahfuudh):(Eggwandisizo lya Katonda) oluvannyuma eri Mukama Omulabirizi Waabwe gye bagenda okukuŋŋŋaanyirizibwa."},{"id":39,"translation":"Abo bonna abaalimbisa Ebigambo Byaffe bakiggala era bakasiru bali mu bizikiza. Omuntu Allah gw'aba ayagadde abule amubuza, ate gw'aba ayagadde okuluŋŋamya amusobozesa okuluŋŋama eri ekkubo eggolokofu."},{"id":40,"translation":"Bagambe ggwe (Nnabbi Muhammadi) nti: Mulaba mutya singa Ebibonerezo bya Allah biba bibajjidde oba Olunaku lw'Enkomerero nga lwe lubajjidde, (mu mbeera eyo muyinza) okulaajanira atali Allah bwe muba nga mwogera mazima."},{"id":41,"translation":"Ekituufu kiri nti Yye Yekka Gwe mulaajanira n'abaggyirawo ekyo kye mumumulaajanidde bw'aba nga ayagadde ne mwerabira n'okwerabira ebyo bye mubadde mumugattako."},{"id":42,"translation":"Mazima twatuma Ababaka eri abantu b'emirembe egyakukulembera ne tubagezesa n'ebizibu by'obwavu n’obubenje balyoke beetowaze (basinze Katonda omu)."},{"id":43,"translation":"Kale nno singa ebizibu bwe byabajjira beetowaliza (Katonda, kyandibayambye) naye emyoyo gyabwe gyeyongera kuwaganyala. Sitane n'abawundira ebyo bye baali bakola."},{"id":44,"translation":"Bwe baaleka ebyo bye baabuulirirwa twabaggulirawo emiryango gya buli kintu mu byenfuna, okutuusiza ddala lwe baayitiriza okweyagalira mw'ebyo bye twabawa, ne tubabonereza mbagirawo ne batuuka n’okuba nti tebalina kantu konna."},{"id":45,"translation":"Katonda yabazikiriza okutuusiza ddala ku asembayo mw'abo abeeyisa obubi, bulijjo okutenderezebwa kwonna kwa Mukama Omulabirizi W'ebitonde byonna."},{"id":46,"translation":"Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi nti:) Mulaba mutya singa Allah abafuula bakiggala era ba muzibe, n'ateeka envumbo ku mitima gyammwe, ani asinzibwa atali Allah ayinza okubibaddiza? Laba engeri gye tunnyonnyolamu obubonero ate bo ne babuvaako."},{"id":47,"translation":"Gamba nti: Mmwe mulaba nti singa Ebibonerezo bya Allah bibatuukako ekibwatukira, oba ne bijja nga mutegedde, waliwo abayinza okubonerezebwa abalala okuggyako abo abeeyisa obubi?"},{"id":48,"translation":"Bulijjo tetutuma Babaka okuggyako nga basanyusa abakozi b’obulungi era nga bwe batiisa abakozi b’ebibi. Oyo yenna akkiriza n’akola emirimu emirungi abo tebalina kutya, era tebagenda kunakuwala."},{"id":49,"translation":"Ate abo abaalimbisa Ebigambo Byaffe, ebibonerezo bigenda kubatuukako ol'webyo bye baakola."},{"id":50,"translation":"Gamba ggwe (Nnabbi Muhammad nti) sibagamba nti nze nnina amawanika ga Allah, wadde okubagamba nti mmanyi ebyekusifu, nga bwe siyinza kubagamba nti mazima nze ndi Malayika, tewali kye ngoberera okuggyako Obubaka obutumwa gyendi. Gamba nti muzibe n'oyo alaba? Temufumiitiriza?"},{"id":51,"translation":"Tiisa nayo (Kulaani) abo abatya okuzuukizibwa ne bazzibwa eri Mukama Omulabirizi Waabwe, nga oggyeko Yye, tebalina waamukwano nfanfe wadde omuwolereza. Olwo nno balyoke babeere mu batya Katonda."},{"id":52,"translation":"Togobanga abo abasinza Mukama Omulabirizi Waabwe enkya n'eggulo nga bakikola ku lulwe, ebibavunaanibwa tewali na kimu kikubanjibwa, nga naawe ebikuvunaanibwa bwe watalli kye babanjibwa, olyoke obagobaganye, ekijja okukuteeka mu balyazaamaanyi."},{"id":53,"translation":"Mu ngeri y'emu abantu twabagezesa nga tukozesa bannaabwe abamu ne batuuka okugamba nti abo mu ffe fenna Allah be yasalawo okugonnomolako ekyengera (eky'Obukkiriza), (naye okutuuka okwogera e kyo tebamanyi nti) bulijjo Allah amanyi nnyo ebikwata ku bantu abeebaza."},{"id":54,"translation":"Abo abakkiriza Ebigambo Byaffe bwe baba bazze gy'oli, gamba nti: Emirembe gibeere ku mmwe, Mukama Omulabirizi Wammwe yeekakasaako okusaasira, ne kiba nti oyo yenna mu mmwe akola ekibi mu butamanya oluvannyuma lwakyo ne yeenenya, era n’akola e mirimu emirungi, mazima bulijjo Allah Musonyiyi Musaasizi."},{"id":55,"translation":"Bwetutyo bwe tunnyonnyola Ebigambo (Byaffe) kisobozese ekkubo ly'aboonoonyi okweyoleka."},{"id":56,"translation":"Gamba nti: Mazima nze nnagaanibwa okusinza ebyo bye musaba ne muleka Allah Omu, gamba nti: Sijja kugoberera kwagala kwammwe, anti bwe nnaakikola nja kuba mbuze, era sijja kubeera mu baluŋŋamu."},{"id":57,"translation":"Gamba nti: mazima nze ndi ku mazima agava ewa Mukama Omulabirizi Wange, naye nga mmwe mugalimbisa, kye mwagala kijje amangu (e ky'ebibonerezo) tekiri mu mikono gyange, okusalawo tekuli wantu wonna okuggyako ewa Allah , byonna byayogera mazima, era bulijjo y'asinga abalamuzi bonna."},{"id":58,"translation":"Singa nze nnina kye mwagala kijje mangu (kyandizze) ensonga wakati wange nammwe n'eggwa, era bulijjo Allah amanyi nnyo abalyazaamanyi."},{"id":59,"translation":"Era Allah Yekka y'alina ebisumuluzo by'ebyama ebikusike, tewali abimanyi okuggyako Yye, era amanyi ebiri ku lukalu ne mu nnyanja, era tewali kikoola kigwa okuggyako nga akimanya, era tewali mpeke eri mu bizikiza by'ettaka wadde ekibisi oba ekikalu kyonna okuggyako nga kiwandiike mu kitabo e kitottola buli kintu."},{"id":60,"translation":"Era Yye y'Oyo abeebassa ekiro era amanyi bye muba mwakoze emisana, ate oluvannyuma abazuukusa ekyo kisobozese buli kitonde okumalayo ebbanga eryakigererwa. Oluvannyuma Gy'ali y'eri obuddo bwammwe, olwo nno alyoke abategeeze byonna bye mwakolanga."},{"id":61,"translation":"Era Yye y'alina obuyinza obwenkomeredde ku baddu Be, era abassaako Bamalayika abakuumi, okutuusa omu ku mmwe bw'aba atuuse okufa, ababaka baffe bamuggyamu obulamu, era bulijjo tebalagajjala."},{"id":62,"translation":"Oluvanyuma ne bazzibwa ewa Allah Mukama Waabwe owannamaddala.Mukimanye nti obuyinza bwonna bubwe, era nga bulijjo mwangu mu kubala okusinga ababazi bonna."},{"id":63,"translation":"Gamba nti: Ani ayinza okubataasa ku nzikiza yo'lukalu n’enizikiza y'enyanja, ne muba nga mumusaba olw'okulaga obugonvu mu lwatu ne mu kyama ne mutuuka n'okugamba nti singa (gwe tusaba) atuwonya obuzibu buno tujja kubeerera ddala mu beebaza."},{"id":64,"translation":"Gamba nti Allah y'ajja okubibawonya, na mu buli kizibu kyonna. Ekyo bwe kiggwa ate ne mugatta ku Katonda ebintu ebirala."},{"id":65,"translation":"Gamba nti Yye (Allah) y'asobola okubasindikira ekibonerezo kyonna, nga kiva waggulu ne wansi w'ebigere byammwe, n’abafuula ebibinja ebyenjawulo n’akombesa abamu mu mmwe ku bukaawu bwa bannaabwe. Weetegereze engeri gye tunnyonnyolamu ebigambo balyoke babe nga bategeera."},{"id":66,"translation":"(Kulaani) abantu bo baagirimbisa, ate nga ddala ya mazima meereere, bagambe nti n’olwekyo si nze mbasalirawo."},{"id":67,"translation":"Buli kintu kibaako ekiseera kyakyo, (n'Enkomerero bw'erituuka) mugenda kumanyira ddala."},{"id":68,"translation":"Era bw'olabanga abo abajereegerera Ebigambo Byaffe, baviire, okutuusa lwe banaayingira mu mboozi endala, singa Sitaane akwerabiza (n'obeerawo) wonna w'ojjuukirira togenda mu maaso n'otuula n’abantu abalyazaamaanyi."},{"id":69,"translation":"Era abo abatya Allah tebavunaanyizibwa ku kintu kyonna kikwata ku bantu abo abawakanyi, wabula okubuulirira ob'olyawo balyoke ne batya Katonda."},{"id":70,"translation":"Vva kw'abo abaafuula eddiini yaabwe ekintu eky'omuzannyo era ekyekinyumu, obulamu bw'ensi ne bubagayaaza, naye buulirira nga okozesa Kulaani omwoyo guleme kuzikirizibwa olw'ebyo bye gwakola, tegulina waamukwano nga oggyeko Allah, wadde omuwolereza, ne bweguliwaayo ennunuzi efaanana etya, tegenda kukkirizibwa kuva gye guli, abo nno be baazikirizibwa olw'ebyo bye baakola, baliweebwa ebyokunywa eby’olweje, era balissibwako ebibonerezo ebirumya ennyo olw’ebyo bye baawakanyanga."},{"id":71,"translation":"Gamba nti: Tuleke Allah ate tusinze ebyo ebitatugasa era ebitayinza kututuusaako kabi, era tutambule okudda ekyennyumannyuma oluvannyuma lwa Allah okutuluŋŋamya! tufaanane nga oyo Sitaane gwe zibuza mu nsi, n’asoberwa n'aba mu masaŋŋanzira so nga alina mikwano gye abamuyita okujja eri obuluŋŋamu, (nga bagamba nti) jangu eno.(ekyo bwekiba nga tekisobola kwemalirira) gamba nti mazima okuluŋŋamya okuva ewa Allah, kwe kuluŋŋamya kwokka, era twalagirwa okwewaayo eri Mukama Omulabirizi W’ebitonde."},{"id":72,"translation":"(Era twalagirwa nti) muyimirizeewo esswala era mutye Katonda era Yye y'Oyo nga Gy'ali gye mulikuŋŋaanyirizibwa."},{"id":73,"translation":"Era Allah Y'oyo, eyatonda eggulu omusanvu n'ensi nga by'ebyo byennyini, era obufuzi buliba Bubwe Olunaku eŋŋombe lw'erifuuyibwa. Omumanyi W’ebyekusifu n'ebirabikako, era Yye ye Mugobansonga, Omumanyi ennyo."},{"id":74,"translation":"Era jjukira Ibraahiimu bwe yagamba kitaawe Aazara nti: amasanamu g'ofuula Katonda! Mazima nze nkulaba n’abantu bo nga muli mu bubuze obweyolefu."},{"id":75,"translation":"Mu ngeri y’emu twalaga Ibraahiimu ebiri mu bwengula ne mu nsi (ne'ngeri n'amateeka kwe bitambulira) alyoke abeere mu baddu abannyikivu mu Bukkiriza."},{"id":76,"translation":"Ekiro bwe kyamubikka, yalaba emmunyeenye kye yava agamba nti oyo ye Mukama Omulabirizi waynge, emmunyeenye bwe yabula (Ibraahiimu) n'agamba nti nze ssaagala bakatonda babulawo."},{"id":77,"translation":"Bwe yalaba omwezi nga gwetadde n'agamba nti oyo ye Mukama Omulabirizi Wange, omwezi bwe gwabula (Ibraahiimu) n'agamba nti Mukama Omulabirizi Wange bw'atannuŋŋamye nja kubeerera ddala mu bantu ababuze."},{"id":78,"translation":"Ate nno bwe yalaba enjuba nga evuddeyo n'agamba nti: ono ye Mukama Omulabirizi Wange, ono ye munene ddala, (enjuba) bwe yagwa n'agamba nti abange abantu bange ebyo bye mukola eby'okugatta ku Katonda ebintu ebirala nze sibiriimu."},{"id":79,"translation":"Mazima nze njolekezza ekyenyi kyange eri Oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi, nga njawukanira ddala ku nsinza zonna. Siri wa mu bagatta Katonda na bintu birala."},{"id":80,"translation":"Abantu be ne bamuwakanya n'agamba nti mumpakanya ku Allah nga ate mazima yannuŋŋamya, era nga sitya ebyo bye mumugattako (okuba nga bintusaako akabi), okuggyako nga Mukama Omulabirizi Wange alina ky'akkirizza, Mukama Omulabirizi Wange yeetooloola buli kintu mu kumanya, naye temwebuulirira?"},{"id":81,"translation":"Nyinza ntya okutya ebyo bye mugatta ku Allah, nga ate mmwe temutya kugatta ku Allah bintu birala by'atabassizangako bujulizi. Ku bibinja byombi (ffe nammwe) kiri wa ekisaanidde okulowooza nti kiri mirembe bwe muba nga mumanyi?"},{"id":82,"translation":"(Ekituufu kiri nti) abo abakkiriza ne batatabula Bukkiriza bwabwe wamu na bulyazaamaanyi (Shiriki) , abo nno be balina emirembe era abo be baluŋŋamu."},{"id":83,"translation":"Obwo bwe bujulizi Bwaffe bwe twawa Ibraahiimu akozese ku bantu be (ekyamussa mu kifo eky'enkizo), bulijjo tusitula amadaala g’oyo gwe tuba twagadde, anti mazima ddala Mukama Omulabirizi Wo agoba nsonga Mumanyi nnyo."},{"id":84,"translation":"Era (Ibraahiimu) twamugabira Isihaaka ne Ya'akuubu, bombi twabaluŋŋamya nga n’okusooka twaluŋŋamya Nuuhu, ne mu zaadde lye twaluŋŋamya Dauda ne Sulayimaani ne Ayuubu ne Yusufu ne Musa ne Haaruuna, nabwekityo nno bwe tusasula abalongoofu."},{"id":85,"translation":"Ne Zakariyya ne Yahaya ne Yisa ne Eliyaasa, oluvannyuma buli omu kw'abo wa mu bakozi b’emirimu emirungi."},{"id":86,"translation":"Ne Ismail ne Iliyasa-a ne Yunusu ne Luutu, buli omu ku bo twamusukkulumya ku bantu abalala."},{"id":87,"translation":"Era (twaluŋŋamya abantu abalala) nga bava mu bakadde b'abo ne bazzukulu baabwe ne baganda baabwe, era ne tubafuula ab'enjawulo, era ne tubaluŋŋamya ku kkubo eggolokofu."},{"id":88,"translation":"Okwo kwe kuluŋŋamya kwa Allah, aluŋŋamya na kwo oyo gw'aba ayagadde mu baddu Be, naye singa baagatta ekintu e kirala kyonna ku Katonda, bandiyonoonekeddwa ebyo bye baali bakola."},{"id":89,"translation":"Abo beebo be twawa ekitabo n’obufuzi n’obwannabbi, kati bano bwe baba nga bawakanya ebintu e byo, mazima twabikwasa abantu abatagenda kubiwakanya."},{"id":90,"translation":"Abo beebo Allah be yaluŋŋamya, obuluŋŋamu bwabwe oteekeddwa okubugoberera, ogambe nti, (kyenkola) sikibasabirako mpeera kyenkola, si kirala okuggyako okuba nti kujjukiza eri abantu bonna."},{"id":91,"translation":"(Wabula Abayudaaya) tebaawa Allah kitiibwa kimusaanira, bwe baagamba nti Allah tassanga ku muntu yenna kintu kyonna.Gamba (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Ani yassa Ekitabo ekyo Musa kye yajja nakyo nga kitangaala era kyakuluŋŋamya bantu (mmwe) kye mwafuula empapula ze mulaga abantu, ate ne mukweka bingi so nga ate mwamanyisibwa bye mwali temumanyi, mmwe ne bakadde bammwe. Bagambe nti Allah ye yassa Ekitabo ekyo, olwo nno obaleke mu bubuze bwabwe nga bazannya."},{"id":92,"translation":"Kulaani eno Kitabo twakissa nga kyamukisa, nga kikakasa ebyo ebyakulembera, era okikozese nga otiisa abantu b’omu (Makkah), Maama w'ebibuga, n'abantu b'omubitundu ebikyetoolodde. Bo abo abakkiriza Olunaku lw’Enkomerero bakkiriza Ekitabo kino, Ŋ gera bulijjo e sswala zaabwe bazikuuma butiribiri."},{"id":93,"translation":"Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera ku Allah ebigambo eby'obulimba, oba n'agamba nti nnaweebwa Obubaka so nga taweebwanga Bubaka bwonna, era ani mubi okusinga oyo agamba nti nja kuleeta ebigambo ebifaanana n'ebyo Allah bye yassa! Naye n’omala olaba ekiseera abeeyisa obubi bwe babeera mu bulumi bw'okufa nga Bamalayika bagolodde emikono gyabwe (nga bwe bagamba nti,) muggyemu emyoyo gyammwe, olwaleero luno mugenda kusasulwa ebibonerezo ebinyoomesa olw'ebyo bye mwayogeranga ku Allah eby'obutaliimu, e kyabatuusa okwekuza ne muva ku Bigambo Bye."},{"id":94,"translation":"Mutujjidde omu omu, nga bwe twabatonda mu kusooka, byonna bye twabawa mubirese mabega wa mmwe, era tulaba bwe muzze temuleese bawolereza ba mmwe, abo be mwawozanga, nti mazima bo ne Katonda bakolera wamu ku mmwe, e nkolagana ekutuseewo wakati wammwe ne bababulako abo be mwali mulowooza nti balibawolereza."},{"id":95,"translation":"Mazima Allah y’ayasa empeke n’omuwula (ameza ebimera) aggya ekiramu mu kifu era y'aggya ekifu mu kiramu, oyo nno ye Katonda Wammwe. Ate muwugulwa mutya?"},{"id":96,"translation":"(Era Yye y'Oyo) ayasa n’ayawula obudde ne bufuuka emisana, ekiro n'akifuula ekiwummulo enjuba n’omwezi nga byombi bitambula nga bigoberera enkola gye yabiteerawo, okwo kwe kusalawo kwa Nnantakubwakumukono Mugobansonga ku mukono Omumanyi ennyo."},{"id":97,"translation":"Era Yye y'Oyo eyabateerawo emmunyeenye mube nga muluŋŋama nazo nga muli mu bizikiza, by’olukalu n'ebizikiza by’ennnyanja. Mazima tunnyonnyodde Ebigambo olunnyonnyola olumala eri abantu abamanyi."},{"id":98,"translation":"Era Yye y'Oyo eyabakola nga abaggya mu muntu omu, nga musinziira mu nnabaana wa bamaama bammwe, era nga musinziira mu migongo gya bataata, tunnyonnyodde Ebigambo (olunnyonnyola olumala) eri abantu abategeera."},{"id":99,"translation":"Era Yye y'Oyo atonnyesa amazzi (enkuba) okuva waggulu, ne tumeza nago ebimera bya buli kintu, ne tuggya mu byo ebya kiragala, nga tuggya mu byo empeke ezeeweese ku zinnaazo, ne mu mitende ne mubaamu egirina ebirimba ebireebeeta, n’ennimiro ez’emizabibu n’emizeyituuni n'enkomamawanga, ebifaanagana n'ebitafaanagana. Tunuulira ebibala bya byo bwe biba bissizza n'okwengera kwabyo, mazima ddala mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza."},{"id":100,"translation":"Bateeka ku Allah abayambi abava mu Majinni so nga ye yabatonda, wabula ate ne bamupaatiikako abaana ab’obulenzi n’abobuwala ekitalina we kiva, Allah asukkulumye era yeesambye ebyo bye bamutemerera."},{"id":101,"translation":"(Yye Allah) ye Mutandisi W’eggulu n’ensi nga tewali kye yalabirako, ayinza atya okubeera n’omwana ate nga talina mukyala! Era nga Ye yatonda buli kintu era nga Yye (Allah) ku buli kintu Mumanyi."},{"id":102,"translation":"Oyo nno ye Allah Omulabirizi Wammwe, tewali kintu kyonna kisinzibwa mu butuufu okuggyako Yye Yekka, Omutonzi Wa buli kintu, kale nno Gwe muba musinza, era bulijjo y’alina obuyinza ku buli kintu."},{"id":103,"translation":"Amaaso tegasobola kumulaba, so nga ate Yye agalaba n’amalayo ebintu byonna, anti Ye Katonda alina obusobozi bw’okumanya buli kintu atalina kiyinza kumwekweka."},{"id":104,"translation":"Mazima obujulizi bubajjidde nga buva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe, omuntu anaalaba anaaba yeeyambye yekka, ate oyo anaaziba amaaso akabi k’ekyo kadda ku ye. Nze siri anaabalondooola."},{"id":105,"translation":"Bwetutyo nno bwe tunnyonnyola Ebigambo, batuuke n’okugamba nti (Muhammadi) wasoma (ku Bayudaaya okutuuka okumanya bino byonna) era tube nga tubinnyonnyola eri abantu abamanyi."},{"id":106,"translation":"(Ggwe Muhammadi ky’oba okola) goberera ebyo ebyassibwa gy'oli nga biva ewa Mukama Omulabirizi Wo, tewali kintu kyonna kirina kusinzibwa okuggyako Yye era weesambe abagatta e bintu ebirala ku Allah."},{"id":107,"translation":"Singa Allah yayagala tebandimugasseeko bintu birala, era tetukussangawo obe kalondoozi ku bo, era ggwe toyinza kuba avunaanyizibwa ku nsonga zaabwe."},{"id":108,"translation":"Era temuvumanga ebyo bye basaba ebitali Allah, mu kwesasuza bajja kuvuma Allah bayitewo olw'obutamanyabwabwe. Bwetutyo nno buli bantu twabawa okulaba ebyabwe nga bye bisinga obulungi, oluvannyuma ewa Mukama Omulabirizi Waabwe y'eri obuddo bwa bwe, olwo nno abategeeze byonna bye baakolanga."},{"id":109,"translation":"Era balayira Allah ne bakkaatiriza ebirayiro byabwe, ne bagamba nti singa bajjirwa e kyamagero kyonna baalikikkirizza. Bagambe nti: Ebyamagero byonna bya Allah, naye mumanyira ku ki oba ekyamagero bwe kinajja tebajja kukkiriza."},{"id":110,"translation":"Tugenda kukyusa e mitima gyabwe n'okulaba kwabwe nga nabo bwe batakkiriza (kulaani) mu kusooka era tubaleke mu bubuze bwabwe nga basobeddwa."},{"id":111,"translation":"Era mazima singa Ffe twasindika gyebali Bamalayika (okuva mu ggulu) era ne tusobozesa abafu okwogera nabo, era ne twanja mu maaso gaabwe buli kintu nga bakirabako, tekyalibasobozesezza kukkiriza okuggyako olw’okwagala kwa Allah, naye abasinga obungi mu bo tebategeera."},{"id":112,"translation":"(Nga bwe tukugezesa ggwe Nnabbi Muhammadi n’oba n’abalabe mu batakkiriza) bwekityo buli Nnabbi twamuteekako omulabe nga ali mu bantu ne mu majinni, abamu batumira bannaabwe ebigambo ebiwoomu, naye nga bibi olw'ekigendererwa ky'okugayaaza, naye singa Mukama Omulabirizi Wo yayagala tebandikikoze kale nno baleke n'ebyo bye bagunjaawo."},{"id":113,"translation":"Era emitima gy'abo abatakkiriza Lunaku lwa Nkomerero gibe nga gibiwuliriza, era babisiime era bagende mu maaso n’okukola ebyo bye bakola."},{"id":114,"translation":"Nyinza ntya okuleka Allah ne nfuna omulala ansalirawo! Nga ate Yye Ye yassa gye muli Ekitabo (Kulaani) nga kinnyonnyola buli kimu, abo nno be twawa Ekitabo (Tawulaati ne Enjiri) bamanyidde ddala nti kyassibwa okuva ewa Mukama Omulabirizi Wo, nga kyonna mazima meereere, kale nno tobeeranga mu babuusabuusa."},{"id":115,"translation":"E kigambo kya Mukama Omulabirizi Wo kituukiridde nga kyonna mazima na bwenkanya, tewali asobola kukyusa Bigambo Bye era bulijjo Yye awulira era amanyi nnyo."},{"id":116,"translation":"Singa onoogondera abantu abasinga obungi mu nsi bajja kukubuza bakuggye ku kkubo lya Allah (byonna bye bakola temuli) okuggyako okuba nti bateebereza, kye bakola tekiri okuggyako kuteeba buteebi."},{"id":117,"translation":"Mazima Mukama Omulabirizi Wo y'asinga okumanya oyo eyabula n'ava ku Kkubo Lye, era nga bw'ali nti y'asinga okutegeera ebikwata ku baluŋŋama."},{"id":118,"translation":"Kale nno mulye kw'ebyo ebiba byogereddwako Erinnya lya Allah, bwe muba nga Ebigambo Bye mubikkiriza"},{"id":119,"translation":"Ate muyinza mutya obutalya kw'ebyo ebyogereddwako Erinnya lya Allah nga mazima yabannyonnyola ebyo bye yaziza kummwe, mpozzi ekyo kye muba mukoze olw'obuwaze, naye ate mazima ddala abantu bangi babuza (abalala) nga bagoberera okwagala kwabwe okutaliimu kwesigama ku kumanya, mazima bulijjo Mukama Omulabirizi Wo amanyi nnyo ebikwata ku basukka ensalo Ze."},{"id":120,"translation":"Muve ku bibi eby'omulwatu ne by'omukyama, mazima ddala abo abakola ebibi bajja kusasulwa ku lw'ebyo bye baakolanga."},{"id":121,"translation":"Temulyanga kw'ebyo ebitayogereddwako Linnya lya Allah, mazima ddala okukola ekyo bwonoonyi bwennyini, era ddala Sitaane ziwa mikwano gyazo ebigambo babawakanye nabyo, singa mubagondera, nammwe olwo muba mu bagatta ku Katonda ebintu ebirala."},{"id":122,"translation":"Omuntu eyali omufu ne tumuwa obulamu, ne tumuwa ekitangaala ky'akozesa nga atambula mu bantu, ayinza okufaanana ng’oyo ali mu bizikiza byatasobola kufulumamu. Nabwekityo abakaafiiri balaba nga bye bakola nga bye bisinga obulungi."},{"id":123,"translation":"Nabwekityo twassa mu buli kitundu abakulira abajeemu baamu, babe nga bakolerera okusaasaanya obukyamu mu kyo, bye bakola tebituusa kabi okugyyako ku bo bennyini naye tebamanyi."},{"id":124,"translation":"Obujulizi obwenkukunala bwe bubajjira bagamba nti: Tetujja kukkiriza okutuusa nga tuweereddwa ng'ebyo ebyaweebwa Ababaka ba Allah, (ekituufu kiri nti) Allah amanyidde ddala w'assa Obubaka Bwe, abo aboonoona bajja kutuukibwako okunyoomebwa mu maaso ga Allah n’ebibonerezo ebikakali, lw'okusaasaanya kwabwe ebikyamu."},{"id":125,"translation":"Omuntu Allah gw'aba ayagadde okuluŋŋamya ayanjuluza ekifuba kye eri Obusiraamu, ate oyo gw'aba ayagadde okubuza afunza ekifuba kye n'atuuka okuba nga tawulira bulungi n’afaananako oyo agenda waggulu mu bwengula. Allah bw'atyo bw'assa ekibonerezo kw'abo abatakkiriza."},{"id":126,"translation":"Lino ly'ekkubo lya Mukama Omulabirizi Wo wo eggolokofu, mazima ebigambo tubinnyonnyodde eri abo abasobola okwebuulirira."},{"id":127,"translation":"Bagenda kufuna ennyumba ey'emirembe ewa Mukama Omulabirizi Waabwe, era Yye ye Mutaasa Waabwe olw'ebyo bye baakolanga."},{"id":128,"translation":"(Ggwe Nabbi Muhammad) lowooza olunaku Katonda lwalikungwanya (abakaafiiri) bonna, (abagambe nti) abange mmwe amajinni mwabuza abantu bangi nnyo, mikwano gya majinni mu bantu ne bagamba nti ayi Mukama Omulabirizi Waffe ffenna twesanyusizanga wamu ne tutuuka ku kiseera kyaffe kye watugerera okuba ku nsi, Katonda n'abagamba nti: Omuliro bwe buddo bwammwe, muli baakugubeeramu bugenderevu okuggyako oyo ebbanga ly'aliba ayagadde, anti mazima Mukama Omulabirizi Wo Mugobansonga Mumanyi nnyo."},{"id":129,"translation":"Bwetutyo bulijjo abeeyisa obubi tubafuula mikwano gya bannaabwe bwe bafaanana olw'ebyo bye bakola."},{"id":130,"translation":"Abange mmwe amajinni n'abantu Ababaka tebaabajjira nga bava mu mmwe nga babategeeza Ebigambo byange era ne babatiisa, okutuuka ku lunaku lwammwe luno, baligamba nti twewaako obujulizi (nti byonna baabitugamba, naye ekyabaleetera okubula) obulamu bw'ensi bwabagayaaza, olwo nno ne baba nga beekakasizzaako ddala nti baali bakaafiiri."},{"id":131,"translation":"Ekyo nno eky'okutuma Ababaka) kyaliwo lwakuba nti Mukama Omulabirizi Wo yali tayinza kuzirikiza bantu ba kitundu kyonna olw'okweyisa obubi nga abantu baamu tebamaze kumanyisibwa (Mateeka Ge)."},{"id":132,"translation":"Buli omu ku bo alina amadaala okusinziira ku bye yakola Mukama Katonda Omulabirizi Wo tayinza kumala galeka ebyo bye bakola."},{"id":133,"translation":"Mukama Omulabirizi Wo talina kye yeetaaga, Ye Nnannyini kusaasira. Bw'aba ayagadde asobola okubaggyawo n'abasikiza abo b'aba ayagadde oluvannyuma lwammwe, nga nammwe bwe yabassaawo nga abagya mu zzadde ly’abantu abalala."},{"id":134,"translation":"Mazima ebyo bye mulagaanyisibwa bya kutuukirira ate mmwe temugenda kusobola kubiremesa."},{"id":135,"translation":"Gamba (Ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Abange abantu bange mubeere ku nkola yammwe, nange, nkole ebyange, kyaddaaki mulimanya obuddo obw'enkomerero ennungi bw'ani, mazima ddala bulijjo abeeyisa obubi tebagenda kutuuka ku buwanguzi."},{"id":136,"translation":"Ne bateerawo Katonda omugabo mu birime ne mu bisolo, mu kujweteka kwabwe ne bagamba nti, guno omugabo gwlŋŋa Katonda, naguno gwa ba katonda baffe abalala, oguba ogwa ba katonda baabwe tegutuuka w’a Katonda, ate oguba ogwa Katonda, gwo gutuuka ku bakatonda baabwe abalala, ennamula yaabwe mbi."},{"id":137,"translation":"Mu ngeri yeemu, abagatta ku Katonda e bintu e birala, bakatonda baabwe baabalaga nti kirungi okutta abaana baabwe, ne babatuusa okukola ekivve (eky'okutta omuntu ) nga bababuza, era babe nga babuzaabuza eddiini yaabwe, singa Katonda yayagala tebandikikoze kale baleke n'ebyo bye bagunja."},{"id":138,"translation":"Era abagatta ku Katonda ebintu ebirala bagamba nti: Bino ebisolo n’ebirime bya muzizo tebikkirizibwa kuliibwa okuggyako oyo gwe tuba twagadde, ate ne baba n’ebisolo bye baziza okwebagala, ate nebaba n’ebisolo ebirala bye batayogererako linnya lya Katonda ( nga bagenda okubisala) byonna nga bigambo bigunje ku Allah, ajja kubasasula ebyo bye baali bagunja."},{"id":139,"translation":"Era (abagatta ku Katonda e bintu e birala) baagamba nti amawako g’ebisolo gakkirizibwa kuliibwa basajja bokka mu ffe, era tegakkirizibwa bakyala baffe, naye (amawako ago) bwegavaamu nga gafudde olwo bonna bakkiziribwa okubirya. Katonda ajja kubasasula olw'okutetenkanya kwabwe okwo, anti mazima Katonda Mukama Wo Mugobansonga, Mumanyi nnyo."},{"id":140,"translation":"Mazima baafaafaaganirwa abo abatta abaana baabwe mu busiru olw'obutamanya, era mu ngeri y'okutemerera Allah ne baziza ebyo Allah bye yabagabira, mazima baabula era tebaali baluŋŋamu."},{"id":141,"translation":"Era Yye (Katonda) y'Oyo eyateekawo amalimiro agabalira ku ttaka n'ago agatabalira ku ttaka, n’emitende n'ebimera (ebirala) nga okuwooma kwabyo kwawukamu, n'e mizayituuni n’enkomamawanga ebifaanagana mu ndabika yaabyo ate nga obuwoomu bwabyo bwawukamu, mulye ku bibala byabyo bwe biba nga bibaze ate muggyemu n'omutemwa gwabyo (ogwa Zzaka) olunaku lwe mubikungula, wabula temusukkanga ekigero kyabyo (mu nkozesa ne mu kutoola zzaka), anti Allah tayagala basukka kigero."},{"id":142,"translation":"Era (Katonda yateekawo) mu bisolo ebyetikka n’ebirala nga biggyibwako eby'okwaliira, mulye kw'ebyo Allah bye yabagabira so temugoberera buwufu bwa Sitaane, anti mazima yye gye muli mulabe wa lulango."},{"id":143,"translation":"Ebisolo ebirundibwa (Katonda bye yatukkiriza okulya) e mitindo gyabyo giri munaana, ebiri mu ndiga, n’ebiri mu mbuzi, bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Ensajja z’ombiriri Katonda ze yaziza ku mmwe, oba enkazi, oba amawako gaazo zombiriri, mumbuulire nga musinziira ku kumanya bwe muba nga bye mwogera bya mazima."},{"id":144,"translation":"Ne mu ŋŋamiya emitindo ebiri, ne mu nte emitindo ebiri, bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Ensajja z’ombiriri ze yaziza oba enkazi, oba amawako ga zombiriri, abaffe mwaliwo nga Allah akibalagira! olwo ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Allah obulimba, atuuke okubuza abantu awatali kumanya, bulijjo allah taluŋŋamya bantu beeyisa bubi."},{"id":145,"translation":"Gamba ggwe (Nnabbi Muhammadi) nti: Mu bubaka obwampebwa temuli kiri Haraamu kw'oyo aba ayagadde okukirya, be ppo nga ebadde nnyamanfu oba omusaayi ogwa kaffecce, oba ennyama y'embizzi, mazima ekikolwa eky’okulya ebintu ebyo kivve, oba (mu biri Haraamu) y'ensolo esalibwa mu bujeemu nga eyogereddwaako erinnya eritali lya Allah. Wabula omuntu aba alemereddwa nga takikola lwa jjoogo wadde okumenya Amateeka ga Katonda, mazima Mukama Omulabirizi Wo Musonyiyi era Musaasizi."},{"id":146,"translation":"Era twaziza ku Bayudaaya buli kisolo ekirina enjala, ate nga ente n'embuzi, twaziza ku bo amasavu gaazo okuggyako ag'okumugongo oba ebyenda oba agali mu nnyama ey'okuggumba, ekyo twabasasula nakyo lwabubuze bwabwe, mazima Ffe buli lwe twogera kiba ky'ekyo."},{"id":147,"translation":"Bwe bakulimbisa gamba nti: Mukama Omulabirizi Wammwe Okusaasira Kwe kugazi, kyokka ate Ebibonerezo Bye tebiyinza kuwonebwa bantu boonoonyi."},{"id":148,"translation":"Abo abagatta ebintu ebirala ku Katonda bajja kugamba nti singa Allah yayagala ffe ne bakadde baffe tetwandigasse kintu kirala ku Katonda, era tewali kintu kye twandifudde Haraamu, bwebatyo n'abaakulembera bwe baalimbisa okutuusa lwe baakomba ku bukaawu bw'e bibonerezo Byaffe. Gamba nti: Abaffe (mwogera ebyo) nga mulina kye musinziirako! Kale mukitulage, tewali kye mugoberera okugyako okulowoolereza era kye mukola si kirala okuggyako okuteebereza."},{"id":149,"translation":"Gamba (Ggwe Muhammadi) nti: Obujulizi obumatiza bwa Allah. Kale nno singa yayagala mwenna yaalibaluŋŋamizza."},{"id":150,"translation":"Gamba (Ggwe Muhammadi) nti: Muleete abajulizi bammwe abo abajulira nti mazima Allah yaziza ekintu gundi, bwe bajulira ne bakikakasa ggwe toba nabo, era togoberera n'omulundi n'ogumu okwagala kw'abo abalimbisa Ebigambo Byaffe, n'abo abatakkiriza Lunaku lwa Nkomerero, era nga bo bagatta ebintu ebirala ku Katonda Waabwe."},{"id":151,"translation":"Gamba nti mujje mbasomere ebyo Katonda Wammwe bye yafuula eby'omuzizo kummwe, temumugattangako ekintu kyonna, abazadde ababiri bateekeddwa okuyisibwa obulungi, temuttanga abaana bammwe olw’okutya obwavu, Ffe tugabirira mmwe nabo, era temusembereranga eby'obuwemu eby'olwatu mu byo n’ebyekwese, temuttanga omuntu oyo Allah gwe yaziza okuggyako nga waliwo ensonga entuufu. Ebyo nno (Katonda) yabibakalaatira kibayambe mube abategeera."},{"id":152,"translation":"Era temusembereranga emmaali ya bamulekwa okuggyako mu ngeri esinga okuba nnungi okutuusa omwana oyo nga akuze mu birowoozo, era mutuukirize ebipimo n'ebigero mu bwesimbu, omuntu tetumulaalikako okuggyako ekyo ky'asobola, era bwe muba nga mwogera mulage amazima aweebwako obujulizi ne bw'aba waaluganda, era mu ngeri ey'enjawulo mutuukirize obweyamo bwammwe bwe mwawa Allah. Ebyo nno Katonda yabibakalaatira kibayambe okujjukira (mwekube mu kifuba)."},{"id":153,"translation":"Era mazima ddala lino ly'ekkubo Lyange eggolokofu, kale nno lye muba mukwata, temugobereranga obukubo obulala ne kibakyusa okuva ku Kkubo Lye, ebyo nno yabibakalaatira mmwe mulyoke mube abamutya."},{"id":154,"translation":"Era (mukimanye) nti twawa Musa Ekitabo nga kujjuuliriza eri oyo akola obulungi era nga kittottola buli kintu, era nga buluŋŋamu na kusaasira, kibasobozese okukkiriza nti bagenda kusisinkana Mukama Omulabirizi Waabwe."},{"id":155,"translation":"Na kino Ekitabo (Kulaani) twakissa nga kya mukisa kale nno mukigoberere era mutye Katonda olwo nno musaasirwe."},{"id":156,"translation":"Muleme kugamba nti: Bwo Obubaka bwaweebwa ebibinja bya mirundi ebiri ebyatukulembera ate nga twali tetufaayo ku bye basoma."},{"id":157,"translation":"Oba muleme kugamba nti: Singa mazima ddala twassibwako Ekitabo twandibadde baluŋŋamu okusinga bali. Mazima obunnyonnyofu okuva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe n'obuluŋŋamu n’okusaasira byabajjira, kaakati ani eyeeyisa obubi okusinga oyo alimbisa e Ebigambo bya Allah n'abiwugukako? Abo abawuguka okuva ku Bigambo Byaffe tujja kubasasula nga tubatuusaako Ebibonerezo ebikakali olw'okuwuguka kwe baakolanga."},{"id":158,"translation":"Abaffe balina kye balindirira mpozzi Bamalayika okubajjira, oba Mukama Omulabirizi Wo ajje, oba obumu ku bubonero bwa Mukama Omulabirizi Wo bujje, (wabula) olunaku, obumu ku bubonero bwa Mukama Omulabirizi Wo lwe bulijja, omuntu tagenda kuganyulwa mu kukkiriza kwe kasita aliba nga mu kusooka teyali Mukkiriza oba obukkiriza bwe nga tebwamuyamba kukola birungi. Gamba (ggwe Muhammadi) nti: Mulindirire mazima naffe tulindiridde."},{"id":159,"translation":"Mazima ddala abo abatemaatema mu ddiini yaabwe, ne bafuuka biwayi tolina kakwate nabo ku kintu kyonna, mazima ensonga zaabwe ziri wa Allah (y'agenda okubalamula), olwo nno alyoke abategeeze ebyo bye baakolanga."},{"id":160,"translation":"Omuntu alijja nga akoze ekirungi kimu, alifuna empeera yaakyo emirundi kkumi, ate oyo alijja nga akoze ekibi, tagenda kusasulwa okuggyako ekyenkana n'ekyo kye yakola, era nga bulijjo, nabo tebagenda kulyazaamaanyizibwa."},{"id":161,"translation":"Gamba nti: Mazima nze Mukama Omulabirizi Wange yannuŋŋamya ku kkubo eggolokofu, nga Ddiini ennambulukufu, Eddiini ya Ibraahiimu, eyali omwesimbu mu nzikiriza, era tabangako mu bagatta ku Katonda kintu kirala."},{"id":162,"translation":"Gamba (Ggwe Muhammadi) nti: Mazima okusaala kwange, n’okusaddaaka kwange ebisolo, n’obulamu bwange, n’okufa kwange, byonna biri eri Mukama Omulabirizi W’ebitonde."},{"id":163,"translation":"Tewali kimugattibwako, bwentyo nno bwe nnalagirwa, era nze musaale mu beewaayo ewa Katonda."},{"id":164,"translation":"Gamba Ggwe (Nnabbi Muhammadi) nti: Abaffe nnyinza okuleka Allah ne nfuula ekintu ekirala kyonna okuba nga ye mulabirizi wange, so nga ate Yye ye Mulabirizi wa buli kintu, tewali kibi muntu ky'akola okuggyako nga kidda gy'ali, era tewali muntu yeetikka kibi kya mulala. Oluvannyuma eri Mukama Omulabirizi Wammwe y'eri obuddo bwammwe abalamule mu ebyo bye mwali mwawukanamu."},{"id":165,"translation":"Era Yye y'Oyo eyabateekawo nga mujja musikira obuvunaanyizibwa ku nsi, era n'asitula abamu kummwe mu madaala, olwo nno abagezesenga mu ebyo bye yabawa, mazima Mukama Omulabirizi Wo mwangu wa kubonereza, era mazima ddala Yye Musonyiyi nnyo Musaasizi."}]},{"id":7,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Miim Swaad"},{"id":2,"translation":"Kino Kitabo ekyassibwa gy'oli, tekisaanye kukuleetera nkenyera, obatiise nakyo era nga kya kwebuulirira eri Abakkiriza."},{"id":3,"translation":"Mugoberere ebyo ebyassibwa gye muli nga biva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe, naye temugobereranga abalala, wabula mujjukira kitono."},{"id":4,"translation":"Ebitundu bimeka bye twazikiriza! Ebibonerezo Byaffe ne bibatuukako ekiro, nga beebasse oba ne bibatuukako emisana nga bawumuddeko."},{"id":5,"translation":"Ebibonerezo Byaffe bwe byabajjira tebaalina kyakwogera okuggyako okugamba nti, mazima ddala tubadde tweyisa bubi."},{"id":6,"translation":"Tugenda kubuuliza ddala abo abaatumirwa era nga bwe tugenda okubuuliza ddala abaatumwa."},{"id":7,"translation":"Tugenda kubattottolerera ddala olw'okumanya (Kwaffe), anti tetubulangawo."},{"id":8,"translation":"Okupima ku Lunaku olwo kugenda kubeera kwa bwenkanya. Oyo yenna aliba n'ebipimo bye ne bizitowa, abo nno be bagenda okuba abawanguzi."},{"id":9,"translation":"Ate oyo yenna aliba n'ebipimwa bye ne biwewuka abo nno beebo abalifiiriza emyoyo gyabwe okusinziira ku ngeri gye beeyisangamu obubi ku bikwata ku Bigambo Byaffe."},{"id":10,"translation":"Mazima twabawa obuyinza ku nsi ne tugibateeramu ebibabeezaawo (wabula) musiima kitono."},{"id":11,"translation":"Era mazima twabatonda mmwe, oluvannyuma twabawa ebifaananyi byammwe, oluvanyuma ne tugamba Bamalayika nti: muvunnamire Adamu, ne bavunnama okuggyako Ibuliisu (Sitaane) teyali mu baavunnama."},{"id":12,"translation":"(Allah) n'agamba nti: Kiki ekikugaanye okuvunnama bwe nkulagidde?(Sitane) n'agamba nti: nze mulungi okumusinga, wantonda mu muliro, ate yye n'omutonda mu ttaka."},{"id":13,"translation":"Katonda n'agamba nti: Gifulume (Ejjana), tolina lukusa kuwaganyaliramu, kale fuluma mazima ggwe oli mu bakkakkanyiziddwa."},{"id":14,"translation":"(Sitaane) n'agamba nti : Nnindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa."},{"id":15,"translation":"(Katonda), n'agamba nti: Mazima ggwe okkiriziddwa okubeera mu balindirizibwa."},{"id":16,"translation":"(Sitaane) naagamba nti: Nga nga bw'ombuzizza nja kubateeganga ku Kkubo Lyo eggolokofu."},{"id":17,"translation":"Olwo nno ndyoke mbalumbire ddala nga mbava mu maaso n'emabega waabwe ne ku ddyo waabwe ne kkono, era togenda kusanga abasinga obungi mu bo nga beebaza."},{"id":18,"translation":"(Katonda) n'agamba nti: Gifulume nga ovumirirwa era nga ogobaganyizibwa. Oyo yenna alikugoberera mu bo ggwe nabo, mwenna ŋŋenda kubajjuza mu Muliro."},{"id":19,"translation":"Era ne tugamba Adamu nti: Ggwe ne Mukyala wo mubeere mu Jjana mwembi mulye wonna we mwagala, naye temusemberera omuti guno ne kibatuusa mwembiriri okubalibwa mu beeyisa obubi."},{"id":20,"translation":"Sitaane yababuzaabuza n'eba ensonga gye yayitamu okubalaga obwereere bwabwe obwo obwali butabamanyisiddwa. (Sitaane) n'agamba nti: Mukama Omulabirizi Wammwe mwembiriri teyabagaana muti guno okuggyako lwakuba nti mwembiriri mwandibadde Bamalayika oba mwembiriri okubeera abalamu olubeerera."},{"id":21,"translation":"(Sitaane) n'abalayirira nti: Mazima ddala nze gye muli mmwe mwembiriri ndi omu ku bawi b'amagezi."},{"id":22,"translation":"Naababuza bombi ng’ayita mu kubakwenyakwenya. Bwe baamala okukomba ku buwoomu bw’omuti, obwereere bwabwe bwabeeyoleka, olwo nno ne batandika okunoga ebikoola by'omujjana nga bwe beebikkako Mukama Omulabirizi Waabwe n'abakoowoola (mu ddoboozi eryomwanguka) nti: Ssaabagaana mwembiriri omuti ogwo era mwembiriri ne mbagamba nti: Mazima ddala Sitaane mulabe ow'olwatu gye muli mwembiriri."},{"id":23,"translation":"Ne bagamba bombiriri nti: Ayi Mukama Omulabirizi Waffe, tweyisizza bubi, era bw'otootusonyiwe n’otusaasira tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa."},{"id":24,"translation":"(Katonda) n'agamba nti: Mugende, abamu mu mmwe nga muli balabe ba bannaabwe, mujja kutuulanga ku nsi n'okweyagala okutuusa ekiseera ekigere."},{"id":25,"translation":"(Katonda) n'agamba nti mu yo mwe muliwangaalira, mu yo mwe mulifiira, era mu yo mwe muliggyibwa (muzuukire)."},{"id":26,"translation":"Abange mmwe abaana ba Adamu, mazima twabawa ebyambalo ebibikka ensonyi zammwe, ne tubawa n'ebyambalo bye mwewunda nabyo, wabula ekyambalo ky’okutya Katonda kyo kye kisinga obulungi. Bino bye bimu ku Bigambo bya Katonda (by'abatumira) babe nga beebuulirira."},{"id":27,"translation":"Abange mmwe abaana ba Adamu, Sitaane tababuzaabuzanga, nga bwe yagobesa bakadde bammwe bombiriri mu Jjana n'aba nga abambula ebyambalo byabwe bombiriri olwo nno abe nga abalaga nti bali bwereere, anti mazima yye (Sitaane) ne banne babalaba mmwe we mutabalabira. Mazima Ffe twafuula Sitaane ezo okuba mikwano nfa nfe eri abo abatakkiriza."},{"id":28,"translation":"Bwe baba bakoze eky'obuwemu bagamba nti: Twasanga bakadde baffe nga bakilola, era nga Katonda Ye yakitulagira. Gamba ggwe (Nnabbi Muhammadi) nti: Mazima Allah talagira byabuwemu, mutuuka n'okwogera ku Allah ebyo byemutamanyi!"},{"id":29,"translation":"Ggwe (Nnabbi Muhammadi) gamba nti: Mukama Omulabirizi Wange yalagira okukola obwenkanya, era mubeerenga beesimbu mu kusinza mu buli Ibaada, (okusingira ddala) buli lwe mugenda mu Mizikiti, era bwe muba nga musaba musabe Yye Yekka, olwo nno mube nga Eddiini mugikolera Yye Yekka, anti nga bwe yabatandika (mu kubatonda) mugenda kuddawo (oluvannyuma lw'okufa)."},{"id":30,"translation":"Ekibinja ekimu yakiruŋŋamya ate nga ab'ekibinja ekirala baakakatwako obubuze, anti mazima bo Sitaane baazifuula mikwano gyabwe ffa nfe ne baleka Katonda, ate ne beebala nti mazima bo baluŋŋamu."},{"id":31,"translation":"Abange abaana ba Adamu mwambalenga bulungi buli lwe mugenda okusaala, era mulye munywe naye temudiibuudanga. Mazima Katonda tayagala badiibuuzi."},{"id":32,"translation":"Gamba (Ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Ani yaziza eby’okwewunda bya Allah ebyo bye yawa abaddu Be ne Liziki nga ebadde nnungi? Gamba nti byo n'Abasiraamu bakkirizibwa okubikozesa mu bulamu obwensi, naye bigenda kubeera byabwe bokka ku Lunaku lw'Enkomerero. Bwetutyo nno bwe tunnyonnyola ebigambo eri abantu abamanyi."},{"id":33,"translation":"Gamba nti: Mukama Omulabirizi Wange yaziza ebyobuwemu eby'olwatu n’ebyenkiso era yaziza obwonoonyi n’okulumbagana abantu awatali nsonga ntuufu, era n'aziza okuba nga mugatta ku Allah ebintu ebirala ekintu ky'atassaako bujulizi era n'aziza okuba nga mwogera ku Allah bye mutamanyi."},{"id":34,"translation":"Buli bantu balina ekiseera ekyabagererwa, entuuko yaabwe bw'etuuka, tebayinza kusaba kaseera kubongozebwayo wadde okukendeezebwako (ne bakifuna)."},{"id":35,"translation":"Abange mmwe abaana ba Adamu, ababaka bwe balibajjira , nga bava mu mmwe, nga babannyonnyola Ebigambo Byange, oyo yenna alitya Katonda n'akola emirimu emirungi abo nno tebalibaako kutya era tebagenda kunakuwala."},{"id":36,"translation":"Na'bo abalimbisa Ebigambo Byaffe ne beekuluntaza, ne babireka abo nno be bantu b'Omuliro bo baakugubeeramu bugenderevu."},{"id":37,"translation":"Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajweteka Allah, oba n'alimbisa Ebigambo Bye, abo nno omugabo gwabwe ogwabagererwa gubatuukako, olwo nno Ababaka Baffe (Bamalayika) bwe babajjira okubaggyamu emyoyo bagamba nti bali wa abo be mwasinzanga ne muleka Allah? Ne baanukula nga bagamba nti: Batubuzeeko, ne beewaako obujulizi nti mazima ddala baali bakaafiiri."},{"id":38,"translation":"Katonda aligamba nti: Muyingire Omuliro nga muyingirira mu bibinja eby'abo be mufaanana, abaabakulembera mu majinni ne mu bantu, buli kibinja ekiriyingira nga kikolimira kinnaakyo okutuusa nga bonna bamaze okusisinkana mu gwo, ekibinja ekisembayo kiryogera ku ky'olubereberye ne kigamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Waffe, abo baatubuza bawe ebibonerezo by'omuliro nga obikubisizzaamu, Katonda n'agamba nti: Buli bamu baakwongezebwamu naye temumanyi."},{"id":39,"translation":"Ab'olubereberye baligamba ab’enkomerero (nti ekyo kyemwogera) tekibawa nkizo yonna ku ffe, kale mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo olw'ebyo bye mwakolanga."},{"id":40,"translation":"Mazima abo abaalimbisa Ebigambo Byaffe ne babyekuluntalizaako, emiryango gy'eggulu tegigenda kubaggulirwa, era tebagenda kuyingira Jjana beppo nga eŋŋamiya eyise mu katuli k'empiso. Bwetutyo nno bwe tusasula aboonoonyi."},{"id":41,"translation":"Balina obuliri mu Muliro Jahannama nga ne byokwebikka waggulu waabwe Muliro, era bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi."},{"id":42,"translation":"Bo abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi, tetuwaliriza muntu yenna okuggyako ky'asobola, abo nno be bantu b'okuyingira Ejjana, bo baakutuula bugenderevu mu yo."},{"id":43,"translation":"Era tugenda kuggya mu bifuba byabwe obukukuuzi bwonna, (balibeera mu Jjana) nga ekulukutiramu emigga, era baligamba nti: Amatendo ga Allah Oyo eyatuluŋŋamya eri ekkubo erituuka eri kino, tetwali baakuluŋŋama singa Allah teyatuluŋŋamya. Mazima Ababaka ba Mukama Omulabirizi Waffe bye baaleeta gaali mazima meereere, era balikowoolwa nti eyo Ejjana mugifunye olw'ebyo bye mwakolanga."},{"id":44,"translation":"Abalibeera mu Jjana balikoowoola abalibeera mu Muliro nga bagamba nti: Mazima Mukama Omulabirizi Waffe bye yatulagaanyisa tusanze nga bituufu, nammwe Mukama Omulabirizi Wammwe bye yabalagaanyisa mubisanze nga by:ebyo? Baligamba nti: Yye. Olwo nno omulanzi alirangirira wakati waabwe, nti: Ekikolimo kya Allah kibeere ku beeyisa obubi."},{"id":45,"translation":"Beebo abaziyiza abantu okukwata Ekkubo lya Allah, era ne balyagala libeeremu amakoona era bo ne bawakanya Olunaku lw’Enkomerero."},{"id":46,"translation":"Era wakati w’abantu b'omumuliro n’aboomujjana walibaawo ekikomera, nga waggulu ku kikomera waliyo abasajja abaawula buli muntu okusinziira ku bulambe bwe, (abantu abo) balikoowoola abantu b’omujjana, ne babagamba nti: Emirembe gibeere ku mmwe, anti (abalibeera mu kifo ekyo), baliba tebannayingira Jjana era nga amaddu gabatta."},{"id":47,"translation":"Ate amaaso gaabwe bwe galikyusibwa ne goolekera abantu b’omumuliro baligamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Waffe, totuteeka wamu na balyazaamaanyi."},{"id":48,"translation":"Era abalibeera ku kikomera balikoowoola abantu be balimanya olw'obulambe bwabwe ne bagamba nti bye mwakuŋŋaanya tebibayambye, wadde okwekuza kwe mwalimu."},{"id":49,"translation":"Abo beebo be mwalayirirako nti Katonda tagenda kubasaasira (mwe wamma) muyingire Ejjana, temulifuna kutya era temugenda kunakuwala."},{"id":50,"translation":"Era abantu b'omumuliro balikoowoola aboomu Jjana ne bagamba nti: Mutuwe ku mazzi oba n'ekirala kyonna kw'ebyo Allah by'abagabidde. Baligamba nti: Mazima byombi Allah yabiziza ku bakaafiiri."},{"id":51,"translation":"Abo abaafuula eddiini yaabwe ekinyumu n'omuzannyo, obulamu bw'ensi ne bubagayaaza kale nno olwaleero tujja kubeerabira nga nabo bwe beerabira nti walibaayo okutuuka ku lunaku luno, era n’okuba nti baali bawakanya Ebigambo Byaffe."},{"id":52,"translation":"Era mazima ddala twabawa Ekitabo mwe twannyonnyolera buli kintu nga tusinziira ku kumanya, (Ekitabo ekyo) buluŋŋamu era kusaasira eri abantu abakkiriza."},{"id":53,"translation":"Abaffe balina kye balindirira okuggyako Kulaani by'eyogerako gye biriggwera? Olunaku bwe lulituuka okulaga ensonga gye ziriggweera, abo abaagireka olubereberye baligamba nti: Ababaka ba Mukama Omulabirizi Waffe baaleeta amazima, naye abaffe tusobola okufuna abawolereza batuwolereze, oba tuyinza okuzzibwayo (ku nsi), netukola emirimu (emirungi) egitali egyo gye twali tukola? Mazima baafiiriza emyoyo gyabwe n’ebyo bye baali beegunjirawo ne bibabulako."},{"id":54,"translation":"Mazima Mukama Omulabirizi Wammwe Allah, y'Oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku mukaaga, olwo nno n'akkalira ku Arishi, ekiro akibikka omusana, nga kigunoonya mu bwangu obuyitirivu, era yatonda enjuba n’omwezi n'emmunyeenye nga byonna bitambulira ku Kiragiro Kye. Abange mukimanye nti okutonda n'okulagira bibye. Allah yayawukana Omulabirizi W’ebitonde."},{"id":55,"translation":"(Kale nno) Musabe Mukama Omulabirizi Wammwe nga muli bakkakkamu (mu lwatu) ne mu kyama, anti mazima Yye tayagala basukka nsalo."},{"id":56,"translation":"Era temwonoonanga mu nsi oluvannyuma lw'okugirongoosa, era Katonda mumusabenga olw'okutya Ebibonerezo Bye, n'olw'okululunkanira ebirungi Bye, anti mazima okusaasira kwa Katonda kuba kumpi n’abalongoosa (e mirimu gyabwe)."},{"id":57,"translation":"Era Katonda y'Oyo asindika empewo, nga zireeta amawulire ag'essanyu okuva mu kusaasira Kwe, olwo nno bwe zisindika ebire ebizito, ebirimu amazzi tubiweereza eri e kitundu ekikalu, ne tukitonnyesaamu enkuba, olwo nno ne tumeza nayo ebimera, era bwe tutyo nno n'abafu bwe tugenda okubazuukiza, mulyoke mwebuulirire (nakyo)."},{"id":58,"translation":"Ekitundu ky'ensi ekirungi ebisigwamu bimera bulungi olw'obuyinza bwa Mukama Omulabirizi Waakyo. Ate eky'olunnyo tekimeraamu okuggyako nga bibi, bwe tutyo nno bwe tunnyonnyola ebigambo eri abantu abeebaza."},{"id":59,"translation":"Mazima twatuma Nuuhu eri abantu be, n'agamba nti: Bantu bange, musinze Allah Yekka, tewali mulala yenna asaanidde okuggyako Yye. Mazima nze mbatiisa ebibonerezo by'Olunaku Oluzito."},{"id":60,"translation":"Abakungu mu bantu be ne bagamba nti: Mazima ffe tukulaba nga oli mu bubuze obw'olwatu."},{"id":61,"translation":"N'agamba nti: Bantu bange, siriiko bubuze bwonna naye mazima nze ndi Mubaka okuva ewa Mukama Omulabirizi W’ebitonde."},{"id":62,"translation":"Nga mbatuusaako Obubaka bwa Mukama Omulabirizi Wange, era nga mbabuulirira, era nga mmanyi okuva ewa Allah ebyo bye mutamanyi."},{"id":63,"translation":"Mwewuunya okulaba nti obubyaka bubajjidde okuva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe nga bukkira ku Musajja ava mu mmwe, n'aba nga abeekesa, era kibafuule abatya Katonda mube nga musaasirwa."},{"id":64,"translation":"Ne bamulimbisa ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato, era ne tuzikiriza abo abaalimbisa Ebigambo Byaffe, anti mazima bo baali bamuzibe."},{"id":65,"translation":"N’abeekika kya Aadi twabatumamu muganda waabwe Huudu, n'agamba nti: Bantu bange , musinze Allah Yekka. Temulinaayo mulala atali Yye asaana kusinzibwa. Abaffe temutya?"},{"id":66,"translation":"Abakungu abo abaagana okukkiriza mu bantu be ne bagamba nti: Mazima ffe tukulaba nga o wali mu bya butaliimu, era mazima ffe tukulaba, ng’omu ku balimba."},{"id":67,"translation":"N'agamba nti: Bantu bange, siri mu byabwewussa, wabula mazima ddala nze ndi Mubaka atumiddwa Mukama Omulabirizi W'ebitonde."},{"id":68,"translation":"Mbatuusaako Obubaka bwa Mukama Omulabirizi Wange nga nange gye muli ndi mubuulirizi omwesimbu."},{"id":69,"translation":"Mwewuunya okuba nti Obubaka bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi Wammwe! Nga bukkira ku musajja ava mu mmwe, nga abeekesa!. Era mwandibadde mujjukira bwe yabafuula abasigire oluvannyuma lw'abantu b'omulembe gwa Nuuhu, n'abongera obugimu mu butonde, kale nno mujjukire ebigabwa bya Allah kibasobozese okutuuka ku buwanguzi."},{"id":70,"translation":"Ne bagamba nti: Abaffe, ekikuleese gye tuli lwa kusinza Katonda Yekka, tuleke ebyo bajjajjaffe bye baali basinza, bwe kiba bwekityo tutuuseeko ekyo ky’otulagaanyisa, bw'oba nga oli mu boogera amazima."},{"id":71,"translation":"(Huudu) n'agamba nti: Ebibonerezo n’obusungu bya Mukama Omulabirizi Wammwe bibakakaseeko. Muyinza mutya okumpakanya ku mannya ge mwetuumira mmwe, ne bakadde bammwe, nga Allah tabissangako bujulizi bwonna? Kale nno mulindirire, mazima nze nindirira wamu nammwe."},{"id":72,"translation":"Ne tumuwonya n'abo abaali naye olw'okusaasira Kwaffe, ne tusiguukulula emirandira gy'abo abaalimbisa Ebigambo Byaffe, era tebabeerangako Bakkiriza."},{"id":73,"translation":"Era aba Thamudu twabatumira muganda waabwe Swalehe n'agamba nti: Bantu bange, musinze Allah Yekka, temulinaayo asinzibwa mu butuufu mulala atali Yye. Obujulizi bubajjidde okuva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe. Eno eŋŋamiya ya Allah kyamagero gye muli, kale nno mugireke eriire mu nsi ya Allah wonna w'eyagala, temugituusaako akabi ne mutuuklbwako ebibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":74,"translation":"Era mujjukire Katonda bwe yabazza mu bigere by'abeekika kya Aadi, n'abatebenkeza mu nsi, nga mu biwonvu byayo, muzimbamu amayumba amatiribona, ate nga ensozi muzisima nezifuuka amayumba, kale nno mujjukire ebyengera bya Allah, era temugufuula omulimu okugenda nga mwonoona ku nsi."},{"id":75,"translation":"Abakungu abo abeekuluntaza mu bantu b'ekibiina kye, ne bagamba abaanyoomebwanga mu bo, nga bagamba abo abaali bakkiriza mu bo, nti: Mukakasa nti ddala Swaleh Mubaka okuva eri Mukama Omulabirizi We? Ne bagamba nti: Yye, mazima ddala ffe tukkiriza byonna ebyamutumwa."},{"id":76,"translation":"(Olwo nno) abo abeekuza ne bagamba nti, mazima ffe tuwakanyiza ddala ebyo bye mukkirizza."},{"id":77,"translation":"Eŋŋamiya ne bagifumita ne bava ku Kiragiro kya Mukama Omulabirizi Waabwe, era ne bagamba nti: Swalehe, bw'oba oli mu luse lw'Ababaka twanguyize ebyo by'otusuubiza."},{"id":78,"translation":"Okukankana okw'amaanyi (Musisi) ne kubajjira ne bakeesa enkya nga mirambo egigaŋŋalamye mu mayumba gaabwe."},{"id":79,"translation":"Awo nno (Swalehe) kwe kubavaako nga bw'abagamba nti: Bantu bange, mazima nnabatuusaako Obubaka bwa Mukama Omulabirizi Wange, era nnababuulirira naye temwagala babuulirira."},{"id":80,"translation":"Ne Luutu bwe yagamba abantu be nti: Mukola ebyobuwemu, nga mu nsi yonna tewali muntu yali abikoze!"},{"id":81,"translation":"Mazima mmwe obwagazi bwammwe mubukola ku basajja ne mulekawo abakazi wabula bantu mmwe, kye mukola muli abasukka ensalo."},{"id":82,"translation":"Okwanukula kw’a bantu be tewali okuggyako, okuba nga baagamba nti, (abo) mubafulumye mu nsi yammwe, anti bo bantu abeetwala okuba nti batuukirivu."},{"id":83,"translation":"Wabula twamutaasa n’abantu be okuggyako mukyala we, yasigala n'abaatuukibwako ebibonerezo."},{"id":84,"translation":"Ne tubasindikira enkuba (nga ya mayinja). Kale fumiitiriza enkomerero y'abajeemu bwe yali."},{"id":85,"translation":"Ate ab'e Madyana twabatumira muganda waabwe Shu'ayibu, n'agamba nti: Bantu bange , musinze Allah. Tewali asaanidde kusinzibwa atali Yye. Obunnyonnyofu okuva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe bubajjidde, kale nno mutuukirize ebirengwa n’ebipimwa, temugaananga okutuukiririza abantu ebintu byabwe, era temwonoonanga mu nsi oluvannyuma lw'okugikola nga nnungi, ekyo nno ky'e kirungi gye muli bwe muba nga muli Bakkiriza."},{"id":86,"translation":"Era temuteeganga abantu mu kkubo lyonna ne mubatiisa ne muziyiza abantu abakkiriza Allah okuweereza mu kkubo Lye, ne mulifuula ebbi eri abantu, era mujjukire nga bwe mwali abatono n'abayingiwaza, era mulabe enkomerero y’abonoonyi nga bwe yali."},{"id":87,"translation":"Era bwekiba nga ekibinja ku mmwe bakkiriza ekyo kye nnatumwa nakyo, ate nga ekibinja ekirala tebakkiriza, kale mulinde okutuusa Allah lw'anaatulamula, anti bulijjo y'asinga abalamuzi."},{"id":88,"translation":"Abakungu abo abeekuluntaza mu bantu be, baagamba nti: Shu'ayibu, tujja kukugoba mu kitundu kyaffe n’abo abakkiriza abali naawe, oba si ekyo, oteekeddwa okudda mu ddiini yaffe. N’agamba nti: Ne bwetuba nga ekyo si kyetwagala?"},{"id":89,"translation":"Mazima tunaaba tugunjizza ku Allah ebigambo e by'obulimba singa tudda mu ddiini yammwe, oluvannyuma lwa Allah okugituwonya, era tewali nsonga egituddisaamu, okuggyako nga Mukama Omulabirizi Waffe y'ayagadde, Mukama Omulabirizi Waffe okumanya kwe kubuna buli kintu, ku Allah kwe twekutte, ayi Mukama Omulabirizi Waffe salawo wakati waffe n’abantu baffe mu mazima, anti Ggwe osinga abasalawo bonna."},{"id":90,"translation":"Abakungu abo abaagana okukkiriza mu bantu be ne bagamba nti: Singa mugoberera Shu'ayibu, olwo nno mazima mmwe, mujja kubeera mu bafaafaaganiddwa."},{"id":91,"translation":"Okukankana okw'amaanyi (Musisi) ne kubajjira ne bakeesa nga mirambo egigaŋŋalamye mu mayumba gaabwe."},{"id":92,"translation":"Abo abaalimbisa Shu'ayibu ne baba nga abateeyagalirangako mu mayumba gaabwe, abo abaalimbisa Shu'ayibu bo be baafaafaaganirwa."},{"id":93,"translation":"Olwo nno Shu'ayibu n’abavaako n'agamba nti: Bantu bange, mazima nnabatuusaako Obubaka bwa Mukama Omulabirizi Wange, era ne mbabuulirira. Butya bwennyinza okunyolwa olw’abantu abakaafiiri."},{"id":94,"translation":"Tewali Nnabbi gwe twatuma mu kitundu kyonna okuggyako nga abantu b’omukitundu e kyo, (bwe bamulimbisa) tubatuusaako obubenje n’obuzibu, olwo nno balyoke bagonde."},{"id":95,"translation":"Oluvannyuma mu kifo ky'ekibi ne tuwaanyisaamu ekirungi, okutuusa lwe baayala embeera yaabwe n'etereera, ne bagamba nti, (si ffe tusoose) ne bakadde baffe baatuukibwako obuzibu, ate oluvannyuma ne batuukibwako obwangu. (awamu n'ekyo Katonda agamba nti:) ne tubakwata (ne tubatta) nga nabo tebategeera."},{"id":96,"translation":"Singa abantu b’omubitundu ebyo bakkiriza ne batya Katonda, twandibagguliddewo emikisa okuva mu ggulu ne mu nsi, naye baalimbisa, olwo nno ne tubabonereza olw’ebyo bye baakolanga."},{"id":97,"translation":"Abaffe, abantu b’omubitundu ebyo baalina obukakafu nti ebibonerezo Byaffe tebiyinza kubatuukako kiro, nga nabo beebasse?"},{"id":98,"translation":"Oba abantu b’omubitundu ebyo baalina obukakafu nti ebibonerezo Byaffe tebiyinza kubatuukako misana, nga nabo bali mu kuzannya."},{"id":99,"translation":"Abaffe baawona okusalawo kwa Allah, (ekituufu kiri nti) tewali ayinza kulowooza nti ayinza okuwona okusalawo kwa Allah okuggyako abantu abaafaafaaganirwa."},{"id":100,"translation":"Abaffe tekitegeerekeka eri abo abasikira ensi oluvannyuma lw’abagibaddemu okufa nti, singa twayagala twalibavunaanye olw’ebyonoono byabwe, ne tuteeka envumbo ku mitima gyabwe ne baba nga tebawulira."},{"id":101,"translation":"Ebitundu ebyo tukutegeeza ebimu ku byafaayo byabyo, era mazima Ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baali tebayinza kukkiriza ebyo bye baalimbisa mu kusooka, bulijjo Allah bw'atyo bw'azibikira emitima gy’abakaafiiri."},{"id":102,"translation":"Era abasinga obungi mu bo tetwabasanga na ndagaano yonna (gye baatuukiriza), wabula twasanga abasinga obungi mu bo nga boonoonyi."},{"id":103,"translation":"Ate oluvannyuma lwabwe, twatuma Musa ewa Falaawo n’abakungu be, nga tumuwadde eby’amagero Byaffe ne babiwakanya, kale nno, fumiitiriza olabe enkomerero y’aboonoonyi nga bwe yali."},{"id":104,"translation":"Musa n'agamba nti: Owange Falaawo, mazima nze ndi Mubaka okuva ewa Mukama Katonda Omulabirizi W’ebitonde."},{"id":105,"translation":"Kikakafu okuba nga siyogera ku Allah okuggyako amazima, mazima mbaleetedde obujulizi okuva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe , n’olwekyo mpa abaana ba Yisirayiri (ŋŋende nabo)."},{"id":106,"translation":"(Falaawo) n'agamba nti: Oba olina obujulizi bw'ozze nabwo buleete, bw'oba nga ddala oli mu boogera amazima."},{"id":107,"translation":"Awo nno Musa n'asuula omuggo gwe, okugenda okulaba nga musota omweyolefu."},{"id":108,"translation":"Era n'aggyayo omukono gwe okugenda okulaba nga gwakaayakanira abalabi."},{"id":109,"translation":"Abakungu mu bantu ba Falaawo ne bagamba nti mazima ono, mulogo kakensa."},{"id":110,"translation":"Ayagala ku baggya mu nsi ya mmwe, kati mmwe kiki kye mugamba."},{"id":111,"translation":"Ne bagamba nti: Mugambe ne muganda we balindeko, otume mu bitundu byonna abakunga (abalogo)."},{"id":112,"translation":"Bajja kukuleetera buli mulogo omukugu."},{"id":113,"translation":"Abalogo ne bajja ewa Falaawo ne bagamba nti: Mazima tuteekwa okusasulwa singa ffe tunaaba tuwangudde."},{"id":114,"translation":"N'agamba nti: Weewaawo, era mazima ddala mujja kubeera mu abo abambeera ku lusegere."},{"id":115,"translation":"Ne bagamba nti: Owange Musa, ggwe osooka okwanja, oba ffe tusooka okusuulawo."},{"id":116,"translation":"Yabagamba nti musseewo, bwe bassaawo baaloga amaaso g’abantu, era ne babatiisa nnyo, anti baaleeta eddogo eppitirivu."},{"id":117,"translation":"Ne tutumira Musa nti: Suula omuggo gwo, ne gutandika okumira ebyo byonna bye baali bajingiridde."},{"id":118,"translation":"Amazima ne galabika, byonna bye baali bakola ne bifa."},{"id":119,"translation":"Bwebatyo ne bawangulirwa awo wennyini, ne bafuuka abakkakanyiziddwa."},{"id":120,"translation":"Abalogo beeyala ne bavunnama."},{"id":121,"translation":"Ne bagamba nti: Tukkirizza Mukama Katonda Omulabirizi W’ebitonde."},{"id":122,"translation":"Mukama Omulabirizi Wa Musa ne Haaruuna."},{"id":123,"translation":"Falaawo n'abagamba nti: Mumukkirizza nga sibawadde lukusa? Mazima luno nno lukwe lwe mwakoledde mu kitundu kino olw'ekigendererwa ky’okugobamu abantu baamu, naye mujja kukimanya."},{"id":124,"translation":"Nja kubatemako emikono n’amagulu gammwe mu ntunujju (nga bwe tutema omukono ogwaddyo, okugulu tutema kwakkono) ate oluvannyuma mwenna nja kubabamba ku miti."},{"id":125,"translation":"Ne bagamba nti (ekyo temuli), anti mazima ddala ffe olwo tunaaba tudda eri Mukama Omulabirizi Waffe."},{"id":126,"translation":"Tolina kyotuvunaana okuggyako okuba nti tukkirizza ebigambo bya Mukama Omulabirizi Waffe ebitujjidde, ayi Mukama Omulabirizi Waffe tugonnomoleko obugumiikiriza, era otuuse entuuko yaffe nga tuli Basiraamu."},{"id":127,"translation":"Abakungu mu bantu ba Falaawo ne bagamba nti: Onooleka Musa n’abantu be boonoone mu nsi era osuubire nti Musa anaakuleka ne bakatonda bo?(Falaawo) kwe kugamba nti: Abaana baabwe ab’obulenzi tujja kubatta, tulekewo bawala baabwe, mazima ffe, nga bulijjo tubali waggulu, era tubasukkulumye mu maanyi."},{"id":128,"translation":"Musa n'agamba abantu be nti: Mwekwate ku Allah era mugumiikirize, mazima ddala ensi ya Allah Yekka, agisikiza abo b’aba ayagadde mu baddu Be, era enkomerero ennungi, y'abo abatya Katonda."},{"id":129,"translation":"Ne bagamba nti, mazima twabonyaabonyezebwa nga tonnatujjira, n’oluvanyuma lw’okutujjira! (Musa) n'agamba nti: Mukama Omulabirizi Wammwe ajja kuzikiriza omulabe Wammwe, mu kifo kyabwe azzeewo mmwe, nga abasigire mu nsi, olwo nno atunuulire alabe bwe mukola."},{"id":130,"translation":"Mazima twabonereza abantu ba Falaawo n’emyaka gy’enjala, n’ekkekwa ly’ebibala, babe nga bajjukira."},{"id":131,"translation":"Ekirungi bwe kyabajjiranga baagambanga nti: Kino kyaffe, (ffe tukikoze) buli lwe baatukwangako ekibi, nga beekwasa Musa n’abo abaali naye, naye nga ddala ekikwa kyabwe kiri wa Allah, wabula mazima abasinga obungi mu bo tebamanyi."},{"id":132,"translation":"Era ne bagamba nti: Buli kabonero konna k’onootuleetera obe nga otuloga nako, tetugenda kukukkiriza."},{"id":133,"translation":"Olwo nno ne tubasindikira amataba, n’enzige, n’ensekere, n’ebikere n’omusaayi nga bubonero obulagiddwa obulungi, wabula ne beekuluntaza, anti era bulijjo baali bantu aboonoonyi."},{"id":134,"translation":"Ekibonerezo bwe kyamala okubatuukako baagamba nti: Musa, tusabire Mukama Omulabirizi Wo, ng’osinziira ku ebyo bye yakuwa, singa otuggyako ekibonerezo kino, ddala tujja kukukkiriza era tugenda kukuweera ddala abaana ba Yisirayiri (obatwale)."},{"id":135,"translation":"Bwe twamala okubaggyako ekibonerezo nga ebbanga eryali libagereddwa liweddeko, ekyaddirira bo kumenya ndagaano."},{"id":136,"translation":"Olwo nno ne tubalaga obusungu Bwaffe, ne tubazikiririza mu nnyanja olw'okuba nti, mazima bo baalimbisa Ebigambo Byaffe, era nga ku byo baali bagayaavu."},{"id":137,"translation":"Abantu abo abaali batwalibwa okuba nti baawansi ne tubasikiza obuvanjuba n’obugwanjuba bw'ensi eyo gye twassaamu emikisa, Ekigambo kya Mukama Omulabirizi Wo, ekirungi ku baana ba Yisirayiri ne kituukirira ku lw'ebyo bye baagumiikiriza, ne tusaanyaawo byonna Falaawo n’abantu be bye baali bakola ne bye baali bazimba."},{"id":138,"translation":"Ne tusomosa abaana ba Yisirayiri ennyanja, ne bayita ku bantu abaali beefunyiridde ku kusinza amasanamu gaabwe, ne bagamba nti: (Musa), tuteerewo ekisinzibwa nga nabo bwe balina e bisinzibwa, (Musa) n'agamba nti mazima ddala mmwe, muli bantu abatategeera."},{"id":139,"translation":"Mazima abo bye balimu bya kuzikirizibwa, era ebyo bye bakola bifu."},{"id":140,"translation":"N'agamba nti: Ekitali Katonda omu omutuufu kyemba mbateerawo musinze! Ate nga Yye Ye yabasukkulumya ku bitonde byonna?!"},{"id":141,"translation":"Mujjukire bwe twabataasa ku bantu ba Falaawo bwe baali babakombesa ku bukaawu bw'ebibonyoobonyo, nga batemula abaana bammwe abalenzi nebbalekawo bawala bammwe, mw'ekyo mwalimu okugezesa kunene nnyo okuva eri Mukama Omulabirizi Wammwe."},{"id":142,"translation":"Twalagaanyisa Musa amale ebiro amakumiasatu nga yeetegekera okusisinkana Mukama Omulabirizi We, ate netubijjuza n’ekkumi, olwo nno Mukama Omulabirizi We kye yamugerera ne kituukiriza, nga z’ennaku amakumiana, awo Musa n'agamba muganda we, Haaruuna nti, Nsigalira mu bantu bange, era kola bulungi, togoberera n’omulundi n’ogumu ekkubo ly’aboonoonyi."},{"id":143,"translation":"Musa bwe yajja mu kifo kye twamulagira, Mukama Omulabirizi We n’ayogera naye, (Musa) yagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, nzikiriza nkutunuleko, n’amugamba nti tosobola kundaba, naye tunula ku lusozi olwo, bwe lunaasobola okusigala mu kifo kyalwo, olwo nno ojja kundaba, wabula Mukama Omulabirizi We bwe yeeyoleka eri olusozi, yalufuula ensaano, era Musa n’agwa ku ttaka nga azirise, bwe yadda engulu n'agamba nti: Oli Musukkulumu, nkwenenyerezza, era nkwata kisooka mu Bakkiriza."},{"id":144,"translation":"(Katonda) n'agamba nti: Owange Musa, mazima Nze nkuwadde enkizo ku bantu, olw’Obubaka Bwange, n’okwogera Kwange naawe, kale twala bye nkuwadde, era obeere mu beebaza."},{"id":145,"translation":"Era twamuwandiikira ku mbaawo buli kintu, kibe ekyokubuulirira, era nga kunnyonnyola mu bujjuvu, ku buli kintu, kale nno bikuume butiribiri, era olagire abantu bo babikwate mu ngeri esinga okuba ennungi, oluvannyuma ndibalaga ekifo ky’aboonoonyi."},{"id":146,"translation":"Ate abo abeekuza mu nsi awatali nsonga ntuufu, ŋŋenda kubeesambya Ebigambo Byange, buli lwe banaalabanga, akabonero konna, tebajja ku kakkirizanga, era bwe banaalabanga ekkubo ly’obuluŋŋamu, tebagendanga kulifuula kkubo gye bali kulikwata, naye bwe banaalabanga ekkubo ly’obwonoonefu lye banaatwalanga okuba ekkubo, ekyo nno lwa kuba nti mazima ddala bo, baalimbisa Ebigambo Byaffe, ne baba nga tebabifaako."},{"id":147,"translation":"N'abo abaalimbisa Ebigambo Byaffe, n’okusisinkana Olunaku lw’Enkomerero, emirimu gyabwe gyonna gyafaafaagana, ate olwo balisasulwa okuggyako ebyo bye baakolanga!"},{"id":148,"translation":"Abantu ba Musa bwe yavaawooko baaweesa ennyana okuva mu by'okwewunda byabwe nga erabikira ddala ng'erina omubiri, n’okuŋoola nga eŋoola, abaffe tebaakiraba nti mazima ddala yyo tesobola kwogera nabo era nga tesobola kubaluŋŋamya ku kkubo, baagiteekawo, era olwekikolwa ekyo ne babeera ab’omu bantu abeeyisa obubi."},{"id":149,"translation":"Bwe beefumiitiriza, ne balaba nti ddala mazima baabula olw’ekikolwa kyabwe ekyo, (beenenya) ne bagamba nti: Singa Mukama Omulabirizi Waffe tatusaasira, n'atusonyiwa, tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa."},{"id":150,"translation":"Musa bwe yadda eri abantu be, nga musunguwavu, era nga asaaliddwa, yagamba nti, kibi nnyo kye mwakoze nga siriiwo, mwayanguyirizza Ekigambo kya Mukama Omulabirizi Wammwe! Olwo nno kwe kukasuka embaawo, n’akwata omutwe gwa muganda we (Haaruuna) nga amusika amuzza gy'ali, n'agamba nti: Mwana wa nnyabo, mazima abantu bansinzizza amaanyi, era kumpi banzite, tontuusaako kino olw'okusanyusa abalabe, era tonteeka mu bantu abeeyisa obubi."},{"id":151,"translation":"Musa n'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, nsonyiwa ne muganda wange, era otuyingize mu kusaasira Kwo, anti bulijjo Ggwe Musaasizi asinga abasaasizi bonna."},{"id":152,"translation":"Mazima abo abeeteerawo ennyana (bagisinze), bajja kutuukibwako obusungu n’okukkakkannyizibwa ebiva ewa Mukama Omulabirizi Waabwe, mu bulamu obw'ensi, era bwetutyo bwe tusasula abo abatemerera ebigambo."},{"id":153,"translation":"N'abo abaalimbisa ne bakola ebibi, ate ne beenenya oluvannyuma lwabyo, era ne bakkiriza, mazima ddala Mukama Omulabirizi Wo, oluvannyuma lwabyo, Musonyiyi, Musaasizi."},{"id":154,"translation":"Obusungu bwe bwaggwa ku Musa, yasitula embaawo, nga ne mu biwandiikiddwa ku zo, mulimu obulunŋŋamu, n’okusaasira eri abo, abatya Mukama Omulabirizi Waabwe."},{"id":155,"translation":"Musa yalonda mu bantu be, abasajja nsanvu, bagende mu kifo kye twamuteerawo, wabula musisi bwe yabajjira, (Musa) yagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, singa kino kye wali oyagala, wandibadde wabazikiriza olubereberye wamu nange, oyagala kutuzikiriza olw'ekyo ababuyabuya muffe kye baakola! kino si kintu kirala kyonna okugyako okugezesa Kwo, obuza nakwo oyo gw'oba oyagadde, ate n’oluŋŋamya nakwo, oyo gw'oba oyagadde. Otulinako obuyinza, n’olwekyo tusonyiwe, era otusaasire, bulijjo Ggwe osinga abasaasizi bonna."},{"id":156,"translation":"Tuwandiikeko ebirungi kuno ku nsi, era ne ku Nkomerero. Mazima ffe tukwemenyedde.(Katonda) n'agamba nti: Ebibonerezo Byange mbituusa kw’oyo gwe mba njagadde, ate Okusaasira Kwange kwabuna buli kintu, ŋŋenda kukuwa abo abatya Katonda, ne batoola zzaka, era abo abakkiriza Ebigambo Byaffe."},{"id":157,"translation":"Abo abagoberera Omubaka, Nnabbi, atasoma biwandiiko, oyo gwe basanga nga muwandiike ewaabwe mu Tawulaati ne Enjiri, nga abalagira empisa ennungi, era n’abagaana amayisa amabi, era nga (Omubaka) abakkiriza ebirungi (mu biriibwa n’ebinywebwa), era n'abaziyiza ebibi, era n'abaggyako obuzito n’ebikoligo, ebyo ebyabaliko, kale nno abo abamukkiriza, ne bamuwagira, ne bamutaasa, era ne bagoberera ekitangaala ekyo ekyamuweebwa, abo nno be balituuka ku buwanguzi."},{"id":158,"translation":"Gamba nti: Abange abantu, mazima nze ndi Mubaka wa Katonda, eri mmwe mwenna, (Katonda) Oyo Nnannyini bufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi, tewali kintu kyonna kisinzibwa mu butuufu okuggyako Yye, awa obulamu, era n'atta, kale nno mukkirize Katonda n’Omubaka We, Nnabbi ataasoma biwandiiko, oyo akkiriza Allah n’Ebigambo Bye, era mumugoberere, olwo nno mube nga muluŋŋama."},{"id":159,"translation":"Mu bantu ba Musa, mwalimu ekibiina ky'abantu abakozesa amazima okuluŋŋama, era nga gebakozesa okukola obwenkanya."},{"id":160,"translation":"Ne tubakutulamu ennyiriri kkuminabbiri nga bika, era twatumira Musa, abantu be bwe baamusaba okubafunira amazzi, ne tumugamba nti: Kuba omuggo gwo ku jjinja, olwo nno ne mufubutukamu e nsulo kkuminabbiri, buli bantu baamanya we balina okunywa, ekirala twabasiikiriza n’ekire, era twabassiza Manna, ne Saluwa (nga bwe tubagamba nti): Mulye ku birungi mu ebyo bye tubagabira, si Ffe be baalyazsamaanya, wabula beeryazaamaanya bokka."},{"id":161,"translation":"Era jjukira bwe baalagirwa nti: Mutuule mu kitundu kino, mulye nga muli mu kyo, wonna we mwagala, era mugambe nti: Hittwa (tukusaba otuggyeko ebibi), era muyingire omulyango gw’ekibuga nga muvunnamye, olwo nno tujja kubasonyiwa ebyonoono byammwe, tujja kwongeza abakozi b’obulungi."},{"id":162,"translation":"Abo abeeyisa obubi, baakyusa ekigambo ekyabagambwa, olwo nno ne tubasindikira ebibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye beeyisangamu obubi."},{"id":163,"translation":"Babuuze ebikwata ku kitundu ekyali ku lubalama lw'enyanja, bwe baamenya etteeka erikwata ku lunaku Lw’omukaaga, olw'okuba ebyennyanja byabwe bya bajjiranga, mu bungi ate nga ku lunaku olutali Lwamukaaga nga tebibajjira, bwetutyo nga tubagezesa olw'ebyo bye baakola mu bwonoonyi."},{"id":164,"translation":"Era jjukira ekibiina mu bo bwe kyagamba nti: Lwaki mubuulirira ekibiina kya bantu nga Katonda ajja kubazikiriza, oba ajja kubabonereza n’ebibonerezo ebisuffu, bo ne bagamba nti: Tukikola lwa kweggyako musango ewa Mukama Omulabirizi Wammwe, ate oba olyawo bayinza okutya Katonda."},{"id":165,"translation":"Bwe baamala okwerabira ebyababuulirirwa twawonya abo abakoma ku bannaabwe okukola ebibi, ate abo abeeyisa obubi ne tubassaako ebibonerezo ebikambwe olw'obwonoonyi bwe baakolanga."},{"id":166,"translation":"Bwe baalemera kw'ebyo ebyabagaanibwa twabagamba nti: Mubeere enkobe kibafuule abanyoomebwa."},{"id":167,"translation":"Era jjukira Mukama Omulabirizi Wo bwe yalangirira nti (abayudaaya) ajja kubateerawo ddala abantu abanaabakombesanga ku bukaawu bw'ebibonerezo, okutuusa ku Lunaku lw’Enkomerero, mazima Mukama Omulabirizi Wo mwangu mu kubonereza, era mazima Yye. Musonyiyi nnyo Musaasizi."},{"id":168,"translation":"Era twabagabanya mu nsi, ne baba ebibiina ebyenjawulo, mu bo mulimu abalongoofu, era mu bo mulimu abatali ekyo, era twabagezesa n’ebirungi n’ebibi kibayambe okudda (eri Katonda)."},{"id":169,"translation":"Ne wajja oluvannyuma lwabwe abaabaddira mu bigere, abaasikira Ekitabo ne baba nga bakulembeza byakufuna bya nsi ebitaliimu, era ne bagamba nti: Tulisonyiyibwa, era singa bajjirwa ebirala ebibifaanana, nabyo bandibitutte, abaffe tebaakozesebwa ndagaano y’ekitabo okuba nga teboogera ku Allah okuggyako amazima, era nga baasoma ebyo ebiri mu Kitabo, ate nga ekituufu kiri nti, obutuulo obw'enkomerero bwe bulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera?"},{"id":170,"translation":"Ate abo abeekwata ku Kitabo ne bayimirizaawo esswala, mazima Ffe tetugenda kwonoona mpeera y’abalongoosa."},{"id":171,"translation":"Era jjukira bwe twasitula olusozi waggulu waabwe, ne luba nga manvuuli, ne batuuka okulowooza nti mazima ddala lugenda kubagwako (awonno netubagamba nti) bye tubawadde mubikwate butiribiri, era mujjukire ebibirimu, olwo nno mube abatya Katonda."},{"id":172,"translation":"Era jjukira Mukama Omulabirizi Wo bwe yaggya ku migongo gy’abaana ba Adamu ezzadde lyabwe, n’abalagira beeweeko obujulizi, (n'agamba nti): Si Nze Mukama Omulabirizi Wammwe? Ne bagamba nti: Bwekiri, era tukiwaako obujulizi, olwo nno muleme kugamba ku Lunaku lw'Enkomerero nti mazima ddala ffe, kino twali tetukimanyi."},{"id":173,"translation":"Oba muleme kugamba nti bakadde baffe baasinziza ebirala ku Katonda ffe nga tetunnajja, era ffe twali zzadde eryajja oluvannyuma lwabwe. Otuzikiriza otya olw'ebyo ebyakolebwa aboonoonyi?!"},{"id":174,"translation":"Bwetutyo nno bwe tunnyonnyola Ebigambo, babe nga badda (eri okusinza Katonda Yekka)."},{"id":175,"translation":"Era basomere ebikwata ku oyo gwe twawa obubonero Bwaffe n'abwesamba, Sitaane n'amunoonya (n'amufuula munne) olwo nno n'abeera ow'omubabuze."},{"id":176,"translation":"Singa twayagala twandimusitudde eddaala olw'obubonero obwo, naye mazima ddala yye yeemalira ku nsi, era n’agoberera okwagala kwe, olwo nno ekifaananyi kye alinga e mbwa bw'ogigoba emisinde ewejjawejja, ate nebw'ogireka eba ewejjawejja, ekyo nno kye kifaananyi ky'abo abaalimbisa Ebigambo Byaffe, bategeeze ebyafaayo, kibayambe okwefumiitiriza."},{"id":177,"translation":"Kifaananyi kibi eky’abantu abaalimbisa Ebigambo Byaffe, ate nga ekituufu kiri nti emyoyo gyabwe gye balyazaamaanyanga."},{"id":178,"translation":"Oyo yenna Allah gw'aba aluŋŋamizza y’abeera omuluŋŋamu, ate gw'aba abuzizza, abo nno be baafaafaaganirwa."},{"id":179,"translation":"Omuliro Jahannama twagutegekera bangi mu majinni ne mu bantu, (ky'ova olaba) nti, balina emitima naye tebagikozesa kutegeera, era balina amaaso ge batalabisa, era balina amatu ge batawuliza, abo nno balinga ebisolo, sinakindi bo be babuze okubisinga, abo nno be batafaayo (ku bigambo by'Eddiini)."},{"id":180,"translation":"Era Allah alina amannya amalungi, kale mugamusabise, era muve kw’abo abakyusakyusa amannya Ge, balisasulwa ebyo bye baakolanga."},{"id":181,"translation":"Ne mu bantu be twatonda, mulimu ekibiina ky'abo abakolera ku mazima, era ge bakozesa okukola obwenkanya wakati w’abantu."},{"id":182,"translation":"Naye abo abaalimbisa tujja kubatwaliriza mpolampola, naye tubakwate nga tebamanyi."},{"id":183,"translation":"Era mbalindiriza, anti entegeka Zange nnywevu."},{"id":184,"translation":"Abaffe tebaalowoozaako nti munnaabwe ono si mulalu, (e kituufu kiri nti) tali kintu kyonna okuggyako okuba nti mutiisa ow’olwatu."},{"id":185,"translation":"Abaffe tebafumiitiriza ku bufuzi bw'eggulu omusanvu n'e nsi na buli kyonna Allah kye yatonda n’okuba nti kirabika nti entuuko yaabwe mazima yali esembedde, kati oluvannyuma lwa kino bigambo ki bye bayinza okukkiriza!."},{"id":186,"translation":"Oyo yenna Allah gw'aba abuzizza tewali ayinza kumuluŋŋamya, era abaleka mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta."},{"id":187,"translation":"Bakubuuza ku Lunaku lw'Enkomerero nti lulituuka ddi? Gamba nti: Mazima ebirukwatako Mukama Omulabirizi Wange y'abimanyi, tewali ayinza kukubuulira kiseera we lulituukira okugyako Yye. Ebirukwatako bizito mu ggulu omusanvu, ne ku nsi. Terugenda kubajjira okuggyako kibwatukira. Balukubuuza nga olinga alumanyiiko ennyo. Gamba nti: Mazima eby'okumanya Olunaku olwo biri wa Allah, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":188,"translation":"Gamba nti: Si nze nneesalirawo ekirungi oba ekibi, okuggyako Allah ky'aba ayagadde, era singa nnali mmanyi ebikusike, nandiyitirizza okukola ebirungi, mu ngeri y'emu tewandibadde kabi kantuukako, nze siri kintu kyonna okuggyako okuba omutiisa era omusanyusa eri abo abatya Katonda."},{"id":189,"translation":"(Allah) y'Oyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, nga ate mu ye mwe yaggya mukyala we, abeere ng’adda gyali olw'okufuna obutebenkevu. Bwe yamala okwegatta naye, n'afuna olubuto olwangu, n’ayita nalwo mu mitendera olw’amala okukula, baasaba Mukama Omulabirizi Waabwe, ne bagamba nti: Singa otuwa omwana omulongoofu, tujja kubeerera ddala mu beebaza."},{"id":190,"translation":"(Naye ate abantu abaddirira) Katonda bwe yabawa omwana omulongoofu, baamugattako ebintu ebirala mu ekyo kye yabawala, Allah yayawukanira ddala, kw'ebyo bye bamugattako."},{"id":191,"translation":"Abaffe bagatta ku Katonda ebyo ebitasobola kutonda kintu kyonna, so nga byo byatondebwa?"},{"id":192,"translation":"Era tebiyinza kubafunira kutaasa wadde bo bennyini okwetaasa."},{"id":193,"translation":"Bwe mubakoowoola okujja eri obuluŋŋamu tebabagoberera, kye kimu ka mube nga mubayise, oba nga musirise."},{"id":194,"translation":"Mazima abo be musaba ne muva ku Allah, baddu nga mmwe, kale mubasabe babaanukule bwe muba nga mwogera mazima."},{"id":195,"translation":"Abaffe balina amagulu nti ge batambuza, oba balina emikono gye bakwasa, oba balina amaaso ge balabisa, oba balina amatu ge bawuliza? Gamba nti: Muyite bye musinza ne mubigatta ku Katonda, olwo nno munkolere enkwe era temunnindiriza."},{"id":196,"translation":"Mazima Omukuumi Wange Ye Allah, Oyo eyassa Ekitabo, era bulijjo Yye, y'akuuma abalongoofu."},{"id":197,"translation":"Era mazima ddala be musaba ne mumulekawo, tebasobola kubataasa, era nga bwe batasobola kwetaasa."},{"id":198,"translation":"Bwe mubakoowoola okujja eri obuluŋŋamu tebawulira, obalaba nga bakutunuulidde kyokka nga tebalaba."},{"id":199,"translation":"Nywerera ku kusonyiwa, era olagire abantu okweyisa obulungi, era ove ku batategeera."},{"id":200,"translation":"Buli wonna w'ofunira okulabankanya kwa Sitaane, saba obukuumi bwa Allah, mazima Yye awulira nnyo, Mumanyi."},{"id":201,"translation":"Mazima abo abatya Katonda, bwe baba bafunye okubuzaabuzibwa okuva eri Sitaane, bajjukira (Allah), olwo nno ne balaba ekituufu."},{"id":202,"translation":"Naye ate bo bannaabwe bongera kubasindika mu bwonoonefu, era nga tebaweera."},{"id":203,"translation":"Bwotabaleetera kyamagero, bagamba nti, waakiri waalikyeyiiyirizza. Gamba nti: Mazima ngoberera ebyo byokka ebiba bimpeereddwa okuva eri Mukama Omulabirizi Wange. (Kulaani) eno, mumuli oguvudde ewa Mukama Omulabirizi Wammwe, era buluŋŋamu na kusaasira eri abo abakkiriza."},{"id":204,"translation":"Buli Kulaani lw'esomwanga mugiwulirize, era mugisseeko omulaka, olwo nno mulyoke musaasirwe."},{"id":205,"translation":"Bulijjo jjukira Mukama Omulabirizi Wo, mu mwoyo gwo, nga olaga obugonvu n’okutya, awatali kusitula ddoboozi mu bigambo (nga ekyo okikola), enkya n’eggulo, era tobeeranga mu bagayaavu."},{"id":206,"translation":"Mazima abo abali ewa Mukama Omulabirizi Wo, tebeekuluntaza ne batamusinza, era bamutendereza, era nga Yye Yekka, Gwe bavunnamira."}]},{"id":8,"verses":[{"id":1,"translation":"Bakubuuza ebikwata ku minyago, gamba nti: Eminyago gy’a Allah n’Omubaka. Kale nno mutye Allah, era mulongoose enkolagana wakati wammwe, era mugondere Allah n’Omubaka We bwe muba nga muli Bakkiriza."},{"id":2,"translation":"Mazima ddala Abakkiriza, beebo nga buli Allah lw'ayogerwako, emitima gyabwe gitya, era bwe basomerwa Ebigambo Bye pp, bibongera obukkiriza, era nga Mukama Omulabirizi Waabwe Yekka gwe beesiga."},{"id":3,"translation":"Abo abayimirizaawo esswala, era nga ne ku bye tubawa bagabako."},{"id":4,"translation":"Abo be Bakkiriza abannamaddala, balina e bifo ebya waggulu ewa Mukama Omulabirizi Waabwe n'okusonyiyibwa n’okugabirirwa okuyitirivu."},{"id":5,"translation":"Kino kifaanana nga Mukama Omulabirizi Wo bwe yakulagira, era nga kye kituufu ofulume (ogende ku lutalo lwe Badiri), so nga abamu mu Bakkiriza baali tebakyagadde."},{"id":6,"translation":"Bakuwakanya ku kintu ekituufu (ky'oliko), oluvannyuma lw'okuba nti kimaze okweyoleka, ne bafaananako abawalulwa, nga batwalibwa eri okufa, nga batunula."},{"id":7,"translation":"Mujjukire Allah lwe yabalagaanyisa okufuna ekimu ku bibiri, nti mazima kyo mujja kukifuna, wabula mmwe mwali mwagala ekitaliimu buzibu kye muba mufuna, naye nga Allah ayagala amazima gayimirirewo okusinziira ku Biragiro Bye, era akutulire ddala. emirandira gya abakaafiiri."},{"id":8,"translation":"Olwo nno abe nga ayimirizaawo amazima, asaanyeewo obwonoonefu, newaakubadde nga aboonoonyi tebaakyagala."},{"id":9,"translation":"Mujjukire bwe mwasaba Mukama Omulabirizi Wammwe obuyambi, n’abaanukula nti: Mazima Nze, nja kubadduukirira ne Bamalayika lukumi nga bagoberegana."},{"id":10,"translation":"Kino tewali Allah kye yakireetera okuggyako kibe amawulire ag’essanyu, era e mitima gyammwe gyeyongere okunywera ku lw'ekyo, naye nga kwo okutaasa tekulina we kuli okugyako kuva wa Allah, bulijjo mazima Allah ye Nnantakubwaku mukono, Mugobansonga."},{"id":11,"translation":"Mujjukire (Mukama Katonda) bwe yabatuusaako okusumagira, nga butebenkevu okuva Gy'ali , n’abassiza amazzi okuva waggulu (e nkuba) abe nga abatukuza nago, era abaggyirewo emitego gya Sitaane, era agumye emitima gyammwe, era anyweze nayo ebigere byammwe."},{"id":12,"translation":"Jjukira Mukama Omulabirizi Wo, bwe yatumira Bamalayika nti: Mazima Nze Ndi wamu nammwe, mugumye abo abakkiriza, nja kussa okutya mu mitima gy'abo abatakkiriza, kale muteme waggulu w’ensingo, era mubatemeko n’engalo."},{"id":13,"translation":"Ekyo nno lwa kuba nti mazima bo beesimba mu Allah ne Omubaka We, anti omuntu eyeesimba mu Allah ne Omubaka We, mazima Allah Muyitirivu Wa kubonereza."},{"id":14,"translation":"Ebyo nno ebibatuuseeko (bye bibasaanira), kale mukombe ku bukaawu bwabyo (nga muttibwa mu ntalo kuno ku nsi), era nga ddala abakaafiiri bagenda kussibwako ebibonerezo by’o mu Muliro."},{"id":15,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, bwe musisinkananga n'abo abatakkiriza, ababa bazze okubalwanyisa, temubaddukanga."},{"id":16,"translation":"Oyo yenna alibakuba amabega n'adduka ku lunaku olwo, mpozzi ng’ali ku kakodyo ka lutalo, oba nga adda eri kibinja kya balwanyi banne, mazima aliba akakaseeko obusungu bwa Allah, nga n’obuddo bwe Muliro Jahannama, ate nga buddo bubi."},{"id":17,"translation":"Si mmwe mwabatta, naye mazima Allah Ye yabatta, era bwe wakanyuga, si ggwe wakanyuga, naye mazima Allah Ye yakanyuga, era abeere nga agezesa Abakkiriza olugezesa olulungi n’ekikolwa ekyo, mazima Allah awulira nnyo, Mumanyi."},{"id":18,"translation":"Ebyo (mubimanye), era mumanyire ddala nti, mazima Allah anafuya enkwe z’abakaafiiri."},{"id":19,"translation":"(Mmwe abatakkiriza) bwe muba nga musaba Katonda kusalawo, okusalawo kuzze, era bwe muneekomako, ekyo ky'ekirungi gye muli, naye bwe munaddamu, nga Naffe tuddamu, ate ekibinja kyammwe tekigenda kubagasa kintu kyonna, ne bwe kiba kinene kitya, anti mazima Katonda ali wamu ne Abakkiriza."},{"id":20,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, mugondere Allah ne Omubaka We, temumuvangako, ate nga muwulira (by'abagamba)."},{"id":21,"translation":"Temubeera ng'abo abagamba nti: Tuwulidde so nga tebawulira."},{"id":22,"translation":"Mazima ebitonde ebisinga obubi mu maaso ga Allah, be bakiggala, bakasiru abo abatategeera."},{"id":23,"translation":"Singa Allah yabamanyaamu akalungi konna, yaalibawulizza, ate ne bwe yaalibawulizza, baaliwuguse ne bava ku mazima."},{"id":24,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, mwanukule Allah ne Omubaka bw'abayita okujja eri ekyo ekibawa obulamu, era mumanye nti, mazima Allah, assa ekyawula wakati w’omuntu n’omutima gwe, so nga ate bulijjo, mazima Gy'ali gye mugenda okukukuŋŋaanyizibwa."},{"id":25,"translation":"Mutye ekikemo e kitagenda kukwata ku abo abeeyisa obubi bokka mu mmwe, era mumanye nti mazima Allah Muyitirivu wa kubonereza."},{"id":26,"translation":"Era mujjukire lwe mwali abatono, nga muyisibwa bubi mu nsi, nga mutya abantu okubagajambula, n'abawa obubudamu, n’abawagira n’okutaasa Kwe, n’abagabirira mu birungi, olwo nno mube nga mwebaza."},{"id":27,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, temukumpanyanga Allah ne Omubaka , ne mukumpanya obuvunaanyizibwa bwammwe, ate nga ddala mumanyi."},{"id":28,"translation":"Era mumanye nti mazima emmaali yammwe, n’abaana bammwe kikemo, era nga bulijjo mazima ddala Allah, alina empeera ensukkulumu."},{"id":29,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, singa mutya Allah, ajja kubasobozesa okwawula (wakati w’ekirungi n’ekibi) era abasanguleko ebyonoono byammwe, era abasonyiwe, era nga bulijjo Allah ye Nnannyini bigabwa ebisuffu."},{"id":30,"translation":"Era jjukira abaagaana okukkiriza bwe baakukolera olukwe, bakusibe oba bakutte, oba bakugobe, ne bakola olukwe, ne Allah n'abaddiza olukwe olwo (n'akutaasa), Allah ali waggulu nnyo mu kugootaanya enkwe."},{"id":31,"translation":"Bwe basomerwa Ebigambo Byaffe bagamba nti: Mazima ffe ebyo twabiwulira dda, era singa tuba twagadde naffe tusobola okwogera nga ebyo (by'oyogera), ebyo tebirina kye biri okuggyako okuba enfumo z’abedda."},{"id":32,"translation":"Era jjukira bwe baagamba nti: Ayi Mukama Katonda, gano bwe gaba nga ge mazima agavudde Gy'oli, tubonereze n'enkuba nga ya mayinja okuva waggulu, oba tuleetere ebibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":33,"translation":"Naye Allah teyali Waakubabonereza, nga naawe okyali nabo, era Allah teyali Waakubabonereza nga beegayirira."},{"id":34,"translation":"Kale nga lwaki Allah teyaalibabonerezza ate nga baziyiza abantu (Abakkiriza) okutuuka eri Omuzikiti ogw’emizizo, so nga tebabangako bakuumi baagwo, abakuumi baagwo, si balala okuggyako abatya Allah, naye abasinga obungi mu bo tebamanyi."},{"id":35,"translation":"Okusaba kwe basabira ku Kaaba temuli, anti kubeera kufuuwa mpa na kukuba mu ngalo, kale nno mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo, olw'ebyo bye mwawakanyanga."},{"id":36,"translation":"Mazima abo abaagaana okukkiriza, bawaayo emmaali yaabwe, baggye abantu ku kkubo lya allah. Kale bajja kugiwaayo, oluvannyuma ebafuukire eky'okwejjusa, era bawangulwe, ate nga abo abatakkiriza, bagenda kukuŋŋaanyizibwa batwalibwe mu Muliro Jahannama."},{"id":37,"translation":"Olwo nno Allah ayawule ababi ku balungi, ababi abakasuke ku bannaabwe bonna babeere entuumu. Entuumu eyo agisse mu Muliro Jahannama. Abo nno be b'okufaafaaganirwa."},{"id":38,"translation":"Gamba abo abaagaana okukkiriza, nti: Bwe baneekomako, banaasonyiyibwa ebyakulembera, naye bwe banaddamu, ekyatuuka ku baasooka kimanyiddwa."},{"id":39,"translation":"Era mubalwanyise waleme kubeerawo bukaafiiri, Eddiini yonna ebeere ya Allah. Bwe baba beekomyeko, mazima ddala Allah alaba bye bakola."},{"id":40,"translation":"Naye bwe batakola ekyo, mumanye nti mazima Allah Ye Mukuumi Wammwe, Ye Mukuumi asinga era Omutaasa asinga."},{"id":41,"translation":"Era mumanye nti omunyago gwonna gwemuba muggye ku mulabe, mazima kimukyakutaano kyagwo kya Allah, ne Omubaka, n'abooluganda olw'okumpi olwa Nnabbi, ne ba mulekwa, n’abanaku, n’omutambuze, bwe muba nga mwakkiriza Allah n'ebyo bye twassa ku muddu Waffe (Muhammadi) ku lunaku Allah lwe yayawula amazima ku bulimba, olunaku ebibinja ebibiri lwe byasisinkana (ku lutalo e Badiri), bulijjo Allah Waabuyinza ku buli kintu."},{"id":42,"translation":"Mujjukire ekiwonvu bwe mwakiri ku ludda oluli okumpi nga ate abalabe bammwe bali mitala, ate nga n’abaali mu kibinja ky'abasuubuzi nga bali mu kifo ekiri wansi wammwe, singa mwali mulagaanye okusisinkana mwandyawukanye ku ndagaano eyo, naye , Allah alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, olwo nno oyo anaazikirira, azikirire nga azikirira lwa nsonga, n’asigadde nga mulamu asigale lwa nsonga, bulijjo mazima Allah Muyitirivu wa kuwulira, era Mumanyi nnyo."},{"id":43,"translation":"Jjukira Allah bwe yabakulaga mu kirooto kyo, nga batono, so nga singa yabakulaga nga bangi mwalinafuye ne mukubagana empawa mu kusalawo, naye mazima Allah yabataasa, anti Allah Muyitirivu Waakumanya ebiri mu bifuba byammwe."},{"id":44,"translation":"Era jjukira lwe yababalaga nga batono mu maaso gammwe, bwe mwasisinkana, mmwe n'abafuula batono mu maaso gaabwe, Allah alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, era bulijjo ensonga zonna ewa Allah gye zizzibwa."},{"id":45,"translation":"Abange mmwe abakkiriza bwe musisinkananga ekibinja kya balabe munywere, mwogere nnyo ku Katonda, mulyoke muwangule."},{"id":46,"translation":"Era mugondere Katonda n’omubakawe, temukubagananga e mpawa ne kibanafuya, nemuggwamu amaanyi, era mugumiikirize, anti Katonda ali wamu n'abagumiikiriza."},{"id":47,"translation":"Temubeera nga (abakaafiiri) abaafuluma mu mayumba gaabwe nga beekuluntaza n’okweraga eri abantu, era nga baziyiza abantu okuyingira mu ddiini y’a Katonda, nga bulijjo Katonda yeetoolodde ebyo byonna bye bakola."},{"id":48,"translation":"Era jjukira Sitane bwe yabalaga bye baali bakola nti birungi, (Sitane) n'abagamba nti tewali muntu yenna waakubawangula olwa leero, era nti mazima nze nja kubataasa, naye ate e bibinja by’ombiriri bwe byasisinkana, Sitane neyeefuula, era naagamba nti, mazima nze siri nammwe, anti mazima nze ndaba bye mutalaba, era mazima nze ntya Katonda, nga bulijjo Katonda muyitirivu wa kubonereza."},{"id":49,"translation":"Jjukira abannanfusi n’abalina obulwadde mu mitima gyabwe bwe baagamba nti, e ddiini yaabo abakkiriza ebabuzizza, sso nga buli eyeekwasa Katonda (y’aba akoze e kituufu), anti mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga."},{"id":50,"translation":"Singa olaba (ggwe Nabbi Muhammad) engeri malayika gye ziggyamu e myooyo gy’abakaafiiri, nga babakuba mu maaso gaabwe, ne ku migongo gyabwe, nga bwe babagamba nti, mukombe ku bukaawu bwe binorezo ebyokya."},{"id":51,"translation":"Ekyo ekibatuuseeko, kiva ku ebyo bye mwakola (mu bulamu bwensi) era nti mazima Katonda tayisa bubi baddube."},{"id":52,"translation":"(Ebyo ebituuse ku bakaafiiri) bifaanana n’ebyatuuka ku bantu ba Firawo, n'abo abaabakulembera, baawakanya ebigambo bya Katonda, Katonda naababonereza olw'e byonoono bya bwe, mazima ddala Katonda wa maanyi era muyitirivu wa kubonereza."},{"id":53,"translation":"Ebyo ebituuse ku bakaafiiri (bibasaanira), anti mazima Katonda takyusa kyengera kyaba awadde bantu, okutuusa nga bo bennyini bakyusizza embeera zaabwe, era nga bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, mumanyi nnyo."},{"id":54,"translation":"Bafaanana nga abantu ba Firawo, n'abo abaaliwo oluberyeberye lwa bwe, baalimbisa e bigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, netubazikiriza olw'ebibi bya bwe, netusaanyaawo abantu ba Firawo, era bonna baali beeyisizza bubi."},{"id":55,"translation":"Mazima ekiramu ekisinga obubi mu maaso ga Katonda, beebo abaakaafuwala nekiba nti tebagenda kukkiriza."},{"id":56,"translation":"Abo bewakozesa endagaano, ate nebamenya endagaano yaabwe buli mulundi, era tebayinza kutya Katonda."},{"id":57,"translation":"Buli lwo bagwikirizanga mu lutalo, babonereze mu bukambwe, kibe ekyokutiisa, eri abo abalibaddirira, babe nga beebuulirira."},{"id":58,"translation":"Bwe weekengeranga obukumpanya mu bantu, baddize e ndagaano yaabwe mu lwatu, anti mazima ddala Katonda tayagala bakumpanya."},{"id":59,"translation":"Abo abaakaafuwala tebeeyibaalanga ne balowooza nti basimattuse ku Katonda, anti mazima bbo tebayinza kulemesa (Katonda)."},{"id":60,"translation":"Era mubeetegekere, nga mukozesa ekyo kyonna kye musobola mu by’okulwanyisa, nga e nfalaasi e ntendeke, era mutiise nakyo omulabe w’a Katonda era omulabe wa mmwe, n’abalala abatali abo be mutamanyi naye nga Katonda abamanyi, (mukutuukiriza ekyo), e kintu kyonna kye muwaayo mu kkubo lya Katonda, kigenda kubasasulwa mu bujjuvu, era temugenda kuyisibwa bubi."},{"id":61,"translation":"Singa bayaayaanira e mirembe naawe giyaayaanire, era weekwase Katonda, anti mazima yye awulira nnyo, mumanyi."},{"id":62,"translation":"Naye singa baba baagadde okukukwenyakwenya, akumalira byonna ye Katonda, anti yye yooyo eyakudduukirira n’akutaasa (era n’akuwagira) ng’akozesa abakkiriza."},{"id":63,"translation":"Era naagatta wakati w’emitima gyabwe, nga singa wawaayo ebiri mu nsi byonna, tewandigasse wakati w’a mitima gyabwe, naye mazima ddala Katonda yagatta wakati waabwe, anti mazima ddala yye ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga."},{"id":64,"translation":"Owange ggwe Nabbi, Katonda akumalira era naamalira n’abali naawe nga bakkiriza."},{"id":65,"translation":"Owange gwe Nabbi, kubiriza abakkiriza okugenda okulwana, kale nno mu mmwe bwe mubaamu amakumi abiri abagumiikiriza bawangula e bikumi bibiri, ate e kikumi mu mmwe bawangula lukumi, mu abo abaakaafuwala olw'okuba nti bo bantu abatategeera."},{"id":66,"translation":"Kaakati Katonda abawewulidde, era amanyi nti mazima mu mmwe mulimu obunafu, kale mu mmwe bwe mubangamu e kikumi ekigumiikiriza, bawangula e bibiri, ate olukumi mu mmwe bawangula e nkumi bbiri ku lwo kukkiriza kwa Katonda, nga bulijjo Katonda aliwamu n'abagumiikiriza."},{"id":67,"translation":"Tekisaanira Nabbi yenna kuba na bawambe okutuusa nga amaze okusimba amakanda mu nsi. (Bwe musalawo okutwala abawambe nga temunnanywera) muba mwagala bya kufuna byansi, ng’ate Katonda ayagala nkomerero, ate nga bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga."},{"id":68,"translation":"Singa ssi kusalawo kwa Katonda oluberyeberye, mwandituusiddwako e kibonerezo e kikakali olw'ebyo bye mwatwala."},{"id":69,"translation":"Kale nno mulye mu ebyo bye mufunye, nga minyago ebiri Halal ate nga birungi, era mutye Katonda, mazima Katonda musonyiyi, musaazizi."},{"id":70,"translation":"Owange ggwe Nabbi gamba abawambe abali mu mikono gya mmwe nti, Katonda bwa naamanya nti mu mitima gya mmwe mulimu akalungi agenda kubawa e birungi e bisinga kw'ebyo ebyabaggyibwako era abasonyiwe, anti bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi."},{"id":71,"translation":"Naye bwe baba baagadde ku kukumpanya, mazima baakumpanyadda Katonda, wabula yakuyamba n’obawangula, nga bulijjo Katonda amanyi nnyo, Mugoba nsonga."},{"id":72,"translation":"Mazima abo abakkiriza nebasenguka, ne balafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yaabwe n’emyooyo gyabwe, era n’abo abaabudamya era ne bataasa (abaava e Mekkah) abo nno, abamu bateekwa okudduukirira bannaabwe. Ate abo abakkiriza nebatasenguka temuvunaanyizibwa ku kintu kyonna mu kubataasa, okutuusa nga basenguse. Naye bwe babakubira e nduulu ku nsonga eye ddiini, olwo nno muteekwa okubadduukirira okugyako nga bakaayagana n’abantu bemulina nabo e ndagaano. Nga bulijjo Katonda alaba bye mukola."},{"id":73,"translation":"Ate abo abaakaafuwala abamu mikwano gya bannaabwe, bwe mutaakikole (eky'okutaasa bannammwe bemuteekwa okukikolera), olwo wajja kubaawo obuzibu mu nsi n’okwonoona kungi."},{"id":74,"translation":"Era abo abakkiriza nebasenguka, nebalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda, n'abo abaabudamya nebataasa (abaava e Mekkah), abo nno be bakkiriza abannamaddala. Balina e kisonyiwo n’okugabirirwa okw'ettendo."},{"id":75,"translation":"Ate abo abakkiriza, oluvanyuma ne balafuubana wamu nammwe mu kkubo lya Katonda, abo nno ba mu mmwe, naye nga ab'oluganda abamu ku bo be basinga okukwatibwako ensonga z’a bannaabwe. Ebyo nga biri mu kitabo kya Katonda. Nga bulijjo mazima Katonda mumanyi wa buli kintu."}]},{"id":9,"verses":[{"id":1,"translation":"Kino kirango ekiva ewa Katonda n’omubakawe, eri abo be mwakola nabo e ndagaano, mu bagatta e bintu e birala ku Katonda."},{"id":2,"translation":"(Kati muweereddwa e ddembe ddembe) kale mutambule mu nsi e bbanga lya myezi ena, era mukimanye nti mazima ddala mmwe temuyinza kulemesa Katonda, era ddala, nga bulijjo Katonda aswaza abakaafiiri."},{"id":3,"translation":"Era kuno kulangirira okuva eri Katonda n’omubakawe, okuteekwa okutuusibwa eri abantu, ku lunaku olukulu olwa Hijja, nti mazima Katonda amenyeewo e ndagaano zonna ezaakolebwa n'abo abagatta ku Katonda e bintu e birala, n’omubakawe bwatyo azimenyeewo, naye singa mwenenya ekyo kye kirungi gye muli, wabula singa mugaana mumanye nti mazima mmwe temusobola kulemesa Katonda, era (ggwe Muhammad) abo abaakaafuwala bawe amawulire ag’ebibonerezo e biruma."},{"id":4,"translation":"Okugyako abo be mwakola nabo e ndagaano mu bagatta ku Katonda e bintu e birala, oluvanyuma ne batamenya katundu konna mu ndagaano eyo, era nebatayamba muntu yenna abalwanyisa. (abo) mubajjulize e ndagaano yaabwe okutuusa e kiseera kya bwe lwe kiggwako, anti mazima ddala Katonda ayagala nnyo abamutya."},{"id":5,"translation":"Emyezi egy'emizizo bwegiggwako, mutte abo abagatta e birala ku Katonda, wonna wemubagwikiriza, era mubawambe, era mubataayize, era mubateege mu buli kkubo, kyokka bwe beenenya, nebayimirizaawo e sswala, nebatoola zzaka, olwo nno mubaleke, anti mazima Katonda musonyiyi, musaasizi."},{"id":6,"translation":"Singa omuntu yenna mu abo abagatta ku Katonda e bintu e birala akusaba okumuwa obubudamu, bumuwe, kimuyambe okuwulira e bigambo bya Katonda, oluvanyuma mutuuse mu kifo waabeerera mu mirembe, ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo bantu abatamanyi."},{"id":7,"translation":"Kisoboka kitya okubaawo e ndagaano wakati w’a bagatta ku Katonda e bintu e biralala, ne wakati wa Katonda n’omubaka we! mpozzi abo be mwakola nabo e ndagaano mu kifo awali omuzikiti ogw’e mizizo, kale e bbanga lye bamala nga beesimbu gye muli nammwe muteekwa okubeera abeesimbu gye bali mazima Katonda ayagala abamutya."},{"id":8,"translation":"Ngeriki (bwe wayinza okubaawo e ndagaano wakati wa mmwe nabo) so nga bwe baba babawangudde tebafa ku ndagaano wadde oluganda lwe mulina nabo, babasiimiikiriza n’ebigambo bya bwe, so nga e mitima gy’abwe tegiri nammwe ng’ate abasinga obungi mu bo, boonoonyi."},{"id":9,"translation":"Batunda e bigambo bya Katonda omuwendo ogwa layisi (ku nsi) ekyabaviirako okuziyiza (abantu) ku kkubo lya Katonda, mazima bo bibi ebyo bye baali bakola."},{"id":10,"translation":"Tebafa ku mukkiriza yenna keebe ndagaano oba oluganda, era abo be baasukka e nsalo (za Katonda)."},{"id":11,"translation":"Naye (awamu n'ekyo) bwe baba beenenyezza (nebava ku bikolwa ebyo) ne bayimirizaawo e sswala nebawa zzaka, olwo nno baba bafuuse baganda ba mmwe mu ddiini, era bulijjo tunnyonnyola mu bulambulukufu e bigambo byaffe eri abantu abamanyi (abeegasa nabyo)."},{"id":12,"translation":"(Wabula ate) bwe bamenya e birayiro bya bwe, oluvanyuma lw'endagaano gye baakola, nebajerega e ddiini ya mmwe, olwo nno mulwanyise abakungu mu bukaafiiri, anti mazima bbo, tebakuuma birayiro, balyoke beekomeko."},{"id":13,"translation":"Kiki ekibagaana okulwanyisa abantu abamenya e ndagaano zaabwe, nebaagala n’okugoba omubaka (mu Makkah), ate nga bo bennyini b’e baabasosonkereza omulundi ogwasooka, abaffe mutya batye, Katonda yaasaanira okuba nga mumutya bwe muba nga ddala muli bakkiriza."},{"id":14,"translation":"Mubalwanyise, Katonda ababonereze n’emikono gya mmwe, era abakkakkanye era mmwe abataase ku bo, aweweeze ekyo ekiri mu mitima gya bakkiriza."},{"id":15,"translation":"Era amalewo obukyayi bw’emitima gya bwe, era Katonda akkirize okwenenya kw’oyo gwaba ayagadde, bulijjo Katonda muyitirivu w’a kumanya, mugoba nsonga."},{"id":16,"translation":"Abaffe, musuubidde okuba nga mulekebwa (nemutagezesebwa), Katonda abe nga amanya abo abaalafuubana mu mmwe (olw'ediini), nebateeteerawo wa mukwano yenna atali Katonda, oba omubakawe, oba abakkiriza, bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola."},{"id":17,"translation":"Abagatta ku Katonda e bintu e birala tebakkirizibwa kuzimba mizikiti gya Katonda, nga nabo bennyini beewaako obujulizi nti bakaafiiri, abo e mirimu gya bwe gyonna mifu, era nga mu muliro mwe bagenda okutuula obugenderevu."},{"id":18,"translation":"Mazima ddala azimba e mizikiti gy’a Katonda, yooyo akkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, n’ayimirizaawo e sswala, n'atoola zzaka, era n’atatya okugyako Katonda, abo nno be bookubeera mu balungamu."},{"id":19,"translation":"Muddira mutya okuwa ba Hajji amazzi n’okulabirira omuzikiti ogw’e mizizo ne mukyenkanya n'oyo akkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero! era naalafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, tebayinza kwenkana mu maaso g’a Katonda, era bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi."},{"id":20,"translation":"Abo abakkiriza, nebasenguka, era ne balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe n'emyoyo gyabwe, be basinga amadaala ag’a waggulu ewa Katonda, era abo, bo be b'okwesiima."},{"id":21,"translation":"Mukama omulabirizi waabwe abasanyusa nga bwagenda okubawa okusaasira, n’okusiima ebiva gyali, era abawe e jjana, mwe balifunira e byengera e bitakoma."},{"id":22,"translation":"Baakubeera muzo olubeerera, mazima Katonda yekka yaalina e mpeera e nsukkulumu."},{"id":23,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, bakadde ba mmwe ne baganda ba mmwe, temubafuulanga mikwano gya mmwe egy'omunda, kavuna bakulembeza obukaafiiri ku bukkiriza, oyo yenna mu mmwe abafuula mikwanogye ab'omunda, abo nno be beeyisa obubi."},{"id":24,"translation":"24. Gamba nti bakadde ba mmwe n’abaana ba mmwe, ne baganda ba mmwe, ne bemwafumbiriganwa nabo, n’aboluganda lwa mmwe, n’ebyobugagga bye mukungaanya, n’ebyobusuubuzi bye mutya okudiba kwabyo, n’amayumba agabasanyusa, ebyo byonna bwe biba nga bye mwagala e nnyo okusinga Katonda n’omubakawe, n’okulafuubana okuweereza mu kkubolye, olwo nno mulindirire okutuusa Katonda lwanaaleeta e kiragirokye, era Allah talungamya bantu boonoonyi."},{"id":25,"translation":"Mazima Katonda yabataasa mu bifo bingi, ne ku lunaku lw'olutalo lwe Hunaini, obungi bwa mmwe bwe bwabasigula nebutabagasa kintu kyonna. Ensi yabafundirira awamu n’obugazi bwayo n’ekyaddako mwakyuka ne mussaako kakokola tondeka nnyuma."},{"id":26,"translation":"Oluvanyuma Katonda yassa obuteefu ku mubakawe, ne ku bakkiriza era nassa amagye gemutaalaba, era naabonereza abo abaakaafuwala. Era nga bulijjo empeera y’abakafiiri bwetyo bweba."},{"id":27,"translation":"Oluvanyuma lw'ekyo Katonda akkiriza okwenenya kw'oyo gwaba ayagadde, era bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi."},{"id":28,"translation":"Abange mmwe abakkiriza (mukimanye nti), mazima abagatta ku Katonda e bintu e birala bajama, tebasembereranga omuzikiti ogw’emizizo oluvanyuma lw’omwaka gwabwe guno. Bwe muba mutidde bwavu, Katonda bwanaaba ayagadde ajja kubagaggawaza nga aggya mu bigabwabye, anti mazima Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga."},{"id":29,"translation":"Mulwanyise abo abatakkiriza Katonda, wadde olunaku lw'enkomerero. Era nga tebaziza ebyo Katonda n’omubakawe bye baafuula Haramu. Era nebatagoberera ddiini entuufu, nga bava mu abo abaaweebwa e kitabo, okutuusa nga bawadde omusolo nga buli omu yaagweweera, balabike nga bakkakkanyiziddwa."},{"id":30,"translation":"Abayudaaya baagamba nti Uzairu mwana wa Katonda, ate Abanaswara ne bagamba nti Masiya mwana w’a Katonda, ekyo kigambo kyabwe kye boogera n’emimwa gyabwe, nebifaanana e kigambo ky'abo abaakaafuwala oluberyeberye. Katonda yabakolimira, bawugulwa batya (okuva ku mazima)!."},{"id":31,"translation":"Bafuula ba kabona baabwe n’a basosodooti okuba abasinzibwa, nebaleka Katonda. Mu ngeri y’emu ne Masiya mutabani wa Mariam baamufuula bwe batyo, so ng’ate tebaalagirwanga okugyako okusinza Katonda omu. Tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye, musukkulumu nnyo kw'ebyo bye bamugattako."},{"id":32,"translation":"Baagala okuzikiza e kitangaala ky’a Katonda, nga bakozesa e mimwa gyabwe, ne Katonda takkiriza okugyako okujjuza ekitangaalakye, newaakubadde nga abakafiiri tebayagala."},{"id":33,"translation":"Katonda yooyo eyatuma omubakawe ng'amuwadde obulungamu n'eddiini entuufu. Bulyoke bukye enkya nga yeddiini ewangudde newakubadde nga abagatta ku Katonda ebintu ebirala tebakyagala."},{"id":34,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, mazima bangi mu ba kabona, n’a basosodooti balya e mmaali y’abantu mu bukyamu, era nebaziyiza abantu okutuuka ku kkubo lya Katonda. N’abo bonna abakungaanya zaabu ne feeza ne batabiwaayo mu kkubo lya Katonda, basanyuse n’ebibonerezo ebiruma ennyo."},{"id":35,"translation":"Ku lunaku (e mmaali eyo) lwe liyengerezebwa mu muliro Jahannama, e byenyi byabwe nembiriizi zaabwe n’emigongo gyabwe nebyokebwa nayo, (nga bwe bakomekkerezebwa nti) bino bye mwetegekera, mukombe ku bukaawu bw'ebyo, bye mwaterekanga."},{"id":36,"translation":"Mazima omuwendo gw'emyezi ew’a Katonda giri emyezi kkumi n'ebiri, bwe kityo bwe kiri mu biwandiiko bya Katonda, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda e ggulu omusanvu ne nsi. Ena ku gyo gy’amizizo, eyo nno y’e ddiini e nnambulukufu, temweyisanga bubi mu gyo, era mulwanyise abagatta ku Katonda e bintu e birala bonna, nga nabo bwe babalwanyisa mwenna, mumanye nti mazima Katonda bulijjo abeera n’a bamutya."},{"id":37,"translation":"Mazima okuwaanyisa e myezi egy'emizizo kyongera bukaafiiri, babuzibwa nakyo abo abaakaafuwala nga bakkiriza okugirwaniramu mu mwaka, ate omwaka omulala nebagiziza, basobole okujjuza omuwendo gwe myezi Katonda gye yaziza, mu kukola ekyo nebaba nga bafuula Halali Katonda kye yafuula Haramu. Ebikolwa byabwe e bibi bya balabikira okuba nga bye birungi, nga bulijjo Katonda talungamya bantu bakaafiiri."},{"id":38,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mwabaaki! bwe babagamba nti mufulume mulafuubane mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, muwulira nga muzitoye ne musalawo kutuula ku ttaka, musazeewo kugenda na bulamu bwansi okusinga e nkomerero! naye obulamu bwensi bwe bugeraageranyizibwa ku bw'enkomerero tebuba, okugyako kantu katono nnyo."},{"id":39,"translation":"Bwemutagenda (ku lutalo) (Katonda) agenda kubabonereza e bibonerezo e biruma ennyo, ate asseewo abantu abalala mu kifo kya mmwe, era temuyinza ku mutuusaako kabi konna, nga bulijjo Katonda muyinza wa buli kintu."},{"id":40,"translation":"Bwe mutamutaasa (Nabbi Muhammad), mazima Katonda yamutaasa mu kiseera abakaafiiri bwe baamufulumya nga y’omu ku babiri, webaabeerera mu mpuku, mu kiseera weyagambira munne nti tonakuwala mazima Katonda ali wamu naffe, awo nno Katonda naamussaako obutebenkevubwe, era naamudduukirira neggye lye mutaalaba. E kigambo ky'abo abaakaafuwala n’akifuula ekya wansi, ssi nga ekigambo kya Katonda kyo kye kya waggulu, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga."},{"id":41,"translation":"Mufulume n’ebyokulwanyisa e bitonotono oba e bizito, mulafuubane nga muweereza mu kkubo lya Katonda, nga mukozesa e mmaali ya mmwe nemy’oyo gya mmwe, ekyo nno ky’ekirungi gye muli, bwe muba nga mumanyi."},{"id":42,"translation":"Singa byali byanfuna nga biri kumpi, nga n’olugendo lwangu, baalikugoberedde, naye olugendo lwabayitirirako era bajja kulayira Katonda nga bagamba nti, singa twabadde tusobola twandigenze na mmwe, mukwogera ekyo nebaba nga bazikiriza myoyo gyabwe, anti Katonda amanyi nti mazima bo balimba."},{"id":43,"translation":"Katonda akusonyiwe (Ggwe Muhammad) lwaki wabakkiriza okusigala n’otalinda kumala kumanyira ddala ab'amazima, era n’omanya abalimba."},{"id":44,"translation":"Abo abakkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, tebayinza kukusaba kubaggyako luwalo lwa kugenda kulafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yabwe, n’emyoyo gyabwe, era Katonda amanyidde ddala abo abamutya."},{"id":45,"translation":"Mazima abo abatakkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, be bakusaba okubakkiriza obutagenda ku lutabaalo, n’emitima gyabwe gibuusabuusa, bonna mu kubuusabuusa kwabwe mwebabeera nga tebayinza kusalawo."},{"id":46,"translation":"Singa baali baagadde kugenda ku lutalo, baalirwetegekedde okwetegeka okwetaagisa, naye Katonda teyayagala kugenda kwa bwe, n’olwekyo n’atabasobozesa, olwo nno nebalangirira nti, musigale n’abasigadde."},{"id":47,"translation":"Singa baagendera mu mmwe, tebandibongedde okugyako bizibu, era bandibungeesezza e ngambo mu mmwe, nga babaagaliza akabi, ate nga ne mu mmwe mwandibaddemu ababawuliriza, Katonda amanyi nnyo ebikwata ku bantu abeeyisa obubi."},{"id":48,"translation":"Mazima baayagala dda okukuleetera akabi ne bakutabangulira e bintu, okutuusa amazima lwe gajja n’ekigambo kya Katonda nekyeyoleka, nga nabo tebaagala."},{"id":49,"translation":"Mu bo mulimu omuntu agamba nti, nsaba onzikirize nneme kugenda ku lutalo, era tonteeka mu kikemo, abange abo nno mu kikemo mwennyini mwe baagwa, mazima omuliro Jahannama gwetoolodde abakaafiiri."},{"id":50,"translation":"Bwotuukibwako e kirungi, kibanakuwaza, ate bw’otuukibwako e kibi, bagamba nti, ffe ekyo twakirabirawo ne tukyekeengera, olwo nno nebadda mu maka gaabwe nga basanyufu."},{"id":51,"translation":"(Ggwe Muhammadi) gamba nti tewali kitutuukako okugyako Katonda kye yatuwandiikako, yye, ye mutaasa waffe, abakkiriza Katonda yekka gwe bateekwa okwesiga,"},{"id":52,"translation":"Gamba (ggwe Muhammad), mulina kye musuubira okututuukako ekitali e kimu ku birungi e bibiri (okuwangula olutalo oba okuwangulwa netuyingira e jjana), ng’ate ffe tubalindiridde Katonda abatuusaako ebibonerezo okuva gyali, oba abibatuseeko ng’abiyisa ku mikono gyaffe, kale mulindirire naffe tulindirira wamu na mmwe."},{"id":53,"translation":"Gamba (ggwe Muhammad), kamuweeyo mu mmaali ya mmwe mu ngeri y’akyeyagalire oba ey’obuwaze, (okugaba kwa mmwe okwo) tekugenda kukkirizibwa kuva gye muli, anti mazima ddala mmwe muli abantu aboonoonyi."},{"id":54,"translation":"Tewali kyagaanyisa kuwaayo kwabwe kukkirizibwa, okugyako okuba nti, mazima ddala bo baagyemera Katonda n’omubakawe, era tewali lwe bagenda kusaala okugyako nga bagayaavu, era tebawaayo okugyako lwa buwaze."},{"id":55,"translation":"Emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebikuyigula ttama, anti mazima Katonda ayagala kubabonereza nabyo mu bulamu obw'ensi, era batuuke okussa omukka ogusembayo nga bakaafiiri."},{"id":56,"translation":"Era balayira Katonda nti, mazima bo ba mu mmwe, naye ssi ba mu mmwe, mazima bo, bantu batiitiizi."},{"id":57,"translation":"Singa bafuna obuddukiro, oba e mpuku, oba e kifo aweekukumwa, bandidduse okugenda gye kiri nga baduma."},{"id":58,"translation":"Ate mu bo mulimu abakusongamu e mimwa ku nsonga ya saddaaka, bwe baweebwako basiima, ate bwe bataweebwa, olwo nno nebasunguwala."},{"id":59,"translation":"Singa bamatira n'ekyo Katonda n’omubakawe kye baabawa, era ne bagamba nti Katonda waffe atumala, Katonda ajja kutuwa mu bigabwabye e bingi n’omubakawe bwatyo, anti mazima ddala ffe ewa Katonda gye tuyaayaanira okudda."},{"id":60,"translation":"Mazima ddala saddaaka (zzaka) eweebwa abaavu, n’abanaku, n’abagikolako, naabo e mitima gyabwe egisikirizibwa, (abaakasiramuka), ne mu kununula abaddu, n’abo amabanja begatuuse mu bulago, ne mu kulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, n’omutambuze, ebyo byonna nga y'engereka y’a Katonda, era bulijjo Katonda amanyi nnyo, mugoba nsonga."},{"id":61,"translation":"Era mu bo, mulimu abo abanyiiza Nabbi nga bagamba nti, yye awuliriza buli kimu, gamba nti awuliriza lwa bulungi bwa mmwe, akkiriza Katonda, era yeesiga abakkiriza, era yye kya kusaasira eri abo abakkiriza mu mmwe, bo abo abanyiiza omubaka wa Katonda, bagenda kutuukwako e bibonerezo e biruma."},{"id":62,"translation":"Babalayirira Katonda babasanyuse, so nga Katonda n’omubaka beebasinga okusaanira okusanyusibwa singa (abantu abo) babadde bakkiriza."},{"id":63,"translation":"Abaffe, tebamanyi nti mazima ddala omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima wa kuyingizibwa omuliro Jahannama, nga w’akubeera mu gwo bugenderevu, obwo bwe buswavu obuyitirivu."},{"id":64,"translation":"Abannanfunsi beekengera okussibwako e Ssura, nga ebategeeza ebiri mu mitima gyabwe, gamba (ggwe Nabbi Muhammad nti), mugira mubiyita eby'olusaago, mazima Katonda ajja kwanika ebyo bye mwekengera."},{"id":65,"translation":"Singa obabuuza (lwaki bajerega abakkiriza), bajja kugambira ddala nti, mazima twabadde mu lwali na kuzannya, gamba (ggwe Muhammad) Katonda, n’ebigambobye n’omubakawe, bye mwabadde mujerega!."},{"id":66,"translation":"Temwetonda mazima mukaafuwadde oluvanyuma lw’obukkiriza bwa mmwe, bwe tusonyiwa e kitundu ku mmwe (olw'okwetonda), tuba tulina okubonereza e kitundu e kirala ekiteetonze, olw'okuba nti mazima bo baali boonoonyi."},{"id":67,"translation":"Abannanfunsi abasajja n’abannanfusi abakazi beebamu, balagira okukola e mpisa e mbi, ne bagaana (abantu) okukola e mpisa e nnungi, era bafunya e mikono gyabwe (bakodo) beerabira Katonda naye naabalekerayo, mazima abannanfusi, bo be boonoonyi."},{"id":68,"translation":"Abannanfusi abasajja n’abannanfusi abakyala, n’abakaafiiri, Katonda ya balagaanyisa omuliro Jahannama, baakugubeeramu obugenderevu, ggwo gwe gw'okubamala era Katonda yabakolimira era balissibwako e bibonerezo eby'olubeerera."},{"id":69,"translation":"Bafaananako nga abo abaaliwo oluberyeberye lwa mmwe, baali ba maanyi nnyo okusinga mmwe, era nga beebasinza e mmaali n’abaana, olwo nno ne beeyagala olw'ebyo bye baafuna nga nammwe bwe mweyagadde olw'ebyo bye mufunye, nga abaabakulembera bwe beeyagala olw'ebyo bye baafuna, era ne mudda mu kukuba olwali nga bali lwe baalimu, abo nno e mirimu gya bwe gyayonooneka ku nsi ne ku nkomerero, era abo be b'okufaafaaganirwa."},{"id":70,"translation":"Abaffe e kigambo ky'abo abaabakulembera tekyabatuukako! abantu ba Nuuhu, n’aba A’adi, n’a ba Thamud, n’abantu ba Ibrahim, n’abantu b’o mu kitundu kye Madiyana, n’abantu b’o mu bitundu ebyavuunikibwa (aba Nabbi Luutu)ababaka baabwe baabajjira n’ebigambo bya Katonda e binnyonnyofu, oluvanyuma lw'ebyo Katonda si ye yabayisa obubi, naye bbo bennyini be beeyisa obubi."},{"id":71,"translation":"Abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi, abamu mikwano gya bannaabwe, balagira okuyisa obulungi, ne baziyiza okuyisa obubi, era ne bayimirizaawo e sswala ne batoola zzaka, era ne bagondera Katonda n’omubakawe, abo Katonda ajja kubasaasira. Anti mazima ddala Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga."},{"id":72,"translation":"Allah yalagaanyisa abakkiriza abasajja, n’abakkiriza abakazi e jjana ezikulukutiramu e migga, b’akubeera mu zo bugenderevu, era baliweebwa e bisulo e birungi mu jjana ez’olubeerera, nga n'ekisingira ddala, bagenda kufuna okusiima okuva ewa Katonda, era ekyo kwe kwesiima okusukkulumu."},{"id":73,"translation":"Owange ggwe Nabbi, lwanyisa abakaafiiri, n’abannanfusi era obakaluubirize, era obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era buddo bubi nnyo."},{"id":74,"translation":"Balayira Katonda nti tebabyogerangako, naye nga mazima baayatula e kigambo ky'obukaafiiri, olwo nno nebafuuka abakaafiiri oluvanyuma lw'okuba nti baali basiraamu, nebagezaako nnyo okukola kye baali tebasobola kutuukiriza (eky'okutta Nabbi), tewali kyabakozesa mpalana okugyako okuba nti Mukama Katonda n’omubakawe baabagonnomolako e bigabwa bya Katonda, kale nno singa beenenya kiba kirungi gye bali, naye bwe batakikola Katonda agenda ku babonereza olubonereza oluluma ennyo ku nsi, ne ku nkomerero, era nga tebalina ku nsi mukuumi yenna oba mutaasa."},{"id":75,"translation":"Era mu bo mulimu abo abaalagaanyisa Katonda nga bagamba nti, singa atuwa mu bigabwabye, mazima tujja kusaddaakako era tujja kubeerera ddala mu balongoofu."},{"id":76,"translation":"Bwe yabawa ku bigabwabye, baabikodowalira, nebava ku kiragaanye, mu kukola ekyo nebaba nga baava ku ndagaano."},{"id":77,"translation":"N’olwekyo ekyaddirira Katonda nannyikiza obunnanfusi mu mitima gy’abwe, okutuusa ku lunaku lwe balimusisinkana, olw'okuba nti baayawukana ku kye baalagaanyisa Katonda, ne ku lw'ebyo bye baali balimbisa."},{"id":78,"translation":"Abaffe tebaamanya nti mazima Allah amanyi e byama byabwe n’emboozi zaabwe ez’olwatu, era nga mazima amanyidde ddala e byekusifu."},{"id":79,"translation":"Abo abavumirira abakozi b’obulungi mu bakkiriza olw'okuwaayo saddaaka, era nebavumirira n'abo abatasobola kufuna okugyako akatono, nekibatuusa n’okubagyegya, Katonda abaziimuula era bagenda kussibwako e bibonerezo e biruma."},{"id":80,"translation":"Koobeegayiririre oba tobeegayiririra, nebwonaabeegayiririra e mirundi nsanvu Katonda tagenda kubasonyiwa, ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo, baawakanya Katonda n’omubakawe, era nga bulijjo Katonda talungamya bantu boonoonyi."},{"id":81,"translation":"Abaayawukana ku Nabbi baasanyuka olw'okusigala nga batudde, nga baawukanye ku mubaka w’a Katonda, nebatamwa okulwana ne mmaali yaabwe, n’emyooyo gyabwe mu kkubo lya Katonda, era nebagamba bannaabwe temugezaako nemugenda mu bbugumu, bagambe nti omuliro Jahannama gwe gusinga okwokya singa babadde bategeera."},{"id":82,"translation":"Kale nno basaana baseke kitono (mu bulamu obw'ensi), ate bakaabe nnyo (ku nkomerero), nga y'empeera gye bagenda okusasulwa olw'ebyo bye baali bakola."},{"id":83,"translation":"Singa Katonda anaakuzza eri e kibinja mu bo (e Madinah), nebakusaba okufuluma (ku lutabaalo), bagambe nti temugenda kuddayo kufuluma nange, era temugenda kulwanyisa mulabe yenna nga muli nange, mazima mmwe mwasalawo obutagenda omulundi ogwasooka, kale mubeere naabo abaanjawukanako."},{"id":84,"translation":"Era tosaaliranga oyo yenna aba afudde mu bo, era toyimiriranga ku kabbuliye, anti mazima bbo baagyemera Katonda n’omubakawe, era ne bafa nga boonoonyi."},{"id":85,"translation":"Obungi bwe mmaali yaabwe n’abaana baabwe tebukwewuunyisa. Katonda kyagenderera mu byo kubabonereza kuno ku nsi, era batuuke okufa nga bali ku bukaafiiri."},{"id":86,"translation":"Essura bwe ssibwa nga ebalagira nti mukkirize Katonda, era mulafuubane mu kuweereza mu kkubolye nga muli n’omubakawe, abagagga mu bo bakusaba obasonyiwe, nebagamba nti, tuleke tubeere n’abatagenze."},{"id":87,"translation":"Baasiima okubeera awamu n’abaasigala. Emitima gyabwe negizibikirwa, ne baba nga tebasobola kutegeera."},{"id":88,"translation":"Naye mazima omubaka n’abo abakkiriza abali awamu naye balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe, n’emyoyo gyabwe, era abo balina obulungi, era abo bbo be balituuka ku buwanguzi."},{"id":89,"translation":"Katonda yabategekera e jjana ezikulukutiramu e migga, baakubeeramu bugenderevu, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu."},{"id":90,"translation":"Abawarabu ba nnamalungu ne bajja eri Nabbi nga beetonda, babe nga bakkirizibwa obutagenda ku lutalo, ate abo abaalimbisa Katonda n’omubakawe, bo baatuula butuuzi (awatali kuwa nsonga yonna), abo abaakaafuwala mu bo, bagenda kutuukwako e bibonerezo ebiruma ennyo."},{"id":91,"translation":"Abanafu n’abalwadde, n’abo abatasobola kufuna kye bawaayo, tewali kibavunaanwa kasita baba nga bakola ku lwa Katonda n’omubakawe, abakozi b’obulungi (ng’abo) tewali wooyita kubassaako musango, nga bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi."},{"id":92,"translation":"Era tewali musango ne kw'abo abakujjira obafunire engeri gy’obatwalamu ku lutalo, noogamba nti sirina ngeri gye mbatwalamu, nebava wooli ng’amaaso gaabwe gakulukuta amaziga olw'ennaku y’okuba nti tebayinza kufuna kye bawaayo."},{"id":93,"translation":"Mazima okuvunaana, kubeera kw'abo abaakusaba obutagenda ate nga bagagga, baasalawo babe naabo abasigadde, Allah nassa e nvumbo ku mitima gyabwe, tebayinza kumanya (nsonga ntuufu)."},{"id":94,"translation":"(Abo abaabaawukanako ku lutalo lwe Tabuk) bajja kubeetondera (nga balimba), bwe munaaba muzzeeyo gye bali bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti temwetonda tetujja kukkiriza kwetonda kwa mmwe, anti mazima Katonda yatutegeeza ebibakwatako, Katonda ajja kulaba ebikolwa bya mmwe n'omubakawe ajja kubiraba, oluvanyuma muli baakuzzibwa eri omumanyi w'ebyekwese n'ebyolwatu, olwo nno Katonda alyoke abategeeze ebyo bye mwali mukola (ku nsi)."},{"id":95,"translation":"(Abo abaakwawukanako ku lutalo lwe Tabuk) bajja kubalayirira Katonda bwe munaaba muzzeeyo gye bali muleme kubaako bye mubanenya, kale mubaleke anti mazima bo banyoomebwa nga n'obuddo bwa bwe muliro Jahannama nga y'empeera y'ebyo bye baali bakola."},{"id":96,"translation":"Babalayirira balyoke babasiimiikirize naye bwe munaaba mukkiriza okusiimiikiriza kwabwe, mazima ye Katonda takkiriza kusiimiikiriza kwa bantu aboonoonyi."},{"id":97,"translation":"Ba nnamalungu be basinga obukaafiiri n'obunnanfusi era be basinga obutamanya bikomo bya Katonda bye yassa ku Mubakawe, Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga."},{"id":98,"translation":"Mu ba nnamalungu mulimu abo abalaba kye baba bawaddeyo kyonna mu kkubo lya Allah nga kufiirwa era nga babaagaliza bizibu naye nga ebizibu bya kutuuka ku bo, (sso si ku mmwe), Katonda awulira nnyo era muyitirivu wa kumanya."},{"id":99,"translation":"Era mu ba nnamalungu mulimu abakkiriza Allah n'olunaku lw'enkomerero era nga ne bye baba bawaddeyo mu kkubo lya Katonda babibala nga bya kubatuusa ku kusiima kwa Katonda n'omubaka okubasabira (obulungi). Kituufu ebyo bye baba bawaddeyo bibatuusa ku kusiima kwa Katonda, Katonda ajja kubayingiza (ejjana) ekifo ky'okusaasirakwe. Anti mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi."},{"id":100,"translation":"N'abo abaasookera ddala okukkiriza mu baasenguka okuva e Makkah ne ba Answari (abaataasa Nabbi) n'abo abaabagoberera mu kukola obulungi, Allah yabasiima nabo ne bamusiima, era Allah yabateekerateekera e jjana ezikulukutiramu e migga nga baakubeera mu zo olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu."},{"id":101,"translation":"Ne mw'abo ababeetoolodde mu ba nnamalungu mulimu abannanfuusi ne mu batuuze be Madinah mulimu abaagugubira ku bunnanfuusi, nga ggwe tobamanyi, ffe nno tubamanyi. Tujja kubabonereza e mirundi e biri (kuno ku nsi n'okubaswaza n'ebibonerezo byo mu Kabuli oluvanyuma lw'okufa), oluvanyuma baakuzzibwa eri e bibonerezo e bisuffu."},{"id":102,"translation":"(Waliwo) N'abalala abakkiriza e bibi byabwe, baatabula e mirimu e mirungi n'emirala e mibi. Ob'olyawo Allah ajja kubasonyiwa (olw'okwetonda kwa bwe) anti mazima Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira."},{"id":103,"translation":"(Abo abeetonda mu bo) gya mu mmaali yaabwe Saddaaka obatukuze era obalongoose nayo. Era basabire (Katonda abasonyiwe) anti mazima okusaba kwobasabira mirembe gye bali, Katonda awulira nnyo era mumanyi nnyo."},{"id":104,"translation":"Tebamanyi nti mazima Katonda yye, yakkiriza okwenenya kwa baddube era nti yakkiriza Saddaaka era nti mazima Katonda yye yakkiriza okwenenya era omusaasizi ennyo."},{"id":105,"translation":"Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammadi) nti mukole, Allah ajja kulaba e mirimu gya mmwe n’omubakawe n’abakkiriza era nga muli ba kuzzibwa eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabikako olwo alyoke abategeeze, ebyo bye mwali mukola."},{"id":106,"translation":"(N'abalala mw'abo abaakwawukanako ku lutalo lwe Tabuuk) baalekerwa kusalawo kwa Allah, oba agenda kubabonereza oba alikkiriza okwenenya kwa bwe. Mazima Allah mumanyi nnyo mugobansonga."},{"id":107,"translation":"N'abo (Abannanfuusi) abaateekawo omuzikiti ogw'obulabe n’olwobukaafiiri, era n’olwokwawulayawula mu bakkiriza n’olwokutegekera oyo eyalwanyisa Allah n'omubakawe oluberyeberye, era bajja kulayirira ddala nti tetulina kigendererwa okugyako obulungi, so nga Allah amanyi nti mazima bo balimbira ddala."},{"id":108,"translation":"Bulijjo toyimiriranga (Ggwe Nabbi) okusaalira mu gwo, mazima omuzikiti ogwazimbibwa ku musingi ogw'okutya Allah kuntandikwa gw'oteekwa okusaalirangamu, mu muzikiti ogwo mulimu abasajja abaagala okwetukuza, anti bulijjo Allah ayagala abeetukuza."},{"id":109,"translation":"Abaffe oyo eyatandika omusingi gw'ekizimbekye ku lw'ekigendererwa ky'okutya Katonda n'okusiimakwe yaasinga obulungi oba oyo eyatandikawo omusingi gw'ekizimbekye ku nsonda y'ekifunvu nekimusuula mu muliro Jahannama, Katonda talungamya bantu beeyisa bubi."},{"id":110,"translation":"Ekizimbe Abannanfusi kye baazimba kijja kusigala nga kya kubuusabuusa mu mitima gyabwe okutuusa okufa kwa bwe, Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga."},{"id":111,"translation":"Mazima Katonda yagula ku bakkiriza obulamu bwabwe ne mmaali yabwe nga ddala agenda kubasasulamu jjana olw'okuba nti balwana mu kkubo lya Katonda ne batta era nga nabo battibwa eyo nga ndagaano gye yeekakasaako mu Taurat mu Injil ne mu Kur’ani ate ani ayinza okutuukiriza e ndagaano ye okusinga Katonda, kale nno musanyuke n'obuguzi bwe mugulaana era okwo kwe kwesiima okusukkulumu."},{"id":112,"translation":"(Abagwa mu kiti ekyo) beebo abeenenyeza Allah abasinza Allah abatendereza Allah, abatambula mu nsi ku lw'okuweereza Allah abakutama ku maviivi ne bavunnama ku ttaka (nga basaala) abalagira e mpisa e nnungi era abaziyiza amayisa amabi, era abeekuumira ku mateeka ga Katonda, era sanyusa abakkiriza."},{"id":113,"translation":"Nabbi tekimugwanira wadde abakkiriza okwegayiririra abagatta ku Allah ekintu ekirala, ne bwe baba b'aluganda olw'o kumpi kasita kimala okubeeyolekerera ddala nti mazima bo ba mu muliro."},{"id":114,"translation":"Okwegayirira kwa Ibrahim kulwa kitaawe tekyaliwo okugyako olw'endagaano gye yamuwa, naye bwe yamala okukitegeera ddala nti mazima yye (kitaawe) mulabe wa Katonda yamwegaana, (Ibrahim yalina okugezaako nga bwasobola okwegayirira Allah asaasire kitaawe), anti Ibrahimu bulijjo yali muyitirivu wa kusaba na kuloopa nsongaze zonna ewa Allah era nga wa kisa nnyo."},{"id":115,"translation":"Era Allah teyali waakubuza bantu oluvanyuma lw'okubalungamya okugyako nga amaze okubannyonnyola ebyo bye bateekwa okwewala. Anti mazima Katonda mumanyi wa buli kintu."},{"id":116,"translation":"Mazima Allah bubwe obufuzi bwe ggulu (omusanvu) ne nsi, awa obulamu era natt, ng'oggyeko Allah temulina mukuumi wadde omutaasa."},{"id":117,"translation":"Mazima Allah yakkiriza okwenenya kwa Nabbi n'okwa ba Muhajiriina (abaasenguka) n'okwa ba Answar (abaabudamya) abo abaamugoberera mu kiseera ekizibu oluvanyuma lw'okusemberera emitima gy'abamu ku bo okukyuka, olwo nno n'abasonyiwa anti mazima yye bulijjo wa kisa musaasizi era yakkiriza okwenenya."},{"id":118,"translation":"Era yakkiriza okwenenya kw'abasatu abo abataagenda ku lutabaalo okutuusa ensi lwe yabafundirira awamu n'obugazi bwayo, nabo bennyini nebafunda olw'okweraliikirira, nebatuuka okulowooza nti tewali kuwona Katonda okugyako nga omuntu azze gyali, oluvanyuma Katonda yabaddiramu basobole okwenenya. Anti mazima Allah yye akkiriza okwenenya musaasizi."},{"id":119,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mutye Allah era mubeere wamu n'a b'amazima."},{"id":120,"translation":"Kyali tekisaanira bantu be Madinah neba nnamalungu ababeetoolodde okwawukana ku mubaka wa Allah (ku lutabaalo) n'okuba nti beeyagala okusinga bwe bamwagala, ekyo nno lwa kuba nti mazima bo tewali nyonta wonna lwe baluma, wadde okukoowa, wadde e njala, nga bali mu kulafuubana okuweereza mu kkubo lya Katonda era tewali kigere kyonna, kye batambula ekinyiiza abakaafiiri, era tewali buzibu bwonna bwe batuusa ku mulabe, okugyako nga kibawandiikibwako nga omulimu omulungi. Mazima ddala bulijjo Allah tayonoona mpeera ya bantu balongoosa."},{"id":121,"translation":"Era tebawaayo kiweebwayo kyonna kitono oba kinene era tebamalaako lusenyi lwonna okugyako nga kibawandikibwakonga kirungi. Olwo nno Allah alyoke abasasule e birungi e bisukkuluma kw'ebyo bye baakola."},{"id":122,"translation":"Abakkiriza tebateekwa bonna kufuluma kugenda (kulafuubana mu kkubo lya Allah) naye singa mu buli bantu muvaamu e kibinja ne bagenda bakuguka mu kumanya eddiini olwo nno bagende babuulirire abantu baabwe nga bakomyewo gye bali ekyo nno kibasobozese okwekeka (ebitakkirizibwa)."},{"id":123,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mulwanyise abakaafiiri abo ababaliraanye bateekwa bawulire obuzito obuva mu mmwe, era mukimanye nti mazima ddala Allah bulijjo abeera wamu n'abamutya."},{"id":124,"translation":"Bulijjo essuula bweba nga essiddwa, mu bo mulimu abagamba nti ani mu mmwe (essuula) eno gweyongedde obukkiriza, wabula bo abakkiriza eba ebongedde obukkiriza era baba bali mu ssanyu."},{"id":125,"translation":"Naye abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe ebongera bubi ku bubi bwabwe nebatuuka okufa nga nabo bakaafiiri."},{"id":126,"translation":"Abaffe tebakiraba nti mu buli mwaka bagezesebwa omulundi gumu oba ebiri, oluvanyuma ne bateenenya wadde okuba abeebuulirira."},{"id":127,"translation":"Era essuula bweba essiddwa abamu batunula ku bannaabwe (nga bagamba nti) abaffe waliwo omuntu yenna abalaba olwo nno ne beemulula, Katonda yakyusa emyoyo gya bwe kubanga bo bantu abatategeera."},{"id":128,"translation":"Omubaka yabajjira nga ava mu mmwe mwennyini nga kimuzitoowerera nnyo ekyo ekibakaluubiriza abalumirwa nnyo, era eri abakkiriza bonna wa kisa musaasizi."},{"id":129,"translation":"Wabula bwe bakwesamba, gwe (Nabbi Muhammadi) gamba nti Katonda ammala, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, yye gwenneesiga era yye ye mufuzi wa Arish ey'ekitiibwa."}]},{"id":10,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Raa, e nnyukuta zino twazoogerako ku ntandikwa ya Sura Al Bakara, bino bye bigambo by'ekitabo (Kur’ani) eby'amagezi."},{"id":2,"translation":"Abaffe kya kwewuunya eri abantu okuba nti twassa obubaka eri omusajja mu bo, (nga tumulagidde) nti tiisa abantu (abatakkiriza) ate owe amawulire ag'essanyu eri abo abakkiriza (obubaka) nti balina e mpeera e nnungi ewa Mukama omulabirizi waabwe (ku lw'emirimu emirungi gye bakola). Abakaafiiri (Nabbi bwe yamala okubajjira) ne bagamba nti mazima ono mulogo omweyolefu."},{"id":3,"translation":"Mazima Mukama omulabirizi wammwe ye Allah oyo eyatonda eggulu (omusanvu) n'ensi mu nnaku mukaaga bwe yamala naatereera ku Arish nga atambuza buli kimu, tewali agenda kwetantala kuwolereza okugyako nga Katonda amaze okukkiriza. Oyo nno mwe, ye Allah, omulabirizi wa mmwe. Kale nno mumusinze, abaffe temwebuulirira."},{"id":4,"translation":"Gyali y'eri obuddo bwa mmwe mwenna eyo nga ndagaano e nkakafu eyabassibwako Katonda, anti mazima yye, y’atandika e bitonde ate oluvanyuma y'agenda okubizzaawo, abe nga asasula mu bwenkanya abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu ate abo abakaafuwala bagenda kuweebwa ebyokunywa nga by'amazzi ag'olweje, era bassibweko ebibonerezo ebiruma olw'ebyo bye baawakanyanga."},{"id":5,"translation":"(Katonda) yye yooyo eyassaawo e njuba nga eyaka, nassaawo omwezi nga kitangaala, n'agugerera ebifo (mwe gubeera mu biseera eby'enjawulo) kibasobozese okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, ebyo Allah teyabikola okugyako mu butuufu bwa byo (nga bwebiteekwa okuba), bulijjo Allah annyonnyola obubonero (obulaga obuyinza bwe n'obusobozibwe) eri abantu abamanyi."},{"id":6,"translation":"Mazima okwawukana kw'ekiro n'emisana n'ebyo Katonda bye yatonda mu ggulu omusanvu n'ensi ddala mulimu obubonero eri abantu abatya Katonda (obubayamba okutegeera e kitiibwa n'obuyinza bwa Katonda)."},{"id":7,"translation":"Mazima abo abatasuubira kutusisinkana era ne basiima okwemalira ku bulamu bw'ensi era ne batebenkera nabwo, era abo abatassa mulaka ku bubonero bwaffe."},{"id":8,"translation":"Abo nno obuddo bwa bwe muliro olw'ebyo bye baakolanga."},{"id":9,"translation":"Mazima abo abakkiriza nebakola e mirimu emirongoofu, Mukama omulabirizi waabwe abalunngamya olw'obukkiriza bwa bwe, gikulukutira e migga wansi waabwe mu jjana ez'ebyengera."},{"id":10,"translation":"Okusaba kwa bwe nga bali mu yo (baliba batendereza nga bagamba nti) wasukkuluma ayi Mukama Katonda nga ne ssalaamu, kye kiriba e kiramuso kya bwe, nga n'enkomelero y'okusaba kwa bwe baligamba nti amatendo gonna ga Katonda omulabirizi w'ebitonde byonna."},{"id":11,"translation":"Singa Allah yali atuusa ku bantu akabi nga bwabatuusaako amangu obulungi, yaalibatuusizza kw'ekyo kye yabagerera, olwo nno netuleka abatasuubira kutusisinkana mu bubuze bwabwe nga babulubuuta."},{"id":12,"translation":"Omuntu bwatuukwakwo obuzibu atukoowoola tumuyambe kaabe nga agalamidde, atudde, oba nga ayimiridde, wonna wetumuggyirako obuzibubwe aniigiina nga atatuyitangako kujja kumutaasa mu buzibu obuba bumutuuseeko, mu ngeri nga eyo aboonoonyi ab'olutentezi bwe balaba ekibi nekiba nga e kirungi mu ebyo bye bakola."},{"id":13,"translation":"Twazikiriza emirembe mingi oluberyeberye lwammwe bwe gyamala okweyisa obubi (ewa Katonda wa bwe), so nga ababaka baabwe baabajjira n'obunnyonnyofu naye nga tebaali baakukkiriza, bulijjo bwe tutyo bwe tusasula abantu aboonoonyi."},{"id":14,"translation":"Oluvanyuma twabafuula (mmwe) abaddira bali mu bigere oluvanyuma lwa bwe, olwo nno tulabe mmwe mukola mutya!."},{"id":15,"translation":"Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa ng’ate ddala binnyonnyofu, abo abatasuubira kutusisinkana bagamba nti leetayo Kulaani endala etali eno oba eno gikyuseemu, bagambe nti tekiri mu buyinza bwange okugikyusa nga nze nnesalirawo, sirina kyengoberera okugyako ekyo ekimpebwa nga bubaka, mazima nze ntya ebibonerezo by'okulunaku oluzito singa njemera Mukama omulabirizi wange."},{"id":16,"translation":"Bagambe nti singa Allah yayagala sandigibasomedde (Kulaani) era (Allah) teyandigibamanyisizza, anti mazima nnatuula mu mmwe ebbanga ddene nga tennampebwa abaffe temutegeera!."},{"id":17,"translation":"Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera ku Katonda ebigambo eby'obulimba oba naalimbisa ebigambo bye mazima ddala aboonoonyi tebagenda kuwona."},{"id":18,"translation":"Nebatuuka okusinza ebirala ebitali Allah ebyo ebitayinza kubatuusaako kabi era ebitayinza kubagasa nebagamba nti bano, be bawolereza baffe ewa Katonda, gamba (Ggwe Muhammadi nti mu kukola ekyo) mutegeeza Katonda ekyo kyatamanyi mu ggulu (omusanvu) wadde mu nsi, Musukkulumu era yeesambye nnyo kw'ebyo bye bumugattako."},{"id":19,"translation":"Abantu tebabangako okugyako ekibiina kimu (y'eddiinin y'obusiraamu) wabula oluvanyuma baayawukana, naye singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabiriziwo (okuba nti buli muntu alina waalifiira) ensonga zaabwe zaalimaliddwa (mangu) mw'ebyo bye baawukanamu."},{"id":20,"translation":"Era bagamba nti singa (Muhammadi) assibwako eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe kale ggwe gamba nti mazima ebitalabwako biri mu mikono gya Katonda (bwayagala abiwa abantu bwaba tayagadde naatabawa), kale nno mulindirire, mazima nze ndiwamu na mmwe mu balindirira."},{"id":21,"translation":"Abantu bwe tubakombya ku kusaasira oluvanyuma lw'obuzibu obuba bubatuuseeko ogenda okulaba nga balina enkwe zebakola ku by'amagero byaffe, gamba ggwe (Muhammadi) nti Katonda y'asinga obwangu mu kussa mu nkola kyaba asazeewo, mazima ddala bulijjo ababaka baffe bawandiika enkwe zemusala."},{"id":22,"translation":"(Allah) yye yooyo abatambuza ku lukalu ne ku mazzi okutuusa bwe muba nga muli mu lyato (amaato) negatambula n'abantu abagaliko nga gaseeyeeya mu mpewo ennungi era negabasanyusa ate nno baba balyawo e mpewo erimu kibuyaga neebajjira n'amayengo negabajjira okuva mu mpuyi zonna, nebatuuka n'okulowooza nti obwabwe bukomye, awo nno basaba Katonda ng'okusaba kwonna bakwolekeza ye yekka era nga bagamba nti n'omala otuwonya e kizibu kino tujja kubeerera ddala mubeebaza."},{"id":23,"translation":"Naye ate bwamala okubawonya ogenda okubalaba nga bakola obwonoonefu mu nsi awatali nsonga yonna ntuufu. Abange mmwe abantu mazima obwonoonefu bwa mmwe bufiiriza mmwe, (anti bwo) kweyagala kwa bulamu bwa nsi oluvanyuma gyetuli y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno tubamanyise byonna bye mwakolanga."},{"id":24,"translation":"Mazima ekifaananyi ky'obulamu bw'ensi kiringa amazzi getussa okuva waggulu ne gatuuka ku bimera ebiri mu ttaka, mu ebyo abantu bye balya n'ensolo bye zirya, okutuusa ensi bwetandika okulabika obulungi nenyirira abantu abagiriko nebalowooza nti bagisobola, ekiragiro kyaffe nekibajjira ekiro oba e misana netugifuula nga enkungule neeba nga etabadde y'amugaso eggulo bwe tutyo nno bwe tunnyonnyola obubonero eri abafumiitiriza."},{"id":25,"translation":"Ne Allah akoowoola abantu okujja eri e nyumba ey'emirembe era alungamya oyo gwaba ayagadde eri ekkubo eggolokofu."},{"id":26,"translation":"Abo abakola obulungi bagenda kuweebwa obulungi n'ennyongeza. Enfuufu tegenda kubikka byenyi byabwe wadde okulabikako obunyomoofu, abo nno b'ebantu bo mu jjana bo baakutuula bugenderevu mu yo."},{"id":27,"translation":"Bo abakola ebibi empeera y'ekibi yenkana ekibi ekikoleddwa era obunyoomu bugenda kubabikka tebagenda kubeera n'abawonya yenna ku Katonda, bo ebyenyi byabwe bigenda kubeera nga ebibikkiddwa ekitundu ky'ekiro eky'enzikiza abo nno b'ebantu bo mu muliro bo baakutuula mu gwo lubeerera."},{"id":28,"translation":"Era jjukira olunaku lwe tulibakungaanya bonna olwo nno netugamba eri abo abaagatta abintu ebirala ku Katonda mubeere mu bifo bya mmwe ne bannammwe (be mwagatta ku Allah) olwo nno netubaawulamu bebaagatta ku Allah nebagamba nti mwali temusinza ffe."},{"id":29,"translation":"Allah amala okuba nga ye mujulizi wakati waffe na mmwe okukakasa nti tetumanyangako nti mwali mutusinza."},{"id":30,"translation":"Olwo nno buli muntu agenda kulagwa ebyo bye yakola era bazzibwe ewa Allah mukama waabwe omutuufu olwo nno bye baayiiyanga biryoke bibabuleko."},{"id":31,"translation":"Bagambe (Ggwe Muhammadi) nti ani abagabirira okuva mu ggulu ne mu nsi oba ani afuga okuwulira n'okulaba era ani aggya ekiramu mu kifu era n'aggya ekifu mu kiramu era ani atambuza buli kintu? Ddala bajja kukugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe temutya!."},{"id":32,"translation":"Oyo nno mmwe ye Allah Mukama omulabirizi wa mmwe omutuufu. Oluvanyuma lwa mazima gano ate kiki (omuntu) kyalinda! okugyako okubula, kale nno ate muwugulwa mutya (okuva ku Katonda)."},{"id":33,"translation":"Bwe kityo e kigambo kya Mukama omulabiriziwo Allah, bwe kyakakata ku abo abaayonoona ne kiba nti mazima ddala bo tebagenda kukkiriza."},{"id":34,"translation":"Gamba ggwe (Muhammadi) nti abaffe mu abo bemugatta ku Allah mulimu asobola okutandikawo ebitonde (bwamala n'abiggyawo) ate n'abizzaawo, gamba nti Katonda atandika ebitonde ate agenda kubizzaawo kale ate muwugulwa mutya!."},{"id":35,"translation":"Bagambe nti abaffe mu abo bemugatta ku Allah mulimu asobola okulungamya, gamba nti Katonda alungamya eri obutuufu, yaateekwa okugobererwa oba oyo atalungamya okugyako nga alungamiziddwa mwabaaki ebintu mubisalawo mutya!."},{"id":36,"translation":"Abasinga obungi mu bo tebagoberera okugyako okuteeba, anti mazima okuteeba tekulina kintu kyonna kye kuyamba ku kulaga obutuufu, mazima ddala bulijjo Allah amanyidde ddala ebyo bye bakola."},{"id":37,"translation":"Kyali tekisoboka kuba nti Kulaani eno yagunjibwawo nga teyava wa Katonda Allah, wabula yye Katonda yagissa nga ekakasa ebyo ebitabo ebyagikulembera era nga ennyonnyola ebiri mu bitabo ebyo byonna, teriimu kubuusabuusa yava wa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna."},{"id":38,"translation":"Oba bagamba nti (Muhammadi) yagigunjaawo, gamba nti (bwemba nga nze nnagiyiiya) kale muleete essuula yonna egifaanana muyite bonna bemunaaba musobodde, nga oggyeko Katonda bwe muba nga mwogera mazima."},{"id":39,"translation":"Wabula baalimbisa ebyo bye bataamanyira ddala mu bujjuvu, nga n'enzivuunula y'abyo tennabajjira bwe batyo abaabakulembera bwe baalimbisa naye tunula olabe enkomerero y'a beeyisa obubi yali etya!."},{"id":40,"translation":"Ate mu bo mulimu abakkiriza (Kur’ani) era nga bwe mulimu abatagikkiriza era Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya bikwata ku boonoonyi."},{"id":41,"translation":"Naye bwe baba nga bakulimbisizza (ggwe Nabbi Muhammadi), bagambe nti nina e mirimu gyenkola (e ddiini yange) na mmwe mulina e mirimu gye mukola (mu ddiini yammwe) muli wala nnyo n'ebyo byenkola era nange ndiwala nnyo n'ebyo bye mukola."},{"id":42,"translation":"Ate mu bo mulimu abakuwuliriza naye abaffe ggwe osobola okuwuliza ba kiggala newaakubadde nga tebategeera."},{"id":43,"translation":"Era mu bo mulimu akutunuulira naye abaffe ggwe osobola okulungamya ba muzibe wadde nga tebalaba!."},{"id":44,"translation":"Mazima Katonda talyazamaanya Bantu mu kintu kyonna, naye mazima abantu bo bennyini be balayazamaanyi."},{"id":45,"translation":"N'olunaku (Katonda) lwali bakunganya bagenda kuba nga abataali ku nsi okugyako essaawa emu mu budde bw'emisana nga bamanyigana wakati waabwe. Mazima bafaafaaganirwa abo abalimbisa okusisinkana Katonda era tebabangako balungamu."},{"id":46,"translation":"Naye singa tukulaga ebimu ku ebyo bye tubalagaanyisa (kuno ku nsi) oba netukutta (nga tobirabye ky'ekimu) n'olwekyo gye tuli y'eri obuddo bwabwe ate Katonda alaba ebyo byonna bye bakola."},{"id":47,"translation":"Nabuli bantu bonna baafuna omubaka, kale nno bwalijja omubaka waabwe (naabawaako obujulizi ku lunaku lw'enkomerero) wagenda kulamulwa wakati waabwe na bwenkanya era nga tebagenda kuyisibwa bubi."},{"id":48,"translation":"Era nebagamba nti eyo endagaano eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima!."},{"id":49,"translation":"Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammadi) sisobola kwetaasa mu kabenje konna era nga bwe siyinza kwegasa na kintu kyonna okugyako ekyo Katonda kyaba anjagalizza, buli bantu balina ebbanga Katonda lye yabagerera singa ebbanga eryo liba lituuse tebasobola kwongezaayo oba okukulembeza oba wadde essaawa emu."},{"id":50,"translation":"Bagambe nti, mulaba mutya singa ebibonerezo bya Katonda biba bibajjidde kiro oba misana (ekyo kibagasaaki?) lwaki aboonoonyi basaba ebibonerezo okubajjira amangu!."},{"id":51,"translation":"Abaffe oluvanyuma lw'okujja kw'ekibonerezo ebyo olwo nga mubikkirize so nga ate mwali musaba byanguyirizibwe (mu ngeri ya kujeeja)."},{"id":52,"translation":"Oluvanyuma abeeyisa obubi baligambibwa nti mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera, abaffe muyinza okusasulwa okugyako ekyo kye mwapakasa."},{"id":53,"translation":"Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) nti abaffe ebibonerezo by'olunaku lw'enkomerero bya mazima! bagambe nti yye ndayira Mukama omulabirizi wange nti mazima byo bya mazima, era mmwe temuli baakulemesa (Allah)."},{"id":54,"translation":"Singa buli mwoyo (omuntu) gwonna ogweyisa obubi gulina ebyo byonna ebiri mu nsi gwalibifudde ennunuzi (okuwona ebibonerezo bya Katonda). Abalyaza bwe baliraba ebibonerezo bagenda kwegeyaamu nga bejjusa, era bagenda kulamulwa mu bwenkanya nga tebalyazamaanyiziddwa."},{"id":55,"translation":"Abange, mazima bya Allah, ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi, abange mazima endagaano ya Katonda ya mazima, naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":56,"translation":"Yye Katonda y'awa obulamu era yatta ate gyali gye bagenda okuzzibwa."},{"id":57,"translation":"Abange mmwe abantu kubajjidde okubuulirira okuvudde eri Mukama omulabirizi wa mmwe era nga kya kuvumula eri ebyo byonna ebiri mu bifuba, era nga bulungamu era nga kusaasira eri abakkiriza."},{"id":58,"translation":"Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammadi) nti ku lw'ebigabwa bya Katonda n'okusaasirakwe (okubawa eddiini yo'busiraamu) ku lw'ebyo basaana basanyuke, ebyo nno bye bisinga obulungi mw'ebyo byonna bye mukunganya."},{"id":59,"translation":"Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammadi) nti mumbulire ebyo Katonda bye yabassiza mu bigabwa mmwe nemweteeramu bye muziza nemulondobamu, bagambe nti mazima Katonda yeyabakkiriza (okukola mutyo) oba Allah gwe mutemerera."},{"id":60,"translation":"Era abo abatemerera ku Katonda eby'obulimba balowoozaaki ku biribaawo ku lunaku lw'okuzuukira, mazima Katonda agabira abantu obulungi bungi nnyo naye abasinga obungi mu bo tebeebaza."},{"id":61,"translation":"Tolina mbeera yonna gyobeerako era tewali kintu kyonna kyosoma mu Kur’ani era tewali mulimu gwonna gwe mukola, wabula tubeera bajulizi ku mmwe nga tubalaba mu kiseera wemugukolera, tewali wadde akantu akatono ennyo ku nsi wadde mu ggulu kasobola kubula ku Mukama omulabiriziwo, wadde akatono okusingako awo oba ekinene tewali kintu kyonna okugyako nga kyawandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyofu."},{"id":62,"translation":"Abange mazima emikwano gya Allah tebalibaako kutya era be batagenda kunakuwala."},{"id":63,"translation":"(Mikwano gya Katonda) beebo abakkiriza nebaba nga batya Katonda."},{"id":64,"translation":"Balina okusanyusibwa mu bulamu obw'ensi n'obw'enkomerero, (ekyo nga ndagaano ebaweereddwa Katonda, ate nga) ebigambo bya Katonda tebikyusibwa, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu."},{"id":65,"translation":"Bye boogera tebikunakuwaza anti ekitiibwa n'amaanyi byonna bya Allah, anti yye y'awulira ennyo omumanyi."},{"id":66,"translation":"Abange mazima bya Allah byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, abo abaleka Katonda nebasaba ebintu ebirala tebalina kye baliko, tebalina kye bagoberera okugyako ebirowoozo nga bo bwe balaba, bye bakola tebisukka okuba nti bateebereza buteebereza."},{"id":67,"translation":"Yye yooyo Allah eyabateerawo ekiro mube nga mukiwummuliramu, era naabateerawo obudde obw'emisana nga butangaala mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga okubaawo kwa Allah era n'obuyinzabwe), eri abantu abawulira."},{"id":68,"translation":"Bagamba nti Allah yeeteerawo omwana, Katonda musukkulumu (ku ebyo bye bamujwetekako anti) yye talina kye yeetaaga, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi byonna bibye, (eky'okugamba nti Katonda alina omwana) temukirinaako bujulizi bwonna, abaffe mwogera ku Katonda bye mutamanyi."},{"id":69,"translation":"Gamba nti mazima abo abagunjaawo obulimba ku Katonda tebagenda kwesiima."},{"id":70,"translation":"Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga."},{"id":71,"translation":"Banyumize ebyafa ku Nuhu bwe yagamba abantube nti abange bantu bange, okubeera kwange mu mmwe n'okubajjukiza ebigambo bya Allah bwe bibeeranga bibazitooweredde, nze Allah gwe nesigamidde, kale mmwe mwekobaane ne bannammwe ate kyemusazeewo kireme kuba kya kyama olwo nno musalewo kye mwagala okukola era temunnindiriza."},{"id":72,"translation":"Bwemuva ku ekyo (nze byonna byenkola mbibakolera lwa Katonda) sibasabangako kunsasula mpeera, empeera yange teri okugyako ewa mukama Katonda, era nnalagirwa okubeera mu basiraamu."},{"id":73,"translation":"(Awamu n'ebyo byonna) baamulimbisa netumuwonya n’abo abaali awamu naye mu lyato netubafuula abasigire (ku nsi) era netuzikiriza abo abaalimbisa ebigambo byaffe, tunula (weetegereze) enkomerero y'abo abaalabulwa."},{"id":74,"translation":"Oluvanyuma lwe (Nuhu) twatuma ababaka buli omu eri abantube nebabaleetera obujulizi obw'enkukunala naye (bano) tebaali b'a kukkiriza bali bye baalimbisa oluberyeberye, bwe tutyo bulijjo bwe tubikka emitima gy'abo abasukka ensalo."},{"id":75,"translation":"Oluvanyuma lwa bwe twatuma Musa ne Haruna eri Falaawo n'abantube nga tubawadde obubonero bwaffe wabula ne bawaganyala anti bulijjo baali bantu boonoonyi."},{"id":76,"translation":"Olwo nno amazima bwe gaabajjira okuva gye tuli ne bagamba nti mazima kino ddogo eryeyolefu."},{"id":77,"translation":"Musa naabagamba (nga bwe yeewunya) nti mugamba mutya ku mazima agabajjidde okuva ewa Katonda nti lino ddogo, so nga abalogo tebagenda kuwangula (kuno ku nsi ne ku nkomerero)."},{"id":78,"translation":"Nebagamba nti otujjidde olyoke otuwugule okutujja ku ebyo bye twasangako bakadde baffe. Obuyinza n'ekitiibwa byonna mu nsi (Ya Misiri) bibeere bya mmwe (ggwe ne Haruna) naye ffe mmwe mwembi tetujja kubakkiriza."},{"id":79,"translation":"Olwo Falaawo naagamba nti mundeetere buli mulogo omukenkufu."},{"id":80,"translation":"Kale nno abalogo bwe baamala okujja, Musa kwe kubagamba nti mwanje buli kye mwagala."},{"id":81,"translation":"Bwe baamala okwanja (ebyabwe) Musa kwe kubagamba nti ebyo bye muleese lye ddogo anti mazima Katonda ajja kulaga obutaliimu bwa lyo anti mazima Katonda talongoosa mulimu gwa boonoonyi."},{"id":82,"translation":"Era Katonda ajja kunyweza obutuufu bw'ebyo bye mbajjidde nabyo n'ebigambobye (ebiragirobye) newaakubadde nga aboonoonyi tebandikyagadde."},{"id":83,"translation":"Tewaali bakkiriza Musa (awamu n'obubonero bwe yajja nabwo) okugyako bazzukulu baabwe, nga batya Falaawo n'abakungu mu bo okubatuusaako ebikemo, era naye mazima Falaawo yeekuluntaza (ne yessa mu ddaala erya waggulu) kuno ku nsi era mazima yye yagenda wala nnyo mu bwonoonyi."},{"id":84,"translation":"Musa naagamba nti abange bantu bange bwe muba nga mwakkiriza Allah Yakka mwesigamire yye bwe muba nga muli abasiraamu (abeewaayo eri Katonda)."},{"id":85,"translation":"(Abantu ba Musa) ne bamugamba nti Allah waffe gwe twekutteko, ayi Mukama omulabirizi waffe, totufuula ekikemo eri abo abeeyisa obubi."},{"id":86,"translation":"Era otuwonye (otutaase) olw'okusaasirakwo ku bantu abaawakanya Allah."},{"id":87,"translation":"Netutumira Musa ne Mugandawe (Haruna) nti muteereewo abantu bammwe amayumba mu Misiri era mufuule amayumba ga mmwe nga bwolekero nga musaala era muyimirizeewo esswala era wa amawulire ag'essanyu eri abakkiriza."},{"id":88,"translation":"Musa naagamba nga asaba nti, Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ggwe wawa Falaawo n'abakungube eby'okwewunda, n'ebyobugagga mu bulamu buno obw'ensi, ayi Mukama omulabirizi waffe ngenkomerero y'abyo kubuza (bantu) ku baggya ku kkubo lyo, ayi Mukama omulabirizi waffe saanyaawo emmaali yaabwe era osse obukakanyavu ku mitima gyabwe olwo nno baleme kukkiriza okutuusa nga balabye ebibonerezo ebiruma (nga ate okukkiriza okwo tekukyabagasa)."},{"id":89,"translation":"(Allah) naagamba nti mazima okusaba kwa mmwe mwembiriri kukkiriziddwa, mubeere beesimbu mwembi era temugoberera mwembi ekkubo ly'abo abatamanyi (abatategeera bukakafu bwa ndagaano za Katonda)."},{"id":90,"translation":"Netusomosa abaana ba Israil ennyanja olwo ne Falaawo n'abawondera n'amagyege mu ngeri ey'obulabe n’obulumbaganyi, okutuusa lwe yatuukibwako okuzikirira mu mazzi olwo naagamba nti: nzikirizza nti mazima ddala tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako Oyo abaana ba Israil gwe bakkiriza era nze ndi mu basiramuse."},{"id":91,"translation":"(Falaawo naagambibwa nti kati olwo okkiriza) so nga wajeema dda n'obeera mu boonoonyi."},{"id":92,"translation":"Kale nno olwaleero tujja kukuwonya (kukuuma) omulambogwo (guleme kuvunda) olyoke obeere eky'okulabirako eri abalijja oluvanyumalwo, mazima abantu abasinga obungi tebafaayo (kwegasa na bubonero bwaffe)."},{"id":93,"translation":"Mazima twasenza abaana ba Israil mu kifo e kirungi ekyesiimisa netubagabirira mu bigabwa ebirungi, nebataba na njawukana (mu ddiini) okutuusa okumanya lwe kwabajjira (nti Nabbi Muhammad ajja kujja nga mubaka wa Katonda) mazima Katonda agenda kulamula wakati wa bwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baali baawukanamu."},{"id":94,"translation":"Bwoba nga olimu okubuusabuusa (Ggwe Muhammadi) ku ebyo bye twassa gyoli buuza abo abaasoma e kitabo oluberyeberyelwo, ddala amazima gakujjidde okuva ewa Mukama omulabiriziwo kale togeza nga n'obeera mu babuusabuusa."},{"id":95,"translation":"Era ddala tobeeranga mu abo abalimbisa ebigambo bya Katonda n'obeera mu bafaafaganirwa."},{"id":96,"translation":"Mazima abo abaakakatako ekigambo kya Mukama omulabiriziwo tebagenda kukkiriza."},{"id":97,"translation":"Nebwebanajjirwa buli kabonero okutuusa lwe baliraba e bibonerezo ebiruma."},{"id":98,"translation":"Tewali bantu ba kitundu bakkiriza obukkiriza bwa bwe nebubagasa okugyako abantu ba Yunusu anti bwe bakkiriza twabaggyako ebibonerezo ebiswaza mu bulamu buno obw'ensi netubeeyagaza okutuusa ku ntuuko zaabwe."},{"id":99,"translation":"Singa Mukama omulabiriziwo yayagala abantu abali mu nsi bakkirize, bandikkirizza bonna, kaakati ggwe oyagala kukaka bantu bonna babeere bakkiriza."},{"id":100,"translation":"Tewali muntu ayinza kukikkiriza okugyako ng’akkiriza lwa kwagala kwa Allah, era Allah assa ebibonerezo ku abo abatategeera."},{"id":101,"translation":"Bagambe nti: mwetegereze ebiri mu ggulu (omusanvu) n'ensi naye obubonero n'okutiisa tebigasa bantu batakkiriza."},{"id":102,"translation":"Abaffe balina kye balindirira mpozzi ekifaananako ne nnaku zaabo abaabakulembera., bagambe nti: mulindirire nange ndi wamu na mmwe mu balindirira."},{"id":103,"translation":"Oluvanyuma ne tuwonya (ne tutaasa) ababaka baffe n'abo abakkiriza bwe tutyo nno bulijjo kikakafu kuffe okutaasa abakkiriza."},{"id":104,"translation":"Bagambe nti: abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa mu ddiini yange (mukitegeere nti) sisinza abo be musinza nemuva ku Katonda, wabula nsinza Allah oyo abatta, era nnalagirwa mbeere mu bakkiriza."},{"id":105,"translation":"Era tereera mu ddiini ya Allah ng'oli mwesimbu era ddala tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Katonda."},{"id":106,"translation":"Tolekanga Allah n'osaba ekintu ekirala ekyo ekitakugasa era ekitayinza kukutuusaako kabi naye bwonookikola mazima ddala ggwe olwo nno onoobeera mu abo abeeyisa obubi."},{"id":107,"translation":"Singa Allah akutuusaako ekibi tewali ayinza kukikuggyako okugyako yye, ate singa aba akwagalizza kirungi teri ayinza kuzzaayo birungibye, abifunyisa oyo gwaba ayagadde mu baddube, era yye bulijjo ye musonyiyi, omusaasizi owa nnamaddala."},{"id":108,"translation":"Bagambe (Ggwe Muhammad) nti; abange mmwe abantu amazima gabajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe oyo yenna alungama aba yeelungamidde, ate oyo abula okubulakwe kukosa yye. Nze siri mukuumi ku mmwe."},{"id":109,"translation":"Era goberera ebyo ebitumwa gyoli era ogumiikirize okutuusa Katonda lwa naasalawo, anti bulijjo yye yaasinga abasalawo bonna."}]},{"id":11,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Raa, ekitabo kino ebigambo by'akyo byasengekebwa oluvanyuma nebinnyonnyolwa mu bujjuvu okuva ewa Katonda akola buli kintu ng’asinziira ku nsonga ng’ate amanyi mu bujjuvu buli kintu."},{"id":2,"translation":"Kitegeeza abantu nti temusinzanga kintu kyonna wabula Allah yekka mazima nze gye muli ndi mutiisa (ku bibonerezo bye) era omusanyusa (olw'emperaye eri abalongoosa)."},{"id":3,"translation":"(Era kibagamba) nti mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwenenyeze olwo nno ajja kubeeyagaza olweyagaza olulungi okutuusa ku kiseera ekigere era buli oyo yenna ateekeddwa okufuna obulungi agenda kumuwa obulungibwe, naye bwe muva ku ekyo mazima nze mbatiirira ebibonerezo by'olunaku oluzibu."},{"id":4,"translation":"Eri Allah y'eri obuddo bwa mmwe ate yye nga bulijjo muyinza ku buli kintu."},{"id":5,"translation":"Abange mazima bbo (abatakkiriza) bakweka ebifuba byabwe babe nga beekweka Katonda, abange (mukimanye nti) ne mu kiseera webeebikkira engoye zaabwe Allah amanya ebyo bye bakweka ne bye boolesa, anti mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba."},{"id":6,"translation":"Tewali kitonde kyonna mu bitambula ku nsi okugyako nga okugabirirwa kwa kyo kuli ku Allah, era amanyi byonna ebikikwatako mu bulamu bw'ensi n’obwoluvanyuma, buli kimu kiri mu kitabo ekyeyolefu."},{"id":7,"translation":"Era yye yooyo, eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku mukaaga, era Arish ye yali ku mazzi, olwo nno alyoke abagezese ani mu mmwe asinga okukola obulungi, singa ogamba (Ggwe Muhammadi) nti mazima mmwe mujja kuzuukizibwa oluvanyuma lw'okufa abo abakaafuwala bajja kugambira ddala nti tekiri kino (Kur’ani) okugyako eddogo ery'olwatu."},{"id":8,"translation":"Singa tulindiriza ebibonerezo ku bo okutuuka ekiseera ekigere bajja kugambira ddala nti ate ki ekibigaana okujja, abange! olunaku lwe biribajjira si bya kubaggyibwako, era biribeetoloola ebyo bye baajeejanga."},{"id":9,"translation":"Omuntu bwe tumukombesa ku kusaasira okuva gye tuli ate oluvanyuma ne tukumuggyako mazima yye akutuka n'okusuubira n'akaafuwala."},{"id":10,"translation":"Naye ate bwe tumukombesa ku byengera oluvanyuma lw'ebizibu ebiba bimutuuseeko ajja kugambira ddala nti obuzito bunvuddeko, mazima yye aba musanyufu eyeeraga."},{"id":11,"translation":"Okugyako abo abagumiikiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'empeera ennene."},{"id":12,"translation":"Olabika nga oli waakuleka ebimu ebissibwa gyoli, era ekyo nga kikunyiga mu kifubakyo olw'okuba nti bagamba nti singa aweebwa eggwanika oba Malayika najja naye. Mazima ggwe oli mutiisa. Ate nga Allah ye mweyimirize ku buli kintu."},{"id":13,"translation":"Oba bagamba nti (Kur’ani eno Muhammad) yagigunjawo bagambe nti kale muleeteeyo essuula kkumi enjiiye ezifaanana (Kur’ani) era ng'oggyeko Katonda muyite yenna gwe musobodde (abayambeko) bwe muba nga mwogera mazima."},{"id":14,"translation":"Bwe bataabaanukule, olwo nno mumanye nti mazima yyo (Kur’ani) yassibwa na kumanya kwa Allah era tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, abaffe mmwe mwewaddeyo ewa Katonda (ne musiramuka)."},{"id":15,"translation":"Oyo yenna ayagala obulamu obw'ensi n'ebyokwewunda byayo tubasasula mu bujjuvu emirimu gya bwe mu yo era nga bo muyo tebaseerwa."},{"id":16,"translation":"Abo beebo abatalina ku nkomerero kintu kyonna okugyako omuliro, era byonna bye bakola ku nsi nebitabalibwa, bye baakolanga byalinga byonoonefu."},{"id":17,"translation":"Abaffe balimbisa oyo (Muhammadi) ku bunnyonnyofu obuva ewali Mukama omulabiriziwe, era nga abusoma omujulizi (Jiburilu) ava ewa Allah nga n'oluberyeberyelwe waliwo ekitabo kya Musa nga kiraga ekkubo era nga kusaasira, abo (Muhammad n'abantube) bagikkiriza ate ebibiina byonna ebitagikkiriza omuliro y'endagaano yaabwe, tobeeranga mu kugibuusabuusaamu, mazima yyo ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo. Naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza."},{"id":18,"translation":"Ani mulyazamaanyi okusinga oyo agunja obulimba ku Katonda! abo bagenda kwanjulwa ewa Mukama omulabirizi waabwe nti abo baawaayiriza Mukama Katonda Omulabirizi waabwe. Abange ekibonerezo kya Katonda kibeere ku balyazamaanyi."},{"id":19,"translation":"Abo abaziyiza abantu ku kkubo lya Allah ne babaagaliza kukoleramu bikyamu, era nga nabo olunaku lw'enkomerero baluwakanya."},{"id":20,"translation":"Abo tebaali ba kulemera ku nsi, era ng'oggyeko Katonda tebalinaayo ba mukwano balala bayinza kubawonya, ebibonerezo bya bwe bigenda kwongezebwamu anti baali tebasobola kuwulira era nga bwe baali tebalaba."},{"id":21,"translation":"Abo be baafaafaganirwa emyoyo gya bwe ne bibaggwako bye baayiiyanga."},{"id":22,"translation":"Kikakafu ddala bbo ku lunaku lw'enkomerero be balifaafaganirwa ennyo."},{"id":23,"translation":"Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu ne bamenyekera Mukama omulabirizi waabwe abo be ba nannyini jjana, bo mu yo ba kutuulamu bugenderevu."},{"id":24,"translation":"Ekifaananyi ky'ebibinja ebibiri (ebyogeddwako waggulu) kiringa ekya muzibe ne kiggala n'oyo alaba era nga awulira abaffe balabika nti bafaanana temwebuulirira!."},{"id":25,"translation":"Mazima twatuma Nuhu eri abantube (n'abagamba) nti mazima nze ndi mutiisa wa mmwe omweyolefu."},{"id":26,"translation":"(Mbategeeza) nti temusinza kintu kyonna okugyako Allah mazima nze mbatiiriddeko ebibonerezo by'olunaku olw'okuluma obugigi."},{"id":27,"translation":"Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti tetukulaba ggwe okugyako okuba nti oli muntu nga ffe, era tetulaba abakugoberedde okugyako ab'awansi mu ffe ab'endowooza entono, mwenna tetubalabamu nkizo yonna ku ffe wabula tubalowooza kuba balimba."},{"id":28,"translation":"Nuhu naagamba nti abange bantu bange mulaba mutya singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange era nampa okusaasira okuva gyali naye mmwe ekyo ne mutakiraba, abaffe tusobola okukibawaliriza ng’ate mmwe temukyagala."},{"id":29,"translation":"Era abange mmwe abantu bange (kye mbagamba) si kibasabirako sente, empeera yange teri wantu wonna okugyako ewa Katonda (era nnyaniriza abo bonna ababa bangoberedde) era siri nze w'akugoba abo abakkiriza (ne bwe bataba ba bitiibwa) mazima ddala bo baakusisinkana Mukama omulabirizi waabwe naye mazima ddala nze mbabala mmwe nga muli bantu abatamanyi."},{"id":30,"translation":"Era abange bantu bange ani ayinza okuntaasa ku Allah bwemba mbagobye, abaffe temulowooza."},{"id":31,"translation":"Era siyinza kubagamba (mmwe) nti nina amawanika ga Allah, era simanyi byekusifu, sigamba nti mazima nze ndi Malayika era sigamba abo amaaso ga mmwe begatawa kitiibwa nti Katonda tagenda kubawa birungi, Katonda y'amanyidde ddala ebyo ebiri mu mitima gya bwe, n'olwekyo mazima nze nemmala nkikola ddala mbeera mu beeyisa obubi."},{"id":32,"translation":"Nebagamba nti owange Nuhu mazima otukaayanyizza n'oyitiriza okutukaayanya, kale tutuuseeko ebyo by'otulagaanyisa bwoba nga oyogera mazima."},{"id":33,"translation":"(Nuhu) naagamba nti mazima Allah ajja kubibatuusaako bwanaaba ayagadde, ate temuyinza kumulemesa."},{"id":34,"translation":"Era okubuulirira kwange tekujja kubagasa singa mba njagadde okubabuulirira, ate Allah n'aba nga ayagadde kubabuza. Yye ye Mukama omulabirizi wa mmwe era gyali gye mulizzibwa."},{"id":35,"translation":"Oba bagamba nti (MuhammadI, Kulaani) yagunja ngunje, bagambe bwe mba nagyegunjirawo ekyonoono ekyo kiri kunze, naye nange sirina kakwate ku ebyo bye mwonoona."},{"id":36,"translation":"Nuhu n'aweebwa obubaka nti mazima tebagenda kukkiriza mu bantubo okugyako abo abakkiriza edda n'olwekyo tonakuwala olw'ebyo bye baali bakola."},{"id":37,"translation":"Kale kola eryato nga naffe tukutunuulidde era okole okusinziira ku ndagirira yaffe era toyogera nange ku bikwata ku abo abeeyisa obubi, mazima ddala bo baakufiira mu mazzi."},{"id":38,"translation":"(Nuhu) n'aba nga akola eryato. Buli lwonna abakungu mu bantube webaamuyitirangako baamusekereranga naagamba nti bwe muba nga mutusekerera naffe tujja kubasekerera nga bwe mutusekerera."},{"id":39,"translation":"Lumu mujja kumanya ani gwe binajjira ebibonerezo ebimuswaza era najjirwa ebibonerezo eby'olubeerera."},{"id":40,"translation":"(Baabeera bwe batyo) okutuusa ekiragiro kyaffe lwe kyajja ettanuuru neefukumuka amazzi netugamba (Nuhu) nti pakira mu lyo, ngojja mu buli mutindo gwabiramu bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, era pakiramu abantu b'o mu maka go okugyako oyo eyakakatako edda ekigambo (ekyokuzikirira) era pakiramu buli yenna eyakkiriza, wabula tewaali bakkiriza baali naye okugyako batono."},{"id":41,"translation":"(Nuhu) naagamba nti mulinnye elyato, okutambula kwalyo n'okuyimirira kwalyo byonna bibeewo ku lwe linnya lya Allah, mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi."},{"id":42,"translation":"Nalyo neriseeyeeya nabo, mu mayengo agenkana ensozi, mu kiseera ekyo Nuhu yakowoola Mutabaniwe eyali awo ku mabbali g'elyato naamugamba nti mwana wange linnya ogende naffe tosigala n'abakafiiri (n'ozikirira)."},{"id":43,"translation":"(Omwana) naagamba nti njakulinnya olusozi lujja kumponya amazzi. (Nuhu) naagamba nti tewali ayinza kuwonya olwa leero (muntu n'asimattuka ) ku kiragiro kya Katonda, okugyako Katonda gwanaaba asaasidde. Awo nno amayengo ga yawula wakati waabwe (omwana) naabeera mu baasaanawo."},{"id":44,"translation":"(Ng'ebitonde bimaze okuzikirira) waalangirirwa nti owange ttaka mira amazzi naawe ggulu lekera awo okutonnyesa enkuba era amazzi gaakalira ensonga neekoma awo eryato neritereera ku lusozi oluyitibwa Juudi era newalangirirwa nti okwesamba okusaasira kwa Katonda kubeere ku bantu abeeyisa obubi."},{"id":45,"translation":"Nuhu n'akoowoola Mukama omulabiriziwe naagamba nti Mukama omulabirizi wange mazima Mutabani wange y'omu ku bo mu maka gange era mazima endagaano yo ya mazima era ggwe osinga abalala bonna okugoba e nsonga."},{"id":46,"translation":"(Allah) naagamba nti owange Nuhu mazima yye si wa mu bantubo mazima yye yakola ekikolwa ekitali kirungi, n'olwekyo tonsaba ekyo kyotalinaako kumanya, mazima nze nkubuulirira oleme kubeera mu batategeera."},{"id":47,"translation":"(Nuhu) naagamba nti nkusaba obukuumibwo nneme kuba nga nkusaba ekyo kye sirinaako kumanya era bwotonsonyiwe n'onsaasira nja kubeera mu bafaafaaganiddwa."},{"id":48,"translation":"Newalangirirwa nti owange Nuhu kka ove mu lyato, e mirembe na mikisa ebiva gy'etuli bibeere ku ggwe, ne ku bibiina bya bantu ebiri naawe ne ku bibiina bya bantu betujja okweyagaza mu nsi, oluvanyuma ebibonerezo ebiruma ennyo bibatuukeko okuva gye tuli."},{"id":49,"translation":"Ebyo bye bimu ku bintu ebyekusifu tubikutumira ggwe (Muhammadi) tobimanyangako ggwe wadde abantubo oluberyeberye lwa kino, n'olwekyo gumiikiriza, mazima enkomerero (ennungi) y’abatya Katonda."},{"id":50,"translation":"Era ab'ekika kya A’di twabatumira muganda waabwe Huudu naagamba nti abange abantu bange musinze Katonda, ngoggyeko yye temulinaayo kirala kyonna kisinzibwa mu butuufu, temuli mmwe okugyako abagunja obugunja bye musinza."},{"id":51,"translation":"Abange bantu bange, si basaba mpeera ku kino, empeera yange teri okugyako ku oyo eyantonda, abaffe temutegeera."},{"id":52,"translation":"Era abange bantu bange, mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe Allah, oluvanyuma mwenenye mudde gyali, ajja kubasindikira okuva mu bire waggulu enkuba etonnya ngeddingana, era abongere amaanyi ku maanyi ga mmwe, era temukyukanga nemuva ku ekyo ne muba aboonoonyi."},{"id":53,"translation":"Nebagamba nti owange ggwe Hudu totuleetedde bujulizi bweyolefu (ku ebyo byogamba) ate era naffe tetuyinza kuleka bisinzibwa byaffe olw'okuba ogambye, era ffe tetugenda kukukkiriza."},{"id":54,"translation":"(Okusinziira ku ebyo by'oyogera) tetulina kye tugamba okugyako nti abamu ku ba katonda baffe be baakulaluwaza. (Hudu) naagamba nti era mazima nze njuliza Katonda na mmwe mujulire nti ddala nze ndi wala n'ebyo bye mugatta ku Katonda."},{"id":55,"translation":"Nemulekawo Katonda, kale munsalire enkwe mwenna ate temunnindiriza."},{"id":56,"translation":"Mazima nze nneesigamidde Mukama Allah omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kitambula ku nsi okugyako yye y'akutte akawompo kakyo, mazima Mukama omulabirizi wange ali ku kkubo eggolokofu."},{"id":57,"translation":"Bwe munaava ku ekyo mazima nze mmaze okubatuusaako ekyo kye nnatumwa nakyo era Mukama omulabirizi wange mu kifo kya mmwe ajja kussaawo abantu abalala abatali mmwe, era temulina kabi kemugenda kumutuusaako. Mazima Mukama omulabirizi wange buli kyonna ekikolebwa akilondoola (tewali kimubuuka)."},{"id":58,"translation":"Ekiragiro kya ffe bwe kyamala okujja ku lw'okusaasira kwa ffe, twawonya Hudu n'abo abakkiriza abaali naye ne tubawonya ebibonerezo ebizito."},{"id":59,"translation":"Abantu abo ab'ekibiina kya A’di baawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe ne bajeemera ababakabe ne bagoberera ekigambo kya buli eyeekuza awalaaza empaka."},{"id":60,"translation":"Mu nsi muno nebagoberezebwako ekikolimo, mu ngeri yeemu ne ku lunaku lw'enkomerero, abange mazima ab'ekika kya A’di baajeemera Mukama omulabirizi waabwe abange okubula okwewala ennyo kutuuke ku b'ekika kya A’di abantu ba Hudu."},{"id":61,"translation":"Bo ab'ekika kya Thamudu twabatumira Muganda waabwe Swaleh, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaayo kintu kyonna kigwanidde kusinzibwa okuggyako yye, yye yeeyabatandikawo ng’abaggya mu nsi, ate naabakwasa obuyinza okugikulaakulanya, kale mumwegayirire, era mwenenye, mudde gyali mazima Mukama omulabirizi wange ali kumpi ayanukula (abamusaba)."},{"id":62,"translation":"Nebagamba nti owange Swaleh, mazima obadde mu ffe, nga tukulinamu essuubi, nga kino tekinnabaawo. Otugaana okusinza ebyo bakadde baffe bye basinza era mazima ffe tulina okubuusabuusa okujjudde okutankana ku ekyo ky'otuyita okujja gye kiri."},{"id":63,"translation":"Naagamba nti abange bantu bange, mukiraba nti singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange, era nenfuna okusaasira okuva gyali, kale ani anantaasa ku Katonda bwe mmugyemera (singa nkolera ku bya mmwe), temulina kye munnyogera okugyako okufiirwa."},{"id":64,"translation":"Abange bantu bange eno engamiya evudde wa Katonda nga kabonero gye muli (okukakasa obwa Nabbi bwange), n'olwekyo mugireke erye ebiri mu nsi ya Katonda, temugezaako ne mugituusaako akabi konna nekibaviirako okutuukibwako ebibonerezo ebya mangu."},{"id":65,"translation":"(Nebamuwakanya era) nebagifumita olwo nno ye (Swaleh) kwe kubagamba, mweggalire mu mayumba gammwe okumala ennaku ssatu (zokka), eyo ndagaano etalimbisibwa."},{"id":66,"translation":"Ekiragiro kya ffe bwe kyamala okujja, twawonya Swaleh n'abo abakkiriza abaali naye olw'okusaasira okuva gye tuli era netubawonya ne mu buswavu obw'olunaku olwo, anti mazima Mukama omulabiriziwo ye wa maanyi nantakubwa ku mukono."},{"id":67,"translation":"Abo nno abeeyisa obubi ne batuukibwako olubwatuka (olw'amanyi) olwo nno nebakeesa nga mirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe."},{"id":68,"translation":"(Engeri gye baazikirizibwamu) baali nga abatawangalirangako mu go, abange mazima abantu b'ekika kya Thamud baawakanya Mukama omulabirizi omulezi waabwe, abange abantu ba Thamud babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda."},{"id":69,"translation":"Mazima ababaka baffe (Ba Malayika) bajja eri Ibrahim n'amawulire ag'essanyu, nti (Yye ne Mukyalawe bajja kuzaala omwana Ishaka) ne bamugamba nti mirembe naye naabagamba (ng’abaddamu) nti mirembe, waayitawo akaseera katono naabaleetera ennyana enjokye."},{"id":70,"translation":"(Ibrahim) bwe yalaba emikono gya bwe nga tegituuka ku nnyama naabekengera, (Ba Malayika) bo kwe kumugamba nti totutya, mazima ffe tuli ba Malayika tutumiddwa eri abantu ba Luutu (okubazikiriza)."},{"id":71,"translation":"Nga mukyala wa Ibrahim (Sarah) ayimiridde (abawulira) naaseka (nga yeewuunya olw'ebyo bye yawulira) olwo nno ne tumuwa amawulire ag'essanyu ag'okuba nti ajja kuzaala Ishaka ate nga n’oluvanyuma lwa Ishaka wajja kuzaalibwayo Yakub (omuzzukulu)."},{"id":72,"translation":"(Omukyala Sarah bwe yamala okufuna amawulire g’okuzaala Ishaka) naagamba (nga bwe yewuunya) nti: gano nga mawano nze (Sarah) ngenda kuzaala omwana nga ndi mukadde bwe nti nga n'ono baze kinvinvi, mazima kino kintu eky'ewuunyisa ennyo."},{"id":73,"translation":"(Ba Malayika) ne bagamba nti: butya bwe weewuunya ekiragiro kya Allah! okusaasira kwa Katonda n'emikisagye bibeere ku mmwe abantu benju (ya Ibrahim). Mazima Allah atenderezebwa nnyo wa kitiibwa nnyo."},{"id":74,"translation":"Ensisi bwe yamala okuggwa ku Ibrahim, ng’amaze n'okufuna amawulire ag'essanyu, yagenda mu maaso nga atukaayanya (nga awolereza) abantu ba luutu."},{"id":75,"translation":"Mazima Ibrahim yali wa kisa nnyo ate nga asaba nnyo Katondawe era nga amwenenyeza ku buli nsonga."},{"id":76,"translation":"(Ba Malayika nebamugamba nti) owange Ibrahim tobawolereza mazima kimaze okutuuka ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo era mazima bo bagenda kujjirwa ebibonerezo ebitali bya kuzzibwayo."},{"id":77,"translation":"Ababaka baffe bwe bajja ewa Luutu, tebaamusanyusa naawulira bubi (olw'okuba yali tasobola kubakuuma) era naagamba nti luno lunaku luzibu."},{"id":78,"translation":"Abantube nebajja gyali nga banguwa naye nga okusooka baali bakola ebibi (Luutu) naagamba nti abange bantu bange bawala bange baabo be balungi gye muli, mutye Katonda temunswaza eri abagenyi bange, abaffe mu mmwe temuli musajja mulungamu!."},{"id":79,"translation":"Nebagamba mazima okimanyi nti bawalabo tetubalinaako bwetaavu, era mazima ddala ggwe omanyi kye twagala."},{"id":80,"translation":"(Luutu) naagamba nti (neegomba) singa mbadde nina amaanyi ku mmwe, oba empagi engumu gyensobola okwesigamako, (abantu abasobola okuntaasa)."},{"id":81,"translation":"(Ba Malayika) nebagamba nti owange Luutu ffe tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo (abo) tebajja kukutuukako, tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro, era takyuka omu ku mmwe (naatunula emabega, genda n'abantubo) okugyako Mukyalawo, anti mazima kiri nti ajja kutuukwako ebinaatuuka ku bali. Mazima ekiseera ekibalagaanyisiddwa bwe budde bw'oku makya, obudde bw'oku makya tebuli kumpi!."},{"id":82,"translation":"(Ekitundu mwe baali babeera), ekiragiro kyaffe bwe kyajja, waggulu wa kyo wetwazza wansi era netukiwandagazaako amayinja amakole mu bbumba ejjokye nga gajjira kumukumu."},{"id":83,"translation":"(Amayinja ago) nga malambe okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ekibonerezo ng'ekyo tekiri wala ku buli abo bonna abeeyisa obubi."},{"id":84,"translation":"Ate abe Madiyana twabatumira Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaawo kirala kyonna kye mulina kusinza ekitali yye, temukendeezanga ebipimo ne minzani, mazima nze mbalaba nga musigala muli bulungi (bwe muba temukendeezezza mu bipimo ne minzani). Era mazima nze mbatiiriddeko ebibonerezo by'olunaku olugenda okwetooloola buli kimu."},{"id":85,"translation":"Era abange bantu bange mutuukirize ebipimo ne minzani mu bwesimbu temukumpanyanga abantu ebintu bya bwe, era temukolanga ebibi mu nsi nga mugenderera okwonoona."},{"id":86,"translation":"Ebyo Allah bye yabalekedde (nga oggyeko byayogedde wa ggulu ebitaliimu kukumpanya bantu) bye birungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza. Era nze siri kalondoozi ku mmwe."},{"id":87,"translation":"Nebagamba nti owange Swaibu okusaalakwo kwe kukulagira okuba nga tuleka bakadde baffe bye basinza, oba tukkirizibwa okukola mu mmaali yaffe bye twagala, anti ggwe oli alumirwa ow'amagezi."},{"id":88,"translation":"Naagamba nti abange bantu bange mulaba nti singa mbadde ku bulungamu obwava ewa Mukama omulabirizi wange, nampa ne Riziki ennungi ate nnyinza okubaleka (nessibagambako) ate era saagala kubaawukanako nenkola ebyo bye mbagaana sirina kyengenderera kyonna okugyako okulongoosa nga bwemba nsobodde, era okulungama kwange tekuli okugyako ewa Katonda yye gwenneekwasiza era gyali gyengenda okudda."},{"id":89,"translation":"Era abange bantu bange okunkolako obulabe kuleme kubaleetera kunnimbisa nemutuukwako ebyo ebyatuuka ku bantu ba Nuuhu oba abantu ba Hudu oba abantu ba Swaleh era abantu ba Luutu tebali wala na mmwe."},{"id":90,"translation":"Era musabe Mukama omulabirizi wa mmwe ekisonyiwo olwo nno mwenenye okudda gy'ali mazima Mukama omulabirizi wange musaasizi mwagazi nnyo (wa bitondebye)."},{"id":91,"translation":"Nebagamba nti owange Swaibu bingi mu by'ogamba tetubitegeera ate era tukulaba ng'oli munafu muffe singa si kika kyo twandikukubye amayinja era ggwe tolina kitiibwa kyonna gye tuli."},{"id":92,"translation":"Naagamba nti abange bantu bange ekika kyange kye ky'ekitiibwa gye muli okusinga Allah ne mutuuka okumussa emabega wammwe nga mumukubye amabega mazima Mukama omulabirizi wange yeetoolodde byonna bye mukola."},{"id":93,"translation":"Era abange bantu bange mukolere ku nkola ya mmwe nange kankole, ddala mujja kumanya ani, anajjirwa ebibonerezo ebimuswaza, era ani mulimba, naye era mulindirire mazima nze nindirira awamu na mmwe."},{"id":94,"translation":"Ekiragiro kyaffe bwe kyamala okujja, ku lw'okusaasira kwaffe, twawonya Swaibu n'abo abakkiriza naye. Abo abeeyisa obubi nebatuukwako okubwatuka nebakeesa enkya nga mirambo egigangalamye mu mayumba ga bwe."},{"id":95,"translation":"Nebaba nga abatagabeerangamu, abange abantu be Madiyana babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Allah nga abantu ba Thamud bwe beesamba okusaasira kwa Katonda."},{"id":96,"translation":"Era Mazima twatuma Musa ne bya magero byaffe n’obusobozi bwokulambika ensonga."},{"id":97,"translation":"Agende ewa firawo n'eri abakungube, bo abakungu baagoberera ekigambo kya Firawo, naye nga ekigambo kya Firawo si kirungamu."},{"id":98,"translation":"(Firawo) alikulembera abantube ku lunaku lw'enkomerero naabayingiza omuliro. nga Buyingiro bubi bwe baliyingira."},{"id":99,"translation":"Ate nebagoberezebwa ekikolimo kuno ku nsi ne ku lunaku lw'enkomerero, ennyongeza mbi ne kye bongerako nakyo kibi."},{"id":100,"translation":"Ebyo bye bimu ku bigambo ebikwata ku bitundu bye twazikiriza, tubikutegeeza ggwe (Muhammadi), mu byo mulimu ebikyaliwo nga n'ebirala byasaanawo."},{"id":101,"translation":"(Okubatuusaako ebyo) tetwabayisa bubi wabula beeyisa bokka obubi, ba Katonda baabwe abo be basaba ne bava ku Katonda omu tebaabagasa kintu kyonna, ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo bwe kyajja, era tebaabongera okugyako okufaafaganirwa."},{"id":102,"translation":"Bwe kutyo bwe kuba okukwata kwa Mukama omulabiriziwo. Bwakwata ebitundu nga biri mu mbeera ey'okweyisa obubi mazima okukwata kwe kuluma nnyo era kuyitirivu."},{"id":103,"translation":"Mazima ekyo mulimu ekyokulabirako eri oyo atya ebibonerezo byo lunaku lw'enkomerero, olwo lwe lunaku ku lwalwo abantu bonna bagenda kukunganyizibwa era olwo olunaku abantu bonna baakulubaako."},{"id":104,"translation":"Era tetululindiriza okugyako okutuuka ku kiseera kya lwo ekigere."},{"id":105,"translation":"Olunaku bwe lulituuka teri muntu yenna agenda kwogera okugyako lwa kukkiriza kwa Allah, nga mu bo mulibaamu abonoonefu n'abalongoofu."},{"id":106,"translation":"Bo abo abaajeema baakuyingira omuliro baliba balina mu gwo okusinda n'okukema."},{"id":107,"translation":"Baakugubeeramu ebbanga eggulu (omusanvu) ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ekiseera Mukama omulabiriziwo kyaliba ayagadde mazima Mukama omulabiriziwo akola ekyo kyaba ayagadde."},{"id":108,"translation":"Bo abo abaweebwa obulongoofu baakuyingira e jjana nga baakugibeeramu ebbanga eggulu omusanvu ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ebbanga Mukama omulabiriziwo lyaliba ayagadde nga okwo kuweebwa okutalibaako kutaataaganyizibwa."},{"id":109,"translation":"Tobaamu kubuusabuusa mu ebyo bye basinza tebasinza okugyako nga ba Jjajaabwe bwe baasinzanga oluberyeberye,era mazima ffe tujja kubatuukiririza omugabo gwa bwe awatali kukendezaako."},{"id":110,"translation":"Mazima twawa Musa ekitabo ne kyawukanwamu, singa ssi kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabirizi wo walisaliddwawo wakati waabwe mubwangu, era mazima nabo (abatakukkiriza ggwe Nabbi Muhammad) bali mu kubuusabuusa okujjudde okutankana mu yo (Kulaani)."},{"id":111,"translation":"Na mazima ddala bonna Mukama omulabiriziwo agenda kubasasula emirimu gya bwe mu bujjuvu, mazima yye amanyidde ddala bye bakola."},{"id":112,"translation":"Kale beera mwesimbu nga bwolagiddwa, n'abo abeenenyezza naawe era temubeera ba kiwagi, anti mazima ye (Allah) bye mukola abiraba."},{"id":113,"translation":"Era temuggweranga ku abo abeeyisa obubi, omuliro negubakwata ate nga ojjeeko Katonda temulinaayo bayambi balala, era temugenda kutaasibwa."},{"id":114,"translation":"Era yimirizaawo esswala ku nsalosalo ebbiri ez'emisana (ku makya n'akawungezi) n'ekiseera ekisooka ku kiro mazima ebirungi bijjawo ebibi. Okwo nno kubuulirira eri abo abajjukira."},{"id":115,"translation":"Era gumiikiriza, bulijjo Allah tayinza butasasula mpeera ya bakozi ba bulungi."},{"id":116,"translation":"Singa waaliyo mu mirembe egyabakulembera abantu abalina kye baasigazaawo (mu ddiini) nga bagaana obwonoonefu mu nsi, (tebaaliyo) okugyako batono nnyo mu abo be twawonya mu bo. Wabula bo abeeyisa obubi ne batwalibwa ebirungi bye baaweebwa mu nsi nebaba aboonoonyi."},{"id":117,"translation":"Mukama omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza ebitundu mu bulyazaamaanyi nga ate abantu baabyo bakozi ba bulungi."},{"id":118,"translation":"Singa Mukama omulabiriziwo Allah yayagala, abantu bonna yandibafudde ekibiina kimu, naye tebagenda kuva ku kwawukana."},{"id":119,"translation":"Okugyako oyo Mukama omulabiriziwo gwaba asaasidde. N'olwekyo kyeyava abatonda, era kyakakata ekigambo kya Mukama omulabiriziwo nti ngenda kujjuza omuliro Jahannama nga nzija mu majinni n'abantu okutwalira awamu."},{"id":120,"translation":"Era tukutegeeza buli kimu ekikwata ku babaka, ekyo kyetunyweza nakyo omutima gwo, era mu kino ojjiddwa amazima n'okubuulirira, era nga kya kujjukiza eri abakkiriza."},{"id":121,"translation":"Era gamba abo abakkiriza nti mukolere ku nkola ya mmwe naffe katukole."},{"id":122,"translation":"Era mulindirire naffe tulindiridde."},{"id":123,"translation":"Era bya Allah yekka ebyama by’eggulu n’ensi, era zidda gyali ensonga zonna, kale musinze Yye yekka era mwesigamire Yye yekka. Era Mukama Katonda Omulezi wo tagayaalirira byemukola."}]},{"id":12,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Raa, bino bigambo by'ekitabo ekyeyolefu."},{"id":2,"translation":"Mazima ffe twakissa (ekitabo) nga kyakusoma nga kiri mu luwarabu mube nga mutegeera."},{"id":3,"translation":"Ffe tukutegeeza ebyafaayo ebisinga obulungi nga tukozesa obubaka bwe twakussaako (nga nabwo) ye Kulaani eno, newaakubadde nga mu kusooka wali mu batamanyi."},{"id":4,"translation":"Jjukira Yusuf bwe yagamba Kitaawe nti: owange Taata mazima nze nnaloose emmunyeenye kumi n'emu, n'omwezi, n'enjuba nabirabye nga binvunnamidde."},{"id":5,"translation":"(Kitaawe Yakubu) naagamba nti owange mutabani wange, ekirooto kyo tokinyumiza bagandabo nebakukolera enkwe mazima, bulijjo Sitane ku muntu mulabe ow'olwatu."},{"id":6,"translation":"Mu ngeri y'emu Mukama omulabiriziwo agenda ku kulonda era akuyigirize okuvvuunula endooto era ajjulize abantu ba Yakub ekyengera kye, nga mu kusooka bwe yakijjulizza bakadde bo bombi Ibrahim ne Ishaka. Mazima Mukama omulabiriziwo mumanyi nnyo era mugobansonga."},{"id":7,"translation":"Mazima (mu kyafaayo kya) Yusuf ne bagandabe mulimu obujulizi eri ababuuza."},{"id":8,"translation":"Jukira (baganda ba Yusuf) bwe baagamba nti kirabika Yusuf ne Mugandawe (bwe bazaalibwa mu nnyabwe) be baganzi ewa Kitaffe okusinga ffe ate nga tuli bangi, mazima Kitaffe ali mu bubuze obuyitirivu."},{"id":9,"translation":"(Omu n'aleeta ekiteeso nti) Yusuf mumutte oba mumukasuke mu nsi (etamanyiddwa) olwo Kitammwe abe nga ayagala mmwe mwekka, era oluvanyuma lw'ekyo musobola okubeera abantu abalongoofu."},{"id":10,"translation":"Omwogezi omulala mu bo naagamba nti temutta Yusuf wabula mumusuule wansi mu luzzi abamu ku batambuze bajja kumulonda, bwe muba nga muteekwa buteekwa okubaako kye mukola."},{"id":11,"translation":"(Ebyo nga biwedde) baagamba nti owange Kitaffe lwaki totwesiga ku Yusuf ate nga naffe tumufaako!."},{"id":12,"translation":"Mutuwe tugende naye enkya, asanyuke, era azannye era mazima ffe tujja kumukuuma."},{"id":13,"translation":"(Yakub) naagamba nti mazima nze kimpisa bubi okuba nga mumutwala, era ntya omusege okumulya nga mmwe mumulagajjalidde."},{"id":14,"translation":"Ne bagamba nti singa omusege gumala ne gumulya nga ate tuli bangi mazima ffe olwo tubeera tufaafaaganiddwa."},{"id":15,"translation":"Bwe baagenda naye era nebassa kimu okumuteeka mu kinnya wansi mu luzzi, netumutumira obubaka nti mazima dda ojja kubategeeza ekigambo kya bwe kino nga bo tebakyakifaako."},{"id":16,"translation":"Olwo nebadda ewa Kitaabwe olw'eggulo nga bakaaba (naye nga kwali kwekaabya)."},{"id":17,"translation":"Nebagamba nti owange Kitaffe mazima ffe twagenze netusindana mu kudduka netuleka Yusuf awabadde ebintu byaffe omusege negumulya, naye tojja kutukkiriza newaakubadde nga twogera mazima."},{"id":18,"translation":"Nebajja nga batadde ku kyambalo kye omusaayi ogw'obulimba (Yakub naagamba nti) wabula emyoyo gya mmwe gyatetenkanyizza negirungiya ekintu kino ekibi gye muli. Obugumiikiriza bulungi era Katonda ye Muyambi ku ebyo bye mwogera."},{"id":19,"translation":"Abatambuze nebajja ne batuma abakimira amazzi nassa ekyoombo olwajigyayo (wansi mu luzzi bwati naalaba omulenzi), naagamba nti “Neesiimye neefunidde omulenzi” ne bamukukusa nga bamufudde kya maguzi. naye Allah mumanyi nnyo ku ebyo bye baali bakola."},{"id":20,"translation":"Nebamutunda omuwendo omutono, Dirihamu mbale bubazi, anti baali tebamwetaaga."},{"id":21,"translation":"Oyo eyamugula ow'emisiri naagamba mukyalawe nti mulabirire, muyise bulungi sinakindi ayinza okutugasa (mu maaso eyo) oba tumufuule omwana (Katonda kwe kugamba nti) bwe tutyo bwe twasobozesa Yusuf (A.S) okubeera mu nsi era tube nga tumuyigiriza okuvvuunula endooto. Era bulijjo Allah ekigambokye kiwangula, wabula mazima abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":22,"translation":"Bwe yasajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya, era bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi."},{"id":23,"translation":"(Ekyo nga kiwedde) ate muka nnyinimu oyo mu nju mweyasulanga naamwegwanyiza naggala enzigi, naamugamba nti “nzuno nkwewadde”. (Yusuf) naagamba nti: “nsaba obukuumi bwa Allah”, ekituufu kiri nti Mukama wange (balo) ampisizza bulungi (siyinza kukikola) mazima anti abeeyisa obubi tebagenda kwesiima."},{"id":24,"translation":"Mazima (omukyala) yamwegomba ne (Yusuf) namwegomba (omukyala), naye singa (Yusuf) teyalaba kabonero ka Mukama omulabiriziwe (yandigudde mu nsobi) twakola bwe tutyo tube nga tumuwugulako obwonoonefu n'obuwemu, anti mazima ye wa mu baddu baffe abasengejje."},{"id":25,"translation":"Nebagobagana nga badda ku mulyango, (mu mbeera eyo) omukyala naayuza ekyambalo (kya Yusuf) emabega, nebasanga bba (w'omukyala) ku mulyango, omukyala naagamba nti kibonerezo ki ekisaanira okuweebwa omuntu ayagala okukola ku mukyalawo ekivve, okugyako okuba nga asibwa oba okumussaako ekibonerezo ekiruma?."},{"id":26,"translation":"(Yusuf) naagamba nti ye yanneegwanyizza, omu ku bantu bo mu nyumba y'omukyala naawa obujulizi nti ekyambalokye (Yusuf) bwe kiba kiyuziddwa mu maaso gaakyo, omukyala yaanaaba ayogedde amazima ate yye Yusuf naaba ow'omu balimba."},{"id":27,"translation":"Naye ekyambalokye (Yusuf) bwe kinaaba nga kiyuziddwa mabega (omukyala) anaaba alimbye, olwo nno ye naabeera mu ba mazima."},{"id":28,"translation":"(Olwo bba w'omukyala) bwe yamala okulaba ekyambalokye nga kiyuziddwa mabega kwe kugamba nti “ezo nkwe zammwe (mwe abakyala) anti mazima bulijjo enkwe za mmwe za kabi nnyo."},{"id":29,"translation":"Gwe (Yusuf) bino biveeko (tobinyega) ate ggwe weetonde olw'ekibikyo, mazima ddala ggwe obadde mu basobya."},{"id":30,"translation":"Abakyala bo mu kibuga nebagamba nti Muka omukulu yeegwanyizza omuweerezaawe! mazima okwagala kumumazeemu, mazima ffe ye tumulaba nga ali mu bubuze obweyolefu."},{"id":31,"translation":"Omukyala bwe yawulira ebigambo abakyala bye basaasaanya, yabatumira naabategekera ekifo aw'okutuula buli omu naamuwa akambe naagamba nti: (Yusuf) fuluma ogende gye bali, bwe baamulaba ne bamutendereza ne beesala engalo, era nebagamba nti: ono ssi muntu ono tali okugyako Malayika ow'ekitiibwa."},{"id":32,"translation":"Omukyala naagamba nti oyo nno yooyo gwe mubadde munnenyeza. Yye, kituufu namwegwanyizza naagaana, wabula bwataakole ekyo kye mmulagira aggya kusibirwa ddala era abeere mu banyomebwa."},{"id":33,"translation":"(Yusuf) naagamba nti: Ayi Mukama omulabirizi wange ekkomera lyenjagala okusinga ekyo kye bampitira, bwotamponye nkwe zaabwe nja kugwa mu mitego gya bwe, era mbe mu batategeera."},{"id":34,"translation":"Awo nno Mukama omulabiriziwe naamwanukula naamuwugulako enkwe zaabwe anti mazima yye awulira nnyo mumanyi nnyo."},{"id":35,"translation":"(Bwe baamala okutunula mu bujulizi) kyabalabikira nga balina kumusiba okumala ekiseera."},{"id":36,"translation":"Abavubuka babiri, baayingira naye ekkomera, (nga bali mu kkomera buli omu yalaba endooto) omu ku bo naagamba nti mazima nze naloose nga nsogola omubisi, omulala naagamba nti naloose nga neetisse ku mutwe gwange omugaati ng'ebinyonyi bigulyako, tubuulire bivvuunulwa bitya? Mazima ffe tukulaba nga oli mu balongoosa."},{"id":37,"translation":"(Yusuf) naabagamba nti emmere gye muweebwa tejja kubatuukako okugyako nga mmaze okubavvuunulira (buli omu ekirootokye) nga tennaba kubatuukako, ekyo nno mmwe kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yanjigiriza, anti mazima nze nayawukana n'ekibiina ky'abantu abatakkiriza Allah, nga era bo bawakanya olunaku lw'enkomerero."},{"id":38,"translation":"Era nengoberera eddiini ya bakadde bange Ibrahim ne Ishaka ne Yakub, teki kusaanirangako kugatta ku Katonda kintu kyonna. Byonna ebyo bye bimu ku birungi bya Allah bye yatugabira era bye yagabira abantu abalala. Naye abantu abasinga obungi tebeebaza."},{"id":39,"translation":"(Yusufu naabagamba nti) abange mmwe abasibe ababiri ebisinzibwa byammwe eby'enjawulo bye birungi okusinga Katonda Omu nantalemwa?."},{"id":40,"translation":"Bye musinza ne muleka Allah, tebirina kye biri okugyako okuba amannya obunnya ge mwabituuma mmwe ne bakadde ba mmwe. Allah tabissangako bujulizi bwonna, ate nga okusalawo kwonna tekuli okugyako mu mikono gya Katonda (ate nga) yalagira mube nga temusinza okugyako ye yekka eyo nno y'eddiini ennambulukufu, wabula abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":41,"translation":"Abange mmwe abasibe ababiri, omu ku mmwe ajja kubeera mu senero ewa Mukama we, ate omulala ajja kukomererwa ku musaalaba, ebinyonyi bimulye ku mutwe, ekigambo kiwedde ekyo kye mubadde mubuuza."},{"id":42,"translation":"(Yusuf) naagamba oyo gwe yalinamu essuubi ly'okuwona ku bombi nti: onjogererayo nga otuuse ewa Mukama wo (kabaka), wabula Sitane neemwerabiza okumwogererayo ewa Mukamaawe, olwo nno naatuula mu kkomera emyaka egiwera."},{"id":43,"translation":"(Lumu) Kabaka naagamba nti mazima nze naloose nga ndaba ente musanvu engevvu nga ziriibwa ente enkovvu musanvu, era nendoota ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebikoola musanvu ngabikaze, abange mmwe abakungu munnyinnyonnyole endooto yange bwe muba nga mumanyi okuvvuunula amakulu g'ebirooto."},{"id":44,"translation":"Nebagamba nti: okwo kulogojjana kwa birooto ate ekirala tetumanyi kuvvuunula birooto."},{"id":45,"translation":"Omu ku basibe ababiri eyawona (ekkomera) naagamba era nga yajjukira wamaze kuyitawo kaseera nti nze njakubabuulira amakulu g'ekirooto ekyo, kale muntume."},{"id":46,"translation":"(Bwe yatuuka mu kkomera) naagamba nti Yusuf owange ggwe omwogera mazima tubuulire amakulu g'ekirooto nga ente musanvu engevvu nga ziriibwa ente endala musanvu enkovvu , n'ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebirala musanvu bikalu, olwo nno nzire eri abantu mbabuulire babe nga bamanya."},{"id":47,"translation":"Yusuf naagamba nti mujja kulimira emyaka musanvu egiddiringanye, bye munaakungula mubireke mu birimba byabyo okugyako bitono ebyo bye munaalya."},{"id":48,"translation":"Oluvanyuma lw'ekyo, wajja kujja emyaka musanvu egy'obuzibu egiggya okumalawo byonna bye mwagiterekera okugyako ebitono ennyo bye mulisalawo bisigalewo (nga nsigo)."},{"id":49,"translation":"Oluvanyuma lw'ebyo wagenda kujjawo omwaka abantu mwebalinywesebwa era mu mwaka ogwo balisobola okusogola ku mubisi."},{"id":50,"translation":"Kabaka naagamba nti: mumundeetere, gwebaatuma bwe yamala okumutuukako (Yusuf) naagamba nti ddayo ewa Mukamaawo omubuuze ebikwata ku bakyala abo abeesala engalo, mazima Mukama omulabirizi wange amanyidde ddala ebikwata ku nkwe zaabwe."},{"id":51,"translation":"(Kabaka) yagamba (abakyala abo nti) kiki ekyabatuusa kukwegwanyiza Yusuf, nebagamba nti amazima ga Katonda tetumumanyangako kibi kyonna, muka omukulu naagamba nti kaakati amazima geeyolese nze namwegwanyiza era mazima yye wa mu bantu aboogera amazima."},{"id":52,"translation":"(Yusuf naagamba nti ekyo kyali bwekityo Kabaka) asobole okumanya nti nze sigezangako kumukumpanya nga taliiwo, bulijjo Katonda talungamya nkwe za bakumpanya."},{"id":53,"translation":"Era sseetukuza mazima omwoyo (gw'omuntu) gulagira nnyo okwonoona, okugyako oyo Mukama omulabirizi wange gwaba asaasidde anti mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi."},{"id":54,"translation":"Kabaka naagamba nti mumundeetere, mufuule muntu wange ow'okumpi, bwe yamala okwogera naye (Kabaka) naagamba nti mazima ggwe okuva olwa leero oweereddwa obuvunaanyizibwa era oli mwesigwa."},{"id":55,"translation":"(Yusuf) naagamba nti (bwe kiba bwe kityo) mpa obuyinza ku mawanika g’omunsi (eno Misiri) mazima nze nsobola obuwanika era omumanyi ennyo."},{"id":56,"translation":"Bwe tutyo nno twawa Yusuf obuvunaanyizibwa mu nsi (Misiri) nga adda eno n'eri mu yo nga bwayagala. Tussa okusaasira kwa ffe ku oyo gwe tuba twagadde era tetuyinza butasasula bakozi ba bulungi."},{"id":57,"translation":"Empeera y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abakkiriza ne baba nga batya Katonda."},{"id":58,"translation":"Awo nno baganda ba Yusuf bajja ne bayingira we yali era n'abamanya nga ate bo tebamutegeera."},{"id":59,"translation":"Bwe yamala okubategekera bye banaatwala, naagamba nti lwe mulidda mundeeteranga muganda wa mmwe mu Kitammwe temulaba nti mazima nze ntuukiriza ebipimo era nze nsinga okuyisa obulungi abagenyi!."},{"id":60,"translation":"Bwe mutalimundeetera temugenda kupimirwa mmere okuva gyendi era temunsembereranga."},{"id":61,"translation":"Nebagamba nti tujja kusaba Kitaawe amutuwe era mazima ddala ffe tugenda kukikola."},{"id":62,"translation":"(Yusuf) naagamba abavubuka be nti musse sente zaabwe mu migugu gya bwe banaakimanyira eyo nga batuuse kibenga kibasikiriza okudda."},{"id":63,"translation":"Bwe baddayo ewa Kitaabwe, baagamba nti owange Kitaffe tugaaniddwa okupimirwa (emmere omulundi omulala bwe tutagenda ne Beniyamini) kale tukkirize tugende ne Muganda waffe tube nga tupimirwa era mazima ddala ffe tugenda kumukuuma."},{"id":64,"translation":"Yakub naagamba nti abaffe munsuubira okubeesiga ku ye, okugyako nga bwennabeesiga ku mugandawe oluberyeberye (nemutatuukiriza), Allah ye mukuumi asinga era yye, ye musaasizi asinga abasaasizi bonna."},{"id":65,"translation":"Bwe baasumulula emigugu gyabwe (nga batuuse ewaabwe) ne bagwa ku sente zaabwe nga zibaddiziddwa ne bagamba nti owange Taata ate kiki ekirala kye twagala, sente zaffe ziizino zituddiziddwa, kye tulina okukola kuleetera bantu baffe mmere, era Muganda waffe tujja kumukuuma, olwo nno tuddeyo tweyongere ekipimo eky'etikkibwa engamiya, era ekyo ekipimo kyangu nnyo okufuna."},{"id":66,"translation":"Yakub naagamba nti sijja kumubawa kugenda naye okutuusa nga mumpadde obweyamo eri Allah nti mazima ddala mujja kumunkomezaawo, okugyako nga mwetooloddwa (ne mutasobola kumutaasa). Bwe baamala okumuwa obweyamo bwa bwe naagamba nti Allah ye mweyimirize ku byonna bye twogera."},{"id":67,"translation":"Era naagamba nti abange baana bange (bwe mutuukayo) temuyingirira mu mulyango gumu, wabula muyingirire mu milyango gya njawulo, (ngambye ntyo) wabula sisobola kubamalira kintu kyonna ewa Allah anti okulamula kwonna tekulina gye kuli okugyako ewa Allah, ye yekka gwe nneesize, anti abeesiga bonna ye yekka gwe bateekwa okwesiga."},{"id":68,"translation":"Bwe baayingira nga Kitaabwe bwe yabalagira ekitaali kya kubagasa kintu kyonna ewa Allah okugyako okutuukiriza ekyetaago ekyali mu mutima gwa Yakub, era mazima yye yamanyira ddala bye twamuyigiriza naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":69,"translation":"Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza gy'ali Mugandawe naagamba nti: mazima ddala nze Mugandawo (eyabula) kale nno tonakuwala olw'ebyo bye baakolanga."},{"id":70,"translation":"Bwe yamala okubategekera bye batwala yassa ekisena mu mugugu gwa Muganda we, olwo nno omulangirizi naalangirira nti, abange mmwe abatambuze abagenda mazima ddala mmwe muli babbi."},{"id":71,"translation":"Nebagamba nga boolekedde eri omukoowooze (ababagamba eby'obubbi) kiki ekibabuzeeko."},{"id":72,"translation":"Nebagamba nti ekisena kya Kabaka tetukiraba era oyo yenna anaakireeta ajja kuweebwa ekirapo ky'emmere ejjuza engamiya, era ekyo nze nkyeyimiridde."},{"id":73,"translation":"Nebagamba nti tulayira Allah mazima mukimanyi tetwajja kwonoona mu nsi, (eno) era tetubangako babbi."},{"id":74,"translation":"Nebabagamba nti kibonerezo ki (ekimugwanira) bwe munaaba abalimba?."},{"id":75,"translation":"Nebagamba nti ekibonerezokye, oyo yenna ekisena kya Kabaka gwe kinaasangibwa mu mugugugwe ye y'anaafuuka omutango gwa kyo, (ewaffe) bwe tutyo bwe tubonereza abeeyisa obubi."},{"id":76,"translation":"(Yusuf naayaza) nga atandikira ku migugu gya bwe nga tannatuuka ku mugugu gwa Mugandawe olwo naakijja mu mugugu gwa mugandawe, bwe tutyo bwe twayamba Yusuf naasalira bagandabe amagezi (anti) yali tayinza kusigaza mugandawe okusinziira ku nkola ya Kabaka (we Misiri) singa Allah teyayagala, tusitula amadaala g'abo betuba twagadde era waggulu wa buli mumanyi waliyo omumanyi (asingako)."},{"id":77,"translation":"Nebagamba nti (Biniyamini) bwaba abbye Mugandawe yabba dda, Yusuf naakyesigaliza mu mutimagwe naatabaatulira, naagamba mmwe babi okusinga, era Allah y'asinga okumanya ebyo bye mwogera."},{"id":78,"translation":"Nebagamba nti owange ggwe Kamalabyonna mazima Biniyamini) aliko Kitaawe Musajja mukulu mukadde, kale mu kifo kye sigaza omu ku ffe, mazima tukutwala okuba nga oli mu bakozi b'obulungi."},{"id":79,"translation":"(Yusuf) naagamba nti Allah akisse wala okuba nga tukwata atali oyo gwe tukutte n'ebintu byaffe bwe kiba kityo olwo nno tuba balyazaamaanyi."},{"id":80,"translation":"Bwe baamala okuba nga tebakyamulinamu ssuubi nebadda ebbali (begeyeemu), Mukulu waabwe naagamba nti temukimanyi nti Kitammwe yabaggyeko obweyamo eri Allah ate nga oluberyeberye mulina engeri gye mutaayisaamu Yusuf bulungi, n'olwekyo sigenda kuva mu nsi eno okugyako nga Kitange anzikirizza oba Katonda nansalirawo. Era yye yaasinga abasalawo bonna."},{"id":81,"translation":"Muddeeyo eri Kitammwe mumugambe nti: Owange Kitaffe mazima Mutabaniwo yabba tetuwa bujulizi okugyako ku ekyo kye tumanyi, era tetubangako ba kalondoozi ku ebyo ebyekusifu."},{"id":82,"translation":"Buuza abantu bo mu kitundu gye twali, obuuze n'ekibinja ky'abantu kye twaddiramu era mazima ddala ffe tuli b'amazima."},{"id":83,"translation":"(Yakub) naagamba nti wabula emyoyo gyammwe gyabawundidde ekintu ekyo. okugumiikiriza kulungi, nina essuubi nti bonna Allah agenda kubandeetera bonna. Mazima ddala y'amanyi ennyo era mugoba nsong"},{"id":84,"translation":"Awo nno naabaviira era naagamba nti: ndabye n'omwana wange Yusuf, amaasoge negatukula olw'obunakuwavu, era nga yye munyiikaavu."},{"id":85,"translation":"Nebagamba nti amazima ga Allah era okyajjukira Yusuf okutuusa lw'okonzibye n'otuuka okubeera mu bagenda okufa!."},{"id":86,"translation":"Naagamba nti mazima ebizibu byange ne nnaku yange mbiroopera Allah era mmanyi okuva eri Allah bye mutamanyi."},{"id":87,"translation":"Abange baana bange mugende mugezeeko okunoonya ebifa ku Yusuf ne Mugandawe, temugwangamu ssuubi ku kusaasira kwa Allah mazima tewali akutuka ssuubi na kususaasira kwa Allah okugyako abantu abakaafiiri."},{"id":88,"translation":"Bwe baayingira awaali Yusuf ne bagamba nti owange kamala byonna ekyeya kituli bubi ffe n'abantu baffe, ate bye twagala okuwaanyisaamu emmere bye tuleese ssi birungi, wabula ggwe tujjulize byotupimira era otusaddaakire (okkirize tugendere awo) mazima Allah asasula abasaddaaka."},{"id":89,"translation":"(Yusuf) naagamba nti: mumanyi ekyo kye mwakola Yusuf ne Mugandawe nga temumanyi (bigenda kuddirira)."},{"id":90,"translation":"Nebagamba nti mazima ddala ggwe Yusuf, naagamba nti nze Yusuf era ono Muganda wange, Allah yatugonnomolako ebyengera era anti mazima omuntu atya Allah era naagumiikiriza mazima Allah tayinza butasasula bakozi ba bulungi."},{"id":91,"translation":"Nebagamba nti tulayira Allah nti mazima Allah yakuwa enkizo ku ffe, era mazima mu byonna bye twakola twali basobya."},{"id":92,"translation":"Naagamba nti olwa leero si lunaku lwa kubanenya, nsaba Allah abasonyiwe era yye ye musaasizi asinga abasaazizi bonna."},{"id":93,"translation":"Mutwale ekyambalo kyange kino mukisuule ku maaso ga Kitange ajja kuddamu alabe era mundeetere abantu ba mmwe bonna."},{"id":94,"translation":"Ekibinja (kyabwe) bwe kyamala okuva (Emisiri) Kitaabwe naagamba nti mpulira akawoowo ka Yusuf singa si kutya nti munamputtawaza."},{"id":95,"translation":"Nebagamba nti tulayira Allah mazima ggwe oli mu bubuzeebwo obw'edda."},{"id":96,"translation":"Eyaleeta amawulire ag'essanyu bwe yatuuka, (ekyambalo) yakissa mu kyenyikye (ekya Yakub) awo wennyini naddamu okulaba. (Yakub) naagamba nti saabagamba nti mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi."},{"id":97,"translation":"Nebagamba nti owange Kitaffe tusabire Allah atusonyiwe ebyonoono byaffe mazima twali basobya."},{"id":98,"translation":"Naagamba nti nja kubasabira Mukama omulabirizi wange abasonyiwe, mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo."},{"id":99,"translation":"Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza bakaddebe gyali era naagamba nti muyingire Misiri mubeere mirembe Katonda bwanaaba ayagadde."},{"id":100,"translation":"Era yasitula bakaddebe naabatuuza ku Ntebeye (Ey'obukulubwe) bonna ne bakutama ne bamuvunnamira era naagamba nti owange Kitange, gano ge makulu g’ekirooto kyange kye nnaloota edda, mazima Katonda wange akituukirizza, era mazima yankolera obulungi bwe yanzija mu kkomera ate na mmwe naabaleeta okubajja mu kyalo oluvanyuma lwa Sitaane okuba nti yatabula wakati wange ne baganda bange. Mazima Mukama omulabirizi wange alumirwa oyo gw'aba ayagadde anti mazima yye mumanyi nnyo mugoba nsonga."},{"id":101,"translation":"Ayi Mukama omulabirizi wange mazima ompadde ky'ompadde mu bufuzi era nommanyisa okuvvuunula endooto, (ggwe) omutonzi w'eggulu omusanvu ne nsi, ggwe mukuumi wange ku nsi ne ku nkomerero. Nzita nga ndi musiraamu onteeke mu bakozi b'obulungi."},{"id":102,"translation":"Ebyo nno bye bimu ku bigambo ebyekusifu bye tukutumira (ggwe Muhammadi) era tewali nabo bwe bassa ekimu nga bakola olukwe."},{"id":103,"translation":"Abantu abasinga obungi ne bwolulunkana otya tebayinza kubeera bakkiriza."},{"id":104,"translation":"Sso ate tobasaba mpeera (ku kyobalungamya) tekiri (kyokola) okugyako okujjukiza eri ebitonde."},{"id":105,"translation":"Obubonero bumeka mu ggulu omusanvu n'ensi bwe bayitako nga bbo tebabufaako."},{"id":106,"translation":"Abasinga obungi mu bo tebakkiriza Allah okugyako nga era bamugattako ebintu ebirala."},{"id":107,"translation":"Abaffe baafuna obukakafu okuba nti tebayinza kujjirwa kibonerezo ky'amaanyi okuva ewa Allah oba olunaku lw'enkomerero nerubatuukako kibwatukira nga nabo tebategedde."},{"id":108,"translation":"Gamba nti: lino ly'ekkubo lyange nkowoola abantu okujja eri Allah, nze n'abangoberera tukola ekyo nga tusinziira ku kulungamizibwa, era Mukama Allah yasukkuluma, era nze siyinza kubeera mu bamugattako kintu kirala."},{"id":109,"translation":"Tetwatumako oluberyeberye lwo okugyako basajja nga tubawa obubaka nga bantu ba mu bitundu ebyo (bye baatumwamu) abafffe tebatambula mu nsi ne balaba, yali etya enkomerero y'abo abaabasooka, enyumba y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Allah, abaffe temutegeera!."},{"id":110,"translation":"(Okutaasibwa kwa bantu tekwajjanga) okutuusa ababaka lwe baasemberanga okukutuka n'okusuubira era ne balowooza nti mazima bo baalimbisibwa (awo nno) okutaasa kwaffe ne kubajjira, naawonyezebwa oyo gwe twayagala awonyezebwe, obukambwe bwaffe ku bantu aboonoonyi tebuwonyezebwa."},{"id":111,"translation":"”Mazima byalimu ebyafaayo byabwe (ba nnabi) eby’okuyigirako eri abo abakozesa obwongo. (kulaane) Tebibangako bigambo bijweteke, wabula okukakasa ebyo by’esanzewo wamu n’okuteekulula emiramwa gya buli nsonga, era obuluKKamu n’obusaasizi ebyayawulirwa abantu abakkiriza."}]},{"id":13,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Miim Raa, zino aya za kitabo (Kulaani) ekyo ekyassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ge mazima. Naye abantu abasinga obungi tebakkiriza."},{"id":2,"translation":"Allah yooyo eyasitula eggulu omusanvu awatali mpagi ze mulaba, oluvanyuma yatebenkera ku ntebe ye, era yagonza enjuba n'omwezi buli kimu kigenda kutambula okumala ebbanga eryakigererwa, atambuza buli kintu, annyonnyola ebigambo, kibasobozese okukkiriza nti mugenda kusisinkana Mukama omulabirizi wa mmwe."},{"id":3,"translation":"Era yye yooyo eyagaziya ensi Nassa mu yo e nsozi n'emigga, ate nabuli bibala, yateeka mu yo emitendera ebiri (ekisajja n'ekikazi) obudde bw'ekiro abubikkisa emisana. Mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abafumiitiriza."},{"id":4,"translation":"Ate ne mu ttaka mulimu ebitundu ebiriraanye (naye ate tebifaanagana) era nga mulimu amalimiro ag'e Nzabibu era nga mulimu n'ebimera n'emitende ekikolo eky'emiti emingi n'ekikolo eky'omuti ogumu (nga byonna) binywekerezebwa ku mazzi ge gamu, era tusukkulumya ebimu ku binnaabyo mu kuwooma, mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abalina amagezi."},{"id":5,"translation":"Bw'oba oli wa kwewuunya, kyewuunyisa ekigambo kyabwe bwe bagamba nti: bwe tulimala okufuuka ettaka (nga tufudde) abaffe tuliddamu ne tutondebwa, abo nno beebo abaajeemera Mukama omulabirizi waabwe era abo enkoligo zigenda kubeera mu nsingo zaabwe era abo be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo."},{"id":6,"translation":"Bakusaba batuusibweko ekibi mu bwangu mu kifo ky'okuba nga bandibadde bakusaba birungi, ate nga ebibonerezo bingi ebyaliwo oluberyeberye. era mazima Mukama Omulabiriziwo ajjudde okusonyiwa eri abantu ku kweyisa kwa bwe obubi, era ddala Mukama omulabiriziwo muyitirivu wa bibonerezo."},{"id":7,"translation":"Era abo abaakaafuwala bagamba nti: singa aweebwa eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe (wabula) mazima ddala ggwe oli mutiisa. Anti bulijjo buli bantu balina omulungamya waabwe."},{"id":8,"translation":"Allah amanyi buli kikazi ekyo kye kiba kirina mu lubuto lwa kyo, n'ekyo nnabaana kyayongera ne kyakendeeza, (ku bbanga olubuto lye lumala) era buli kintu kyonna ewa Mukama Allah kikolera ku kigero (ekyakiweebwa)."},{"id":9,"translation":"Amanyi ebyekusifu n'ebirabwako, ow'ekitiibwa ennyo eyeesukulumya yekka."},{"id":10,"translation":"Kye kimu (ewa Allah) mu mmwe oyo aba akweese ekigambo n'oyo akyatula, n'oyo akukuta ekiro, n'oyo assa ebibye mu musana."},{"id":11,"translation":"(Buli muntu) aliko (ba Malayika) abakolera mu mpalo, buli kiseera babeera mu maasoge n'emabegawe nga bamukuuma nga ekyo kiragiro kya Katonda, mazima Katonda takyusa mbeera nnungi eri ku bantu okugyako nga bo bennyini be bakyusizza, Allah bwaba ayagaliza obubi okutuuka ku bantu tewali ayinza kubuzzaayo, era tebayinza kufuna ng'oggyeko Allah mukuumi mulala yenna."},{"id":12,"translation":"Yye yooyo abalaga ekimyanso waggulu ne muba mu kutya ate nemuba nga muyaayaanira (enkuba), era yassaawo ebire ebizito ebitonnyesa enkuba."},{"id":13,"translation":"Okubwatuka okuva waggulu kutendereza Allah nga bwe kumusuuta, ba Malayika (nabo bamutendereza) olw'okumutya era asindika okubwatuka kwe ggulu naazikiriza nakwo oyo gwaba ayagadde okuzikiriza. (Awamu n'ekyo) bo abakaafiiri bagenda mu maaso nga bawakana ku bwomu bwa Katonda mazima yye Allah amaanyige masuffu."},{"id":14,"translation":"Okusaba okutuufu kwolekezebwa yye Yakka, era abo abasaba atali yye tebasobola kubaanukula ku kintu kyonna, okugyako okuba nga omuntu agolodde ebibatu bye eri amazzi agaleete eri omumwa gwe naye nga tasobola kugatuuka. Era tekuli okusaba kwa bakaafiiri okugyako okubeera mu bubuze."},{"id":15,"translation":"Ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bivunnamira Allah mu kwagala oba mu kukakibwa nga n'ebisikirize bya byo ku makya n'olweggulo (bikola bityo)."},{"id":16,"translation":"Gamba (Ggwe Muhammadi) nti ani Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi bagambe nti: Allah ate bagambe nti ate olwo mweteerawo mutya abakuumi, yye ne mumuleka, so nga ekirungi n'ekibi ebibatuukako tebiri mu mikono gya bwe, bagambe nti abaffe muzibe n'omuntu alaba benkana oba ebizikiza n'ekitangaala byenkana oba Allah bamussaako ababeezi nga batonda nga okutondakwe nekiba nti okutonda (okw'emirundi ebiri) kwe kwabatabula, bagambe nti Allah ye Mutonzi wa buli kintu, era yye y'oyo ali omu (obwannamunigina) nnantalemwa."},{"id":17,"translation":"Atonnyesa enkuba okuva mu bire, amazzi negakulukutira mu nsenyi okusinziira ku bunene bwazo, amazzi negasitula mukoka n'ejjovu waggulu ate ekifaananyi ekirala by'ebintu bye basaanuusa ku muliro olw'okwagala okufunamu eby'okwewunda oba eby'okukozesa, mu kukola ekyo namwo muvaamu ebyoovu nga ekifananyi ekisoose, bwa tyo Allah bwa lambika amazima n'obwonoonefu kale byo ebyoovu bifuuka kasasiro, wabula kyo ekigasa abantu kisigala mu ttaka. Bwatyo nno Allah bwakuba ebifaananyi."},{"id":18,"translation":"Abo abanaayanukula Mukama omulabirizi waabwe Allah balina okufuna obulungi, naye abo abataamwanukule ebiri mu nsi yonna ne bwe byandibadde bya bwe nga balina n'ebirala ebibifaanana awamu nabiri bandyenunudde nabyo (ku lunaku lw'enkomerero), abonno balifuna okubalibwa okubi era omuliro Jahannama bwe buliba obuddo bwa bwe era bwe buliri obusinga obubi."},{"id":19,"translation":"Abaffe oyo amanyi nti ebyassibwa ku ggwe okuva ewa Mukama omulabiriziwo ge mazima ayinza okuba nga oyo muzibe (atalaba mazima ago). Mazima aba magezi be bajjukira."},{"id":20,"translation":"(Aba magezi) beebo abatuukiriza endagaano za Allah nebatamenya bweyamo."},{"id":21,"translation":"Era abo abayunga ekyo Allah kyeyalagira okuyunga era ne batya ne babeera nga buli kiseera beeraliikirira Mukama omulabirizi waabwe, era ne batya okubalibwa okubi (okutaliimu kulekera kwonna)."},{"id":22,"translation":"Era abo abagumiikiriza ku lw'okunoonya okusiima kwa Mukama omulabirizi waabwe era nebayimirizaawo esswala, era nebawaayo ku ebyo bye twabagabirira nga bakikola mu kyama ne mu lwatu era nga ekibi bakiggyisaawo ekirungi, abo nno balifuna ekifo ekisiimwa ku nkomerero."},{"id":23,"translation":"(Ekifo ekyo) ze jjana ez'olubeerera zebaliyingira, nga baliba wamu n'abo abalongoosa mu bakadde babwe, ne be baali nabo mu bufumbo, ne zzadde lya bwe ba Malayika baliba bayingira gye bali, nga bayita mu buli mulyango."},{"id":24,"translation":"(Balibagambanga) nti emirembe gibe ku mmwe olw'ebyo bye mwagumiikiriza, ekyengera ekisinga obulungi kye kifo ekyo ekirisiimwa ku nkomerero."},{"id":25,"translation":"Ate abo abamenya endagaano za Allah oluvanyuma lw'okuzikakasa, ne bakutula ekyo Allah kye yalagira okuyunga era ne boonoona mu nsi abo baliko ekikolimo era bagenda kuweebwa e nyumba embi (ku lunaku lw'enkomerero)."},{"id":26,"translation":"Allah agaziya riziki eri oyo gwaba ayagadde era agifundiza (gwaba ayagadde, bo abantu abalowoolereza mu by'ensi) badda mu kusanyuka n'obulamu obw'ensi so nga ate obulamu bw'ensi tebulina kye buli ku bulamu bw'enkomerero okugyako mpozzi lusanyuka lwa mulundi gumu."},{"id":27,"translation":"Abo abaakaafuwala ne bagamba nti: singa assibwako (Nabbi Muhammadi) eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe. Bagambe nti mazima Allah abuza oyo gwaba ayagadde naalungamya okudda gy'ali oyo yenna eyeemenya."},{"id":28,"translation":"(Abeenenya) be bo abakkiriza Allah, era nga emitima gya bwe gitebenkera olw'okwogera ku Allah. Abange anti bulijjo emitima gitebenkera olw'okwogera ku Katonda."},{"id":29,"translation":"Be bo abakkiriza ne bakola e mirimu emirongoofu, bagenda kufuna okwesiima n'obuddo obulungi."},{"id":30,"translation":"Nabwekityo twakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) mu bantu nga oluberyeberye lwa bwe waaliyo ebibiina bingi obe nga obasomera ekyo kye twassa gyoli, nga bali ku kuwakanya Allah ow'ekisa ekingi, bagambe nti yye ye Mukama omulabirizi wange, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, ye gwenneesigamidde era gy'ali gye njolekeza okwenenya kwange."},{"id":31,"translation":"Singa mazima waliyo ekitabo ekisomwa nga ensozi zisobola okutambuzibwa nakyo, n'ensi neyeeyasaamu emiwaatwa (ne gitambuliramu amazzi), oba abafu ne boogezebwa nakyo (ekitabo ekyo kyandibadde Kulaani eno, eby'amagero si bye birungamya) wabula obuyinza bwonna bwa Allah, abaffe abo abakkiriza tebakutukanga na kusuubira nti singa Allah yayagala yandirungamizza, abantu bonna, era abo abaakaafuwala tebagenda kuvaawo nga batuukwako obuzibu olw'ebyo bye baakola oba ekizibu okugwa okumpi n'amayumba ga bwe, okutuusa endagaano ya Allah lwe lijja. Mazima Allah tayawukana ku ndagaano."},{"id":32,"translation":"Era mazima ababaka bangi abaagyejebwa oluberyeberyelwo, naye nennindiriza abo abaakaafuwala, oluvanyuma nnabakwata (ggwe) olaba okubonereza kwange kwali kutya."},{"id":33,"translation":"Abaffe oyo alina obuyinza ku buli mwoyo olw'ebyo bye gukola (ayinza okufaanana nga oyo atali bwatyo). Abantu nebatuuka okugatta ku Allah ebisinzibwa ebirala. Bagambe nti: muboogere (be baani) bwe kitaba ekyo muba nga abamutegeeza ebyo byatamanyi ku nsi, oba mumala gakozesa bigambo ku ngulu kwabyo (nga bwe mulaba), (wabula) ekituufu kiri nti abo abaakaafuwala enkwe zaabwe zaabalabikira okuba nga nnungi olwo nno ne baggyibwa ku kkubo. Oyo yenna Katonda gwaba abuzizza tayinza kubaako alungamya."},{"id":34,"translation":"Balina ebibonerezo mu bulamu obw'ensi ate nga ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga obukakali. Tebagenda kufuna mutaasa yenna ku Katonda."},{"id":35,"translation":"Ekifaananyi kye jjana eyo eyalagaanyisibwa abatya Allah (efaanana bweti) emigga gikulukutira wansi waayo, eby'okulya byamu bya lubeerera n'ekisiikirize kyamu bwe kityo, eyo y'enkomerero yaabo abatya Allah so nga enkomerero ya bakaafiiri muliro."},{"id":36,"translation":"N'abo be twawa ekitabo basanyuka olw'ekyo ekyassibwa gyoli ate mu bibiina byabwe (ebimu) mulimu abawakanya ebimu ku bye watumwa nabyo, bagambe nti nalagirwa okuba nga nsinza Allah era mbe nga simugattako kintu kyonna, nkowoola abantu okudda gy'ali era gyali yeeri obuddo bwange."},{"id":37,"translation":"Era bwe tutyo bwe twassa Kur’ani nga esalawo ku buli kintu nga eri mu luwarabu, singa ogoberera okwagala kwa bwe oluvanyuma lw'okumanya okukujjidde, tolina mukuumi wadde omutaasa ku Katonda."},{"id":38,"translation":"Mazima twatuma ababaka bangi oluberyeberyelwo, netubawa abakyala n'ezadde, tewali Mubaka yenna yali asobola kuleeta kyamagero kyonna okugyako kulwa kukkiriza kwa Allah. Buli ntuuko eba mpandiike ewa Katonda."},{"id":39,"translation":"Allah asangulawo kyaba ayagadde, ate ebirala naabireka nga bwe yabisalawo, ekitabo ekikulu (Llawuhul – Mahfuzu) ekiwandiikibwamu ebintu byonna yakyesigaliza."},{"id":40,"translation":"Oba singa tukulaga ebimu ku ebyo bye tukulagaanyisa oba netukutuusa ku ntuukoyo (nga tobirabye, byonna kye kimu) ggwe kyoteekwa okukola kwe kubatuusaako obubaka, ate kwo okubala kuli ku ffe."},{"id":41,"translation":"Abaffe tebalaba nti mazima ffe mpolampola tugenda tukendeeza ensi nga tutandikira gy'ekoma, kiri nti Allah yasalawo tewali agobereza kigambo ku kusalawo kwe, era nga ye mwangu mu kubala."},{"id":42,"translation":"Mazima abo abaabakulembera bakola enkwe naye nga enkwe zonna ziggwera eri Allah, amanyi buli kyonna omuntu kyakola, abakaafiiri bagenda kumanya nti enkomerero ennungi eriba yaani."},{"id":43,"translation":"Era abo abaakaafuwala bagamba nti toli mutume, bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange na mmwe, n'abo abalina okumanya nga kuva mu kitabo (Abayudaaya na Banaswara)."}]},{"id":14,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Raa, kino kitabo twakissa gy'oli obe nga oggya abantu mu kizikiza obazze mu kitangaala, ku lw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waabwe (obalungamye) ku kkubo lya nnantakubwa ku mukono atenderezebwa."},{"id":2,"translation":"Allah oyo nannyini wa byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi. Era okubonaabona kuliba ku bawakanya Allah n'omubakawe olw'ebibonerezo ebikakali ebiribatuukako."},{"id":3,"translation":"Abo abakulembeza obulamu bw'ensi ku bw'enkomerero, nga bagoba abantu okubaggya ku kkubo lya Allah era nga balyagaliza okuba ekkyamu. Abo bali mu bubuze obweyolefu."},{"id":4,"translation":"Tetwatumanga Mubaka yenna okugyako mu lulimi lwa bantube, alyoke abe nga abannyonnyola (buli nsonga etegeerekeke) olwo nno Allah abuze gwaba ayagadde era alungamye gwaba ayagadde, anti yye nga bulijjo ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga."},{"id":5,"translation":"Mazima twatuma Musa n'obubonero bwaffe (netumugamba) nti: Abantu bo baggye mu bizikiza obazze eri ekitangaala, era obajjukize ennaku za Allah, (kwe yakolera) ebintu ebiteekwa okujjukirwa mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa (Allah) eri omugumiikiriza omwebaza owa nnamaddala."},{"id":6,"translation":"Era jjukira Musa bwe yagamba abantube nti mujjukire ekyengera Allah kye yabawa, bwe yabawonya abantu ba Firawo nga babakombya ku bibonyobonyo ebikakali, nga batirimbula abaana ba mmwe abalenzi nebalekawo abaana ba mmwe ab'obuwala, mu kukola ekyo mwalimu okugezesebwa kunene nnyo okuva eri Mukama omulabirizi wa mmwe."},{"id":7,"translation":"Era mujjukire Mukama omulabirizi wa mmwe bwe yalangirira nti singa mwebaza nja kubongerera ddala naye singa mukaafuwala mazima ebibonerezo byange bikakali."},{"id":8,"translation":"Musa naagamba nti singa mmwe mukaafuwala n'abantu bonna abali mu nsi, mazima Allah talina kye yeetaaga eri muntu yenna era yye y'atenderezebwa."},{"id":9,"translation":"Abaffe tegaabatuukako amawulire agakwata ku abo abaabakulembera (nga) abantu ba Nuuhu, abantu ba A’di ne Thamud, n'abo abaaliwo oluvanyuma lwa bwe tewali abamanyi okugyako Allah, ababaka baabwe baabajjira n'obunnyonnyofu, nebassa emikono gya bwe ku mimwa gya bwe, era nebabagamba nti mazima ffe tetukkirizza ebyo bye muleese, era mazima ffe tuli mu kubuusabuusa okulimu okutankana ku ebyo bye mutuyita okujja gye biri."},{"id":10,"translation":"Ababaka baabwe nebagamba nti abaffe Allah abuusibwa buusibwa (okuba nti ali omu) omutonzi we ggulu n'ensi, abakoowoola mujje abe nga abasonyiwa ebyonoono bya mmwe era abalindirize okutuusa ku kiseera ekigere. Nebagamba nti tewali kye muli wabula muli bantu nga ffe, mwagala kutuggya ku ebyo bakadde baffe bye baasinzanga, kale mutuleetere obujulizi obweyolefu."},{"id":11,"translation":"Ababaka baabwe nebabagamba nti (ye wewaawo) tetuli kirala kyonna wabula tuli bantu nga mmwe, naye mazima Allah ddala agabira oyo gwaba ayagadde mu baddube era tetusobola kubaleetera bujulizi okugyako, nga Allah akkirizza. Allah yekka, abakkiriza gwe bateekwa okwekwasa."},{"id":12,"translation":"Y'ate tuyinza tutya kwesigula netuteesiga Allah, nga ate yatulungamya mu makubo gaffe, era ddala tujja kugumiikiriza ku ngeri gye mutuyisaamu obubi, Allah yekka abeesiga gwe bateekwa okwesiga."},{"id":13,"translation":"Era abo abaakaafuwala nebagamba ababaka baabwe nti: tujja kubagoba mu nsi yaffe, oba ssi ekyo mujja kuddira ddala mu ddiini yaffe. Mukama omulabirizi waabwe naabatumira nti ddala tujja kuzikiriza abeeyisa obubi."},{"id":14,"translation":"Era ddala mmwe tujja kubatebenkeza mu nsi, oluvanyuma lwa bwe, ekyo kigenda kufunibwa oyo atya okuyimirira mu maaso gange naatya n'ebitiiso byange."},{"id":15,"translation":"(Ababaka) nebasaba (Allah) okubataasa, naawemuka buli mwekuza ow'amawaggali."},{"id":16,"translation":"Oluvanyuma lw'ekyo (omwekuza oyo alindiriddwa) omuliro jahannama era agenda kunywesebwa amazzi ag'amasira ag'olusaayi saayi."},{"id":17,"translation":"Agenda kugezaako okuganywa naye nga tagasobola, ate okufa nekumujjira nga kuva mu buli luuyi so nga ate tagenda kufa, nga ate oluvanyuma lw'ekyo alindiriddwa ebibonerezo ebizito."},{"id":18,"translation":"Ekifaananyi ky'abo abawakanya Mukama omulabirizi waabwe, (kiri nti) emirimu gya bwe giringa vvu erikungusiddwa empewo ku lunaku olulimu kibuyaga nga mu bye baakola byonna tebalina kye balinako buyinza okwo nno kwe kubula okwewala."},{"id":19,"translation":"Abaffe tolaba nti mazima Allah eggulu omusanvu ne nsi yabitonda mu ngeri entuufu. Bwaba ayagadde abajjawo naaleeta ebitonde ebipya."},{"id":20,"translation":"Era ekyo ku Katonda si kinene."},{"id":21,"translation":"Bonna bagenda kweyoleka mu maaso ga Katonda. Abaali abanafu bagenda kugamba abo abeekuza mazima ffe twali bagoberezi ba mmwe abaffe mulina ekintu kye muyinza okutuyamba ku bibonerezo bya Allah, nebagamba nti singa Allah yatuluingamya twali balungamizza, kye kimu kuffe tutidde oba tugumiikirizza tetulina wa kuddukira."},{"id":22,"translation":"Era awo mukaseera abantu b'omujjana nga bayingidde ejjana, n'abantu b'omuliro nga bayingidde omuliro Sitane aligamba nti mazima Allah yabalagaanyisa endagaano ey'amazima nange nembalagaanyisa, naye nembaawukanako, era sibangako na buyinza bwonna ku mmwe okugyako okuba nti nnabayita nemunnyanukula. Kale nno temunnenya, mwenenye mwekka, nze siri wa kubataasa nga na mmwe bwe mutali ba kuntaasa, mazima nze neegaanye ebyo bye mwangattamu ne Allah oluberyeberye. Mazima abeeyisa obubi balina ebibonerezo ebiruma."},{"id":23,"translation":"Abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu baliyingizibwa ejjana nga emigga gikulukutira wansi waazo, bagenda kuzibeeramu olubeerera olw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waabwe, Salaamu (mirembe) kye kiriba ekiramuso kyabwe nga bali muzo."},{"id":24,"translation":"Abaffe tolaba engeri Katonda gye yakubamu ekifaananyi ky'ekigambo ekirungi (Lla Ilaaha Illa Llahu Muhammad Rasuulu Llah), nga kifaanana omuti omulungi nga ekikolo kyagwo kinywevu nga amatabi g'agwo gali waggulu."},{"id":25,"translation":"Guleeta eby'okulya by'agwo buli kiseera ku lw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waagwo, era Allah akubira abantu ebifaananyi kibasobozese okujjukira."},{"id":26,"translation":"Ate ekifaananyi ky'ekigambo ekibi kiringa omuti omubi ogukuuliddwa mu ttaka (nga gwamerera) ku ngulu nga tegulina wegunywerera."},{"id":27,"translation":"Allah anyweza abo abakkiriza olw'ekigambo ekinywevu mu bulamu obw'ensi n'obwenkomerero (mu ngeri y'emu), era naabuza abeeyisa obubi. Bulijjo Katonda, akola ekyo kyaba ayagadde."},{"id":28,"translation":"Abaffe tolaba abo ekyengera kya Allah abaakiwaanyisaamu obukaafiiri (olw'ekyo), nebatwala abantu ba bwe mu nyumba ey'okuzikirira."},{"id":29,"translation":"(Nga nayo) gwe muliro Jahannama, gwe bagenda okwesogga era obwo obuddo bubi."},{"id":30,"translation":"Nebateeka ku Allah ebisinzibwa ebirala babe nga babuza abantu okubaggya ku kkubolye, bagambe nti mweyagale ko akaseera katono, mazima ddala obuddo bwa mmwe buli mu muliro."},{"id":31,"translation":"Gamba abaddu bange abo abakkiriza babe nga bayimirizaawo e sswala era baweeyo mu ebyo bye tubagabira (bakikole) mu kyama ne mu lwatu nga olunaku olutalibaamu bya maguzi wadde ab'emikwano telunnajja."},{"id":32,"translation":"Allah oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naatonnyesa okuva waggulu, amazzi n'ameza nago ebibala nga bya kulya bya mmwe, era yabagondeza amaato okuba nga gatambulira ku nyanja ku lw'obuyinzabwe era naabagondeza emigga."},{"id":33,"translation":"Era naabagondeza enjuba n'omwezi nga byombi bitambula era naabagondeza ekiro n'omusana."},{"id":34,"translation":"Era naabawa ebyo byonna bye mumusaba, singa mugezaako okubala ebyengera bya Allah temuyinza kubimalayo, anti mazima bulijjo omuntu yeeyisa bubi, yeewakana ebyengera."},{"id":35,"translation":"Era Jjukira Ibrahim bwe yagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange ekibuga kino (Makkah) kifuule kya mirembe, onneekese n'abaana bange okuba nga tusinza amasanamu."},{"id":36,"translation":"Ayi Mukama omulabirizi wange mazima go gabuzizza abantu bangi, oyo yenna angoberera mazima yye aba wa mu bantu bange, ate oyo yenna anjeemera, mazima ggwe oli musonyiyi musaasizi."},{"id":37,"translation":"Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima nze nsenzezza abamu ku zzadde lyange mu lusenyi olutaliimu birime awali enyumba yo ey'emizizo, ayi Mukama omulabirizi waffe olwo babe, nga bayimirizaawo e sswala kale nno, fuula emitima gy'abantu egyagala okujja gye bali era obagabirire mu bibala basobole okwebaza."},{"id":38,"translation":"Ayi Mukama omulabirizi waffe, mazima ggwe omanyi bye tukweka ne bye twolesa, ate nga tewali kintu kyonna kyekweka Allah mu nsi wadde mu ggulu."},{"id":39,"translation":"Ebitendo bya Allah, oyo eyampa Ismail ne Ishaka mu bukadde. Mazima Mukama omulabirizi wange awulirira ddala okusaba."},{"id":40,"translation":"Ayi Mukama omulabirizi wange nfuula ayimirizaawo esswala, ne muzadde lyange (ojjemu abakola ekyo) ayi Mukama omulabirizi waffe nkusaba okkirize okusaba kwange."},{"id":41,"translation":"Ayi Mukama omulabirizi waffe onsonyiwanga ne bakadde bange bombi, n'abakkiriza ku lunaku okubala lwe kuliyimirirawo."},{"id":42,"translation":"Tosuubiranga Allah okuba nti tafaayo ku ebyo abeeyisa obubi bye bakola, anti mazima abalindiriza okutuusa olunaku amaaso lwe galiralambala lwe lulituuka."},{"id":43,"translation":"Baliba banguyirira nga balalambazza emitwe gya bwe, nga amaaso gaabwe tegadda gye bali (kutunula ku kintu kirala) nga n'emitima gya bwe myereere."},{"id":44,"translation":"Era tiisa abantu olunaku ebibonerezo lwe biribajjira, abo abeeyisa obubi nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulindirize okumala akaseera katono tusobole okwanukula okukoowoola kwo era tugoberere ababaka, baanukulwe mu mbeera ey'okubanenya nti: abaffe temwalayira oluberyeberye nti temugenda kuva ku nsi."},{"id":45,"translation":"Nemusenga mu bibanja byabo abeeyisa obubi, era nekibalabikira mu lwatu, ki kye twabakola. Era tubakubidde ebifaananyi (mube nga mumatira)."},{"id":46,"translation":"Mazima ddala bakola enkwe zaabwe naye nga enkwe zaabwe zonna ewa Allah weziggwera, era tezisobola kujjawo nsozi olw'obunafu bwazo."},{"id":47,"translation":"Tokirowoozanga nti Allah wa kwawukana ku ndagaanoye gye yawa ababakabe (okubataasa). Mazima Allah ye nantakubwa ku mukono alina obusobozi bw'okubonereza."},{"id":48,"translation":"Ku lunaku ensi lwe likyusibwa neba nga tekyali nsi, nabwekityo eggulu omusanvu, (abantu bonna) ne beeyoleka ewa Allah omu nantalemwa."},{"id":49,"translation":"Oliraba aboonoonyi ku lunaku olwo nga bagattiddwa ku mpingu."},{"id":50,"translation":"Engoye zaabwe ziriba zikoleddwa mu bikwata amangu omuliro, era omuliro gulibikka ebyenyi byaabwe."},{"id":51,"translation":"Olwo nno Katonda abe nga asasula buli mwoyo ebyo bye gwakola, mazima Allah mwangu mu kubala."},{"id":52,"translation":"Kuno kutuusa (obubaka) eri abantu era babe nga balabulwa nabwo (ebyaziyizibwa), era babe nga bamanya nti mazima yye ali Omusinzibwa omu, kale nno abalina amagezi beebuulirire."}]},{"id":15,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Raa, zino ze zimu ku Aya z'ekitabo, era nga ye Kulaani ennyinyonnyofu."},{"id":2,"translation":"Lumu, abo abaakaafuwala balyegomba okuba nti singa baali basiraamu."},{"id":3,"translation":"Baleke balye, era beeyagale era essuubi (mu kuwangaala) libalabankanye, kyaddaaki balimanya."},{"id":4,"translation":"Tetwazikiriza kitundu kyonna okugyako nga kyalina ekiseera ekimanyiddwa."},{"id":5,"translation":"Tewali bantu bakulembera ntuuko yaabwe era tebayinza kusaba kwongerwayo (okusaba kwa bwe ne kuyitamu)."},{"id":6,"translation":"Nebagamba (abakaafiiri) nti owange ggwe eyassibwako ekijjukiza (Kur’ani) mazima ddala ggwe oli mulalu."},{"id":7,"translation":"Waakiri singa otuleetera ba Malayika bwoba nga oli mu boogera amazima."},{"id":8,"translation":"(Katonda naagamba) nti: tetussa ba Malayika okugyako lwa nsonga n'olwekyo (singa twabaweereza ba Malayika) tebandibadde balindirizibwa."},{"id":9,"translation":"Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Kulaani) era mazima ffe tujja kugikuuma."},{"id":10,"translation":"Mazima nga tonnajja twatumira ebibiina ebyakulembera."},{"id":11,"translation":"Era tewali mubaka yenna eyabajjira okugyako baamujeejanga."},{"id":12,"translation":"(Nga bwe twayingiza obukaafiiri mu mitima gya bakaafiiri abaakulembera) bwe tutyo bwe tubuyingiza mu mitima gy'aboonoonyi (abo mu bantubo)."},{"id":13,"translation":"(Obubaka bwo) tebabukkiriza ate nga ekyatuuka ku baabakulembera kimanyiddwa."},{"id":14,"translation":"Era singa twabaggulirawo omulyango mu ggulu nebaba nga balinnyira mu gwo (nga bwe bakka)."},{"id":15,"translation":"Baaligambye nti mazima amaaso gaffe gatamiiziddwa si nakindi ffe tuli bantu abaloge."},{"id":16,"translation":"Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi."},{"id":17,"translation":"Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda."},{"id":18,"translation":"Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde."},{"id":19,"translation":"N’ensi twagigaziya, netugisimbamu enkondo (ensozi), netumeza mu yo buli kintu nga kya kigero."},{"id":20,"translation":"Netubateera (mmwe) mu yo ebiyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'ebiyimirizaawo obulamu bw'ebyo bye mutaliisa."},{"id":21,"translation":"Tewali kintu kyonna okugyako nga ffe tulina amawanika g'akyo ate tetubissa okugyako nga kigero ekisaliddwawo."},{"id":22,"translation":"Era tusindika empewo eyamba ebire okubaamu amazzi, olwo nno netussa enkuba okuva waggulu, netubanywekereza nayo mmwe, so nga si mmwe muba mugaterese."},{"id":23,"translation":"Era mazima ffe tuwa obulamu, era netutta era ffe tugenda okusigalawo."},{"id":24,"translation":"Era mazima ddala twamanya abalisooka mu mmwe (okufa) era mazima twamanya abalisembayo."},{"id":25,"translation":"Era mazima Mukama omulabiriziwo yaali bakunganya (ku lunaku lw'enkomerero) anti mazima yye mugoba nsonga, muyitirivu wa kumanya."},{"id":26,"translation":"Mazima twakola omuntu (Adam) mu bbumba ettabule nga liddugavu."},{"id":27,"translation":"N'amajjini twagatonda oluberyeberye mu muliro omuyitirivu ogwokya ennyo."},{"id":28,"translation":"Jjukira ggwe (Nabbi Muhammadi) Mukama omulabiriziwo bwe yagamba ba Malayika nti: mazima nja kutonda omuntu nga muggya mu bbumba ekkaze."},{"id":29,"translation":"Bwe nnaamala okukola engeri nga bwanabeera era nemmufuuwamu omwoyo oguva gyendi, kale mubutame nga mumuvunnamira."},{"id":30,"translation":"Olwo nno ba Malayika bonna nga bali wamu baavunnama."},{"id":31,"translation":"Okugyako Ibuliisu yagaana okubeera mu bavunnama."},{"id":32,"translation":"(Katonda) kwe kugamba nti: owange ggwe Ibuliisu ki ekikugaanye okuvunnama n'abavunnami."},{"id":33,"translation":"(Ibuliisu) nti: sandibadde avunnamira omuntu, gwotonze nga omuggya mu bbumba ekkaze eriddugavu."},{"id":34,"translation":"(Katonda) naagamba nti: kale gifulume (ejjana) mazima ggwe ogobeddwa (era oli mukolimire)."},{"id":35,"translation":"Era mazima ekikolimo kibeere ku ggwe okutuusiza ddala olunaku lw'okubalibwa."},{"id":36,"translation":"(Ibliis) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa."},{"id":37,"translation":"(Katonda) naagamba nti: mazima ggwe oli mu balindiriziddwa."},{"id":38,"translation":"Okutuuka ku lunaku olw'ekiseera ekimanyiddwa."},{"id":39,"translation":"(Ibuliisu) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nga bwombuzizza, mazima nja kubawundira kuno ku nsi (obujeemu n'ebibi bibe nga by'ebirungi mu maaso gaabwe) era nja kubabuliza ddala bonna."},{"id":40,"translation":"Okugyako abaddu bo abalondobemu mu bo."},{"id":41,"translation":"(Allah) naagamba nti lino kkubo ggolokofu."},{"id":42,"translation":"Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza, mpozzi abo abakugoberera mu babuze."},{"id":43,"translation":"Era mazima omuliro Jahannama gwabalagaanyisibwa bonna."},{"id":44,"translation":"Gulina emiryango musanvu, buli mulyango gulina mu omuteeko ogwagugerekerwa."},{"id":45,"translation":"Mazima abatya Katonda balibeera mu masamba nga mulimu n'ensulo za mazzi."},{"id":46,"translation":"(Baligambibwa) nti mugiyingire nga muli mirembe nga temulina kutya kwonna."},{"id":47,"translation":"Netujjawo buli kakuku akali mu bifuba byabwe nebaba ab'oluganda. Olwo nno nga bali ku bitanda nga batunuuliganye (banyumya)."},{"id":48,"translation":"Tebagenda kutuukibwako kukoowa era nga bwe batagenda kufulumizibwamu."},{"id":49,"translation":"Tegeeza abaddu bange nti nze musonyiyi ennyo omusaasizi."},{"id":50,"translation":"Era nti mazima ebibonerezo byange by'ebibonerezo ebiruma ennyo."},{"id":51,"translation":"Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim."},{"id":52,"translation":"Mu kiseera bwe baayingira we yali nebagamba nti mirembe (Salaamu) naagamba (Ibrahim) mazima ffe tubatidde."},{"id":53,"translation":"Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo."},{"id":54,"translation":"(Ibrahim) naagamba nti: mumpa amawulire ag'essanyu nga n'obukadde bumaze okunzingiza olwo mawulire ga ssanyu nnabaki?."},{"id":55,"translation":"Nebagamba nti, tukuwadde amawulire ag'essanyu mu bwesimbu, tobeeranga mu bakutuka n'okusuubira."},{"id":56,"translation":"Naagamba nti nga ani akutuka n'okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe mpozzi ababuze!."},{"id":57,"translation":"Naagamba nti kiki ekibaleese abange mmwe abatumiddwa?."},{"id":58,"translation":"Nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa eri abantu abonoonyi."},{"id":59,"translation":"Ng'oggyeko abenju ya Luutu mazima ddala ffe bonna tujja kubawonya."},{"id":60,"translation":"Okugyako mukyalawe, twakisalawo nti mazima yye waakubeera mu abo abataligenda (naye)."},{"id":61,"translation":"Ababaka bwe baatuuka awali abantu ba (Nabbi) Luutu."},{"id":62,"translation":"(Luutu) naagamba nti mazima mmwe muli abantu abatamanyidddwa."},{"id":63,"translation":"Nebagamba nti: ssi ekyo kyokka wabula tukujjidde n'ekyo kye baali babuusabuusa."},{"id":64,"translation":"Era tukuleetedde amazima, era ddala ffe bye twogera bituufu."},{"id":65,"translation":"Kale tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro era (ggwe) baveeko emabega tewaba omu ku mmwe akyuka, era mugende eyo gye mulagiddwa."},{"id":66,"translation":"Netumuwa ekiragiro nti abasembayo ku bo baakuggwawo nga busaasaana."},{"id":67,"translation":"Abantu bo mu kibuga nebajja (ewa Luutu) nga bafa essanyu (olw'abagenyi abavubuka abaali bakyaddeyo)."},{"id":68,"translation":"(Luutu) naagamba nti mazima abo bemulaba bagenyi bange temunsonyiwaza."},{"id":69,"translation":"Era mutye Katonda temunswaza."},{"id":70,"translation":"Nebagamba nti: abaffe tetwakugaana (okuleeta wano) abantu!."},{"id":71,"translation":"Naabagamba nti bawala bange baabo bwe muba nga mulina kukikola."},{"id":72,"translation":"(Katonda agamba nti) ndayidde obulamu bwo (ggwe Muhammad) mazima bo mu kukola ebyo byonna, baali babuyaanira mu butamiivu bwabwe."},{"id":73,"translation":"Okubwatuka (okwamaanyi) nekubatuukako nga enjuba evaayo."},{"id":74,"translation":"Netuvuunika ebyalo byabwe netuzza waggulu waabyo wansi, netubafukirira amayinja ag'o mu bbumba eryokye."},{"id":75,"translation":"Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abo abalondoozi b'obubonero."},{"id":76,"translation":"Era mazima ebyalo ebyo (ebyazikirizibwa) biri ku kkubo erikyaliwo (agendayo asobola okubiraba)."},{"id":77,"translation":"Mazima mu ebyo mulimu akabonero (akalaga obusobozi bwa Katonda) eri abakkiriza."},{"id":78,"translation":"Era mazima n'abantu b'omukibira baali beeyisa bubi."},{"id":79,"translation":"Netubazikiriza era mazima abantu ab'emirundi ebiri (aba Luutu ne Swaibu) baali ku kkubo erimanyiddwa (buli ayitawo alabawo)."},{"id":80,"translation":"Mazima abantu be Hijiri baalimbisa ababaka (bwe baalimbisa Nabbi Swaleh)."},{"id":81,"translation":"Era netubaleetera obubonero bwaffe naye nebabwawukanako."},{"id":82,"translation":"Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe."},{"id":83,"translation":"Okubwatuka nekubakwata nga bukya."},{"id":84,"translation":"Ebyo bye baakolanga tebyabayamba."},{"id":85,"translation":"Era tetwatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi okugyako ku lwakigendererwa, era nti mazima essaawa esembayo ejja kutuuka, kale nno lekera olulekera olulungi."},{"id":86,"translation":"Mazima Mukama omulabiriziwo yye ye mutonzi amanyi ennyo."},{"id":87,"translation":"Era mazima twakuwa ayaa omusanvu eziddinganwa (Surat Al Fatiha) ne Kur’ani ey'ekitiibwa (yonna)."},{"id":88,"translation":"Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza."},{"id":89,"translation":"Era bagambe nti mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu."},{"id":90,"translation":"Nga bwe twassa ku abo abagabanya (mu bubaka bwa Katonda)."},{"id":91,"translation":"Abo abafuula Kulaani ebiwayi."},{"id":92,"translation":"Ndayira Mukama omulabiriziwo nti mazima bonna tugenda kubabuuliza ddala."},{"id":93,"translation":"Ku ebyo bye baakolanga."},{"id":94,"translation":"Kale yogera mu lwatu ekyo ekikulagirwa, era oyawukane ku bagatta ku Katonda ebintu ebirala."},{"id":95,"translation":"Mazima ffe twakumalira abajeeja."},{"id":96,"translation":"Abo abassa ku Katonda ebintu ebirara ne babisinza ne nebwebuliba ddi balimanya."},{"id":97,"translation":"Tumanyidde ddala nti mazima ggwe ekifuba kyo kifunda olw'ebyo bye boogera."},{"id":98,"translation":"(Ggwe ky'oba okola) tendereza ebitendo bya Mukama omulabiriziwo era obeere mu bavunnama."},{"id":99,"translation":"Era sinza Mukama omulabiriziwo okutuusa obukakafu (okufa) lwe bulikujjira."}]},{"id":16,"verses":[{"id":1,"translation":"Ekiragiro kya Katonda kisembedde n'olwekyo temusaba kwanguwa kwakyo, (Katonda) yasukkuluma neyeesamba ku ebyo bye bamugattako."},{"id":2,"translation":"Assa ba Malayika nga baleeta obubaka ku lw'ekiragirokye ku oyo gwaba ayagadde mu baddube, mutiise (abantu nga mubagamba nti), mazima tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako nze kale nno muntye."},{"id":3,"translation":"Yatonda eggulu omusanvu n'ensi lwa nsonga, musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako."},{"id":4,"translation":"Yatonda omuntu nga amuggya mu mazzi agazaala, (bwakula) naafuuka omukaayanye ow'olwatu."},{"id":5,"translation":"N’ebisolo ebirundibwa yabibatondera mufune mu byo okubuguma, n'emigaso (emirala) nga era kwe mulya."},{"id":6,"translation":"Era mulina mu byo okunyumirwa mu kiseera wemubiggyirayo ne mu kiseera wemubitwalirayo (ku ttale)."},{"id":7,"translation":"(Nga ebisolo ebimu) byetikka emigugu gya mmwe okugitwala eri ekitundu gye mutandituuse okugyako mu buzibu obw'ekitalo, mazima bulijjo Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa nnyo wa kisa."},{"id":8,"translation":"Era (yatonda) enfalaasi, n'e nyumbu n'endogoyi mube nga mubyebagala era nga bya kubasanyusa, era atonda ne bye mutamanyi."},{"id":9,"translation":"Katonda y'alaga ekkubo ettuufu, ate amakubo agamu makyamu, singa yali ayagadde mwenna yandibalungamizza."},{"id":10,"translation":"Yye yooyo abatonnyeseza enkuba okuva waggulu, ku nkuba eyo kwe munywa, era ku nkuba eyo emiti kwe gimerera nga ku gyo kwe muliisa ensolo za mmwe."},{"id":11,"translation":"Abamereza nayo ebirimwa ne Zaituni n'emitende ne nzabibu nabuli bibala byonna, mazima mu ekyo mulimu akabonero (akalaga obuyinza) bwa Katonda eri abantu abafumiitiriza."},{"id":12,"translation":"Era yabagondeza ekiro n'emisana era enjuba n'omwezi n'emmunyeenye byonna byagonzebwa (bitambulira) ku kiragiro kye. Mazima mu ebyo byonna mulimu obubonero eri abantu abategeera."},{"id":13,"translation":"N’ebyo bye yabateera mu nsi nga amabala g'abyo tegafaanagana, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abejjukanya."},{"id":14,"translation":"Era yye, yooyo eyagonza enyanja mube nga mulya muyo ennyama (ebyenyanja) ebibisi era muggye mu yo eby'okwewunda bye mwambala. Ogenda noolaba amaato nga gakola ekkubo muyo, olwo nno musobole okugenda okunoonya ebigabwabye (Katonda), era kibasobozese okwebaza."},{"id":15,"translation":"Era yassa mu nsi enkondo (ensozi) ereme kubayuuza, era nassaamu emigga, n'amakubo musobole okulungama."},{"id":16,"translation":"Era naateeka (mu nsi) obubonero, okwo nno bwogattako emmunyeenye basobole okumanya gye balaga."},{"id":17,"translation":"Abange Oyo atonda ayinza okuba nga oyo atatonda! abaffe temujjukira."},{"id":18,"translation":"Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi."},{"id":19,"translation":"Era Katonda amanyi bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu."},{"id":20,"translation":"Era abo bebasaba nebaleka Katonda tebasobola kutonda kintu kyonna ate nga bo batondebwa butondebwa."},{"id":21,"translation":"(Bebasaba) bafu ssi balamu era tebamanyi ddi lwe balizuukizibwa."},{"id":22,"translation":"Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero emitima gyabwe gikiwakanya era nga bo beekuza."},{"id":23,"translation":"Tewali kubuusabuusa mazima Katonda amanyi bye bakweka ne bye bakola mu lwatu, era mazima yye tayagala beekuza."},{"id":24,"translation":"Bwe baba bagambiddwa nti Mukama omulabirizi wa mmwe kiki kyassizza bagamba nti nfumo za baasooka."},{"id":25,"translation":"Olwo nno balyoke beetikke ebibi bya bwe mu bujjuvu ku lunaku lw'enkomerero, era beetikke ne ku bibi bya abo be baabuza awatali kumanya, abange kibi kye beetikka."},{"id":26,"translation":"Ab’abakulembera baakola enkwe, Katonda naasitula ebizimbe byabwe nga asinziira ku musingi akasolya nekabagwira waggulu waabwe ebibonerezo nebibajjira okuva webatasuubira."},{"id":27,"translation":"Oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero agenda kubaswaza, era agambe nti baliwa bannange abo bemwayawukanangamu, baligamba abo abaaweebwa okumanya nti mazima obuswavu ne nnaku olwa leero bigenda kubeera ku bakaafiiri."},{"id":28,"translation":"Abo ba Malayika bebatuusa ku ntuuko zaabwe nga bakyeyisa bubi olwo nno nebalangirira okukkiriza Katonda (nga bwe bagamba nti) tetukolanga kibi kyonna. Nedda mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye mwakolanga."},{"id":29,"translation":"Kale muyingire emiryango gyo muliro Jahannama mugenda kutuula mu gwo obugenderevu. Obuddo bwa beekuza bubi."},{"id":30,"translation":"Abo abatya Katonda bwe baba bagambiddwa nti Mukama omulabirizi wa mmwe kiki kyassizza bagamba nti bulungi bwereere, abo abakola obulungi mu nsi muno bateekwa kusasulwa bulungi ra e nyumba ey'enkomerero ye nnungi, era nga kyengera kinene okuba nga y’enyumba y'abatya Katonda."},{"id":31,"translation":"E jjana ey'olubeerera gye baliyingira, nga emigga gikulukutira wansi waayo nga bali mu yo balifuna ebyo bye beetaaga. Bwatyo Katonda bwasasula abamutya."},{"id":32,"translation":"Abo ba Malayika bebatusaako entuuko zaabwe nga balungi, nga bagamba nti emirembe gibeere ku mmwe muyingire ejjana olw'ebyo bye mwakola."},{"id":33,"translation":"Abaffe balina kye balinda mpozzi ba Malayika okubajjira oba nekijja ekyo Mukama omulabiriziwo kye yasalawo bwe batyo abaaliwo oluberyeberye lwabwe bwe baakola era Katonda teyabayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi."},{"id":34,"translation":"Obubi bw'ebyo bye baakola nebubatuukako era bye baali bajeeja nebibeetoloola."},{"id":35,"translation":"Abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala baagamba singa Katonda yayagala ffe wadde bakadde baffe tetwandisinzizza kintu kirala netulekayo yye, era tetwandizizizza kintu kyonna kyataaziza, mu ngeri y'emu abaaliwo oluberyeberye lwabwe baakola batyo, abaffe ababaka baali balina kye bavunaanyizibwa okugyako okutuukiriza obubaka mu ngeri ennyinyonnyofu."},{"id":36,"translation":"Mazima buli bantu twabatumira omubaka (nga agamba) nti musinze Katonda mwewale ebisinzibwa ebirala byonna, mu bo mulimu Katonda be yalungamya, nga era mu bo mulimu abo abaakakatibwako okubula, kale mutambule mu nsi, mulabe enkomerero y'abalimbisa nga bwe yali."},{"id":37,"translation":"Bwoba olulunkanira kulungama kwa bwe, mazima Katonda tayinza kulungamya gwe yabuza, ate tebagenda kufuna wa kubadduukirira."},{"id":38,"translation":"Era balayira Katonda nga bakakasa ebirayiro byabwe nti, Katonda tagenda kuzuukiza oyo afudde, nedda eyo ndagaano ku ye gye yeekakasaako edda (nti agenda kukikola) naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi (nti agenda kubazuukiza)."},{"id":39,"translation":"Olwo nno abannyonnyole ekyo kye baawukanamu era abo abaakaafuwala babe nga bamanya nti mazima bbo baali balimba."},{"id":40,"translation":"Mazima ekigambo kyaffe eri ekintu bwe tuba tukyagadde (kibeerewo) tukigamba nti ba nekiba."},{"id":41,"translation":"Abo abaasenguka ku lwa Katonda oluvanyuma lw'okuyisibwa obubi tujja ku batuuza mu nsi mu bifo ebirungi, naye nga empeera y'olunaku lw'enkomerero yeesinga obunene singa baali bamanyi."},{"id":42,"translation":"(Bo) beebo abagumiikiriza era nga Mukama omulabirizi waabwe gwe beekwasa."},{"id":43,"translation":"Tetutumanga oluberyeberyelwo okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze ba nannyini kumanya bwe muba nga temumanyi."},{"id":44,"translation":"(Tubatuma nga tubawa) obujulizi obweyolefu n'ebitabo, era twassa ku ggwe ekyokujjukiza osobole okunnyonnyola abantu ekyo ekyassibwa gye baali olwo babe nga beefumiitiriza."},{"id":45,"translation":"Abo abakola enkwe, balina obwesige okuba nga Katonda tabaseeterezaako nsi oba ebibonerezo okubajjira nga biva gye batamanyi!."},{"id":46,"translation":"(Oba Katonda) naabakwata nga bali mu kwetala kwa bwe (nga bakola emirimu) nga ate tebayinza kulemesa."},{"id":47,"translation":"Oba naabakwata nga bali mu kutya (nti essaawa yonna ebibonerezo bibatuukako). Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa wa kisa."},{"id":48,"translation":"Abaffe tebatunuulira ne balaba ebintu Katonda bye yatonda, ebisiikirize byabyo engeri gye bikyukamu ku ddyo ne ku kkono nga bivunnamira Katonda era nga bimugondera."},{"id":49,"translation":"Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi gwe bivunnamira, kabibe ebitambula ku nsi, ne ba Malayika, era byonna tebyekuza."},{"id":50,"translation":"Batya Mukama omulabirizi waabwe ali waggulu waabwe era bakola buli ekibalagirwa."},{"id":51,"translation":"Katonda agamba nti temugunjawo ba katonda ababiri, mazima yye ali Katonda omu kale nno nze nzekka gwe muba mutya."},{"id":52,"translation":"Era bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi era yekka yaateekwa okugonderwa, ngeriki bwe muyinza okutya atali Katonda!."},{"id":53,"translation":"Buli kyengera kyonna kye mulina kiva eri Katonda, oluvanyuma akabi bwe kabatuukako gy'ali gye musaba okuyambibwa."},{"id":54,"translation":"Ate bwabajjako obuzibu ogenda okulaba nga ekitundu ku mmwe bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe."},{"id":55,"translation":"Nebawakanya bye twabawa kale mweyagale kyaddaaki mujja kumanya."},{"id":56,"translation":"Ebyo bye batamanyi (amasanamu) babiwa omugabo ku ebyo bye tubawa, ndayidde Katonda ddala mugenda kubuuzibwa ku ebyo bye mugunjaawo."},{"id":57,"translation":"Nebateerawo Katonda abaana ab'obuwala, Katonda musukkulumu ku ekyo bo nebeewa be baagala (abalenzi)."},{"id":58,"translation":"so nga ate omu ku bo bwe bamuwa amawulire ag'okufuna omwana omuwala ekyenyikye kifuuka era n'aba munyikaavu."},{"id":59,"translation":"Nga yeekweka abantu olw'amawulire amabi agamutuuseeko, (nga alowooza eky'okukola) amale gabeera n'ekibi ekyo mu buswavu oba amuziike mu ttaka. Abange kibi ekyo kye baasalangawo."},{"id":60,"translation":"Abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero bakubirwako ekifaananyi ekisinga okuba ekibi, (mu bukaafiiri n'obutamanya) so nga ye Katonda alina ebitendo ebisukkulumu, era nga ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga."},{"id":61,"translation":"Singa Katonda yali asasulirawo abantu olw'okweyisa kwabwe obubi, teyaalirese ku nsi kitambula kyonna wabula abalindiriza okutuuka ku kiseera kyabwe ekigere, olwo nno ekiseera kyabwe ekigere bwe kiba kimaze okutuuka tebayinza kusaba nekyongezebwayo nga bwe batayinza kusaba nekireetebwa mangu."},{"id":62,"translation":"(Era abo abatakkiriza) bateeka ku Katonda ekyo bbo kye batamwa, ennimi zaabwe zoogera eby'obulimba (mbu) balina obulungi (ewa Katonda), tewali kubuusabuusa nti mazima bo baakusasulwa muliro, era ddala bo baakulekebwa mu muliro."},{"id":63,"translation":"Ndayira Katonda, mazima twatumira abantu abaaliwo oluberyeberyelwo (Ggwe Muhammad), ate Sitane naabawundira ebibi bye bakola, kale nno olwa leero abeere munnaabwe, era baakussibwako ebibonerezo ebiruma."},{"id":64,"translation":"Tetwakussaako kitabo (kino) wabula lwa kukusobozesa kubannyonnyola ekyo kye baawukanamu, era nga (Kur’ani) bulungamu era nga kusaasira eri abantu abakkiriza."},{"id":65,"translation":"Era Katonda yassa enkuba okuva waggulu naawa nayo ettaka obulamu, oluvanyuma lw'okukala kwalyo, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abawulira (nebategeera)."},{"id":66,"translation":"Mazima mulina eky'okuyiga mu bisolo ebirundibwa, tubanywesa ku ebyo ebiri munda wa'byo, amata ameereere nga gava wakati w'obusa n'omusaayi agawoomera abanywi."},{"id":67,"translation":"Era ne mu bibala by'emitende ne Nzabibu mwekoleramu eby'okunywa era nemufunamu n'ebyokulya ebirungi. Mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abategeera."},{"id":68,"translation":"Era Mukama omulabiriziwo yatumira enjuki nti mukole mu nsozi amayumba (emizinga), ne mu miti ne mu ebyo bye babazimbira."},{"id":69,"translation":"Olwo nno (wanjuki), lya ku buli kibala, nga bwogoberera enkola ya Mukama omulabiriziwo gye yasalawo ogoberere, (enjuki bwe zikola zityo) mu mbuto zaazo muvaamu ekyokunywa eky'amabala agenjawulo nga mulimu okuwonya abantu, mazima mu ekyo mulimu akabonereo eri abantu abafumiititiza."},{"id":70,"translation":"Era Katonda yeeyabatonda oluvanyuma y’abatta, era mu mmwe mulimu abazzibwa eri obulamu obusinga okuba obwa wansi, olwo nno (omuntu) atuuke okuba nga takyamanyi kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nti yali amanyi. Mazima Katonda amanyi nnyo muyinza."},{"id":71,"translation":"Era Katonda yasukkulumya abamu mu mmwe ku balala mu by'enfuna, abo abaasukkulumizibwa ku balala tebaddiza ku bya nfuna bya bwe eri abo bebafuga, olwo nno babe nga bonna benkanankana, abaffe ate olwo ebyengera bya Katonda bye bawakanya!."},{"id":72,"translation":"Era Katonda yabateerawo be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe era naabateerawo nga aggya mu bemufumbiriganwa nabo abaana n'abazzukulu, era naabagabira nga aggya mu birungi, abaffe ebitali bituufu bye bakkiriza ate ebyengera bya Katonda bo bye bawakanya!."},{"id":73,"translation":"Nebatuuka okusinza ebitali Katonda, ebitalina buyinza bwonna ku Riziki yaabwe okuva mu ggulu omusanvu n'ensi, era nga tebiyinza kukisobola."},{"id":74,"translation":"Kale nno Katonda temumu kubirangako bifaananyi, anti mazima Katonda amanyi ate mmwe temumanyi."},{"id":75,"translation":"Katonda yakuba ekifaananyi eky'omuntu omufuge nga talina kintu kyonna kyasobola, n'ekifaananyi ekirala eky'oyo gwe tugabirira okuva gye tuli e riziki ennungi, nga naye (omuddu oyo) agaba ku yo mu kyama n'olwatu abaffe benkana?. Ebitendo byonna bya Katonda, wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi."},{"id":76,"translation":"Era Katonda yakuba ekifaananyi ekya basajja ababiri omu ku bo nga Kasiru nga tasobola kukola kintu kyonna, n'aba mugugu ku Mukamaawe, wonna waaba amutumye nga talina kirungi kyayinza kumugasa abaffe oyo yenkana n'omuntu alagira okukola obwenkanya ate nga ali ku kkubo eggolokofu."},{"id":77,"translation":"Katonda amanyi ebikusike mu ggulu omusanvu ne mu nsi, obwangu bw'okujja kw’olunaku lw'enkomerero tebuli okugyako nga olutemya lweriiso, oba kyo kyekisinga obwangu, anti mazima Katonda ku buli kintu muyinza."},{"id":78,"translation":"Era Katonda yabagya mu mbuto za bannyamwe nga temulina kyemumanyi, naabawa amatu, n'amaaso, n'emitima mube nga mwebaza."},{"id":79,"translation":"Abaffe tebatunuulira ebinyonyi nga byagondezebwa (okubuuka) waggulu mubbanga tewali abiwanirira okugyako Katonda. Mazima mwekyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza."},{"id":80,"translation":"Era Katonda yabateerawo mu mayumba gammwe obuwummuliro, era naabateerawo mu maliba gebisolo amayumba agabanguyira lwe muba mutambudde ne lwe muba temutambudde, ate nabaggira mu byoya bye ndiga ne bye ngamiya ne mu bye mbuzi ebyokukozesa era nga byakweyagala kwa mmwe okumala akabanga."},{"id":81,"translation":"Era Katonda yabateerawo ebisiikirize nga bikolebwa ebimu ku ebyo bye yatonda era naabateera mu nsozi empuku (wemwekukuma) era naabateerawo ebyambalo ebibajuna ku bbugumu n'ebyambalo (ebirala) ebibakuuma mu ntalo zammwe bwatyo bwajjuliza ebyengerabye ku mmwe kibayambe okukkiriza."},{"id":82,"translation":"Naye bwe bava ku ekyo mazima kyoteekwa okukola kwe kutuusa obubaka mu bunnyonnyofu."},{"id":83,"translation":"Bamanya ebyengera bya Katonda, naye nebabiwakanya, era abasinga obungi mu bo bakaafiiri."},{"id":84,"translation":"(Bajjukize) olunaku lwe tulizuukiza mu buli kibiina omujulizi, oluvanyuma abo abaakaafuwala tebagenda kukkirizibwa kwetonda, nga era bwe batagenda kusabibwa kwemenya."},{"id":85,"translation":"Abo abeeyisa obubi kebaliraba ku bibonerezo tebigenda kukendezebwa ku bo era tebagenda kulindirizibwa."},{"id":86,"translation":"Abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala bwe baliraba ebyo bye baamugattangako, baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe abo be bannaffe betwasabanga gwe netukuvaako, nebabaddiza ekigambo nti, mazima mmwe muli balimba."},{"id":87,"translation":"Olunaku olwo bagenda kulangirira okwewaayo ewa Katonda era bigenda kubabulako ebyo bye bagunjawo."},{"id":88,"translation":"Abo abaakaafuwala nebalemesa abantu okuweereza mu kkubo lya Katonda, tugenda kubongera ebibonerezo waggulu w'ebibonerezo ku lw'ebyo bye baayonoonanga."},{"id":89,"translation":"Era bajjukize olunaku lwe tulizuukiza mu buli bantu oyo alibawaako obujulizi nga ava mu bo bennyini ate ggwe netukuleeta nga owa obujulizi ku abo, era twakussaako ekitabo nga kinnyonnyola buli kintu era nga bulungamu, era nga kusaasira, era nga mawulire ag'essanyu eri abasiraamu."},{"id":90,"translation":"Mazima Katonda alagira obwenkanya, n'okuyisa, obulungi n'okugabira ab'oluganda olw'okumpi. Era aziza eby'obuwemu n'empisa embi n'okwewaggula ababuulirira mube nga mujjukira."},{"id":91,"translation":"Era mutuukirize endagaano ya Katonda, era temumenyanga ebirayiro oluvanyuma lw'okubinyweza, nga ate Katonda gwe mwafuula omweyimirize wa mmwe. Bulijjo mazima Katonda amanyi byonna bye mukola."},{"id":92,"translation":"Temubeera nga omukazi oyo eyataggululanga byatunze nebifuuka obulere oluvanyuma lw'okubinyweza, nga mufuula ebirayiro bya mmwe enkwe wakati wa mmwe olw'okuba nti abantu abamu bo bagagga okusinga abalala,mazima (eby'obugagga) Katonda abagezesa nabyo bugezesa era ku lunaku lw'enkomerero agenda kubannyonnyolera ddala bye mwali mwawukanamu."},{"id":93,"translation":"Singa Katonda yayagala yandibafudde ekibiina kimu, naye abuza oyo gwaba ayagadde era nalungamya oyo gwaba ayagadde, era ddala mugenda kubuuzibwa ebyo bye mwakolanga."},{"id":94,"translation":"Temufuulanga ebirayiro byammwe okukwenyakwenya wakati wammwe, olwo nno ekigere nekiserera oluvanyuma lw'okunywera kwakyo, era nemukomba ku bubi (bw'obusungu bwa Katonda), kulwokuziza kwa mmwe (abantu) ku kkubo lya Katonda era mugenda kutuusibwaako ebibonerezo ebiyitirivu."},{"id":95,"translation":"Endagaano ya Katonda temugitundanga omuwendo omutono, mazima ebiri ewa Katonda bye birungi gye muli, bwe muba nga mumanyi."},{"id":96,"translation":"Byemulina biggwawo ate ebiri ewa Katonda bya kusigalawo, abo abagumiikiriza tugenda kubasasulira ddala empeera yaabwe nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw'ebyo bye baakolanga."},{"id":97,"translation":"Oyo yenna akola omulimu omulingi, kaabe musajja oba mukazi, nga naye mukkiriza, tugenda kumuwangaliza ddala mu bulamu obulungi era tugenda kubasasula empeera yaabwe nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw'ebyo bye baakolanga."},{"id":98,"translation":"Buli lwoyagala okusoma Kur’ani saba Katonda akukuume ku Sitane eyafulumizibwa (mu kusaasira kwa Katonda)"},{"id":99,"translation":"Mazima ye (Sitane) talina buyinza ku abo abakkiriza era nga Mukama omulabirizi waabwe gwe beekwasa."},{"id":100,"translation":"Mazima obuyinzabwe buli ku abo abamwewa, era n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala."},{"id":101,"translation":"Bwetukyusa aya mu kifo kya aya endala, era nga Katonda yamanyi ebyo byassa, bagamba nti mazima ggwe obyeyiyiza naye (ekituufu) abasinga obungi mu bo tebamanyi."},{"id":102,"translation":"Gamba nti yagissa (Kur’ani) mu bwesimbu mwoyo mutukuvu (Jiburilu) nga ajijja ewa Mukama omulabiriziwo, olwo nno alyoke anyweze abo abakkiriza era (Kur’ani) bulungamu n'amawulire ga ssanyu eri abasiraamu."},{"id":103,"translation":"Mazima tukimanyi nti bo bagamba nti ddala amuyigiriza muntu (ekyo kyabulimba) anti olulimi lw'oyo gwebemulugunyako nti yamuyigiriza si Ruwarabu ate nga eno Kur’ani eri mu lulimi oluwarabu olweyolefu."},{"id":104,"translation":"Mazima abo abatakkiriza bigambo bya Katonda, Katonda tabalungamya era baakutukibwako ebibonerezo ebiruma."},{"id":105,"translation":"Mazima abagunjawo obulimba beebo abatakkiriza bigambo bya Katonda era abo bo be balimba."},{"id":106,"translation":"Oyo yenna awakanya Katonda oluvanyuma lwokukkirizakwe (kagenda kumujjutuka), okugyako oyo akakiddwa naye nga omutima gwe gunyweredde ku bukkiriza, naye oyo ayanjuliriza obukaafiiri ekifubakye, abo baliko obusungu okuva eri Katonda, era balituusibwako ebibonerezo ebiyitirivu."},{"id":107,"translation":"Ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo baagala obulamu obw'ensi okusinga obw'enkomerero, era mazima Katonda talungamya bantu bakaafiiri."},{"id":108,"translation":"Abo beebo Katonda beyazibikira emitima gyabwe n'amatu gaabwe n'amaaso gaabwe era abo bo be batafaayo."},{"id":109,"translation":"Tewali kubuusabuusa mazima bo ku nkomerero be b'okufaafaaganirwa."},{"id":110,"translation":"Ate mazima Mukama omulabiriziwo ku nsonga y'abo abaasenguka oluvanyuma lw'okunyigirizibwa ate nebalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda era nebagumiikiriza, mazima Mukama omulabiriziwo oluvanyuma lw'ebyo musonyiyi musaasizi."},{"id":111,"translation":"Bajjukize olunaku omwoyo bwe gulijja nga gwerwanako gwokka, era buli mwoyo gugenda kusasulwa mu bujjuvu ekyo kye gwakola, era bo tebagenda kuyisibwa bubi."},{"id":112,"translation":"Era Katonda yakuba ekifaananyi ky'ekitundu ekyalina emirembe nga kitebenkedde, nga eby'okulya by'akyo bikijjira mu bungi, nga biva mu buli kifo, (ekitundu ekyo) nekiwakanya ebyengera bya Katonda, Katonda naakikombya ku kyambalo (kya nnawokeera) w'eenjala n'okutya, (ebyo byonna byabatuukako) olw'ebyo bye baakola."},{"id":113,"translation":"Era mazima omubaka yabajjira nga ava mu bo nebamulimbisa, ebibonerezo nebibatuukako nga bo bali mu kweyisa bubi."},{"id":114,"translation":"Kale mulye mu ebyo Katonda byabagabira kasita biba Halali nga ate birungi, era mwebaze ebyengera bya Katonda bwe muba nga ye yekka gwe musinza."},{"id":115,"translation":"Mazima yabaziyiza okulya ennyamanfu n'omusaayi n'ennyama ye mbizzi, nakyonna ekiba kisaliddwa ku lw'ekintu ekirala ekitali Katonda, naye oyo abeera mu bwetaavu nga takikola lwa jjoogo, era naatasukka ekitebereka (mu kulya) mazima ddala Katonda musonyiyi wa kisa."},{"id":116,"translation":"Temugambanga ebyo ennimi zammwe bye zoogera mu bulimba nti kino kiri Halali nakino kiri Haramu olw'okutemerera obulimba ku Katonda. Mazima abatemerera obulimba ku Katonda tebagenda kutuuka ku buwanguzi."},{"id":117,"translation":"Okwo kweyagala kutono era bagenda kutuukwako ebibonerezo ebiruma."},{"id":118,"translation":"Ate twaziza ku abo abagamba nti bayudaaya ebyo bye twakutegeeza oluberyeberye, si ffe twabayisa obubi bo bennyini be beeyisa obubi."},{"id":119,"translation":"Ate mazima Mukama omulabiriziwo ku bikwata ku abo abakola ebibi mu butamanya, ate nebeenenya oluvanyuma lw'ekyo, era nebakola ebirungi (Katonda abasonyiwa), anti mazima Mukama omulabiriziwo oluvanyuma lw'ebyo musonyiyi nnyo wa kisa."},{"id":120,"translation":"Mazima Ibrahim (ye, yekka) yali kibiina, nga mugonvu ku lwa Katonda, nga mwesimbu, tabeerangako mu bagatta ku Katonda bintu birala."},{"id":121,"translation":"Nga yeebaza ebyengera bye, yamwawula, era naamulungamya ku kkubo eggolokofu."},{"id":122,"translation":"Era twamuwa ku nsi ebirungi era mazima yye ku nkomerero agenda kubeera mu balongoofu."},{"id":123,"translation":"Oluvanyuma twakutumira (Ggwe Muhamad) nti goberera eddiini ya Ibrahim nga oli mwesimbu, era (Ibrahim) tabeerangako mu bagatta bintu birala ku Katonda."},{"id":124,"translation":"Mazima olw'omukaaga lwateerwawo abo abalwawukanamu, era mazima Mukama omulabiriziwo agenda kulamula wakati waabwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baayawukanamu."},{"id":125,"translation":"Kowoola (abantu) okudda eri ekkubo lya Mukama omulabiriziwo nga okozesa amagezi n'okubuulirira okulungi, nyonnyolagana nabo nga okozesa amakubo agasinga obulungi mazima Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya ebikwata ku oyo eyabula okuva ku kkubolye era yaasinga okumanya ebikwata ku balungamu."},{"id":126,"translation":"Bwe muba nga mubonereza mubonereze kyenkanyi ky'ekyo kye muba mubonerezebbwa nakyo, naye singa mugumiikiriza ekyo kye kisinga obulungi eri abagumiikiriza."},{"id":127,"translation":"Era gumiikiriza, okugumiikirizakwo tekuyinza kubaawo okugyako ku lwa Katonda, tobanakuwalira, era tobeera mu bulumi olw'enkwe ze bakola."},{"id":128,"translation":"Mazima Katonda ali wamu n'abo abamutya, era abo abalongoosa."}]},{"id":17,"verses":[{"id":1,"translation":"Yayawukana Oyo eyatambuza omuddu We ekiro okumuggya ku muzikiti ogw'emizizo (Makkah) n'agenda ku muzikiti ogusinga okuba ogw'ewala (Jerusalemu), ogwo ebitundu ebigwetoolodde bye twawa omukisa, olwo nno tumulage obumu ku bubonero Bwaffe. Mazima Yye (Katonda) Ye awulira ennyo alaba ennyo."},{"id":2,"translation":"Era twawa Musa Ekitabo era ne tukifuula eky'okulunngamya eri abaana ba Yisirayiri (nga mbagamba) nti nga oggyeko Nze temweteerangawo mukuumi mulala yenna."},{"id":3,"translation":"(Abange mmwe) ezzadde ly'abo be twatwala ne Nuuhu mu lyato (mubeere nga Nuuhu), mazima yye yali muddu eyeebaza."},{"id":4,"translation":"Era twasalawo ku baana ba Yisirayiri mu Kitabo nti mugenda kwonoonera ddala mu nsi emirundi ebiri, era mugenda kwekuluntaza olwekuluntaza oluyiritivu."},{"id":5,"translation":"Endagaano y'omulundi ogusooka Ku gyombi bw'erituuka, tugenda kubatumira abaddu Baffe ab'amaanyi amasuffu, bagenda kutuuka ku buli kanyomero ka mayumba, (nga batuusa obuzibu ku buli omu), era (eyo) n'eba nga ndagaano eteekwa okutuukirizibwa."},{"id":6,"translation":"Oluvannyuma twabaddiza mmwe amaanyi ku bo (ne mubawangula) era ne tubawa emmaali, n'abaana era ne tubafuula mmwe nga mmwe musinga obungi."},{"id":7,"translation":"(Ne tubagamba nti) bwe mulongoosa mulongooseza myoyo gyammwe, ate bwe mwonoona era gye mwonoonera, Endagaano y'Enkomerero bw'erijja (tulibasindikira abantu) boonoone ebyenyi byammwe (babakkakkanye) era bagenda kuyingira omuzikiti (Jerusalem) nga bwe baaguyingira omulundi ogwasooka, olwo nno bye baliba bawangudde babibetente olubetenta."},{"id":8,"translation":"Bwe muyisa obulungi kisoboka Mukama Omulabirizi Wammwe okubasaasira, naye bwe muddamu (okwonoona) Naffe nga tuddamu (okubabonereza)ate nga Omuliro Jahannama twagufuula ekkomera ly'abo abatakkiriza."},{"id":9,"translation":"Mazima Kulaani eno erunngamya eri ekkubo erisinga obugolokofu, era ewa Abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu amawulire ag'essanyu nti: mazima bo baakufuna empeera ensukkulumu."},{"id":10,"translation":"Era nti mazima ddala abo abatakkiriza Lunaku lwa Nkomerero twabategekera ebibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":11,"translation":"Omuntu (olw'ebizibu ebimutuukako) yeesabira ebibi nga bwe yandyesabidde ebirungi, anti bulijjo omuntu mupapi."},{"id":12,"translation":"Era twassaawo ekiro n'emisana, nga bubonero bubiri, olwo nno tuggyawo akabonero k'ekiro ne tussaawo akabonero k'emisana, ne kabasobozesa okulaba mulyoke musobole okumanya ebigabwa bya Mukama Omulabirizi Wammwe, era musobole okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, era buli kintu twakinnyonnyola olunnyonnyola olumala."},{"id":13,"translation":"Era buli muntu twamukakasaako emirimu gye mu nsingo ye, era ku Lunaku lw'Enkomerero tugenda kumuggyirayo ekitabo ky'alisanga nga kibikkule."},{"id":14,"translation":"Olwo nno aliragirwa nti soma ekitabo kyo, kimala bumazi okuba nti olwaleero ggwe wennyini ggwe ogenda okwebala."},{"id":15,"translation":"Oyo yenna alunngama alunngamira mwoyo gwe, ate abula omwoyo gwe gw'aba aleetedde obuzibu bw'okubula, tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kyonoono kya mwoyo mwonoonyi mulala, era tetusobola kubonereza okuggyako nga tusoose kutuma Mubaka."},{"id":16,"translation":"Bwe tuba twagadde okuzikiriza ekitundu kyonna (olw'obujeemu bwakyo) tulagira abali mu byengera (okweyisa obulungi) naye ate ne beeyisa bubi mu kyo, olwo nno ekigambo (eky'okubonerezebwa) ne kikikakatako, olwo nno ne tukisesebbula olusesebbula."},{"id":17,"translation":"Mirembe emeka gye twazikiriza oluvanyuma lwa Nuuhu (nga mingi!), Mukama Omulabirizi Wo amalira ddala ku bikwata ku bibonerezo by'abaddu be, okuba nti amanyidde ddala era alaba nnyo."},{"id":18,"translation":"Oyo ayagala eby'amangu (ensi) tumwanguyiza mu yo ekyo kye tuba twagadde si buli omu wabula oyo gwe tuba tusazeewo, oluvannyuma ne tumuteerawo Omuliro Jahannama agenda kugwesogga nga avumirirwa ate nga agobaganyizibwa (mu kusaasira kwa Katonda)."},{"id":19,"translation":"Ate omuntu ayagala Enkomerero era n'akola ebyetaagisa ku yo, era nga Mukkiriza, abo nno bye bakola byebazibwa."},{"id":20,"translation":"Buli bamu (abalungi n'ababi ku nsi) tuwa bano na bali okuva mu bigabwa bya Mukama Omulabirizi Wo. Okugaba kwa Mukama Omulabirizi Wo tekuliiko kkomo (ku muntu yenna kuno ku nsi)."},{"id":21,"translation":"Tunula olabe engeri gye twasukkulumya abamu ku balala, wabula enkomerero y'erimu amadaala agasinga obukulu era y'erimu okusinngana okusinga obulungi."},{"id":22,"translation":"Allah tomussangako ebisinbwa ebirala, olwo nno nekikufuula avumirirwa aboolebwa."},{"id":23,"translation":"Mukama Omulabirizi Wo yalagira okuba nga temusinza okuggyako Yye, Yekka. Era yalagira abazadde ababiri okubayisa obulungi, singa omu ku bo, oba bombi akaddiwa nga wooli, tobagambanga ekigambo eky'okubeenyinyala era tobaboggoleranga, yogera nabo ebigambo eby'ensa."},{"id":24,"translation":"Beetowalize era wekkakkanye gyebali olw'okubasaasira. Era gamba nti: ayi Mukama Omulabirizi Wange basaasire bombi nga bwe bandera nga ndi muto."},{"id":25,"translation":"Mukama Omulabirizi Wammwe, y'asinga okumanya ebyo ebiri mu myoyo gyammwe (byemukisa), bwe muba nga muli abalongoosa, bulijjo musonyiyi w'abo abamwemenyera."},{"id":26,"translation":"Ow'oluganda lwo ow'okumpi muwenga ekyo ky'oteekwa okumuwa, era owe omunaku n'omutambuze, naye todiibuuda obudiibuuzi."},{"id":27,"translation":"Mazima abadiibuuzi be bayambi ba Sitaane (mu bwonoonefu n'obujeemu). Ate bulijjo Sitaane mujeemu eri Mukama Omulabirizi We."},{"id":28,"translation":"Naye bw'obanga tobawadde (olw'ensonga yonna), naye ate nga oyagala era nga osuubira okusaasira kwa Mukama Omulabirizi Wo olwo nno bagambe ekigambo ekigonvu."},{"id":29,"translation":"Omukono gwo togufuulanga oguwanikiddwa ku nsingo yo (olw'obukodo), ate togwanjuluzanga n'ogumalayo (olw'okudiibuuda), n'ofuuka anenyezebwa atasigazizza."},{"id":30,"translation":"Mazima Mukama Omulabirizi Wo ayanjululiza obugabirizi oyo gw'aba ayagadde, n'awa mu ngeri y'empola (eri omulala) anti mazima Yye bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku baddu be era alaba."},{"id":31,"translation":"Era temuttanga abaana bammwe olw'okutya obwavu (okubalumba), Ffe tubagabira netugabira nammwe, mazima okubatta kibi nnyo."},{"id":32,"translation":"Era temusembereranga obwenzi, mazima bwo kikolwa kya buwemu era kkubo bbi."},{"id":33,"translation":"Era temuttanga omuntu oyo Allah gwe yaziza okutta okuggyako nga waliwo ensonga, era oyo yenna attibwa nga alangibwa bwereere mazima twawa nnannyini ye obuyinza (okutta eyatta omuntu we) wabula mu kutta tosaanye kusukka kikomo anti mazima yye (attiddwa) ataasibwa (n'etteeka)."},{"id":34,"translation":"Temusembereranga emmaali ya mulekwa, okuggyako olw'okugikolako ekyo ekisinga obulungi, okutuusa lw'asajjakula.Era mutuukirizenga endagaano, mazima endagaano ya kubuuzibwa."},{"id":35,"translation":"Era mutuukirizenga ebigero bye mugera era mupime n'ebipimo ebituufu, ekyo ky'ekirungi era kye kituusa ku nkomerero ennungi."},{"id":36,"translation":"Tewessanga ku kintu ky'otalinaako kumanya, mazima okuwulira, n'okulaba, n'omutima, buli kimu kw'ebyo byonna kigenda kubuuzibwa."},{"id":37,"translation":"Totambulanga mu nsi nga weeraga, mazima ggwe togenda kwabya ttaka era togenda kwenkana nsozi buwanvu."},{"id":38,"translation":"Ekibi kya buli kimu ku ebyo, kitamwa eri Mukama Omulabirizi Wo."},{"id":39,"translation":"Ebyo bye bimu ku ebyo Mukama Omulabirizi Wo by'assa gy'oli mu bigambo eby'amagezi, era tossanga ku Allah ebisinzibwa ebirala, n'okakatibwako okukasukibwa mu muliro Jahannama, ng'ovumirirwa era nga ogobaganyizibwa mu kusaasira kwa Katonda."},{"id":40,"translation":"(Abange mmwe abatakkiriza), Mukama Omulabirizi Wammwe yasalawo mmwe abawe abaana abalenzi ate Yye ne yeewa abawala mu ba Malayika?! Mazima mmwe mwogera ekigambo ekibi ennyo."},{"id":41,"translation":"Mazima twannyonnyola mu Kulaani eno buli kintu (eri abantu), babe nga bajjukira (beebuulirire), wabula tebongera okuggyako okwesamba (amazima)."},{"id":42,"translation":"Bagambe (ggwe Muhammadi) nti singa Katonda aliko ebisinzibwa ebirala nga bwe bagamba, olwo nno (ebisinzibwa ebyo) byandibadde byeetaaga ekkubo eribatuusa ewa (Katonda) Nnannyini Arishi."},{"id":43,"translation":"Yayawukana n'asukkuluma kw'ebyo bye bagamba olusukkuluma olusuffu."},{"id":44,"translation":"Eggulu omusanvu n'ensi n'ebirimu byonna bimutendereza era tewali kintu kyonna wabula nga kitendereza ebitendo bye naye temutegeera ntendereza ya byo, mazima Yye bulijjo alumirirwa Musonyiyi."},{"id":45,"translation":"Bw'osoma Kulaani, tussa wakati wo ne wakati w'abo abatakkiriza Lunaku lwa Nkomerero ekibikka ekitalabika."},{"id":46,"translation":"Era ne tuteeka ku mitima gyabwe ekibikka ekibagaana okubitegeera, ne tuteeka mu matu gaabwe envumbo, era bw'oyogera ku Mukama Omulabirizi Wo Yekka mu Kulaani, bakubayo amabega ne badduka."},{"id":47,"translation":"Ffe tumanyi ennyo lwaki bawuliriza bwe bajja okukuwuliriza, era tumanyi kye babaako mu nkiiko zaabwe ez'ekyama, mu kiseera awo abeeyisa obubi we bagambira nti mazima oyo gwe mugoberera talina kyali okuggyako okubeera omusajja omuloge."},{"id":48,"translation":"Tunula olabe engeri gye bakukubira ebifaananyi ne batuuka okubula ne batasobola kulaba kkubo (libazza eri mazima)."},{"id":49,"translation":"Era bagamba nti: bwe tulimala okubeera amagumba (amamerengufu) ne tufuuka obutundutundu obutakyayawulwa na ttaka, abaffe tulizuukizibwa nga tuli bitonde bipya?!"},{"id":50,"translation":"Gamba nti: kamube mayinja oba byuma (mujja kuzuukizibwa)."},{"id":51,"translation":"Oba mube ekitonde kyonna mu ebyo bye mulaba nga binene mu kutegeera kwammwe (era mujja kuzuukizikibwa) olwo nno bagamba nti ani alituzzaawo?Bagambe nti Oyo eyabatandikawo omulundi ogwasooka y'alibazzaawo, bajja kukunyeenyeza emitwe nga bwe bagamba nti kyo kyaddi?, bagambe nti ddala kiri kumpi."},{"id":52,"translation":"(Kigenda kubaawo) ku Lunaku lw'alibakoowoola ne mwanukula nga mumutendereza era mugenda kulowooza nti temwamala ku nsi okuggyako akaseera katono."},{"id":53,"translation":"Era gamba abaddu bange, babe nga boogera ebyo ebisinga okuba ebirungi. Mazima Sitaane atabula wakati waabwe anti mazima Sitaane mulabe wa muntu ow'olwatu."},{"id":54,"translation":"Katonda wa mmwe y'asinga okubamanya, bw'ayagala abasaasira, oba bw'aba ayagadde ababonereza era tetukutumanga kuba nga ggwe okukola ku nsonga zaabwe."},{"id":55,"translation":"Era Mukama Omulabirizi Wo y'asinga okumanya abo abali mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima twawa Bannabbi abamu enkizo ku bannaabwe, era twawa (Nnabbi) Dawuda Zabbuli."},{"id":56,"translation":"Bagambe nti: kale musabe abo bemulowooza nti be bakatonda abatali Yye, ate nga tebasobola kuggya ku mmwe kabi wadde (okukakyusa) okukazza ku mulala."},{"id":57,"translation":"Abo be basaba nabo banoonya ekkubo eribatuusa ewa Mukama Omulabirizi Waabwe, (kaakati) ku bonna ani ow'okumpi? Era baagala okusaasira kwe era batya ebibonerezo bye, mazima ebibonerezo bya Mukama Omulabirizi Wo biteekwa okwewalibwa."},{"id":58,"translation":"Tewali kitundu kyonna (ku nsi) okuggyako okuba nga tugenda kukisaanyaawo nga Olunaku lw'okuzuukira terunnatuuka oba tugenda kukibonereza ebibonerezo ebikakali. Ekyo kyawandiikibwa dda mu kitabo."},{"id":59,"translation":"Tewali kitugaana kuweereza by'amagero, okuggyako olw'okuba nti abaasooka baabirimbisa nga bwe twaleetera abantu ba Thamuudu enngamiya nga kyamagero eky'olwatu, ne bagiyisa bubi, era tewali kituweerezesa byamagero okuggyako okutiisa (abantu bave ku bujeemu)."},{"id":60,"translation":"Era jjukira bwe twakugamba nti mazima Mukama Omulabirizi Wo yeetoolodde abantu (abo, n'olwekyo tobatya) era ebyo bye twakubikkulira ne tubikulaga tetwabifuula okuggyako nga kigezo eri abantu, era mu ngeri y'emu omuti ogwakolimirwa mu Kulaane nakyo kigezo, era tubatiisa (nga tubabuulira) ebiribaawo ku Lunaku lw'Enkomerero naye tebibongera okuggyako okubula okuyitirivu."},{"id":61,"translation":"Era jjukira bwe twagamba Bamalayika nti muvunnamire Adamu, ne bavunnama okuggyako Ibuliisu eyagamba nti nvunnamire ntya oyo gwe watonda mu ttaka?!"},{"id":62,"translation":"Era (Sitaane) n'agamba nti: Ggwe bw'otyo bw'olabye nti oyo gw'onsukkulumizzaako singa onnindiriza (nemba mulamu) okutuuka ku Lunaku lw'Enkomerero nja kubuliza ddala ezzadde rye okuggyako abatono ennyo."},{"id":63,"translation":"(Katonda) n'agamba nti: Kale genda (ekyo nkikuwadde) naye buli alikugoberera mu bo mazima Jahannama y'empeera yammwe eribasasulwa mu bujjuvu."},{"id":64,"translation":"Era sikiriza n'eddoboozi ryo oyo yenna gw'oba osobodde mu bo, batabaale nga okozesa eggye ryo ery'embalaasi n'eritambuza ebigere okolagane nabo mu mmaali ne mu baana era obasuubize (buli ky'oyagala) wabula Sitaane tabalagaanyisa okuggyako ebiguumaaza."},{"id":65,"translation":"Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza era kimala okuba nga Mukama Omulabirizi Wo Ye Mukuumi."},{"id":66,"translation":"Mukama Katonda Wammwe Ye Oyo abatambuliza amaato ku nnyanja musobole okunoonya ebimu ku bigabwa bye, mazima Yye ku mmwe Musaasizi nnyo."},{"id":67,"translation":"Obuzibu bwe bubatuukako nga muli mu nnyanja olwo nno buli kye musaba nekivaawo okuggyako Yye, naye bw'abawonya ne mudda ku lukalu ate olwo ne mubivaako. Anti bulijjo omuntu mwegaanyi."},{"id":68,"translation":"Abaffe mulina obukakafu (Katonda) okuba nti tayinza kulagira ludda lwa nsi (gye mulaze) ne lubamira, oba n'abasindikira kibuyaga, ne mutasobola kufuna mukuumi yenna?!"},{"id":69,"translation":"Oba mulina obukakafu nti (Katonda) tayinza kubazzaayo mu yo (ennyanja) omulundi omulala, olwo nno n'abasindikira omuyaga olw'ebyo bye mwawakanya ate nga temuyinza kwefunirayo muntu yenna alondoola kye tubakoze."},{"id":70,"translation":"Mazima twawa abaana ba Adamu ekitiibwa ne tubatambuliza ku lukalu ne ku nnyanja, ne tubagabirira mu birungi, era ne tubasukkulumya olusukkulumya ku bangi mu abo be twatonda."},{"id":71,"translation":"(Bajjukize) Olunaku lwe tulikoowoola buli bantu nga tuyita linnya lya mukulembeze waabwe (mulungi oba mubi),oyo aliweebwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwaddyo abo nno bagenda kusoma ebitabo byabwe, era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde akantu akatono."},{"id":72,"translation":"Naye oyo yenna muzibe mu bulamu buno obw'ensi ku Lunaku lw'Enkomerero agenda kuba muzibe, era nga abuze nnyo okuva ku kkubo."},{"id":73,"translation":"Newaakubadde nga baabulako katono bakuwugule okuva ku Bubaka obwo bwe twakutumira ggwe (Nnabbi Muhammadi) obe nga ogunja ku Ffe ekintu ekirala ekitali bwo, era singa okola ekyo baalikufudde nfa-nfe waabwe."},{"id":74,"translation":"Era singa tetwakunyweza, mazima kumpi okyamemu katono nga weekubiira gye bali."},{"id":75,"translation":"Olwo nno (singa wabagondera) twandi kukombesezza ku bibonerezo by'okunsi, nga bikubisiddwamu era ne tukukombesa ne ku bibonerezo byokufa, nga nabyo bikubisiddwamu era tewandifunye akututasaako."},{"id":76,"translation":"Newaakubadde nga basemberera okukunyenya bakuggye mu nsi (yo) olwo nno bagikugobemu, ekyo ne bwekituukirira nga ggwe ofulumye, tebayinza kugituulamu okuggyako ebbanga ttono."},{"id":77,"translation":"Eyo y'enkola (Yaffe) kw'abo be twatuma olubereberye lwo mu Babaka Baffe, toyinza kusanga nkyukakyuka yonna mu nkola Yaffe."},{"id":78,"translation":"Yimirizaawo esswala enjuba nga ekyuse okutuusa ku nzikiza y'ekiro nabwekityo Kulaani y'okumakya (esswala ya Subuhi) mazima Kulaani y'okumakya Bamalayika bagyetabako."},{"id":79,"translation":"Ne mu kiro saala nga ogisoma (Kulaani), (ekyo) nga nnyongeza gy'oli olwo nno Mukama Omulabirizi Wo ajja kukuzuukiriza mu kifo ekiweesa ekitiibwa."},{"id":80,"translation":"Era gamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, nnyingiza mu mulyango ogw'amazima era onfulumize mu mulyango ogw'amazima, era ompe okuva gy'oli amaanyi aganziruukirira."},{"id":81,"translation":"Era gamba nti amazima gazze obwonoonefu ne buvaawo, mazima obwonoonefu buba bwa kuvaawo."},{"id":82,"translation":"Era tussa mu Kulaani ebyo ebijja nga kya kuwonya era nga kya kusaasira eri Abakkiriza. Wabula abeeyisa obubi (Kulaani) tebongera okuggyako okufaafaaganirwa."},{"id":83,"translation":"Bwe tuwa omuntu ebyengera (mu kifo ky'okwebaza) atuvaako ne yeefaako yekka, so nga akabi bwe kamutuukako aggwaamu essuubi."},{"id":84,"translation":"Bagambe nti buli omu akolere ku ngeri ye, Mukama Omulabirizi Wammwe y'asinga okumanya, ali ku kkubo eddunngamu."},{"id":85,"translation":"Era bakubuuza ku mwoyo, gamba nti: omwoyo kye kimu ku bintu Mukama Omulabirizi Wange bye yeesigaliza, era temwaweebwa kumanya okuggyako okutono."},{"id":86,"translation":"Era singa tuba twagadde tusobola okukuggyako ebyo bye twakutumira, ate toyinza kufuna olw'ebyo kuffe muwolereza."},{"id":87,"translation":"(Era wabisigaza si lwa nsonga ndala yonna) okuggyako okusaasira okuva eri Mukama Omulabirizi Wo, anti mazima ebirungi bye ku ggwe bisuffu."},{"id":88,"translation":"Gamba nti singa abantu n'amajinni beegatta babe nga baleeta ekitabo ekifaanana Kulaani eno, tebayinza kuleeta kigifaanana newaakubadde nga abamu babeera bayambi eri bannaabwe."},{"id":89,"translation":"Mazima twannyonnyola abantu mu Kulaani muno buli kika kya kifaananyi, naye abantu abasinga obungi baagaana (okuggyako okusigala) mu butakkiriza."},{"id":90,"translation":"Era ne bagamba nti tetugenda kukukkiriza okuggyako nga otufukumulidde amazzi okuva mu ttaka."},{"id":91,"translation":"Oba obe nga olina ennimiro erimu emitende n'enzabbibu. Olwo nno n'ofukumula emigga mu nnyiriri zaayo olufukumula."},{"id":92,"translation":"Oba otusuuleko eggulu nga bw'ogamba, nga liri mu bibajjo, oba oleete Allah ne Bamalayika tubalabe maaso ku maaso."},{"id":93,"translation":"Oba obe n’ennyumba nga yazimbibwa mu Zaabu, oba olinnye mu ggulu era tetujja kukkiriza kulinnya kwo (mu ggulu) okutuusa nga otuleetedde ekitabo ne tukisoma. Gamba ggwe (Muhammadi) nti: Mukama Omulabirizi Wange yayawukana, nnali mbaddeko (ekintu kyonna) okuggyako okubeera Omubaka omuntu obuntu?!"},{"id":94,"translation":"Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulunngamu bwe bwabajjira okuggyako okuba nti baagamba nti omuntu obuntu Allah gw'atumye nga Mubaka?!"},{"id":95,"translation":"Bagambe nti singa ensi yalimu Bamalayika nga batambula, nga mwe babeerera ddala, olwo nno twandibadde tubatumira Malayika okuva mu ggulu nga ye Mubaka."},{"id":96,"translation":"Bagambe nti Allah amala okuba nga Ye Mujulizi wakati wange nammwe, anti mazima Yye bulijjo amanyidde ddala era alaba ebikwata ku baddu be."},{"id":97,"translation":"Oyo yenna Allah gw'alunngamya, y'aba omulunngamu ate oyo gw'aba abuzizza oba toyinza kubafunira bayambi batali Yye, (Allah) era tugenda kubazuukiza ku Lunaku lw'Enkomerero nga beevunikidde ku byenyi byabwe nga bamuzibe, bakasiru, bakiggala, obuddo bwabwe buliba Muliro Jahannama, buli lwe gunaakenderanga nga tugubaseesezamu."},{"id":98,"translation":"Eyo y'empeera yaabwe, kubanga mazima bo baawakanya Ebigambo Byaffe, era ne bagamba nti bwe tuliba enngumbagumba oba nga tufuuse ettaka, abaffe tulizuukizibwa ne tutondebwa bupya!."},{"id":99,"translation":"Abaffe tebalaba nti mazima Allah Oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi asobola okuddamu okubatonda nga bwe baali, era nti yabassaako ekkomo mu bulamu bwabwe eritaliimu kubuusabuusa, ate olwo nno abeeyisa obubi baagaana (buli kintu) okuggyako (okukalambira) ku butakkiriza."},{"id":100,"translation":"Gamba ggwe (Muhammadi) nti singa mmwe mufuga amawanika g'okusaasira kwa Mukama Omulabirizi Wange, mwandibadde mukwatirira olw'okutya okusaasaanya, bulijjo omuntu muganiriza."},{"id":101,"translation":"Mazima twawa Musa eby'amagero mwenda ebyeyolefu, buuza abaana ba Yisirayiri (ebyaliwo) mu kiseera we yabajjira (Abamisiri), Falaawo n'amugamba nti mazima nze Musa nkulabira ddala nga oli mulogo."},{"id":102,"translation":"(Musa) n'agamba nti mazima omanyi ggwe Falaawo nti tewali assizza (byamagero) ebyo okuggyako Mukama Omulabirizi W'eggulu omusanvu n'ensi, abireese nga bujulizi (okulaga obutuufu bw'e bigambo byange) era mazima nze nkulabira ddala ggwe Falaawo nga ozikiridde."},{"id":103,"translation":"Olwo nno (Falaawo) n'ayagala okubagoba mu nsi (Misiri), ne tumuzikiriza n'abo abaali naye."},{"id":104,"translation":"Era oluvanyuma lw'ekyo twagamba abaana ba Yisirayiri nti: mutuule mu nsi (ey'e Shaami), endagaano y'Olunaku lw'Enkomerero bw'erituuka mwenna tugenda kubaleeta nga tubakungaanya."},{"id":105,"translation":"(Kulaani eno) twagissa na mazima era yaleeta mazima era tetwakutuma okuggyako lwa kuba nga owa amawulire ag'essanyu era nga oli alabula."},{"id":106,"translation":"Era Kulaani twagyawulamu ebitundu obe nga ogisomera abantu mu ngeri y'empolampola era twagissa olussa (olw'ebitundu tundu)."},{"id":107,"translation":"Gamba nti kamugikkirize oba temugikkiriza (kasita) mazima abo abaaweebwa okumanya nga (Kulaani) tennajja, bw'e basomerwa beeyala ku bulevu bwabwe nga bavunnama."},{"id":108,"translation":"Era nga bagamba nti: Mukama Omulabirizi Waffe Musukkulumu, Endagaano ya Mukama Omulabirizi Waffe bulijjo etuukirizibwa."},{"id":109,"translation":"Era beeyala ku bulevu (bwabwe) nga bakaaba, ne kibongera okugonda."},{"id":110,"translation":"Bagambe nti: musabe Allah oba musabe Omusaasizi, erinnya lye mumusabisa likola, anti alina amannya agasinga obulungi, toleekaana nga osaba era tossa nnyo ddoboozi lyo nga osaba, wakati w'ebyo wooba onoonya enkola yo."},{"id":111,"translation":"Era gamba nti ebitendo byonna bya Allah Oyo ateeteerawo mwana, era atabangako na muyambi mu Bufuzi Bwe, era tabangako na mutaasa mbu amuwonye okuswala olw'ebyandimulemye, era mugulumizenga olugulumiza."}]},{"id":18,"verses":[{"id":1,"translation":"Ebitendo byonna bya Allah Oyo eyassa ku Muddu We (Muhammadi) Ekitabo (Kulaani) na'takiteekamu bukyamu bwonna."},{"id":2,"translation":"Wabula nga kyesimbu abe nga atiisa nakyo ebibonerezo ebikakali ebiva gy'ali era awe nakyo amawulire ag'essanyu Abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu (nga abategeeza) nti mazima balina empeera ennungi."},{"id":3,"translation":"Baakugibeeramu olubeerera."},{"id":4,"translation":"Era atiise abo abagamba nti Allah yeeteerawo omwana."},{"id":5,"translation":"Kye batalinaako kumanya kwonna wadde bakadde baabwe, kibi nnyo ekigambo ekiva mu mimwa gyabwe. Bye boogera temuli Okuggyako bulimba bwereere."},{"id":6,"translation":"Olw'okunnyolwa, olabika nga obula kwetta ku lwabwe olw'okuba tebakkiriza Bigambo bino."},{"id":7,"translation":"Mazima Ffe twassa ku nsi ebigiriko nga bya kuginyiriza olwo nno tubagezese ani asinga okukola ebirungi."},{"id":8,"translation":"Mazima Ffe ebigiriko tugenda kubifuula ettaka ejjereere."},{"id":9,"translation":"Oba olowooza nti ddala abantu abaali mu mpuku, n'ekiwandiiko ekibakwatako baali baakyewunyo nnyo okusinga eby'amagero Byaffe ebirala."},{"id":10,"translation":"Mu kiseera abavubuka bwe beewogoma mu mpuku ne bagamba nti ayi Mukama Omulabirizi Waffe tuwe okusaasira okuva Gy'oli era otwanguyize ensonga yaffe gye tuliko otuwe obulunngamu."},{"id":11,"translation":"Netukuba ku matu gaabwe (ekibikka) nga bali mu mpuku (ne beebaka) emyaka mingi."},{"id":12,"translation":"Oluvannyuma twabazuukusa kimanyike nti, kiri wa ku bibiina ebibiri ekisinga okwogera ekituufu ku bbanga lye baamalamu."},{"id":13,"translation":"Mazima Ffe tukunyumiza ekyafaayo kyabwe mu butuufu, mazima bo baali bavubuka abakkiriza Mukama Omulabirizi Waabwe era ne tubongera obulunngamu."},{"id":14,"translation":"Era twanyweza emitima gyabwe bwe baayimirira (mu buvumu) nebagamba nti Mukama Omulabirizi Waffe ye Mukama Omulabirizi W'eggulu omusanvu n'ensi, n'olwekyo tetuyinza kumulekawo ne tusaba katonda mulala yenna era bwe tukikola mazima tuba twogedde ekigambo ekibi."},{"id":15,"translation":"Abo abantu baffe baamulekawo (Allah) ne beeteerawo bakatonda abalala, kale nno singa babaleetako obujulizi obweyolefu, naye ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Allah ebigambo eby'obulimba."},{"id":16,"translation":"Bwe mwabaawukanako ne mwawukana ne ku bye basinza ebitali Allah, kale nno mugende mu mpuku Mukama Omulabirizi Wammwe ajja kubanjululiza ku kusaasira Kwe era ajja kubategekera engeri gye munaabeerawo olw'ensonga yammwe gye muliko."},{"id":17,"translation":"Awo nno walabanga enjuba bwe yavangayo nga ekyuka okuva ku mukono ogwaddyo ogw'empuku yaabwe, ate bwe yabanga egwa nga ebaleka ku mukono ogwakkono ne baba nga beetaayiza mu bugazi bw'empuku, ekyo kamu ku bubonero bwa Allah (ku buyinza Bwe) oyo yenna Allah gw'alunngamya ye mulunngamu ate oyo gw'aba abuzizza toyinza kumufunira muyambi amulunngamya."},{"id":18,"translation":"Era (bwe wabalabanga) nga osuubira nti tebeebasse so nga beebasse nga tubakyusa ku ddyo ne ku kkono nga n'embwa yaabwe egolodde emikono gyayo nga eri ku mulyango (gw'empuku) nga singa obakubako eriiso waalikyuse n'obadduka era wandijjudde okubatya."},{"id":19,"translation":"Era bwe tutyo twabazuukusa babe nga beebuuzaganya wakati waabwe (ku kyabatuukako) omwogezi omu ku bo n'agamba nti wano mumazeewo bbanga ki? Ne bagamba nti tumazeewo lunaku oba kitundu kya lunaku, ne bagamba nti Mukama Omulabirizi Wammwe y'asinga okumanya ebbanga lye mumazeewo kale mutume omu ku mmwe, agende mu kibuga ne ssente zammwe zino alabe mmere ki esinga obulungi eriyo abaleetereyo ku ky'okulya, wabula atambule nga yeegendereza tewali muntu n'omu asaanidde kubamanya."},{"id":20,"translation":"Anti mazima bo bwe banaabazuula bajja kubakuba amayinja oba si ekyo babazzeeyo mu ddiini yaabwe olwo nno temugenda kwesiima n'akatono."},{"id":21,"translation":"Bwetutyo twasobozesa abantu okubazuula olwo nno bamanye nti mazima endagaano ya Allah ya mazima, era bamanye nti ddala essaawa (esembao) teriimu kubuusabuusa. (Era) jjukira (abatakkiriza) bwe baakaayana ku nsonga yaabwe (abamu), ne bagamba nti mubazimbeko ekizimbe, Mukama Omulabirizi Waabwe y'asinga okumanya ebibakwatako, ate abalina ekigambo ekisinga obulungi ne bagamba nti tujja kubazimbako omuzikiti."},{"id":22,"translation":"(Abantu abamu) bajja kugamba nti baali basatu, nga embwa yaabwe yaakuna, abamu bagambe nti baali bataano nga embwa yaabwe ya mukaaga nga kujweteka ku byebatamanyi. Abalala bajja kugamba nti baali musanvu nga embwa yaabwe ya munaana. Gamba nti Mukama Omulabirizi Wange y'asinga okumanya omuwendo gwabwe, tewali abamanyi okuggyako bantu batono, n'olwekyo towakana ku bibakwatako okuggyako okuwakana okwokungulu era teweebuuzanga ku muntu yenna ku nsonga ebakwatako."},{"id":23,"translation":"Era togambanga ku kintu kyonna, nti mazima nze nngenda kukikola enkya."},{"id":24,"translation":"Okuggyako nga ogasseeko nti Allah bw'anaaba ayagadde, era yogera ku Mukama Omulabirizi Wo bw'oba nga weerabidde, era gamba nti nsuubira nti Mukama Omulabirizi Wange ajja kunnunngamya eri obujulizi obusinga ku buno, (eky'abavubuka b'o mu mpuku okulaga Obwannabbi bwange)."},{"id":25,"translation":"Era baatuula mu mpuku yaabwe emyaka bikumibisatu (ku mbala ey'enjuba) ate nebeeyongera mu mwenda (kumbala ey'omwezi)."},{"id":26,"translation":"Gamba nti Allah y'asinga okumanya ebbanga lye baamalamu, Yekka y'amanyi ebyekusifu by'omuggulu omusanvu n'ensi, weewuunye okulaba Kwe n'okuwulira Kwe (okuba nti byetoolodde buli kintu, n'olwekyo) tebalina mutaasa mulala nga oggyeko Yye (Allah) . Era mu kusalawo Kwe teyeegatta na muntu mulala yenna (wabula bulijjo asalawo Yekka)."},{"id":27,"translation":"Era soma ebyo ebyassibwa gy'oli nga bya mu Kitabo kya Mukama Omulabirizi Wo, tewali akyusa bigambo bye era togenda kufuna buddukiro etali wuwe."},{"id":28,"translation":"Wenyweze nga obeera wamu n'abo abasaba Mukama Omulabirizi Waabwe enkya n'olweggulo nga baluubirira kuba ku ludda Lwe, tobaggyako amaaso (n'otunuulira babinojjo) nga ogenderera kufuna eby'okwewunda by'obulamu bwensi, era togondera oyo yenna gwe twagayaaza omutima gwe n'atatwogerako n'agoberera okwagala kwe embeera ye yonna neeba bwonoonyi."},{"id":29,"translation":"Gamba nti gano ge mazima agavudde ewa Mukama Omulabirizi Wammwe, kale ayagala akkirize n'ayagala awakanye, Mazima Ffe abeeyisa obubi twabategekera Omuliro, olukomera lwa gwo lugenda kubeetooloola, buli lwe banaasabanga okuweebwa amazzi balinywesebwa amazzi agalinga olutabu lw'ekyuma olulyokya ebyenyi. Kiriba kyakunywa kibi era nga kifo kibi okutuulamu."},{"id":30,"translation":"Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu mazima Ffe tetugenda butasasula mpeera y'oyo eyalongoosa emirimu."},{"id":31,"translation":"Abo nno bagenda kufuna Ejjana ey'olubeerera nga emigga gikulukutira wansi waabwe, nga bali mu yo baliba beesigamye, nga batudde ku ntebe ensitufu, eyo nno mpeera nnungi era nga kifo kya kutuulamu ekirungi."},{"id":32,"translation":"Era bakubire ekifaananyi ky'abasajja babiri nga omu ku bo twamuwa ennimiro bbiri ez'enzabbibu ze twassaako olukomera olw'emitende, ate wakati waazo ne tussaawo ebirime ebirala."},{"id":33,"translation":"Ennimiro zombi zaabala bulungi, tewali katundu kataabala, era nga twassa wakati waazo emigga."},{"id":34,"translation":"(Omu ku basajja ababiri) n'aba nga afunye amakungula (amalungi) n'agamba munne nga anyumya naye nti nze nkusinza emmaali era nga bwe nkusinza abantu."},{"id":35,"translation":"Olwo nno n'ayingira ennimiro ye nga yeeyisizza bubi, n'agamba nti sirowooza nti bino biyinza okuggwaawo."},{"id":36,"translation":"Era nga bwe sirowooza nti essaawa ey'enkomerero egenda kubaawo (katugambe nti kibaddewo) bwe ndizzibwa ewa Mukama Omulabirizi Wange nngenda kufuna ebisinga obulungi ku bino."},{"id":37,"translation":"Munne n'amuddamu nti owakanyizza Oyo eyakutonda nga akuggya mu ttaka oluvannyuma n'akuggya mu mazzi agazaala oluvannyuma n'akukola nga oli muntu omujjuvu."},{"id":38,"translation":"Naye nze ngamba nti mazima Yye Allah Ye Mukama Omulabirizi Wange era Mukama Omulabirizi Wange siyinza kumugattako musinzibwa mulala yenna."},{"id":39,"translation":"Kale singa bwe wabadde oyingira ennimiro yo wagambye nti: ekyo kyonna Allah ky'aba ayagadde ky'ekiba, tewali maanyi okugyako nga gava wa Allah, newaakubadde nga ondaba nga nze nnina emmaali ntono n'abaana batono obutenkana ggwe."},{"id":40,"translation":"Nnina essuubi nti Mukama omulabirizi Wange lumu alimpa ebirungi okusinga ennimiro yo ate n'asindikira eyiyo kibuyaga okuva waggulu n'ekeesa enkya nga ttaka jjereere."},{"id":41,"translation":"Oba amazzi gaamu negafuuka gakkekwa n'oba nga tosobola kugazuula."},{"id":42,"translation":"Awo ebibala bye byatuukwako obuzibu, ne bukya nga akuba mu bibatu bye olw'okufiirwa ebyo bye yassaamu, nga alaba ennimiro ebutamidde ku birimba byayo n'agamba nti: zinsanze nze, singa saagatta kintu ku Mukama Omulabirizi Wange."},{"id":43,"translation":"Nga oggyeko Allah yali tayinza kufuna kibinja kimutaasa nga naye bwe yali tasobola kwetaasa."},{"id":44,"translation":"Awo obwesige bwonna bwalina kubeera mu Allah Owaamazima Yekka, anti bulijjo Yye y'asinga empeera ennungi, era y'alina Enkomerero esinga obulungi."},{"id":45,"translation":"Era bakubire ekifaananyi eky'obulamu obw'ensi bulinga amazzi ge tutonnyesa okuva waggulu, ebimera by'okunsi ne byetabula na go (olwo nno) ne bikula nebikungulwa nebifuuka ebisusunku nga empewo ebikunguzza. Bulijjo Allah ku buli kintu Muyinza."},{"id":46,"translation":"Emmaali n'abaana byakwewunda bya bulamu bwa nsi, naye emirimu emirungi egisigalawo gye gisinga obulungi ewa Mukama Omulabirizi Wo, okuba nga y'alina empeera esinga obulungi n'essuubi erisinga obulungi."},{"id":47,"translation":"Era (fumiitiriza ku) Lunaku lwe tulitambuza ensozi olwo nno oliraba ensi nga njereere era tulibakunngaanya bonna, tetugenda kulekayo n'omu yenna."},{"id":48,"translation":"Olwo nno balyanjulwa ewa Mukama Omulabirizi Wo nga bali mu nnyiriri (Allah aligamba nti) mazima muzze Gyetuli nga bwe twabatonda ku mulundi ogwasooka naye mwalowooza nti tetwali baakubateerawo kiseera kigere."},{"id":49,"translation":"Ekitabo kya buli omu kigenda kuleetebwa olwo nno n'olaba aboonoonyi nga batya olw'ebyo ebikirimu, baligamba nti: nga tulabye kitabo kya ngeri ki kino! Tekirekaayo katono oba kinene okuggyako nga kikikomekkereza, bagenda kusanga nga buli kye baakola mwekiri. Mukama Omulabirizi Wo tagenda kulyazaamaanya muntu yenna."},{"id":50,"translation":"Era jjukira bwe twagamba Bamalayika nti muvunnamire Adamu ne bamuvunnamira okuggyako Ibuliisu (Sitaane) eyali ow'omu Majinni olwo nno n'ajeemera Ekiragiro kya Mukama Omulabirizi We, abaffe ate mmwe oyo gwe mufuula n'ezadde lye abataasa bammwe Nze (Allah) ne munvaako ate nga bo balabe ba mmwe, okwo nga kuwaanyisa kubi abeeyisa obubi kwe bakola."},{"id":51,"translation":"Sibayitanga kubaawo nga eggulu omusanvu ne nsi bitondebwa wadde okutondebwa kwabwe era sibangako waakweteerawo ababuza nga be bayambi (bange)."},{"id":52,"translation":"Era (mufumiitirize) Olunaku Allah) lw'alibagamba nti muyite be mwangattako abo be mwagambanga (nti nabo bakatonda) olwo nno balibayita ne batabaanukula era ne tussa wakati waabwe ekibaawula."},{"id":53,"translation":"Aboonoonyi baliraba Omuliro, olwo nno bagenda kumanyira ddala nti mazima bo baakugugwamu era tebagenda kugufunako buwonero bwonna."},{"id":54,"translation":"Mazima tunnyonnyodde abantu mu Kulaani eno (nga tukozesa) buli kifaananyi, naye omuntu y'asinga ebintu byonna okuwalaaza empaka."},{"id":55,"translation":"Tewali kyagaana bantu kukkiriza bulunngamu bwe bwabajjira, era teri kyabagaana kwegayirira Mukama Omulabirizi Waabwe, mpozzi nga baali balindirira kujjirwa ekyo ekyatuuka ku baasooka oba ebibonerezo bibajjire babirabe lwatu."},{"id":56,"translation":"Era tetwatuma Babaka okuggyako lwa kuwa mawulire agasanyusa (eri abakozi b'obulungi), era nga bawa amawulire agatiisa (eri abakozi b’obubi), abo abaawakanya baawakana mu bukyamu nga balyoke babukozese okuggyawo amazima, Ebigambo Byange (n'ebintu ebirala) bye batiisibwa nabyo ne babifuula eby'olusaago."},{"id":57,"translation":"Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajjukizibwa Ebigambo bya Mukama Omulabirizi We n'abivaako, ne yeerabira ebyo emikono gye bye gyakulembeza (okukola), mazima Ffe twassa ku mitima gya bwe ebibikka, babe nga tebabitegeera ne mu matu gaabwe mulimu envumbo era ne bw'obayita okujja eri obulunngamu tebagenda kulunngama olubeerera bwe baba bwe batyo."},{"id":58,"translation":"Ne Mukama Omulabirizi Wo Omusonyiyi ennyo Nnannyinni kusaasira, singa abadde waakubavunaanirawo olw'ebyo bye bakola yandibatuusizzaako ekibonerezo mu bwangu, wabula balina ekiseera ekigere (bwe kirituuka) tebagenda kufuna buddukiro babe nga bakiwona."},{"id":59,"translation":"Ebitundu ebyo (bye muliraanye, abantu baamu) twabazikiriza bwe beeyisa obubi era okuzikirira kwabwe twakuwa ekiseera mwe kwalina okutuukira."},{"id":60,"translation":"Jjukira Musa bwe yagamba omuweereza we nti sijja kulekera awo kutambula okutuusa lwe tunaatuuka ennyanja ebbiri we zisisinkanira oba mmala byeya (kale mbimale)."},{"id":61,"translation":"Awo nno bwe baatuuka bombi mu kifo we zisisinkanira beerabira ekyenyanja kyabwe ne kikola ekkubo lyakyo munyanja nga kireseewo omuwulukwa."},{"id":62,"translation":"Bwe baayita ku kifo ekyo (Musa) yagamba omuweereza we nti leeta eno ekyokulya kyaffe mazima olugendo lwaffe luno tulusanzeemu obukalubo."},{"id":63,"translation":"(Omuweerezawe) n'agamba nti ojjukira we twawummulidde ku lwazi, mazima nze nneerabidde ekyennyanja tewali kyanneerabizza kukijjukira okuggyako Sitaane, era awo we kyakoledde ekkubo mu nnyanja mu ngeri eyeewuunyisa."},{"id":64,"translation":"(Musa) n'agamba nti ekyo kyennyini kye tubadde tunoonya, olwo nno nebadda emabega nga bwe bazze nga banoonya ekifo (ekyo)."},{"id":65,"translation":"Ne basanga omuddu mu baddu Baffe gwe twawa okusaasira okuva Gyetuli, era ne tumuyigiriza okuva gye tuli okumanya (okw'enjawulo)."},{"id":66,"translation":"Musa n'amugamba nti abaffe (onzikiriza) nkugoberere olwo nno obe nga onjigiriza ku bulunngamu bwe wayigirizibwa?."},{"id":67,"translation":"(Khidhri) n'amuddamu nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange."},{"id":68,"translation":"Onoogumiikiriza otya ku bintu byotalinaako kumanya."},{"id":69,"translation":"(Musa) n'agamba nti Allah bw'anaaba akkirizza ojja kunsanga nga ndi mugumiikiriza era sigenda kukujeemera mu kintu kyonna."},{"id":70,"translation":"(Khidhri) n'agamba nti bw'oba osazeewo okungoberera, tombuuza ku kintu kyonna okutuusa lwe nnaakufunira kye nkikubuulirako."},{"id":71,"translation":"Olwo nno nebagenda, okutuusa nga bamaze okulinnya eryato (Khidhri) n'alisssaako ekituli, (Musa) n'agamba nti olitaddeko ekituli ozikirize abantu abalirimu mazima? Okoledde ddala ekintu ekibi."},{"id":72,"translation":"(Khidhri) n'agamba nti: saakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange?!"},{"id":73,"translation":"(Musa) n'agamba nti tonvunaana olw'ekyo kye nneerabidde era tonkaluubiriza u kintu kyonna olw'ekigambo kyange (eky'okubeera naawe)."},{"id":74,"translation":"Olwo nno ne bagenda okutuusa lwe baasanga omulenzi, (Khidhri) n'amutta (Musa) n'agamba nti osse omuntu atalina musango, atalina gwasse? Mazima ekintu kyokoze kivve."},{"id":75,"translation":"(Khidhri) n'agamba nti saakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange."},{"id":76,"translation":"(Musa) n'agamba nti ke nkubuuza ku kintu ekirala kyonna oluvannyuma lwa kino tonzikiriza kubeera naawe, mazima ofunye ensonga ekusonyiyisa ku nze."},{"id":77,"translation":"Ne bagenda bombi okutuusa lwe baatuuka ku bantu b'omukitundu, ne basaba abantu baamu okubawa emmere naye baagaana okubafuula abagenyi baabwe, wabula (mu kitundi ekyo) baasangamu ekisenge nga kyagala kugwa (Khidhri) n'akiddaabiriza (Musa) n'agamba nti singa oyagadde waalikisabiddeko empeera (n'osasulwa)."},{"id":78,"translation":"(Khidhri) n'agamba nti: wano nze naawe we twawukanidde, (wabula) nngenda kukubuulira amakulu g'ebyo byotaasobodde kugumiikiriza."},{"id":79,"translation":"Lyo eryato lyabadde, lya banaku nga bapakasiza ku nnyanja, nnagenderedde okulissaako akamogo, anti mu maaso eyo waabaddeyo Kabaka nga atwala buli lyato eddungi mu ngeri ya bunyazi."},{"id":80,"translation":"Ate yye omulenzi bakadde be bombi baali Bakkiriza, ne tutya yye (omulenzi) okubatuusaako obuzibu bw'okubula n'okufiira ku butakkiriza."},{"id":81,"translation":"Olwo nno twayagadde Mukama Omulabirizi wa bombi abawaanyisizeemu bombi ekirungi okusinga yye mu butukuvu, era asinga okuba omusaasizi."},{"id":82,"translation":"Ate kyo ekisenge we kyabadde kya balenzi babiri bamulekwa mu kibuga (ekyo), wansi waakyo waabaddeyo eby'obugagga byabwe bombi era nga kitaabwe yali mulongoofu, olwo nno Mukama Omulabirizi Wo yayagala bombi okumala okusajjakula, olwo nno baggyeyo eby'obugagga byabwe bombi, ekyo nga kusaasira okuva eri Mukama Omulabirizi Wo, era ssaakikoze lwa kusalawo kwange (wabula) Bubaka obwavudde eri (Katonda), okwo nno kwe kunnyonnyola by'otasobodde kugumiikiriza."},{"id":83,"translation":"Bakubuuza ebikwata ku Dhul Karinaini, bagambe nti nja kubayitiramu ku bimukwatako."},{"id":84,"translation":"Mazima Ffe twamuwa obusobozi mu nsi, era twamuwa ku buli kintu okumanya engeri gye kikolebwamu."},{"id":85,"translation":"Olwo nno n'agoberera enkola (eyo)."},{"id":86,"translation":"Okutuusa lwe yatuuka enjuba gy'egwa, n'agisanga nga erabika nga egwa mu luzzi olw'ettosi, era mu kitundu ekyo n'asangayo abantu, ne tumugamba nti owange Dhul Karinaini, bw'oba oyagadde osobola okubabonereza oba oyinza okubakolamu ekirungi."},{"id":87,"translation":"(Dhul Karinaini) n'agamba nti: oyo aneeyisa obubi tujja kumubonereza, ate oluvannyuma alizzibwa ewa Mukama Omulabirizi We, n'amubonereza ebibonerezo ebikambwe."},{"id":88,"translation":"Naye oyo akkiriza n'akola emirimu emirungi, agenda kusasulwa empeera ennungi era tugenda kumugamba ebigambo ebyangu okuva Gyetuli."},{"id":89,"translation":"Ate oluvanyuma n'agoberera enkola eyo."},{"id":90,"translation":"Okutuusa lwe yatuuka enjuba gy'eva n'agisanga nga eviirayo ku bantu abo be tutaawa kyakwebikka kuwona kwokya kwayo."},{"id":91,"translation":"Bwetutyo bwe twakikola ate mazima byonna bye yalina, okumanya Kwaffe kwali kubyetoolodde."},{"id":92,"translation":"Ate oluvannyuma n'agoberera enkola eyo."},{"id":93,"translation":"Okutuusa lwe yatuuka wakati w'ensozi ebbiri, n'asanga wakati waazo abantu, kumpi nga tebategeera kigambo kyonna."},{"id":94,"translation":"Ne bagamba nti: owange Dhul Karinaini mazima Yaajuuja ne Maajuuja boonoonyi mu nsi, abaffe (kkiriza) tukuteerewo empeera (tukupakase) obe nga otuteera wakati waffe nabo ekikomera."},{"id":95,"translation":"N'agamba nti ekyo kyonna Mukama Omulabirizi Wange ky'anansobozesa kinaaba kirungi, kale munnyambe n'amaanyi nja kuteeka wakati wammwe na bo ekikomera (ekigumu)."},{"id":96,"translation":"Mundeetere ebitundutundu by'ebyuma (bye baaleeta) okutuusa lwe yajjuza ebyuma mu bbanga eriri wakati w'ensozi ebbiri, n'agamba nti mufuuwe (emivubo) okutuusa ekyuma lwe kyayengerera n'agamba nti mundeetere ekikomo ekisaanuuse, awo n'akifukirirako."},{"id":97,"translation":"(Yaajuuja ne Maajuuja) tebasobolangako kukirinnya era nga bwe batasobolangako kukiwummulamu kituli."},{"id":98,"translation":"(Dhul Karinaini) n'agamba nti kuno kusaasira okuva eri Mukama Omulabirizi Wange, n'olwekyo Endagaano ya Mukama Omulabirizi wange bw'erituuka, agenda kukifuula ekimerengufu, anti bulijjo Endagaano ya Mukama Omulabirizi Wange ya mazima."},{"id":99,"translation":"Tulireka abamu ku bo ne baba nga beekuluumulira mu bannaabwe nga balinga amayengo. Era enngombe egenda kufuuyibwa olwo nno bonna tubakunngaanye."},{"id":100,"translation":"Ku Lunaku olwo tugenda kusoosootola omuliro Jahannama eri abatakkiriza olusoosootola."},{"id":101,"translation":"Abo amaaso gaabwe agaali mu kubikkibwa ne batosobola kunjogerako era baali tebasobola kuwulira."},{"id":102,"translation":"Abaffe abo abaagaana okukkiriza basuubira okufuula abaddu bange abakuumi baabwe Nze ne bandekawo, mazima Ffe twateekateeka Jahannama nga bwe bugenyi bw'abatakkiriza."},{"id":103,"translation":"Abaffe tubabuulire abasinga okufaafaaganirwa emirimu gyabwe?"},{"id":104,"translation":"Beebo okukola kwa bwe okubeera okwonoonefu mu bulamu obw'ensi, so nga ate bo balowooza nti bakola bulungi."},{"id":105,"translation":"(Aboogerwako) Beebo abaawakanya Ebigambo bya Mukama Omulabirizi Waabwe, era ne bawakanya okumusisinkana, olwo nno emirimu gyabwe ne gifaafaagana, n'olwekyo ku Lunaku lw'Enkomerero, tetugenda kubalabamu buzito bwonna."},{"id":106,"translation":"Bwe kityo nno empeera yaabwe Muliro Jahannama olw'ebyo bye baawakanya era ne bafuula Obubonero Bwange n'Ababaka Bange ekisekererwa."},{"id":107,"translation":"Mazima abo abakkiriza era ne bakola emirimu emirongoofu, Ejjana eza Firidausi, bwe buliba obugenyi bwabwe."},{"id":108,"translation":"Balizibeeramu olubeerera tebagenda kwetaaga kukyusibwa kuzibaamu."},{"id":109,"translation":"Gamba nti singa ennyanja zaali nga ye bwino (akozesebwa mu kuwandiika) Ebigambo bya Mukama Omulabirizi Wange, ennyanja zandikalidde, nga Ebigambo bya Mukama Omulabirizi Wange tebinnaggwaayo, ne bwetwandireese ennyanja ezenkana eziriwo zibe nga ziziyamba."},{"id":110,"translation":"Bagambe nti mazima nze ndi muntu nga mmwe, (wabula) nfuna Obubaka nga bugamba nti mazima Katonda Wammwe ali Omu, kale nno, buli yenna asuubira okusisinkana Mukama Omulabirizi We ateekwa okukola emirimu emirungi era mu kusinza n’atagatta kintu kyonna ku Mukama Omulabirizi We."}]},{"id":19,"verses":[{"id":1,"translation":"Kaaf Haa Yaa 'Ayn Swaad."},{"id":2,"translation":"Okwogera ku kusaasira kwa Mukama Omulabirizi Wo kwe yawa omuddu We Zakariya."},{"id":3,"translation":"Mu kiseera we yasabra Mukama Omulabirizi We okusaba okw'ekyama."},{"id":4,"translation":"Naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi Wange, mazima nze amagumba gannyenjebuse, n'omutwe gubunye envi, ate nga ssirekererwangako ayi Mukama Omulabirizi Wange buli lwe nkusaba."},{"id":5,"translation":"Era mazima nze, nneekengedde ab'omusaayi gwange (bayinza okweyisa obubi) oluvannyuma lwange, ate nga ne mukyala wange mugumba awo nno nkusaba ompe okuva Gy'oli omwana."},{"id":6,"translation":"Anaansikira, era asikire ab'olulyo lwa Yakubu, era omufuule asiimibwa ayi Mukama Omulabirizi Wange."},{"id":7,"translation":"(N'ayanukulwa nti) owange Zakariya mazima Ffe tukuwa amawulire ag'essanyu nti ogenda kufuna omwana omulenzi, nga erinnya lye ye Yahaya (erinnya) lye tutateerangawo alituumwa olubereberye."},{"id":8,"translation":"(Zakariya) n'agamba nti omwana omulenzi (oyo) nnaamufuna ntya, nga mukyala wange mugumba nga n’olwobukadde nfuuse mugogge!."},{"id":9,"translation":"(Malayika) n'agamba nti (bwekityo bwe kirina okuba), Mukama Omulabirizi Wo agambye nti: ekyo ku nze kyangu era mazima nnakutonda mu kusooka nga toli kintu kyonna."},{"id":10,"translation":"(Zakariya) n'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange nteeraawo akabonero (akanaalaga nti omukyala ali lubuto) n'amugamba nti bwe butayogera na bantu okumala ebiro bisatu ebijjudde (awamu n'okuba nga oli mulamu bulungi, tolina bulwadde)."},{"id":11,"translation":"Awo nno yafuluma n'asisinkana abantu be nga ava mu ssinzizo n'abalagira (nga tayogera, wabula nga akozesa bubonero) nti mutendereze (Allah) enkya n'olweggulo."},{"id":12,"translation":"(Yahaya n'alagirwa nti) owange Yahaya Ekitabo (Tawulaati) kikwate na maanyi, era twamuwa okumanya ensonga nga akyali muto."},{"id":13,"translation":"Era twamussaawo nga kulumirwa (bantu) okuva Gyetuli era nga butukuvu, era yali Muwulizi eri Allah."},{"id":14,"translation":"Era nga yayisa bulungi bakadde be bombi era tabangako mwekuluntaze omujeemu."},{"id":15,"translation":"Era emirembe gimubeereko olunaku lwe yazaalibwa, n'olunaku lwalifa, n'olunaku lwalizuukizibwa nga mulamu."},{"id":16,"translation":"Era yogera nga osinziira mu Kitabo (Kulaani ebikwata ku) Mariamu bwe yeesamba abantu be n'adda ku ludda olw'ebuvanjuba."},{"id":17,"translation":"N'ateekawo olutimbe baleme kumulaba awo nno twamutumira mwoyo Waffe (Jibuliiru) n'amweyoleka nga muntu ddala."},{"id":18,"translation":"(Mariamu) n'agamba nti nsaba Mukama Katonda Omusaasizi akuntaaseeko bw'oba nga otya Katonda (ndeka tonsemberera)."},{"id":19,"translation":"(Malayika) n'amugamba nti mazima nze ndi Mubaka okuva ewa Mukama Omulabirizi Wo nkuleetedde omwana omulenzi omutukuvu."},{"id":20,"translation":"Mariamu n'agamba nti nyinza ntya okufuna omwana nga tewali muntu yankutteko, ate nga sibangako malaaya?!"},{"id":21,"translation":"(Malayika n'agamba nti) Bwekityo bwe kirina okuba, Mukama Omulabirizi Wo agambye nti kyo ku nze kyangu. Era tube nga tumufuula akabonero eri abantu (akalaga obuyinza bwa Katonda), era nga kusaasira okuva Gyetuli, era kyali ekigambo ekyasalibwawo (edda)."},{"id":22,"translation":"(Mariamu) n'aba olubuto lwa Yisa, ne yeeyawula nalwo okuva mu bantu okulaga eri ekifo ekyesudde."},{"id":23,"translation":"Awo nno ebisa ne bimujjira n'asibira wansi w'omutende, n'agamba nti, ndabye nze singa nnafa nga kino tekinnabaawo ne mba ekyerabiddwa ekitakyafiibwako."},{"id":24,"translation":"(Malayika) n'amukoowoola nga asinziira wansi we nti: Tonakuwala, mazima Mukama Omulabirizi Wo atadde wansi wo akagga."},{"id":25,"translation":"Weenyenyeze omutende gujja kukusuulira entende ezengedde, ezituuse okunoga."},{"id":26,"translation":"Kale lya era onywe otebenkere amaaso (obeere bulungi), wonna w'olabira omuntu yenna, mugambe nti nneeyamye ku lwa Katonda Omusaasizi okusirika, sigenda leero kwogera na muntu yenna."},{"id":27,"translation":"N'amuleeta eri abantu be nga amusitudde ne bagamba nti owange Mariam mazima okoze ekintu ekisasamaza."},{"id":28,"translation":"Owange mwannyina wa Haaruuna, Kitaawo tabangako muntu mukozi wa kibi, era ne Maama wo tabangako Malaaya!."},{"id":29,"translation":"(Mariamu) n'asonga ku mwana, (bali) ne bagamba nti tuyinza tutya okwogera n'omwana ali ku kaali omuwere?"},{"id":30,"translation":"(Omwana) n'agamba nti mazima nze ndi muddu wa Allah, ampadde Ekitabo (Enjiri) era n'anfuula Nnabbi."},{"id":31,"translation":"Era n'anfuula ow'omukisa wonna we nnaabeeranga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zzaka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu."},{"id":32,"translation":"Era (ankuutidde) okuyisa obulungi Maama wange, era tanfudde eyeekuza, omwonoonefu."},{"id":33,"translation":"Era emirembe gibeere ku nze olunaku lwe nnazaalibwa, n'olunaku lwe ndifa, n'olunaku lwe ndizuukizibwa ne mba omulamu."},{"id":34,"translation":"Oyo ye Yisa omwana wa Mariamu, ekigambo eky'amazima ekyo (abeeyita abagoberezi be) kye babuusabuusa."},{"id":35,"translation":"Allah tekimusaanira kweteerawo mwana, Yye musukkulumu (ku buli kintu), bw'asalawo ekintu mazima akigamba nti ba, ne kiba."},{"id":36,"translation":"Era mazima ddala Allah Ye Mukama Omulabirizi Wange, era Omulabirizi Wammwe, kale mumusinze, eryo ly'ekkubo eggolokofu."},{"id":37,"translation":"Wabula ebibiina by'abantu byayawukana (ku nsonga ya Yisa), n'olwekyo okubonaabona kugenda kubeera ku abo abaawakanya (ne babikkirira amazima agakwata ku Yisa) ku Lunaku olunene abantu bonna lwe balibaako."},{"id":38,"translation":"Bagenda kuba nga bawulira nnyo era nga balaba nnyo, olunaku lwe balijja Gyetuli, naye abeeyisa obubi olwaleero (kuno ku nsi) bali mu bubuze obw'olwatu ."},{"id":39,"translation":"Batiise (ggwe Muhammadi) olunaku lw'okwejjusa mu kiseera ekigambo lwe kirisalibwawo, (abalongoofu bayingire Ejjana ate aboonoonyi bayingire Omuliro), wabula bo olwaleero bali mu bugayaavu era bo tebakkiriza."},{"id":40,"translation":"Mazima Ffe, Ffe tulisikira ensi n'abagiriko era Gyetuli gye balizzibwa."},{"id":41,"translation":"Era yogera nga osinziira mu Kitabo (kino Kulaani) ebikwata ku Ibraahiimu, mazima yye yali mukkiriza ow'amazima era nga Nnabbi."},{"id":42,"translation":"Mujjukire (Ibraahiimu) bwe yagamba kitaawe nti owange taata, lwaki osinza ebitawulira, era ebitalaba, era ebitayinza kukugasa mu kintu kyonna?!"},{"id":43,"translation":"Owange taata mazima nze okumanya kunzijidde okwo okutaakujjira, n'olwekyo ngoberera, nkukulunngamye ku kkubo eggolokofu."},{"id":44,"translation":"Owange Taata tosinzanga Sitaane, mazima Sitaane yajeemera Allah Omusaasizi."},{"id":45,"translation":"Owange taata,mazima nze ntya ebibonerezo okuva ewa Allah Omusaasizi okukutuukako, olwo n'oba mukwano gwa Sitaane."},{"id":46,"translation":"(Kitaawe) n'agamba nti: owange Ibraahiimu, oyagala kuva ku bye nsinza? Bw'otookikomye nja kukukuba amayinja, nviira mangu ssaagala kukulaba."},{"id":47,"translation":"Ibraahiimu n'agamba nti emirembe gibe ku ggwe, nja kwegayirira Mukama Omulabirizi Wange akusonyiwe, mazima Yye bulijjo annumirwa."},{"id":48,"translation":"Era nja kubaviira (mbaleke) n'ebyo bye musinza ne muva ku Allah era nja kusaba Mukama Omulabirizi Wange (Yekka), nkakasa siyinza butayanukulwa nga nsabye Mukama Omulabirizi Wange, olwo ne nzigwamu essuubi."},{"id":49,"translation":"Bwe yabaviira n'abaleka n'ebyo bye basinza nebalekawo Allah, twamugabira Isihaaka ne Ya'akuubu era bombi ne tubafuula Bannabbi."},{"id":50,"translation":"Era twabagabira ku kusaasira Kwaffe, ne tubateerawo okwogerwako obulungi okubafuula abaawaggulu."},{"id":51,"translation":"Era yogera nga osinziira mu Kitabo (Kulaani) ebikwata ku Musa, mazima yye yali mulondemu, era yali Mubaka era Nnabbi."},{"id":52,"translation":"Twamukoowoola ku ludda olwa ddyo olw'olusozi (Sinaayi), ne tumusembeza nga twogera naye."},{"id":53,"translation":"Era ne tumuwa okuva mu kusaasira kwaffe muganda we Haaruuna nga (naye) Nnabbi."},{"id":54,"translation":"Era yogera nga osinziira mu Kitabo (Kulaani) ebikwata ku Ismail, mazima yye yali mutuukiriza wa ndagaano, era yali Mubaka nga Nnabbi."},{"id":55,"translation":"Yalagiranga abantu be okusaala n'okutoola Zzaka. Era bulijjo nga asiimwa ewa Mukama Omulabirizi We."},{"id":56,"translation":"Era yogera nga osinziira mu Kitabo (Kulaani) ebikwata ku Ediriisa, mazima yye yali musuffu mu mazima ate nga Nnabbi."},{"id":57,"translation":"Era twamusitula ne tumuwa ekifo ekyawaggulu."},{"id":58,"translation":"Abo beebo Allah be yagabira ebyengera mu Bannabbi nga bava mu bazzukulu ba Adamu, ne mu abo be twatwala ne Nuuhu mu lyato, ne mu bazzukulu ba Ibraahiimu, ne Yisirayiri ne mu abo be twalunngamya, era ne tubalondamu. Ebigambo bya Allah Omusaasizi buli lwe byabasomerwanga bakkanga wansi nga bavunnama era nga bwe bakaaba."},{"id":59,"translation":"Olwo nno oluvannyuma lwabwe wajjayo abaabaddira mu bigere, abataafa ku sswala, era ne bagoberera eby'obwagazi, luliba lumu bagenda kusisinkana okufaafaaganirwa n'okuzikirira."},{"id":60,"translation":"Okuggyako oyo eyeenenya, era n'akkiriza era naakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuyingira Ejjanabey'okutuulamu era tebagenda kulyazaamaanyizibwa kintu kyonna."},{"id":61,"translation":"(Baliyingira) Ejjana ez'olubeerera, ezo Allah Omusaasizi ze yalagaanyisa abaddu Be nga tebazirabyeko, mazima Endagaano Ye erina kutuukirira."},{"id":62,"translation":"Tebagenda kuwulira mu zo (Ejjana) luyoogaano wabula (baliwulira) bigambo bya mirembe byereere baliweebwa ebigabirirwa byabwe mu yo enkya n'olweggulo."},{"id":63,"translation":"Eyo ye Ejjana, gye tulisikiza (buli omu) mu baddu Baffe, oyo eyali atya Katonda."},{"id":64,"translation":"Era ffe (Bamalayika) tetukka okuggyako lwa Kiragiro kya Mukama Omulabirizi Wo, bibye byonna ebiri mu maaso gaffe n'ebiri emabega waffe, n’ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama Omulabirizi Wo tabeerangako eyeerabira."},{"id":65,"translation":"Allah Ye Mukama Omulabirizi W'eggulu omusanvu n'ensi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi kale nno musinze onywerere ku kumusinza (bw'otokola ekyo) abaffe omanyiiyo amufaanana?"},{"id":66,"translation":"Omuntu agamba nti bwe ndiba nfudde ate ndiggyibwa (mu ntaana) nga ndi mulamu?!"},{"id":67,"translation":"Abaffe omuntu tajjukira nti mazima Ffe twamutonda omulundi ogwasooka nga yali tabangako kintu kyonna."},{"id":68,"translation":"N'olwekyo ndayidde Mukama Omulabirizi Wo, ddala tugenda kubazuukiza ne Sitaane (nazo tuzizuukize), oluvanyuma tugenda kubaleetera ddala awali Omuliro Jahannama nga bafukamidde."},{"id":69,"translation":"Oluvannyuma ddala tugenda kuggya mu buli kibiina buli yenna eyali asinga okwewaggula ku Katonda Oweekisa ekingi."},{"id":70,"translation":"Oluvannyuma Ffe tuliba tumanyi nnyo abo abasinga okusaanira okugwesogga."},{"id":71,"translation":"Tewali n'omu yenna ku mmwe okugyako nga wa kuguyitako, ekyo ku Mukama Omulabirizi Wo kikakafu ekyaggwa edda okusalawo."},{"id":72,"translation":"Oluvanyuma tuliwonya abo abatya Katonda, olwo nno tuleke mu gwo abeeyisa obubi nga bafukamidde"},{"id":73,"translation":"Ebigambo Byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu, abo abatakkiriza bagamba abo abakkiriza, nti ku bibiina ebibiri kiri wa ekirina ekifo ekirungi era ekirina enkunngaana ezisinga obulungi?!"},{"id":74,"translation":"Mirembe emeka gye twazikiriza olubereberye lwabwe, nga abo be baali basinza ebintu ebirungi n'endabika ennungi."},{"id":75,"translation":"Bagambe nti oyo yenna abeera mu bubuze, Allah Omusaasizi amulindiriza olulindiriza, okutuusa nga balabye bye baalagaanyisibwa, ka bibe bibonerezo oba Essaawa Ey'enkomerero, olwo nno bagenda kumanya ani alina ekifo ekibi era ani alina eggye erinafu."},{"id":76,"translation":"Ate abo abaalunngama Allah abongera bulunngamu, naye emirimu egisigalawo emirungi y'empeera esinga obulungi ewa Mukama Omulabirizi Wo, eyo nga mpeera era nga bwe buddo obusinga obulungi."},{"id":77,"translation":"Abaffe olabye oyo alimbisa Ebigambo Byaffe, era n'agamba nti (ne ku Nkomerero) ndiweebwa emmaali n'abaana."},{"id":78,"translation":"Abaffe yasobola okulaba ebikusike, oba yafuna ewa Allah Omusaasizi Endagaano, (atuuke okugamba nti aliba ne mmaali n'abaana ku nkomerero)?"},{"id":79,"translation":"Si bwe guli, tujja kuwandiika buli kyayogera tumulindirize ku bibonerezo olulindiriza."},{"id":80,"translation":"Olwo nno tweddize ebyo bye yagamba, ate nga agenda kijja Gyetuli nga ali yekka nga talina kintu kyonna."},{"id":81,"translation":"Era beeteerawo bye basinza ne baleka Allah, mbu olwo balyoke babeere abayambi baabwe ."},{"id":82,"translation":"Si bwe guli. Bajja kuwakanya eky'okubasinza era babeefuulire (babeegaane)."},{"id":83,"translation":"Tolaba nti mazima Ffe tusindika Sitaane eri abatakkiriza nga zibawaga oluwaga."},{"id":84,"translation":"Toyanguya kubasabira kuzikirira, mazima ennaku zaabwe tuzibabalira bubalizi."},{"id":85,"translation":"(Bategeeze) Olunaku lwe tulikunngaanya abatya Allah, net tubatwala ewa Allah Omusaasizi nga bagenyi."},{"id":86,"translation":"Ate tusindiikirize aboonoonyi, nga tubatwala ku Muliro Jahannama nga balinga ensolo ezigenda okunywa amazzi."},{"id":87,"translation":"Tebaliba na buyinza bwa kuwolereza, okuggyako oyo eyafuna Endagaano ewa Mukama Katonda Oweekisa ekingi."},{"id":88,"translation":"(Abatakkiriza) baagamba nti Katonda Omusaasizi yeeteerawo omwana."},{"id":89,"translation":"Mazima mu kwogera ekyo muleese ekintu ekibi ennyo."},{"id":90,"translation":"Eggulu omusanvu zibulako katono okweyuza olw'ekyo, n'ensi ebula okwatikayatika n'ensozi kumpi kugwa nga zimogosemogose."},{"id":91,"translation":"Olw'okugamba nti Mukama Katonda Omusaasizi alina omwana."},{"id":92,"translation":"Ate nga tekigwana ku Katonda omusaasizi kweteerawo mwana."},{"id":93,"translation":"Tewali kitonde kiri mu ggulu musanvu n'ensi okuggyako nga kigenda kujja ewa Allah Omusaasizi nga kiri mu ngeri ya buddu."},{"id":94,"translation":"Mazima yabakomekkereza, era n'ababala olubala."},{"id":95,"translation":"Era bonna bagenda kujja Gy'ali ku Lunaku lw'Enkomerero kinnoomu."},{"id":96,"translation":"Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi, Allah ajja kubateerawo okwagalwa."},{"id":97,"translation":"Mazima (Kulaani) twagifuula nnyangu ku lulimi lwo, obe nga osanyusa nayo abo abatya Allah, ate olabule nayo abo abayitirivu b'okugiwakanya."},{"id":98,"translation":"(Abantu ba) mirembe emeka gye twazikiriza olubereberye lwabwe (bano abalimbisa Kulaani), abaffe olina gw'olabako mu bo, oba gw'owulizaako olukwakwayo?"}]},{"id":20,"verses":[{"id":1,"translation":"Twaa-haa."},{"id":2,"translation":"Tetwakussaako Kulaani obe nga ozitoowererwa."},{"id":3,"translation":"Wabula twagikussaako nga kya kujjukiza eri oyo atya Allah."},{"id":4,"translation":"(Kulaani eno) yassibwa okuva eri oyo eyatonda ensi n'eggulu eryewanise."},{"id":5,"translation":"Allah Omusaasizi Oweekisa ekingi, yatebenkera ku Arishi."},{"id":6,"translation":"Bibye ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, n'ebyo ebiri wansi w'ettaka."},{"id":7,"translation":"Singa olina ekigambo kyonna ky'oyatudde (k'obe nga tokyatudde) anti mazima Yye amanyi ekyama n'ekisinga okubeera ekikweke."},{"id":8,"translation":"Allah tewali kisinzibwa kya mazima okuggyako Yye y'alina amannya agasinga obulungi."},{"id":9,"translation":"Abaffe ekyafaayo kya Musa kyakujjira?"},{"id":10,"translation":"Awo we yalabira omuliro alyoke agambe abantu be nti mutuule wano, mazima nze nnengedde omuliro (kanngendeyo) ob'olyawo nga mbaleeterako eryanda sinakindi ne nsanga awali omuliro obulunngamu."},{"id":11,"translation":"Musa bwe yagutuukako yakoowoolwa nti: owange ggwe Musa."},{"id":12,"translation":"Mazima Nze, Nze Mukama Omulabirizi Wo, kale ggyamu engatto zo, anti mazima ggwe oli mu lusenyi olutukuvu oluyitibwa Tuwa."},{"id":13,"translation":"Era Nze nkulonze, kale nno wuliriza Obubaka obukussibwako."},{"id":14,"translation":"Mazima Nze, Nze Allah nga tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Nze, kale nno nsinza, oyimirizeewo esswala obeere nga onjogerako."},{"id":15,"translation":"Anti mazima ekiseera (ebitonde lwe birizuukizibwa) kijja kutuuka mbula kukikweka (nange mbe nga sikimanya, ate bo bakimanyira wa), olwo nno (bwe kiriba kituuse) buli mwoyo gulyoke gusasulwe ebyo bye gwatakabanira."},{"id":16,"translation":"Kale nno oyo yenna atakikkiriza takulabankanya okukuggya ku kukolerera ekiseera ekyo, nga agoberera kwagala kwe n'ozikirira."},{"id":17,"translation":"Owange Musa kiki ekiri mu mukono gwo ogwaddyo?"},{"id":18,"translation":"N'agamba nti ogwo muggo gwange, gunnyamba nga ntambula, era gwe nneeyambisa okukuba ebikoola embuzi zange (ziryoke zirye) era ngulinamu emigaso emirala."},{"id":19,"translation":"(Allah) n'agamba nti: owange Musa, gusuule wansi."},{"id":20,"translation":"N'agusuula, okugenda okulaba nga gwo musota ogudduka."},{"id":21,"translation":"(Allah) n'agamba nti: gukwate, era totya, tujja kuguzza mu mbeera yaagwo eyaabulijjo."},{"id":22,"translation":"Yingiza omukono gwo mu nkwawa zo, gugenda kuvaayo nga mweru nga ate tegutuukiddwako kabi, nakyo nga kyamagero kirala."},{"id":23,"translation":"Olwo nno tulyoke tukulage ku Bubonero Bwaffe obunene."},{"id":24,"translation":"N'amugamba nti genda eri Firaawo kubanga yye asusse obujeemu n'obuwakanyi."},{"id":25,"translation":"(Musa) n'agamba nti: ayi Mukama Omulabirizi Wange, nnyanjululiza ekifuba kyange."},{"id":26,"translation":"Era onnyanguyize omulimu gwange."},{"id":27,"translation":"Era osumulule okwesiba okuli mu lulimi lwange."},{"id":28,"translation":"Bategeere ebigambo byange."},{"id":29,"translation":"Era onteerewo omuyambi nga ava mu b'oluganda lwange."},{"id":30,"translation":"Nga ye Haaruuna muganda wange."},{"id":31,"translation":"Nkusaba oggumize naye obusobozi bwange."},{"id":32,"translation":"Era omugatte (ku nze) mu mulimu gwange."},{"id":33,"translation":"Olwo nno tube nga tukutendereza nnyo."},{"id":34,"translation":"Era tukwogerengako nnyo."},{"id":35,"translation":"Mazima Ggwe bulijjo otulabira ddala."},{"id":36,"translation":"(Allah) n'agamba nti: owange Musa, oweereddwa by'osabye."},{"id":37,"translation":"Era mazima twakugabira ekyengera omulundi omulala (olubereberye lwa kino)."},{"id":38,"translation":"Mu kiseera we twatumira eri maama wo ekyo kye twamutumira."},{"id":39,"translation":"(Ne tumugamba) nti musse mu ssanduuke (bw'omala) ogisse ku mazzi (g'omugga) amazzi gajja kumukasuka ku lubalama, olwo nno omulabe wange era nga mulabe we ajja kumutwala, era nnakussaako ggwe (Musa) okwagala okuva Gyendi, olyoke obeere mu kulabirirwa Kwange."},{"id":40,"translation":"Jjukira ekiseera mwannyoko bwe yatambula (n'atuuka ku bantu bo mu maka ga Falaawo), n'agamba nti:abaffe mbalagirire omuntu anaamulabirira, olwo ne tukuzza ewa maama wo, eriiso lye liryoke litebenkere (omutima gumubeere wamu), era aleme kunakuwala, (era jjukira nti lumu) watta omuntu wabula ne tukuwonya okweraliikirira era twakugezesa n'ebigezo bingi, n'otuula emyaka egiwera mu bantu be Madiyana. Oluvannyuma owange Musa bwomaze nojja wano Allah nga bwe yakugerera."},{"id":41,"translation":"Era nkwawudde nga oli Wange."},{"id":42,"translation":"Genda ggwe ne mugandawo, nga mututte Obubonero Bwange, kyokka temukoowanga okunjogerako."},{"id":43,"translation":"Mugende mwembiriri ewa Falaawo, mazima yeewaggula."},{"id":44,"translation":"Mumugambe ebigambo ebigonvu, alyoke ajjukire era atye."},{"id":45,"translation":"(Musa ne Haaruuna) ne bagamba nti: ayi Mukama Omulabirizi Waffe, mazima ffe tutya nti ayinza okutubonyaabonya ennyo, oba (yye) okweyongera okwewaggula."},{"id":46,"translation":"Allah n'agamba nti: temutya, mazima Nze ndi wamu nammwe mpulira era ndaba."},{"id":47,"translation":"Kale nno mugende g'yali mwembiriri mumugambe nti mazima ffe ffembi tuli Babaka ba Mukama Omulabirizi Wo, tuleke tugende n'abaana ba Yisirayiri era tobabonyaabonya. Mazima tukujjidde n'ekyamagero okuva ewa Mukama Omulabirizi Wo, era emirembe gibeere ku oyo agoberera obulunngamu."},{"id":48,"translation":"Mazima ffe tuweereddwa Obubaka nti, mazima Ebibonerezo bibeera ku oyo yenna alimbisa n'ava ku kituufu."},{"id":49,"translation":"(Oluvannyuma bombi baatuuka ewa Falaawo), n'agamba nti: owange Musa, olwo ani Mukama Omulabirizi Wammwe mwembiriri?"},{"id":50,"translation":"(Musa) n'agamba nti Mukama Waffe Y'Oyo eyawa buli kintu obutonde bwakyo, ekifaananyi n'enfaanana n'oluvannyuma n'akirunngamya ku ngeri gye kiteekwa okuwangaalamu."},{"id":51,"translation":"(Falaawo) n'agamba nti: (bwe guba bwe gutyo) emirembe egyakulembera gyo gibalibwa gitya?"},{"id":52,"translation":"(Musa) n'agamba nti ebigifaako biri wa Mukama Omulabirizi Wange nga biri mu Kitabo (byawandiikibwa dda), Mukama Omulabirizi Wange takola kikyamu era teyeerabira."},{"id":53,"translation":"Oyo eyabateerawo ensi nga kyaliiro, n'agibateeramu amakubo, era n'assa okuva waggulu amazzi ne tumeza nago emitindo ebiri mu bimera ebitali bimu."},{"id":54,"translation":"(Ne tugamba nti) mulye era mulunde ebisolo byammwe. Mazima mu ekyo mulimu obubonero eri ab'amagezi."},{"id":55,"translation":"Mu lyo (ettaka) mwe twabatonda era mu lyo mwe tubazza era mul yo mwe tulibaggya omulundi omulala."},{"id":56,"translation":"Era mazima ddala twamulaga (Falaawo) obubonero Bwaffe bwonna n'alimbisa era n'agaana."},{"id":57,"translation":"(Falaawo) n'agamba nti: owange Musa ekikuleese kutuggya mu nsi yaffe nga okozesa eddogo lyo."},{"id":58,"translation":"Kale nno naffe tujja kukuleetera eddogo eriringa lyo, teeka wakati waffe naawe endagaano, gye tutajja kwawukanako ffe wadde ggwe, (tusisinkane mu) kifo ekinakkiriziganyizibwako (enjuyi zombi)."},{"id":59,"translation":"(Musa) n'agamba nti endagaano yammwe (tusisinkane) olunaku lw'okwenyiriza, era abantu balagirwanga okukungaana mu kalasamayanzi."},{"id":60,"translation":"Olwo nno Falaawo yavaawo, n'agenda n’agattagatta enkwe ze oluvannyuma n'ajja (ku lunaku olulagaanye)."},{"id":61,"translation":"Musa n'abagamba (abalogo) nti: nga mulabye nnyo! Temujweteka ku Allah obulimba n'abasaanyaawo, n'ebibonerezo, era bulijjo afaafaaganirwa oyo agunjaawo obulimba."},{"id":62,"translation":"(Abalogo), ekigambo kyabwe ne bakyawukanamu wakati waabwe, wabula olukiiko lwali mu kyama."},{"id":63,"translation":"Ne bagamba nti: mazima bano bombi balogo, baagala babaggye mu nsi yammwe, olw'eddogo lyabwe bombi era baggyewo enkola yammwe ennungi."},{"id":64,"translation":"Musse kimu mu kusalawo kwammwe, olwo nno mulumbe nga muli lunyiriri lumu, era mazima anaawangula olwaleero y'anaaba yeesiimye."},{"id":65,"translation":"Ne bagamba nti: owange Musa ggwe (osooka) okusuula omuggo oba ffe tube abasooka okusuula."},{"id":66,"translation":"(Musa) n'agamba nti wabula mmwe musuule, okugenda okulaba nga emiguwa gyabwe n'emiggo gyabwe, olw'eddogo lyabwe nga gimulabikira nga egitambula."},{"id":67,"translation":"Musa n'afuna okutya mu mutima gwe."},{"id":68,"translation":"Ne tumugamba nti: totya, mazima, ggwe ojja okuwangula."},{"id":69,"translation":"Suula ekyo ekiri mu mukono gwo ogwaddyo (nga gwe muggo), gujja kumira ebyo bye bakoze. Anti mazima ddala bye bakoze nkwe za mulogo ate nga omulogo buli w'aba tawangula."},{"id":70,"translation":"(Bwe yakola ekyo) abalogo bonna beeyala ne bavunnama, ne bagamba nti tukkirizza Mukama Katonda wa Haaruuna ne Musa."},{"id":71,"translation":"(Falaawo) n'agamba nti: mumukkirizza mutya nga sinnaba kubakkiriza, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wammwe oyo eyabayigiriza eddogo, n'olwekyo nja kutemerako ddala emikono gyammwe n'amagulu gammwe, (nga ntema) omukono ogwa ddyo n'okugulu okwa kkono, era nja kubabamba ku ndoddo z'emitende, era mugenda kumanyira ddala ani ku fenna asinza ebibonerezo era ow'okusigalawo."},{"id":72,"translation":"(Abalogo) ne bagamba nti: tetujja kukulembeza ggwe ku mazima ameeyolefu, agamaze okutujjira, wadde okukulembeza ggwe ku oyo eyatonda, kale ggwe, salawo ky:osalawo, mazima osobola kusalawo ku nsonga za bulamu buno obw'ensi."},{"id":73,"translation":"Mazima ffe tukkirizza Mukama Omulabirizi Waffe, abe nga atusonyiwa ebisobyo byaffe, era atusonyiwe n'ebyo by'otuwaliriza okukola eby'eddogo, era bulijjo Allah y'asinga obulungi era Ye W'okusigalawo."},{"id":74,"translation":"Mazima oyo yenna alijja nga mwonoonyi ewa Mukama Omulabirizi We, ddala aliyingira Muliro Jahannama, tagenda kufa nga ali omwo wadde okubeera omulamu."},{"id":75,"translation":"Ate oyo alimujjira nga Mukkiriza, era nga yakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuweebwa amadaala agaawaggulu."},{"id":76,"translation":"(Amadaala ago) Ejjana ez'olubeerera, nga emigga gikulukutira wansi waazo, baakuzituulamu obugenderevu, era eyo y'empeera y'oyo eyeetukuza."},{"id":77,"translation":"Era mazima twatumira Musa nti, tambula ekiro n'abaddu bange (abaana ba Yisirayiri) obakubire mu nnyanja ekkubo ekkalu, totya (mulabe) kubasanga, era totya (nnyanja kubamira)."},{"id":78,"translation":"Olwo nno Falaawo yabagoberera n'eggye lye, olwo ne babikkibwa amazzi ago (Allah) ge yasalawo gababikke."},{"id":79,"translation":"Bw'atyo Falaawo yabuza abantu be era (naye) teyalunngama."},{"id":80,"translation":"Abange abaana ba Yisirayiri, mazima twabawonya omulabe wammwe, era twabalagaanyisa mu kifo ekiri ku ludda olwa ddyo ku lusozi, (we twayogerera ne Musa era we twamuweera Tawulaati) era twabassiza Manna ne enkwale (ekisooka mmere ekirala nva)."},{"id":81,"translation":"(Okwo ne twogera nti) mulye ku buli kirungi mu ebyo bye tubagabira naye temuyitiriza mu kwo (okulya) ne mukakatibwako obusungu Bwange, era bulijjo oyo yenna obusungu Bwange gwe bukakatako aba abuze."},{"id":82,"translation":"Era mazima Nze ndi Musonyiyi, eri oyo eyeenenya n'akola emirimu emirongoofu, ate bulijjo n'abeera ku bulunngamu."},{"id":83,"translation":"(Musa bwe yatuuka ku lusozi, Allah n'amugamba nti) owange Musa, kiki ekikwanguyizza n'oleka abantu bo?"},{"id":84,"translation":"N'agamba nti bo, baabo bangoberera, nze nnyanguye okujja Gy'oli Mukama Omulabirizi Wange, obe nga osiima."},{"id":85,"translation":"(Allah) n'agamba nti, mazima twagezesezza abantu bo nga ovuddeyo, Saamiriyyu n'ababuza."},{"id":86,"translation":"Olwo nno Musa n'adda eri abantu be, nga musunguwavu nga mwennyamivu, n'agamba nti: Bantu bange, Mukama Omulabirizi Wammwe teyabalagaanyisa endagaano ennungi, ekiseera ekiragaane kye kyabawanvuwako, oba mwayagala mutuukibweko obusungu okuva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe, olwo nno ne muva ku ndagaano yange?"},{"id":87,"translation":"Ne bagamba nti: Endagaano yo tetwagivuddeko lwa kweyagalira kwaffe, wabula mazima ffe twatikkiddwa ebizito mu by'okwewunda by'abantu ba (Falaawo) olwo nno ne tubikasuka ( mu muliro) bw'atyo Saamiriyyunaye n'asuula."},{"id":88,"translation":"Olwo (Saamiriyyu) n'abakoleramu ennyana erina omubiri, era nga emoola, ne bagamba nti ono ye k atonda wammwe, era katonda wa Musa wabula Musa yeerabidde, (n'agenda so nga katonda yamulese wano)."},{"id":89,"translation":"Abaffe tebaalaba nti ennyana eyo, yali tesobola kubaddamu kigambo kyonna, era nga tesobola kubatuusaako kabi wadde omugaso."},{"id":90,"translation":"Ate nga mazima Haaruuna yali amaze okubagamba mu kusooka nti abange bantu bange, mazima mukemeddwa olw'eyo (ennyana), era mazima Mukama Omulabirizi Wammwe, ye Katonda Omusaasizi, kale nno mungoberere era mugondere ekiragiro kyange."},{"id":91,"translation":"Ne bagamba nti, tetugenda kulekayo kugisinza, okutuusa Musa lw'anadda gyetuli."},{"id":92,"translation":"(Musa bwe yakomawo) yagamba nti: owange Haaruuna, bwe walabye nga babuze kiki ekyakugaanye."},{"id":93,"translation":"Okungoberera (n'obanenya nga bwe nkoze) abaffe wajeemedde ekiragiro kyange?"},{"id":94,"translation":"(Haaruuna) n'agamba nti: owange mwana wa nnyabo, tonsika kirevu, wadde omutwe gwange, mazima nze nnatidde ggwe okugamba nti, wayawukanyizza abaana ba Yisirayiri, n'otalinda kigambo kyange?"},{"id":95,"translation":"(Musa) n'agamba nti: ate ggwe Saamiriyyu, kiki ekyakukozesezza ekyo?"},{"id":96,"translation":"(Saamiruyyi) n'agamba nti: nnalabye kye bataalabye olwo nno nenjoola olubatu lw'ettaka omubaka (Jibuliiru) we yayise, ne nkolamu ennyana nze bwentyo bwe nnalabye."},{"id":97,"translation":"(Musa) n'agamba nti: kale genda, mazima ossiddwako ekibonerezo mu bulamu obw'ensi, ekya 'temunkwatako', era mazima oweereddwa ekiseera ekigere, togenda kukyawukanako era tunula (olabe) katondawo oyo gwe wamaliddeko ebiseera nga osinza, tugenda kumwokera ddala, oluvannyuma tugenda kumumansira ddala mu mazzi olumansa."},{"id":98,"translation":"Tewali kubuusabuusa, Omusinzibwa Wammwe ye Allah Oyo ali Omu Yekka, tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Yye, okumanya Kwe kwabuna buli kintu kyonna."},{"id":99,"translation":"Bwe kityo tukutegeeza amawulire agakwata ku byakulembera era twakuwa okuva Gyetuli ekijjukizza (Kulaani)."},{"id":100,"translation":"Omuntu ajaawukanako mazima agenda kwetikka ku Lunaku lw'Enkomerero ebibi (ayingizibwe omuliro)."},{"id":101,"translation":"Baliba mu mbeera eyo olubeerera, era omugugu gwabwe ku Lunaku lw'Enkomerero gulibeera mubi okwetikka."},{"id":102,"translation":"Olunaku enngombe lw'erifuuyibwa, era ku lunaku olwo tugenda kukungaanya aboonoonyi nga amaaso gaabwe gatunula bbululu."},{"id":103,"translation":"Baliyogeraganya mu bwama, nga bagamba nti: tetumaze ku nsi okugyako ennaku kkumi (zokka)."},{"id":104,"translation":"Ffe tusinga okumanya bye boogera, mu kiseera abasinga okutegeera bwe baagamba nti temwatuula ku nsi okugyako olunaku lumu lwokka."},{"id":105,"translation":"Bakubuuza ekirituuka ku nsozi, gamba nti Mukama Omulabirizi Wange agenda kuzisaanyaawo olusaanyaawo."},{"id":106,"translation":"Olwo nno agireke nga museetwe nga njereere."},{"id":107,"translation":"Nga tolaba mu yo makoona wadde obutunnumba."},{"id":108,"translation":"Olunaku olwo baligoberera omukoowooze awatali kuwalira, amaloboozi gonna ne gakkakkanira Katonda Omusaasizi, toliwulira mpozzi olukwakwayo lwokka."},{"id":109,"translation":"Ku Lunaku olwo okuwolereza tekugenda kugasa, okuggyako oyo Katonda omusaasizi gw'aliba akkirizza era n'asiima byayogera."},{"id":110,"translation":"(Allah) y’amanyi ebiri mu maaso gaabwe, n'ebiri emabega waabwe ate tebayinza kubimanya ne babimalayo."},{"id":111,"translation":"Ebyenyi bigenda kugondera oyo (Allah) Omulamu Eyeeyimirizawo Yekka, mazima aliba aweebuuse oyo alyetikka okweyisa obubi."},{"id":112,"translation":"Ate oyo akola emirimu emirongoofu ate nga Mukkiriza, talitya kulyazaamaanyizibwa, era nga era bw'atagenda kunyigirizibwa."},{"id":113,"translation":"Mu ngeri bwetyo, Kulaani twagissa nga eri mu lulimi Luwalabu ne tunnyonnyola mu yo buli kika kya bitiisa, olwo nno babe nga batya Allah, oba ebawe okubuulirirwa."},{"id":114,"translation":"Waawaggulu nnyo Allah Omufuzi Owaamazima, (ggwe Muhammadi) toyanguyiriza n'osoma Kulaani nga Obubaka obukuweebwa tebunnaggwaayo, era gamba nti ayi Mukama Omulabirizi Wange nnyongera okumanya."},{"id":115,"translation":"Era mazima twakozesa Adamu endagaano olubereberye , kyokka ne yeerabira era tetwamusangamu bunywevu (obutakola ebyo ebyamugaanibwa)."},{"id":116,"translation":"Era jjukira ekiseera bwe twagamba Bamalayika nti muvunnamire Adamu ne bavunnama okuggyako Ibuliisu (Sitaane) yagaana."},{"id":117,"translation":"Ne tugamba nti owange Adamu, mazima ono (Sitaane) mulabe wo, era mulabe wa mukyala wo, temukkirizanga n'abafulumya nga mu Jjana nemwonooneka."},{"id":118,"translation":"Mazima olina ggwe, obutawulira njala mu yo, (Ejjjana) wadde okuyita obwereere."},{"id":119,"translation":"Era nti mazima ggwe, togenda kuwulira nnyonta, nga oli mu yo wadde okwokebwa omusana."},{"id":120,"translation":"Sitaane yamulabankanya, n'amugamba nti: owange Adam, nkulagirire omuti oguwa obulamu obw'olubeerera, n'obufuzi obutaggwaawo."},{"id":121,"translation":"Olwo nno (Adamu ne Hawa) ne balya ku muti, obwereere bwabwe ne bubalabikira, ne batandika okwebikka ebikoola by'omujjana, era ne kiba nti Adamu yajeemera Mukama Omulabirizi We n'abula."},{"id":122,"translation":"Oluvannyuma Mukama Omulabirizi We, yamusembeza n'akkiriza Okwenenya kwe era n'amulunngamya."},{"id":123,"translation":"(Allah) n'agamba nti mwenna mugiveemu (mmwe ababiri ne Sitaane), abamu mu mmwe baliba balabe ba bannaabwe naye obulunngamu bwe buliba bubajjidde , okuva Gyendi oyo yenna aligoberera Okulunngamya kwange, tagenda kubula, wadde okubonaabona."},{"id":124,"translation":"Ate oyo ava ku kubuulirira kwange, mazima alibeera mu bulamu obunyiga, ate ku Lunaku lw'Enkomerero tulimuzuukiza nga muzibe."},{"id":125,"translation":"Aligamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, lwaki onzuukizza nga ndi muzibe, nga ate mazima nnali ndaba?"},{"id":126,"translation":"(Allah) n'agamba nti: Nabwekityo, Ebigambo Byaffe byakujjira n'obyerabira, mu ngeri y'emu Olwaleero naawe weerabiddwa."},{"id":127,"translation":"Bwetutyo bwe tusasula oyo eyayonoona n'atakkiriza Bigambo bya Mukama Omulabirizi We, ate nga lubeerera ebibonerezo by'Enkomerero, bye bisinga obukakali era bye by'olubeerera."},{"id":128,"translation":"Abaffe tekibayigiriza, eky'okuba nti emirembe mingi gye twazikiriza olubereberye lwabwe (bano), nga batambulira mu bitundu bya bali (be twazikiriza) mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri ab'amagezi."},{"id":129,"translation":"Era singa si kigambo ekyakulembera nga kyava ewa Mukama Omulabirizi Wo, era singa tekiri nti entuuko ya buli omu ngere olwo kyandibadde kikakafu (okubazikiriza)."},{"id":130,"translation":"Kale nno gumiikiriza ku ebyo bye boogera, era otendereze ebitendo bya Mukama Omulabirizi Wo, nga enjuba tennavaayo n'era nga tennagwa, era ne mu kiseera ky'ekiro mutendereze ne ku ssaawa ez'emisana olwo nno obeere mu basiima."},{"id":131,"translation":"Era totunuzanga amaaso go eri ebyo bye tweyagaza na bo (abatakkiriza) mu bo mu mitendera gy'ebyokwewunda by'obulamu bw'ensi, tubagezese na byo. Era bulijjo okugabirira kwa Mukama Omulabirizi Wo kwe kusinga obulungi era kwe kw'olubeerera."},{"id":132,"translation":"Era kubirizanga - owange ggwe Omubaka - abantu bo abaawaka okussala esswala, ate naawe oginywerereko, Ffe tetukusaba kwegabirira wadde okutugabirira, Ffe tukugabirira, Enkomerero ennungi ku nsi n'enkomerero y'abo abatya Allah nga bagondera Ebiragiro Bye ne beewala ebyeyaziyiza."},{"id":133,"translation":"Era (abatakkiriza) bagamba nti singa atuleetera akabonero okuva ewa Mukama Omulabirizi We, naye abaffe obunnyonnyofu bw'ebyo tebwabajjira, obuli mu Bitabo ebyasooka?"},{"id":134,"translation":"Era singa twabazikiriza n'ebibonerezo olubereberye lwe, (Nnabbi Muhammadi nga tannatumwa) baandigambye nti: Ayi Mukama Omulabirizi Waffe, singa watutumira omubaka, olwo nno ne tugoberera ebigambo Byo, ne tutatuuka ku kukkakkanyizibwa ne tuswaala."},{"id":135,"translation":"Gamba nti buli omu alindiridde, kale mulindirire, lumu mulimanya, baani abaali ku kkubo eggolokofu, era ani yalungama."}]},{"id":21,"verses":[{"id":1,"translation":"Kusemberedde abantu okubalibwa kwabwe nga bo bali mu butafaayo, era nga bo tebabiriiko."},{"id":2,"translation":"Tewali kujjukiza kwonna kubajjira okupya okuva ewa Mukama Omulabirizi Waabwe okuggyako okuba nti bakuwuliriza nga bwe bazannya."},{"id":3,"translation":"Emitima gyabwe nga miragajjavu, abo abalyazaamaanyi ne boogera mu kyama nga bagamba nti, abaffe ono alina ky'ali okuggyako okuba nti muntu nga mmwe, abaffe mugenda ku ddogo nga nammwe mulabira ddala?!"},{"id":4,"translation":"(Nnabbi Muhammadi) n'agamba nti: Mukama Omulabirizi Wange amanyi ekigambo ekiri mu ggulu ne mu nsi era yye y'awulira ennyo, Omumanyi ennyo."},{"id":5,"translation":"(Wabula abatakkiriza) baagamba nti: Okwo kulogojjana mu kuloota oba yye yennyini yaabyegunjirawo, sinakindi yye mutontomi, (bw'aba ayagala tukkirize byagamba) kale atuleetere akabonero nga abaasooka bwe baatumwa."},{"id":6,"translation":"Abaabasookawo mu bantu b'omukitundu kye twazikiriza tebakkiriza, abaffe bo be banakkiriza?!"},{"id":7,"translation":"Olubereberye lwo tetwatumanga okuggyako basajja nga tubawa Obubaka, kale mubuuze abalina okumanya bwe muba nga temumanyi."},{"id":8,"translation":"Era tetwafuula (Bannabbi) nga mibiri egitalya mmere (okufaananako Bamalayika) era tebaali ba kubeera mu nsi lubeerera."},{"id":9,"translation":"Oluvannyuma twabatuukiririza Endagaano (gye twabawa) ne tubawonya awamu n'abo be twayagala era ne tuzikiriza abaayonoona ekisukkiridde."},{"id":10,"translation":"Mazima twabassiza Ekitabo (Kulaani) nga kirimu okwogera ku kitiibwa kyammwe, abaffe temutegeera?!"},{"id":11,"translation":"Ebyalo bimeka bye twazikiriza ebyali ebiryazaamaanyi olwo nno ne tuleeta abantu abalala!"},{"id":12,"translation":"Bwe baamala okumanya nti Ebibonerezo Byaffe bijja olwonno ne babidduka."},{"id":13,"translation":"(Baagambibwa nti:) temudduka era mudde eri ebyo bye mubadde mweyagaliramu era mudde mu mayumba gammwe luliba lumu mulibuuzibwa."},{"id":14,"translation":"Ne bagamba nti: Zitusanze mazima ffe twali balyazaamaanyi."},{"id":15,"translation":"Okuwanjaga kwabwe okwo kwali bwekutyo okutuusa lwe twabafuula ng'ennimiro ekunguddwa n'eggwaawo."},{"id":16,"translation":"Tetwatonda ggulu na nsi n'ebiri wakati wa byombi nga bya muzannyo."},{"id":17,"translation":"Singa twayagala kuteekawo muzannyo, twaligutaddewo mu bano abali eno Gyetuli singa twali ba kukikola."},{"id":18,"translation":"Wabula tukasuka amazima ku bulimba ne gabuggyawo, olwo nno bwo nebuvaawo, era mugenda kubonerezebwa olw'ebyo bye mwogera."},{"id":19,"translation":"Bibye ebyo byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, n'abo abali w'ali tebeekuluntaza ku kumusinza era tebakaluubirirwa."},{"id":20,"translation":"Batendereza (Allah) emisana n'ekiro, tebakoowa."},{"id":21,"translation":"Oba beeteerawo ebisinzibwa ebyo ku nsi nga byo bye birizuukiza (abafu)."},{"id":22,"translation":"Singa (ensi n'eggulu) byalimu ebisinzibwa atali Katonda omu byombi byandyonoonese, (ekyo nno kikulage nti) Allah yasukkuluma Nnannyini Arishi kw'ebyo bye boogera."},{"id":23,"translation":"Tabuuzibwa ku by'akola ate bo babuuzibwa."},{"id":24,"translation":"Abo bateekawo ebisinzibwa atali Allah, gamba nti muleete obujulizi bwammwe (ku ekyo). Kuno kwe kubuulirira abali nange era kwe kubuulirira kw'abo abaakulembera wabula abasinga obungi mu bo (Abatakkiriza) tebamanyi mazima olwo nno bo bagakuba amabega."},{"id":25,"translation":"Era olubereberye lwo tetwatuma Mubaka yenna okuggyako nga tumutumira Obubaka nti tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Nze (Allah) kale munsinze."},{"id":26,"translation":"Era baagamba nti: Katonda Ow'ekisa ekingi yeeteerawo omwana. Yayawukana (ku ebyo byonna) wabula (Bamalayika be bamugattako) baddu abaweebwa ekitiibwa."},{"id":27,"translation":"Tebayinza kumukulembera na kigambo era bo bakolera ku Kiragiro Kye."},{"id":28,"translation":"Amanyi ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe, tebagenda kuwolereza okuggyako oyo gw'aliba asiimye nabo olw'okumutya beegendereza."},{"id":29,"translation":"Oyo yenna mu bo agamba nti mazima nze asinzibwa okuleka Ye (Allah), oyo tugenda kumusasula Omuliro Jahannama, Bwetutyo bwe tusasula abalyazaamaanyi."},{"id":30,"translation":"Abo abatakkiriza tebakiraba nti mazima eggulu omusanvu n'ensi byali kitole ne tubyabuluzaamu era ne tuggya mu mazzi buli kintu ekiramu, abaffe tebakkiriza!"},{"id":31,"translation":"Era ne tussa mu nsi ensozi ebe nga tebayuuza era ne tussa mu yo amakubo kibayambe okumanya gye balaga."},{"id":32,"translation":"Era ne tufuula eggulu akasolya akakuumibwa, wabula bo tebafaayo ku byamagero bya lyo."},{"id":33,"translation":"Era (Allah) Y'Oyo eyatonda ekiro n'emisana n'enjuba n'omwezi buli kimu ku byo kiri mu bbanga nga byonna biwuga."},{"id":34,"translation":"Era tetuwanga muntu yenna olubereberye lwo buwangaazi obw'olubeerera, olwo bw'olifa bo be b'okubeerawo olubeerera?"},{"id":35,"translation":"Buli muntu wa kukomba ku kufa era tubagezesa n'obubi n'obulungi nga kikemo era Gyetuli gye mujja okudda."},{"id":36,"translation":"Abatakkiriza bwe bakulaba tebakufuula okuggyako eky'omuzannyo (ne bagamba) nti ono y'oyo ayogera ku bye musinza nga nabo bawakanya okwogera ku Katonda Ow'ekisa ekingi."},{"id":37,"translation":"Omuntu yatondebwa nga ayanguyiriza, nja ku balaga Obubonero Bwange kale temunsaba kubanguyiriza bibonerezo."},{"id":38,"translation":"Era ne bagamba nti eyo endagaano eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima?!"},{"id":39,"translation":"Abo abatakkiriza singa bamanyi (ekiribaawo) mu kiseera we batalisobolera kuziyiza Muliro kutuuka ku byenyi byabwe wadde emigongo gyabwe, era nga tebagenda kutaasibwa."},{"id":40,"translation":"Wabula biribatuukako kibwatukira ne bibakanga, tebalisobola kubizzaayo era si baakulindirizibwa."},{"id":41,"translation":"Ababaka bangi baajeejebwa nga tonnatumwa, abo abaajeeja Ababaka mu bo baatuukibwako ebibonerezo by'okujeeja kwabwe."},{"id":42,"translation":"Bagambe nti ani abakuuma ekiro n'emisana okubawonya ekyandibatuuseeko okuva ewa Katonda ow'ekisa ekingi wabula bo abatakkiriza beesamba okwogera ku Mukama Omulabirizi Waabwe."},{"id":43,"translation":"Abaffe balina ebisinzibwa ebirala ebisobola okubataasa nga si Ffe (kale bye basinza) tebisobola kwetaasa era n'abyo tebisobola kutaasibwa ku Ffe."},{"id":44,"translation":"Wabula twabawa bo ne bakitaabwe okweyagala, okutuusa obuwangaazi lwe bwabawanvuwako, abaffe tebalaba nti mazima Ffe, tuddira ensi ne tugikendeeza okuva ku nsalo zaayo abaffe bo be b'okulema?!"},{"id":45,"translation":"Bagambe nti mazima mbatiisa nga nkozesa Obubaka, wabula bakiggala tebawulira kukoowoola bwe baba balabuddwa."},{"id":46,"translation":"So nga bwe balituukibwako akatundu ku Bibonerezo bya Mukama Omulabirizi Wo bagenda kugambira ddala nti: Zitusanze mazima ffe tubadde balyazaamaanyi."},{"id":47,"translation":"Tulissaawo minzaane entuufu ezirikozesebwa ku Lunaku lw'Enkomerero, olwo nno tewali muntu aliryazaamaanyizibwa kintu kyonna, ne bwe kiriba kyenkana obuzito bwe mpeke ya akalo tugenda kukireeta. Kimala bumazi okuba nti Ffe tuliba ababazi."},{"id":48,"translation":"Twawa Musa ne Haaruuna amateeka (Tawulaati) agaawula wakati w'amazima n'obulimba nga kitangaala era nga kya kubuulirira eri abatya Katonda."},{"id":49,"translation":"Abo abatya Mukama Omulabirizi Waabwe awamu n'okuba nga tebamulaba era nga nabo beeraliikirira Olunaku lw'Enkomerero."},{"id":50,"translation":"Eno (Kulaani) kubuulirira okw'omukisa kwe twassa, abaffe mugiwakanya?"},{"id":51,"translation":"Mazima twawa Ibraahiimu obulunngamu bwe okuva olubereberye era twali tumanyi bulungi ebimukwatako."},{"id":52,"translation":"Jjukira bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti: Bifaananyi ki bino, ebyo mmwe bye mumaliddeko obudde bwammwe!."},{"id":53,"translation":"Ne bagamba nti twasanga bakadde baffe nga bye basinza."},{"id":54,"translation":"(Ibraahiimu) n'agamba nti: Mazima mmwe ne bakadde bammwe muli mu bubuze obw'olwatu."},{"id":55,"translation":"Ne bagamba nti: Otuleetedde mazima oba oli mu bakazannyirizi?"},{"id":56,"translation":"N'agamba nti: Wabula Mukama Omulabirizi Wammwe, Ye Mukama Omulabirizi W'eggulu (omusanvu) n'ensi oyo eyabitonda nange ku ekyo ndi omu ku bajulizi."},{"id":57,"translation":"Era ndayira Katonda, amasanamu (ebibumbe) gammwe nja kugasalira amagezi singa munaaba mugaleseewo ne mubaako we mulaga."},{"id":58,"translation":"(Yagatemaatema) n'agafuula bubajjo okuggyako (essanamu) erigasinga obunene, olwo nno badde gye liri (lye baba babuuza)."},{"id":59,"translation":"(Bwe badda) ne bagamba nti ani akoze kino ku bisinzibwa byaffe, mazima yye ali mu beeyisa obubi."},{"id":60,"translation":"Nebagamba nti twawulidde omuvubuka ayitibwa Ibrahim nga agoogerako."},{"id":61,"translation":"Ne bagamba nti: Kale mumuleete mu maaso g'abantu bamuweeko obujulizi."},{"id":62,"translation":"(Bwe baamutuusa) ne bamugamba nti: Owaaye ye ggwe wakoze kino ku bisinzibwa byaffe owange Ibraahiimu?!"},{"id":63,"translation":"N'abagamba nti: Nedda omukulu waabwe ono ye yakikoze, kale mubabuuze bwe baba nga baatula."},{"id":64,"translation":"Ne beetunulako ne bagamba nti: Mazima mmwe, mmwe abalyazaamaanyi abeeyisa obubi."},{"id":65,"translation":"Ate oluvannyuma (lw'ekyo) beekyusa, (mu kifo ky'okwenenya baalemera ku buwakanyi n'obusamize bwabwe era ne bagamba nti): Mazima okimanyi bulungi nti ebibumbe ebyo tebyoogera."},{"id":66,"translation":"(Ibraahiimu) n'agamba nti: Ate muva ku Allah Omutonzi wammwe ne musinza ebitabagasa kantu konna wadde okubatuusaako akabi."},{"id":67,"translation":"Kivve ku mmwe, lwaki musinza ebirala ne mulekao Allah, abaffe temutegeera?!"},{"id":68,"translation":"Nebagamba nti (oba bw'atyo bw'agamba) mumwokye mutaase ebisinzibwa byammwe bwe muba nga mulina kye munaakola."},{"id":69,"translation":"Ne tugamba nti muliro ggwe, beera bunnyogovu era mirembe ku Ibraahiimu."},{"id":70,"translation":"Baayagala okumukolera olukwe naye twabafuula abataalufunamu."},{"id":71,"translation":"Ne tumuwonya ne Luutu ne tubatwala mu nsi gye twawa omukisa ku lw'ebitonde."},{"id":72,"translation":"Twamugabira Isihaaka ne Yaakuubu nga nnyongeza, bonna twabafuula balongoofu."},{"id":73,"translation":"Era twabafuula abakulembeze nga balunngamya olw'Ekiragiro Kyaffe, era twabatumira nti (bateekwa) okukola obulungi n'okuyimirizaawo esswala n'okutoola zzaka era baali batusinza."},{"id":74,"translation":"Ne Luutu twamuwa okusengejja ensonga n'okumanya era twamuwonya ne tumuggya mu kitundu ekyali kikola ebyonoono mazima bo baali bantu bakozi ba kibi aboonoonyi."},{"id":75,"translation":"Era twamuyingiza mu kusaasira Kwaffe, mazima yye wa mu balongoofu."},{"id":76,"translation":"Era (mujjukire) Nuuhu bwe yasaba olubereberye nga abantu (bamulemeredde) ne twanukula okusaba kwe ne tumuwonya wamu n’abantu be mu kabi akanene."},{"id":77,"translation":"Ne tumutaasa ku bantu abo abaalimbisa Ebigambo Byaffe, mazima bo baali bantu ba kibi ne tubazikiriza bonna."},{"id":78,"translation":"Era mujjukire Dawuda ne Sulayimaani mu kiseera bombi bwe baalamula omusango ogukwata ku nnimiro, embuzi z’abantu bwe zaaliiramu, era ku kulamula kwabwe twali bajulizi."},{"id":79,"translation":"(Omusango ogwo) twawa Sulayimaani okugutegeera obulungi, naye buli omu twamuwa okugoba ensonga n’okumanya, era twagondeza Dawuda ensozi nga zitendereza, n’ebinyonyi bwe bityo, era ebyo Ffe twabikolera ddala."},{"id":80,"translation":"Era twamuyigiriza okukola ebyambalo byammwe (eby'entalo) biryoke bibakuume ku buzibu bwammwe, abaffe mmwe mwebaza!."},{"id":81,"translation":"Era Sulayimaani twamugondeza empewo ekunnguunta nga etambulira ku kiragiro kye n'egenda eri ensi eyo gye twawa omukisa. Era twali tumanyi buli kintu."},{"id":82,"translation":"Ne mu zi Sitaane mwalimu ezibbira mu nnyanja ku lulwe nga zikola n'emirimu emirala egitali ogwo era Ffe twazikuumanga."},{"id":83,"translation":"Era (jjukira) Ayyuubu bwe yakoowoola Mukama Omulabirizi we nti mazima nze ntuukiddwako obuzibu, era Ggwe Musaasizi asinga abasaasizi bonna."},{"id":84,"translation":"Twamwanukula ne tumuggyako obuzibu obwali bumutuuseeko ne tumuwa abantu be (abaali bafudde) ne tumuwa n’abalala awamu na bali, ekyo nga kusaasira okuva Gyetuli era nga kya kubuulirira eri abasinza Allah."},{"id":85,"translation":"Era (jjukira) Isimayiri ne Ediriisa ne Zulikifuli bonna ba mu bagumiikiriza."},{"id":86,"translation":"Era twabayingiza mu kusaasira Kwaffe, mazima bo ba mu balongoofu."},{"id":87,"translation":"Era (jjukira) ekyafaayo kya nnannyini (kumiribwa) kyennyanja (Yunusu) bwe yagenda nga musunguwavu n'alowooza nti tetugenda kumusobola, ate bwe yamala okubeera mu kizikiza yakoowoola nti tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Ggwe, wasukkuluma (Mukama Wange) mazima nze mbadde mu beeyisa obubi."},{"id":88,"translation":"Awo nno twayanukula okusaba kwe ne tumuwonya okweraliikirira, era bwetutyo bwe tuwonya Abakkiriza."},{"id":89,"translation":"Era jjukira Zakariya bwe yakoowoola Mukama Omulabirizi We nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, tondeka bwannamunigina (ne bwompa ezzadde nsigala ndi mukkiriza) anti Ggwe osinga abasigalawo bonna."},{"id":90,"translation":"Awo nno twayanukula okusaba Kwe, era ne tumuwa Yahaya, ne tusobozesa mukyala we okuzaala, mazima bo bettaniranga okukola ebirungi era nga batusaba ku lw'okwagala okufuna ebirungi bye tulina ne ku lw'okutya Ebibonerezo Byaffe era baalinga batugondera."},{"id":91,"translation":"Era (jjukira) ekyafaayo ky'omukyala for (Mariamu) oyo eyakuuma obwereere bwe olwo nno netumufuuwamu omwoyo ogwava Gyetuli ne tumufuula yye n’omwanawe nga kyakulabirako eri ebitonde byonna."},{"id":92,"translation":"Mazima kino ekibiina kyammwe kiri ekibiina kimu nange nze Mukama Omulabirizi Wammwe kale munsinze."},{"id":93,"translation":"(Naye abantu) baayawukana mu kigambo ky'eddiini yaabwe wakati waabwe (wabula) bonna Gyetuli gye bagenda okudda."},{"id":94,"translation":"Oyo akola omulimu omulungi gwonna nga Mukkiriza tayinza butasasulwa olw'okutakabana kwe era mazima tumuwandiikira (emirimu gye)."},{"id":95,"translation":"Kizira ku kitundu kyonna kye twazikiriza (okudda ku nsi) mazima bo tebayinza kudda."},{"id":96,"translation":"Okutuusa nga Yaajuuja ne Maajuuja bagguliddwa era nga nabo bagenda kufukumuka nga bava mu buli kkubo."},{"id":97,"translation":"Endagaano ey'amazima bw'erisembera nga olwo nno oligenda okulaba nga amaaso g'abo abatakkiriza gakanuse (olw'entiisa nebagamba nti) zitusanze ekintu kino tubadde tukigayaaliridde si kyokka wabula tubadde tweyisa bubi."},{"id":98,"translation":"Mazima mmwe n'ebyo bye musinza ne muva ku Allah muli nku za Muliro Jahannama mmwe muli ba kuguyingira."},{"id":99,"translation":"Singa ebyo byaali bisinzibwa mu butuufu tebyaaliguyingidde (omuliro) naye bonna ba kugubeeramu bugenderevu."},{"id":100,"translation":"Balituukibwako nga bali mu gwo okuyiriitira era tebagenda kuwulira maloboozi gonna nga bali mu gwo."},{"id":101,"translation":"Mazima abo be twamanya edda nti bagenda kubeera balongoofu abo nno bagenda kubeera wala n’omuliro."},{"id":102,"translation":"Tebagenda kuwulira lukwakwayo lwagwo era balibeera mu ebyo emyoyo gyabwe gye byagala obugenderevu."},{"id":103,"translation":"Ebikangabwa ebisinga okuba eby'amaanyi tebigenda kubatiisa era Bamalayika balibaaniriza nga babayozaayoza nti luno lwe Lunaku lwammwe olwo lwe mwali mulagaanyisibwa"},{"id":104,"translation":"Olunaku lwe tulizingako eggulu nga fayiro z'ebiwandiiko bwe zizingibwako. Mu ngeri y'emu nga bwe twatandika ebitonde bwe tugenda okubizzaawo, nga ndagaano nkakafu ku Ffe anti mazima ekyo tusobolera ddala okukikola."},{"id":105,"translation":"Mazima twawandiika mu Zabbuli oluvannyuma lw'okuwandiika ku Lubaawo olukuumibwa nti mazima ensi egenda kusikirwa abaddu Bange abalongoofu."},{"id":106,"translation":"Mazima ebyo, (ebyogeddwako wano) kwe kubuulirira okwannamaddala eri abantu abasinza Allah."},{"id":107,"translation":"Tetwakutuma ggwe (Nnabbi Muhammadi) okuggyako nga oli kya kusaasira eri ebitonde."},{"id":108,"translation":"Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Mazima mpeebwa Obubaka (nga obubaka bugamba) nti: Mazima Omusinzibwa Wammwe y'asinzibwa Omu yekka mu mazima, abaffe mmwe munaasiramuka?"},{"id":109,"translation":"Kale nno bwe bamala ne baawukana ku ekyo, olwo nno gwe Bagambe nti: Mbalabula kyenkanyi era siri nze amanyi bye mulagaanyisibwa biri kumpi oba biri wala."},{"id":110,"translation":"Mazima Yye (Allah) amanyi bye mwolesa nga mwogera era amanyi n'ebyo bye mukweka."},{"id":111,"translation":"Era simanyi obanga (okubalindiriza n'atabakangavvulirawo) nga kikemo gye muli era nga kubaleka kweyagala okutuusa ebbanga eggere."},{"id":112,"translation":"(Nnabbi Muhammadi) n'agamba nti ayi Mukama Omulabirizi Wange, salawo mu butuufu (wakati wange n'abo abannimbisa) era Mukama Omulabirizi Waffe Omusaasizi Ow'ekisa ekingi Gwe tusaba obuyambi ku ebyo bye mwogera."}]},{"id":22,"verses":[{"id":1,"translation":"Abange mmwe abantu, mutye Mukama Omulabirizi Wammwe, anti mazima okukankana (kw'ensi) nga Enkomerero etuuse kiriba kintu kinene nnyo."},{"id":2,"translation":"Olunaku lw'olikulaba (okukankana) nga buli mukyala muzadde tatadde mwoyo ku mwana (gwe yazaala) n'ayonsa, ate buli aliba alina olubuto lugenda kuvaamu, era oliraba abantu nga bali nga abatamidde so nga tebatamidde (ekiribatuusa ku ekyo) lwa kuba nti mazima Ebibonerezo bya Allah biyitirivu."},{"id":3,"translation":"Mu bantu mulimu awakana ku bikwata ku Allah nga talina kumanya kwonna, n'aba nga agoberera kyewaggula Sitaane."},{"id":4,"translation":"(Sitaane) kyamuwandiikwako nti ddala buli amwewa mazima yye amubuza era n'aba nga amuzza eri Ebibonerezo by'Omuliro."},{"id":5,"translation":"Abange mmwe abantu, bwe muba nga mulina okubuusabuusa ku kuzuukira (mukimanye) nti mazima ffe twabatonda nga tubajja mu ttaka (okusinziira ku jjajja wammwe Adamu nga bwe yatondebwa) oluvannyuma tubatonda mu mazzi agazaala nate oluvanyuma netubajja mu kisaayisaayi oluvanyuma ekifuuka ekinyamanyama ekituukiridde mu butonde bwakyo n'ekitatuukiridde olwo nno tube nga tubalaga (obuyinza bwaffe) olwo nno netukuumira mu nnabaana ekyo kye tuba twagadde okumala ebbanga eggere oluvanyuma tubafulumya nga muli bawere ate oluvanyuma mube nga mufuuka abakulu, ne mu mmwe mulimu abafa (nga bakyali) era mu mmwe mulimu abazzibwayo eri obuwangaazi obusinga okuba obunafu (n'akaddiwa nga takyesobola) n'aba nga takyasobola kumanya kintu kyonna oluvannyuma lw'okuba nga yali amanyi (ekirala ekiraga nti okuzuukira kulibaayo) ogenda n'olaba ensi ng'ekaze naye ke tugitonnyesaako enkuba edda buto n'etinta n'emeza buli mutindo gwa bimera ebirungi"},{"id":6,"translation":"Ekyo nno lwakuba nti mazima Allah Ye Waamazima era mazima Yye aliramusa abafu. Era nti mazima Yye Muyinza ku buli kintu."},{"id":7,"translation":"Era mazima essaawa ey'enkomerero ejja, teriimu kubuusabuusa era mazima ddala Allah ajja kuzuukiza abali mu ntaana."},{"id":8,"translation":"Mu bantu mulimu oyo awakanya ebikwata ku Allah nga tasinziira ku kumanya wadde okulunngamizibwa oba okuba n'ekitabo ekiraga obutangaavu."},{"id":9,"translation":"Aweta ensingo ye abe nga aggya abantu ku Kkubo lya Allah, atuusibwako okuswazibwa mu nsi era tugenda kumukombesa ku Lunaku lw'Enkomerero ku Bibonerezo ebyokya."},{"id":10,"translation":"Ekyo kikutuuseeko olw'ebyo emikono gyo bye gy'akola edda (ku nsi) era mazima Allah si Mulyazaamaanyi eri abaddu."},{"id":11,"translation":"Ne mu bantu mulimu asinza Allah ng'ali ku ndeboolebo (ya Bukkiriza) n'olwekyo bw'atuukibwako ekirungi akkalira nakyo ate bw'atuukibwako okugesezebwa atalantuka n'agwira ku kyenyi kye (n'ava ku ddiini) olwo nno n'afiirwa ensi n'Enkomerero, okwo nno kwe kufaafaaganirwa okw'olwatu."},{"id":12,"translation":"Alekawo Allah n'asinza ebyo ebitamutuusaako kabi era ebitamutuusaako mugaso,aa okwo kwe kubula okwewala."},{"id":13,"translation":"Asaba oyo akabi ke nga ke kali okumpi okusinga omugaso gwe, mubi nnyo asuubirwa okutaasa era mubi nnyo asuubirwa okuba nga ye w'omukwano."},{"id":14,"translation":"Mazima Allah aliyingiza Ejjana abo abaakola emirimu emirungi, nga emigga gikulukutira wansi waazo, mazima Allah akola ekyo ky'aba ayagadde."},{"id":15,"translation":"Oyo alowooza nti Allah tagenda kutaasa Mubaka We kuno ku nsi ne ku Nkomerero kimugwanidde akasuke omuguwa waggulu ku kasolya oluvannyuma yeerippe (yeetuge) olwo nno alabe abaffe by'akola bisobola okumuwonya by'atayagala."},{"id":16,"translation":"Era bwetutyo twagissa (Kulaani) nga bigambo ebinnyonnyola (obulungi) era mazima Allah alunngamya gw'aba ayagadde."},{"id":17,"translation":"Mazima abo abakkiriza (Nnabbi Muhammadi) n'abakkiriza Eddiini y'Ekiyudaaya (ku mulembe gwayo) n'abatasinza masanamu (nga Nnabbi Muhammadi tannatumwa) n'abakkiririza mu ddiini y'Ekulisitaayo (ku mulembe gwayo) n'abo abasinza omuliro, n'abo abagatta ku Allah ebintu ebirala, mazima Allah agenda kusalawo wakati waabwe (ku ebyo bye baali basinza) ku Lunaku lw'Enkomerero. Anti mazima Allah ku buli kintu Mujulizi."},{"id":18,"translation":"Abaffe tolaba nti mazima Allah bamuvunnamira abali mu ggulu omusanvu n'abo abali mu nsi n'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye n'ensozi n'emiti n'ebisolo, nga n'abantu bangi nnyo (abamuvunnamira), era nga n'abantu bangi baakakatwako ebibonerezo (olw'o butamuvunnamira) era omuntu Allah gw'aba ataddeko okunyoomebwa kale tayinza kufuna amussaamu kitiibwa. Anti mazima Allah akola ekyo ky'aba ayagadde."},{"id":19,"translation":"Bino ebibinja by'abantu ba mirundi ebiri baayawukana mu kutongoza Mukama Omulabirizi Waabwe, kale ne kibeera nga, abatakkiriza baatungirwa engoye nga za mu Muliro nga balifukirirwa ku mitwe gyabwe amazzi ag'olweje."},{"id":20,"translation":"Nga amazzi ago galiviirako okusaanuuka kw'ebyo ebiri mu mbuto zaabwe n'amaliba gaabwe."},{"id":21,"translation":"Era nga balikubwa ennyondo ezaakolebwa mu kyuma."},{"id":22,"translation":"Buli bwe baliba baagala okufuluma mu Muliro ogwo olw'obulumi obulibatuukako mu gwo nga bazzibwa mu gwo (nga bagambibwa nti) mukombe ku bukaawu bw'Ebibonerezo by'Omuliro ogwokya ennyo."},{"id":23,"translation":"Mazima Allah aliyingiza mu Jjana abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nga emigga gikulukutira wansi waazo. Nga bali mu zo, balyambazibwa ebikomo ebya zaabu ne luulu nga n'engoye ze bagenda okwambala ziriba za liiri."},{"id":24,"translation":"Era nga baalunngamizibwa (ku nsi) eri Ekigambo ekisinga obulungi (eky'okwawula Allah n'okumusuuta) era nga baalunngamizibwa eri ekkubo eritenderezebwa."},{"id":25,"translation":"Mazima abo abatakkiriza era ne baziyiza abantu ku Kkubo lya Allah n’Omuzikiti gw'Emizizo (e makkah) gwe twateerawo abantu nga omutuuze we guli n'oweewala bonna benkana, omuntu yenna ayagala okukoleramu obukyamu tumukombya ku Bibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":26,"translation":"Era jjukira ekiseera bwe twalaga Ibraahiimu ekifo ky'ennyumba (Kaaba), era ne mmugamba nti: Tongattangako ekintu kyonna era tukuza emnyumba yange eri abajeetooloola n'abayimiriramu n'abakutama abavunnama (nga basaala)."},{"id":27,"translation":"Era koowoola abantu bajje okukola Hijja, bagenda kukujjira abatambuza ebigere, n'abalijjira ku nsolo enkovvu nga bava mu buli kkubo ery'ewala."},{"id":28,"translation":"Bagende balabe ebibagasa, era batendereze Erinnya lya Allah mu nnaku ezimanyiddwa olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo eby'awaka (ebirundibwa) kale mulye ku byo era muliise omwetaavu omwavu."},{"id":29,"translation":"Ekyo nga kiwedde babe nga bamaliriza emikolo gyabwe era batuukirize bye beeyama era betooloole ennyumba kaasangwawo."},{"id":30,"translation":"Ebyo (babikola lwa kuwa Allah kitiibwa) era bulijjo oyo yenna agulumiza emizizo gya Allah ekyo kye kirungi gy'ali mu maaso ga Mukama Omulabirizi We. Era mwakkirizibwa okulya (ennyama y'e) bisolo ebirundibwa, okuggyako ebyo ebibasomerwa mu ngeri y'emu mwewale amasanamu olw'obubi bwago, era mwewale ebigambo ebitemerere."},{"id":31,"translation":"Mulina kubeera abeewa Allah Yekka nga temumugattako kintu kirala kyonna, oyo yenna agatta ku Allah ekintu ekirala aba nga awanuse waggulu ebinyonyi ne bimusikula oba empewo n'emusuula mu kifo eky'ewala ennyo."},{"id":32,"translation":"(Ebyo eby'okukola Hijja n'okusala ebisolo Biragiro bya Allah) era bulijjo omuntu agulumiza obubonero bwa Allah mazima ekyo kibalibwa mu bikolwa by'emitima egimutya."},{"id":33,"translation":"Mulina mu byo (ebirabo bye muwaayo mu Hijja) emigaso (nga okubyebagala n'okunywa amata gaabyo) okutuusa ebbanga eggere, oluvannyuma ekifo we zirina okusalirwa kwe kuba nga zituuka awali ennyumba kaasangwawo."},{"id":34,"translation":"Buli bantu twabateerawo emikolo gy'okusaddaaka ebisolo balyoke babe nga boogera ku Linnya lya Allah olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo ebirundibwa, Katonda Wammwe Katonda Omu, Yye Gwe muba mujeemulukukira, era sanyusa (ggwe Muhammadi) abo abatebenkedde (ku kusinza Allah)."},{"id":35,"translation":"(Bo) beebo, nga buli Allah lw'ayogerwako emitima gyabwe gitya era abagumiikiriza ku ebyo ebiba bibatuuseeko era abayimirizaawo esswala era abawaayo ku ebyo bye tubagabira."},{"id":36,"translation":"Enngamiya twazibateerawo nga za mu Bubonero bwa Allah, mulina mu zo ebirungi, kale muzoogerereko Erinnya lya Allah nga muziteeseteese okuzisala (bwe muzisiba okugulu okumu ne zisigala nga ziyimiridde ku asatu) olwo nno embiriizi zaazo bwe zigwa ku ttaka mukkirizibwa okuzirya, era muliiseeko atalina n'omwetaavu, Bwetutyo twazibagondeza mube nga mwebaza."},{"id":37,"translation":"Ennyama ya zo n'omusayi gwa zo tebituuka ku Allah naye atuukwako okumutya okuva mu mmwe, bw'atyo yazibagondeza mube nga mutendereza Allah olw'ebyo bye yabalungamyamu era sanyusa abalongoosa."},{"id":38,"translation":"Mazima Allah alwanirira abo abakkiriza, mazima Allah tayagala oyo yenna omukumpanya omuwakanyi."},{"id":39,"translation":"Kikkiriziddwa (okwerwanako) eri abo abalwanyisibwa mu ngeri y'okuba nti baalyazaamaanyizibwa era mazima bulijjo Allah asobolera ddala okubataasa."},{"id":40,"translation":"(Bo) beebo abaagobwa mu mayumba gaabwe awatali nsonga ntuufu okuggyako okuba nga bagamba nti: Allah ye Mukama Omulabirizi Waffe, singa Allah tataasa bantu ng'akozesa abalala, amasinzizo ga bakabona, n'amakanisa ga Abakulisitaayo, n'amasinzizo ga Abayudaaya n'emizikiti gya Abasiraamu, omwogererwa ennyo ku Linnya lya Allah byandimenyeddwa. Allah ajja kutaasiza ddala abo abamutaasa, mazima Allah Waamaanyi Nnantakubwakumukono."},{"id":41,"translation":"(Allah b'ataasa) beebo nga bwe tuba tubatebenkezza mu nsi bayimirizaawo esswala, ne batoola zzaka, ne balagira okuyisa obulungi, ne baziyiza okuyisa obubi era enkomerero y'ebintu byonna ya Allah."},{"id":42,"translation":"Singa bakulimbisa mazima olubereberye lwabwe abantu ba Nuuhu, n'aba Aadi n'aba Thamuudu baalimbisa."},{"id":43,"translation":"Nabwekityo n'abantu ba Ibraahiimu n'abantu ba Luutu."},{"id":44,"translation":"N'abantu b'e Madiyana. Ne Musa yalimbisibwa nennindiriza abatakkiriza oluvannyuma nnabakwata, naye okubonereza Kwange kwali kutya!"},{"id":45,"translation":"Ebitundu bimeka bye twazikiriza nga biryazaamaanyi! (nga na buli kati) obusolya bwabyo buguddemu n'enzizi ezitakyakimwako mazzi n'ebizimbe ebyali bizimbiddwa obulungi."},{"id":46,"translation":"Abaffe tebaatambulako mu nsi ne bafuna emitima egibayamba okutegeera oba amatu ge bawuliza, mazima amaaso si ge gaziba naye emitima egiri mu bifuba gye giziba."},{"id":47,"translation":"Bakugamba obatuuseeko ebibonerezo mu bwangu naye Allah tayinza kwawukana ku Ndagaano Ye (ajja kubibatuusaako ku Lunaku lw'Enkomerero) era mazima olunaku olumu ewa Mukama Omulabirizi Wo luli nga emyaka lukumi mu mbala yammwe."},{"id":48,"translation":"Ebitundu bimeka bye nnalindiriza so nga byo byali mu kweyisa bubi naye oluvannyuma ne mbikwata era Gyendi yokka y'eri obuddo."},{"id":49,"translation":"Gamba (ggwe Muhammadi) ti: Abange mmwe abantu mazima nze gyemuli ndi mutiisa ow'olwatu."},{"id":50,"translation":"Bo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa."},{"id":51,"translation":"N'abo abeewaayo okulemesa Ebigambo Byaffe, abo be bannannyini Muliro Jahiimu."},{"id":52,"translation":"Tetwatuma olubereberye lwo Mubaka yenna oba Nnabbi okuggyako nga bw'ayagala okusoma (Obubaka obumuweereddwa) Sitaane agezaako okusonseka ebigambo mu kusoma kwe, olwo nno Allah n'aggyawo ebyo Sitaane by'agezaako okusonsekamu awo Allah n'akakasaawo Ebigambo Bye, bulijjo Allah Mumanyi nnyo, Mugobansonga."},{"id":53,"translation":"Allah alyoke afuule Sitaane by'agezaako okusonseka (mu Bubaka) ekikemo ku abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe, n’abalina emitima emikakanyavu era mazima abeeyisa obubi beesambye nnyo Allah."},{"id":54,"translation":"Bateekeddwa okutegeera abo abaaweebwa okumanya nti mazima ddala (Kulaani) ge mazima agavudde ewa Mukama Omulabirizi Wo olwo nno bagakkirize, era ku lw'ekyo emitima gyabwe gyewombeke , era mazima Allah alunngamiza ddala abo abakkiriza eri ekkubo eggolokofu."},{"id":55,"translation":"Abatakkiriza tebagenda kulekayo kubuusabuusa ku yo, (Kulaani) okuutuusa Olunaku lwE'nkomerero lwe lulibatuukako ekibwatukira, oba ne bibatuukako ebibonerezo by'olunaku olutalibaako kulekera."},{"id":56,"translation":"Obufuzi ku Lunaku olwo buliba bwa Allah Yekka, aliramula wakati waabwe, bo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balibeera mu Jjana ezijjudde ebyengera."},{"id":57,"translation":"Ate abo abaawakanya ne balimbisa Ebigambo Byaffe abo balissibwako ebibonerezo ebinyoomesa."},{"id":58,"translation":"Ate abo abaaleka amaka gaabwe ne bagenda okulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Allah olwo nno nebattibwa oba ne bafa, Allah agenda kubaweera ddala ebigabwa ebirungi. Era bulijjo mazima Allah Yye y'asinga abagabi bonna."},{"id":59,"translation":"Alibayingiriza ddala obuyingiro bwe balisiima. Era mazima Allah Mumanyi nnyo Waakisa."},{"id":60,"translation":"Ekyo bwe kityo bwe kiri. Era oyo yenna asasula ekyenkana obuvune obumutuusiddwako, ate oluvannyuma n'alumbaganwa, mazima Allah wa kumutaasiza ddala, mazima Allah alekera Musonyiyi."},{"id":61,"translation":"Ekyo nno lwakuba nti mazima Allah ayingiza ekiro mu musana era n'ayingiza omusana mu kiro era mazima Allah awulira,alaba nnyo."},{"id":62,"translation":"Ekyo bwekityo bwekiri lwa kuba nti ddala Allah Yye Ye Waamazima, ate bye basinza ebitali Yye bya bulimba era mazima Yye Allah Ye Waawaggulu Oweekitiibwa."},{"id":63,"translation":"Abaffe tolaba nti mazima Allah assa okuva waggulu amazzi ensi n'efuuka ya kiragala mazima Allah alumirwa (ebitonde Bye) amanyi ebikusike."},{"id":64,"translation":"Bibye Yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi era ddala Allah Yye y'atalina kye yeetaaga atenderezebwa."},{"id":65,"translation":"Abaffe tolaba nti mazima Allah yabagondeza ebyo ebiri mu nsi, n'abagondeza n'amaato agaseeyeeyera ku nnyanja olw'Ekiragiro Kye era awanirira eggulu obutagwa ku nsi mpozzi nga ayagadde, mazima Allah Mukwatampola Musaasizi nnyo eri abantu."},{"id":66,"translation":"Yye Y'Oyo abawa obulamu oluvannyuma n'abatta n'oluvanyuma alibawa obulamu, mazima omuntu muwakanyi (tasiima byengera)."},{"id":67,"translation":"Buli bantu twabawa emikolo (egy'okusinza) bo gye bakola n'olwekyo (abakkiriza) tebasaanye kukuwakanya ku kintu kyonna, era koowoola abantu okudda ewa Mukama Omulabirizi Wo (okusinziira ku bye twogedde) mazima ggwe oli ku bulunngamu obulambulukufu."},{"id":68,"translation":"Bwe bakuwakanya gamba nti Allah y'asinga okumanya ebyo bye mukola."},{"id":69,"translation":"Allah alisalawo wakati wammwe ku Lunaku lw'Enkomerero ku ebyo bye mwalinga mwawukanamu."},{"id":70,"translation":"Abaffe tomanyi nti mazima Allah amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi? Mazima ekyo kiri mu buwandiike, mazima ekyo kyangu nnyo ku Allah."},{"id":71,"translation":"Basinza ebitali Allah by'atassangako bujulizi bwonna, era bye batalinaako kumanya kwonna, bulijjo abeeyisa obubi tebaba na mutaasa."},{"id":72,"translation":"Ebigambo Byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu olaba mu byenyi by'abo abatakkiriza ekifaananyi ekitali kirungi, nga babulako katono babuukire abo ababasomera Ebigambo Byaffe. Bagambe nti: abaffe mbabuulire ekibi okusinga awo, gwe Muliro Allah gwe yalagaanyisa abo abatakkiriza era buddo bubi."},{"id":73,"translation":"Abange mmwe abantu, ekifaananyi kikubiddwa kale mukiwulirize, mazima abo be musaba abatali Allah, tebasobola kutonda nsowera ne bwe baba nga beegasse ku lw'ekyo, era ensowera singa ebaggyako ekintu tebasobola kugikiggyako, abanja munafu ne gwe babanja."},{"id":74,"translation":"Tebaawa Allah kitiibwa kimusaanira, mazima Allah Waamaanyi nnyo Nnantakubwakumukono."},{"id":75,"translation":"Allah alonda mu Bamalayika Ababaka, bw'atyo ne mu bantu, mazima Allah awulira nnyo era alaba nnyo."},{"id":76,"translation":"(N’olwekyo) amanyi ebiri mu maaso gaabwe n'ebiri emabega waabwe. Eri Allah ebintu byonna gye bizzibwa."},{"id":77,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mukutame (nga mukutte ku maviivi) era muvunname, musinze Mukama Omulabirizi Wammwe, era mukole obulungi musobole okutuuka ku buwanguzi."},{"id":78,"translation":"Era mulafuubane nga muweereza (mu kkubo lya) Allah mu bulambulukufu bw'okulafuubana okwo, Yye (Allah) Ye yabalondamu (ku lw'Eddiini ye) era teyabateekera mu ddiini buzito bwonna, nga y'eddiini ya mukadde wammwe Ibrahimu, yye ye yabatuuma Abasiraamu olubereberye (mu bitabo ebyakulembera) ne mu (Kulaani) eno olwo nno Omubaka abeere mujulizi ku mmwe nammwe mubeere bajulizi ku bantu (abalala) kaakano nno muyimirizeewo esswala mutoole ne Zaka era mwekwase Allah, Yye Ye Mukuumi Wammwe, kale Mulungi nnyo Omukuumi (Oyo) era Mulungi nnyo Omutaasa Oyo."}]},{"id":23,"verses":[{"id":1,"translation":"Mazima Abakkiriza batuuse ku buwanguzi."},{"id":2,"translation":"Abo abeewombeeka mu sswala zaabwe."},{"id":3,"translation":"Era abo abatabeera mu bintu bitaliimu makulu."},{"id":4,"translation":"Era abo abajjumbize mu kutoola Zzaka."},{"id":5,"translation":"Era abo abakuuma obwereere bwabwe."},{"id":6,"translation":"Okuggyako ku bakyala baabwe oba abazaana abali mu mikono gyabwe, anti bo tebanenyezebwa kw'abo."},{"id":7,"translation":"Omuntu asukka ku abo, abo nno be babuusi b'ensalo."},{"id":8,"translation":"Era abantu abalungi aboogeddwako waggulu, bebatuukiriza obwesigwa bwabwe n'endagaano zaabwe."},{"id":9,"translation":"Era bo beebo abeekubiriza okutuukiriza esswala zaabwe."},{"id":10,"translation":"Abo nno be bagenda okusikira (okuyingira Ejjana)."},{"id":11,"translation":"Abo abalisikira Firidausi (Ejjana) nga bo mu yo baakutuulamu bugenderevu."},{"id":12,"translation":"Mazima twatonda omuntu nga tumuggya mu nsibuko ya ttaka"},{"id":13,"translation":"Oluvannyuma tumufuula amazzi agazaala ge tukuumira mu kifo ekinywevu (nnabaana)."},{"id":14,"translation":"Oluvannyuma ne tutonda mu mazzi ago ekisaayisaayi ate ekisaayisaayi ne tukitondamu ekinyamanyama ate ekinyamanyama ne tukitonderamu amagumba olwo nno amagumba ne tugambaza ennyama, ate oluvannyuma ne tumutonda nga kitonde kirala (n'afuuka omuntu nga afuuyiddwamu omwoyo) n'olwekyo Allah yasukkuluma Oyo asinga abakozi b'ebintu bonna."},{"id":15,"translation":"Mazima mmwe oluvannyuma lw'ekyo ddala mugenda kufa."},{"id":16,"translation":"Oluvanyuma mazima mmwe ku Lunaku lw'Enkomerero muli baakuzuukizibwa."},{"id":17,"translation":"Era mazima twatonda waggulu wammwe eggulu omusanvu era tetubangako bagayaalirira (kulabirira) bitonde."},{"id":18,"translation":"Era tussa okuva waggulu amazzi mu ngeri ya kigero netugabeeza mu ttaka era nga mazima Ffe tusobolera ddala okugabuzaawo."},{"id":19,"translation":"Netubamereza nago ennimiro ez'emitende n'enzabbibu nga zirimu ebibala bingi era nga ku byo kwe mulya."},{"id":20,"translation":"Era netumeza nago omuti (omuzaituni) ogwo ogusibuka ku lusozi Sinai, guvaamu omuzigo (abantu gwe beesiiga) era nga muwoomu eri abalyi."},{"id":21,"translation":"Era mazima mulina mmwe mu nsolo ezirundibwa eky'okuyiga, tubanywesa mu ebyo ebiri mu mbuto zaazo era mulina muzo emigaso mingi era nga mulya ezimu kuzo."},{"id":22,"translation":"Nga era ku zo ne ku maato kwe mutwalirwa."},{"id":23,"translation":"Era mazima twatuma Nuuhu eri abantu be n'agamba nti: Abange bantu bange musinze Allah yekka temulinaayo kintu kirala kyonna kisaana kusinzibwa. Abaffe temutya (Katonda)!."},{"id":24,"translation":"Abakungu abo abaakaafuwala mu bantu be ne bagamba nti: Tali ono (Nuuhu) okuggyako muntu nga mmwe, ayagala kwesukkulumya ku mmwe singa Allah yayagala (kutuma Malayika) yaalibadde atuma Bamalayika, kino tetukiwulirangako mu bakadde baffe abaasooka."},{"id":25,"translation":"Talina kyali okuggyako okuba nti alina ekimulinnya ku mutwe kale mumuliindirize okumala ekiseera ekigere (ajja kuvaawo oba ajja kufa)."},{"id":26,"translation":"(Nuuhu) n'agamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa (kwa bwe)."},{"id":27,"translation":"Awo nno twamutumira nti kola eryato nga okolera ku biragiro byaffe, era ne tumutumira nti ekigambo kyaffe bwe kinaatuuka ettanuulu n'efukumukamu amazzi olwo nno pakira mu lyo (eryato) ku buli kintu bibiribibiri ekisajja n'ekikazi era pakiramu abantu bo okuggyako omuntu oyo ekigambo gwe kyakakatako edda mu bo, era toyogera nange ku abo abeeyisa obubi, mazima bo ba kuzikirira."},{"id":28,"translation":"Ggwe n'abo abali naawe bwe mukkalira mu lyato olwo nno gamba nti okutenderezebwa kwonna kwa Allah Oyo oyo atuwonyezza abantu abeeyisa obubi."},{"id":29,"translation":"Era gamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange (bwe ntuuka okuva mu lyato lino) nzisa mu kifo eky'omukisa anti ggwe osinga bonna abasalawo ebifo (eby'okubeeramu)."},{"id":30,"translation":"Mazima ekyo kijjuddemu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) newaakubadde nga ate tubagezesa."},{"id":31,"translation":"Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvannyuma lwabwe omulembe omulala."},{"id":32,"translation":"Netubatumamu Omubaka ng'ava mu bo ng'abagamba nti musinze Allah temulina kirala kyonna kye musaanye kusinza kitali Yye, abaffe temutya (Katonda)!."},{"id":33,"translation":"Abakungu abaawakanya mu bantu be nebaalimbisa okusisinkana Olunaku lwE'nkomerero, abo be twawa okweyagala mu bulamu bw'ensi, baagamba nti: Ono talina kyali okuggyako muntu buntu nga mmwe, bye mulyako by'alya, ne bye munywa by'anywa."},{"id":34,"translation":"Ate singa mugondera omuntu obuntu nga mmwe, mazima mmwe olwo munaaba mufaafaaganiddwa."},{"id":35,"translation":"Mbu abalagaanyisa nti mazima mmwe singa mufa ne muba ettaka era amagumba ameereere, nti mazima mmwe mugenda kudda!."},{"id":36,"translation":"Tekisoboka era tekisobokera ddala ekyo kye mulagaanyisibwa."},{"id":37,"translation":"(Ekituufu kiri nti) tewali bulamu bulala bwonna okuggyako obulamu obw'ensi abamu muffe bava mu bulamu abalala ne bayingira. Era ffe tetugenda kuzuukizibwa."},{"id":38,"translation":"Tali yye okuggyako okuba nti musajja agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba, era ffe tetujja kumukkiriza."},{"id":39,"translation":"(Nuuhu) n'agamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa (kwa bwe)."},{"id":40,"translation":"(Katonda) n'agamba nti mu kaseera katono nnyo bajja kuba bejjusa."},{"id":41,"translation":"Okubwatuka ne kubatuukako era nga kye kibasaanira ne tubafuula ebisasiro. N'olwekyo babeere wala nnyo abantu abeeyisa obubi."},{"id":42,"translation":"Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvannyuma lwa bwe emirembe emirala."},{"id":43,"translation":"Tewali mulembe guyinza kukulembera kiseera kyagugererwa, era tebayinza kwagala kwongezebwayo (nebakufuna)."},{"id":44,"translation":"Oluvannyuma twatuma ababaka baffe nga bagoberegana, buli bantu bwe bajjirwanga omubaka waabwe nga bamulimbisa, olwo nno abamu ne tubakwasa ekkubo bannaabwe lye baakwata (mu kuzikirira) ne tubafuula eky'okwogerwako, kale nno babeere wala nnyo abantu abatakkiriza."},{"id":45,"translation":"Oluvannyuma twatuma Musa ne Muganda we Haaruuna nga tubawadde eby'amagero byaffe n'obujulizi obw'enkukunala."},{"id":46,"translation":"Bagende ewa Falaawo n'abakungu be (wabula be twatuma bwe baagenda gye bali) ne beekuza ne babeera abantu abeetwala okuba abaawaggulu."},{"id":47,"translation":"Ne bagamba nti tukkirize abantu ababiri abafaanana nga ffe ng'ate abantu baabwe baddu baffe abatuweereza!."},{"id":48,"translation":"Ne babalimbisa bombi olwo nno ne baba mu abo abaazikirizibwa."},{"id":49,"translation":"Era mazima twawa Musa Ekitabo babe nga balunngama."},{"id":50,"translation":"Twafuula Mutabani wa Mariamu ne Maama we akabonero, ne tubateeka bombi mu kifo e kisitufu e kibeerekamu nga kirimu n'amazzi agakulukuta."},{"id":51,"translation":"Abange mmwe Ababaka mulye ku ebyo ebyakkirizibwa okuliibwa, era mukole emirimu emirungi mazima Nze mmanyidde ddala ebyo bye mukola."},{"id":52,"translation":"Mazima ddala e kibiina kyammwe kino (eddiini yammwe) kiri ekibiina kimu Nange Nze Mukama Omulabirizi wammwe kale muntye."},{"id":53,"translation":"Naye abantu beekutulamu wakati waabwe okuva ku kigambo kyabwe (eky'eddiini), ebibiina bingi nga buli kibinja (abantu baakyo) basanyuka n'ebyo bye balina."},{"id":54,"translation":"Kale baleke mu bubuze bwa bwe okutuusa ekiseera (ekyabagererwa)."},{"id":55,"translation":"Abaffe balowooza bye tubawa mu mmaali n'abaana."},{"id":56,"translation":"Tuba tubanguyiza kweyongera kufuna birungi! Wabula tebategeera."},{"id":57,"translation":"Mazima abo abeeraliikirira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'okutya Mukama Omulabirizi waabwe."},{"id":58,"translation":"Era abo ebigambo ebyassibwa okuva ewa Mukama Omulabirizi waabwe babikkiriza."},{"id":59,"translation":"Era abo abatagatta kintu kirala ku Mukama Omulabirizi waabwe."},{"id":60,"translation":"Era abo abawaayo bye baba bawaddeyo (ku lwa Katonda Waabwe) nga emitima gyabwe gitidde okuba nti mazima bo bagenda kudda ewa Mukama Omulabirizi Waabwe."},{"id":61,"translation":"Abo nno bayaayaanira okukola ebirungi era nga bo mu ekyo be bakulembera"},{"id":62,"translation":"Era tetuwaliriza muntu (kukola) okuggyako ekyo ekiri mu busobozi bwe era tulina ekitabo ekiraga mu butuufu (ebikolebwa) nabo nga tebagenda kulyazaamaanyizibwa."},{"id":63,"translation":"Wabula emitima gyabwe (abawakanyi) giri mu kugayaalirira (Kulaane) eno, awamu n'okugatta ku Katonda ebintu ebirala, balina e mirimu emirala emibi nga Katonda abaleka ne bagikola (olwo nno ebibonerezo bya bwe byeyongere)."},{"id":64,"translation":"Okutuusa bwe tussa ebibonerezo ku beejalabi mu bo olwo nno bo nebalaajana."},{"id":65,"translation":"Temulaajana leero, mazima mmwe temuli baakututaasibwako."},{"id":66,"translation":"Mazima ebigambo byange byabasomerwanga naye mmwe mwalinga mukyukira ku bisinziiro bya mmwe ne mubikuba amabega."},{"id":67,"translation":"Nga mwekuza olw'okugiwalana (Kulaane), nga mugyogerako mu ngeri embi nga mutudde ku byoto byammwe ekiro."},{"id":68,"translation":"Abaffe tebeetegereza ekigambo (Kulaane ne balaba nti ntuufu) oba (ekibabuza kwe kuba nti) bajjiddwa ebyo ebitajjira bakadde baabwe abaakulembera."},{"id":69,"translation":"Oba tebaamanya Mubaka waabwe n'eba nga y'ensonga lwaki bamuwakanya."},{"id":70,"translation":"Oba bagamba nti mulalu, wabula (ekituufu kiri nti) yabajjira n'amazima, naye nga abasinga obungi mu bo batamwa amazima."},{"id":71,"translation":"Singa amazima gaagoberera okwagala kwabwe, eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebirimu byandyonoonese, wabula twabawa ekyo ekibaweesa ekitiibwa (Kulaane) naye (eky'ennaku) bo beesamba ekitiibwa kya bwe."},{"id":72,"translation":"Oba obasaba musaala (ne kiba nga kye kibagaana okukkiriza naye nakyo tokikola), anti omusaala gwa Mukama Omulabirizi wo gwe gusinga obulungi era Yye y'asinga abagabirizi bonna."},{"id":73,"translation":"Era mazima ggwe obakoowoola okujja eri ekkubo eggolokofu."},{"id":74,"translation":"Era mazima abo abatakkiriza Lunaku lwa Nkomerero ddala be baava ku kkubo."},{"id":75,"translation":"Singa twabasaasira netubaggyako obuzibu obwabatuukako bandiremedde ku bubuze bwa bwe nga babulubuuta."},{"id":76,"translation":"Mazima twabatuusaako ebibonerezo naye tebeemenyera Mukama Omulabirizi Waabwe era tebagonda."},{"id":77,"translation":"Okutuusa bwe tulibaggulira omulyango gw'ebibonerezo ebikakali oligenda okubalaba nga basobeddwa."},{"id":78,"translation":"(Katonda) Ye, Oyo eyabatonderako amatu n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono."},{"id":79,"translation":"Era Ye Oyo (eyabatonda) n'abassa mu nsi era gy'ali gye mulikungaanyirizibwa."},{"id":80,"translation":"Era Ye Oyo awa obulamu era n'atta era ku kwe okwawukana kw'ekiro n'emisana, abaffe temutegeera!."},{"id":81,"translation":"Wabula (ekivaako obuzibu) bagamba nga abaabasooka kye baagamba."},{"id":82,"translation":"Bagamba nti bwe tulifa ne tufuuka enfuufu n'amagumba abaffe tugenda kuzuukizibwa."},{"id":83,"translation":"Mazima ffe ne bakadde baffe kino kyatulagaanyisibwa dda, tekirina kye kiri okuggyako okuba enfumo z'abaasooka."},{"id":84,"translation":"Bagambe nti: Ensi n'ebigirimu by'ani bwe muba nga mumanyi?."},{"id":85,"translation":"Bajja kugamba nti bya Allah, bagambe nti abaffe temwebuulirira!."},{"id":86,"translation":"Bagambe nti ani Mukama Omulabirizi w'eggulu omusanvu era Mukama Omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa?."},{"id":87,"translation":"Bajja kugamba nti bya Allah, bagambe nti abaffe temutya!."},{"id":88,"translation":"Bagambe nti obufuzi bwa buli kintu buli mu mukono gw'ani? Ani alina obusobozi obuwa obukuumi (oyo aba yeekubidde enduulu Gy'ali, ate bw'aba yeetaaga omuntu) takugirwa, (mwanukule) bwe muba nga mumanyi."},{"id":89,"translation":"Bajja kugamba nti (obufuzi) bwa Allah, bagambe nti mubuzibwabuzibwa mutya!."},{"id":90,"translation":"Wabula twabaleetera amazima naye ddala bo balimba."},{"id":91,"translation":"Allah teyeeteerangawo mwana era tewabangawo awamu na Ye katonda mulala, singa bwekyali buli katonda yandigenze ne bye yatonda era abamu baaliwambye bannaabwe. Allah yeesambidde ddala ebyo bye boogera."},{"id":92,"translation":"(Katonda) Mumanyi w'ebyekusifu n'ebirabikako ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako."},{"id":93,"translation":"Gamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, lw'olindaga (ebibonerezo) ebyo bye balagaanyisibwa."},{"id":94,"translation":"Ayi Mukama Omulabirizi Wange tonteekanga mu bantu abeeyisa obubi."},{"id":95,"translation":"Era mazima Ffe ku ky'okukulaga bye tubalagaanyisa tusobolera ddala."},{"id":96,"translation":"Ggyawo ekibi nga okozesa ekyo ekisinga obulungi, Ffe tusinga okumanya ebyo bye boogera."},{"id":97,"translation":"Era gamba nti ayi Mukama Omulabirizi Wange nkusaba ompe obukuumi ku kubuzaabuza kwa Sitaane."},{"id":98,"translation":"Era Mukama Omulabirizi Wange nkusaba ompe obukuumi (Sitaane) zireme kunsemberera."},{"id":99,"translation":"(Baakubeera mu bubuze) okutuusa okufa lwe kujjira omu ku bo, n'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, munzizeeyo (ku nsi)."},{"id":100,"translation":"Mbe nga nkola emirimu emirungi mu ebyo byessaakola, si bwe kiri mazima kyo kigambo bugambo yye kyayogera (naye nga tagenda kusobola kudda) ate era mu maaso gaabwe waliwo e kiseera (ekyawula wakati w'obulamu bw'ensi n'obw'oluvanyuma mwe balibeera) okutuusa ku Lunaku lwe balizuukizibwa."},{"id":101,"translation":"Olwo nno enngombe bw'erifuuyibwa tewagenda kuba nnganda wakati waabwe ku Lunaku olwo, era tebagenda kwogeraganya."},{"id":102,"translation":"Kale abo emirimu gyabwe emirungi bwegirizitowa (ku minzaani okusinga ebibi byabwe) abo nno be b'okwesiima."},{"id":103,"translation":"Ate oyo ebiriwewuka ebipimwa bye abo nno be bafaafaaganirwa emyoyo gyabwe nga baakutuula lubeerera mu Muliro Jahannama."},{"id":104,"translation":"Omuliro gulisiriiza ebyenyi byabwe, balibeera mu gwo nga banyinyibadde."},{"id":105,"translation":"Abaffe ebigambo byange byali tebibasomerwa ate mmwe ne muba nga mubirimbisa."},{"id":106,"translation":"Baaligamba nti ayi Mukama Omulabirizi Waffe, obwonoonefu bwaffe bwatusinza amaanyi, ne tuba abantu abaabula."},{"id":107,"translation":"Ayi Mukama Omulabirizi Waffe, gutuggyemu (Omuliro), olwo nno bwe tuddamu okwonoona mazima tujja kuba abeeyisa obubi."},{"id":108,"translation":"Aligamba nti: Mubeere mu gwo nga munyoomebwa era temwogera nange."},{"id":109,"translation":"Mazima ekibiina mu baddu bange baagambanga nti: Ayi Mukama Omulabirizi Waffe tukkirizza kale tusonyiwe era otusaasire kubanga Ggwe osinga abasaasizi bonna."},{"id":110,"translation":"Ne mubafuula ekisekererwa okutuusa lwe baabeerabiza okunjogerako era mwali mubasekerera."},{"id":111,"translation":"Mazima nze Olwaleero mbasasudde olw'ebyo bye baagumiikiriza mazima bo be b'okwesiima."},{"id":112,"translation":"(Katonda) aligamba nti mu nsi mwatuulamu emyaka emeka?"},{"id":113,"translation":"Baligamba nti: Twamalamu lunaku oba kitundu kya lunaku, wabula buuza ababazi."},{"id":114,"translation":"Aligamba nti temwatuula okugyako ebbanga ttono singa mazima mmwe mwali mumanyi."},{"id":115,"translation":"Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli."},{"id":116,"translation":"Allah Yasukkuluma Omufuzi (era Yye) Owaamazima tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako Yye, Mukama Omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa."},{"id":117,"translation":"Oyo yenna asinza ekintu ekirala awamu ne Allah so nga ate takirinaako bujulizi, mazima okubalibwa kwe kuli wa Mukama omulabirizi We, mazima abatakkiriza Allah n'Omubaka We tebayinza kwesiima."},{"id":118,"translation":"Era gamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange sonyiwa osaasire. Era Ggwe osinga abasaasizi bonna."}]},{"id":24,"verses":[{"id":1,"translation":"(Eno) Essuula twagissa ne tugikakasa (okukozesa amateeka agagirimu) ne tussa mu yo ebigambo ebinnyonnyofu mube nga mujjukira."},{"id":2,"translation":"Omwenzi omukazi n'omwenzi omusajja buli omu ku bo mumukube emiggo kikumi, temubakwatirwanga ekisa bombi, nga muli mu kutuukiriza Eddiini ya Allah, bwe muba nga mukkiriza Allah n’Olunaku lw'Enkomerero, era ekibinja mu Bakkiriza kiteekwa okubaawo nga babonerezebwa."},{"id":3,"translation":"Omusajja omwenzi tawasa okuggyako omukazi omwenzi oba oyo agatta ebintu ebirala ku Katonda, n’omukazi omwenzi tawasibwa okuggyako omusajja omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, naye ekyo kyaziyizibwa ku Bakkiriza."},{"id":4,"translation":"N’abo abatemerera abakyala ab'ensa obwenzi ate ne bataleeta bajulizi bana mubakube emiggo kinaana era lubeerera temuddangayo okukkiriza obujulizi bwabwe era abo be boonoonyi."},{"id":5,"translation":"Okuggyako abo abeenenya oluvannyuma lw'ekyo, era nebakola emirimu emirungi. Anti mazima Allah Musonyiyi era Musaasizi nnyo."},{"id":6,"translation":"Ate abo abawaayiriza be baafumbiriganwa nabo obwenzi ate nga tebalina bajulizi okuggyako bo bennyini, kale nno obujulizi bw'omu ku bo kwe kulayira erinnya lya Allah emirundi ena (n'ayongerako nti) mazima yye wa mu boogera amazima."},{"id":7,"translation":"Ne ku mulundi ogw'okutaano (ayongerako nti) mazima ekikolimo kya Allah kibe ku ye bw'aba nga wa mu balimba."},{"id":8,"translation":"Olwo nno omukyala ne bamuggyako ekibonerezo bw'alayira Erinnya lya Allah emirundi ena (n'ayongerako nti) mazima oli by'ayogera bimussa mu balimba."},{"id":9,"translation":"Ne ku mulundi ogw'okutaano (ayongerako nti) mazima obusungu bwa Allah bumubeereko (bba) bw'aba mu boogera amazima."},{"id":10,"translation":"Singa si bulungi bwa Allah bw'abawa n'okusaasira kwe (mwandisanze) obuzibu mu kusalawo ensonga) era mazima Allah akkiriza okwenenya era Mugobansonga."},{"id":11,"translation":"Mazima abo abaaleeta ebigambo eby'obulimba (ne batemerera Aisha obwenzi) bamu ku mmwe, temukitwala nti kibi gye muli wabula kirungi gye muli, buli omu ku bo ateekwa okufuna empeera y'ekibi kye yakola, ate oyo eyakikulembera mu bo waakufuna ebibonerezo ebikakali."},{"id":12,"translation":"Singa bwe mwakiwulira abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakyala beerowooleza bulungi, era ne bagamba nti kuno kutemerera okw'olwatu."},{"id":13,"translation":"Singa baakireetako abajulizi bana naye okuva lwe bataaleeta bajulizi olwo nno abo ewa Allah be balimba."},{"id":14,"translation":"Singa si bulungi bwa Allah na kusaasira Kwe by'abawa ku nsi ne ku Nkomerero mwalituukiddwako ebibonerezo ebikakali olw'ebyo bye mweyingizaamu."},{"id":15,"translation":"Mu kiseera we mwabisaasaanyiza n'e nnimi za mmwe ne mwogera n'emimwa gyammwe bye mutaalinako kumanya, mwakitwala nga ekyangu naye nga ewa Allah kinene."},{"id":16,"translation":"Singa bwe mwakiwulira mwagamba nti tekitugwanira kwogera ku nsonga eno, wasukkuluma Mukama Katonda, kuno kutemerera okuyitirivu."},{"id":17,"translation":"Allah ababuulirira bulijjo obutaddayo kukola kintu nga kino bwe muba nga muli Bakkiriza."},{"id":18,"translation":"Era Allah abannyonnyola Amateeka. Era bulijjo Allah amanyi nnyo ate nga Mugobansonga."},{"id":19,"translation":"Mazima abo abaagala ebikolwa eby'obuwemu okusaasaana mu bakkiriza, balina ebibonerezo ebirumya ennyo ku nsi ne ku nkomerero. Era Allah amanyi ate mmwe temumanyi."},{"id":20,"translation":"Singa si bulungi bwa Allah na kusaasira Kwe by'abawa (mwandituuseeko ebizibu, naye nga bulijjo) mazima alla Waakisa Musaasizi."},{"id":21,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza temugobereranga amakubo ga Sitaane, oyo yenna agoberera amakubo ga Sitaane anti yye (Sitaane) alagira okukola eby'obuwemu n'ebitayagalwa, era singa si bulungi bwa Allah na kusaasira Kwe kwe by'abawa olubeerera, tewandibadde muntu atuukirira yenna mu mmwe, naye mazima Allah atukuza oyo gw'aba ayagadde, mazima Allah awulira era Mumanyi nnyo."},{"id":22,"translation":"Abeeyisa obulungi mu ddiini era abagaziyizibwa mu byenfuna tebalayiranga obutawa ab'oluganda olw'okumpi n'abanaku n'abaasenguka olw'okuweereza mu Kkubo lya Allah. Basaana basonyiwe era balekere, abaffe (mmwe) temwagala Allah kubasonyiwa era nga bulijjo Allah Musonyiyi Musaasizi."},{"id":23,"translation":"Mazima abo abatemerera obwenzi abakyala Abakkiriza ab'ensa abatalina musango, bakolimirwa ku nsi ne ku nkomerero era balissibwako ebibonerezo eby'amaanyi."},{"id":24,"translation":"Ku Lunaku ennimi zaabwe n'emikono gya bwe lwe biribawaako obujulizi olw'ebyo bye baakolanga."},{"id":25,"translation":"Ku Lunaku olwo Allah agenda kubasasula mu bujjuvu empeera yaabwe ebasaanira, era bagenda kumanya nti mazima Allah Ye Mazima Waamazima Owannamaddala."},{"id":26,"translation":"Abakazi ab'empisa embi ba basajja ab'empisa embi, n'abasajja ab'empisa embi ba bakazi ab'empisa embi, n'abakazi abeeyisa obulungi ba basajja abeeyisa obulungi, n'abasajja abeeyisa obulungi ba bakazi abeeyisa obulungi, abo (be batemerera obwenzi) batukuvu ku ebyo (bali) bye boogera, balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa."},{"id":27,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga amayumba agatali mayumba gammwe okugyako nga musabye era ne mutoolera abantu baamu ssalaamu ekyo kye kirungi gye muli kibayambe mujjukire."},{"id":28,"translation":"Bwe mutagasangamu muntu yenna temugayingiranga okutuusa nga mukkiriziddwa, bwe mugambibwanga nti muddeyo muddangayo, ekyo ky'ekisinga obutukuvu gye muli, Katonda byonna bye mukola abimanyidde ddala."},{"id":29,"translation":"Temulina musango bwe muyingira ennyumba ezitaliimu bantu ng'ate mulimu bye mwetaaga. Bulijjo Allah amanyi bye mwolesa ne bye mukweka."},{"id":30,"translation":"Gamba Abakkiriza bakkakkanye ku maaso gaabwe, era bakuume obwereere bwabwe, ekyo ky'ekisinga obutukuvu gye bali, mazima allah amanyidde ddala ebyo bye bakola."},{"id":31,"translation":"Era gamba abakyala Abakkiriza bakkakkanye ku maaso gaabwe era bakuume obwereere bwabwe, era teboolesa eby'okwewunda byabwe okuggyako ebyo ebiba biteekwa okulabika, era bateekwa beebikkirire obukaaya bwa bwe (nga butuuka) ku bifuba bya bwe, era teboolesa bya kwewunda byabwe okuggyako eri babbaabwe, oba bakitaabwe, oba bataata ba babbaabwe ,oba abaana baabwe, oba abaana ba babbaabwe, oba bannyinaabwe, oba abaana ba bannyinaabwe, oba abaana ba baganda baabwe, oba abakyala nga bo, oba abo abaddu emikono gya bwe egyaddyo be gyafuna, oba abaweereza abalala abasajja abatakyalina bwetaavu eri bakyala, oba abaana abato abatalabanga ku bwereere bwa bakyala, era (abakyala Abakkiriza bwe baba batambula) tebakuba bigere byabwe sikulwa nga kituuka okumanyika ekyo kye bakwese mu by'okwewunda byabwe. Mwenna mwenenyeze allah abange mmwe Abakkiriza kibayambe okutuuka ku buwanguzi."},{"id":32,"translation":"Mufumbize abatali bafumbo mu mmwe, nabwekityo mufumbiriganye abalongoofu mu baddu bammwe n'abazaana bammwe, bwe baba baavu Allah ajja kubagaggawaza nga aggya mu bigabwa bye, bulijjo Allah Mugazi (mu by'alina) Mumanyi nnyo."},{"id":33,"translation":"Abo abatasobola kuwasa bateekwa okwessaamu ensa okutuusa Allah lw'anaabawa ekimala ekyetaago kyabwe nga aggya mu bigabwa Bye, ate abo abasaba okuweebwa ekiwandiiko (ekibakkiriza okunoonya sente beenunule) mu baddu bammwe abo emikono gyammwe egyaddyo be gyafuna mukibawandiikire singa mubalabamu akalungi, (mmwe abakulembeze) mubawe nga ku mmaali ya Allah eyo gye yabawa, era temuwalirizanga abazaana bammwe okukola obwamalaaya (mu kikola mutya) ng'ate bo baagala kuba na nsa! (ekibatuusa okukola ekyo) lwa kwagala kufuna bya bulamu bwa nsi, oyo yenna abawaliriza mazima Allah oluvannyuma ne lw'okubawaliriza Musonyiyi Musaasizi."},{"id":34,"translation":"Era mazima twassa gye muli ebigambo (bya Kulaani) ebinnyonnyola, era (ne tussa) eby'okulabirako ebikwata ku abo abaaliwo olubereberye lwa mmwe era ekyo nga kya kubuulirira eri abatya Katonda."},{"id":35,"translation":"Allah y'aleeta ekitangaala mu ggulu omusanvu n'ensi ekifaananyi ky'ekitangaala Kye kiri nga akafo akaazimbirwa mu kisenge nga ka kuteekamu ttaala (naye nga tekayitamu kitangaala kuva bweru, ettaala bw'eyaka ekitangaala kyayo kikoma ku kisenge ky'akafo ako, ekiyamba abali mu kisenge ky'akafo okufuna ekitangaala obulungi, akafo ako) nga kalimu ettaala nga ettaala eri mu kirawuli ekirawuli nga kiringa emmunyeenye etangalijja nga eteekebwamu amafuta agava mu muti omuzayituuni ogw'omukisa nga si gwe buvanjuba wadde ebugwanjuba (mu nnimiro mwe gwakulira ne guba nga gwafunanga ekitangaala ky'enjuba ebbanga erimala), amafuta gaagwo kumpi gaaka newaakubadde nga tegatuukiddwako muliro, ne kiba nga kitangaala ku kitangaala kinnaakyo (anti ekitangaala ky'ettaala kyegatta ku kitangaala ky'ekirawuli ate nno bw'ogattako amafuta amalungi ennyo ne gubula asala). Allah alunngamya eri Ekitangaala Kye oyo gw'aba ayagadde era allah akubira abantu ebifaananyi era Allah bulijjo amanyi ebifa ku buli kintu."},{"id":36,"translation":"Mu mayumba (emizikiti) Allah ge yakkiriza gazimbibwe era n'alagira Erinnya Lye libeere nga lyogerwako mu go, (omwo nno) mwe bamutenderereza enkya n'olweggulo."},{"id":37,"translation":"Abasajja abatalabankanyizibwa bya busuubuzi wadde okutunda ne bitabaggya ku kwogera ku Allah n'okuyimirizaawo esswala n'okutoola Zzaka nga batya olunaku emitima n'amaaso lwe birikankana."},{"id":38,"translation":"Olwo nno Allah abasasule ebirungi by'ebyo bye baakola era abongeze mu birungi Bye, bulijjo Allah agabirira oyo gw'aba ayagadde awatali kubalirira."},{"id":39,"translation":"Ate abo abaawakanya emirimu gyabwe girirabika nga ennyanja ey'okumusenyu (so nga tebaawo) omuyonta agirabanga amazzi bw'atuuka w'agirabye tasangawo kintu kyonna wabula mu kifo ekyo asangawo Allah n'amuwa mu bujjuvu okubalibwa kwe. Bulijjo Allah Mwangu mu kubala (kwe)."},{"id":40,"translation":"Oba (abatakkiriza emirimu gyabwe) giri nga ebizikiza ebiri mu nnyanja ey'ennyanga nga ebikkiddwa amayengo ng'ate waggulu waayo waliyo amayengo amalala ng'ate waggulu waago waliyo ebire ne biba bizikiza ebiri waggulu wa binnaabyo (omuntu singa abadde mu kifo ekyo) bw'ajjayo omukonogwe aba kumpi obutagulaba oyo yenna Allah gw'atawadde kitangaala tayinza kufuna kitangaala."},{"id":41,"translation":"Abaffe tolaba nti mazima Allah (ebitonde) byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi bimutendereza n'ebinyonyi nga byanjuluzza ebiwaawaatiro (mu kumutendereza) buli kimu (Katonda) amanyi okusinza kwa kyo n'okutendereza kwa kyo.Anti Allah amanyidde ddala ebyo bye bakola."},{"id":42,"translation":"Bwa Allah obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi, era ewa Allah y'eri obuddo."},{"id":43,"translation":"Abaffe tolaba nti mazima Allah atambuza ebire bw'amala na'bikunngaanya wamu oluvannyuma n'abifuula entuumu olwo n'olaba nga enkuba etonnya okuva mu byo era atonnyesa omuzira okuva waggulu mu nsozi (ez'amazzi agakutte ebitole mu bbanga) n'atuusa n'omuzira ku oyo gw'aba ayagadde ate n'aguwonya oyo gw'aba ayagadde. Ekitangaala ky'e kimyanso kya byo kibulako katono okuziba amaaso (g'abantu)."},{"id":44,"translation":"Allah akyusakyusa ekiro n'emisana, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga eri abalina amaaso."},{"id":45,"translation":"Allah yatonda buli kiramu nga akiggya mu mazzi, mu byo mulimu ekitambulira ku lubuto lwa kyo, ne mu byo mulimu ekitambulira ku magulu abiri, era mulimu ekitambulira ku ana, Katonda atonda ekyo ky'aba ayagadde. Mazima Katonda Muyinza ku buli kintu."},{"id":46,"translation":"Mazima twassa obubonero obunnyonnyola, bulijjo Allah alunngamya gw'aba ayagadde ku kkubo eggolokofu."},{"id":47,"translation":"(Abannanfusi) bagamba nti tukkirizza Allah n'Omubaka era ne tugonda ate ekitundu ku bo ne kyekyusa oluvanyuma lw'ekyo, era abo si Bakkiriza."},{"id":48,"translation":"Bwe bayitibwa okudda eri Allah n'Omubaka We abe nga alamula wakati wa bwe ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bakyawukanako."},{"id":49,"translation":"Bwe kiba nga amazima gali ku ludda lwa bwe bajja gy'ali (Nnabbi) nga bagonvu."},{"id":50,"translation":"(Ekibakozesa ekyo) abaffe mu mitima gyabwe mulimu obulwadde oba babuusabuusa (Obwannabbi bwe), oba batya Allah n'Omubaka We okubasaliriza, si bwekiri abo be beeyisa obubi."},{"id":51,"translation":"Mazima ekigambo kya Abakkiriza (kyebandigambye) kyalibadde wonna we babayitira okudda eri Katonda n'Omubaka We abe nga alamula wakati waabwe bandigambye nti tuwulidde era ne tugonda era abo be b'okutuuka ku buwanguzi."},{"id":52,"translation":"Oyo yenna agondera Allah n'Omubaka We n'atya Allah ne yeeyisa nga Allah bw'ayagala abo be bawanguzi."},{"id":53,"translation":"Era (abannanfusi) balayira Katonda olw'okukkaatiriza ebirayiro byabwe, nti singa obalagidde (okugenda ku lutabaalo naawe) ddala bajja kugenda naawe, bagambe nti temulayira, okugonda kwa mmwe (kwe mulangirira) kumanyiddwa (nga kwa bulimba). Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola."},{"id":54,"translation":"Bagambe nti: Mugondere Allah era mugondere Omubaka, bwe bagaana mazima (Nnabbi) avunaanyizibwa ku ebyo ebyamutikkibwa nga nammwe bwe muvunaanyizibwa ku ebyo ebyabatikkibwa, naye bwe mumugondera mujja kulunngama, era Omubaka tabanjibwa okuggyako okutuusa Obubaka okw'olwatu."},{"id":55,"translation":"Allah yalagaanyisa abo abakkiriza mu mmwe ne bakola emirimu emirongoofu nti ajja kubawa obuyinza mu nsi, nga bwe yawa abo abaaliwo olubereberye lwa bwe era nti ajja kubanywereza Eddiini yaabwe eyo gye yabasiimira, era oluvannyuma lw'okuwangaalira mu kutya ajja kubawaanyisizaamu emirembe, babe nga bansinza nga tebangattako kintu kirala kyonna, oyo yenna alikola ekimenya amateeka oluvannyuma lw'ekyo abo nno be boonoonyi."},{"id":56,"translation":"Muyimirizeewo esswala era mutoole zzaka mugondere n'Omubaka mube nga musaasirwa."},{"id":57,"translation":"Abo abaawakanya Allah n'Omubaka We tosuubira nti bayinza okulemesa (Allah) mu nsi, obuddo bwabwe Muliro era buddo bubi ddala."},{"id":58,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, (abaddu) bateekeddwa okubasaba okuyingira mu biseera bya mirundi esatu abo begyafuna e mikono gyammwe egya ddyo, n'abo abatannaba kuweza myaka gya bukulu mu mmwe, (bwe baba nga bayingira gye muli mu biseera ebyo, nabyo) esswala ya Subuhi nga tennatuuka, ne mu kiseera we mweyambulira engoye zammwe mu ttuntu, n'oluvanyuma lw’esswala ya Isha, (ebyo) biseera byammwe bisatu okubeera obwereere, nga oggyeko ebiseera ebyo, mmwe nabo temulina musango mwenna wamu bwe bayingira gye muli nga tebasabye, abantu abo babeetoolooleramu nga abamu musisinkana bannammwe, bw'atyo (Allah) bw'abannyonnyola ebigambo anti bulijjo Allah Mumanyi nnyo Mugobansonga."},{"id":59,"translation":"Abato mu mmwe bwe batuuka e myaka gy'obukulu bateekwa okusaba okukkirizibwa okuyingira nga bwe basaba abo abakulembedde, bw'atyo Allah bw'abannyonnyola Ebigambo Bye, era bulijjo Allah Mumanyi nnyo Mugobansonga."},{"id":60,"translation":"N'abannyuka eby'obufumbo mu bakyala abo abatakyalina ssuubi mu kufumbirwa, tebalina kabi obuteebikkirira naye nga tebeejaajaamya na bya kwenyiriza, era okwessaamu ensa kye kisinga obulungi gye bali, era bulijjo Allah awulira nnyo Mumanyi."},{"id":61,"translation":"Muzibe talina kibi, n'omulema talina kibi wadde omulwadde talina kibi (nga bo) namwe temulina kibi okulya mu maka gammwe, oba mu maka ga ba kitammwe, oba mu maka ga ba nnyammwe, oba mu maka ga baganda bammwe, oba mu maka ga bannyinammwe, oba mu maka ga bakitammwe abato oba mu maka ga bassengammwe, oba mu maka ga bakkojjammwe oba mu maka ga bamaama bammwe abato, oba amaka ge mufuga ebisumuluzo byago, oba amaka ga mukwano gwammwe temulina kabi okuliira awamu oba nga mweyawuddeyawudde, bwe muyingiranga amayumba mwetoolere ‘salaamu’, ekyo nga kiramuso eky'omukisa ekirungi ekiva ewa Allah. Bw'atyo Allah bw'abannyonnyola Amateeka Ge mulyoke mutegeere."},{"id":62,"translation":"Mazima Abakkiriza beebo abakkiriza Allah n'Omubaka We era bwe baba naye ku nsonga ebakwatako bonna tebayinza kuvaawo okuggyako nga bamaze kumusaba, mazima abo abakusaba okubakkiriza bagende, beebo abakkiriza Allah n'Omubaka We, kale bwe baba bakusabye olw'ezimu ku nsonga zaabwe wa olukusa oyo gw'oba oyagadde mu bo era osabe Allah abasonyiwe, mazima Allah Musonyiyi nnyo Musaasizi."},{"id":63,"translation":"Temufuulanga engeri gye mukoowoola omubaka nga engeri gye mwekoowoolamu mwekka na mwekka, mazima Allah amanyi abo abeemulula mu mmwe nga bebbirira, abo abaawukana ku Kigambo Kye bateekeddwa okutya okuba nga batuukwako okugezesebwa oba ebibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":64,"translation":"Abange, mazima bya Allah Yekka ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima amanyi ekyo kye mubaako era (amanyi) olunaku lwe baliddizibwa gy'ali olwonno abategeeze bye baakola era Allah amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu."}]},{"id":25,"verses":[{"id":1,"translation":"Musukkulumu oyo eyassa Kulaani ku Muddu We eyawula wakati w'amazima n'obulimba alyoke abeere omutiisa eri ebitonde."},{"id":2,"translation":"Oyo Nnannyini Bufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi ateeteerawo mwana era atalina amwegattako mu bufuzi era eyatonda buli kintu n'akikola olukola olukisaanira."},{"id":3,"translation":"Ate (abatakkiriza) baamuvaako ne beeteerawo ebisinzibwa ebirala ebitalina kintu kyonna kye bitonda so ng'ate byo by'atondebwa, era nga tebalina buyinza kwetuusaako kabi oba ekirungi, era tebalina buyinza ku kufa wadde ku bulamu wadde ku kuzuukira."},{"id":4,"translation":"Abaawakanya Allah n'Omubaka We baagamba nti ebigambo (bya Muhammadi) tebirina kye biri okuggyako okuba nti bulimba bweyagunjaawo, era abantu abalala ne bamuyamba ku kubuyimirizaawo, olwo nno ne baba nga baleese okweyisa obubi n'okutemerera."},{"id":5,"translation":"Era ne bagamba nti (ebyo by'ayogera) nfumo z'abaasooka, yasaba ne zimuwandiikirwa olwo nno zimusomerwa enkya n'eggulo."},{"id":6,"translation":"Bagambe nti (Kulaani) yagissa Oyo amanyi ebyama by'omuggulu omusanvu n'e nsi, mazima Yye (Katonda) bulijjo Musonyiyi Musaasizi."},{"id":7,"translation":"Era baagamba nti: Ono Mubaka wa ngeri ki alya emmere n'atambula mu butale! Singa Malayika yassibwa gy'ali n'abeera mutiisa awamu naye (nga amuyambako)."},{"id":8,"translation":"Oba eby'obugagga ne bissibwa gy'ali (okuva mu ggulu) oba abe nga alina ennimiro mw'alya. Era abeeyisa obubi ne bagamba nti temulina gwe mugoberera okuggyako omusajja omuloge."},{"id":9,"translation":"Laba engeri gye bakukubira ebifaananyi, olwo nno ne babula, n'olwekyo tebayinza kufuna kkubo libazza (ku mazima)."},{"id":10,"translation":"Musukkulumu Oyo singa aba ayagadde yaalikuteereddewo ebirungi okusinga ebyo, (nga nabyo) ge malimiro agakulukutiramu emigga era n'akuteerawo embiri."},{"id":11,"translation":"Wabula (ekibaleetera obuzibu kwe kuba nti) baalimbisa Olunaku lw'Enkomerero, ate nga abalimbisa Olunaku lw'Enkomerero twabategekera Omuliro."},{"id":12,"translation":"(Omuliro ogwo) bwe gulibalaba okusinziira ewala baliwulira obusungu bwa gwo n'okutokota."},{"id":13,"translation":"Bwe balisuulibwa mu gwo, nga buli omu asuulibwa mu kifo ekifunda nga balijjiddwa, olwo nno balikaaba yaaye."},{"id":14,"translation":"Baligambibwa nti temukaaba ‘yaaye’ mulundi gumu, mukaabe ‘yaaye’ emirundi mingi."},{"id":15,"translation":"Bagambe nti ekyo (eky'okuyingira Omuliro) kye kirungi oba Ejjana ey'olubeerera eyo eyalagaanyisibwa abatya Katonda, egenda kubeera mpeera gye bali era nga buddo."},{"id":16,"translation":"Muyo bagenda kufuna bye baagala era baakubeeramu obugenderevu (ekyo) ku Mukama Omulabirizi Wo ndagaano erina okukuumwa obutiribiri."},{"id":17,"translation":"Ku Lunaku lw'alibakunngaanya n'ebyo bye basinza ne baleka Allah alibagamba nti mmwe mwabuza abaddu bange abo oba be baabulwa ekkubo?"},{"id":18,"translation":"Baligamba nti: Wasukkuluma (Mukama). Tekitugwanirangako kweteerawo bakuumi balala ne tukuvaako, wabula wabeeyagaza ne bakadde baabwe okutuusa lwe beerabira okutendereza ne baba abantu ab'okuzikirira."},{"id":19,"translation":"(Katonda alibagamba nti) mazima babalimbisizza ku ebyo bye mwogera temusobola kweggyako bibonerezo wadde okutaasibwa, oyo yenna eyeeyisa obubi mu mmwe tumukombesa ku bibonerezo ebikambwe."},{"id":20,"translation":"Era tetwatuma olubereberye lwo Babaka okuggyako nga mazima bo baliira ddala emmere nga batambula ne mu butale, era ne tufuula abamu ku mmwe ekikemo eri abalala, abaffe munaagumiikiriza, bulijjo Mukama Omulabirizi Wo alabira ddala."},{"id":21,"translation":"Abo abatasuubira kutusisinkana ne bagamba nti: Singa twassibwako Bamalayika oba netulaba Mukama Omulabirizi Waffe, mazima beekuza nnyo mu myoyo gyabwe ne babula olubula oluyitirivu."},{"id":22,"translation":"Olunaku lwe baliraba Bamalayika tewaliba mawulire ga ssanyu ku Lunaku olwo eri aboonoonyi, era (Bamalayika) baligamba nti: Kikafuuwe tekigenda kubaawo (omu ku mmwe okuyingira (Ejjana)."},{"id":23,"translation":"Awo nno tulidda ku buli mulimu (omulungi) gwe baakola ne tugufuula olufufugge olufuumuddwa."},{"id":24,"translation":"Abantu b'o mu Jjana ku Lunaku olwo be baliba n'obutebenkero obulungi, era be baliba n'ebifo ebiwummulirwamu ebirungi."},{"id":25,"translation":"N'olunaku eggulu lwe liriyatikamu ne liba nga lijjudde ebire, era Bamalayika ne bassibwa olussibwa."},{"id":26,"translation":"Obufuzi obwa nnamaddala ku Lunaku olwo buliba bwa Mukama Katonda Ow'ekisa ekingi, lugenda kuba lunaku luzito nnyo ku batakkiriza Allah n'Omubaka We."},{"id":27,"translation":"Era olunaku omulyazaamaanyi lw'aliruma engalo ze aligamba nti zinsanze, singa nnateekawo ekkubo erinnyunga ku Mubaka."},{"id":28,"translation":"Nga ndabye nze singa ssaafuula gundi w'amukwano."},{"id":29,"translation":"Mazima yambuza n'anzigya ku Kulaani nga emaze okuntuukako, anti bulijjo Sitaane ayabulira omuntu."},{"id":30,"translation":"Omubaka aligamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, mazima abantu bange Kulaani eno baagifuula kifulukwa."},{"id":31,"translation":"Era bwe kityo buli Nnabbi twamuteerawo omulabe nga ava mu boonoonyi, era Mukama omulabiriziwo amala okuba nga Ye Mulunngamya era Omutaasa."},{"id":32,"translation":"Abo abaawakanya Allah ne Omubaka we b'agamba nti: Singa Kulaani yamussibwako omulundi gumu, twagissa bwe tutyo (mu bitundutundu) tube nga tunyweza nayo omutima gwo era ne tugikusomera olusoma (mpola mpola)."},{"id":33,"translation":"Tebalina lwe bakuleetera kyakulabirako wabula nga tukuleetera amazima n'ennyinyonnyola esinga obulungi."},{"id":34,"translation":"Abo abaliwalulirwa ku byenyi byabwe nga batwalibwa mu Muliro Jahannama, abo be bali mu kifo ekisinga obubi era be basinga okubula okuva ku Kkubo ettuufu."},{"id":35,"translation":"Mazima twawa Musa Ekitabo ne tumussaako Muganda we Haaruuna nga muyambi."},{"id":36,"translation":"Netugamba nti mwembi mugende eri abantu abaalimbisa Ebigambo Byaffe, olwo nno ne tubazikiriza oluzikiriza."},{"id":37,"translation":"N'abantu ba Nuuhu bwe baalimbisa Ababaka twabazikiririza mu mazzi netubafuula eky'okulabirako eri abantu.Era twategekera abeeyisa obubi ebibonerezo ebirumya."},{"id":38,"translation":"Era twazikiriza abantu ba Aadi, n'aba Thamuudu, era ne Bannannyini Luzzi, era netuzikiriza n'abantu b'emirembe emirala mingi wakati w'abo."},{"id":39,"translation":"Buli mulembe ku egyo twabakubiranga ebifaananyi (ebyabo abaabasookawo), era buli bamu ku abo twabazikiriza oluzikirira (olw'obujeemu bwabwe)."},{"id":40,"translation":"(Abagatta ku Katonda ebintu ebirala ab'e Makka baali batambula enngendo zaabwe) mazima baatuuka mu kitundu ekyafukumulwako ebibonerezo ebibi (amayinja agaakuba ab'omulembe gwa Luutu). Abaffe baali tebakiraba (ne beebuulirira)?Wabula ekituufu baali tebasuubira kuzuukira."},{"id":41,"translation":"Era bwe baba bakulabye tebalina ngeri gye bakulaba okuggyako okukujeeja obujeeja (nga bwe bagamba) nti: Ono y'oyo Allah gweyatuma nga Mubaka!."},{"id":42,"translation":"Ali kumpi nnyo okutubuza nga atuggya ku bisinzibwa byaffe baffe singa tunaaba tetunyweredde ku kusinza bo, naye bajja kumanya mu kiseera webanaalabira ebibonerezo ani eyabula okuva ku Kkubo (eggolokofu)."},{"id":43,"translation":"Abaffe olaba oyo afuula okwagala kwe nga ye ekisinzibwa kye, abaffe ggwe onoobeera omweyimirize we."},{"id":44,"translation":"Oba olowooza nti abasinga obungi mu bo bawulira ebigambo bya Katonda, oba babitegeera, tebalina kye bali ku ebyo okuggyako balinga nsolo, wabula bo baabula nebayitawo okuva ku kkubo eggolokofu."},{"id":45,"translation":"Abaffe tolaba Mukama Omulabirizi wo engeri gy'awanvuyaamu ekisiikirize, singa yayagala yaalikirese nga kiyimiridde mu kifo kimu, ate twafuula enjuba nga y'eraga okubaawo n'okutambula kw'ekisiikirize."},{"id":46,"translation":"Bwe tumala tukikwata ne tukiggyawo nga tukiggyawo mpola mpola."},{"id":47,"translation":"Era Yye (Katonda) Y'Oyo eyabateerawo ekiro nga kibikka, n'abateerawo n'okwebaka nga kuwummula n'ateekawo obudde obw'emisana nga mwemusaasaanira (olw'okunoonya eky'okulya)."},{"id":48,"translation":"Era Yye Y'Oyo asindika empewo nga zisaasaanya amawulire ag'essanyu (enkuba) nga ekyo kiri wansi wa Mikono gya kusaasira kwe, era tussa okuva waggulu amazzi amayonjo."},{"id":49,"translation":"Tube nga tuzza buggya ekitundu ekikaze era tuganywese bingi mu bye twatonda (nga) ebisolo n'abantu bangi."},{"id":50,"translation":"Era mazima twaginnyonnyola (Kulaani) mu bo babe nga beebuulirira wabula abantu abasinga obungi ne bagaana era nebakalambirira ku buwakanyi."},{"id":51,"translation":"Singa twayagala buli kitundu twandikitumidde omutiisa, (naye twasalawo obeere Omubaka eri bonna)."},{"id":52,"translation":"N'olwekyo togondera bawakanyi (kozesa Kulaani) obalwanyise olulwanyisa olw'amaanyi."},{"id":53,"translation":"Era (Katonda) Y'Oyo eyagatta amazzi ag'ennyanja ebbiri (ez'enjawulo), gano mawoomu nnyo era nga ganywebwa ate nga gali ga munnyu teganywebwa, era yassa wakati wa gombi ekisenge ekyawula era ekiziyiza ekigagaana okwetabula."},{"id":54,"translation":"Era Yye Y'Oyo eyatonda omuntu nga amuggya mu mazzi, (mu muntu oyo yennyini) n'aggyamu ab'oluganda n'abako. Bulijjo Mukama Omulabirizi Muyinza."},{"id":55,"translation":"(Ate abantu balekawo Allah) ne basinza ebintu ebirala ebitali Allah ebyo ebitabagasa era ebitayinza kubatuusaako kabi, era bulijjo oyo atakkiriza Allah ayamba Sitaane mu kulwanyisa Katonda Omulabirizi We."},{"id":56,"translation":"Era tetwakutuma okuggyako nga oli omusanyusa era omutiisa."},{"id":57,"translation":"Gamba nti: (Kino kye nkola) sikibasabirako mpeera (era sirina kye njagala) okuggyako oyo asalawo okweteerawo ekkubo erimutwala eri Mukama Omulabirizi We."},{"id":58,"translation":"Era weekwate ku Mulamu Oyo atafa, era tendereza ebitendo bye. Kimala okuba nti Yye amanyidde ddala ebyonoono by'abaddu Be."},{"id":59,"translation":"Oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga oluvannyuma n'atereera ku Arishi (Katonda) Omusaasizi ow'ekisa ekingi (bw'oba oyagala okumumanya) buuza abakenkufu ku bimukwatako."},{"id":60,"translation":"(Abatakkiriza Allah n'Omubaka We) bwe bagambibwa nti muvunnamire Omusaasizi Ow'ekisa ekingi (Katonda), bagamba nti Omusaasizi Ow'ekisa ekingi oyo y'ani! Tumale gavunnamira oyo gw'otulagira (nga tetumanyi) ne kibongera kwesamba (ddiini)."},{"id":61,"translation":"Musukkulumu Oyo eyateeka ku ggulu ebifo ebibeeramu emmunyeenye, era n'ateekako ettaala (enjuba eyaka) n'omwezi oguwa ekitangaala."},{"id":62,"translation":"Era Yye Y'Oyo eyassaawo ekiro n'emisana nga bigoberegana (yabiteerawo) oyo ayagala okwebuulirira oba ayagala okwebaza."},{"id":63,"translation":"Bo abaddu ba Katonda beebo abatambula ku nsi nga bakkakkamu. Abatategeera bwe boogera nabo (ebigambo by'ekiyaaye) bo baddamu nti mirembe."},{"id":64,"translation":"Era beebo ku lwa Mukama Omulabirizi Waabwe abasula nga bavunnama era abayimirira (nga basaala)."},{"id":65,"translation":"Era beebo abagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Waffe tuwuguleko ebibonerezo by'Omuliro Jahannama anti mazima ebibonerezo byagwo bya lubeerera."},{"id":66,"translation":"Mazima ggwo kifo era butebenkero obubi."},{"id":67,"translation":"(Abaddu ba Katonda) era beebo bwe baba nga bagabye tebadiibuuda era tebaganiriza, okuwaayo kwabwe kuli wakati w'ebyo byombi."},{"id":68,"translation":"Era beebo abatasinziza ku Allah kintu kirala, era abatatta muntu oyo Allah gwe yaziza okuggyako nga waliwo ensonga entuufu ey'obusiraamu, era abatayenda, naye omuntu akola ekimu ku ebyo agenda kusisinkana (ebibonerezo) ebibi."},{"id":69,"translation":"(Si kye kyokka wabula) ebibonerezo bijja ku mukubisizibwamu ku lunaku lw'Enkomerero era waakubituulamu obugenderevu mu ngeri enyoomesa."},{"id":70,"translation":"Okuggyako oyo alyenenya nakkiriza naakola emirimu emirungi. Abo nno Katonda ebibi bya bwe agenda kubawaanyisizaamu ebirungi. Era bulijjo Allah Musonyiyi Musaasizi."},{"id":71,"translation":"Omuntu yenna eyeenenya n'akola emirimu emirungi, mazima yye aba yeemenyedde Katonda olwemenya olwannamaddala."},{"id":72,"translation":"(Abaddu ba Katonda) era beebo abatawa bujulizi ku bigambo bya bulimba, era bwe bayita mu bifo omukolerwa ebitali bya magezi bayitawo nga beewa ekitiibwa."},{"id":73,"translation":"Era beebo bwe bajjukizibwa ebigambo bya Mukama Omulabirizi Waabwe tebabidduka okweyisa nga abatabiwulira oba abatabiraba."},{"id":74,"translation":"Era beebo abagamba nti ayi Mukama Omulabirizi Waffe, tuwe nga oggya mu bet twafumbiriganwa nabo era nga oggya ne mu zzadde lyaffe ekitebenkeza amaaso gaffe, era otufuule abakulembeze b'abo abakutya."},{"id":75,"translation":"Abo nno bagenda kusasulwa nga baweebwa ebifo bya waggulu olw'obugumiikiriza bwe baakola. Nga bali mu byo bagenda kuweebwa ebiramuso ne ssalaamu (eziriva mu Bamalayika)."},{"id":76,"translation":"Baakubeeramu olubeerera nga butebenkero era butuulo obulungi."},{"id":77,"translation":"Bagambe (ggwe Muhammadi abo abawakanya Katonda) nti Katonda Wange talina kimutawaanya lwa kuba nti temumusaba, mazima mwalimbisa era mu bwangu mujja kutuukibwako ebibonerezo ebyakakata edda ku mmwe."}]},{"id":26,"verses":[{"id":1,"translation":"Twaa Siin Miim."},{"id":2,"translation":"Ebyo bye bigambo by'ekitabo ekinnyonnyola."},{"id":3,"translation":"Olabika nga ayagala okwetta olw'okuba bagaanye okuba Abakkiriza."},{"id":4,"translation":"Singa twagadde twandissizza ku bo okuva mu ggulu akabonero, ensingo zaabwe nezikagondera olubeerera."},{"id":5,"translation":"Tewali bubaka bwonna bupya kuva wa Katonda Omusaasizi ennyo wabula bo babuwakanya."},{"id":6,"translation":"Nebaba nga mazima balimbisa, bigenda kubajjira ebigambo ebyo bye baali bajeeja"},{"id":7,"translation":"Abaffe tebatunuulira nsi ne balaba bimeka bye twameza mu yo mu buli mutindo oguvaamu emigaso."},{"id":8,"translation":"Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza Bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza."},{"id":9,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi wo ddala Yye ye Nnantakubwakumukono Omusaasizi ennyo."},{"id":10,"translation":"Era jjukira ekiseera Mukama Omulabirizi wo bwe yakoowoola Musa (n'amulagira) nti: Genda eri abantu abeeyisa obubi."},{"id":11,"translation":"Abantu ba Falaawo (obagambe nti) abaffe tebatya (Katonda)!."},{"id":12,"translation":"(Musa) n'agamba nti: Mazima nze ntya okuba nga bannimbisa."},{"id":13,"translation":"Ekifuba kyange ne kifunda olulimi lwange ne lutayatula bulungi, n'olwekyo lagira Haaruuna (annyambeko)."},{"id":14,"translation":"Ate banvunaana omusango, ntya nti bayinza okunzita."},{"id":15,"translation":"(Katonda) n'agamba nti: Nedda mugende n'obubonero Bwaffe mazima Ffe tuli wamu nammwe tuwulira (tugoberera buli ekigenda mu maaso)."},{"id":16,"translation":"Mugende ewa Firaawo mumugambe nti mazima ffe tutumiddwa Mukama Omulabirizi W'ebitonde byonna."},{"id":17,"translation":"(Atugambye nti) tuwe abaana ba Isirayiri tugende nabo."},{"id":18,"translation":"(Falaawo) n'agamba nti: Tetwakukuliza mu ffe okuva nga oli mwana muto, era nga wawangaalira mu ffe emyaka mingi ku buwangaazi bwo?"},{"id":19,"translation":"Era n'okola ekikolwa kyo ekyo kye wakola ekyakufuula okuba mu batasiima bye baakukolera."},{"id":20,"translation":"(Musa) n'agamba nti nnakikola bwe nnali nkyali mu babuze."},{"id":21,"translation":"Olwo nno ne mbadduka bwe nnabatya, awo Mukama Omulabirizi Wange n'angabira okumanya ensonga era n'anteeka mu Babaka."},{"id":22,"translation":"N'ekyo ekyengera (eky'okundera n'okukulira mu mmwe) okinnangira naye nga ggwe abaana ba Isirayiri wabafuula abaddu."},{"id":23,"translation":"Falaawo n'agamba nti: Mukama Omulabirizi w'ebitonde byonna gw'oyogerako ye ani?."},{"id":24,"translation":"Musa n'agamba nti: Mukama Omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi bwe muba nga mwetegereza ensonga."},{"id":25,"translation":"(Falaawo) kwe kugamba abaali naye awo nti: Abaffe temuwulira (nga bw'abijweteka)."},{"id":26,"translation":"(Musa) n'agamba nti: Ye Mukama Omulabirizi Wammwe, era Mukama Omulabirizi Wa bakadde bammwe abaasooka."},{"id":27,"translation":"(Falaawo) n'agamba nti: Mazima Omubaka wammwe oyo eyatumiddwa gyemuli mulalu."},{"id":28,"translation":"(Musa) n'agamba nti (Ye) Mukama Omulabirizi w'ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'ebyo ebiri wakati wa byombi, singa mubadde mutegeera."},{"id":29,"translation":"(Falaawo) n'agamba nti: Mazima singa oteekawo Katonda omulala atali nze nja kukuteekera ddala mu b'okusibwa."},{"id":30,"translation":"(Musa) n'agamba nti: Ne bwennaaba nkuleetedde ekintu ekyeyolefu (ekiraga obutuufu bw'ebyo byenngamba)?"},{"id":31,"translation":"(Falaawo) n'agamba nti: Aale kireete bw'oba nga oli mu boogera amazima."},{"id":32,"translation":"Awo Musa n’asuula omuggo gwe, okugenda okwekanga nga gufuuse omusota ogwannamaddala."},{"id":33,"translation":"Era n'aggyayo omukono gwe, okugenda okulaba nga mweru eri abagulaba."},{"id":34,"translation":"(Falaawo) naagamba abo abaali batudde we yali nti: Mazima ono mulogo mukugu."},{"id":35,"translation":"Ayagala kubaggya mu nsi yammwe nga akozesa eddogo lye, kati mugamba ki?"},{"id":36,"translation":"Ne bagamba nti mulagaanyise ne Mugandawe (ddi na wa) aw'okubasisinkana era otume mu bitundu eby'enjawulo abakunngaanya abalogo."},{"id":37,"translation":"Bajja kukuleetera buli mulogo kakensa."},{"id":38,"translation":"Olwo nno abalogo ne bakungaanyizibwa mu kiseera ekiragaane ku lunaku olumanyiddwa."},{"id":39,"translation":"Abantu nebagambibwa nti: Abaffe mmwe munaakunngaana?"},{"id":40,"translation":"Sikulwa nga tunaagoberera abalogo bwe banaaba bo nga be bawangudde."},{"id":41,"translation":"Abalogo bwe bajja baagamba Falaawo nti: Mazima tunaaweebwa empeera bwe tunaaba nga ffe tuwangudde?"},{"id":42,"translation":"(Falaawo) n'agamba nti: Weewaawo era mazima mmwe singa kinaaba bwe kityo mujja kubeera baakulusegere."},{"id":43,"translation":"Musa n'abagamba nti: Kale mwanje kye mwanja."},{"id":44,"translation":"Nebasuula emiguwa gyabwe n'emiggo gyabwe era ne bagamba nti: Ku lw'ekitiibwa kya Falaawo mazima ffe tujja kuwangula."},{"id":45,"translation":"Olwo nno Musa n'asuula omuggo gwe okugenda okulaba nga gumira buli kye baali bagunjizzaawo."},{"id":46,"translation":"Awo nno abalogo ne beeyala nga bavunnama."},{"id":47,"translation":"Nebagamba nti: Tukkirizza Mukama Katonda Omulabirizi W'ebitonde."},{"id":48,"translation":"Mukama Omulabirizi wa Musa ne Haaruuna."},{"id":49,"translation":"Falaawo n'abuuza nga agamba nti: Mukkirizza by'agamba nga sinnaba kubawa lukusa, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wammwe eyabayigiriza eddogo, kale nno mujja kukitegeera, nja ku bakutulako emikono gyammwe n'amagulu ga mmwe nga bwe nkuggyako okugulu okwa ddyo, omukono nkuggyako gwa kkono, era ddala mwenna nja ku bakomerera ku musaalaba."},{"id":50,"translation":"Ne bagamba nti ekyo tekiriimu buzibu, (anti) mazima ffe tujja kuba tudda eri Mukama Omulabirizi Waffe waffe."},{"id":51,"translation":"Mazima ffe tululunkanira okuba nga Mukama Omulabirizi Waffe atusonyiwa ebyonoono byaffe bwe tuba nga ffe abakkiriza abasooka."},{"id":52,"translation":"Era netutumira Musa nti tambula ekiro n'abaddu Bange, mazima mmwe mujja kulondoolwa."},{"id":53,"translation":"Falaawo n'atuma mu bibuga abakunngaanya (eggye era n'agamba nti):"},{"id":54,"translation":"Mazima abo kabiina ka bantu batono."},{"id":55,"translation":"Era mazima bo batunyiizizza."},{"id":56,"translation":"Era nga bulijjo mazima ffe nga tukolera wamu tuli abantu abeekengera."},{"id":57,"translation":"(Okusinziira ku nteekateeka zaabwe ne bye bakola ate) twabaggya mu malimiro n'ensulo ezikulukuta."},{"id":58,"translation":"N'amawanika n'ebifo eby'ekitiibwa."},{"id":59,"translation":"Bwe tutyo nno ne tubisikiza abaana ba Yisirayiri."},{"id":60,"translation":"Olwo nno ne babawondera nga busaasaana."},{"id":61,"translation":"Ebibinja byombi bwe byalengeragana abantu ba Musa baagamba nti mazima ffe bajja kutukwata (batutte)."},{"id":62,"translation":"(Musa) naagamba nti nedda mazima Mukama omulabirizi wange ali nange ajja kundaga eky'okukola."},{"id":63,"translation":"Awo nno ne tutumira Musa nti kuba omuggo gwo ku nnyanja, olwo neebejjukamu, buli kibajjo ne kiba nga olusozi olunene."},{"id":64,"translation":"Netusembeza awo abalala (Falaawo n'e ggye lye nabo ne bayingira ekkubo Musa lye yakuba ku nnyanja)."},{"id":65,"translation":"Netuwonya Musa n'abaali naye bonna."},{"id":66,"translation":"Oluvanyuma twazikiriza abasigadde (abatakkiriza Musa)."},{"id":67,"translation":"Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza Bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza."},{"id":68,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi wo ddala Yye Ye Nnantakubwakumukono Omusaasizi ennyo."},{"id":69,"translation":"Era basomere ekyafaayo kya Ibraahiimu."},{"id":70,"translation":"Bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti musinza biki?"},{"id":71,"translation":"Nebagamba nti: Tusinza masanamu ne tubeera we gali era ne tugawa ebiseera bingi mu kugasinza."},{"id":72,"translation":"(Ibrahim) naagamba nti abaffe bwe musaba gabawulira."},{"id":73,"translation":"Oba bibagasa oba bisobola okubatuusaako akabi."},{"id":74,"translation":"Ne bagamba nti: Nedda, wabula twasanga bakadde baffe nga bakola bwebatyo."},{"id":75,"translation":"N'agamba nti: Mulaba ebyo bye musinza."},{"id":76,"translation":"Mmwe ne bakadde bammwe abaabakulembera."},{"id":77,"translation":"Mazima byo balabe bange, okuggyako Mukama Omulabirizi w'ebitonde byonna."},{"id":78,"translation":"Oyo eyantonda, Yye y'annunngamya."},{"id":79,"translation":"Era Yye Y'Oyo andiisa n'annywesa."},{"id":80,"translation":"Era bwe ndwala Yye y'amponya."},{"id":81,"translation":"Era Y'Oyo alinzita ate alinziriza obulamu."},{"id":82,"translation":"Era Yye Gwe ndulunkanira abe nga ansonyiwa ebyonoono byange ku Lunaku lw'okusasulwa."},{"id":83,"translation":"Ayi Mukama Omulabirizi Wange, ngabira okumanya ensonga era onsisinkanye abalongoofu."},{"id":84,"translation":"Era onteerewo okwogerwako obulungi mu balijja oluvannyuma."},{"id":85,"translation":"Era onteeke mu balisikira Ejjana ey'ebyengera."},{"id":86,"translation":"Era sonyiwa Kitange mazima yye yali mu babuze."},{"id":87,"translation":"Era tonswazanga ku Lunaku lwe balizuukizibwa."},{"id":88,"translation":"Olunaku emmaali n'abaana lwe bitaligasa."},{"id":89,"translation":"Okuggyako (aliganyulwa) y'oyo alijja ewa Allah n'omutima omuyonjo."},{"id":90,"translation":"Awo Ejjana erisembezebwa eri abatya Katonda."},{"id":91,"translation":"N'omuliro ne gusembezebwa eri ababuze."},{"id":92,"translation":"Era bagenda kugambibwa nti: Biri wa ebyo bye mwasinzanga?"},{"id":93,"translation":"Ne muleka Allah, abaffe bisobola okubataasa oba byo bisobola okwetaasa?"},{"id":94,"translation":"Olwo nno ne bakasukibwa mu gwo bo n'ababuze."},{"id":95,"translation":"Na bonna abali mu ggye lya Ibuliisu."},{"id":96,"translation":"Baligamba nga bali mu gwo nga bakaayagana nti:"},{"id":97,"translation":"Tulayira Katonda nti mazima ddala twali mu bubuze obw'olwatu."},{"id":98,"translation":"Bwe twabenkanya (mmwe) ne Mukama Omulabirizi w'ebitonde byonna."},{"id":99,"translation":"Era tewali yatubuza okugyako aboonoonyi."},{"id":100,"translation":"N'olwekyo tetulina bawolereza."},{"id":101,"translation":"Wadde ow'omukwano alumirwa."},{"id":102,"translation":"Naye singa tubadde tulina omukisa (okudda ku nsi) ne tuba mu Bakkiriza."},{"id":103,"translation":"Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza."},{"id":104,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi Omulabirizi Wo ddala Yye Ye Nnantakubwakumukono Omusaasizi ennyo."},{"id":105,"translation":"Abantu ba Nuuhu baalimbisa Ababaka."},{"id":106,"translation":"Mu kiseera muganda waabwe Nuhu we yabagambira nti: Abaffe temutya (Katonda)."},{"id":107,"translation":"Mazima nze gye muli ndi Mubaka omwesigwa."},{"id":108,"translation":"Kale mutye Allah era munngondere."},{"id":109,"translation":"Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri walala okuggyako ku Mukama Omulabirizi W'ebitonde byonna."},{"id":110,"translation":"Kale mutye Allah era munngondere."},{"id":111,"translation":"Nebagamba nti abaffe tukukkirize nga abaawansi be bakugoberedde?"},{"id":112,"translation":"N'agamba nti: Mmanya ntya bye baali bakola."},{"id":113,"translation":"Okubalibwa kwabwe kuli ku Mukama Omulabirizi Wange singa mubadde mumanyi."},{"id":114,"translation":"Ate nze siri waakugoba Bakkiriza (olw'okuba baawansi)."},{"id":115,"translation":"Nze siri kirala okuggyako omutiisa ow'olwatu."},{"id":116,"translation":"Nebagamba nti: Owange Nuuhu bw'oteekomeko ojja kubeerera ddala mu b'okukubwa amayinja."},{"id":117,"translation":"N'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, mazima abantu bange bannimbisizza."},{"id":118,"translation":"Kale salawo wakati wange na bo olusalawo olwannamaddala, era omponye wamu ne Abakkiriza be ndi nabo."},{"id":119,"translation":"Ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato eryali lijjudde."},{"id":120,"translation":"Oluvanyuma twazikiriza abaasigala."},{"id":121,"translation":"Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza."},{"id":122,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi Wo ddala Yye Ye Nnantakubwakumukono Omusaasizi ennyo."},{"id":123,"translation":"Abantu ba 'Aadi baalimbisa Ababaka."},{"id":124,"translation":"Mu kiseera muganda waabwe Huudu lwe yabagamba nti: abaffe temutya (Katonda)?!"},{"id":125,"translation":"Mazima nze gye muli ndi Mubaka omwesigwa."},{"id":126,"translation":"Kale mutye Allah era munngondere."},{"id":127,"translation":"Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri okuggyako ku Mukama Omulabirizi W'ebitonde byonna."},{"id":128,"translation":"Abaffe muzimba ku buli katunnumba ekijjukizo nga muzannya buzannyi."},{"id":129,"translation":"Era nemweteerawo amayumba amagundiivu nga mulinga abalibeerawo olubeerera."},{"id":130,"translation":"Ate bwe mukwata (abalabe ba mmwe) mubakwata enkwata eya bakirimaanyi (abanyigiriza bannaabwe)."},{"id":131,"translation":"Kale mutye Katonda era mungondere."},{"id":132,"translation":"Era mutye Oyo abagabirira ebyo bye mumanyi."},{"id":133,"translation":"Abagabirira ebisolo ebirundibwa era n'abaana."},{"id":134,"translation":"N'amalimiro n'emigga."},{"id":135,"translation":"Mazima nze mbatiirira ebibonerezo by'olunaku oluzibu okubatuukako."},{"id":136,"translation":"Nebagamba nti: Kyekimu obuuliridde oba toli mu babuulirira."},{"id":137,"translation":"Tekiri kino (eky'okubuulirira kw'okola) okuggyako nkola y'abaasooka."},{"id":138,"translation":"Era ffe tetuli ba kubonerezebwa."},{"id":139,"translation":"Ne bamulimbisa olwo nno ne tubazikiriza, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza."},{"id":140,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi Wo ddala Yye Ye Nnantakubwakumukono Omusaasizi ennyo."},{"id":141,"translation":"Abantu ba Thamuudu baalimbisa ababaka."},{"id":142,"translation":"Mu kiseera muganda waabwe Swalehe we yabagambira nti: abaffe temutya (Katonda)?!"},{"id":143,"translation":"Mazima nze gye muli ndi Mubaka omwesigwa."},{"id":144,"translation":"Kale mutye Allah era munngondere."},{"id":145,"translation":"Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri okuggyako ku Mukama Omulabirizi W'ebitonde byonna."},{"id":146,"translation":"(Mulowooza nti) mujja kulekebwa mirembe mu bintu ebiri wano."},{"id":147,"translation":"Baliba mu malimiro n’amazzi ag'ensulo."},{"id":148,"translation":"N'ebimera n'emitende egiweese enkota enzito."},{"id":149,"translation":"Era ne muwoola amayumba mu nsozi mu ngeri y'ekikugu."},{"id":150,"translation":"Kale mutye Allah era mungondere."},{"id":151,"translation":"Era temugondera ekigambo ky'abasukka ensalo za Katonda."},{"id":152,"translation":"Abo aboonoona mu nsi ne batalongoosa."},{"id":153,"translation":"Ne bagamba nti mazima ggwe oli wa mu baloge."},{"id":154,"translation":"Ggwe toli kirala okuggyako omuntu obuntu nga ffe, kale leeta akabonero bw'oba nga oli mu boogera amazima."},{"id":155,"translation":"N'agamba nti enngamiya yiino, erina okunywa (ku lunaku lwayo) nammwe munywe ku lunaku olumanyiddwa."},{"id":156,"translation":"Temugituusangako akabi ebibonerezo by'Olunaku oluzito ne bibatuukako."},{"id":157,"translation":"Wabula baagifumita (n'efa) olwo nno ne baba nga bejjusa."},{"id":158,"translation":"Ebibonerezo ne bibatuukako mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga, naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza."},{"id":159,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi Wo ddala Yye Ye Nnantakubwakumukono Omusaasizi ennyo."},{"id":160,"translation":"Abantu ba Luutu baalimbisa Ababaka."},{"id":161,"translation":"Mu kiseera Muganda waabwe Luutu we yabagambira nti: Abaffe temutya (Katonda)?!"},{"id":162,"translation":"Mazima nze gye muli ndi Mubaka omwesigwa."},{"id":163,"translation":"Kale mutye Allah era munngondere."},{"id":164,"translation":"Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri okugyako ku Mukama Omulabirizi W'ebitonde byonna."},{"id":165,"translation":"Abaffe mu bitonde byonna ne mwagalamu basajja!."},{"id":166,"translation":"Ne muleka ekyo Mukama Omulabirizi Wammwe kye yabatondera mu abo be mwafumbiriganwa nabo, wabula mmwe muli bantu abasukka ebikomo."},{"id":167,"translation":"Nebagamba nti: Owange Luutu bw'oteekomeko ojja kubeerera ddala mu bafulumizibwa (ne bagobwa mu nsi eno)."},{"id":168,"translation":"N'agamba nti: Mazima ndi omu ku batamwa ekikolwa kya mmwe (eky'ebisiyaga)."},{"id":169,"translation":"Ayi Mukama Omulabirizi Wange, mponya n'abantu bange ebyo bye bakola."},{"id":170,"translation":"Netumuwonya n'abantu be bonna."},{"id":171,"translation":"Okugyako omukadde (Mukyalawe) eyali mu baasigala."},{"id":172,"translation":"Oluvanyuma twazikiriza abaasigala."},{"id":173,"translation":"Netubatonnyesaako enkuba, mazima yali nkuba mbi nnyo ey'abo abaalabulwa (ne bateebuulirira)."},{"id":174,"translation":"Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza Bwaffe), wabula bangi mu bo tebaali Bakkiriza."},{"id":175,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi Wo ddala Yye Ye Nnantakubwakumukono Omusaasizi ennyo."},{"id":176,"translation":"Abantu b'o mu kitundu eky'ekibira baalimbisa Ababaka."},{"id":177,"translation":"Mu kiseera Swaibu bwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)!."},{"id":178,"translation":"Mazima nze gye muli ndi Mubaka omwesigwa."},{"id":179,"translation":"Kale mutye Allah era munngondere."},{"id":180,"translation":"Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri walala okuggyako ku Mukama Omulabirizi W'ebitonde byonna."},{"id":181,"translation":"Era mutuukirizenga okupima temubeera mu abo abafiiriza abalala."},{"id":182,"translation":"Mupimisenga ebipimo ebituufu."},{"id":183,"translation":"Temukendeerezanga abantu ebintu byabwe, era temukolanga ebibi mu nsi ne muba aboonoonyi."},{"id":184,"translation":"Era mutye Oyo eyabatonda n'atonda n'emirembe egyasooka."},{"id":185,"translation":"Ne bagamba nti mazima ggwe oli mu baloge."},{"id":186,"translation":"Toli ggwe okuggyako muntu nga ffe, era tukulowooza okuba nti oli mu balimba."},{"id":187,"translation":"Kale nno tusuuleko ekibajjo okuva waggulu bwoba nga oli mu boogera amazima."},{"id":188,"translation":"N'agamba nti: Mukama Omulabirizi wange y'asinga okumanya ebyo bye mukola."},{"id":189,"translation":"Wabula baamulimbisa ebibonerezo ne bibakwata ku lunaku ekire lwe kyabasiikiriza. Mazima kyo kyali kibonerezo kya lunaku oluzito."},{"id":190,"translation":"Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza Bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza."},{"id":191,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi Wo ddala Yye Ye Nnantakubwakumukono Omusaasizi ennyo."},{"id":192,"translation":"Era mazima yo (Kulaani) yassibwa Mukama Omulabirizi W'ebitonde byonna."},{"id":193,"translation":"Yakka nayo Mwoyo omwesigwa (Jibuliiru)."},{"id":194,"translation":"(Yagissa) ku mutima gwo olyoke obeere mu batiisa (abantu okukola ebibi)."},{"id":195,"translation":"Nga eri mu lulimi Oluwalabu olutegeerekeka."},{"id":196,"translation":"Era mazima yo eyogerwako mu bitabo eby'edda ebyasooka."},{"id":197,"translation":"Abaffe tekibamala kuba bujulizi okuba nti abayivu b'abaana ba Yisirayiri bagimanyi?"},{"id":198,"translation":"Singa twagissa ku bamu mu batali Bawalabu."},{"id":199,"translation":"Olwo nno (omu kubo) n'agibasomera tebandigikkirizza."},{"id":200,"translation":"Bwe kityo (okugiwakanya) twakiyingiza mu mitima gy'aboonoonyi."},{"id":201,"translation":"Tebagenda kugikkiriza okutuusa lwe baliraba ebibonerezo ebirumya."},{"id":202,"translation":"Ebiribajjira ekibwatukira nga tebategedde."},{"id":203,"translation":"Olwo nno bagambe nti abaffe tusobola okulindirizibwa?!"},{"id":204,"translation":"Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba bibatuukeko mangu."},{"id":205,"translation":"Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera)."},{"id":206,"translation":"Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa."},{"id":207,"translation":"Tebiyinza kubayamba ebyo bye baaweebwa okweyagaliramu."},{"id":208,"translation":"Tewali kitundu kye twazikiriza okuggyako nga kimaze kufuna abatiisa (Bannabbi)."},{"id":209,"translation":"(Kyabanga bwe kityo) lwa kubabuulirira, tetubangako balyazaamaanyi."},{"id":210,"translation":"Era Sitaane si ze zaagissa (Kulaani)."},{"id":211,"translation":"Era tekizisaanira era nga tezikisobola."},{"id":212,"translation":"(Ku lw'ensonga nti) mazima zaaziyizibwa okuwulira ebifa mu ggulu."},{"id":213,"translation":"(N'olwekyo) bw'oba osinza Katonda tomugattako kintu kirala (anti bwokikola) obeera wa mu balibonerezebwa."},{"id":214,"translation":"Era tiisa ab'oluganda lwo ab'okumpi."},{"id":215,"translation":"Era kakkanya ekiwawaatiro kyo (weewombeke) eri oyo aba akugoberedde mu bakkiriza."},{"id":216,"translation":"Wabula bwe bakujeemera gamba nti: Mazima nze nneesambye ebyo bye mukola."},{"id":217,"translation":"Era weekwate ku Nnantakubwakumukono Omusaasizi."},{"id":218,"translation":"Oyo akulaba w'obeerera nga oyimiridde (mu kusaala)."},{"id":219,"translation":"Era n'alaba okwekyusakyusakwo mu bavunnama."},{"id":220,"translation":"Mazima Yye Awulira nnyo Omumanyi."},{"id":221,"translation":"Abaffe mbategeeze Oyo Sitaane gwe zikkako?!"},{"id":222,"translation":"Zikka ku buli musazi wa bigambo omwonoonyi."},{"id":223,"translation":"Abo abasaasaanya bye bawulira naye nga abasinga obungi mu bo balimba."},{"id":224,"translation":"Ate abatontomi, ababuze be babagoberera."},{"id":225,"translation":"Abaffe tolaba nti babulubuutira mu buli lusenyi."},{"id":226,"translation":"Era nti mazima bo boogera bye batakola."},{"id":227,"translation":"Okugyako abo Abakkiriza ne bakola emirimu emirungi ne boogera nnyo ku Katonda era ne baba nga beerwanako oluvannyuma lw'okuyisibwa obubi, era mazima abo abeeyisa obubi bagenda kumanya buddo ki gye balidda."}]},{"id":27,"verses":[{"id":1,"translation":"Twaa Siin, bino bigambo bya Kulaani era Ekitabo ekinnyonnyofu."},{"id":2,"translation":"Kya kulunngamya era mawulire ga ssanyu eri Abakkiriza."},{"id":3,"translation":"Abo abayimirizaawo esswala ne batoola Zzaka era nga bo bakakasa Olunaku lw'Enkomerero."},{"id":4,"translation":"Mazima abo abatakkiriza Lunaku lwa Nkomerero twabalabisiza bulungi emirimu gyabwe, olwo nno bo ne babulubuuta."},{"id":5,"translation":"Abo beebo abatuusibwako ebibonerezo ebizito (ng'okuttibwa) ate nga bo ku Lunaku lw'Enkomerero be b'okufaafaaganirwa ennyo."},{"id":6,"translation":"Era mazima ggwe (Muhammadi) oweebwa Kulaani ng'eva (ewa Katonda) mugoba nsonga amanyi ennyo."},{"id":7,"translation":"Era jjukira (Musa) bwe yagamba ab'omu maka ge nti: Mazima nze nengedde omuliro (kanngendeyo) nja kubaleetera okuva we guli ekigambo oba mbaleetere ekitawuliro kibayambe okwota."},{"id":8,"translation":"Naye bwe yagutuukako yakoowoolwa (naagambibwa) nti wa mukisa oyo ali mu muliro n'oyo ali emabbali waagwo, era yasukkuluma Mukama Omulabirizi W'ebitonde byonna."},{"id":9,"translation":"Owange Musa mazima Nze Allah Nnantakubwakumukono, Mugobansonga."},{"id":10,"translation":"Era suula omuggo gwo. Bwe yagulaba nga gwenyeenya nga gulinga akasota akatono yakyuka n'adduka era nga tayagala kudda, (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange Musa, totya mazima Nze Ababaka tebatya mu Maaso Gange."},{"id":11,"translation":"Okuggyako ab'alyazamaanyizza mu bantu oluvannyuma lw'okukola ekibi n'akiwaanyisaamu okirungi mazima Nze Ndi Musonyiyi nnyo Omusaasizi."},{"id":12,"translation":"(Era Katonda n'agamba Musa nti) yingiza omukono gwo mu lugoye lwo gujja kuvaayo nga mweru, so nga si mulwadde (nga ebibiri ebyo, bumu) ku bubonero omwenda bw'otwalira Falaawo n'abantu be, mazima bo bantu aboonoonyi."},{"id":13,"translation":"Obubonero Bwaffe bwe bwabatuukako nga bulagira ddala amazima baagamba nti: Lino ddogo eryeyolefu."},{"id":14,"translation":"Ne babuwakanya mu bulyazamaanyi n'okwekuluntaza, so nga emyoyo gyabwe gyabukakasa, kale nno tunuulira olabe enkomerero y'a boonoonyi yali etya."},{"id":15,"translation":"Era mazima twawa Dawuda ne Sulayimaani okumanya era ne bagamba nti atenderezebwa Allah Oyo eyatusukkulumya ku bangi mu baddu be Abakkiriza."},{"id":16,"translation":"Awo Sulayimaani yasikira Dawuda n'agamba nti: Abange mmwe abantu tuyigiriziddwa olulimi lw'ebinyonyi era tuweereddwa ku buli kintu mazima kino bwe bulungi obweyolefu."},{"id":17,"translation":"Sulayimaani baamukunngaanyiza eggye rye okuva mu Majinni n'abantu n'ebinyonyi nga nabo batambulira ku nteekateeka eyabaweebwa."},{"id":18,"translation":"Okutuusa lwe baatuuka ku lusenyi lw'ensanafu, ensanafu emu kwe kugamba nti: Abange bawansanafu muyingire mu bisulo byammwe, Sulayimaani n'eggye rye tebababetenta nga nabo tebamanyi."},{"id":19,"translation":"Mu kiseera ekyo (Sulaiman) naamwenya ng'ate aseka olw'ekigambo kyayo era n'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, nnyamba mbe nga nsobola okwebaza ebyengera byo ebyo bye wangabira era n'ebyo bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola ebirungi by'osiima era ku lw'okusaasira kwo onnyingize mu baddu bo abalongoofu."},{"id":20,"translation":"Awo Sulaiman yatunula mu binyonyi n'agamba nti: Lwaki effulungu siriraba oba liri mu bataliiwo."},{"id":21,"translation":"Nja ku libonereza ebibonerezo ebikakali sinakindi nja ku lisala oba si ekyo lindeetere ensonga ennambulukufu."},{"id":22,"translation":"(Effulungu) lyamala ebbanga eritaali ddene (oluvannyuma ne lijja ewa Sulayimaani) ne ligamba nti: Ntegedde ekintu ky'obadde tomanyi era nkuleetedde okuva e Saba'a amawulire amakakafu."},{"id":23,"translation":"Mazima nze nsanze nga omukyala y'abafuga ate nga yaweebwa buli kintu, era nga alina nnamulondo empitirivu."},{"id":24,"translation":"Mmusanze (yye) n'abantu be nga bavunnamira enjuba ne baleka Allah, era Sitaane yabanyiririza emirimu gyabwe, olwo nno n'ebaggya ku kkubo ettuufu n'olwekyo bo tebagenda kulunngama."},{"id":25,"translation":"Nebatavunnamira Allah Oyo aggyayo ebyekwese mu ggulu omusanvu ne mu nsi era amanyi ebyo bye mukweka ne byemwolesa."},{"id":26,"translation":"Allah, tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Yye, Mukama Omulabirizi wa Arishi (nnamulondo) ey'ekitiibwa."},{"id":27,"translation":"(Sulayimaani) n'agamba nti: Tujja kulaba oyogedde mazima oba oli mu balimba."},{"id":28,"translation":"Twala ebbaluwa yange eno ogibawe, bw'omala baweemu akabanga olabe ki kye banaddamu."},{"id":29,"translation":"(Bilikiisi) bwe yafuna ebbaluwa n'agamba nti: Abange mmwe abakungu, mazima nze mpeereddwa ebbaluwa ey'ekitiibwa."},{"id":30,"translation":"Mazima yyo eva wa Sulayimaani era esoma nti: Ku lw'Erinnya lya Allah Omusaasizi Ow'ekisa ekingi Omusaasizi Ow'ekisa eky'enjawulo."},{"id":31,"translation":"Temunneekuluntalizaako era mujje gyendi nga mukkirizza okugondera Katonda."},{"id":32,"translation":"(Bilikiisi) n'agamba nti: Abange mmwe abakungu, mumpe ebirowoozo ku nsonga yange eno, sisobola kusalawo nsonga okutuusa lwe mujja gyendi (ne tukyogerako)."},{"id":33,"translation":"Baagamba nti: Ffe tuli baamaanyi ddala era ffe mu kulwana tuli bayitirivu, naye bwo obuyinza buli gyoli, laba ki ky'olagira."},{"id":34,"translation":"(Bilikiisi) n'agamba nti: Mazima abafuzi bwe bayingira mu kitundu (nga bakiwangudde buwanguzi) bakyonoona, abantu ababadde abeekitiibwa ne babafuula abakopi, era bwebatyo bwe bakola."},{"id":35,"translation":"Era mazima nze nngenda kubaweereza ekirabo olwo nno nninde bentumye badda na ki?."},{"id":36,"translation":"(Abaatumwa) bwe bajja ewa Sulayimaani yagamba nti: Munsendasenda n'emmaali (olwo nno mbaleke) ebyo Allah bye yampa bye birungi okusinga bye yabawa, wabula mmwe musanyuukirira nnyo olw'ebirabo byammwe."},{"id":37,"translation":"(Sulayimaani n'agamba) nti: Ddayo gye bali (n'ebirabo byabwe) tugenda kubaleetera eggye lye batasobola kwennganga, era (ensi eyo) tujja kugibafulumyamu nga baawansi abanyoomoofu."},{"id":38,"translation":"(Sulayimaani) n'agamba nti: Abange mmwe abakungu, ani mu mmwe andeetera nnamulondo ye nga tebannaba kunzijira nga bakkirizza Katonda?"},{"id":39,"translation":"Ejjinni ery'amaanyi ne ligamba nti: Nze nja kugikuleetera nga tonnava mu kifo kyo, era mazima nze ku ekyo ndi waamaanyi omwesigwa."},{"id":40,"translation":"(Omulala) oyo alina okumanya (okw'enjawulo) okuva mu Kitabo kya (Katonda) n'agamba nti: Nze nja kugikuleetera nga tonnatemya, bwe yagiraba nga eteredde waali yagamba nt: Kino kya mu birungi bya Mukama Omulabirizi Wange abe nga angezesa, abaffe nneebaza oba sseebaza byengera, era bulijjo omuntu eyeebaza yeebaza ku lulwe, ate oyo ateebaza (akimanye nti) mazima Mukama Omulabirizi Wange talina kye yeetaaga, Mugabi nnyo."},{"id":41,"translation":"(Sulayimaani) n'agamba nti: Mukyusekyuse nnamulondo ye tulabe, anaasobola okugimanya oba anaabeera mu batasobola kugimanya."},{"id":42,"translation":"(Bilikiisi) bwe yajja yagambibwa nti: nnamulondo yo bw'eti bw'efaanana? N'agamba nti: mazima eringa yyo, (Sulayimaani n'agamba nti:) twaweebwa okumanya (Katonda) olubereberye lwe (nga omukyala ono tanajja) era tubadde Basiraamu."},{"id":43,"translation":"Ekyamugaana (omukyala ono okubeera Omusiraamu bye) ebyo bye yali asinza n'alekawo Allah, mazima yye (Bilikiisi) yali ava mu bantu abatakkiriza."},{"id":44,"translation":"N'agambibwa nti: Yingira olubiri (amatiribona), bwe yalutunuulira yalulaba nga amayengo g'amazzi n'abikkula ku ntumbwe ze zombiriri (olw'okutya amazzi) (Sulayimaani) n'amugamba nti mazima lwo Olubiri (oluggya lwalwo) lwakolebwa mu birawuli nga wansi w'ebirawuli waliyo amazzi, (Bilikiisi) n'agamba nti: Mukama Omulabirizi Wange, mazima nze nneeryazamaanyizza omwoyo gwange era (kaakano) nsiramuse nga ngoberera Sulayimaani ku lwa Mukama Omulabirizi W'ebitonde."},{"id":45,"translation":"Era mazima twatuma eri abantu b'ekika kya Thamuudu muganda waabwe Swalehe nti: Musinze Allah, ekyaddirira abantu abo kwe kubaamu ebibinja bibiri ebikaayagana, (ekya bakkiriza n'abatakkiriza)."},{"id":46,"translation":"(Swaleh) n'agamba nti: Abange mmwe abantu bange, lwaki musaba Allah ekibi ng'ate temunnasaba kirungi, kale nno singa musaba Allah okubasonyiwa mube nga musaasirwa."},{"id":47,"translation":"Ne bagamba nti: Tujja kufuna ebizibu ku lulwo ne ku lw'abo abali naawe. (Swalehe) n'agamba nti: Omugabo gwammwe mu birungi oba mu bizibu biri eri Allah, wabula mmwe muli abantu abalabankanyizibwa."},{"id":48,"translation":"Mu kibuga kyabwe mwalimu abasajja mwenda nga boonoonyi mu nsi nga tebalongoosa."},{"id":49,"translation":"Ne bagamba (bannaabwe) nti: Mulayire Katonda nti tujja kumuteega ekiro tumutte n'abantu be. (Bwe tunaamala okumutta) tujja kugambira ddala eri oyo yenna amulinako obuvunaanyizibwa nti: tetwabaddewo nga omuntu waabwe attibwa era mazima twogera mazima."},{"id":50,"translation":"Ne bakola enkwe ez'okutta (Swaleh n'abantu be) naffe ne twanukula enkwe ez'okumuwonya nabo nga tebamanyi."},{"id":51,"translation":"Kale laba enkomerero eyava mu nkwe zaabwe, mazima ffe twabazikiriza n'abantu baabwe bonna"},{"id":52,"translation":"Olwo nno amayumba gaabwe gaalekebwa ttayo olw'enneeyisa yaabwe embi, mazima mu ekyo mulimu ekyokuyiga eri abantu abamanyi."},{"id":53,"translation":"Twawonya abo Abakkiriza ate nga baali batya Katonda."},{"id":54,"translation":"Era (jjukira Omubaka Waffe) Luutu bwe yagamba abantu be nti: Mukola ekikolwa eky'obuwemu nga mulabira ddala?!"},{"id":55,"translation":"Mazima mmwe obwagazi bwammwe mubukola ku basajja ne mulekawo abakazi, wabula mmwe muli abantu abakola ebikolwa eby'obubuyabuya."},{"id":56,"translation":"Okwanukula kw'abantu be kwali kugamba bugambi nti: Mugobe abagoberezi ba Luutu bave ku kyalo kyammwe, mazima bo bantu abeetwala okuba abatuukirivu."},{"id":57,"translation":"Olwo nno ne tumuwonya n'abantu be okuggyako mukyalawe twamugerera okubeera mu b'okuzikirira."},{"id":58,"translation":"Ne tubatonnyesaako enkuba, mazima enkuba eyo yali mbi nnyo eri abo abaalabulwa (ne bateebuulirira)."},{"id":59,"translation":"Gamba (ggwe Nnabbi- Muhammadi) nti: Okutenderezebwa okujjuvu kwa Allah era nti emirembe gibeere ku baddu be abo be yalondamu (batuuse Obubaka bwe eri abantu), abaffe Allah Omutonzi y'asinga obulungi oba ebyo bye bamugattako?!"},{"id":60,"translation":"Abaffe ani yatonda eggulu n'ensi, era n'abatonnyeseza amazzi okuva waggulu, ne tugamezesa amalimiro agalabika obulungi, tekibangako mu mikono gyammwe okumeza emiti gya go. Ate oluvannyuma lw'ekyo wabaawo watya ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Allah?! Wabula (ekibakozesa ekyo) lwa kuba nti bo bantu abenkanya Katonda n'ebintu ebirala."},{"id":61,"translation":"Abaffe ani oyo eyassaawo ensi nga nteefu naagissaamu e migga, naagiwa ensozi (nga nkondo) n'assa wakati w'ennyanja e bbiri (ey'omunnyu ne etali) ekyayawula (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! Wabula (ekibakozesa ekyo) lwakuba nti abasinga obungi mu bo tebamanyi."},{"id":62,"translation":"Abaffe ani oyo ayanukula ali mu buzibu bw'aba amusabye, era n'aggyawo akabi, era n'abafuula abasigire mu nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Allah! Naye mujjukira kitono."},{"id":63,"translation":"Abaffe ani oyo abalaga ekkubo mu bizikiza by'olukalu n'ennyanja era ani oyo asindika empewo nga zireeta essanyu (enkuba) nga liva mu mikono gy'okusaasira kwe (ate oluvannyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Allah?!, Allah Musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako."},{"id":64,"translation":"Abaffe ani oyo atandikawo ebitonde ate nga agenda kubizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) era ani abagabirira (mmwe) okuva waggulu ne ku nsi (ate oluvannyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Allah?! Bagambe nti: Muleete obujulizi bwammwe bwe muba nga muli baamazima."},{"id":65,"translation":"Bagambe nti abali mu ggulu omusanvu n'ensi tewali amanyi byekusifu okuggyako Katonda, (era n'olwekyo) tebamanyi ddi lwe balizuukizibwa."},{"id":66,"translation":"Wabula (ekibuuzo kiri nti) okumanya kwabwe kwamalayo byonna okutuusa ku Lunaku lw'Enkomerero (olwo nno babe nga bakubuuza okuzuukira kulibaawo ddi) wabula (ekituufu kiri nti) bo ku bikwata ku Lunaku lw'Enkomerero bali mu kubuusabuusa, wabula (si ekyo kyokka) bo bamuzibe ku bikwata ku Lunaku olwo."},{"id":67,"translation":"Abatakkiriza Allah baagamba nti: Bwe tulimala okufuuka ettaka ne bakadde baffe ate tuliggyibwayo?"},{"id":68,"translation":"Mazima ffe ne bakadde baffe okuva edda kino kizze kitulagaanyisibwa (nga tewali kibaawo, n'olwekyo) bino si kirala okuggyako nfumo z'abaakulembera."},{"id":69,"translation":"Bagambe (ggwe Muhammadi) nti: Mutambule mu nsi mulabe ngeri ki enkomerero y'aboonoonyi bwe yali."},{"id":70,"translation":"Tonakuwala ku lwabwe era towulira bubi olw'enkwe ze basala."},{"id":71,"translation":"Era ne bagamba nti eyo endagaano eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima?!"},{"id":72,"translation":"Bagambe nti, mwandiba nga musemberedde ebimu ku ebyo bye musaba okubatuukako mu bwangu."},{"id":73,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi Wo ajjudde ebirungi by'agabira abantu, naye abasinga obungi mu bo tebeebaza."},{"id":74,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi Wo amanyi ebyo ebifuba byabwe bye bikweka n'ebyo bye bakola mu lwatu."},{"id":75,"translation":"Era tewali kyekusifu kyonna mu ggulu ne munsi okuggyako nga nakyo kiri mu kitabo ekiraga buli kimu."},{"id":76,"translation":"Mazima Kulaani eno etegeeza abaana ba Yisirayiri ebisinga obungi mu bye baawukanamu."},{"id":77,"translation":"Era mazima yyo bulunngamu na kusaasira eri Abakkiriza."},{"id":78,"translation":"Era Mukama Omulabirizi Wo alitawulula wakati waabwe nga abalamula, era Yye Ye Nnantakubwakumukono Omumanyi ennyo."},{"id":79,"translation":"N'olwekyo (ggwe Muhammadi) weekwate ku Allah, mazima ggwe oli ku mazima ameeyolefu."},{"id":80,"translation":"Mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bw'otasobola kuwuliza bakiggala kukoowoola, kasita bakyuka ne tugamezesa bakubayo amabega."},{"id":81,"translation":"Era ggwe tosobola kulunngamya bamuzibe no'obaggya ku bubuze bwabwe, tosobola kuwuliza okuggyako abo abakkiriza ebigambo byaffe era abo be beewaayo ewa Katonda."},{"id":82,"translation":"Ekigambo bwe kiribagwako tugenda kubaggyirayo ensolo okuva mu ttaka eyogere nabo, anti mazima abantu baali tebakakasa Bigambo Byaffe."},{"id":83,"translation":"Era (babuulire) Olunaku lwe tulikunngaanya mu buli kibiina kya bantu akabinja mu abo abalimbisa ebigambo byaffe, nabo nno nga bayawulwa mu miteeko."},{"id":84,"translation":"Okutuusa nga bazze (mu maaso ga Katonda) aligamba nti: Mwalimbisa ebigambo byange so ng'ate temwabimanya mu bujjuvu bwabyo, kaakati mwakoleranga kuki?."},{"id":85,"translation":"Olwo ekigambo (eky'okubonerezebwa) ne kibakakatako (olw'ebyo bye beeyisaamu obubi ne kiba nti tebagenda kwatula."},{"id":86,"translation":"Abaffe tebalaba nti mazima Ffe twateekawo ekiro bakiwummulirengamu, era (ne tuteekawo) obudde obw'emisana nga butangaala bakolerengamu emirimu egibayimirizaawo) mazima mu ekyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza."},{"id":87,"translation":"Era (babuulire) Olunaku enngombe lw'erifuuyibwa, buli yenna ali mu ggulu omusanvu n'oyo ali mu nsi n'atya okuggyako oyo Allah gw'aliba ayagadde, na bonna bagenda kujja nga banyoomoofu."},{"id":88,"translation":"Oliraba ensozi ze waalirowoozezza nti ziyimiridde naye nga zidduka ng'okudduka kw'ebire, okwo kwe kukola kwa Allah Oyo eyakola buli kintu mu nkola etuukiridde, mazima Yye amanyidde ddala bulungi ebyo bye mukola."},{"id":89,"translation":"Oyo yenna alijja n'ekirungi agenda kuweebwa ekirungi ekikisingako, era abo baliwona entiisa y'Olunaku olwo."},{"id":90,"translation":"Ate abo abalijja n'ekibi ebyenyi byabwe bigenda kuvumbikibwa mu muliro, abaffe mulisasulwa okuggyako ebyo bye mwali mukola?"},{"id":91,"translation":"Gamba (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Mazima Nze nnalagirwa okuba nga nsinza Mukama Omulabirizi W'ekibuga kino (Makka) oyo eyakifuula eky'emizizo era buli kintu kyonna kikye era nnalagirwa okubeera mu beewaayo ewa Katonda."},{"id":92,"translation":"(Era nnalagirwa) okuba nga nsoma Kulaani, kale nno oyo yenna alunngama aba alunngama ku lulwe, ate oyo abula, bagambe nti mazima nze ndi mu ababalabula."},{"id":93,"translation":"Era gamba nti: Okutendebwa kwa Allah, ajja kubalaga obubonero Bwe mulibumanya (ate nga tebukyabagasa) Mukama Omulabirizi Wo tabangako atafaayo ku ebyo bye mukola."}]},{"id":28,"verses":[{"id":1,"translation":"Twaa Siin Miim."},{"id":2,"translation":"Ebyo bye bigambo by'Ekitabo ekinnyonnyola."},{"id":3,"translation":"Tukusomera mu bwesimbu ebyafaayo bya Musa ne Falaawo (bibe bya mugaso) eri abantu Abakkiriza."},{"id":4,"translation":"Mazima Falaawo yeekuluntaliza mu nsi, abantu baamu n'abaawulayawulamu obubinjabinja, nga abonyaabonya ekibinja mu bo nga asala (n'atta) abaana baabwe abalenzi n'alekawo abawala mu bo (mu kukola ekyo) n'abeera mu boonoonyi."},{"id":5,"translation":"Era twagala okubunduggula ebyengera ku abo abaanyigirizibwa ku nsi era tubafuule abakulembeze era tubafuule abasikira (ebyengera bali bye baaleka)."},{"id":6,"translation":"Era tubawe obuyinza mu nsi (era nga tukozesa bo) tulage Falaawo ne Haamaana n'amagye gaabwe bombi ekyo kye baali beekeka."},{"id":7,"translation":"Era twalagira Maama wa Musa nti muyonse, naye bw'oba nga omutiiriridde musuule mu mazzi, naye totya, era tonakuwala mazima Ffe tujja kumukuddiza era tujja kumuteeka mu Babaka."},{"id":8,"translation":"Abantu ba Falaawo ne bamulonda (naye nga) ajja kubafuukira omulabe era ow'okubalabya ennaku. Mazima Falaawo ne Haamaana n'amagye gaabwe bombi baali basobya."},{"id":9,"translation":"Mukyala wa Falaawo n'agamba nti: (Omwana ono) wa kusanyusa amaaso gange naawe, temumutta ayinza okutugasa oba ne tumufuula omwana, (naye) nga nabo tebamanyi (Musa ky'agenda kubeera)."},{"id":10,"translation":"Omutima gwa Maama wa Musa gwali gwagaana okutereera (nga yeeraliikirira) era yabula kata okumulaga (nga bwe yali omwanawe) singa tetwassa bunywevu ku mutima gwe (olwo nno) alyoke abe mu Bakkiriza."},{"id":11,"translation":"(Maama wa Musa) yagamba mwannyina (wa Musa) nti mulondoole, awo nno n'amulaba nga ali wala naye nga bo tebamanyi."},{"id":12,"translation":"Twamulemesa okukkiriza amabeere (g'omuyonsa yenna) okuva ku ntandikwa, (Mwannyina) n'abagamba nti: Abange, mbalagirire abantu b'enyumba emu abanaamubalerera era nga bajja kumubuulirira?"},{"id":13,"translation":"Olwo nno twamuzza ewa Nnyina amaasoge gabe nga gatebenkera era aleme kunakuwala, era asobole okumanya nti mazima endagaano ya Allah ya mazima wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi."},{"id":14,"translation":"(Musa) bwe yakula n'asajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya. Era bwetutyo bwe tusasula abalongoosa."},{"id":15,"translation":"(Olunaku lumu Musa) yayingira e kibuga ng'abantu baamu tebategedde n'asangamu abasajja babiri nga balwanagana, nga omu wa mu bantu be ate omulala nga wa mu balabe be (wa mu bantu ba Falaawo) ow'omu bantu be n'amusaba amutaase ku mulabe;we, awo nno Musa n'amukuba ekikonde n'amutta mbagirawo, (Musa) n'agamba nti: Kino kikolwa kya Sitaane, mazima yye mulabe era mubuza ow'olwatu."},{"id":16,"translation":"(Musa) n'agamba nti: Ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nneeyisizza bubi nsaba onsonyiwe, (Katonda) n'amusonyiwa, anti mazima Yye Ye Musonyiyi Omusaasizi ennyo."},{"id":17,"translation":"N'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, okusinziira ku byengera by'ompadde sigenda kubeera muyambi wa boonoonyi."},{"id":18,"translation":"Okuva olwo Musa yabeera mu kibuga ng'atya nga yeekengera. Yali akyali awo nga eyamusabye jjo okumutaasa ate amukubira enduulu amudduukirire, Musa n'amugamba nti: Mazima ggwe oli mulumbaganyi ow'olwatu."},{"id":19,"translation":"Olwo nno (Musa) bwe yayagala okuvumbagira oyo omulabe waabwe bombi, n'agamba nti: owange Musa oyagala kunzita nga bwe wasse omuntu jjo, tolina ky'oyagala okuggyako okubeera nnantagambwako mu nsi era (olabika) toyagala kubeera wa mu bakozi ba bulungi."},{"id":20,"translation":"Awo nno omusajja kwe kujja nga adduka ng'ava ekibuga gye kikoma, n'agamba nti: Owange Musa mazima abakungu bakuteesaako okukutta, kale fuluma (mu nsi eno) mazima nze ndi mu bakubuulirira."},{"id":21,"translation":"Awo nno n'akifuluma (ekibuga) nga atidde yeekengera, n'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, mponya abantu abalyazamaanyi."},{"id":22,"translation":"Bwe yamala okwolekera oludda lw'e Madiyana yagamba nti: Nsaba Mukama Omulabirizi Wange annunngamye ku kkubo ettuufu."},{"id":23,"translation":"Bwe yatuuka ku mazzi g'e Madiyana yasangawo ekibinja ky'abantu nga banywesa (ensolo zaabwe) era nga wabbali waliwo abakazi babiri, nga bagaana (ensolo zaabwe okunywa amazzi) n'abagamba nti: ate mmwe ogubadde gwe gwaki? Ne bagamba nti tetunywesa okutuusa abalunzi abalala lwe banaggyawo ensolo zaabwe, ate nga ne kitaffe mukadde nnyo."},{"id":24,"translation":"N'abanyweseza, bwe yamala ne yeewogoma mu kisiikirize olwo n'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, mazima nze ndi mwetaavu nnyo eri ekirungi kyonna kyoba ompadde."},{"id":25,"translation":"(Aba ali awo) omu ku bombi (abakazi) n'ajja we yali nga yebwalabwala, n'abagamba nti: Mazima taata akuyita abe nga akusasula empeera y'okutunyweseza, (Musa) bwe yatuuka (taata w'abawala) we yali era n'amunyumiza emboozi (y'ebimufaako) yamugamba nti: Totya omaze okuwona abantu abalyazaamaanyi."},{"id":26,"translation":"(Omuwala) omu n'agamba nti: Owange taata muwe omulimu mazima omupakasi asinga obulungi ye waamaanyi omwesigwa."},{"id":27,"translation":"(Kitaawe w'abawala) n'agamba nti: Mazima nze njagala kukufumbiza omu ku bawala bange abo ababiri nga ojja kunkolera emyaka munaana naye bw'ojjuza ekkumi ekyo kiri gy'oli, wabula ssaagala kukukaluubiriza ojja kunsanga nga ndi mu bantu abakozi b'obulungi."},{"id":28,"translation":"(Musa) n'agamba nti: Ekyo kiri wakati wange naawe ekimu ku biseera ebibiri kyennaaba nkoze nja kuba ssivunaanwa, era Allah Ye Mweyimirize ku byonna bye twogera."},{"id":29,"translation":"Musa bwe yamala okutuukiriza ekiseera (kye baalagaana), yatambula n'abantu be (nga bagenda e Misiri) n'alaba omuliro ku ludda lw'olusozi, n'agamba abantu be nti: Mulindeeko wano katono, mazima nze nnina wendabye omuliro, sikulwa nga mbaleetera amawulire okuva we guli oba ne mbaleetera ekitawuliro mulyoke mwote."},{"id":30,"translation":"Musa bwe yatuuka weguli, yakoowoolwa (nga eddoboozi) liva ku lubalama lw'ekisenyi olwaddyo mu kifo eky'omukisa nga liva mu muti (nga limugamba) nti owange ggwe Musa, mazima nze Allah Omulabirizi W'ebitonde."},{"id":31,"translation":"Era (Katonda naamugamba nti) kasuka omuggo gwo (naye kwe kugukasuka) olwo nno bwe yagulaba nga gwenyeenya, nga gulinga omusota omwangu mu ntambula yaagwo, yakyuka nga adda emabega era n'atatunula gy'ava (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange ggwe Musa komawo era totya anti mazima oli mu balina emirembe."},{"id":32,"translation":"Yingiza omukono gwo mu kimeeme ky'ekyambalo kyo gujja kufuluma nga mweru ng'ate tewali kabi kagutuuseeko, ssa omukono gwo ku kifuba kyo. Obwo nno bwombiriri bwe Bubonero okuva eri Katonda Wo bw'otwalira Falaawo n'abakungu be, anti mazima okuva emabega babadde bantu boonoonyi."},{"id":33,"translation":"(Musa) n'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, mazima nze nnabattamu omuntu, n'olwekyo ntya sikulwa nga banzita."},{"id":34,"translation":"Ate Muganda wange Haaruuna y'ansinga olulimi olwatufu, kale nno mutume wamu nange nga muyambi abe nga akkaatiriza amazima gange, anti mazima nze ntya okuba nga bajja kunnimbisa."},{"id":35,"translation":"(Katonda) n'amugamba nti: Tujja kunyweza omukono gwo (kukuwagira) ne mugandawo, era tubawe mwembiriri obusobozi babe nga tebasobola kubatuusaako kabi. Olw'obubonero Bwaffe, mmwe mwembiriri nabuli yenna abagoberera mmwe mujja okuwangula."},{"id":36,"translation":"Musa bwe yabajjira n'obubonero Bwaffe nga bunnyonnyofu, baagamba nti kino si kirala okuggyako okuba e ddogo ejjingirire, era tetuwuliranga ku kintu nga kino mu bakadde baffe abaasooka"},{"id":37,"translation":"Musa n'agamba nti Mukama Omulabirizi Wange y'asinga okumanya oyo azze n'obulungamu ng'abuggya Gy'ali era n'oyo aliba n'enkomerero ennungi, anti bulijjo abeeyisa obubi tebayinza kutuuka ku buwanguzi."},{"id":38,"translation":"Ate Falaawo n'agamba nti: Aange mmwe abakungu sibamanyiddeeyo Katonda mulala atali nze, ggwe Haamaana nkumira omuliro oyokye amataffaali onzimbire omulongooti nsobole okulaba Katonda wa Musa, era mazima nze mmulowooleza ddala okuba nga ali mu balimba."},{"id":39,"translation":"Olwo nno ne yeekuza mu nsi yye n'eggye rye, awatali nsonga yonna (kwe basinziira) ne balowooza nti mazima tebagenda kuzzibwa gyetuli."},{"id":40,"translation":"Ne tumukwata n'eggye rye ne tubanyugunya mu nnyanja, kale tunuulira olabe enkomerero y'abeeyisa obubi bwe yali."},{"id":41,"translation":"Ne tubafuula abakulembeze nga bakoowoola abantu okuyingira Omuliro, era nga ne ku Lunaku lw'Enkomerero tebagenda kutaasibwa."},{"id":42,"translation":"Era twabagobereza ekikolimo mu nsi muno nga ne ku Lunaku lw'Enkomerero bo be balifuulibwa abalabika obubi."},{"id":43,"translation":"Mazima twawa Musa ekitabo bwe twamala okuzikiriza emirembe egyasooka nga mumuli eri abantu, era nga bulunngamu era kusaasira kibayambe okwebuulirira."},{"id":44,"translation":"Era (ggwe Muhammadi) tobangako ku ludda olw'ebugwanjuba bwe twawa Musa ekigambo (ekiragiro eky'okugenda ewa Falaawo) era tewali mu baaliwo (mu kiseera ekyo)."},{"id":45,"translation":"Naye mazima Ffe twatandikawo emirembe ebbanga ne liyitawo ddene (nga ggwe tonnatumwa) era tobangako mutuuze mu bantu b'e Madiyana n'oba nga obasomera Ebigambo Byaffe naye mazima Ffe bulijjo tubadde tutuma Ababaka."},{"id":46,"translation":"Era tewaliiwo ku ludda lw'olusozi mu kiseera we twakoowoolera (Musa tumuwe Obubaka), wabula kwali kusaasira kwa Mukama Omulabirizi Wo (ggwe okumanya ebyaliyo), obe nga olabula abantu abatajjirwanga mutiisa yenna nga ggwe tonnajja olwo nno babe nga beebuulirira."},{"id":47,"translation":"(Era tetwandikutumye gye bali singa) si bantu kutuukibwako buzibu olw'ebyo emmikono gyabwe bye gyakola ate ne bagamba nti ayi Mukama Omulabirizi Waffe singa watutumira Omubaka ne tugoberera Ebigambo Byo era ne tubeera mu Bakkiriza."},{"id":48,"translation":"Naye ate amazima bwe gaamala okubajjira okuva Gyetuli baagamba nti: Singa aweereddwa nga ebyaweebwa Musa (naye) abaffe, ebyaweebwa Musa tebaabiwakanya olubereberye ne bagamba nti (ebigambo bya Musa ne Muhammadi) byombi ddogo, erimu liyamba linnaalyo era ne bagamba nti mazima ffe tuwakanya buli kyonna ekigwa mu kiti ky'ebyo."},{"id":49,"translation":"Bagambe (ggwe Muhammadi) nti (bwe kiba bwe kityo) kale (mmwe) muleete Ekitabo okuva ewa Allah nga kya bulunngamu okusinga biri ebibiri, nja kukigoberera bwe muba nga mwogera mazima."},{"id":50,"translation":"Bwe batakwanukula manya nti mazima bagoberera kwagala kwabwe, naye ani omubuze okusinga oyo agoberera okwagala kwe okutaliiko kulunngamya kuva wa Allah, mazima Allah talunngamya bantu abalyazamaanyi."},{"id":51,"translation":"Mazima ekigambo tukibalambululidde kibayambe okwebuulirira."},{"id":52,"translation":"Abo be twawa Ekitabo olubereberye lwa kino abamu (mu) bo bagikkiriza (Kulaani)."},{"id":53,"translation":"Bw'eba ebasomeddwa bagamba nti tugikkirizza, ddala yo g'emazima agava ewa Mukama Omulabirizi Waffe, mazima ddala ffe nga tennajja twali Basiraamu."},{"id":54,"translation":"Abo bagenda kuweebwa empeera yaabwe emirundi ebiri olw'ebyo bye baagumiikiriza era n'olwokuba nti ekibi bakiggyisaawo ekirungi era nga bawaayo ku ebyo bye tubagabirira."},{"id":55,"translation":"Era bwe bawulira eby'olubalaato babyesamba era ne bagamba nti tulina enkola yaffe nammwe mulina enkola yammwe, emirembe gibeere ku mmwe, tetwagala batategeera."},{"id":56,"translation":"Mazima ggwe (Muhammadi) tolunngamya oyo gw'oba oyagadde naye mazima Allah alunngamya oyo gw'aba asazeewo era y'asinga okumanya abalunngamu."},{"id":57,"translation":"Era (abatakkiriza) ne bagamba nti singa tugoberera naawe obulunngamu tujja kusikulwa mu nsi yaffe (naye) abaffe tetwabatebenkereza Haramu (Makkah) nga ejjudde emirembe nga ebibala ebya buli kika bireetebwa gyeri, nga okwo kugabirira okuva Gyetuli naye wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi."},{"id":58,"translation":"Bitundu bimeka bye twazikiriza ebyayonoona obulamu bwabyo (olw'okufuula obulamu obw'okweyagaliramu obweyagazi) amayumba gaabwe gaago, tegaddangayo kusulwamu oluvanyuma lwabwe okuggyako amatono era Ffe twafuuka abaagasikira."},{"id":59,"translation":"Mukama Omulabirizi Wo tabangako wa kuzikiriza bitundu okuggyako nga atumye Omubaka mu makkati gaabyo ng'abasomera Ebigambo Byaffe era tetubangako baakuzikiriza bitundu okuggyako abantu baamu nga balyazamaanyi."},{"id":60,"translation":"Buli kintu kye muweebwa kiri mu bya kweyagala bya bulamu bwa nsi na kwewunda kwayo. So ng'ate ebiri ewa Allah bye bisinga obulungi era bye by'okusigalawo. Abaffe temutegeera!."},{"id":61,"translation":"Abaffe oyo gwe twalagaanyisa endagaano ennungi era nga w'akugituukako ayinza okuba nga oyo gwe twawa eby'okweyagala by'obulamu bw'ensi, ate nga yye ku Lunaku lw'Enkomerero agenda kubeera mu balireetebwa okubonerezebwa?!"},{"id":62,"translation":"Era bategeeze Olunaku (Katonda) lw'alibakoowoola n'agamba nti biriwa byemwangattangako ebyo bye mwakkiririzangamu?!"},{"id":63,"translation":"Abo abaliba bakakatiddwako ekigambo (eky'okubonerezebwa nga gubasinze) baligamba nti ayi Mukama Omulabirizi Waffe, abo bo betwabuza twababuza nga bwe twabula, tubeesammudde ne twemalira ku Ggwe, anti bo baali tebasinza ffe, (wabula baali basinza Sitaane)."},{"id":64,"translation":"Baligambibwa nti: Muyite bannammwe (be mwangattangako), balibayita nebatabanukula era baliraba ebibonerezo (ne bagamba nti) singa mazima bbo baali baalunngama."},{"id":65,"translation":"Era (bajjukize) Olunaku (Katonda) lwalibakoowoola n'agamba nti: Kiki kye mwayanukula Ababaka?"},{"id":66,"translation":"Ku Lunaku olwo ebigambo biribakalira ku matama, nga era bo tebagenda kwewuunaganya."},{"id":67,"translation":"Naye oyo eyeenenya, na'kkiriza n'akola emirimu emirungi, ddala oyo y'alibeera mu bawanguzi."},{"id":68,"translation":"Mukama Omulabirizi Wo atonda ky'aba ayagadde era y'asalawo, (abantu) tebabangako na kwesalirawo, Katonda yasukkuluma era ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako."},{"id":69,"translation":"Era Mukama Omulabirizi Wo amanyi ebyo ebifuba byabwe bye bikwese n'ebyo bye bassa mu lwatu."},{"id":70,"translation":"Era Yye Allah tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okuggyako Yye. okutenderezebwa Kukwe, ku ntandikwa ne ku nkomerero era obuyinza bwonna Bubwe era Gy'ali gye mulizzibwa."},{"id":71,"translation":"Bagambe nti mulaba mutya singa Allah abassaako ekiro ne kiba kyalubeerera okutuusa ku Lunaku lw'Enkomerero, ani asinzibwa atali Allah ayinza okubaleetera ekitangaala, abaffe temuwulira!."},{"id":72,"translation":"Bagambe nti mulaba mutya singa Allah abassaako obudde bw'emisana nga bwa lubeerera okutuusa ku Lunaku lw'Enkomerero, ani asinzibwa atali Allah ayinza okubaleetera ekiro kye muwummuliramu, abaffe temulaba?!."},{"id":73,"translation":"Ebimu ku bibalibwa mu kusaasira Kwe, kwe kuba nti yabateerawo ekiro n'emisana muwummuliremu era mube nga munoonya ebigabwa Bye era kibayambe okwebaza."},{"id":74,"translation":"Era bategeeze Olunaku (Katonda) lw'alibakoowoola n'agamba nti biriwa bye mwangattangako ebyo byemwakkiririzangamu?"},{"id":75,"translation":"Era tuliggya mu buli kibiina omujulizi ne tugamba nti muleete abajulizi bammwe, awo nno balimanya nti ddala obutuufu bwa Allah, era bigenda kubabulako ebyo bye baagunjanga."},{"id":76,"translation":"Mazima Kaaluuna yali wa mu bantu ba Musa n'abeewaggulako, ate nga twamuwa amawanika nga ddala ebisumuluzo byago bizitoowerera ekibinja eky'abantu abaamaanyi. Jjukira abantu be bwe baamugamba nti tosanyuukirira mazima Katonda tayagala basanyuukirira bitaliimu."},{"id":77,"translation":"Noonya ennyumba ey'enkomerero nga okozesa ebyo Allah bye yakuwa, era teweerabiranga omugabo gwo mu nsi, kolera (abalala) obulungi nga Allah bw'akukolera obulungi, toluubiriranga okwonoona mu nsi. Mazima allah tayagala boonoonyi."},{"id":78,"translation":"(Kaaluuna) n'agamba nti: Mazima (bye nnina) nnabiweebwa lwa kumanya kwe nnina. Abaffe teyamanya nti ddala Allah yazikiriza olubereberye lwe emirembe gy'abo abaali bamusinga amaanyi era nga baakunngaanya bingi okumusinga, era aboonoonyi tebasabibwa (kunnyonnyola bikwata ku) byonoono byabwe (anti Allah abimanyi)."},{"id":79,"translation":"(Olwo nno Kaaluuna) yafuluma (n'agenda) awali abantu be nga ali mu byambalo bye ebirungi ennyo, abo abaagala obulamu bw'ensi ne bagamba nti singa naffe tulina ng'ebyo ebyaweebwa Kaaluuna, mazima yye waamukisa munene."},{"id":80,"translation":"Abo abaaweebwa okumanya ne bagamba nti nga mulabye empeera za Allah ze zisinga obulungi eri oyo akkiriza n'akola emirimu emirungi (kyokka ekyo) tekiweebwa okuggyako abagumiikiriza."},{"id":81,"translation":"Olwo nno ne tulagira ettaka nerimumira n'ennyumba ye, teyalina kabinja ka bantu baamutaasa awatali Allah era teyali wa mu bayinza kwetaasa."},{"id":82,"translation":"Abo abeegomba embeera ye olunaku lwajjo, baatuuka okugamba nti: weewaawo ddala Allah ayanjuluza ebyenfuna eri oyo gw'aba ayagadde mu baddu Be era nga bw'asobola okubifunza. Singa Allah teyatwagaliza kirungi, naffe yaaliragidde ettaka neritumira, yye abaffe tokiraba nti abatakkiriza tebayinza kutuuka ku buwanguzi?"},{"id":83,"translation":"Eyo ennyumba ey'enkomerero (Ejjana) tugiteerawo abo abatayagala kwesukkulumya mu nsi wadde okwonoona, era enkomerero ennungi y'abo abatya Katonda."},{"id":84,"translation":"Oyo yenna akola ekirungi alisasulwa ekirungi ekikisinga, wabula oyo akola ekibi, abo abakola ebibi tebagenda kusasulwa okuggyako ebyo bye baakola."},{"id":85,"translation":"Mazima Oyo eyakukasaako Kulaani agenda kukuddiza ddala eri obuddo obulagaanye, gamba nti Mukama Omulabirizi Wange y'asinga okumanya oyo aleese obulunngamu, era n'oyo ali mu bubuze obw'olwatu."},{"id":86,"translation":"Era wali tosuubira Ekitabo okuba nga kikuweebwa, (ekyo tekyali) okuggyako okusaasira okuva ewa Mukama Omulabirizi Wo n'olwekyo tobeeranga omuyambi w'abo abatakkiriza."},{"id":87,"translation":"Era tebakuggyanga ku bigambo bya Allah oluvannyuma lw'okuba nti byassibwa gy'oli, era koowoola (abantu) okujja ewa Mukama Omulabirizi Wo era tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Allah."},{"id":88,"translation":"Era tosabanga awamu ne Allah ekisinzibwa ekirala kyonna, tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Yye, buli kintu kyakuggwaawo okuggyako Yye, okusalawo kwonna Kukwe era Gy'ali gyemulizzibwa."}]},{"id":29,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Miim."},{"id":2,"translation":"Abaffe abantu basuubira okulekebwa babe nga bagamba nti tukkirizza nga nabo tebagezesebwa."},{"id":3,"translation":"Mazima twagezesa abo abaabakulembera, Allah yamanyira ddala abo abeesimbu (mu Bukkiriza bwabwe) era yamanyira ddala abalimba."},{"id":4,"translation":"Oba abo abakola ebibi basuubira nti bayinza okutulemesa (ne tutababonereza), balamula bubi."},{"id":5,"translation":"Oyo yenna asuubira okusisinkana Allah mazima ekiseera kya Allah (okumusisinkana) kijja, era Yye ye Muwulizi ennyo Omumanyi ennyo."},{"id":6,"translation":"Oyo yenna alafuubana (okuweereza Allah) mazima yeerafuubanira ku lulwe mazima Allah talina kye yeetaaga ku bitonde."},{"id":7,"translation":"Ate abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu ddala tugenda kubasangulako ebibi byabwe, era tujja kubasasulira ddala ebirungi ebisinga bye baali bakola."},{"id":8,"translation":"Era twakuutira omuntu okuyisa obulungi bakadde be bombi, naye bwe bakuwaliriza obe nga ongattako ekyo kyotalinaako kumanya kwonna tobagonderanga, gyendi y'eri obuddo bwammwe olwo nno mbategeeze ebyo bye mwakolanga."},{"id":9,"translation":"Naye abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi tujja kubayingiririza ddala mu balongoofu."},{"id":10,"translation":"Mu bantu mulimu agamba nti nzikirizza Allah naye bw'ayisibwa obubi ku lwa Allah afuula okunyigiriza kw'abantu nga Ebibonerezo bya Katonda, wabula singa okutaasa kwa Mukama Omulabirizi Wo kuba kuzze olwo nno bagambira ddala nti tubadde wamu nammwe, abaffe Allah si y'asinga okumanya ebyo ebiri mu bifuba bye bitonde!."},{"id":11,"translation":"Allah ajja kwoleseza ddala abo abakkiriza era nga bw'ajja okwoleseza ddala Abannanfuusi (oluvannyuma lw'okubagezesa)."},{"id":12,"translation":"Abatakkiriza baagamba abo abakkiriza nti mugondere enkola yaffe olwo nno naffe twetikke ebibi byammwe so nga tebagenda kwetikka kintu kyonna mu bibi byabwe, mazima bo balimba."},{"id":13,"translation":"Bagenda kwetikka emigugu gyabwe n'emigugu (emirala) awamu n'emigugu gyabwe, era ddala bagenda kubuuzibwa ku Lunaku lw'Enkomerero ku ebyo bye baatemereranga."},{"id":14,"translation":"Mazima twatuma Nuuhu eri abantu be n'amala mu bo emyaka lukumi okuggyako emyaka ataano, olwo nno amataba ne gabakwata nga nabo balyazaamaanyi."},{"id":15,"translation":"Ne tumuwonya n'abantu abaali mu lyato ne tukifuula kya kuyiga eri abantu."},{"id":16,"translation":"Era (babuulire) ekyafaayo kya Ibraahiimu bwe yagamba abantu be nti: Musinze Allah era mumutye ekyo kye kirungi gyemuli bwe muba nga mumanyi."},{"id":17,"translation":"Mazima musinza ebifaananyi (ebibumbe) ne muleka Allah ne mussaawo obulimba, mazima ebyo bye musinza ne muleka Allah tebisobola kubagabirira, n'olwekyo ewa Allah gye muba munoonya okugabirirwa, mumusinze era mumwebaze Gy'ali gye mulizzibwa."},{"id":18,"translation":"Bwe munaalimbisa, mazima ebibiina bingi byalimbisa olubereberye lwammwe, ate Omubaka tavunaanyizibwa okuggyako okutuusa (Obubaka) okweyolefu."},{"id":19,"translation":"Abaffe tebalaba engeri Allah gy'atandikamu ebitonde (ne bivaawo) oluvannyuma n'abizzaawo, mazima ekyo kyangu nnyo ku Allah."},{"id":20,"translation":"Bagambe (ggwe Muhammadi) nti mutambule mu nsi mulabe engeri gye yatandika ebitonde ate Allah agenda kusibula olusibula olw'enkomerero, mazima Allah Muyinza ku buli kintu."},{"id":21,"translation":"Abonereza oyo gw'aba ayagadde era n'asaasira oyo gw'aba ayagadde era gy'ali gye mugenda okuzzibwa."},{"id":22,"translation":"Ate mmwe ku nsi ne mu ggulu temusobola kulemesa (Katonda) ate nga oggyeeko Katonda temusobola kufuna mukuumi wadde omutaasa."},{"id":23,"translation":"Abo abawakanya Ebigambo bya Allah n'okumusisinkana abo baggwaamu essuubi ly'okusaasira kwange era abo balina Ebibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":24,"translation":"Okwanukula kwa abantu be kwali kugamba bugambi nti: Mumutte oba mumwokye awo nno Allah n'amuwonya omuliro, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Allah eri abantu Abakkiriza."},{"id":25,"translation":"(Ibraahiimu) n'abagamba nti mulese Allah ne mweteerawo ebifaananyi olw'enkolagana eri wakati wammwe mu bulamu bw'ensi, oluvanyuma ku Lunaku lw'Enkomerero abamu bagenda kwegaana bannaabwe era abamu bakolimire bannaabwe, nga n'obuddo bwammwe Muliro, temuliba na bataasa (babadduukirira)."},{"id":26,"translation":"Olwo nno Luutu n'amukkiriza era n'agamba nti mazima nze nngenda kusenguka nzire ewa Mukama Omulabirizi Wange, mazima Yye Ye Nnantakubwakumukono Mugobansonga."},{"id":27,"translation":"Oluvannyuma (Ibraahiimu) ne tumugabira Isihaaka ne Yakuubu era ne tussa mu bazzukulu be obwannabbi n'ebitabo (Taulaati, Zabuuri, Injiili ne Kulaani) era twamuwa empeera ye ku nsi era mazima yye ku Nkomerero alibeera mu balongoofu."},{"id":28,"translation":"Era (bajjukize) Luutu bwe yagamba abantu be nti mazima mmwe mukola ekivve ekitalina muntu n'omu yakibasookako."},{"id":29,"translation":"Mazima mmwe mudda ku basajja mu kifo ky'abakyala (ne mulya ebisiyaga) ne muteega abantu mu makubo, ne mukola ebitasaana mu bifo byammwe we mukunngaanira. Okwanukula kw'abantu be kwali kugamba nti tuleetere ebibonerezo bya Allah bw'oba nga oli mu boogera amazima."},{"id":30,"translation":"(Luutu) n'agamba nti ayi Mukama Omulabirizi Wange ntaasa ku bantu aboonoonyi."},{"id":31,"translation":"Ababaka Baffe (Bamalayika) bwe bajja ewa Ibraahiimu nga bamuleetedde amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala omwana Isihaaka) baagamba nti mazima ffe (bwe tuva wano) tugenda kuzikiriza abantu b'omukitundu kiri mazima abantu baamu babadde beeyisa bubi."},{"id":32,"translation":"(Ibraahimu) n'agamba nti mazima (mu kyalo ekyo) Luutu mw'abeera, ne bagamba nti: Ffe tusinga okumanya abaliyo, ddala tujja kumuwonya n'abantu be okuggyako mukyala we ali mu abo ab'okusigala."},{"id":33,"translation":"Ababaka baffe bwe batuuka ewa Luutu yanakuwala ku lwabwe, era naawulira nga talina maanyi ga kubataasa, ne bamugamba nti totya era tonakuwala, mazima ffe tujja kukuwonya n'abantu bo okuggyako mukyalawo yye wa mu abo abookusigala."},{"id":34,"translation":"Mazima ffe tugenda kussa ku bantu b'ekitundu kino ebibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye baali boonoona."},{"id":35,"translation":"Era mazima olw'ekikolwa ekyo twaleka akabonero akeeyolefu eri abantu abategeera."},{"id":36,"translation":"Era (jjukira) bwe twatumira abantu be Madiyana Muganda waabwe Swu'ayibu n'agamba nti: Abange abantu bange musinze Allah, era musuubire (okusasulwa ku) Lunaku lw'Enkomerero, temukola ebikyamu mu nsi ne muba aboonoonyi."},{"id":37,"translation":"Baamulimbisa olwo nno olubwatuka olw'amaanyi ne lubatuukako ne bafuuka emirambo egiganngalamye mu mayumba gaabwe."},{"id":38,"translation":"Era (Jjukira) ebyatuuka ku bantu b'ekika kya 'Aadi ne Thamuudu, mazima ebibakwatako bimanyiddwa gye muli okusinziira ku mayumba gaabwe nga bwe galabika kati, era Sitaane yabanyiririza emirimu gyabwe emibi, olwo nno n'ebaggya ku kkubo (ettuufu) so nga ate baali balaba (olwa Bannabbi be baali bafunye)."},{"id":39,"translation":"Era jjukira Kaaluuna ne Falaawo ne Haamaana, mazima Musa yabajjira n'obunnyonnyofu naye ne beekuluntaliza mu nsi era tebaali ba kusimattuka."},{"id":40,"translation":"Buli omu twamuvunaana olw'ekibi kye, mu bo mulimu be twasindikira empewo ey'amayinja, ate mu bo mulimu abaatuukwako okubwatuka, era mu bo mulimu be twamiza ettaka era mu bo mulimu be twazikiririza mu mazzi naye Allah tabangako waakubalyazaamaanya wabula bennyini be beeyisa obubi."},{"id":41,"translation":"Ekifaananyi ky'abo abeeteerawo abataasa ne baleka Allah, bali nga nnabbubi eyeezimbira ennyumba ate ng'ennyumba esinga obunafu y’ennyumba ya nnabbubi singa baali bamanyi."},{"id":42,"translation":"Mazima Allah amanyi nti bye basaba ne bamulekawo tebiriimu kantu, era Yye Ye Nnantakubwakumukono Mugobansonga."},{"id":43,"translation":"Era ebyo ebifaananyi tubikubira abantu naye tebabitegeera okuggyako abamanyi."},{"id":44,"translation":"Allah yatonda eggulu omusanvu, n'ensi mu ngeri entuufu, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga eri Abakkiriza."},{"id":45,"translation":"Soma ebyo ebitumiddwa gy'oli ebiri mu Kitabo (Kulaani) era yimirizaawo esswala, mazima esswala eziyiza okukola eby'obuwemu n'empisa embi, era okutendereza Allah ky'ekisinga obukulu, era Allah amanyi bye mukola."},{"id":46,"translation":"Era temuwakananga ne bannannyini Kitabo okuggyako nga mukozesa amakubo agasinga obulungi, okuggyako ku abo abalyazamaanyi mu bo era mugambe nti (ffe) tukkirizza ekyo ekyassibwa gyetuli n'ekyassibwa gyemuli, ng'asinzibwa waffe n'asinzibwa wammwe ali Omu, nga naffe ffenna twewaaayo Gy'ali Yye Yekka."},{"id":47,"translation":"Era bwetutyo twassa gy'oli Ekitabo (Kulaani), abo be twawa ekitabo (nga tetunnakuwa (Kulaani) bagikkiriza ne mu abo (Abawalabu b'e Makkah), mulimu abo abagikkiriza era tewali awakanya bigambo Byaffe (ebiri mu (Kulaani) okuggyako abatakkiriza."},{"id":48,"translation":"(Ebimu ku bya magero byo) kwe kuba nti ggwe tosomangako kitabo kyonna olubereberye nga (Kulaani) tennakuweebwa wadde okuwandiika n'omukono gwo ogwaddyo, singa si bwe kyali ddala aboonoonyi baalibuusabuusizza."},{"id":49,"translation":"Wabula (ekituufu kiri nti) Kulaani Bigambo bya (Katonda) ebinnyonnyofu, ebiri mu bifuba by'abo abaaweebwa okumanya, tewali awakanya Bigambo Byaffe (ebiri mu Kulaani) okuggyako abalyazaamaanyi."},{"id":50,"translation":"(Abagatta ku Katonda ebintu ebirala) baagamba nti singa (Muhammadi) aweereddwa obubonero okuva ewa Mukama Omulabirizi We, bagambe nti mazima obubonero bwa Allah, naye ate nze ndi mutiisa ow'olwatu."},{"id":51,"translation":"Abaffe tekibamala okuba nti twakuwa Ekitabo ekibasomerwa, nga mulimu okusaasira n'okubuulirira eri abantu abakkiriza?"},{"id":52,"translation":"Bagambe nti kimala wakati wange na mmwe okubeera nga Allah ye Mujulizi (akakasa nti ndi Mubaka We), Allah y'amanyi ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, naye abo abakkiriza ebitali bituufu ne bawakanya Allah abo nno be b'okufaafaaganirwa."},{"id":53,"translation":"Bakusaba (mu ngeri y'olujereegerero) obanguyize ebibonerezo, singa tewaaliwo kiseera kigere ebibonerezo byandibajjidde (awo we baalibadde babisabidde) era ddala ebibonerezo bya kubajjira kibwatukira nga tebategedde."},{"id":54,"translation":"Bakusaba obanguyirize ebibonerezo (naye mazima tebamanyi) nti mazima Omuliro Jahannama ddala gulitaayiza abatakkiriza."},{"id":55,"translation":"Ku Lunaku ebibonerezo lwe biribatuukako nga biva waggulu ne wansi w'ebigere byabwe, era (Katonda) abagambe nti mukombe ku bukaawu bw'ebyo bye mwali mukola."},{"id":56,"translation":"Abange mmwe abaddu Bange Abakkiriza (bwe muba nga muli mu kunyigirizibwa) mazima ensi Yange ngazi (musenguke munsinzize awalala), era Nze Nzekka nze gwe muba musinza."},{"id":57,"translation":"Buli mwoyo gwonna gwa gukomba ku kufa, oluvanyuma Gyetuli gye mujja okuzzibwa."},{"id":58,"translation":"Era abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu tujja kubawa ebisenge ebyawaggulu mu Jjana nga emigga gikulukutira wansi waabyo, baakubeera mu byo olubeerera (ebyo) birungi nnyo okuba nga y'empeera y'abakola obulungi."},{"id":59,"translation":"(Bo) beebo abagumiikiriza era nga Mukama Omulabirizi Waabwe gwe beesiga."},{"id":60,"translation":"Bimeka ebiramu ebitambula nga tebisobola kwetikka liziki yaabyo nga Allah Yekka y'abigabirira nammwe (abantu y'abagabirira) era nga Yye Allah Ye Muwulizi Omumanyi ennyo."},{"id":61,"translation":"Abatakkiriza bw'oba nga obabuuzizza nti ani eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'agonza enjuba n'omwezi? Bajja kukugambira ddala nti Allah, ate olwo bakyusibwa batya okuva ku mazima!."},{"id":62,"translation":"Allah agaziyiza omuntu gw'aba ayagadde ebyenfuna mu baddu Be ate n'afundiza oyo gw'aba (ayagadde), mazima Allah ku buli kintu Mumanyi nnyo."},{"id":63,"translation":"Bw'obabuuza nti ani assa amazzi okuva waggulu n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okufa kwayo? ddala bajja kugamba nti Allah, gamba nti okutendebwa kwa Allah wabula abasinga obungi mu bo tebategeera."},{"id":64,"translation":"Obulamu buno obw'ensi eno temuli kantu okuggyako eby'amasanyu n'omuzannyo naye mazima Ennyumba ey'Enkomerero bwe bulamu obwannamaddala singa baali bamanyi."},{"id":65,"translation":"Bwe baba basaabalidde mu maato basaba Allah, nga ekyo bakikola ku lulwe Yekka, naye bw'abawonya n'abatuusa ku lukalu, olwo ate ne bamugattako ebintu ebirala."},{"id":66,"translation":"Kale baleke baleme okusiima bye twabawa era beeyagale, lumu balimanya."},{"id":67,"translation":"Abaffe tebalaba nti mazima Ffe twafuula ekibuga (Makka) eky'emizizo, ekitundu eky'emirembe, naye ng'abantu basikulwa mu bifo ebibeetoolodde. Abaffe ebikyamu bye bakkiriza ate ne bawakanya ebyengera bya Allah?!."},{"id":68,"translation":"Ani omubi okusinga oyo atemerera obulimba ku Allah oba n'alimbisa amazima bwe gaba gamujjidde, abaffe mu Muliro Jahannama temuli kifo kya batakkiriza?!."},{"id":69,"translation":"N'abo abalafuubana mu kutuweereza (nga banoonya okusiima) kwaffe, ddala tujja kubalunngamya ku Makubo Gaffe, era mazima Allah ali wamu n'abalongoosa."}]},{"id":30,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Miim."},{"id":2,"translation":"Abaluumi bawanguddwa."},{"id":3,"translation":"Mu nsi ey'okumpi (eriraanye Shaami) ate nabo oluvannyuma lw'okuwangulwa kwabwe, bajja kuwangula."},{"id":4,"translation":"Mu myaka mitono (egitasukka mwenda). Okusalawo kwa Allah olubereberye n'oluvannyuma, era ku lunaku olwo Abakkiriza bagenda kusanyuka."},{"id":5,"translation":"Ku lw'okutaasa kwa Allah ataasa oyo gw'aba ayagadde, anti bulijjo Ye Nnantakubwakumukono Mugobansonga."},{"id":6,"translation":"Eyo ndagaano ya Allah, Allahl tayawukana ku Ndagaano Ye, naye abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":7,"translation":"(Anti) bamanyi bya kungulu ku bikwata ku bulamu bw'ensi, era nga nabo ku bikwata ku Nkomerero tebalina kye bamanyi."},{"id":8,"translation":"Abaffe tebafumiitiriza mu myoyo gyabwe (ne bakiraba nti) Allah teyatonda ggulu musanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi, wabula mu mazima era nga birina ekiseera ekigere, naye mazima bangi mu bantu bawakanya okusisinkana Mukama Omulabirizi Waabwe."},{"id":9,"translation":"Abaffe tebatambulangako mu nsi ne balaba enkomerero y'abo abaabasookawo bwe yali?! (Ate) nga baali babasinga amaanyi era baayiikuula ensi era ne bagizimba okusinga nga bano bwe baagizimba era Ababaka baabwe baabaleetera obunnyonnyofu, n'olwekyo Allah weyabazikiririza teyabalyazaamaanya wabula bo bennyini be be baali balyazaamaanya emyo gyabwe."},{"id":10,"translation":"Oluvannyuma enkomerero y'abo abaakola ebivve yali nti baalimbisa Ebigambo bya Allah era baali babijeeja."},{"id":11,"translation":"Allah y'atandika ebitonde oluvannyuma agenda kubizzaawo ate oluvanyuma Gy'ali gye mulizzibwa."},{"id":12,"translation":"Era Olunaku Essaawa Ey'enkomerero lw'erituuka, aboonoonyi bagenda kuggwaamu essuubi."},{"id":13,"translation":"Era tebagenda kufuna mu bannaabwe bawolereza, olwo nno balyegaana bannaabwe."},{"id":14,"translation":"Era Olunaku Essaawa ey'Enkomerero lw'erituuka kw'olwo bagenda kwawukana."},{"id":15,"translation":"Bo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi, abo nno baakubeera mu bifo ebyeyagaza nga basanyusibwa."},{"id":16,"translation":"Ate abo abaawakanya ne balimbisa Ebigambo Byaffe ne balimbisa n'ensisinkano y’Olunaku lw'Enkomerero, abo bagenda kuteekebwa mu bibonerezo."},{"id":17,"translation":"N'olwekyo asukkulumizibwe Allah mu kiseera we mubeerera mu biseera eby'olweggulo ne we mubeerera mu biseera eby'okumakya."},{"id":18,"translation":"Era okutenderezebwa Kukwe mu ggulu omusanvu n'ensi ne mu kiseera eky'akawungeezi ne wemubeerera mu ttuntu."},{"id":19,"translation":"(Era Allah) aggya ekiramu mu kifu era n:aggya ekifu mu kiramu, era y'awa ensi obulamu oluvannyuma lw'okufa kwayo era bwe mutyo bwe muliggyibwa mu ntaana."},{"id":20,"translation":"Era mu bubonero Bwe (obulaga obuyinza Bwe), kwe kuba nti yabatonda nga abaggya mu ttaka oluvannyuma ne mubeera abantu abasaasaanira ensi."},{"id":21,"translation":"Era mu bubonerobwe kwe kuba nti yabatondera be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe, mube nga musobola okubeera nabo, era yassa wakati wammwe omukwano n'okusaasira , mazima ebyo mulimu obubonero eri abantu abafumiitiriza."},{"id":22,"translation":"Era mu bubonero Bwe mwe muli: Okutonda eggulu omusanvu n'ensi n'okwawukana kw'ennimi zammwe ne langi zammwe, mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abamanyi."},{"id":23,"translation":"Era mu bubonero Bwe mwe muli: Okwebaka kwa mmwe ekiro n'emisana n'okunoonya kwa mmwe ebigabwa Bye, mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abawulira."},{"id":24,"translation":"Era mu bubonero Bwe: Kwe kuba nti abalaga ekimyanso ky'eggulu nga mukitya ate nga mululunkanira (enkuba) era assa okuva waggulu amazzi n'awa nago ettaka obulamu oluvannyuma lw'okufa kwa lyo. Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abategeera."},{"id":25,"translation":"Era mu bubonero Bwe mwe muli: Okuba nti eggulu n'ensi byayimirirawo ku kiragiro Kye, oluvannyuma bw'alibakoowoola olukoowoola nti muve mu ttaka, oligenda okulaba nga muvaayo."},{"id":26,"translation":"Era bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi byonna bigondera Yye (Yekka)."},{"id":27,"translation":"Era Yye Y'Oyo atandikawo ebitonde era nga y'alibizzaawo (oluvannyuma lw'okufa kwabyo) (naye eky'okubizzaawo) kye kisinga obwangu ku Yye, era ekifo ekisukkulumu kikye Yekka mu ggulu omusanvu n'ensi era Yye Ye Nnantakubwakumukono Mugobansonga."},{"id":28,"translation":"(Katonda) yabakubira ekifaananyi nga kikwata ku mmwe mwennyini: Abaffe mw'ebyo bye tubagabira mulina ababeegattako mw'abo emikono gyamwe be gifuga (abaddu bammwe) ne muba nga mwenna mwenkana mwekyo ne mutuuka okubatya nga bwe mwetya mwennyini, bwetutyo bwe tunnyonnyola ebigambo eri abantu abategeera."},{"id":29,"translation":"Wabula abo abalyazaamaanyi bagoberera kwagala kwabwe awatali kusinziira ku kumanya kwonna, ye ate ani ayinza okulunngamya oyo Allah gwe yabuza era abo tebagenda kufuna babataasa."},{"id":30,"translation":"Kale nno yolekeza ekyenyi kyo eri Eddiini ng'oli mwesimbu. (Olw'okuba Eddiini eyo) y'enkola ya Allah gye yatonderako abantu, tewali kukyusa mu ntonda ya Allah, eyo ye Eddiini ennambulukufu, naye abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":31,"translation":"(N'olwekyo) mubeere abeemenyera Katonda era mumutye, muyimirizeewo esswala, so temubeeranga mu bagatta ku Allah ebintu ebirala."},{"id":32,"translation":"Mu abo abaatemaatema eddiini yaabwe ne baba bubinja nga buli kabinja kacacanca n'ebyo bye kalina."},{"id":33,"translation":"Obuzibu bwe buba butuuse ku bantu basaba Mukama Omulabirizi Waabwe nga bamwemenyera, oluvannyuma bw'abaloza ku kusaasira okuva Gy'ali ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bagatta ebintu ebirala ku Mukama Omulabirizi Waabwe."},{"id":34,"translation":"Ne bawakanya bye twabawa kale mweyagale kyaddaaki mujja kumanya."},{"id":35,"translation":"Abaffe oba twabawa obujulizi nga bwogera ku ebyo bye bagatta ku Katonda (nti bituufu!)."},{"id":36,"translation":"Bwe tuba nga tulozezza abantu ku kusaasira Kwaffe ekyo kibasanyusa, naye bwe baba nga batuukiddwako ekibi kyonna olw'ebyo emikono gyabwe bye gyakola ogenda okulaba nga baggwaamu essuubi (ku kusaasira kwa) Katonda."},{"id":37,"translation":"Abaffe tebalaba nti mazima Allah agaziyiza gw'aba ayagadde ebyenfuna ate n'abifundiza oyo gw'aba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu (obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda) eri abantu abakkiriza."},{"id":38,"translation":"Kale wa ow'oluganda lwo olw'okumpi kyateekwa okuweebwa, n'omufunampola, n'omutambuze ekyo kye kirungi eri abo abaagala ebiri eri Allah era abo be b'okutuuka ku buwanguzi."},{"id":39,"translation":"Ekyo kyonna kye muba muwaddeyo (nga muwola) mu mmaali ey'ennyongeza (Riba) nti zigende zizaalire mu mmaali y'abantu tezizaala ewa Allah, ate ekyo kye muba muwaddeyo mu Zzaka nga mwagala ebiri eri Allah abo nno be basaanira ennyongeza."},{"id":40,"translation":"Allah Y'Oyo eyabatonda bw'amala n'abagabirira bw'amala n'abatta, oluvannyuma agenda kubawa obulamu, abaffe mu bannammwe be mugatta ku Allah waliwo akola ekintu kyonna ku ebyo ?Allah Musukkulumu era yayawukana ku ebyo bye bamugattako."},{"id":41,"translation":"Obwonoonefu bweyolese ku lukalu ne ku nnyanja olw'ebyo emikono gy'abantu bye gikola, (Katonda) alyoke abakombese ku bukaawu bw'ebimu ku ebyo bye baakola, balyoke beekomeko."},{"id":42,"translation":"Gamba ( ggwe Muhammadi nti) mutambule mu nsi mulabe yali etya enkomerero y'abo abaaliwo olubereberye. Abasinga obungi mu bo baali bagatta ku Allah ebintu ebirala mu kusinzibwa kwe."},{"id":43,"translation":"Kale nno yolekeza Ekyenyi kyo eri Eddiini ennambulukufu, nga Olunaku terunnajja olutagenda kuggyibwa ku Katonda neruzzibwayo, ku Lunaku olwo abantu bagenda kubeera mu bibinja."},{"id":44,"translation":"Omuntu awakanya, ekibi ky'okuwakanya kwe kiri ku ye, n'oyo yenna akola emirimu emirongoofu (abo) baba bateekateekera myoyo gyabwe."},{"id":45,"translation":"(Katonda) alyoke asasule mu bigabwa Bye abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu, anti mazima Yye tayagala batakkiriza."},{"id":46,"translation":"Era mu bubonero Bwe kwe kuba nti atambuza empewo nga zireeta amawulire ag'essanyu (enkuba), era alyoke abaloze ku kusaasira Kwe, era amaato galyoke gadduke ku lw'ekiragiro Kye, era mube nga munoonya ebigabwa bye era mulyoke mwebaze (Katonda ku lw'ebyo)."},{"id":47,"translation":"Era mazima twatuma olubereberye lwo Ababaka eri abantu baabwe ne babaleetera obunnyonnyofu (abantu ne babuwakanya) olwo ne tuzikiriza abo abaajeema, era kyali kitukakatako okutaasa Abakkiriza."},{"id":48,"translation":"Allah y'Oyo atambuza empewo, ne zifuukuula ebire n'abyanjululiza mu bbanga nga bw'aba ayagadde, n'abifuula ebitundutundu, olwo nno n'olaba namuttikwa w'enkuba nga abivaamu, (Katonda) bw'agituusa ku abo baaba ayagadde mu baddu Be ogenda okulaba nga basanyuka."},{"id":49,"translation":"Newaakubadde nga bw'eba tennaba kubatonnyesezebwa olubereberye lw'ekyo baali baweddemu essuubi ."},{"id":50,"translation":"Tunuulira olabe ebiva mu kusaasira kwa Allah engeri gy'awa ettaka obulamu oluvannyuma lw'okufa kwa lyo. Mazima Oyo ajja kulamusiza ddala abafu era Yye bulijjo Muyinza ku buli kintu."},{"id":51,"translation":"Wabula singa tuba tutambuzizza empewo ne babiraba (ebirime) nga bifuuse bya kyenvu olw'okuwotoka, bandibadde olw'ekyo beegaana ebyengera bya (Katonda)."},{"id":52,"translation":"(N'olwekyo ggwe tobafaako) anti mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bw'otasobola kuwuliza bakiggala kasita bakyuka ne bakukuba amabega."},{"id":53,"translation":"Era toli asobola kulunngamya bamuzibe n'obaggya ku bubuze bwabwe, tosobola kuwuliza okuggyako abo abakkiriza Ebigambo Byaffe ne baba nga beewaddeyo."},{"id":54,"translation":"Allah Y'Oyo eyabatonda okutandikira mu bunafu, ate oluvannyuma lw'obunafu yabawa amaanyi, ate oluvannyuma lw'amaanyi yassaawo obunafu n'obukadde. Atonda ky'aba ayagadde era Yye Ye Mumanyi ennyo Omuyinza."},{"id":55,"translation":"Olunaku Enkomerero lw'eriyimirirawo aboonoonyi balirayira nti (ku nsi) tebaatuulako okuggyako akaseera akatono, bwe batyo nno bwe baali bawugulwa."},{"id":56,"translation":"Ate abo abaaweebwa okumanya n'Obukkiriza baligamba nti: Mazima mwatuula (ku nsi) okumala ebbanga Allah lye yabawandiikira, okutuuka ku Lunaku lw'Okuzuukira, kaakano luno lwe lunaku lw'okuzuukira (lutuuse) naye mazima mwali temumanyi."},{"id":57,"translation":"Ku lunaku olwo abo abeeyisa obubi okwetonda kwabwe tekulibagasa era tebagenda kukkirizibwa kwenenya."},{"id":58,"translation":"Mazima tukubidde abantu mu Kulaani eno buli kika kya kifaananyi, naye singa obaleetedde akabonero konna, ddala abo abawakanya bajja kugamba nti temuli mmwe okuggyako okuba aboonoonyi."},{"id":59,"translation":"Bw'atyo Allah bw'azibikira emitima gy'abo abatamanyi."},{"id":60,"translation":"Kale gumiikiriza mazima endagaano ya Allah ya mazima, era tebakutiisanga abo abatakakasa kintu kyonna kikwata ku Katonda."}]},{"id":31,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Miim."},{"id":2,"translation":"Ebyo bigambo eby'Ekitabo ekijjudde amagezi."},{"id":3,"translation":"Nga bulunngamu era kusaasira eri abalongoosa."},{"id":4,"translation":"Abo abayimirizaawo esswala ne batoola Zzakka era nga bo bakakasa Olunaku lw'Enkomerero."},{"id":5,"translation":"Abo bali ku bulunngamu okuva ewa Mukama Omulabirizi Waabwe era abo be b'okwesiima."},{"id":6,"translation":"Mu bantu mulimu agula emboozi ezitaliimu makulu, olwo nno abeere nga abuza (abantu) n'abaggya ku Kkubo lya Allah awatali kusinziira ku kumanya kwonna, era nga Ebigambo (bya Allah) abifuula bya lusaago, abo nno balina ebibonerezo ebinyoomesa."},{"id":7,"translation":"Ebigambo Byaffe bwe biba bimusomeddwa akyuka nga yeekuza, n'aba nga atabiwulidde amatu ge ne gaba nga agalimu envumbo, kale musanyuse n'ebibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":8,"translation":"Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina Ejjana ezijjudde ebyengera."},{"id":9,"translation":"Baakuzituulamu obugenderevu, nga eyo ye Endagaano ya Allah ey'amazima, era Yye Ye Nnantakubwakumukono Mugobansonga."},{"id":10,"translation":"Yatonda eggulu omusanvu awatali mpagi ze mulaba, ate n'assa mu nsi ensozi ennywevu ereme kubayuuzayuuza, ate n'asaasaanya mu yo, buli kika kya kiramu ekitambula, era nettussa okuva waggulu amazzi ne tumeza muyo buli mitindo (ebimera) eby'omugaso omusuffu."},{"id":11,"translation":"Okwo kwe kutonda kwa Allah, kale mundage abo abatali Yye bye batonda. Wabula (ekituufu kiri nti) abalyazaamaanyi bali mu bubuze obweyolefu."},{"id":12,"translation":"Era mazima twawa Luqmaan okumanya ensonga (netumugamba) nti weebaze Allah, era omuntu eyeebaza abeera yeebaza ku lulwe, ate oyo atasiima mazima Allah talina kye yeetaaga (eri kitonde kyonna) era atenderezebwa nnyo."},{"id":13,"translation":"Era jjukira Luqmaan bwe yagamba mutabani we bwe yali amubuulirira nti: owange mwana wange togattanga ku Allah ekintu ekirala mazima okugatta ku Allah ekintu ekirala kwe kulyazaamaanya okubi ennyo."},{"id":14,"translation":"Twakalaatira omuntu okuyisa obulungi bakadde be bombi, nnyina amusitula mu lubuto ng'ali mu bunafu obweyongera ku bunafu, era nga okumuggya ku mabeere (kubaawo) mu bbanga lya myaka ebiri, (era ne tumugamba) nti: Weebaze Nze (Katonda) era weebaze ne bakadde bo. Gy'endi yokka y'eri obuddo."},{"id":15,"translation":"Bwe baba bakuwalirizza obe nga ongattako ekyo ky'otolinaako kumanya kwonna tobagonderanga, naye kolagana nabo mu nsi mu ngeri nnungi, era ogoberere ekkubo ly'oyo eyeemenya nadda gyendi. Ate oluvannyuma Gy'endi yeeri obuddo bwammwe olwo nno nembategeeza ebyo bye mwakolanga."},{"id":16,"translation":"Owange Mutabani wange, mazima kyo (ekikolwa) ne bwe kiba kyenkana obuzito bw'empeke ya akalo, k'ebe nga eri mu lwazi oba mu ggulu omusanvu oba mu nsi, Allah agenda kukireeta (asasule eyakikola) mazima Allah amanyidde ddala ebitalabika, ate buli kintu akimanyidde ddala okuva ku ntobo yaakyo."},{"id":17,"translation":"Owange Mutabani wange yimirizaawo esswala olagire (abantu) okuyisa obulungi, obakomeko ku kweyisa obubi era ogumiikirize ku ebyo ebiba bikutuuseeko. Mazima ebyo (ebikugambiddwa) bye bimu ku bigambo ebikakafu."},{"id":18,"translation":"Tokyusizanga abantu ettama lyo olw'okwekuza (ng'obalengezza) era totambulanga mu nsi nga weewulira, mazima Allah tayagala buli yenna eyeekuluntaza omwewulize."},{"id":19,"translation":"Pima entambula yo (tosaayirira ate tosooba) kakkanya eddoboozi ryo, mazima eddoboozi erisinga obubi mu maloboozi gonna ddoboozi lya ndogoyi."},{"id":20,"translation":"Abaffe temulaba nti mazima Allah yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era n'abawa mu bungi ebyengera Bye eby'okungulu n'ebyomunda, naye mu bantu mulimu abawalaaza empaka ku bikwata ku Allah awatali kusinziira ku kumanya kwonna wadde obulunngamu wadde Ekitabo ekibamulisiza ekkubo."},{"id":21,"translation":"Bwe baba bagambiddwa nti mugoberere ebyo Allah bye yassa bagamba nti nedda tugoberera ebyo bye twasangako bakadde baffe, naye abaffe (balemera ku ekyo) newaakubadde Sitaane ebakoowoola kudda eri Omuliro Saeiri (bamala gagoberera)."},{"id":22,"translation":"Naye omuntu awaayo ekyenyi kye ewa Allah era nga alongoosa, mazima aba yeekutte ku muguwa omunywevu era ewa Allah y'eri enkomerero y'ebigambo."},{"id":23,"translation":"Oyo yenna awakanya, okuwakanya kwe tekukunakuwaza Gyetuli ye eri obuddo bwabwe, olwo nno tulibategeeza bye baakolanga. Mazima Allah amanyidde ddala ebiri mu bifuba."},{"id":24,"translation":"Tubeeyagaza kitono, oluvannyuma tulibawalabanya okubatwala eri ebibonerezo ebikakali."},{"id":25,"translation":"Singa obadde obabuuzizza nti: Ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi? Ddala bajja kugamba nti Allah, bagambe nti (n'olwekyo) okutenderezebwa kwonna kwa Allah. Wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi."},{"id":26,"translation":"Bya Allah ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima Allah Yye y'atalina kye yeetaaga (era) atenderezebwa."},{"id":27,"translation":"Era mazima singa emiti gyonna egiri mu nsi zaali kalaamu, nga n'ennyanja (eziriwo) ziyambibwako ennyanja musanvu oluvannyuma lwa zino, ebigambo bya Allah tebyaliweddeyo, mazima Allah Nnantakubwakumukono Mugobansonga."},{"id":28,"translation":"Okutondebwa kwammwe n'okuzuukira kwammwe tekuli okuggyako okuba nga kulinga okutonda n'okuzuukiza omuntu omu. Mazima Allah awulira nnyo alabira ddala."},{"id":29,"translation":"Abaffe tolaba nti mazima Allah ayingiza ekiro mu budde obw'emisana, ate n'ayingiza obudde obw'emisana mu kiro era n'agonza enjuba n'omwezi, buli kimu kitambulira mu nkulungo yaabyo okutuusa ku kiseera ekigere, era mazima Allah amanyidde ddala bye mukola."},{"id":30,"translation":"Ekyo kiri bwe kityo, lwa kuba nti Allah Yye ye Mutuufu, ate ddala ebyo bye basaba ne baleka Allah bye bikyamu, era mazima Allah Yye Ye Waawaggulu asinga okuweebwa ekitiibwa."},{"id":31,"translation":"Abaffe tolaba nti mazima amaato gaseeyeeyera ku nnyanja ku lw'okusaasira kwa Allah, olwo nno abe nga abalaga ku bubonero Bwe. Mazima ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza eyeebaza."},{"id":32,"translation":"(Abatakkiriza bwe babeera mu maato ago) amayengo bwe gababikka ne genkana ng'ensozi (olwo nno) basaba Allah, nga eddiini yonna bagikola ku lulwe Yekka, naye bw'abawonya, n'abatuusa ku lubalama, mu bo mubaamu abeegendereza (ne baba wakati w'okukola emirimu emirungi n'emibi) era tewali awakanya Bubonero Bwaffe okuggyako buli wa nkwe omuwakanyi."},{"id":33,"translation":"Abange mmwe abantu mutye Mukama Omulabirizi Wammwe era mutye Olunaku omuzadde lw'ataligasa mwana we wadde omwana okuba nti naye aligasa mukadde we ekintu kyonna, mazima Endagaano ya Allah ya mazima, kale nno obulamu bw'ensi tebubalabankanyanga era ebirabankanya tebibaggyanga ku Allah."},{"id":34,"translation":"Mazima Allah Yekka Ye alina okumanya ebifa ku Lunaku lw'Enkomerero, era y'atonnyesa enkuba, era y'amanyi ekyo ekiri mu nnabaana, omuntu tayinza kumanya kiki ky'anaafuna enkya, era omuntu tayinza kumanya alifiira mu nsi ki, mazima Allah amanyi nnyo ategeerera ddala buli kintu okuva ku ntobo yaakyo."}]},{"id":32,"verses":[{"id":1,"translation":"Alif Laam Miim."},{"id":2,"translation":"Okussibwa kw'Ekitabo kino (Kulaani) tekuliimu kubuusabuusa (okuba nti) kyava ewa Mukama Omulabirizi W'ebitonde."},{"id":3,"translation":"Oba bagamba nti (Muhammadi) yakigunjaawo, si bwe kiri, kyo ge mazima agava ewa Mukama Omulabirizi Wo, obe nga otiisa abantu abatajjirwa mutiisa oluberyeberye lwo olwo nno babe nga balunngama."},{"id":4,"translation":"Katonda Y'Oyo eyatonda mu nnaku mukaaga eggulu omusanvu n'ensi, na byonna ebiri wakati wa byombi bwe yamala n'atebenkera ku Arishi, awatali Yye temulina mukuumi wadde omuwolereza. Abaffe temwebuulirira?."},{"id":5,"translation":"(Katonda) atambuza ebintu byonna (nga ebiragiro) biva mu ggulu ne bijja ku nsi, oluvannyuma (ebikwata ku bikoleddwa) birinnya ne byambuka Gy'ali mu lunaku olwenkana emyaka lukumi mu egyo gye mubala."},{"id":6,"translation":"Oyo nno Ye Mumanyi w'ebikusike n'ebirabwako, Nnantakubwakumukono Omusaasizi."},{"id":7,"translation":"Oyo eyalungiya buli kintu kye yatonda, nga era yatandika okutonda omuntu nga amuggya mu ttaka."},{"id":8,"translation":"Ate ezzadde lye (omuntu) n'aba nga alisibimbula mu mazzi aganyoomebwa."},{"id":9,"translation":"Bwe yamala yamussa mu kifaananyi ekimusaanira, n'amufuuwamu ogumu ku myoyo gye (gye yatonda edda) n'abassaako amatu, n'amaaso n'emitima, naye kitono nnyo kye mwebaza."},{"id":10,"translation":"Era (abatakkiriza) baagamba nti bwe tulimala okusaanirawo mu ttaka, abaffe walibaayo okutonda okupya (ne tuddawo), ekiboogeza ekyo si kirala wabula lwa kuba nti bawakanya okusisinkana Mukama Omulabirizi Waabwe."},{"id":11,"translation":"Bagambe nti Malayika Walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvannyuma eri Mukama Omulabirizi Wammwe gye mulizzibwa."},{"id":12,"translation":"Singa olisobola okulaba aboonoonyi nga bakotese emitwe gyabwe, mu maaso ga Mukama Omulabirizi Waabwe, nga bagamba nti ayi Mukama Omulabirizi Waffe, tulabye era tuwulidde, n'olwekyo tuzzeeyo tukole emirimu emirungi mazima ffe tumaze okukakasa."},{"id":13,"translation":"Era singa twayagala, buli mwoyo twaliguwadde obulunngamu bwa gwo, naye mazima ekigambo kyakakata okuva mu Nze nti: Omuliro Jahannama Nja kujjulizaamu ddala amajinni n'abantu bonna."},{"id":14,"translation":"(Baligambibwa nti) kale mukombe (ku bibonerezo) olw'okwerabira kwammwe okusisinkana Olunaku lwammwe luno, mazima Ffe tubeerabidde era mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera olw'ebyo bye mwali mukola."},{"id":15,"translation":"Mazima abakkiriza Ebigambo Byaffe, beebo nga buli lwe baba babuuliriddwa nabyo beeyala wansi ne bavunnama era ne batendereza amatendo ga Mukama Omulabirizi Waabwe, era bulijjo bo tebeekuza."},{"id":16,"translation":"Nga embiriizi zaabwe ziva ku buliri (ekiro) ne baba mu kusaba Mukama Omulabirizi Waabwe olw'okutya (ebibonerezo Bye) n'okululunkana (okufuna ebirungi Bye), era bulijjo bawaayo nga baggya mu ebyo bye tubagabirira."},{"id":17,"translation":"Tewali muntu amanyi ebyo ebyabaterekerwa mu kyama mu bitebenkeza amaaso (ebyabaweebwa) nga mpeera olw'ebyo bye baali bakola."},{"id":18,"translation":"Abaffe oyo abeera nga Mukkiriza ayinza okuba nga oyo omwonoonyi! (ekituufu kiri nti) tebenkana."},{"id":19,"translation":"Bo abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina Ejjana ezeeyagaza okubeeramu, nga bugenyi (obulibaweebwa) olw'ebyo bye baakolanga."},{"id":20,"translation":"Bo abo abaayonoona obuddo bwabwe Muliro, wonna we balyagaliranga okugufuluma nga bazzibwamu era nga bagambibwa nti: mukombe ku bibonerezo by'Omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa."},{"id":21,"translation":"Era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebinafu (mu bulamu obw'ensi) nga tebannatuuka ku bibonerezo ebinene (ku Lunaku lw'Enkomerero), oba oli awo ne badda (eri obutuufu)."},{"id":22,"translation":"Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo abuulirirwa ne bigambo bya Mukama Omulabirizi We ate n'abivaako! Mazima Ffe tugenda kubonereza aboonoonyi."},{"id":23,"translation":"Era mazima twawa Musa Ekitabo (Tawulaati n'olwekyo naawe) tobeeramu kubuusabuusa mu kukifuna (Kulaani) era twakifuula bulunngamu eri abaana ba Yisirayiri."},{"id":24,"translation":"Era twassaawo nga tuggya mu bo abakulembeze abalunngamya (abantu) nga bakolera ku Kiragiro Kyaffe, kasita bagumiikiriza era ne baba nga bakakasa obubonero Bwaffe."},{"id":25,"translation":"Era mazima Mukama Omulabirizi Wo Yye ajja kusalawo wakati waabwe ku Lunaku lw'Enkomerero mu ebyo bye baayawukanangamu."},{"id":26,"translation":"Abaffe tebakimanyanga mu bulambulukufu nti emirembe emeka gye twazikiriza olubereberye lwabwe, ate nga batambulira mu bitundu gye baabeeranga, mazima mu ekyo mulimu obubonero (Bwaffe). Abaffe tebawulira!."},{"id":27,"translation":"Abaffe tebalaba nti mazima Ffe tusindika amazzi eri ettaka ekkalu ne tumeza nago ebirimwa, ebisolo byabwe kwe birya nabo bennyini, abaffe tebalaba!."},{"id":28,"translation":"Era bagamba nti okuwangula (okwo kwe mwogerako) kulibaawo ddi bwe muba nga muli b'amazima?."},{"id":29,"translation":"Bagambe nti olunaku lw'okuwangula (bwe lulituuka) abo abaawakanya obukkiriza bwa bwe, (bwe balyagala okukola mu kiseera ekyo) tebulibagasa, era tebagenda kulindirizibwa."},{"id":30,"translation":"Kale nno baveeko era olindirire, mazima bo bali mu kulindirira."}]},{"id":33,"verses":[{"id":1,"translation":"Owange ggwe Nnabbi, tya Allah era togondera abatakkiriza ne bannanfuusi, mazima Allah bulijjo Mumanyi nnyo Mugobansonga."},{"id":2,"translation":"Era goberera ebyo ebitumwa gyoli okuva ewa Mukama Omulabirizi Wo mazima Allah bulijjo amanyidde ddala bye mukola."},{"id":3,"translation":"Era weekwate ku Allah, Allah amala okuba nga gweweekwatako."},{"id":4,"translation":"Allah tateekanga mitima ebiri munda wa muntu, era bakyala bammwe abo be mulayira obuteegatta nabo Allah tabafuulanga bamaama bammwe, olw'okuba nti muba mugambye nti emigongo gyabwe giri nga egya bannyammwe, era abaana be mufuula abaana bammwe (nga si mmwe mu bazaala) tabafuuka baana bammwe, ebyo bigambo byammwe bye mwogera obwogezi n'emimwa gyammwe. Allah Yye ayogera mazima, era Yye y'alaga e kkubo (erisaana okukwata)."},{"id":5,"translation":"Mubateekenga ku ba kitaabwe, ekyo kye kituufu ewa Allah, bwe muba temumanyi ba kitaabwe (mu bayite baganda bammwe) anti baganda bammwe mu ddiini, era bannammwe (mu ddiini) era temulina kibi mu ekyo kye mukola mu butanwa, naye (ekibavunaanwa) ky'ekyo emitima gyammwe kye giba gikoze mu bugenderevu, era bulijjo Allah Musonyiyi nnyo Musaasizi."},{"id":6,"translation":"Nnabbi Abakkiriza gwe basoosowaza okusinga bo bennyini, era bakyala be baba bamaama baabwe, bo ab'oluganda abamu ku bo be basinga okusaanira bannaabwe (mu by'obusika) ekyo bwekityo bwe kiri mu Kitabo kya Allah, okusinga bwe bandibadde eri Abakkiriza n'abo Abaasenguka, okuggyako nga mukoledde bannammwe eky'obuntubulamu, ebyo nno byawandiikibwa mu Kitabo."},{"id":7,"translation":"Era jjukira bwe twakozesa Bannabbi endagaano yaabwe, ne ku ggwe ne ku Nuuhu ne ku Ibraahiimu, ne ku Musa ne ku Isa mutabani wa Mariam, era twabakozesa endagaano enzito."},{"id":8,"translation":"Olwo nno (Katonda) alyoke abuuze (Abakkiriza) ab'amazima ku mazima gaabwe, era yategekera abatakkiriza ebibonerezo ebirumya."},{"id":9,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, mujjukire ebyengera bya Allah bye yabawa amagye lwe gaabalumba, ne tubasindikira kibuyaga n'amagye ge mutaalaba, era bulijjo Allah alabira ddala bye mukola."},{"id":10,"translation":"Mujjukire bwe baabalumbira nga bayitira engulu n'emmanga wammwe, era mujjukire amaaso lwe gaakanuka era emitima ne gituuka mu malookooli, ne mulowooza ku Allah ebirowoozo ebyenjawulo."},{"id":11,"translation":"Nga muli mu mbeera eyo, Abakkiriza baagezesebwa ne bakankanyizibwa olukankanyizibwa olw'amaanyi."},{"id":12,"translation":"Era mujjukire abannanfuusi n'abo abaalina obulwadde mu mitima gyabwe bwe baagamba nti Allah n'omubaka We baatusuubiza bitaliiyo."},{"id":13,"translation":"Era mujjukire ekibiina mu mmwe bwe kyagamba nti, abange mmwe abantu be Yathriba (Madiinah) temusobola kubeera wano, n'olwekyo muddeeyo (mu maka gammwe), ate ekibiina ekirala mu bo baasaba Nnabbi- okusaasira n'emirembe bimubeereko- abakkirize baleme kugenda ku lutalo, nga bagamba nti, mazima amayumba gaffe meereere, so nga tegaali meereere, baali tebalina kye baagala kyonna okuggyako okudduka."},{"id":14,"translation":"Naye singa baali balumbiddwa okuva mu mpuyi zaakyo (ekibuga) oluvannyuma ne basabwa bave mu ddiini(era balwanyise Abasiraamu) baalikikoze era tebaalisibyemu okuggyako akaseera akatono."},{"id":15,"translation":"Ate nga mu kusooka baali baalagaanyisa Allah nti tebagenda kukubayo mabega (kudduka mu lutalo), era bulijjo Endagaano ya Allah ebuuzibwa (okulaba oba etuukiriziddwa)."},{"id":16,"translation":"Gamba (ggwe Muhammadi) nti: Bwe muba nga mudduse kufa oba kuttibwa, okudduka tekuyinza kubagasa era ne bwe muba nga mudduse temugenda kuweebwa kweyagala okuggyako okumala akaseera katono."},{"id":17,"translation":"Bagambe nti, ani oyo ayinza okubawonya Allah singa abadde abaagalizza akabi, oba nga abaagalizza kusaasira, tebayinza kufuna mukuumi oba omutaasa atali Allah."},{"id":18,"translation":"Mazima Allah amanyi abalemesa mu mmwe (ababa baagala okugenda mu lutalo) n'abo abagamba baganda baabwe nti mujje gyetuli) muve ku Muhammadi, era tebaagala kugenda ku lutalo okuggyako kitono."},{"id":19,"translation":"Bulijjo baba bakodo ku mmwe, tebaagala (kubayamba ku lutalo). Ekiseera ekya kazigizigi bwe kijja obalaba nga bakukanulira amaaso gaabwe nga gakyuka nga ag'omuntu azirise ng'agenda okufa, naye akaseera ka kazigizigi bwe kavaawo bakkakkana ku mmwe n'ennimi enjogi nga balulunkanira ebirungi, abo tebakkirizanga, olwo nno Allah asazaamu emirimu gyabwe era ekyo bulijjo kyangu nnyo ku Allah ."},{"id":20,"translation":"(Abannanfuusi olw'obutiitiizi bwabwe) batuuka okulowooza nti ab'amagye g'omukago (abalumbaganyi) tebannagenda, singa amagye gajja (omulundi omulala), abannanfuusi bandyegombye singa bo babeera mu bannamalungu ne baba nga babuuza bubuuza ebikwata ku mmwe (nga bali eyo) era singa baali mu mmwe tebandirwanye okuggyako ekitono ennyo."},{"id":21,"translation":"Mazima mulina mmwe mu Mubaka wa Allah ekyokulabirako ekirungi eri oyo abeera nga akkiriza Allah n'Olunaku lw'Enkomerero, era n'ayogera nnyo ku Allah nga amutendereza."},{"id":22,"translation":"Abakkiriza bwe baamala okulaba amagye g'omukago baagamba nti kino ky'ekyo Allah n'Omubaka We kye baatulagaanyisa, era Allah n'Omubaka We baayogera mazima, era (bwe baalaba) amagye g'omulabe tebaabongera okuggyako Obukkiriza n'okwewaayo eri Allah Omutonzi."},{"id":23,"translation":"Mu Bakkiriza mulimu abasajja abaatuukiriza ekyo kye baalagaanyisa Allah obweyamo (bwe baagamba nti bwe tulisisinkana omulabe bugenda kutwefuka), kale nno mu bo mulimu eyatuukiriza obweyamo bwe nga bwe mulimu akyalindirira era tebakyusangako (ku ekyo) kukyusa kwonna."},{"id":24,"translation":"Olwo nno Allah alyoke asasule abaatuukiriza amazima olw'amazima gaabwe, era abonereze abannanfuusi bw'aliba ayagadde, oba akkirize okwenenya kwa bwe (bwe baliba beenenyezza) mazima Allah bulijjo Musonyiyi nnyo Musaasizi."},{"id":25,"translation":"Era Allah yazzaayo abatakkiriza n'obusungu bwabwe, tebalina kalungi ke baafuna, era Allah amalira Abakkiriza olutalo, era bulijjo Allah Waamaanyi Nnantakubwakumukono."},{"id":26,"translation":"Era yawanula abo abaabayamba mu bannannyini Kitabo ng'abaggya mu bikomera byabwe, n'assa mu mitima gyabwe okutya ne muba nga mutta ekibinja ate ne muwamba ekibinja ekirala (mu bo)."},{"id":27,"translation":"Era naabasikiza ebibanja byabwe n'amaka gaabwe n'emmaali yaabwe n'ebitundu by'ensi ebirala bye mwali mutatuukangamu, bulijjo Allah Muyinza ku buli kintu."},{"id":28,"translation":"Owange ggwe Nnabbi gamba bakyala bo nti: bwe muba mwagala bulamu bwa nsi na birungi byayo, kale mujje mbasibirire (mbawe ebirungi bye mwagala) era mbate oluta olulungi."},{"id":29,"translation":"Naye bwe muba nga mwagala Allah ne Omubaka We, ne ennyumba ey'Enkomerero mazima Allah yateekerateekera abakola obulungi mu mmwe, empeera ensuffu."},{"id":30,"translation":"Abange mmwe abakyala ba Nnabbi oyo yenna mu mmwe akola e kikolwa eky'obuwemu, bwekikakasibwa nti yakikoze, ekibonerezo ekimuweebwa kibazibwamu emirundi ebiri (olw'okuba Mukyala wa Nnabbi) era ekyo kyangu ku Allah."},{"id":31,"translation":"N'oyo yenna mu mmwe (bakyala ba Nnabbi) agondera Allah n’Omubaka We n'akola emirimu emirungi tulimuwa empeera ye emirundi ebiri, era twamutegekera okugabirirwa okuweesa ekitiibwa."},{"id":32,"translation":"Abange bakyala ba Nnabbi, temuli nga bakyala balala, bwe muba mutidde Katonda kale temugonzanga enjogera olwo nno n'akwatibwa amaddu oyo alina obulwadde mu mutima gwe, era (buli lwe mwogera) mwogere ebigambo eby'ensa."},{"id":33,"translation":"Era mukkalire mu mayumba gammwe era temwejaajaamyanga enneejaajaamya ey'obutamanya obwaliwo mu kusooka era muyimirizeewo esswala ne Zzakka mugitoole, era mugondere Allah n’Omubaka We, mazima Allah ayagala okubaggyako ebibi abange mmwe abantu b'ennyumba (ya Nnabbi) era abatukuze olutukuza olwa nnamaddala."},{"id":34,"translation":"Era mujjukirenga ebyo ebisomerwa mu mayumba gammwe mu Bigambo bya Allah n’ebigambo eby'amagezi (Hadiisi za Nnabbi), mazima bulijjo Allah akwata bulungi (abaddu) ate nga amanyi byonna ebibafaako."},{"id":35,"translation":"Mazima abasajja Abasiraamu n’abakazi Abasiraamu, n’abasajja Abakkiriza n’abakazi Abakkiriza, n’abasajja abasinza Allah n’abakazi abasinza Allah, n’abasajja aboogera amazima n’abakazi aboogera amazima, n’abasajja abagumiikiriza n’abakazi abagumiikiriza, n’abasajja abagondera Allah, n’abakazi abagondera Allah, n’abasajja abasaddaaka n’abakazi abasaddaaka, n’abasajja abasiiba n’abakazi abasiiba, n’abasajja abakuuma obwereere bwa bwe n’abakazi bwe batyo, n’abasajja aboogera ennyo ku Allah n’abakazi bwe batyo, (abo bonna) Allah yabategekera okusonyiyibwa n'empeera ensuffu."},{"id":36,"translation":"Tekisaana eri Omukkiriza omusajja oba Omukkiriza omukazi, Allah n’Omubaka We okumala okusalawo ekintu ate bo ne baba nga balina okwesalirawo ku nsonga yaabwe ate nga oyo yenna ajeemera Allah n’Omubaka We mazima aba abuze olubula olweyolefu."},{"id":37,"translation":"Jjukira bwe wagamba oyo Allah gwe yawa ekyengera (n'asiramuka) naawe n'omuwa ekyengera (eky'okumuggya mu buddu) nti beera ne mukyala wo (toyawukana naye) era tya Allah , ate ggwe n'okweka mu mwoyo gwo ekyo Allah ky'anaayolesa, n'oba nga otya abantu ate nga Allah y'asinga okusaanira okuba nga otya, olwo nno Zaidi bwe yamala obwetaavu (bwe) ku ye, twamukufumbiza olw'ensonga nti waleme kubaawo kuwulira bubi mu Bakkiriza kuwasa bakaabaana baabwe (be batazaalira ddala) wabula bo be bayita obuyisi abaana baabwe. Wonna webaba bamalidde kye beetaaga ku bo, (ne baba nga tebakyabaagala ne babawa talaka) nga bulijjo ekiragiro kya Allah kiteekwa kussibwa mu nkola."},{"id":38,"translation":"Tekisaanira Nnabbi kuwulira bubi ku ekyo Allah ky'aba amusaliddewo, eyo y'enkola ya Allah ku abo abaaliwo olubereberye. Ekigambo kya Allah bulijjo kiba kyagerwa dda ne kisalibwawo."},{"id":39,"translation":"(Obutaba na nkenyera nga Allah amaze okusalawo y'enkola ya) abo abasaasaanya obubaka bwa Allah era ne bamutya ne baba nga tebatya kintu kyonna okuggyako Allah, bulijjo kimala okuba nga Allah y'agenda okubala."},{"id":40,"translation":"Muhammadi tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Allah, era ow'enkomerero mu Bannabbi. Era bulijjo Allah amanyidde ddala ebifa ku buli kintu."},{"id":41,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mwogere ku Allah nga mumwogerako nnyo."},{"id":42,"translation":"Era mumutendereze ku makya n’olweggulo."},{"id":43,"translation":"Yye Y'Oyo abasaasira nga ne Bamalayika be babasabira, abe nga abaggya mu bizikiza mudde eri ekitangaala. Era bulijjo Musaasizi eri Abakkiriza."},{"id":44,"translation":"Salaamu kye kiriba ekiramuso kyabwe (okuva ewa Katonda) Olunaku lwe balimusisinkana, era yabategekera empeera ennungi."},{"id":45,"translation":"Owange ggwe Nabbi mazima ffe twakutuma nga oli mujulizi, era nga owa amawulire ag'essanyu, era nga owa amawulire agalabula."},{"id":46,"translation":"Era nga okoowoola (abantu) okudda eri Allah ku lw'ekiragiro Kye era nga oli ttaala emulisa."},{"id":47,"translation":"Era sanyusa Abakkiriza nti mazima bagenda kufuna okuva eri Allah ebirungi ebisuffu."},{"id":48,"translation":"Era togondera abatakkiriza ne bannanfuusi era tofa ku binyiizo byabwe era weekwate bulijjo ku Allah, anti amala okuba nga ye Mukuumi."},{"id":49,"translation":"Abange mmwe abakkiriza bwe muwasanga abakyala Abakkiriza ate nemubata nga temunnabakwatako (nga temunnatuuka gyebali), temubalinaako Eddah ze batuula (nga tebannafumbirwa basajja balala), olwo nno mubasibirire ekyo ekibasanyusa era mubaleke oluleka olulungi."},{"id":50,"translation":"Owange ggwe Nnabbi, mazima Ffe twakukkiriza okuba ne bakyala bo abo be wawa amahare gaabwe, n'abo bonna omukono gwo ogwaddyo be gufuga nga bajjira mu ebyo Allah by'aba akuwadde mu ntalo nga (eminyago), era twakukkiriza bawala ba kitaawo omuto ne bawala ba bassenga bo, ne bawala ba kojja wo ne bawala ba bamaama bo abato (baganda ba nnyoko), abo abaasenguka naawe, nabwekityo omukyala yenna Omukkiriza bw'aba nga yeewadde Nnabbi, Nnabbi n'aba nga ayagadde okumuwasa ekyo nga kikyo wekka, so si Abakkiriza abasigadde. Mazima tumanyi ebyo bye twabalaalikako (bo) ku bikwata ku bakyala baabwe n'abo emikono gyabwe egyaddyo begifuga, olwo nno obe nga towulira buzibu. Era bulijjo Allah Musonyiyi Musaasizi."},{"id":51,"translation":"Olindiriza oyo gw'oba oyagadde ku bo ate n'otwala oyo gw'oba oyagadde ate oyo gw'oba osazeewo mu abo b'olindirizza tolina kibi (singa oba osazeewo n'omutwala) ekyo kye kitandikirwako mu kutebenkeza amaaso gaabwe ne batanakuwala era bonna ne basiima ebyo by'oba obawadde, era Allah amanyi ebyo ebiri mu mitima gyammwe, anti bilijjo Allah Mumanyi nnyo Waakisa."},{"id":52,"translation":"Tokkirizibwa (kuwasa) bakyala balala oluvannyuma lw'abo (b'olina) wadde okubawaanyisaamu abakyala abalala, obulungi bwabwe ne bwe bukusanyusa butya okuggyako abo omukono gwo ogwaddyo be gufuga, era bulijjo Allah Mulondoozi wa buli kintu."},{"id":53,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga ennyumba za Nnabbi okuggyako nga mukkiriziddwa okugenda okulya (ate) nga temulinda kuyiisibwa kwa mmere, bwe mumala okulya olwo nno musaasaane era temutwalirizibwanga emboozi, mazima ekyo kibadde kinyiiza Nnabbi ate nga abakwatirwa ensonyi so nga Allah takwatibwa nsonyi kwogera mazima, era (bakyala ba Nnabbi) bwe mubaako ekintu kye mubasaba mukibasabire mabega wa lutimbe, ekyo nno ky'ekisinga obutukuvu eri emitima gyammwe n'emitima gyabwe. Tekibagwanira mmwe okunyiiza Omubaka wa Allah era tekibagwanira kuwasa bakyala be oluvanyuma lwe (nga ekiragiro kino) kya lubeerera. Mazima ekikolwa ekyo kinene ewa Allah."},{"id":54,"translation":"Ka mube nga mwolesezza ekintu kyonna oba nga mukikwese mazima Allah bulijjo amanyidde ddala ekifa ku buli kintu."},{"id":55,"translation":"(Bakyala ba Nnabbi) tebalina kibi (obuteebikka) nga bali ne bakitaabwe, wadde abaana baabwe, wadde bannyinaabwe, wadde abaana ba bannyinaabwe, wadde abakyala nga bo, wadde emikono gyabwe egyaddyo be gifuga, bateekeddwa okutya Allah, mazima Allah bulijjo aba buli kintu kyonna we kikolerwa."},{"id":56,"translation":"Mazima Allah ne Bamalayika Be basaasira Nnabbi, abange mmwe Abakkiriza mumusabirenga era mumulamuse olulamusa (olumuwa ekitiibwa)."},{"id":57,"translation":"Mazima abo abanyiiza Allah n’omubakawe, Allah yabakolimira ku nsi ne ku Nkomerero era yabategekera ebibonerezo ebinyoomesa."},{"id":58,"translation":"Ate abo abanyiiza Abakkiriza abasajja n’Abakkiriza abakazi awatali kintu kye bakoze, mazima baba beetisse okutemerera n'ekibi eky'olwatu."},{"id":59,"translation":"Owange ggwe Nnabbi gamba bakyala bo ne bawala bo ne bakyala ba Abakkiriza babe nga beebikkirira obukaaya bwabwe, ekyo kye kyanguya okuba nga bamanyika (nti baakitiibwa) olwo nno baleme kunyiizibwa. Bulijjo Allah Muyitirivu wa kusonyiwa era Muyitirivu wa Kusaasira."},{"id":60,"translation":"Abannanfuusi n'abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abasaasaanya kalebule mu Madinah bwe banaaba tebeekomyeko tujja kukusobozesa okubakolako, n'ekinaddako tebagenda kuddayo kubeera naawe mu kyo (ekibuga) okuggyako ekiseera kitono."},{"id":61,"translation":"Baakolimirwa, wonna we basangibwa bakwatibwa nebattibwa oluttibwa."},{"id":62,"translation":"(Tebasaasirwa) ekyo ye nkola ya Allah ku abo abaaliwo olubereberye, ate toyinza kusanga kukyuka mu nkola ya Allah."},{"id":63,"translation":"Abantu bakubuuza ku Lunaku lw'Enkomerero. Bagambe nti: Mazima okumanyibwa kwalwo kuli eri Allah, ye omanyi otya oba Olunaku lw'Enkomerero luli kumpi!."},{"id":64,"translation":"Mazima Allah yakolimira abatakkiriza era n'abategekera Omuliro Sai-iru."},{"id":65,"translation":"Baakutuula mu gwo bugenderevu, tebagenda kufuna waamukwano wadde omutaasa."},{"id":66,"translation":"Ku lunaku ebyenyi byabwe lwe birikyusibwakyusibwa mu Muliro nga bagamba nti zitusanze singa twagondera Allah era ne tugondera Omubaka."},{"id":67,"translation":"Era ne bagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Waffe mazima ffe twagondera abakulembeze baffe n'abatutumufu mu ffe, olwo nno ne batubuza ekkubo."},{"id":68,"translation":"Ayi Mukama Omulabirizi Waffe bawe ebibonerezo byabwe nga bibaziddwamu emirundi ebiri era obakolimire olukolimira olunene."},{"id":69,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza temubeera nga abo abaanyiiiza Musa (bwe baagamba nti aliko obulemu ku mubiri gwe obumugaana okunaaba naffe) wabula Allah yamutukuza ku ekyo kye baagamba era waakitiibwa ewa Allah."},{"id":70,"translation":"Abange mmwe Abakkiriza mutye Allah era mwogere ebigambo ebituufu."},{"id":71,"translation":"Ajja kubalongooseza emirimu gyammwe era abasonyiwe ebyonoono byammwe, era bulijjo omuntu agondera Allah n’Omubaka We aba yeesiimye olwesiima olusuffu."},{"id":72,"translation":"Mazima Ffe twayagala obuvunaanyizibwa okubuwa eggulu omusanvu n'ensi n'ensozi naye ne bigaana okubwetikka ne bibwesamba, ye omuntu n'abwetikka (n'atatuukiriza era olw'ekyo) n'abeera eyeeyisa obubi atamanyi."},{"id":73,"translation":"Olwo nno Allah alyoke abonereze bannanfuusi abasajja n'e bannanfuusi abakazi, n’abasajja abagatta ku Allah ebintu ebirala n’abakazi abagatta ku Allah ebintu ebirala, era abe nga asonyiwa Abakkiriza abasajja n’Abakkiriza abakazi. Era bulijjo Allah Muyitirivu wa kusonyiwa Muyitirivu wa kusaasira."}]},{"id":34,"verses":[{"id":1,"translation":"Ebitendo byonna bya Allah, Nnannyini w'ebyo, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era Ebitendo byonna bibye ku nkomerero era Yye Ye Mugobansonga amanyi ennyo."},{"id":2,"translation":"Amanyi ebyo ebiyingira mu nsi n'ebigifuluma, n'ebyo ebikka okuva mu ggulu n'ebyambuka mulyo, era Yye Ye Musaasizi Omusonyiyi."},{"id":3,"translation":"Abo abaawakanya baagamba nti Enkomerero tegenda kutujjira. Bagambe nti: Nedda ndayidde Mukama Omulabirizi Wange (Enkomerero) egenda kubajjira ddala (Mukama Omulabirizi Wange) Omumanyi W'ebyekusifu, akantu akatono ennyo tekayinza kumubulako ka kabe mu ggulu omusanvu oba mu nsi wadde akatono ennyo okusinga kw'ako wadde ekinene (tewali kintu kyonna) okuggyako nga kiri mu Kitabo ekinnyonnyofu."},{"id":4,"translation":"(Byonna bwe biryolesebwa) olwo nno (Katonda) alyoke asasule abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu. Abo balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okulungi."},{"id":5,"translation":"Ate abo abakola kaweefube okulwanyisa Ebigambo Byaffe, abo balina ebibonerezo ebirumya olw'ebyonoono (byabwe)."},{"id":6,"translation":"Bo abo abaaweebwa okumanya ebyassibwa gy'oli okuva ewa Mukama Omulabirizi Wo balaba nga ge mazima era nga birunngamya eri Ekkubo lya Nnantakubwakumukono Atenderezebwa."},{"id":7,"translation":"Abo abaawakanya (mu kujereegerera) baagamba nti abaffe tubalagirire omusajja anaabategeeza bwe munaaba muyuziddwa oluyuzibwa olw'amaanyi (nga muli mu ntaana ennyama n'ebaggwa ku magumba) mbu mazima mmwe muliddayo nemutondebwa bupya."},{"id":8,"translation":"Abaffe (okwogera bw'atyo) atemeredde bulimba ku Allah oba agudde eddalu, wabula abo abatakkiriza Nkomerero bali mu bibonerezo na bubuze obw'ewala."},{"id":9,"translation":"Abaffe tebalaba ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe ebiri ku ggulu ne ku nsi, singa twagadde tuyinza okubamizisa ensi oba netubasuulako ekibajjo okuva waggulu, mazima mu ebyo mulimu akabonero (eky'okuyiga) eri buli muddu eyeenenya."},{"id":10,"translation":"Mazima twawa Dawuda ebirungi okuva Gyetuli, (nga bwe twagamba nti) abange mmwe nsozi mutenderereze wamu naye nammwe ebinyonyi mukole bwe mutyo, era twamugondeza ekyuma."},{"id":11,"translation":"(Ne tumugamba nti) kola ebyambalo by'olutalo, amakowe gakole nga genkana, era mukole emirimu emirungi mazima Nze ndabira ddala ebyo bye mukola."},{"id":12,"translation":"Ate Sulayimaani twamugondeza empewo nga ekitundu ky'etambula okuva kumakya okutuuka mu ttuntu kyanditambuliddwa mwezi, nga n'ekitundu ky'etambula olw'eggulo kyalitambuliddwa mwezi, era twamukulukusiza ensulo z’ekikomo nga ne mu Majinni mulimu agaali wansi w'obuyinza bwe agamukolera byonna ku lw'Ekiragiro kya Mukama Omulabirizi We, nga ejjinni lyonna eribula ne liva ku Kiragiro Kyaffe tulikombesa ku bibonerezo eby'omuliro ogutuntumuka ."},{"id":13,"translation":"Nga (amajinni) gamukolera byonna by'ayagala nga ebifo ebisinzibwamu n'ebifaananyi, ebibumbe n'ensiniya ennene eziringa ebidiba, n'amaseppiki (amanene ennyo) agatava mu kifo, (ne tumugamba nti) abange abantu ba Dawuda mukole olw'okwebaza (Katonda), wabula batono abeebaza mu baddu bange."},{"id":14,"translation":"Bwe twamutuusaako okufa tewali kyagalaga kufa kwe okuggyako ebiwuka by’omuttaka (enkuyege) ezaalya omuggo gwe gwe yatambuzanga, olwo nno bwe yagwa amajinni gaakakasa nti singa gaali gamanyi ebyekusifu tegandibadde mu bibonyoobonyo ebinyoomesa."},{"id":15,"translation":"Mazima abantu be Saba' mu kitundu kyabwe baalinamu eky'okuyiga (baalina) ennimiro bbiri ku ddyo ne ku kkono (ne tubagamba nti) mulye mu bigabwa bya Mukama Omulabirizi Wammwe era mumwebaze, (nga kino kye yabawa) kitundu kya nsi kirungi, ne Katonda Mulabirizi Musonyiyi."},{"id":16,"translation":"Baava ku kyabalagirwa ne tubasindikira mukoka omuyitirivu (eyawaguza zi daamu (amabibiro g'amazzi) essamba nezijjula amazzi), olwo nno nnimiro zaabwe netubawaanyisizaamu ennimiro endala bbiri ezijjudde ebyokulya ebikaawa n’emiti egitabala n’emiti gya Sidiri mitono tono."},{"id":17,"translation":"Ekyo kye twabasasula olw'okuba baawakanya, abaffe tubonereza mu kusasula okw'ekyenkanyi mu ngeri eno okuggyako abawakanyi!?"},{"id":18,"translation":"Net tussa wakati waabwe ne wakati w’ebitundu ebyo bye twawa omukisa ebitundu ebirala nga bikwataganye (era nga bisoboka okuwummulirwamu) okubitambuliramu ne tukifuula kyangu (kale) mutambule mu byo ebiro n’emisana nga muli mirembe."},{"id":19,"translation":"Olwo nno (mu kifo ky'okwebaza) ne bagamba nti ayi Mukama Omulabirizi Waffe, teekawo amabanga manene (okutuuka we tusobola okuwummulira) mu nngendo zaffe. Mu kukola ekyo ne baba nga beeryazaamaanya bokka, olwo nno netubafuula eky'okwogerako era netubayuzaayuza oluyuzaayuza. Mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza owannamaddala eyeebaza ennyo."},{"id":20,"translation":"Mazima Ibuliisu yatuukiriza endowooza ye (nga akozesa bo), olwo nno ne bamugoberera okuggyako ekitundu ku Bakkiriza."},{"id":21,"translation":"(Ibuliisu) tabangako na buyinza ku bo wabula (ekimufunyisa abagoberezi) lwakuba twagala tumanye oyo akkiriza Olunaku lw’Enkomerero nga tumwawula ku oyo alulinamu okubuusabuusa, bulijjo Mukama Omulabirizi Wo Mulondoozi wa buli kintu."},{"id":22,"translation":"Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: musabe abo be mugamba ne muva ku Allah, (wabula mukimanye nti) tebafuga kantu kenkana kanyikuuli mu ggulu omusanvu wadde mu nsi, era tebalina mugabo mu byombi era (Katonda) talina muyambi yenna ava mu bo wadde ava mu balala."},{"id":23,"translation":"Era okuwolereza tekugenda kugasa (muntu yenna) mu maaso Ge okuggyako oyo gw'aliba akkirizza, okutuusa okutya bwe kuliba kuggyiddwa mu mitima gyabwe baligamba nti Mukama Omulabirizi Wammwe agambye ki? (Bamalayika) baligamba nti (ayogedde) mazima, era Yye Ye Waawaggulu Omusukkulumu."},{"id":24,"translation":"Bagambe nti: Ani abagabirira okuva mu ggulu omusanvu n'e nsi, bagambe nti Allah. Era mazima ku ffe oba mmwe waliwo abali ku bulunngamu oba ku bubuze obw'olwatu."},{"id":25,"translation":"Bagambe nti temugenda kubuuzibwa ku ebyo bye twayonoona nga bwe tutagenda kubuuzibwa ku bye mukola."},{"id":26,"translation":"Bagambe nti Mukama Omulabirizi Waffe agenda kutukunngaanya oluvannyuma asalewo wakati waffe mu mazima, anti Yye Ye Mutaawuluza asinga, Omumanyi ennyo."},{"id":27,"translation":"Bagambe nti mundage abo be munnyungako ne mubangattako, nedda tebaliiyo wabula Yye Ye Allah Nnantakubwakimukono Mugobansonga."},{"id":28,"translation":"Era tetwakutuma okuggyako nga oli (Mubaka) awa amawulire ag'essanyu (eri Abakkiriza) era omutiisa (eri abatakkiriza) naye abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":29,"translation":"Era ne bagamba nti endagaano eyo eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima!."},{"id":30,"translation":"Bagambe nti: Mulina endagaano y’olunaku lwe mutalisobola kusaba museeseetulwe ku lwo wadde essaawa emu era nga bwe mutalisobola kusaba lubaleeterwe mangu (ne mukifuna)."},{"id":31,"translation":"Abo abaawakanya baagamba nti: tetujja kukkiriza Kulaani eno wadde ebyo ebyagikulembera naye singa olisobola okulaba ekiseera abeeyisa obubi lwe baliyimirizibwa mu maaso ga Mukama Omulabirizi Waabwe abamu ekigambo balikissa ku bannaabwe (ekyabasuula mu buzibu), abo abaali batwalibwa okuba aba wansi baligamba abo abeetwala okuba abaawaggulu nti: Singa temwali mmwe twandibadde Bakkiriza."},{"id":32,"translation":"Abo abaatwalibwanga okuba abaawaggulu baligamba abo abaatwalibwanga okuba abaawansi nti: abaffe, ffe twabalemesa obulunngamu bwe bwali nga bubajjidde (si bwe guli) wabula mwali bantu aboonoonyi."},{"id":33,"translation":"N'abo abaatwalibwanga okuba abaawansi baligamba abo abeetwalanga okuba abaawaggulu nti:(si bwe kiri), wabula ezo zaali nkwe ze mwakolanga ekiro n’emisana bwe mwatulagiranga tujeemere Allah ne tumussaako bakatonda abalala, olwo nno balikweka munda okwejjusa Bwe baliraba ebibonerezo era tugenda kussa enjegere mu nsingo zaabo abaalwakanya, ye ate balisasulwa okuggyako ebyo bye baakola?"},{"id":34,"translation":"Tetutumanga mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga abawangaala obulamu obw'okwejalabya bagamba nti: Mazima ffe tuwakanya ebyo bye mutumiddwa nabyo."},{"id":35,"translation":"Era ne bagamba nti ffe tusinga (mmwe) emmaali n’abaana era ffe tetugenda kubonerezebwa."},{"id":36,"translation":"Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi nti): Mazima Mukama Omulabirizi Wange ayanjululiza ebyenfuna oyo gw'aba ayagadde ate n’abifundiza gw'aba ayagadde, naye abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":37,"translation":"Ermmaali yammwe n’abaana bammwe si by'ebyokubasembeza ku mwanjo Gyetuli okuggyako (ekiyamba) ye muntu akkiriza n'akola emirimu emirungi. Abo nno balifuna empeera enkubiseemu olw'ebyo bye baakola era bagenda kutuula ntende mu nnyumba ensitufu."},{"id":38,"translation":"Ate abo abassa amaanyi mu kulemesa Ebigambo Byaffe bagenda kuleetebwa eri ebibonerezo."},{"id":39,"translation":"Bagambe nti mazima Mukama Omulabirizi Wange ayanjuluza riziki eri oyo gw'aba ayagadde mu baddu Be ate n'agifundiza (gw'aba ayagadde), ate buli kintu kyonna kye muwaayo mazima Yye akizzaawo era bulijjo Yye y'asinga abagabirizi."},{"id":40,"translation":"Era mujjukire Olunaku lw'alibakunngaanya bonna oluvannyuma n'agamba Bamalayika nti: Abaffe abo mmwe be baasinzanga?"},{"id":41,"translation":"Baligamba nti: Wasukkuluma, Ggwe Mukama Waffe so si bo. Wabula bo baasinzanga majinni, abasinga obungi ge bakkiririzangamu."},{"id":42,"translation":"(Katonda aligamba nti) Kale nno olwaleero abamu ku mmwe tebagenda kuba na busobozi kugasa bannaabwe oba okubatuusaako akabi era tuligamba abo abeeyisa obubi nti mukombe ku bibonerezo by'Omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa."},{"id":43,"translation":"Ebigambo Byaffe ebinnyonnyofu bwe bibasomerwa bagamba nti tali ono okuggyako musajja ayagala okubaggya ku ebyo bakadde bammwe bye baali basinza, era ne bagamba nti (Kulaani gy'azze nayo) eno teri okuggyako bulimba obujingirire ate bo abaawakanya amazima bwe gaamala okubajjira baagamba nti tebiri bino okuggyako eddogo ery'olwatu."},{"id":44,"translation":"(Boogera ebyo naye nga) tetubawanga Bitabo nti bye basoma era nga tetubatumiranga mutiisa yenna olubereberye lwo."},{"id":45,"translation":"Era abo abaaliwo olubereberye lwabwe baalimbisa (Ababaka Baffe) ate nga (abantu b'e Makkah) tebaaweza kimukyakkumi kye twawa bali, ate olwo nno ne balimbisa Ababaka Bange, naye nnababonereza ngeri ki?."},{"id":46,"translation":"Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti mbabuulirira n’ekintu kimu kyokka nakyo kwe kuba nga muyimirira ku lwa Allah babiri babiri oba kinnoomu oluvannyuma mulowoorereze (mujja kutegeera) nti munnammwe (Muhammadi) si mulalu tali yye okuggyako okuba nti mutiisa gye muli (nga abatiisa) ebibonerezo eby'amaanyi bye mwolekedde."},{"id":47,"translation":"Bagambe nti sibasaba mpeera yonna (empeera yonna eri emu) nayo yammwe, empeera eyange teri walala okuggyako ku Allah Yekka. Era Yye ku buli kintu (abeerawo) nga kikolebwa."},{"id":48,"translation":"Bagambe nti mazima Mukama Omulabirizi Wange akozesa amazima naggyawo obulimba amanyidde ddala ebyekusifu."},{"id":49,"translation":"Bagambe nti amazima gazze era obulimba tebuyinza kutandika nate era si bwa kudda."},{"id":50,"translation":"Bagambe nti: Bwemba mbuze mazima mba mbuze ku lwange naye bwennunngama kiba kivudde ku Bubaka Mukama Omulabirizi Wange bw'antumira, mazima Yye Muwulizi nnyo ali kumpi ddala."},{"id":51,"translation":"Singa oliraba mu kiseera abatakkiriza Allah ne Omubaka We bwe balitya (ku Lunaku lw'Enkomerero) tewaliba buddukiro era balikwatibwa nga baggyibwa mu kifo eky'okumpi ddala."},{"id":52,"translation":"Era baligamba nti tubikkiriza (ebyo Nnabbi by'agamba) naye wa gye baliggya okukkiriza nga bamaze okukuleka mu kifo eky'ewala (gye bavudde)."},{"id":53,"translation":"Mazima baabiwakanya olubereberye, era baatemerera obulimba ku bigambo ebikusike ebiri mu kifo eky'ewala."},{"id":54,"translation":"Newasiikirizibwa wakati waabwe ne wakati w'ekyo kye baagala nga bwe kyakolebwa olubereberye (ku abo) abalinga bo mazima bo baali mu kubuusabuusa okuleeta okutankana (ne batakkiriza)."}]},{"id":35,"verses":[{"id":1,"translation":"Ebitendo byonna bya Allah Omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, eyafuula Bamalayika ababaka abalina ebiwawaatiro, ow'ebibiri n'ow'ebisatu n'ow'ebina, ayongera mu kutonda ekyo ky'aba ayagadde mazima Allah Muyinza ku buli kintu."},{"id":2,"translation":"Okusaasira kw'aba agguliddewo abantu tewali ayinza kukulemesa, ate okwo kw'alemesa tewali ayinza kukuleeta atali Yye, era Yye Ye Nnantakubwakumukono Mugobansonga."},{"id":3,"translation":"Abange mmwe abantu mujjukire ekyengera kya Allah kye yabawa, abaffe waliyo omutonzi atali Katonda abagabirira okuva waggulu ne mu nsi, tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okuggyako yye, olwo nno ate muwugulwa mutya!."},{"id":4,"translation":"Bwe bakulimbisa mazima Ababaka baalimbisibwa olubereberye lwo, era nga bulijjo ewa Allah ensonga zonna gye zizzibwa."},{"id":5,"translation":"Abange mmwe abantu mazima Endagaano ya Allah ya mazima, obulamu bw'ensi tebubagayaazanga era ebigayaaza byonna tebibaggyanga ku Allah."},{"id":6,"translation":"Mazima Sitane mulabe wammwe kale (na mmwe) mumufuule mulabe. Anti mazima akoowoola ekibiina kye balyoke babeere mu bantu b'okuyingira Omuliro Sa-iri."},{"id":7,"translation":"Abo abaawakanya balina ebibonerezo ebikakali ate bo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina ekisonyiwo n'empeera ensuffu."},{"id":8,"translation":"Abaffe oyo eyawundirwa omulimu gwe omubi n'agulaba nga mulungi (ayinza okufaanana oyo omulunngamu) mazima Allah abuza gw'aba ayagadde n'alunngamya gw'aba ayagadde, kale toggwaamu mwoyo ku lw'okubasaalirwa, mazima Allah amanyidde ddala ebyo bye bakola."},{"id":9,"translation":"Allah Y'Oyo asindika empewo ne zitambuza ebire (eby'enkuba, enkuba eyo) ne tunywekereza nayo ensi enfu (enkalu) olwo nno ne tuzza nayo mu bulamu ettaka eriba lifudde nabwekityo okuzuukira (bwe kuliba)."},{"id":10,"translation":"Oyo yenna ayagala ekitiibwa, ebitiibwa byonna biri wa Allah. Gy'ali ebigambo ebirungi gye byambuka n’emirimu emirongoofu agisitula ate abo abakola enkwe okukola ebibi balina ebibonerezo ebikakali era enkwe za abo ze zigwa obutaka."},{"id":11,"translation":"Era Allah yabatonda (mmwe) nga abaggya mu ttaka, oluvannyuma abaggya mu mazzi agazaala, oluvanyuma yabatonda nga muli bibiri bibiri (ekisajja n’ekikazi). Tewali kikazi kifuna lubuto wadde ekizaala okugyako nga amanyi, tewali kiwangaazibwa mu biwangaazibwa era tewali kikendeezebwa ku buwangaazi bwakyo okuggyako nga kiri mu kitabo (nga Katonda yakisalawo dda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Allah."},{"id":12,"translation":"Amazzi ag'ennyanja ebbiri tegayinza kufaanagana, nga (emu) amazzi gaayo malungi mawoomu ganyweka, nga ate endala ya mazzi ag’omunnyu lukalabule, ate nga mulya mu buli emu ku zo ebyennyanja ebibisi era muggyamu eby'okwewunda bye mwambala era olaba amaato mu zo nga gakola amakubo olwo nno musobole okunoonya mu bigabwa Bye olwo nno mubeere abeebaza."},{"id":13,"translation":"Ayingiza ekiro mu musana era n'ayingiza omusana mu kiro era yagonza enjuba n'omwezi nga buli kimu kya kutambula okumala ebbanga eggere Oyo nno ye Allah Mukama Omulabirizi Wammwe Nnannyini buyinza bwonna ate abo be musaba abatali Yye tebalina buyinza wadde obwenkana akakuta k'empeke."},{"id":14,"translation":"Bwe mubasaba tebawulira kusaba kwammwe ate (katugambe) nti bawulidde tebasobola kubaanukula era nga ne ku Lunaku lw'Enkomerero bagenda kwegaana engeri gye mubagatta ku Katonda, (ayagala ategeere) anti tewali ayinza kukutegeeza kufaanana nga Oyo amanyi ekintu ne munda waakyo."},{"id":15,"translation":"Abange mmwe abantu, mmwe beetaavu eri Allah ate Yye Allah talina bwetaavu atenderezebwa ennyo."},{"id":16,"translation":"(N'olwekyo) singa aba ayagadde asobola okubaggyawo n'aleeta ebitonde ebipya."},{"id":17,"translation":"Era ekyo ku Allah si kinene."},{"id":18,"translation":"Tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kibi kya mwoyo mwonoonyi mulala, era oguliba guzitoowereddwa bwe gulisaba okugwetikkirako tebaligwetikkirako kintu kyonna, (gwe gusaba) ne bw'aliba waaluganda olw'okumpi. Mazima olabula abo abatya Mukama Omulabirizi Waabwe, awamu n'obutamulabako era ne bayimirizaawo esswala. N'oyo yenna eyeetukuza mazima yeetukuza ku lulwe era eri Allah y'eri obuddo."},{"id":19,"translation":"Muzibe n'oyo alaba tebenkana."},{"id":20,"translation":"Wadde ebizikiza n'ekitangaala."},{"id":21,"translation":"Wadde ekisiikirize tekyenkana na ppereketya wa musana."},{"id":22,"translation":"Era abalamu n'abafu tebenkana, mazima Allah awuliza oyo gw'aba ayagadde naye ggwe (Muhammadi) tosobola kuwuliza abo abali mu ntaana."},{"id":23,"translation":"Ggwe toli okuggyako okuba omutiisa."},{"id":24,"translation":"Mazima ffe twakutuma mu butuufu nga oli musanyusa (eri Abakkiriza) era nga oli mutiisa (eri abatakkiriza) era tewali bantu ba mulembe gwonna okuggyako nga omutiisa yabatuukamu."},{"id":25,"translation":"Naye bwe bakulimbisa mazima n'abo abaabakulembera baalimbisa Ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu n'ebiwandiiko n'ebitabo ebitangaaza."},{"id":26,"translation":"Oluvanyuma nnakwata abo abaakaafuwala kale okubonereza kwange kwali kutya."},{"id":27,"translation":"Abaffe tolaba nti Allah assa amazzi okuva waggulu ne tumeza nago ebibala ebya langi amez'enjawulo nga ne mu nsozi mulimu amakubo ameeru n'amamyufu nga langi zaago njawukamu n'amaddugavu ttibittibi."},{"id":28,"translation":"Mu ngeri y'emu ne mu bantu n'ensolo n’ebisolo ebirundibwa awaka langi zaabyo za njawulo, mazima ddala abatya Allah mu baddu Be be bamanyi, mazima Allah Ye Nnantakubwakumukono Omusonyiyi ennyo."},{"id":29,"translation":"Mazima abo abasoma Ekitabo kya Allah (Kulaani) ne bayimirizaawo esswala era ne bawaayo mu kyama ne mu lwatu ku ebyo bye tubagabirira basuubira eby'obusuubuzi ebitadiba."},{"id":30,"translation":"Alyoke abawe mu bujjuvu empeera zaabwe era abongeze mu birungi Bye anti mazima Yye, Musonyiyi nnyo Eyeebaza."},{"id":31,"translation":"N'obubaka obwo bwe twakutumira mu Kitabo (Kulaani) go ge mazima nga kikakasa (Ebitabo) ebyo ebyakikulembera. Mazima Allah amanyidde ddala eby'omunda era Mulabi nnyo."},{"id":32,"translation":"Oluvanyuma twasikiza Ekitabo abo be twalondoba mu baddu Baffe olwo nno ne muba mu bo eyeeyisa obubi nga bwe muli mu bo ow'omumakkati era nga mu bo mulimu assa essira mu kukola ebirungi (ebya Faradha ne Sunna) ku lw'obuyinza bwa Allah, obwo nno bwe bulungi obusuffu."},{"id":33,"translation":"(Nga) ze Ejjana ez'emirembe ze baliyingira. Balinaanikibwa nga bali mu zo ebikomo ebya zzaabu ne luulu, era ebyambalo byabwe nga bali mu yo biriba bya liiri."},{"id":34,"translation":"Era baligamba nti ebitendo byonna bya Allah Oyo atumazeeko ennaku, mazima Mukama Omulabirizi Waffe Musonyiyi nnyo era yeebaza."},{"id":35,"translation":"Oyo atutadde mu nnyumba ey'olubeerera nga kugaba Kwe ennaku si yaakututuukako nga tuli mu yo, era nga tuli mu yo bwe tutagenda kutuukibwako kukoowa."},{"id":36,"translation":"Ate abo abaawakanya balifuna Omuliro Jahannama, tebagenda kusalirwawo nti (bafe) olwo nno ne baba nga bafa era tebagenda kukendeezebwa ku bibonerezo bya gwo bwetutyo bwe tusasula buli ntasiima."},{"id":37,"translation":"Nabo bagenda kuba nga baleekaanira mu gwo (nga bagamba nti) ayi Mukama Omulabirizi Waffe, tufulumye (otuzze ku nsi) tukole emirimu emirungi egitali egyo gye twali tukola luli, (baligambibwa nti) abaffe tetwabawangaaza ebbanga oyoajjukira ly'asobola okujjuukiriramu era omutiisa n'abajjira (kye musaba temujja kukifuna) kale mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo, abeeyisa obubi tebayinza kuba na mutaasa yenna."},{"id":38,"translation":"Mazima Allah amanyi ebyekusifu by'omuggulu omusanvu n'ensi, mazima ddala Yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba."},{"id":39,"translation":"Ye yooyo eyabafuula (mmwe) abadda mu bigere bya bannaabwe mu nsi, oyo awakanya obuwakanyi bwe bukosa yye, era abawakanyi obuwakanyi bwabwe tebubongera ewa Mukama Omulabirizi Waabwe okuggyako okukyayibwa era abawakanyi obuwakanyi bwabwe tebubongera okuggyako okufaafaaganirwa."},{"id":40,"translation":"Bagambe nti mulaba abo bemungattako abo bemusaba nemuleka Katonda (kale) mundage kiki kye batonda ku nsi, oba abaffe balina omugabo mu (kukolebwa) kw'eggulu omusanvu oba (si ekyo) nga twabawa ekitabo olwo nno nebaba nga balina obujulizi okuva mu kyo (obubalagira okukola shiriki oyo) nedda abeeyisa obubi abamu mu bo tebalagaanyisa bannaabwe okuggyako ebigayaaza."},{"id":41,"translation":"Mazima Allah awaniridde ggulu omusanvu n'ensi bibe nga tebivaawo era singa bivaawo, teri mulala yenna yandibiwaniridde oluvanyuma Lwe anti mazima Yye Waakisa Musonyiyi nnyo."},{"id":42,"translation":"(Abatakkiriza b'e Makka) baalayira Katonda mu kukakasa ebirayiro byabwe (ne bagamba nti) singa omutiisa alibajjira bagenda kubeerera ddala abasinga obulunngamu okukira (abantu bonna abaali babaddewo), awo nno omutiisa (Muhammadi) bwe yabajjira tekyabongera okuggyako okwesamba (Omubaka)."},{"id":43,"translation":"(Nga ekyo kiva) ku kwekuluntaza (kwabwe) mu nsi, n'okukolala enkwe embi, enkwe embi tezituusa kabi okuggyako ku bannannyini zo olwo abaffe balina kyebalindirira okuggyako enkola eyatuuka ku baabakulembera ate nga enkola ya Allah (mu kubonereza abajeemu) tebaamu kukyusibwa era nga enkola ya Allah toyinza kugisangamu kujjululwa."},{"id":44,"translation":"Abaffe tebatambula mu nsi olwo nno nebalaba enkomerero ya abo abaabakulembera nga bwe yali ate nga baali baamaanyi okubasinga, kikafuuwe ekintu kyonna mu ggulu omusanvu ne mu nsi okulemesa Allah anti mazima Yye bulijjo Mumanyi nnyo Muyinza."},{"id":45,"translation":"Singa Allah yali avunaana abantu olw'ebyo bye baba bakoze teyaalirese ku ngulu kwayo (ensi) kitambula kyonna naye abalindiriza okutuusa ekiseera ekigere olwo nno entuuko zaabwe bwe zituuka (buli muntu n'azzibwa eri ekifo ekimusaanira) anti Allah bulijjo alabira ddala ebikwata ku baddu Be."}]},{"id":36,"verses":[{"id":1,"translation":"Yaasiin."},{"id":2,"translation":"Ndayidde Kulaani (eno) ejjudde ebigambo eby'amagezi."},{"id":3,"translation":"Mazima ggwe (Muhammadi) oli wa mu Babaka."},{"id":4,"translation":"(Nga oli) ku kkubo eggolokofu."},{"id":5,"translation":"(Kulaani eno) yassibwa Nnantakubwakumukono Omusaasizi."},{"id":6,"translation":"Obe nga otiisa abantu. bakadde baabwe abataatiisibwa olwo nno ne baba nga tebafaayo (ku bikwata ku Katonda)."},{"id":7,"translation":"Mazima kikakase ekigambo (eky'okubonerezebwa) ku basinga obungi mu bo ne baba nga tebagenda kukkiriza."},{"id":8,"translation":"Mazima Ffe twassa mu nsingo zaabwe enkoligo nga nazo zituukira ddala ku bulevu, olwo nno ne baba nga balalambadde."},{"id":9,"translation":"Ne tussa mu maaso gaabwe ekiziyiza netussa n'ekiziyiza (ekirala) emabega waabwe, olwo nno netubabikka nga tebayinza kulaba."},{"id":10,"translation":"Era kyekimu ku bo obatiisizza oba tobatiisizza si baakukkiriza."},{"id":11,"translation":"Mazima otiisa oyo agoberera okubuulirira era n'atya (Katonda) Omusaasizi ennyo awamu n'okuba nga talabika kale nno musanyuse n'amawulire g’ekisonyiwo n'empeera eyeesiimisa."},{"id":12,"translation":"Mazima ffe tuliramusa abafu era tuwandiika ebyo bye baakulembeza ne bye baagoberezaako nga na buli kintu twakikomeka mu Kitabo e kikulu ekigenda okulaga buli kimu."},{"id":13,"translation":"Bakubire ekifaanayi ky'abantu b'omukitundu ekimu bwe bajjirwa Ababaka."},{"id":14,"translation":"Mu kiseera we twatumira gye bali Ababaka babiri ne babalimbisa, olwo nno ne tubongera amaanyi n’owookusatu (bonsatule) ne bagamba nti mazima ffe tutumiddwa gye muli."},{"id":15,"translation":"(Aboomukitundu ekyo) ne bagamba nti: Mmwe temuli okuggyako (okuba) bantu bannaffe era Katonda Omusaasizi ennyo tassanga kintu kyonna temuli mmwe okuggyako okuba nga mulimba (bulimbi)."},{"id":16,"translation":"(Ababaka) ne bagamba nti Mukama Omulabirizi Waffe amanyi nti mazima ddala ffe tutumiddwa gyemuli."},{"id":17,"translation":"Era tetuvunaanyizibwa okuggyako okutuusa Obubaka mu bunnyonnyofu."},{"id":18,"translation":"(Aboomukitundu) nebagamba nti mazima ffe tutya okutuukibwako obuzibu ku lwammwe, bwe muteekomeko tujja kubakasuukirira amayinja era ebibonerezo ebiruma ennyo bijja kubatuukako nga biva gyetuli."},{"id":19,"translation":"(Ababaka) ne bagamba nti okutya kwammwe okutuukibwako obuzibu mwe mukyereetedde (bwe mugaanye okuwuliriza Obubaka obubaleeteddwa) wabula mmwe muli bantu abayitirivu mu kwonoona."},{"id":20,"translation":"Awo omusajja n'ajja nga ava ku nkomerero y’ekibuga nga ayanguwa n'agamba nti: abange bantu bange mugoberere Ababaka."},{"id":21,"translation":"Mugoberere abo abatabasaba mpeera ate nga bo balunngamu."},{"id":22,"translation":"Nnina ki ekinngaana okusinza Oyo eyantonda, ate nga Gy'ali gye mulizzibwa!"},{"id":23,"translation":"Ndeke Katonda nneeteerewo ebisinzibwa ebirala, so nga singa Katonda Omusaasizi ennyo anjagaliza akabi okuwolereza kwabyo tekwandingasizza kintu kyonna era tebiyinza kunziruukirira?!"},{"id":24,"translation":"(Singa nkikola) mazima nze olwo nja kuba mu bubuze obweyolefu."},{"id":25,"translation":"Mazima nze nzikirizza Mukama Omulabirizi Wammwe, kale mumpulirize."},{"id":26,"translation":"Naagambibwa (nga amaze okufa) nti: Yingira Ejjana, n'agamba nti: kale singa abantu bange bamanyi."},{"id":27,"translation":"Ekyo Mukama Omulabirizi Wange kyansonyiyidde era n'anteeka mw'abo abagabulwa (olwaleero)."},{"id":28,"translation":"Era tetwassa ku bantu be oluvannyuma lwe ggye lyonna liva mu ggulu (olw'okubazikiriza) era tetwali baakulissa."},{"id":29,"translation":"(Wabula okuzikirira kwabwe) tekwali okuggyako lwali olubwatuka lumu, okugenda okulaba nga bo bakalu"},{"id":30,"translation":"Kya nnaku nnyo, ku baddu (abantu) tewali Mubaka abajjira okuggyako nga bamujeeja."},{"id":31,"translation":"Abaffe tebalaba emirembe emeka gyetwazikiriza olubereberye lwabwe, nga mazima ddala bo tebagenda kudda gyebali."},{"id":32,"translation":"Tewali na gumu ku gyonna (emirembe) okuggyako nga bonna ba kuleetebwa mu Maaso Gaffe."},{"id":33,"translation":"Ensi efudde (ekaze) kabonero gyebali, tugiwa obulamu (tutonnyesa enkuba) era netumeza mu yo empeke, okwo nno kwe balya."},{"id":34,"translation":"Ne tuteeka mu yo amalimiro ag’entende n'emizabbibu era ne tufukula mu yo ensulo."},{"id":35,"translation":"Babe nga balya ku bibala byayo ne ku ebyo emikono gyabwe bye gikola, abaffe tebeebaza!."},{"id":36,"translation":"Musukkulumu Oyo eyatonda ebimera mu nsi ne mu bo bennyini (abantu) ne bye batamanyi, nga byonna biba kisajja na kikazi."},{"id":37,"translation":"Era ekiro kabonero gyebali anti tukiggyako obudde obw'emisana ogenda okulaba nga bali mu nzikiza."},{"id":38,"translation":"Ne njuba etambulira ku biragiro ebyagiweebwa, okwo kwe kugera kwa (Katonda) Nnantakubwakumukono Omumanyi ennyo."},{"id":39,"translation":"Nga n'omwezi (kabonero gye bali), twagugerera ebifo (mwe gutambulira) okutuusa lwe guddayo ne guba nga ekikolokomba ekikadde."},{"id":40,"translation":"Tekisoboka enjuba kusisinkana mwezi era n'ekiro tekigenda kukulembera misana na buli kimu ku byombi kiri mu bbanga kiwuga."},{"id":41,"translation":"Era kabonero gye bali (abantu), mazima Ffe twatambuliza bannaabwe mu lyato erikubyeko."},{"id":42,"translation":"Era twabatondera (ebitambulirwako) ebifaananako lyo (eryato) kwe batambulira."},{"id":43,"translation":"Singa tuba twagadde tuyinza okubazikiriza ne batasobola kwekubira nduulu, era nga tebayinza kudduukirirwa."},{"id":44,"translation":"(Tewali kibaawo) okuggyako okusaasira okuva Gyetuli ne ku lw'okubeeyagaza okumala ekiseera ekigere."},{"id":45,"translation":"Bwe baba bagambiddwa nti mutye ebyo ebiri mu maaso gammwe n'ebyo ebiri emabega wammwe, olwo nno mube nga musaasirwa (beesuulirayo gwa naggamba)."},{"id":46,"translation":"Anti tewali kabonero mu bubonero bwa Mukama Omulabirizi Waabwe kaabajjira okuggyako nga baakaawukanako."},{"id":47,"translation":"Era bwe baba bagambiddwa nti mugabe ku ebyo Allah bye yabawa abo abaagaana okukkiriza Allah bagamba abo abakkiriza nti abaffe tuliise oyo Allah gwe yandiriisizza singa yali ayagadde, temuli mmwe okuggyako okuba mu bubuze obw'olwatu."},{"id":48,"translation":"Era ne bagamba nti eyo endagaano eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima!."},{"id":49,"translation":"Tebalinda okuggyako olubwatuka lumu olulibakwata nga nabo bali mu kukaayana."},{"id":50,"translation":"Olwo nno tebalisobola kulaama wadde okudda eri abantu baabwe (eka)."},{"id":51,"translation":"Olwo enngombe erifuuyibwa (olufuuwa olw'okubiri) oligenda okubalaba nga bava mu ntaana zaabwe nga banguwa bagenda eri Mukama Omulabirizi Waabwe."},{"id":52,"translation":"Balyoke bagambe (nga bakuba ebiwoobe) nti nga tuzikiridde ani atuzuukizza okuva gye tubadde twebasse (mu ntaana zaffe bagenda kwanukulwa nti) ekyo kyekyo Katonda Omusaasizi ennyo kye yalagaanyisa era Ababaka baayogera mazima."},{"id":53,"translation":"(Okubazuukiza) tekugenda kuba okuggyako olubwatuka lumu, olwo nno bonna gye tuli gye bagenda okuleetebwa."},{"id":54,"translation":"Olwaleero tewali muntu agenda kulyazamaanyizibwa mu kintu kyonna era temugenda kusasulwa okuggyako ebyo bye mwali mukola."},{"id":55,"translation":"Mazima abantu b'omu Jjana ku Lunaku olwo balibeera mu kwetala olw'amasanyu gebalibeeramu."},{"id":56,"translation":"Bo n'abo be baafumbiriganwa nabo bagenda kubeera mu bisiikirize nga beesigamye ebitanda ebiwunde."},{"id":57,"translation":"Balina mu yo buli kika kya bibala era balifunanga buli kye baliba basabye."},{"id":58,"translation":"(Bagenda kufuna ekyengera ekisinga ebyo) nakyo nga ye salaamu (emirembe) nga Kigambo ekiriva ewa Mukama Omulabirizi Waabwe Oweekisa eky'enjawulo."},{"id":59,"translation":"Naye bo aboonoonyi bagenda kugambibwa nti: Abange mmwe aboonoonyi olwaleero mweyawule (ku bakkiriza)."},{"id":60,"translation":"Abange mmwe ezzadde lya Adamu, ssaabakozesa endagaano nti: Temusinzanga Sitaane olw'okuba yye mulabe wammwe omweyolefu?!."},{"id":61,"translation":"Era (ne mbakalaatira) nti: munsinze, eryo ly'ekkubo ettuufu."},{"id":62,"translation":"Mazima (Sitaane) yabuza mu mmwe ebitonde bingi nnyo, abaffe mwali temutegeera."},{"id":63,"translation":"Guno nno gwe Muliro Jahannama gwe mwalagaanyisibwanga (ku nsi)."},{"id":64,"translation":"Muguyingire Olwaleero olw'ebyo bye mwawakanyanga."},{"id":65,"translation":"Olwaleero tujja kuteeka envumbo ku mimwa gyabwe ate gyo emikono gyabwe gyogere naffe, n'amagulu gaabwe gawe obujulizi ku ebyo bye baakolanga."},{"id":66,"translation":"Singa twayagala twandizibye amaaso gaabwe olwo nno ne baba nga banoonya okudda eri ekkubo, naye nno bandirirabye batya!."},{"id":67,"translation":"Era singa twayagala twandikyusizza obutonde bwabwe ne babeera mu kifo awo webali, kale nno tebandisobodde kweyongerayo wadde okudda gye bavudde."},{"id":68,"translation":"Oyo yenna gwe tuba tuwangaazizza tumuzzaayo n'aba munafu mu butonde, abaffe tebategeera!."},{"id":69,"translation":"(Nabbi Muhammadi) tetumuyigirizanga kutontoma era tekimugwanira, bye yajja nabyo tebiri okuggyako nga bya kujjukiza era nga Kulaani ennyonnyola."},{"id":70,"translation":"(Nabbi Muhammadi-) alyoke atiise oyo yenna omulamu era ekigambo (eky'ebibonerezo) kikakate ku batakkiriza."},{"id":71,"translation":"Abaffe tebalaba nti mu bye twabatondera ebyakolebwa emikono gyaffe z'ensolo bo zebafuga!."},{"id":72,"translation":"Era twabibagondeza, mulimu bye beebagala era nga mulimu bye balya."},{"id":73,"translation":"Era balina mu byo emigaso (emirala) n'ebyokunywa, abaffe tebeebaza?!."},{"id":74,"translation":"Ate abatakkiriza baleka Allah ne beeteerawo ebisinzibwa ebirala mbu babe nga bataasibwa."},{"id":75,"translation":"So nga tebisobola kubataasa awamu n'okuba nti bo nabyo baliba kibinja ekirireetebwa mu Muliro."},{"id":76,"translation":"Kale nno tebikunyiiza ebigambo byabwe mazima Ffe tumanyi ebyo bye bakweka ne bye bakola mu lwatu."},{"id":77,"translation":"Abaffe omuntu talaba nti mazima Ffe twamutonda nga tumujja mu mazzi agazaala, ogenda okulaba nga yye mukaayanyi ddala ow'olwatu?!"},{"id":78,"translation":"N'atukubira ekifaananyi ne yeerabira obutonde bwe, nga agamba nti ani aliramusa amagumba nga gamaze okuba amamerengufu?!"},{"id":79,"translation":"Gamba nti agenda kugalamusa oyo eyagatandika omulundi ogwasooka era nga Yye amanyidde ddala ebikwata ku buli kitonde."},{"id":80,"translation":"Oyo eyabateerawo omuliro okuva mu muti omubisi okugenda okulaba nga mmwe mukuma omuliro okuva mu gwo (omuti)."},{"id":81,"translation":"Abaffe Oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi tasobola kutonda bintu (birala) biri nga byo? Weewaawo (asobolera ddala) era ddala Yye Ye Mutonzi Omumanyi ennyo."},{"id":82,"translation":"Mazima Ekiragiro Kye bw'aba ayagadde ekintu (kibeewo) agamba bugambi nti: ba ne kiba."},{"id":83,"translation":"N’olwekyo, Musukkulumu nnyo oyo alina obufuzi bwa buli kintu mu Mukono Gwe ate nga Gy'ali yekka gye mulizzibwa."}]},{"id":37,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayidde Bamalayika abasimbye ennyiriri ennambulukufu."},{"id":2,"translation":"Olwo nno abo abagoba ebire olugoba (bigende bitonnyese enkuba)."},{"id":3,"translation":"N'abo abasoma ebigambo ebibuulirira."},{"id":4,"translation":"Mazima gwe musinza Omutuufu ddala ali Omu."},{"id":5,"translation":"Mukama Omulabirizi W'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama Omulabirizi W'ebuvanjuba (n'e bugwanjuba)."},{"id":6,"translation":"Mazima Ffe twawunda eggulu eliriraanye ensi n'okulabika obulungi kw'emmunyeenye (ezirijjudde)."},{"id":7,"translation":"N'okulikuuma ku buli Sitaane kyewaggula."},{"id":8,"translation":"Tezisobola kuwuliriza bitonde ebyawaggulu era zikanyuugirirwa ebitawuliro okuva ku buli luuyi."},{"id":9,"translation":"Nga zifuumuulwa emisinde era nga zigenda kufuna ebibonerezo ebitakoma."},{"id":10,"translation":"Okuggyako (Sitaane) eyo enyakula ekigambo ky'eba enyakudde olwo nno n'ekasuukirirwa ekitawuliro ekigyokya."},{"id":11,"translation":"Kale nno babuuze nti bo be bazibu mu kutonda oba ebyo bye twatonda, mazima Ffe (bo) twabatonda mu budongo obukwafu."},{"id":12,"translation":"Wabula ggwe weewuunya (ng’okungiriza) ate nga bo bajeeja bujeeja."},{"id":13,"translation":"Era nga bwe baba babuuliriddwa tebeebuulirira."},{"id":14,"translation":"Era bwe balaba akabonero konna (mu bubonero bwa Katonda) nga bajeeja."},{"id":15,"translation":"Era baagamba nti: Kino sikirala okuggyako eddogo eryeyolefu."},{"id":16,"translation":"(Ne bongerako nti) bwe tuliba tufudde ne tufuuka ettaka era ne tuba magumba ameereere abaffe tulizuukizibwa?!"},{"id":17,"translation":"Oba bakitaffe abaakulembera."},{"id":18,"translation":"Gamba nti yye, (mulizuukizibwa) nga nammwe mukkakkanyiziddwa."},{"id":19,"translation":"Mazima kyo (ekyo kuzuukira) luliba olufuuwa lumu mu nngombe oligenda okulaba nga bo batunula."},{"id":20,"translation":"Era baligamba nti: Zitusanze luno lwe Lunaku lw'okusasulwa."},{"id":21,"translation":"(Bamalayika baligamba nti) luno lwe lunaku lw'okwawula (wakati w'abalongoofu n’aboonoonyi) olwo lwe mwali mulimbisa."},{"id":22,"translation":"(Bamalayika baliragirwa nti) mukunngaanye abo abe wamu n'ababafaanana n'ebyo bye baasinzanga."},{"id":23,"translation":"Ne bava ku Allah olwo nno mubalage ekkubo eridda eri omuliro Jahiimu."},{"id":24,"translation":"Era nga (temunnabatwala) mubayimirize (mu bbaliro) mazima bo balina okubuuzibwa."},{"id":25,"translation":"(Olwo nno bagambibwe) nti: Mubadde ki lwaki temwetaasa!."},{"id":26,"translation":"Wabula bo ku Lunaku olwaleero bagenda kukkiriza (nti tebalina bya kukola kuvvuunuka buzibu bwe balibeeramu)."},{"id":27,"translation":"Abamu ne boolekera bannaabwe nga bawaanyisiganya ebigambo."},{"id":28,"translation":"(Abagoberezi) ne bagamba (abaabakulemberanga) nti: Mazima mmwe mwali nga mutujjira nga mutuyita ku ddyo."},{"id":29,"translation":"(Abaagobererwa) baligamba nti nedda wabula temwali Bakkiriza."},{"id":30,"translation":"Era tetwabalinaako buyinza bwonna wabula mwali bantu abeewagguzi."},{"id":31,"translation":"Olwo nno Ekigambo kya Mukama Omulabirizi Waffe ne kitukakatako (ffenna) mazima ddala ffe tuteekwa kukomba (ku bibonerezo)."},{"id":32,"translation":"Twababuza era mazima ddala ffe (okugenda okubabuza) twali babuze."},{"id":33,"translation":"Mazima bo (ab'emirundi ebiri) bagenda kwegatta mu kibonerezo."},{"id":34,"translation":"Mazima Ffe bwe tutyo bwe tukola aboonoonyi."},{"id":35,"translation":"Mazima bo bwe baagambibwanga nti tewali kisinzibwa kyonna okuggyako Allah- baali nga beekuza."},{"id":36,"translation":"Nga bagamba nti mazima ffe tuyinza okuleka bakatonda baffe ku lw'omuyimbi omulalu?!"},{"id":37,"translation":"Nedda (Nnabbi Muhammadi tali nga bwe bagamba) wabula yajja na mazima era n’akakasa ababaka (abaamukulembera)."},{"id":38,"translation":"Mazima ddala mmwe muli ba kukomba ku bibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":39,"translation":"Era temugenda kusasulwa wabula ebyo bye mwakolanga."},{"id":40,"translation":"Okuggyako abaddu ba Allah abalondobemu."},{"id":41,"translation":"Abo baliweebwa ebigabirirwa ebimanyiddwa."},{"id":42,"translation":"(Biriba) ebibala era nga bibagabulwa."},{"id":43,"translation":"Nga bali mu Jjana ez'ebyengera."},{"id":44,"translation":"(Baliba) ku bitanda nga buli bamu boolekedde bannaabwe."},{"id":45,"translation":"Nga babayisaamu (mu kubagabula) eggiraasi z'ebyokunywa eziva mu nsulo ezitakalira."},{"id":46,"translation":"(Ebyokunywa ebyo) nga byeru ebiriwoomera abanywi."},{"id":47,"translation":"Tebigenda kubaamu kibobbya mutwe era nga tebalitamiira olw'okubinywa."},{"id":48,"translation":"Era baliba balina abakyala ab'amaaso amakkakkamu amanene."},{"id":49,"translation":"Abakyala abo balibanga amagi ageegenderezebwa obutayatika."},{"id":50,"translation":"Olwo nno abamu ne boolekera bannaabwe nga bawaanyisaganya ebigambo."},{"id":51,"translation":"Omwogezi (omu) ku bo aligamba nti mazima nze nnalina ow'omukwano."},{"id":52,"translation":"Yalinga anngamba nti abaffe ggwe oli mu abo abakakasa."},{"id":53,"translation":"Nti bwe tulifa netufuuka ettaka n’amagumba ameereere, abaffe tuli baakubalibwa?"},{"id":54,"translation":"Omukozi w’obulungi aligamba nti: abaffe mulaba ekiri mu Muliro."},{"id":55,"translation":"Olwo alitunulayo n’amulaba nga ali mu makkati g’Omuliro Jahiimu."},{"id":56,"translation":"Aligamba nti ndayidde Allah, wabula kata onzikirize."},{"id":57,"translation":"Singa si kyengera kya Mukama Omulabirizi Wange nnaalibadde mu baleeteddwa (eri Omuliro)."},{"id":58,"translation":"Ate ffe tetukyaddayo na kufa!."},{"id":59,"translation":"Okuggyako okufa kwaffe okwasooka era nga tetuli ba kubonerezebwa."},{"id":60,"translation":"Mazima okwo ddala kwe kwesiima okusuffu."},{"id":61,"translation":"(N’olwekyo) ku lw’ebintu nga bino abatakabana baalitakabanye."},{"id":62,"translation":"Abaffe obwo bwe bugenyi obulungi oba omuti gwa Zakkuumi."},{"id":63,"translation":"Twagussaawo nga kikemo eri abalyazamaanyi."},{"id":64,"translation":"Mazima gwo muti guva ku ntobo ya Muliro Jahiimu."},{"id":65,"translation":"Ebibala byagwo (okumanya bibi) bifaananako emitwe gya Sitaane."},{"id":66,"translation":"Mazima bo bagenda kugulyako bagujjuze embuto (zaabwe)."},{"id":67,"translation":"Oluvanyuma bagenda kubongerezaako ebyokunywa ebitabuddwa mu lweje."},{"id":68,"translation":"Oluvannyuma mazima obuddo bwabwe buli mu Muliro Jahiimu."},{"id":69,"translation":"Mazima bo baasanga bakadde baabwe nga babuze."},{"id":70,"translation":"N’olwekyo bo mu buwuufu bwabwe batwalibwa kantindiggwa."},{"id":71,"translation":"Era mazima olubereberye lwabwe abasinga obungi mu baasooka baabula."},{"id":72,"translation":"So nga ate twatuma mu bo abatiisa."},{"id":73,"translation":"Kale tunuulira olabe enkomerero y'abaatiisibwa yali etya."},{"id":74,"translation":"Okuggyako abaddu ba Allah abalondemu."},{"id":75,"translation":"Mazima Nuuhu yatukoowoola Naffe nno twali abaamwanukula obulungi."},{"id":76,"translation":"Ne tumuwonya n’abantu be akabenje akayitirivu."},{"id":77,"translation":"Ne tufuula ab'ezzadde lye ne baba bo nga be basigaddewo."},{"id":78,"translation":"Ne tumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma."},{"id":79,"translation":"Emirembe gibeere ku Nuuhu (n’okwogerwako okulungi) mu bitonde byonna."},{"id":80,"translation":"Mazima Ffe bwetutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi."},{"id":81,"translation":"Mazima (Nuuhu) ali mu baddu Baffe Abakkiriza abannamaddala."},{"id":82,"translation":"Oluvanyuma twazikiriza abasigadde (abatakkiriza Nuuhu)."},{"id":83,"translation":"Era mazima ddala Ibraahiimu yali ku nkola ye(Nuhu)."},{"id":84,"translation":"Kubanga yajja ewa Mukama Omulabirizi We n’omutima omuyonjo."},{"id":85,"translation":"Bwe yagamba kitaawe n’abantu be nti biki bye musinza?"},{"id":86,"translation":"Ebisinzibwa ebijingirire bye mwagala ne muleka Allah?!"},{"id":87,"translation":"Olwo Mukama Omulabirizi W’ebitonde byonna, kiki kye mumulowoozaako?."},{"id":88,"translation":"Olwo nno n'atunula olutunula mu mmunyeenye (nga enkola y'abantu be bwe yali)."},{"id":89,"translation":"N'agamba nti: Mazima nze ndi mulwadde."},{"id":90,"translation":"Olwo ne bamuvaako ne bamulekawo."},{"id":91,"translation":"Olwo n'akyukira eri ebisinzibwa byabwe n'alyoka abigamba nti: Lwaki temulya?."},{"id":92,"translation":"Mwabaaki, nga temwogera!."},{"id":93,"translation":"Olwo kwe kutandika okubatema n’omukono gwe ogwaddyo."},{"id":94,"translation":"Olwo (abantu ba Ibraahiimu bwe baamanya ky'akoze) bajja gyali nga banguwa."},{"id":95,"translation":"(Ibraahiimu) n'agamba nti, musinza ebyo bye mubajja?!"},{"id":96,"translation":"So nga Katonda Ye yabatonda mmwe n'ebyo bye mukola."},{"id":97,"translation":"Ne bagamba nti: Mumuzimbire ekifo (mukikumemu omuliro) olwo nno mumukasuke mu nnabengeya w’omuliro."},{"id":98,"translation":"Mu kukola ekyo, baagenderera okumukolera olukwe (bamutte) wabula ne tubafuula abaawansi (bwe twalemesa olukwe lwabwe)."},{"id":99,"translation":"(Awo Ibraahiimu n'asalawo okusenguka) era n'agamba nti mazima nze nngenda ewa Mukama Omulabirizi Wange ajja kunnunngamya."},{"id":100,"translation":"Ayi Mukama Omulabirizi Wange ngabira (omwana) nga wa mu balongoofu."},{"id":101,"translation":"Olwo ne tumusanyusa nti ajja kufuna omwana omulenzi ow'ekisa."},{"id":102,"translation":"Omwana oyo (Ismail) bwe yatandika okutambula naye (Ibraahiimu) n'agamba nti: owange mutabani wange nkirabye lunye mu kirooto mazima nze nga nkusala kale tunula olabe, ogamba ki? (Ismail) n'agamba nti: Owange taata kola ekyo ky'olagirwa, Allah nga ayagadde ojja kunsanga nga ndi mu bagumiikiriza."},{"id":103,"translation":"Bombi bwe baamala okwewaayo eri (Ekiragiro kya Katonda) yamugalamiza nga amuwunzise."},{"id":104,"translation":"Ne tumukoowoola nti owange Ibraahiimu."},{"id":105,"translation":"Mazima otuukirizza ekirooto, mazima Ffe bwetutyo bwe tusasula abalongoosa."},{"id":106,"translation":"Mazima ekyo (ekyatuuka ku Ibraahiimu n’omwana we) ddala kwe kugezesa okw'olwatu."},{"id":107,"translation":"Era (Ismail) twamununula n'ensolo ensuffu eyasalibwa."},{"id":108,"translation":"Ne tumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvannyuma."},{"id":109,"translation":"Emirembe gibeere ku Ibraahiimu."},{"id":110,"translation":"Bwetutyo bwe tusasula abalongoosa."},{"id":111,"translation":"Mazima yye ali mu baddu baffe Abakkiriza abannamaddala."},{"id":112,"translation":"Era twamusanyusa n’okumuwa Isihaaka nga Nnabbi wa mu balongoofu."},{"id":113,"translation":"Era twamuwa omukisa net tuguwa ne Isihaaka era mu zzadde lyabwe bombi mwalimu omulongoosa n'eyeeyisa obubi ow'olwatu."},{"id":114,"translation":"Mazima twabunduggula ebyengera ku Musa ne Haaruuna."},{"id":115,"translation":"Ne tubawonya n’abantu baabwe bombi akabenje ak'amaanyi."},{"id":116,"translation":"Ne tubataasa ne baba nga be bawanguzi."},{"id":117,"translation":"Bombi ne tubawa Ekitabo ekinnyonnyofu (okumulisa ekkubo)."},{"id":118,"translation":"Era twabalunngamya mu kkubo eggolokofu."},{"id":119,"translation":"Era bombi twabalekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvannyuma."},{"id":120,"translation":"Emirembe gibeere ku Musa ne Haaruuna."},{"id":121,"translation":"Mazima Ffe bwetutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi."},{"id":122,"translation":"Mazima bombi ba mu baddu Baffe Abakkiriza (abannamaddala)."},{"id":123,"translation":"Era mazima ddala Eliyaasa wa mu Babaka."},{"id":124,"translation":"Jjukira ekiseera bwe yagamba abantu be nti abaffe temutya (Katonda)?!"},{"id":125,"translation":"Musinza ekibumbe ne muleka (Katonda) Omutonzi asinga ababumbi bonna."},{"id":126,"translation":"Allah Ye Mukama Omulabirizi Wammwe era Ye Mukama Omulabirizi Wa bakadde bammwe abaasooka."},{"id":127,"translation":"Ne bamulimbisa n’olwekyo mazima bo baakuleetebwa (babitebye)."},{"id":128,"translation":"Okuggyako abaddu ba Allah abalondobemu."},{"id":129,"translation":"Ne tumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvannyuma."},{"id":130,"translation":"Emirembe gibe ku bantu ba Eliyaasa."},{"id":131,"translation":"Mazima Ffe bwetutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi."},{"id":132,"translation":"Mazima yye ali mu baddu baffe Abakkiriza abannamaddala."},{"id":133,"translation":"Era mazima Luutu wa mu Babaka."},{"id":134,"translation":"(Jjukira) bwe twamuwonya n’abantu be bonna."},{"id":135,"translation":"Okuggyako omukadde (Mukyala we) eyali mu baasigala."},{"id":136,"translation":"Oluvanyuma twazikiriza abaasigala."},{"id":137,"translation":"Era mazima mmwe mubayitako (muyita ku matongo gaabwe) ku makya."},{"id":138,"translation":"N'ekiro, abaffe temutegeera?!"},{"id":139,"translation":"Era mazima Yunusu wa mu Babaka."},{"id":140,"translation":"Jjukira bwe yabomba n'alinnya eryato eryali eryali limaze okutikka."},{"id":141,"translation":"(Bwe lyasemberera okusaanawo olw'okuba lyali litisse nnyo), olwo nno (Yunusu) yeetaba mu kalulu (ak'okusalawo ab'okukasukibwa mu nnyanja, akalulu kaagenda okuggwa) nga ali mu be kakutte (ne bamukasuka mu nnyanja)."},{"id":142,"translation":"Olwo nno ekyennyanja kwe kumumira nga ye y'anenyezebwa."},{"id":143,"translation":"Singa mazima ddala teyali mu batendereza (Katonda)."},{"id":144,"translation":"Yandibadde mu lubuto lwakyo okutuusa ku Lunaku lwe balizuukizibwa."},{"id":145,"translation":"Wabula twamukasuka ku lukalu naye nga yali mulwadde."},{"id":146,"translation":"Twamumereza ekimera eky'ekiryo (kimusiikirize kimugobeko n'ensowera)."},{"id":147,"translation":"Era twamutuma eri abantu emitwalo kkumi n'okusingawo."},{"id":148,"translation":"Bonna ne bakkiriza, olwo nno ne tubeeyagaza okutuuka ebbanga eggere."},{"id":149,"translation":"Kaakano ggwe babuuze (Abakurayishi) nti Mukama Omulabirizi Wo y'azaala abawala bo ne bazaala abalenzi?!"},{"id":150,"translation":"Oba abaffe bo baaliwo nga tutonda Bamalayika nga bakazi."},{"id":151,"translation":"Abange mazima mu kutemerera kwabwe batuuka n'okugamba nti:"},{"id":152,"translation":"Allah yazaala nga ate ddala bo balimba."},{"id":153,"translation":"(Katonda) asalawo okutwala abawala n'aleka abalenzi!."},{"id":154,"translation":"Mwaba ki, mulamula mutya (ebintu)?!"},{"id":155,"translation":"Abaffe temwebuulirira!."},{"id":156,"translation":"Oba mulina obujulizi obweyolefu (nga kye kibakozesa ekyo)."},{"id":157,"translation":"Kale muleete ekiwandiiko kyammwe bwe muba ab'amazima."},{"id":158,"translation":"(Abatakkiriza) ne bateeka oluganda wakati we (Katonda) n'amajinni, nga ate amajinni gamanyi nti mazima go gaakuleetebwa (mu maaso ga Katonda gabitebye)."},{"id":159,"translation":"Allah Musukkulumu ku bye boogera."},{"id":160,"translation":"Okuggyako abaddu ba Allah abalondobemu."},{"id":161,"translation":"Kale nno mazima ddala mmwe n'ebyo bye musinza."},{"id":162,"translation":"Temusobola mmwe kufiiriza Katonda (ne mumuggyako abaddu Be)."},{"id":163,"translation":"Okuggyako oyo ow'okwesonseka Omuliro Jahiimu (oyo musobola okumubuza)."},{"id":164,"translation":"(Ba Malayika ne bagamba nti) era tewali n'omu ku ffe okuggyako nga alina ekifo ekimanyiddwa."},{"id":165,"translation":"Era mazima ffe (bulijjo) tubeera mu nnyiriri (nga tusinza Katonda)."},{"id":166,"translation":"Era mazima ffe ddala ffe abatendereza (Katonda)."},{"id":167,"translation":"Newaakubadde nga (abawakanyi) abo ddala bagamba nti:"},{"id":168,"translation":"Ddala singa twalina okujjukizibwa nga kuva eri abaasooka."},{"id":169,"translation":"Twandibadde abaddu ba Allah abalondobemu."},{"id":170,"translation":"(Wabula kitalo byonna ebyo bwe byajja nga ne Nabbi Muhammad kwali) baabiwakanya, kale kyaddaaki balimanya."},{"id":171,"translation":"Mazima Ekigambo Kyaffe kyakulembera eri abaddu Baffe abaatumwa."},{"id":172,"translation":"Nti mazima bo ddala be b'okutaasibwa."},{"id":173,"translation":"Era mazima amagye Gaffe ddala go ge mawanguzi."},{"id":174,"translation":"Kale baveeko okutuusa ekiseera ekigere."},{"id":175,"translation":"Era batunuulire kyaddaaki baliraba."},{"id":176,"translation":"Abaffe Ebibonerezo Byaffe bye basaba bibatuukeko mangu."},{"id":177,"translation":"Lwe birituuka mu luggya lwabwe galiba makya mabi eri abaaweebwa amawulire agabatiisa (Omuliro ne batawulira)."},{"id":178,"translation":"Era baveeko okutuusa ekiseera ekigere."},{"id":179,"translation":"Era tunula kyaddaaki baliraba."},{"id":180,"translation":"Mukama Omulabirizi Wo wo, Nnannyini buyinza Musukkulumu ku ebyo bye boogera."},{"id":181,"translation":"Era emirembe gibeere ku babaka (ba Katonda)."},{"id":182,"translation":"Era buli kitendo kya Mukama Omulabirizi W'ebitonde."}]},{"id":38,"verses":[{"id":1,"translation":"Swaad. Ndayidde Kulaani ejjudde okujjukiza."},{"id":2,"translation":"Wabula abaawakanya bali mu kwekuza na kuwalaaza mpaka."},{"id":3,"translation":"Emirembe emeka gye twazikiriza olubereberye lwabwe, abaatuuka okukuba ebiwoobe (nga banoonya okutaasibwa), naye nga tewakyali buwonero."},{"id":4,"translation":"Ne beewuunya okuba nga omutiisa abajjira ng'ava mu bo, era abatakkiriza ne bagamba nti ono mulogo omulimba (awedde emirimu)."},{"id":5,"translation":"Abaffe ebisinzibwa ebingi abifudde omu! Mazima ekyo kintu ekyewunyisa ennyo."},{"id":6,"translation":"Ekibinja ky'abakungu mu bo ne kigenda (nga kikunga abantu) nti: Mugende mu maaso mugumire (mulemere) ku bisinzibwa byammwe, anti kino kintu ekigendererwa (okuleka ebisinzibwa ebirala tudde ku Allah asinzibwa Omu)."},{"id":7,"translation":"Mazima kino (eky'okubaggya ku bisinzibwa byammwe) kkobaane (Muhammadi mw'ayagalira okuyita abaggye ku nsinza yammwe), kino tetukiwulirangako mu nzikiriza (ey'abagoberezi ba Yisa) eyasembayo, kino tekiri okuggyako kiyiiye (buyiiya)."},{"id":8,"translation":"Mu ffe fenna yye (Muhammadi) y'assiddwaako obubaka! wabula (ekibaleetera obuzibu) lwa kuba bo bali mu kubuusabuusa okubuulirira kwange wabula (bakola ekyo) lwa kuba tebannakomba ku Bibonerezo Byange."},{"id":9,"translation":"Oba (kyebava beeyisa bwe batyo) lwa kuba balina amawanika g'okusaasira kwa Mukama Omulabirizi Wo, Nnantakubwakumukono Omugabi?!"},{"id":10,"translation":"Oba bo balina obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, bwe kiba bwekityo, kale baleke bakozese kyonna kye basobola bafuneyo bye baagala."},{"id":11,"translation":"Bo, ggye eriri awo lya kuwangulwa, libalibwa mu bibinja (ebyawangulwa)."},{"id":12,"translation":"Mazima olubereberye lwabwe abantu ba Nuuhu ne A-adi ne Falaawo nnannyini nkondo baalimbisa."},{"id":13,"translation":"Ne ba Thamuudu n’abantu ba Luutu n’abantu b’omukibira, ebyonno bye bibinja (ebyogeddwaako mu Aya 11)."},{"id":14,"translation":"Tewali muntu yenna mw'abo okuggyako nga yalimbisa Ababaka, olwo nno ebibonerezo byange ne bikakata (ku bo)."},{"id":15,"translation":"Abo tebalindirira okuggyako lubwatuka lumu (oluliba olw'amaanyi) nga terwetaaga kuddibwamu mulundi mulala."},{"id":16,"translation":"Era (abatakkiriza) baagamba nti ayi Mukama Omulabirizi Waffe twanguyirize omugabo gwaffe (ogw'ebibonerezo) nga Olunaku lw'okubalibwa terunnatuuka."},{"id":17,"translation":"(Katonda agamba Nnabbi Muhammadi nti:) Gumiikiriza ku bye boogera ojjukire omuddu Waffe Dawuda eyalina amaanyi amasuffu (awamu n'ekyo) yali adda nnyo eri Katonda."},{"id":18,"translation":"Mazima Ffe twagonza ensozi ne ziba nga zitenderereza wamu naye olweggulo n’obudde nga busaasaana."},{"id":19,"translation":"Era twagonza n’ebinyonyi nga biri mu bibinja (byabyo) buli kimu ku byo nga kigondera Dawuda (nebitendereza nga bw'atendereza)."},{"id":20,"translation":"Era twanyweza obufuzi bwe era ne tumuwa okumanya ensonga n’okusalawo ekituufu ku bigambo ebiba byogeddwa."},{"id":21,"translation":"Abaffe amawulire g’abaakaayana bwe baawalampa ekisenge (Dawuda mweyasinzizanga) gaakutuukako?"},{"id":22,"translation":"Bwe baayingira Dawuda we yali n'abeekanga ne bagamba nti: totya (ffe) tuli abakaayana ababiri nga omu kuffe asobezza munne, kale lamula wakati waffe n’amazima teweekubiira era otulage enkola entuufu."},{"id":23,"translation":"Mazima muganda wange ono alina endiga kyendamumwenda nga ate nze nnina endiga emu, ate anngamba nti gimpe ngikulundire ate nga ansinga ebigambo."},{"id":24,"translation":"(Dawuda) n'agamba nti: Mazima akulyazaamaanyizza bw'akusabye endiga yo agigatte ku ndigaze, ate nga bangi mu bagatta emirimu basobya bannaabwe, okuggyako abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu wabula ate abo batono, Dawuda n'amanya nti mazima tumugezesezza ne yeegayirira Mukama Omulabirizi We n'akutama ku maviivi ne yeemenya era n'adda eri Katonda."},{"id":25,"translation":"Olwo nno ekyo ne tukimusonyiwa, era mazima alina Gyetuli ekifo eky'okumwanjo n’obuddo obulungi."},{"id":26,"translation":"Owange Dawuda, mazima Ffe twakufuula omusigire ku nsi, lamula wakati w'abantu mu mazima era togobereranga okwagala (kwo) ne kukubuza okuva ku kkubo lya Allah, mazima abo ababula ne bava ku kkubo lya Allah, balifuna ebibonerezo ebikakali olw'ebyo ebyabeerabiza Olunaku lw'Okubalibwa."},{"id":27,"translation":"Eggulu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, tetwabitonda nga bya lusaago, eyo ndowooza y'abo abaawakanya, kale nno okubonaabona kuliba ku abo abaawakanya nga bali mu Muliro. ."},{"id":28,"translation":"Oba (basuubira nti) abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu, tulibayisa nga aboonoona mu nsi, oba abatya Katonda be tuliyisa nga aboonoonyi!."},{"id":29,"translation":"(Kulaani eno) Kitabo twakissa gy'oli nga kya mukisa babe nga beekenneenya ebigambo byakyo era ab'amagezi agakola babe nga beebuulirira."},{"id":30,"translation":"Era Dawuda twamugabira Sulayimaani, yali muddu mulungi, (anti) mazima yye yali adda nnyo eri Katonda."},{"id":31,"translation":"Jjukira bwe yayanjulirwa mu kiseera eky'olweggulo embalaasi ezirabika obulungi nga ziyimiridde (ate) eziwenyuka (bwe ziba zidduse)."},{"id":32,"translation":"N'agamba nti mazima nze nkulembezza okwagala ebirungi ku kutendereza Mukama Omulabirizi Wange (ne nzira mu kutunuulira embalaasi) okutuusa enjuba lw'ebuliddeyo!."},{"id":33,"translation":"(Oluvannyuma yagamba nti) muzinkomezeewo, olwo nno n'atandika okuzisala amagulu n'ensingo (naasaddaaka ennyama yaazo)."},{"id":34,"translation":"Era mazima twagezesa Sulayimaani ne tuteeka omubiri (ogutaliimu bulamu) ku nnamulondo ye, (naye) oluvannyuma yeenenya."},{"id":35,"translation":"N'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange nsonyiwa ongabire obwakabaka obutalisaanira mulala yenna oluvannyuma lwange, (anti) mazima Ggwe Mugabi."},{"id":36,"translation":"Olwo nno ne tumugondeza empewo nga etambula ku lw'ekiragiro kye mu ngeri ya mirembe n'egenda wonna w'aba asazeewo."},{"id":37,"translation":"Era twamugondeza Sitane (nga mu zo mwalimu) enkugu mu kuzimba n'endala nga zibbira mu nnyanja."},{"id":38,"translation":"Era nga ne (Sitaane) endala zisibiddwa ku njegere (anti zo zaagaana okukola)."},{"id":39,"translation":"Ne tumugamba (nti) okwo kwe kugaba Kwaffe, kale gabako oba omme (nga bw'olaba) awatali kubuuzibwa."},{"id":40,"translation":"Era mazima (Sulayimaani) alina Gyetuli ekifo kya kumwanjo n’obuddo obulungi."},{"id":41,"translation":"Era jjukira omuddu Waffe Ayyuubu bwe yakoowoola Mukama Omulabirizi We (n'agamba nti) mazima nze Sitaane andeetedde ennaku n’obuzibu (Ayi Mukama nkusaba omponye)."},{"id":42,"translation":"(Katonda n'amugamba nti) samba ettaka n'ekigere kyo awo amazzi ne gafukula era ne bamugamba nti amazzi gano mannyogovu ga kunaaba na kunywa (ly'eddagala erikuweereddwa)."},{"id":43,"translation":"Era ne tumuwa (nga tuzzaawo) abantu be era awamu nabo (netumuwa) abalinga bo (ebyo byonna) nga kusaasira okuva Gyetuli era nga kubuulirira eri abo abalina amagezi."},{"id":44,"translation":"Era (n'alagirwa nti) kwata ekisaaganda ky'obuti olwo nno okimukubise (mukyalawo) anti bw'otyo bwe walayira oleme umenya kirayiro kyo, mazima Ffe twamusanga (Ayyuubu) nga mugumiikiriza era nga muddu mulungi, anti mazima yye adda nnyo eri Katonda."},{"id":45,"translation":"Era jjukira abaddu Baffe Ibraahiimu ne Isihaaka ne Y'akuubu abaalina amaanyi n’okulengera ewala."},{"id":46,"translation":"Mazima Ffe twabaawula n'enkizo ey’okujjukira ennyumba ey’olubeerera (Enkomerero)."},{"id":47,"translation":"Era mazima bo Gyetuli ba mu baawule abalondemu."},{"id":48,"translation":"Era jjukira Ismail ne Eliyasa-a ne Zulkifuli, na buli omu kwabo wa mu balondemu."},{"id":49,"translation":"Kuno kujjukiza, era mazima ddala abatya Katonda bagenda kufuna obuddo obulungi."},{"id":50,"translation":"(Obuddo obwo buliba) Jjana ez’emirembe, nga emiryango (gyazo) giriba gibagguliddwa."},{"id":51,"translation":"Balibeera beesigamye nga bali mu zo, nga bwe batumya mu zo ebibala ebingi nga byanjawulo wamu n'eby'okunywa."},{"id":52,"translation":"Era baliba balina abakyala abakkakkamu b'amaaso ab'emyaka egyenkana."},{"id":53,"translation":"(Baligambibwa nti) kino (kye mutuseeko) kyekyo kye mwalagaanyisibwa okuweebwa ku Lunaku lw'okubalibwa."},{"id":54,"translation":"Mazima ebyo kwe kugabiririra Kwaffe tekuyinza kukalira."},{"id":55,"translation":"Ekyo kyekyo, naye mazima abeewagguzi balifuna obuddo obubi."},{"id":56,"translation":"Nga Muliro Jahannama gwe balyesogga naye buliba buliri bubi ddala."},{"id":57,"translation":"Kino (kye balimu bye bibonerezo ebiruma ennyo) kale balibikombako nga nabyo mazzi agookya n'amasira ag'olusaayisaayi."},{"id":58,"translation":"Ne (ebibonerezo) ebirala ebiringa ebyo eby'engeri ez'ejawulo (nabyo biribatuukako)."},{"id":59,"translation":"(Buli aboonoonyi abapya lwe banaaleetebwanga mu muliro, nga abasookayo bagambibwa nti:) kino kibinja kyesozze omuliro awamu nammwe (olwo abalisangwamu bagambe nti) abo tebaanirizibwa (tebalina mirembe) mazima bo beesozze muliro."},{"id":60,"translation":"(Abaagoberera) baligamba (abaasooka) nti wabula mmwe, mmwe mutaanirizibwa, mmwe mwabituleetera, bugenda kuba butuulo bubi."},{"id":61,"translation":"Baligamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Waffe oyo eyatuleetera bino mwongere ebibonerezo eby'okuba mu Muliro nga bikubisiddwamu."},{"id":62,"translation":"Era (aboonoonyi) baligamba nti lwaki tetulaba bantu be twali tubalira mu bakyamu!."},{"id":63,"translation":"Abaffe twabafuula eky'okujeeja (so nga baali balungi) oba amaaso ge gatabalaba."},{"id":64,"translation":"Mazima ebyo (ebyogeddwa) ddala (okwo kwe kuliba) okuyombagana kw'abantu b'omu Muliro."},{"id":65,"translation":"Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Mazima nze ndi mutiisa era tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okuggyako Allah Omu Omukasi."},{"id":66,"translation":"Mukama Omulabirizi W'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, Nnantakubwakumukono, Omusonyiyi ennyo."},{"id":67,"translation":"Bagambe nti kyo (kye mbagamba) kigambo kikulu ddala."},{"id":68,"translation":"(Ate) mmwe kye mwawukanako."},{"id":69,"translation":"Sibangako na kumanya kwonna ku bikwata ku bakungu abaawaggulu we baakaayanira, (Bamalayika bwe beemulugunya nga baagala Katonda b'aba asindika ku nsi mu kifo kya Adamu)."},{"id":70,"translation":"Ssaatumirwa kirala kyonna okuggyako (okuba) nti mazima ddala nze ndi mutiisa owoolwatu."},{"id":71,"translation":"Jjukira ekiseera Mukama Omulabirizi Wo bwe yagamba Bamalayika, nti mazima nze nja kutonda omuntu nga mmuggya mu kadongo."},{"id":72,"translation":"Bwe nnaamala okumutereeza ne mmufuuwamu omwoyo oguva gyendi, kale mukkakkane nga mumuvunnamira."},{"id":73,"translation":"Olwo nno Bamalayika bonna nga bali wamu baavunnama."},{"id":74,"translation":"Okuggyako Ibuliisu yeekuluntaza n'aba mu bawakanyi."},{"id":75,"translation":"(Katonda) n'agamba nti owange Ibuliisu, kiki ekikugaanye okuvunnamira oyo gwe ntonze ne Emukono Gyange, abaffe wetwala nti oli waakitiibwa (okusinga Adamu), oba lwakuba nti bulijjo oli mu ba kiwagi ku Katonda."},{"id":76,"translation":"(Ibuliisu) n'agamba nti: nze mmusinga, wantonda mu Muliro ate (yye) wamutonda mu kadongo."},{"id":77,"translation":"(Katonda) n'agamba nti: kale gifulume (Ejjana) mazima ggwe ogobeddwa (era oli mukolimire)."},{"id":78,"translation":"Era mazima ekikolimo Kyange kikukakaseeko okutuusa ku Lunaku lw'okusasulwa."},{"id":79,"translation":"(Ibuliisu) n'agamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Wange, nnindiriza okutuusa ku Lunaku lwe balizuukizibwa."},{"id":80,"translation":"(Katonda) n'agamba nti: Mazima ggwe oli mu balindiriziddwa."},{"id":81,"translation":"Okutuuka ku Lunaku olw'ekiseera ekimanyiddwa."},{"id":82,"translation":"(Ibuliisu) n'agamba nti: Ndayira Ekitiibwa Kyo nja kubabuliza ddala bonna."},{"id":83,"translation":"Okuggyako abaddu Bo abalondobemu mu bo."},{"id":84,"translation":"(Katonda) n'agamba nti: Ago nno ge mazima, era nga bulijjo njogera mazima."},{"id":85,"translation":"Ddala nngenda kujjuza Omuliro Jahannama (nga nguteekamu) ggwe n'abo bonna abakugondera mu bo."},{"id":86,"translation":"Gamba (ggwe Muhammadi nti: Ekyokubatuusaako Obubaka) sikibasabirako mpeera, era nga bwe siri mu beetumiikiriza."},{"id":87,"translation":"(Kulaani) yyo si kirala okuggyako okuba nti kya kubuulirira eri ebitonde."},{"id":88,"translation":"Era ekigambo kyayo mujja kukimanyira ddala oluvannyuma lw'ekiseera kitono."}]},{"id":39,"verses":[{"id":1,"translation":"Okussa Ekitabo kino (Kulaani) kuva ewa Allah Nnantakubwakumukono, Mugobansonga."},{"id":2,"translation":"Mazima Ffe twassa gy'oli Ekitabo mu butuufu. Kale sinza Allah nga eddiini yonna ogikola ku Lulwe Yekka."},{"id":3,"translation":"Abange eddiini ensengejje ya Allah Yekka. Bo abamuvaako ne beeteerawo abakuumi abalala (nga bagamba nti:) Tetubasinza okuggyako lwa kutusembeza kumpi eri Allah, mazima Allah agenda kulamula wakati waabwe mw'ebyo bo bye baawukanamu, mazima Allah talunngamya muntu oyo omulimba awalaaza empaka."},{"id":4,"translation":"Singa Allah yayagala kweteerawo mwana yaalibadde alonda ekyo ky'ayagadde mw'ebyo by'atonda, naye wabula Musukkulumu nnyo (teyeetaaga mwana) Yye Ye Allah ali Omu Omukasi."},{"id":5,"translation":"Yatonda eggulu omusanvu n'ensi mu butuufu, abikka ekiro ku misana nga bw'abikka emisana ku kiro, era yagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kya kutambula okumala ebbanga eggere, abange Yye Allah Ye Nnantakubwakumukono, Omusonyiyi ennyo."},{"id":6,"translation":"Allah yabatonda nga abaggya mu muntu omu oluvannyuma n'amuggyamu mukyala we, era n'abawa mu bisolo eby'omumaka emitindo munaana, abatondera mu mbuto za bannyammwe, nga kuba kutonda luvannyuma lwa kutonda, nga muli mu bizikiza bisatu, oyo nno ye Allah Mukama Omulabirizi Wammwe, obufuzi bwonna bubwe tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Yye, kale ate mukyusibwa mutya!."},{"id":7,"translation":"Bwemuwakanya, mazima Allah talina kye yeetaaga ku mmwe era tayagaliza baddu be butakkiriza, naye bwe mwebaza (ekyo) akibasiimako, era omwoyo omwonoonyi tegugenda kwetikka bibi bya mulala, oluvannyuma obuddo bwammwe buli eri Mukama Omulabirizi Wammwe, olwo nno abamanyise ebyo bye mwakolanga (anti) mazima Yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba."},{"id":8,"translation":"Akabi bwe katuuka ku muntu, asaba Mukama Omulabirizi We ng'amwenenyeza, oluvannyuma bw'amuwa ekyengera kyonna okuva Gy'ali, nga yeerabira Oyo gwe yali asaba mu kusooka olwo nno n'assa ku Allah ebisinzibwa ebirala, abe nga abuza (abantu) okubaggya ku Kkubo Lye (Katonda). Gamba nti: Weeyagale katono n'obutakkiriza bwo, (anti) mazima ggwe oli wa mu bantu ba mu Muliro."},{"id":9,"translation":"Abaffe oyo asinza mu biseera by'ekiro nga avunnama era ng'ayimirira (ng'asaala) nga atya Olunaku lw'Enkomerero ate nga asuubira okusaasira kwa Mukama Omulabirizi We, (oyo yenkana n'atakola ekyo) gamba (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Abaffe abamanyi n'abatamanyi benkanankana? Mazima (abamanyi enjawulo eyo) era nga beebuulirira be ba nnannyini magezi amatuufu."},{"id":10,"translation":"Gamba (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Abange mmwe abaddu Bange Abakkiriza, mutye Mukama Omulabirizi Wammwe, abo abakola obulungi mu bulamu buno obw'okunsi balina obulungi (nga bakyali ku nsi, ne mu bulamu obw'oluvanyuma) era ensi ya Allah ngazi (muyinza okusenguka ku lw'okusinza Katonda Wammwe mu mirembe) so nga bo ababa bagumiikirizza (ne batasenguka) baliweebwa empeera yaabwe awatali kubalirira."},{"id":11,"translation":"Gamba (ggwe Nnabbi Muhammadi nti:) mazima nze nnalagirwa okusinza Allah, nga Eddiini ngikola ku Lulwe yekka-Allah."},{"id":12,"translation":"Era nnalagirwa mbe nga nze nsoose okuba mw'abo abasiramuse (abajeemulukuse)."},{"id":13,"translation":"Gamba ggwe (Nabbi Muhammadi) nti mazima nze ntya singa mba njeemedde Mukama Omulabirizi Wange (okutuukibwako) Ebibonerezo by'Olunaku Oluzibu."},{"id":14,"translation":"Gamba nti: Nsinza Allah, nga eddiini yange ngikola ku Lulwe Yekka."},{"id":15,"translation":"Kale mmwe musinze ebyo bye muba mwagadde ebitali Yye, era gamba nti mazima abantu ab'okufaafaaganirwa beebo abagenda okufaafaaganirwa emyoyo gyabwe n’abantu baabwe ku Lunaku lw'Enkomerero, okwo nno kwe kufaafaaganirwa okweyolefu."},{"id":16,"translation":"Balina waggulu waabwe emizingo gy’omuliro ate nga ne wansi waabwe eriyo emizingo emirala. Ekyo nno Allah atiisa nakyo abaddu Be nga abagamba nti: Abange abaddu bange kale muntye."},{"id":17,"translation":"Ate abo abeesamba okusinza ebisinzibwa eby'obulimba nebadda eri Allah balina amawulire ag'essanyu n'olwekyo sanyusa abaddu Bange."},{"id":18,"translation":"Abo abawuliriza ebigambo ne bagoberera ebisinga obulungi mu byo, abo beebo Allah be yawa obulunngamu, era abo be bannannyini magezi amatuufu."},{"id":19,"translation":"Abaffe oyo gwe kikakaseeko ekigambo ky'ebibonerezo (olw'okwonooneka kwe oyinza okumulunngamya!) abaffe ggwe oyinza okutaasa oyo ali mu Muliro?!."},{"id":20,"translation":"Naye abo abatya Mukama Omulabirizi Waabwe balina ennyumba eza kalina nga waggulu waazo ate wazimbiddwayo ennyumba endala, emigga nga gikulukutira wansi waazo, (eyo) nga Ndagaano ya Allah (ate) nga Allah tayawukana ku Ndagaano."},{"id":21,"translation":"Abaffe tolaba nti mazima Allah assa okuva waggulu amazzi n'agakulukusiza mu nsulo eziri mu ttaka, oluvannyuma n'ameza nago ebibala ebya langi ez'enjawulo, oluvannyuma ne bikala (ebibadde ebyakiragala) n'obiraba nga bifuuse bya kyenvu, oluvanyuma abifuula ebisubi ebikutusekutuse. Mazima mu ekyo mulimu okujjukiza eri abalina amagezi."},{"id":22,"translation":"Abaffe oyo Allah gw'ayanjululiza ekifuba kye eri Obusiraamu, olwo nno yye n'aba nga ali ku kitangaala ekiva eri Mukama Omulabirizi We (afaanana n'oyo alina omutima omukakanyavu!) okubonaabona kuli kwabo abakakanyavu b’emitima gyabwe egiva ku kutendereza Allah, abo bali mu bubuze obw'olwatu."},{"id":23,"translation":"Allaha yassa Ebigambo ebisinga obulungi (Kulaani) nga Kitabo ekirina Ebigambo ebifaanagana (naye nga tebikontana) nga kiddinngana ensonga (awatali kukooya awuliriza) gyesisiwala ku lwakyo emibiri gy'abo abatya Mukama Omulabirizi Waabwe (bwe kyogera ku bibonerezo) oluvannyuma emibiri gyabwe n'emitima gyabwe gikkakkana bwe giba giwulidde ebigambo ebyogera ku Katonda (n'Okusaasira Kwe) ekyo (Ekitabo Kulaani) kulunngamya kwa Allah, alunngamya nakyo oyo gw'aba ayagadde, ate oyo yenna Allah gw'abuza tayinza kufuna amulunngamya."},{"id":24,"translation":"Abaffe oyo aligezaako okuwonya ekyenyi kye ku bibonerezo by'Olunaku lw'Enkomerero (ayinza okufaanana n'oyo aliwona yenna olw'emirimu gye emirungi), era abeeyisa obubi baligambibwa nti: Mukombe (ku bukaawu) bw'ebyo bye mwakolanga."},{"id":25,"translation":"Abo abaabakulembera baalimbisa (nga nabo bwe balimbisa) olwo nno Ebibonerezo ne bibajjira okuva we baali tebasuubira."},{"id":26,"translation":"Olwo nno Allah n'abakombesa ku buswavu mu bulamu obw'ensi ate nga Ebibonerezo by'Enkomerero bye bisinga obukakali, singa baali bamanyi."},{"id":27,"translation":"Mazima tukubidde abantu mu Kulaani eno buli kifaananyi babe nga beebuulirira."},{"id":28,"translation":"Kulaani (twagissa) nga eri mu luwalabu nga teriimu bukyamu bwonna babe nga batya Katonda."},{"id":29,"translation":"Allah yakuba ekifaananyi ky'omusajja (omuddu) ng'aliko bakama be bangi abakaayana (n'atamanya ani gw'asooka okuweereza) n’omusajja omulala (omuddu) nga wa muntu omu, abaffe mu kulaba bafaanana?! Ebitendo byonna bya Allah, wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi."},{"id":30,"translation":"Mazima ggwe (Nnabbi Muhammadi) ojja kufa era mazima ddala nabo baakufa."},{"id":31,"translation":"Oluvanyuma mazima mmwe (mwenna wamu) mugenda kuwozannganya ewa Mukama Omulabirizi Wammwe ku Lunaku lw'Enkomerero."},{"id":32,"translation":"Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo ayogera obulimba ku Allah era n'alimbisa amazima bwe gaamujjira (yeeyinula ki?) Abaffe mu Muliro Jahannama temuli nfo za bawakanyi?"},{"id":33,"translation":"Ate oyo eyaleeta amazima era n’agakkiririzaamu, abo be batya Katonda."},{"id":34,"translation":"Balifuna bye baagala ewa Mukama Omulabirizi Waabwe eyo y'empeera y'abo abalongoosa."},{"id":35,"translation":"Allah abe nga abasonyiwa ebibi ebyo bye baakola, era abasasule empeera yaabwe olw'ebirungi ebyo bye baali bakola."},{"id":36,"translation":"Abaffe Allah tamalira muddu We, balyoke batuuke okukutiisatiisa n'abo abatali Yye, oyo yenna Allah gw'abuza tagenda kufuna mulunngamya."},{"id":37,"translation":"Oyo yenna Allah gw'alunngamya tabaako amubuza, abaffe Allah si Ye Nnantakubwakumukono, asobola okubonereza abo (abeeyisa obubi mu baddu Be)."},{"id":38,"translation":"Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi, ddala bajja kugamba nti Allah, bagambe nti abaffe (mmwe) mulaba nti ebyo bye musaba ne muleka Allah singa Allah aba anjagalizza akabi byo bisobola okuggyawo akabii Ke, oba singa aba anjagalizza kusaasira (kirungi) abaffe byo bisobola okuziyiza okusaasira Kwe, gamba nti Allah amala (era bulijjo) abaagala owookwesiga Yye Yekka Gwe beesiga."},{"id":39,"translation":"Bagambe nti: abange bantu bange mukolere ku nkola yammwe, mazima nze nkola (ku nkola eyange) luliba olwo ne mumanya."},{"id":40,"translation":"Ani ebibonerezo gwe birijjira nga bimuswaza era n'atuukwako ebibonerezo eby'olubeerera."},{"id":41,"translation":"Mazima Ffe twassa ku ggwe Ekitabo eky'amazima nga kya bantu bonna oyo alunngama aba yeerunngamidde, ate oyo abula, ekibi ky'okubula kwe kidda gy'ali, era ggwe toli mukuumi ku bo."},{"id":42,"translation":"Allah y'atuusa entuuko z'emyoyo bwe gituuka okuva mu mibiri gyagyo, n'ogwo oguba tegufiiridde mu tulo twagwo (guba mu mikono gye) olwo nno gw'aba asazeewo nti agwetaaga gufe n'agutwala, ate omulala n'aguleka okumala ebbanga eggere, mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri abo abafumiitiriza."},{"id":43,"translation":"Oba (ekibayinula) kuba nti baleka Allah ne beeteerawo abawolereza! Bagambe nti: (Bwe gutyo bweguba) newaakubadde nga (abawolereza abo) tebafuga kintu kyonna era nga tebategeera."},{"id":44,"translation":"Bagambe nti: Okuwolereza kwonna kuli mu Mikono gya Allah. obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi BubweYekka oluvannyuma Gy'ali gye mulizzibwa."},{"id":45,"translation":"Allah bw'aba nga ayogeddwako Yekka (n'atagattibwako kintu kirala) emitima gy'abo abatakkiriza Nkomerero gyenyinyimbwa, naye singa abatali Yye boogerwako ogenda okulaba nga abo (abagatta ebintu ebirala ku Allah) basanyuukirira."},{"id":46,"translation":"Gamba nti ayi Mukama Omutonzi W'eggulu omusanvu n'ensi, Omumanyi W'ebikusike n'ebirabwako, Ggwe oliramula wakati w'abaddu Bo mw'ebyo bye baali baawukanamu."},{"id":47,"translation":"Singa ddala ebyo ebiri mu nsi byonna n'ebirala ebiringa byo nga by'abo abalyazaamaanyi obubi bandiyagadde okwenunula nabyo okuwona obuzibu bwe bibonerezo byo lunaku lw'enkomerero n'olwokuba nti baliba bamaze okulaba okuva ewa Katonda ebyo bye baali batasuubira."},{"id":48,"translation":"Era ne bibeeyoleka ebibi by'ebyo bye baakola era ne bibeetooloola ebyo bye baalinga bajeeja."},{"id":49,"translation":"Omuntu bw'atuukibwako akabi olwo nno nga atusaba, oluvannyuma bwe tumugabira ekyengera kyonna okuva Gyetuli, agamba nti mazima kyampebwa lwa kumanya (kwange) wabula (si bwe kiri) kyo kikemo naye ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi."},{"id":50,"translation":"Mazima (ekigambo kye kimu ekyo) baakyogera abo abaabakulembera (naye) ebyo bye baakolanga tebyabagasa."},{"id":51,"translation":"Olwo nno akabi k'ebyo bye baakola ne kabatuukako n'abo bonna abeeyisa obubi mu bano, bajja kutuukibwako akabi k'ebyo bye baakola ate era tebagenda kulemesa (Katonda ku bakola ky'aliba ayagadde)."},{"id":52,"translation":"Abaffe tebamanyi nti mazima Katonda ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde ate oluusi naafunza, mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri abantu abakkiriza."},{"id":53,"translation":"Bagambe nti: Abange baddu bange abo abayitiriza okwonoona ne bakosa emyoyo gyabwe nti: temuggwangamu ssuubi ku kusaasira kwa Allah, mazima Allah asonyiwa ebyonoono byonna, mazima Yye Ye Musonyiyi ennyo Omusaasizi ennyo."},{"id":54,"translation":"Era mwemenye mudde ewa Mukama Omulabirizi Wammwe era mweweeyo Gy'ali, nga Ebibonerezo tebinnabajjira ate ne muba nga temuli ba kutaasibwa."},{"id":55,"translation":"Era mugoberere ebirungi ebyo ebyassibwa gyemuli nga biva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe olubereberye nga Ebibonerezo tebinnaba kubajjira ekibwatukira nga nammwe temumanyi."},{"id":56,"translation":"Omuntu aleme kutuuka kugamba nti zinsanze ku lw'ebyo bye nnasuulirira ku bikwata ku Allah era nga ddala nnali ku nsi mu bajeeja."},{"id":57,"translation":"Oba ogambe nti singa mazima Allah yannunngamya nnaalibadde mu batya (Katonda)."},{"id":58,"translation":"Oba gugambe we gulirabira Ebibonerezo nti ddala singa nfuna (akakisa)okuzzibwayo ne mbeera mu balongoosa."},{"id":59,"translation":"(Omwoyo gulyanukulwa nti) nedda Ebigambo Byange byakujjira n'obirimbisa era ne weekuza n'oba mu batakkiriza."},{"id":60,"translation":"Era ku Lunaku lw'Enkomerero abo abaayogera obulimba ku Allah oliraba ebyenyi byabwe nga biddugadde (ate lwaki tebaliba batyo!), abaffe mu Muliro Jahannama temuli nfo zaabo abeekuza?"},{"id":61,"translation":"Era Allah agenda kuwonya abo abaamutya nga abawa okwesiima kwabwe (olw'Ejjana gy'alibayingiza). Akabi (k’ebibonerezo) tekagenda kubatuukako era bo si baakunakuwala."},{"id":62,"translation":"Allah, Ye Mutonzi wa buli kintu era Yye, Ye Mutambuza Wa buli kintu."},{"id":63,"translation":"Era y'alina ebiyimiriddeko entambula y'eggulu omusanvu n'ensi, ate abo abaawakanya Ebigambo bya Allah, abo be b'okufaafaaganirwa."},{"id":64,"translation":"Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Abange mmwe abatamanyi, ebitali Allah bye mundagira nsinze!."},{"id":65,"translation":"Ate nga mazima watumirwa Obubaka n'eri abo abaakukulembera nti singa ogatta ku Katonda ebintu ebirala emirimu gyo gya kwonoonekera ddala, era ojja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa."},{"id":66,"translation":"Wabula Allah gw'oba osinza era obe mu beebaza."},{"id":67,"translation":"(Abagatta ku Allah ebintu ebirala) Allah tebaamussa mu kifo kimusaanira, so nga ensi yonna eriba mu Kibatu Kye ku Lunaku lw'Enkomerero, nga eggulu omusanvu zizingiddwa mu Mukono Gwe ogwaddyo, Musukkulumu era wa Waawaggulu ku ebyo bye bamugattako."},{"id":68,"translation":"Enngombe erifuuyibwa, abali mu ggulu omusanvu n'abo abali mu nsi ne bazikirira, okuggyako abo Allah b'aliba ayagadde okulekawo, oluvannyuma erifuuyibwa omulundi omulala nate, oligenda okulaba nga beesimbye (bwa ntoogo) balindirira ekiddako Allah ky'anaabakolera."},{"id":69,"translation":"Ensi egenda kwakaayakana olw'ekitangaala kya Mukama Omulabirizi Waayo, ebitabo (by’emirimu gyabaddu) bissibwewo, Bannabbi n’abajulizi (Bamalayika abawandiika emirimu gy'abaddu) baleetebwe era balamulwe mu mazima era bo tebagenda kulyazaamaanyizibwa."},{"id":70,"translation":"Buli mwoyo gulisasulwa mu bujjuvu ebyo bye gwakola, anti bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola."},{"id":71,"translation":"Abo abaawakanya balikunguzzibwa okutwalibwa mu Muliro Jahannama nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligutuukako emiryango gyagwo nga giggulwawo, era abakuumi baagwo babagambe nti: abaffe, Ababaka tebaabajjira nga bava mu mmwe!, nga babasomera Ebigambo bya Mukama Omulabirizi Wammwe era ne babatiisa okusisinkana Olunaku lwammwe luno? Baligamba nti: Weewaawo (baatujjira naye twabalimbisa) naye ekigambo ky’ebibonerezo kimaze okukakata ku batakkiriza."},{"id":72,"translation":"Baligambibwa nti muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli baakutuula mu gwo bugenderevu na bugenderevu, nagwo kifo kibi eri abeekuza."},{"id":73,"translation":"Abo abatya Mukama Omulabirizi Waabwe balitwalibwa eri Ejjana nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligituukako n’emiryango gyayo negiggulwa, n’abakuumi baayo ne babagamba nti: Emirembe gibe ku mmwe, mwakola bulungi (nga muli ku nsi) kale muyingire, mugenda kutuulamu, bugenderevu."},{"id":74,"translation":"Baligamba nti ebitendo byonna bya Allah Oyo atutuukiririzza Endagaano Ye, n'atusikiza ettaka (lyo mu jjana) nga tweyagalira mu Jjana wonna we twagala nga kyo kyengera kya mpeera ya bakozi."},{"id":75,"translation":"Oliraba Bamalayika nga babugirizza amabbali ga Arish nga batendereza ebitendo bya Mukama Omulabirizi Waabwe, (ebyo byonna) abaddu baliba balamuddwa mu bwenkanya era walirangirirwa nti ebitendo byonna bya Katonda Omulabirizi W'ebitonde byonna."}]},{"id":40,"verses":[{"id":1,"translation":"Haa Miim."},{"id":2,"translation":"Okussa ekitabo (kino Kulaani) kuva wa Katonda nantakubwa ku mukono, omumanyi ennyo."},{"id":3,"translation":"Omusonyiyi W'ebyonoono, era akkiriza okwenenya, Nnannyini Bibonerezo ebikakali, Nnannyini kugaba, tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Yye, era obuddo buli Gy'ali."},{"id":4,"translation":"Tewali awakana ku bigambo bya Allah okuggyako abo abaawakanya, kale okwejalabattira kwabwe mu nsi tekukuyigula ttama."},{"id":5,"translation":"Olubereberye lwabwe abantu ba Nuuhu baalimbisa, n'ebibinja ebyajja oluvannyuma lwabwe (nabyo byalimbisa), buli bantu baayagala okutuusa ku Mubaka waabwe akabi, baakozesa obukyamu mu kuwakana, bamenyewo amazima, awo nno ne mbakwata naye okubonereza kwange (olaba) kwali kutya?."},{"id":6,"translation":"Nabwekityo, kyakakata ekigambo kya Mukama omulabirizi wo kwabo abaakafuwala nti mazima bo bantu ba mu muliro."},{"id":7,"translation":"(Bamalayika) abo abasitudde Arishi, n'abo abagibugiriza, batendereza ebitendo bya Mukama Omulabirizi Waabwe, era bamukkiriza era basaba (Katonda) ekisonyiwo eri abo Abakkiriza (nga bagamba nti) ayi Mukama Omulabirizi W affe mu kusaasira ne mu kumanya wamalayo buli kintu kyonna, kale sonyiwa abo abeenenya ne bagoberera ekkubo lyo era obawonye Ebibonerezo by'Omuliro Jahiimu."},{"id":8,"translation":"Ayi Mukama Omulabirizi Waffe era bayingize Ejjana ez’emirembe zewabalagaanyisa (era zewalagaanyisa) abo abaalongooka mu bakadde baabwe ne be baafumbiriganwa nabo n'zezadde lyabwe. Mazima Ggwe Nnantakubwakumukono, Mugobansonga."},{"id":9,"translation":"Era obeesambye ebyonoono era oyo yenna gw'olyesambya ebibi ku Lunaku olwo mazima oliba omusaasidde, era okwo, kwe kwesiima okusuffu."},{"id":10,"translation":"Mazima abo abaakafuwala balikowoolwa (nga bali mu muliro nti) mazima obusungu bwa Katonda busuffu okusinga okwesunguwalira kwa mmwe, bwe mwakowolwanga okujja eri obukkiriza (wabula ate mmwe) nemuwakanya."},{"id":11,"translation":"Baligamba nti ayi Mukama omulabirizi Waffe watutta emirundi ebiri n'otuwa obulamu emirundi ebiri, kaakano tukkirizza ebyonoono byaffe (bitusaanidde), abaffe waliwo ekkubo lyonna eritufulumya Omuliro?."},{"id":12,"translation":"(Baligambibwa nti) ekyo mmwe (kye mulimu) buli Allah lweyasabwanga Yekka nga muwakanya, ate buli lwe yagattibwangako ekintu ekirala olwo nga mukkiriza, kale nno okulamula (olwaleero) kwa Allah (Yekka) Owaawaggulu Oweekitiibwa."},{"id":13,"translation":"Yye Y'Oyo abalaga obubonero Bwe era abassiza amazzi okuva waggulu nga kugabirirwa (gyemuli) naye teyeebulirira (nabyo) okuggyako oyo adda eri (Katonda) n'amwenenyeza."},{"id":14,"translation":"Kale musabe Allah nga Edddiini mugikola ku Lulwe Yekka newaakubadde nga abatakkiriza bakitamwa."},{"id":15,"translation":"(Katonda Oyo) Oweebitiibwa ebyawaggulu Nnannyini Arishi, assa Obubaka okusinziira ku Kiragiro Kye kw'oyo gw'aba ayagadde mu baddu Be, abe nga atiisa (abantu ebiribaawo ku) Lunaku lw'Okusisinkana."},{"id":16,"translation":"Olunaku bo (abantu) bonna lwe balyeyoleka (mu Maaso ga Katonda) tewali kintu kyonna kyava mu bo kiryekweka Katonda, (balibuuzibwa nti) obufuzi bw'ani Olwaleero? (olwo nno ne bategezebwa nti) bwa Allah Omu Nnantalemwa."},{"id":17,"translation":"Olwaleero buli mwoyo gugenda kusasulwa ebyo bye gwakola tewali kulyazaamaanya olwaleero, mazima Allah Mwangu wa kubala."},{"id":18,"translation":"Batiise (ggwe Nnabbi Muhammadi) Olunaku olusembedde, ekiseera emitima lwe giribeera mu malokooli (olw'entiisa) nga banyiikaavu, abalyazaamaanyi tebagenda kuba na waamukwano, wadde muwolereza ayinza okuwulirizibwa."},{"id":19,"translation":"(Allah) amanyi amaaso agatali meesimbu era nga bw'amanyi ebyo ebifuba bye bikweka."},{"id":20,"translation":"Era Allah alamula mazima, bo abo abasaba ebintu ebirala ne baleka Allah, tebalina kintu kyonna kye balamula (ne kiba kyo). Mazima Allah Ye awulira ennyo alaba."},{"id":21,"translation":"Abaffe tebatambulako mu nsi ne balala enkomerero y'abo abaabasooka nga bwe yali, bo be baali babasinga amaanyi n'ebintu bye baaleka mu nsi, Allah yabakwata olw'ebyonoono byabwe tewaaliwo abataasa ku Allah."},{"id":22,"translation":"Ekyo (kyali bwekityo) lwakuba nti mazima bo Ababaka baabwe babajjiranga n'obunnyonnyofu ne bajeema, olwo nno Allah n'abakwata, mazima Yye Waamaanyi muyitirivu wa kubonereza."},{"id":23,"translation":"Era Mazima twatuma Musa n'ebyamagero Byaffe n’obusobozi bw'okulambika ensonga."},{"id":24,"translation":"Eri Falaawo ne Haamaana ne Kaaluuna ne bagamba nti (Musa) mulogo mulimba."},{"id":25,"translation":"Bwe yabaleetera amazima okuva Gyetuli baagamba nti: Mutte abaana abalenzi abaabo abakkiriza abali naye, naye bawala baabwe mubaleke nga balamu, bulijjo enkwe za abatakkiriza zigwa butaka."},{"id":26,"translation":"Falaawo n'agamba nti: Mundeke nzite Musa kale ayite Mukama Omulabirizi We (anti) mazima nze ntidde nti ayinza okukyusa eddiini yammwe, oba si ekyo, ayinza okuleeta mu nsi obwononefu."},{"id":27,"translation":"Musa n'agamba nti mazima nze nsaba Mukama Omulabirizi Wange era Omulabirizi Wammwe amponye (obubi) bwa buli mwekuza atakkiriza Lunaku lwa Kubalibwa."},{"id":28,"translation":"Omusajja Omukkiriza mu bantu ba Falaawo (naye nga) yali akweka Obukkiriza bwe, yagamba nti: mutta omusajja olwokuba agamba nti: Allah ye Mukama Omulabirizi Wange, ate nga abaleetedde obujulizi obuva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe?! Bw'aba nga alimba okulimba kwe kuli gyali, naye bw'aba nga ayogera mazima ebimu ku by'abalagaanyisa bijja kubatuukako, mazima Allah talunngamya oyo eyegalabanja, omulimba."},{"id":29,"translation":"Abange mmwe bantu bange olwaleero mmwe mulina obufuzi era nga mumanyiddwa mu nsi, olwo ani anaatutaasa ku bibonerezo bya Allah singa bitujjira (olw'obutakkiriza Musa by'agamba)? Falaawo n'agamba nti siraba nti mwandisazeewo okuggyako kye ndaba (ek'yokutta Musa), ate sibalagirira okuggyako ekkubo ettuufu."},{"id":30,"translation":"Oyo eyakkiriza n'agamba nti abange bantu bange (mwegendereze) mazima nze mbatiiririra mmwe okutuukibwako nga ebyo ebyatuuka ku mirembe egyakulembera (egyekobaana okuyisa obubi Bannabbi baagyo)."},{"id":31,"translation":"Okugeza, ng'enkola y'abantu ba Nuuhu ne 'Aadi ne Thamuudu n'abo abaaliwo oluvannyuma lwabwe, era bulijjo Allah tayagaliza baddu be kuyisibwa bubi."},{"id":32,"translation":"Abange mmwe bantu bange, mazima nze mbatiisa olunaku lw’okukoowoolagana."},{"id":33,"translation":"Olunaku lwe mulikyuka mudduke naye nga temuliba n’abawonya yenna ku Allah, oyo yenna Allah gw'abuza tayinza kufuna mulunngamya."},{"id":34,"translation":"Era mazima Yusufu yabajjira olubereberye n’obujulizi kyokka mwasigala muli mu kubuusabuusa mw'ebyo bye yabaleetera, okutuusa nga amaze okufa olwo nno nemugamba nti Allah tagenda kutuma Mubaka yenna luvannyuma lwe, bw'atyo nno Allah bwabuza buli oyo yenna eyegalabanja abuusabuusa."},{"id":35,"translation":"Abo abawakana ku bikwata ku bigambo bya Allah awatali bujulizi bubajjidde (ekikolwa ekyo) kibi, kinene nnyo eri Allah, ne eri Abakkiriza, bw'atyo Allah bw'azibikira buli mutima gwa buli yeekuza, kiwagi."},{"id":36,"translation":"Falaawo n'agamba nti owange Haamaana (Katikkiro we) nzimbira omunaala oba olyawo nnaatuka ku makubo."},{"id":37,"translation":"Amakubo g'eggulu omusanvu olwo nno mbe nga ndaba Katonda wa Musa, wabula mazima nze mmulowooza okuba nti mulimba, bw'atyo Falaawo emirimu gye emibi gyamulabisibwa nga mirungi, olwo nno n'aggyibwa ku kkubo, era enkwe za Falaawo zaagwa butaka."},{"id":38,"translation":"Oyo eyakkiriza yagamba nti mungoberere mbalagirire ekkubo ly'obulunngamu."},{"id":39,"translation":"Abange bantu bange mazima obulamu bw'ensi buno bwa kiyitamulujja, era mazima Enkomerero, y’enyumba ey'olubeerera."},{"id":40,"translation":"Oyo yenna akola omulimu omubi tasasulwa okuggyako ekigwenkana, ate oyo akola omulimu omulongoofu k'abe musajja oba mukazi (n'agukola) nga Mukkiriza, abo nno baliyingira Ejjana bagabirirwe muyo awatali kubalirira."},{"id":41,"translation":"Abange bantu bange, lwaki mbayita okujja eri okuwona nga mmwe mumpita kudda eri Muliro?!"},{"id":42,"translation":"Mumpita mpakanye Allah era mmugatteko ebyo bye ssirinaako kumanya! Ate nga nze mbayita kudda eri Nnantakubwakumukono, Omusonyiyi ennyo."},{"id":43,"translation":"Tewali kubuusabuusa nti ekyo kye mumpitira tekirina buyinza ku nsi wadde ku Nkomerero, ate nga mazima obuddo bwaffe buli eri Allah era nga mazima aboonoonyi abayitawo be bannannyini Muliro."},{"id":44,"translation":"Mulijjukira bye mbagamba era ensonga yange ngikwasa Allah, mazima Allah alabira ddala ebifa ku baddu."},{"id":45,"translation":"Allah n'amuwonya akabi k'enkwe ze baakola, ebibonorezo ebikambwe ne bikka ku bantu ba Falaawo."},{"id":46,"translation":"Omuliro banjulwa gye guli (mu buwufu bwabwe) enkya n'eggulo, ate Olunaku lw'Enkomerero lwe lulituuka walirangirirwa nti: Muyingize abantu ba Falaawo mu bibonerezo ebisinga obukakali."},{"id":47,"translation":"(Jjukira) ekiseera lwe balikaayanira mu Muliro, abanafu (abaakulemberwa) bwe baligamba abo abeekuza (abaali abakulembeze nti) mazima ffe twali bagoberezi bammwe, abaffe musobola okutukolera ekitundu (ky'ekibonerezo) ky'Omuliro?"},{"id":48,"translation":"Abo abeekuza baligamba nti: Mazima ffe tugulimu ffenna wamu, mazima Allah yamaze okulamula wakati w'abaddu."},{"id":49,"translation":"Abalibeera mu Muliro baligamba abakuumi ba Jahannama nti musabe Mukama Omulabirizi Wammwe atukendeereze ku bibonerezo (waakiri) olunaku lumu."},{"id":50,"translation":"(Abakuumi b'Omuliro) baligamba nti abaffe ababaka bammwe tebabajjira n’obujulizi obwenkukunala? Baligamba nti kituufu (baatujjira), bali bagambe nti kale musabe, wabula okusaba kwa abatakkiriza kugwa butaka."},{"id":51,"translation":"Mazima ffe ddala tutaasa Ababaka baffe n'abo Abakkiriza mu bulamu obw'ensi ne ku Lunaku abajulizi lwe baliyimirira (okuwa obujulizi nti ddala Obubaka bwatuusibwa ku bantu)."},{"id":52,"translation":"Olunaku abeeyisa obubi okwetonda kwabwe lwe kutalibagasa, era balina ekikolimo nga bwe balina obutuulo obubi (Omuliro)."},{"id":53,"translation":"Mazima twawa Musa obulunngamu era ne tusikiza abaana ba Isirayiri Ekitabo (ekyo)."},{"id":54,"translation":"Nga bulunngamu era nga kya kujjukiza eri abo abalina amagezi."},{"id":55,"translation":"Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima era saba ekisonyiwo olw'ekibi kyo, era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo olweggulo ne kumakya."},{"id":56,"translation":"Mazima abo abawalaaza empaka ku Bubonero bwa Allah awatali bujulizi bubajjidde, mu bifuba byabwe temuli okuggyako okwekuza ate nga tekuyinza kukibatuusaako (ekitiibwa) n'obulungi Allah by'agonnomola ku Nnabbi We) kale nno saba obukuumi ewa Allah (anti) mazima Yye Ye Muwulizi Omulabi ennyo."},{"id":57,"translation":"Ddala, okutonda eggulu omusanvu n'ensi kinene okusinga okutonda abantu, naye abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":58,"translation":"Era muzibe n'oyo alaba tebenkana nga bwe batenkana abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu n'omwonoonyi (wabula) mujjukira kitono nnyo."},{"id":59,"translation":"Mazima Olunaku lw’Enkomerero lwa kutuuka teruliimu kubuusabuusa, naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza."},{"id":60,"translation":"Mukama Omulabirizi Wammwe yagamba nti munsabe nja kubaanukula, mazima abo abeekuza ne batansinza bagenda kuyingira Omuliro Jahannama nga baswavu."},{"id":61,"translation":"Allah Y'Oyo eyabateerawo obudde obw'ekiro muwummuliremu n'abateerawo obudde obw'emisana nga butangaala (musobole okukoleramu emirimu gyammwe). Mazima Allah akolera abantu ebirungi bingi, naye ddala abantu abasinga obungi tebeebaza."},{"id":62,"translation":"Oyo nno ye Allah Omulabirizi Wammwe, Omutonzi wa buli kintu, tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Yye ate muwugulwa mutya?"},{"id":63,"translation":"(Nga bwe mwawugulwa) bwe batyo bwe baawugulwanga abo abaalinga bawakanya Ebigambo bya Allah."},{"id":64,"translation":"Allah Y'Oyo eyabateerawo ensi nga ntebenkevu, n'abateerawo eggulu nga kasolya, era n'abawa endabika yammwe, olwo nno n'anyiriza endabika yammwe era n'abagabirira ebintu ebirungi, oyo nno ye Allah Omulabirizi Wammwe, kale Musukkulumu Oyo Allah, Mukama, Omulabirizi W'ebitonde."},{"id":65,"translation":"Yye Ye Mulamu, tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Yye, kale mumusabe nga Eddiini yonna mugikolera Yye Yekka, (anti) ebitendo byonna bya Allah Omulabirizi W'ebitonde."},{"id":66,"translation":"Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi nti mazima nze bwe nnamala okufuna obunnyonnyofu okuva ewa Mukama Omulabirizi Wange) nnagaanibwa okusinza ebyo bye musaba ne muleka Allah, obunnyonnyofu bwe bwanzijira nga buva ewa Mukama omulabirizi Wange, era nnalagirwa okwewaayo eri Mukama Omulabirizi W'ebitonde."},{"id":67,"translation":"(Allah) Y'oyo eyabatonda nga abaggya mu ttaka (omulundi ogwasooka nga atonda Adamu), oluvannyuma (abatonda nga) abaggya mu mazzzi agazaala, oluvannyuma abafuula ekisaayisaayi, oluvannyuma n'abafulumya nga muli baana, oluvannyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abajjuvu (mu mibiri ne mu kutegeera), oluvanyuma (abalekawo) ne mutuuka okubeera abakadde, ate mu mmwe mulimu afa ng'akyali (n'atamalaayo mitendera esatu egyogeddwa, (bwe kitaba ekyo abalekawo) mube nga mutuusa ekiseera ekigere (ekya buli omu) mube nga mutegeera (ebyo byonna ebibannyonnyoddwa)."},{"id":68,"translation":"Yye (Katonda) Y'Oyo awa obulamu era n'abutwala, kale nno bw'aba asazeewo ekintu akigamba nti 'Ba' ne kiba."},{"id":69,"translation":"Abaffe tolaba abo abawalaaza empaka ku Bigambo bya Allah engeri gye bawugulwa (ne baleka amazima)."},{"id":70,"translation":"(Abo abaalimbisa Ekitabo (Kulaani) n'ebyo bye twatuma Ababaka Baffe, kyaddaaki balimanya."},{"id":71,"translation":"(Balimanya) mu kiseera enkoligo bwe zirissibwa mu nsingo zaabwe era nga basibiddwa n'enjegere nga bawalulwa."},{"id":72,"translation":"Okubatwala mu lweje lw'amazzi oluvanyuma balyokebwa mu Muliro."},{"id":73,"translation":"Oluvannyuma baligambibwa nti: Biri wa bye mwagattanga (ku Katonda)?"},{"id":74,"translation":"Ne muleka Allah, baligamba nti: batubuzeeko wabula (mu butuufu) bye twasabanga olubereberye temwali kantu. Bwatyo Allah bw'abuza abatakkiriza."},{"id":75,"translation":"Ebyo nno (eby'omuliro gwe muyingidde) lwa nsonga y'ebyo bye mwasanyukanga mu nsi mu butali butuufu, era n'engeri y’obujeemu gye mweyisangamu."},{"id":76,"translation":"Muyingire emiryango gy’Omuliro Jahannama nga muli ba kutuula mu gwo bugenderevu, bubi nnyo obutuulo bw'abo abeekuza."},{"id":77,"translation":"Kale gumiikiriza (ggwe Nnabbi Muhammadi) mazima Endagaano ya Allah ya mazima, kakibe nga ddala tukulaze ebimu kw'ebyo bye tubalagaanyisa oba ne tukutuusaako okufa (nga tetubikulaze mu buli ngeri) bagenda kuzzibwa Gyetuli."},{"id":78,"translation":"Mazima twatuma Ababaka olubereberye lwo, mu bo mulimu be twakunyumizaako, ate mu bo mulimu be tutaakunyumizaako, era Nnabbi yenna yali tayinza kuleeta kyamagero okuggyako nga Allah asazeewo, kale nno Ekigambo kya Allah bwe kijja ensonga ziramulwa mu mazima, era awo aboonoonyi nga bafaafaaganirwa."},{"id":79,"translation":"Allah Y'Oyo eyabassizaawo ensolo ez’omumaka ezimu ku zo muzeebagale era nga n'ezimu kwe mulya."},{"id":80,"translation":"Era mulina mu zo emigaso (emirala nga ate mingi olwokuzikozesa), mutuukiriza ekyetaago kye mulina mu bifuba byammwe (ekyo kujjulula emigugu gyammwe okuva ebunaayira), era nga musitulirwa ku zo ne ku maato."},{"id":81,"translation":"Era (bulijjo Allah) abalaga obubonero Bwe, kati bubonero ki obwa Allah bwe muwakanya?"},{"id":82,"translation":"Abaffe tebatambulako mu nsi ne balaba enkomerero y'abo abaabakulembera bwe yali (abo) abaali babasinga obungi, nga babasinga amaanyi era nga be babasinza ne bye baaleka mu nsi, naye wabula ebyo bye baakola tebyabagasa."},{"id":83,"translation":"Anti Ababaka baabwe bwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baasigala basanyuka n’okumanya kwe baali balina ne bibatuukako ebyo bye baali bajeeja."},{"id":84,"translation":"Bwe baalaba obukambwe bw'ebibonerezo Byaffe ne bagamba nti: Tukkiriza Allah Yekka era ne tuwakanya ebyo byonna bye twali tumugattako."},{"id":85,"translation":"Okukkiriza kwabwe tekwali kwa kubagasa (okwo kwe baalangirira), bwe baamala okulaba obukambwe bw'Ebibonerezo Byaffe (era nga eyo) yenkola ya Allah eyo ezze ekola mu baddu be, era (ebibonerezo bya Katonda bwe bitandika okussibwa mu nkola) abatakkiriza awo wennyini baba bamaze okufaafaaganirwa (ne bwekuba kwenenya kuba tekukyakkirizibwa)."}]},{"id":41,"verses":[{"id":1,"translation":"Haa Miim."},{"id":2,"translation":"(Kulaani) Bubaka obussibwa okuva ewa Allah omusaasizi ennyo era Omusaasizi Ow'enjawulo."},{"id":3,"translation":"(Kyo) Kitabo, nga ebigambo byakyo byannyonnyolwa bulungi nga bisomwa, ebiri mu Luwalabu (yassibwa) eri abantu abamanyi."},{"id":4,"translation":"(Yakka nga) ewa amawulire agessanyu eri (abakkiriza) era nga ewa amawulire agatiisa (eri abatakkiriza) naye abasinga obungi mu bo bagyesamba olwo nno bo tebawulira."},{"id":5,"translation":"Baagamba nti emitima gyaffe giri mu kibikka, tegiyinza kuwulira ekyo ky'otuyitira, ate mu matu gaffe mulimu envumbo ate nga wakati waffe naawe waliwo ekisenge ekyawula (n'olwekyo tetuyinza kukola bifaanagana) kale kola naffe ka tukole."},{"id":6,"translation":"Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi nti) mazima nze ndi muntu nga mmwe, mpeebwa Obubaka nti mazima Omusinzibwa Wammwe, ye Musinzibwa Omu Yekka, kale mudde Gy'ali mu bwesimbu, era mumwegayirire, okubonaabona kuli eri abagatta ebintu ebirala ku Katonda."},{"id":7,"translation":"Abo abatatoola Zzaka ate nga ddala nabo Olunaku lw'Enkomerero bo baluwakanya."},{"id":8,"translation":"Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina empeera etaggwaawo."},{"id":9,"translation":"Bagambe nti abaffe mmwe muwakanya Oyo eyatonda ensi mu nnaku bbiri ne mumuteekako ebisinzibwa ebirala, Oyo (gwe mukola ebyo) Ye Mulezi W'ebitonde."},{"id":10,"translation":"Era yassa mu yo (ensi) ensozi nga asinziira ku ngulu kwayo, (olwo nno ne zikka wansi) era n'agissaamu omukisa era yagigereramu eby'okulya byayo (ebiriibwa ebiramu byonna ebigirimu, ebyo byonna yabimalira) mu nnaku nnya, (ekyo kye eky'okwanukula) ekituufu eri ababuuza."},{"id":11,"translation":"Oluvanyuma yadda ku kukola eggulu nga nalyo (mu kusooka) lyali mukka mwereere, olwo nno n'aligamba n'ensi, nti: Mujje okwagala n'obutayagala, byombi nebigambo nti: Tuzze nga tugonze."},{"id":12,"translation":"Olwo n'agamaliriza nga gali eggulu musanvu mu nnaku bbiri, n'alagira mu buli ggulu ne mussibwamu ebintu byamu era ne tuwunda eggulu eririraanye ensi n’amataala n’abakuumi, okwo nno kugera kwa Nnantakubwakumukono, Omumanyi ennyo.l"},{"id":13,"translation":"Singa bawuguka (ne batakukkiriza) bagambe nti mbatiisizza ebibonerezo ebikakali okufaanana nga ebibonerezo ebyatuuka ku bantu ba 'Aadi ne Thamuudu."},{"id":14,"translation":"Mu kiseera ababaka bwe baabajjira nga babava mu maaso ne mabega waabwe nga bagamba nti, temusinzanga okuggyako Allah (abatakkiriza) ne bagamba nti singa Mukama Omulabirizi Waffe yayagala (kututumira) yandissizza Bamalayika, n’olwekyo mazima ffe tuwakanya ebyo bye mutumiddwa nabyo."},{"id":15,"translation":"Bo abantu ba 'Aadi anti beekuluntaliza mu nsi mu butali butuufu, era ne bagamba nti ani atusinga amaanyi? Abaffe baali tebakiraba nti mazima Allah Oyo eyabatonda, Yye y'abasinga amaanyi. Okukola ekyo baali bawakanya obubonero bwaffe."},{"id":16,"translation":"Twabasindikira kibuyaga owaamaanyi mu nnaku ezaali zijjudde ebizibu tulyoke tubakombese ku bibonerezo ebyobuswavu mu bulamu obw'ensi, so nga ate ebibonerezo by'enkomerero by'ebisinga okuswaza era bo tebagenda kutaasibwa."},{"id":17,"translation":"Bo aba Thamuudu twabalaga ekkubo ly'obulunngamu naye bo nebakulembeza obwamuzibe ku bulunngamu, olwo nno okubwatuka kw'eibonerezo ebinyomesa ne kubatuukako olwebyo bye baakolanga."},{"id":18,"translation":"Era twawonya abo abakkiriza era nga baali batya Katonda."},{"id":19,"translation":"Ate olunaku abalabe ba Allah lwe balikunngaanyizibwa nga batwalibwa eri Omuliro awo nno nga bateereddwa mu bibinja."},{"id":20,"translation":"Bwe baligutuukako, amatu gaabwe n’amaaso gaabwe n’amaliba gaabwe, biribawaako obujulizi kw'ebyo bye baakolanga."},{"id":21,"translation":"Baligamba amaliba gaabwe (ate mmwe) lwaki mutuwaddeko obujulizi? Galigamba nti: Allah atwatuzza Oyo ayatuza buli kintu, era Yye Ye yabatonda omulundi ogwasooka era nga Gy'ali gye mulizzibwa."},{"id":22,"translation":"Era (bwemwali ku nsi) temwekwekako olw'okutya amatu gammwe wadde amaliba gammwe okubawaako obujulizi, wabula mwalowooza nti mazima Allah tamanyi bingi mw'ebyo bye mukola."},{"id":23,"translation":"Okwo nno okulowooza kwammwe, okwo kwe mwalowooza ku Mukama Omulabirizi Wammwe, kwe kwabattattana olwo nno ne mufuuka abo mu bafafaganirwa."},{"id":24,"translation":"Ne bwe banaagumikiriza, Omuliro bwe buddo bwabwe, era ne bwe banaasaba okubaddiramu (mbu bazzibwe ku nsi bakole ebirungi) tebaliddirwamu."},{"id":25,"translation":"Twabateerawo bannaabwe (abababuza) olwo nno ne babalabisiza bulungi (ebibi) ebiri mu maaso gaabwe n'emabega waabwe, ekigambo (ekyokubonerezebwa) ne kibakakatako, ne bayingira mu bibiina (ebibi) eby'amajinni n’abantu ebyakulembera, mazima bo baali abafaafaganirwa."},{"id":26,"translation":"Abo abaawakanya Allah ne Omubaka we baagamba nti: Temuwuliriza Kulaani eno wabula mujizannyiremu oba olyawo ne muwangula."},{"id":27,"translation":"Ddala tugenda kukombya abo abatakkiriza ku bibonerezo ebikakali era tugenda kubasasulira ddala ebibi ebisingayo mw'ebyo bye baalinga bakola."},{"id":28,"translation":"Ogwo Omuliro y'empeera y'abalabe ba Allah, balina mu gwo obutuulo obw'olubeerera nga eyo y'empeera (gye balifuna) kubanga baawakanya Ebigambo Byaffe."},{"id":29,"translation":"Abo abaawakanya Allah n'Ababaka Be baligamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi Waffe, tulage abo abaatubuza mu majinni n’abantu tubasse wakati w'ebigere byaffe balyoke babe mu ba wansi (ddala)."},{"id":30,"translation":"Mazima abo abagamba nti Allah ye Mukama Omulabirizi Waffe oluvannyuma ne babeera beesimbu, Bamalayika bakka (nga bajja) gyebali (nga babagamba nti) temutya era temweraliikirira era musanyuke olw’Ejjana eyo gye mwalinga mulagaanyisibwa."},{"id":31,"translation":"Ffe (Bamalayika) ffe bannammwe mu bulamu obw'ensi ne mu bulamu obw'enkomerero, era mulina okufuna nga muli mu yo, ebyo emyoyo gyammwe bye gyagala era nga bwe mulina okufuna ebyo bye musaba."},{"id":32,"translation":"(Ebyo) nga bugenyi obuva ewa (Katonda) Omusonyiyi ennyo Omusaasizi."},{"id":33,"translation":"Ani ow'ebigambo ebirungi okusinga oyo akoowoola (abantu) okudda eri Allah, n'akola emirimu emirongoofu era n'agamba nti mazima nze ndi mu beewaayo eri Katonda?"},{"id":34,"translation":"Ekirungi n'ekibi tebyenkana, ggyawo (ekibi) ng’okozesa ekyo ekisinga obulungi, onoogenda okulaba nga oyo gy'obadde olina wakati wo naye obulabe nga ddala yye ye w'omukwano nfa nfe."},{"id":35,"translation":"Ekyo nno tebayinza ku kiweebwa okuggyako abo abagumiikiriza era tayinza kukiweebwa okuggyako ow'omukisa ogw'amaanyi."},{"id":36,"translation":"Wabula singa wabaawo ekikulabankanya nga kiva mu Sitaane, oteekwa okusaba obukuumi ewa Allah, mazima Yye Ye awulira ennyo, Omumanyi."},{"id":37,"translation":"Ne mu bubonero Bwe (obulaga obuyinza Bwe) mwe Muliro ekiro n’emisana n'enjuba n’omwezi, temuvunnamiranga enjuba wadde omwezi, muvunnamirenga Allah Oyo eyabitonda bwe muba nga Yye Yekka Gwe musinza."},{"id":38,"translation":"(Naye bwe baneekuza (si kikulu) anti abo abali ewa Mukama Omulabirizi Wo bamutendereza ekiro n’emisana era nga bo tebakoowa."},{"id":39,"translation":"Era mu bubonero Bwe (kwe kuba nti) mazima ggwe olaba ensi nga nkalu Bwe tugitonnyesaako amazzi yenyeenya (n'efuuka ya kiragala) era n'eyongera okumeza ebimera. Mazima Oyo agizzaamu obulamu ddala alizuukiza abafu, mazima Yye Muyinza wa buli kintu kyonna."},{"id":40,"translation":"Mazima abo abawalaaza empaka ku Bigambo Byaffe tebatwekwese, abaffe oyo alisuulwa mu Muliro y'asinga obulungi oba oyo alijja ku Lnaku lw’Enkomerero nga ali mirembe? (Kale) mukole bye mwagala mazima Yye (Katonda) alabira ddala ebyo bye mukola."},{"id":41,"translation":"Mazima abo abawakanya okubuulirira (Kulaani) bwe kwabajjira (kalibajjuutuka) era mazima yo (Kulaani) Kitabo kya kitiibwa."},{"id":42,"translation":"Obukyamu tebuyinza kujijjira kuva mu maaso gaayo, wadde mabega waayo, essibwa nga eva wa Mugobansonga atenderezebwa ennyo (Katonda)."},{"id":43,"translation":"Ggwe (Muhammadi) tewali bikugambibwa okuggyako nga byagambibwa dda Ababaka abaakukulembera. Mazima Mukama Omulabirizi Wo Ye Nnannyini kusonyiwa era Ye Nnannyini Bibonerezo ebirumya."},{"id":44,"translation":"Singa twafuula Kulaani eno nga ya lulimi olutali Luwalabu (Abawalabu) ddala baligambye nti singa ebigambo byayo byannyonnyolwa (ne tubitegeera, kati ate) eri mu lulimi olutali Luwalabu ate nga ekkira ku Muwalabu, bagambe nti yyo ku abo abakkiriza kya kulunngama era kya kuwonya, ate abo abatakkiriza amatu gaabwe galimu envumbo, olwo nno yo ku bo buzibe bwa maaso, abo bakoowoolwa okuva mu kifo ekyewala (n'olwekyo si bangu ba kuwuliza)."},{"id":45,"translation":"Mazima twawa Musa Ekitabo ne kyawukanwamu, singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama Omulabirizi Wo waslisaliddwawo wakati waabwe mu bwangu, era mazima n'abo (abatakukkiriza ggwe Nnabbi Muhammadi) bali mu kubuusabuusa okujjudde okutankana mu yo (Kulaani)."},{"id":46,"translation":"Oyo akola omulimu omulongoofu akolera mwoyo gwe, ate oyo ayonoona akabi k'ekyo kadda ku gwo, ate nga Mukama Omulabirizi Wo si mulyazaamaanyi eri abaddu (Be)."},{"id":47,"translation":"Gy'ali okumanya Olunaku lw'Enkomerero gye kuzzibwa, ebibala tebiva mu bikuta byabyo, era ekikazi tekifuna lubuto wadde okuzaala wabula ku lwa kumanya Kwe, n’olunaku (Katonda) lw'alibakoowoola (n'ababuuza) nti baliwa abo be mwangattako? Baligamba nti: tukutegeeza nti tewali n'omu mu ffe ayinza kuba mujulizi (kw'ekyo ekyokuba nti olina ebikugattibwako)."},{"id":48,"translation":"Era biribabulako ebyo bye baasinzanga olubereberye, era bagenda kukakasa nti tebalina buddukiro."},{"id":49,"translation":"Omuntu takoowa kusaba (okufuna) obulungi naye akabi bwe kamutuukako aggwaamu essuubi n'akutuka n'okusuubira."},{"id":50,"translation":"Naye bwe tumukombya ku kusaasira okuva Gyetuli oluvannyuma lw'akabi akaba kamutuseeko, ddala agamba nti kino nkifunye lwa kukola kwange era sirowooza nti Olunaku lw'Enkomerero lulibaawo (naye) ne bwendizzibwa ewa Mukama Omulabirizi Wange, mazima nze ndiba nnina okufuna ebirungi Gy'ali, kale nno ddala tugenda kutegeeza abo abatakkiriza, ebyo bye baakola era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebizito ennyo."},{"id":51,"translation":"Bwe tugabira omuntu ebyengera awuguka (n'ava ku ddiini) n'adda ku bbali (nga takyayagala kubeera na bantu balala) olw'okwekuza naye akabi bwe kamutuukako (olwo adda eri Allah) era n'aba nga asaba okusaba okutakoma."},{"id":52,"translation":"Bagambe nti mukiraba nti (Kulaani) bw'eba nga ddala yava wa Allah oluvannyuma ne mugiwakanya, ani mubuze asinga oyo ali mu kuwakana okuli ewala (n’amazima)."},{"id":53,"translation":"Tujja kubalaga obubonero Bwaffe mu bwengula ne mu bo bennyini okutuusiza ddala amazima lwe ganaabeeyoleka (ne bamanya) nti ddala yyo Kulaani) ge mazima. Abaffe tekimala okuba nga Mukama Omulabirizi Wo ddala Yye abaawo (nga kikolebwa)."},{"id":54,"translation":"Abange mazima bo bali mu kubuusabuusa okusisinkana Mukama Omulabirizi Waabwe, abange (mukimanye nti) mazima Yye yeetoolodde (mu kumanya Kwe) buli kintu."}]},{"id":42,"verses":[{"id":1,"translation":"Haa Miim."},{"id":2,"translation":"'Ayn Siin Qaaf."},{"id":3,"translation":"Bw'atyo Allah Nnantalemwa, Mugobansonga, akutumira Obubaka era nga bwe yatuma eri abo abaaliwo olubereberye lwo."},{"id":4,"translation":"Bibye Yekka byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era Yye Ye Waawaggulu ennyo Oweekitiibwa."},{"id":5,"translation":"Eggulu omusanvu zibulako katono okweyuzaamu okutandikira waggulu waazo (ku lwo kugulumiza Allah) ne Bamalayika batendereza Ebitendo bya Mukama Omulabirizi Waabwe, era basabira abo (Abakkiriza) abali mu nsi okusonyiyibwa, abange mazima Allah Yye Ye Musonyiyi ennyo Omusaasizi."},{"id":6,"translation":"Naye abo abeteerawo ebisinzibwa ebirala ne bamuvaako, Allah Mulondoozi ku bo, era ggwe toli mukuumi ku bo."},{"id":7,"translation":"Bwekityo twakuweereza Kulaani nga eri mu Luwalabu obe nga otiisa (nayo) maama w'ebibuga byonna (Makkah) n'abali mu bitundu ebikyetoolodde era otiise (abantu) Olunaku lw'okukungaana olutaliimu kubuusabuusa, nga ekibinja kya kuyingira Jjana ate ekibinja ekirala kya kuyingira Muliro ogubuubuuka."},{"id":8,"translation":"Singa Allah yayagala (bonna) yandibafudde ekibiina kimu, naye ayingiza oyo gw'aba ayagadde mu kusaasira Kwe, ate abeeyisa obubi tebaliba na mukuumi wadde omutaasa."},{"id":9,"translation":"Oba baaleka Allah ne beeteerawo abeemikwano (bakatonda abalala) so nno Allah Ye Woomukwano, era Yye y'aliramusa abafu, era Yye (bulijjo) Muyinza ku buli kintu kyonna."},{"id":10,"translation":"Ekintu kyonna kyemuba mwawukanyeemu, okulamula kwakyo kuli eri Allah, Oyo Ye Katonda Mukama Omulabirizi Wange. Yye yekka Gwe nneesiga era Gy'ali gye nzira."},{"id":11,"translation":"Omutandisi W'eggulu n'ensi, abateerawo nga aggya mu mmwe be mufumbiriganwa nabo, era yabateerawo mu bisolo ebirundibwa bibiri bibiri (ekisajja n'ekikazi) nga abazaalukusa mu nkola eyo, tewali kintu kimufaanana kyonna, era Yye Ye Muwulizi ennyo Omulabi ennyo."},{"id":12,"translation":"Yekka yaalina ebisumuluzo by'amawanika g'eggulu omusanvu n'ensi, ayanjuluza ebyenfuna eri oyo gw'aba ayagadde, ate n'afunza (kw'oyo gw'aba ayagadde) mazima Yye Ye Mumanyi ennyo ku buli kintu."},{"id":13,"translation":"Yabalaalikako mu ddiini ebyo bye yakuutira Nuuhu n'ebyo bye twassa ku ggwe n'ebyo bye twakuutira Ibraahiimu ne Musa ne Yisa ebigamba nti muyimirizeewo Eddiini era temujaawukanangamu kizitoye ku bagatta ku Allah ebintu ebirala ekyo kye mubakoowoolera, Allah alondobamu oyo gw'aba ayagadde n'adda gyali, era alunngamya okudda oyo eyeemenya."},{"id":14,"translation":"Tebaayawukana okuggyako luvannyuma lwa kumanya okubajjira (nga ekyabatuusa kw'ekyo) bwe bukyayi obwali wakati waabwe, era singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama Omulabirizi Wo (eky'obutazikiririzaawo boonoonyi) okutuusa ebbanga eggere (erya baweebwa) waalisaliddwawo wakati waabwe (mu kiseera ekyo kyennyini) era mazima abo abaasikizibwa ekitabo oluvanyuma lwabwe, mu kyo bali mu kubuusabuusa okujjudde okutankana."},{"id":15,"translation":"N’olwekyo kale koowoola (abantu okujja eri Eddiini) era obeere mwesimbu nga bwe walagirwa, era togoberera kwagala kwabwe era gamba nti nzikiriza Ebitabo ebyo Allah bye yassa, era nnalagirwa okukola obwenkanya wakati wammwe. Allah Ye Mulabirizi Waffe era Omulabirizi Wammwe, ffe tulina emirimu gyaffe na mmwe mulina emirimu gya mmwe. Tewali nkaayana wakati waffe na mmwe (anti amazima meeyolefu), Allah alitusisinkanya (ffe na mmwe) era Gy'ali yokka y'eri obuddo."},{"id":16,"translation":"N'abo abawakana ku bikwata ku Allah, oluvanyuma lw'okuba nti (Omubaka Muhammadi) yayanukulwa (nagobererwa), ensonga yaabwe ya butaliimu mu maaso ga Mukama Omulabirizi Waabwe, era baliko obusungu n'ebibonerezo ebikambwe."},{"id":17,"translation":"Allah Y'oyo eyassa Ebitabo nga bya mazima n’obwenkanya. Yye omanyira kuki oba olyawo Olunaku lw’Enkomerero nga luli kumpi."},{"id":18,"translation":"Abo abatakkiriza basaba luleetebwe mangu, ate abo abakkiriza balwelaliikirira era bamanyi nti mazima ddala lwo (okutuuka kwalwo) ge mazima, abange mazima abo abawakana ku kubaawo kw'Olunaku lw’Enkomerero ddala bali mu bubuze obwewala."},{"id":19,"translation":"Allah alumirwa abaddu Be, agabira oyo gw'aba ayagadde era Yye Ye Waamaanyi Nnantakubwakumukono."},{"id":20,"translation":"Oyo ayagala ebikungulwa by'obulamu obw'oluvanyuma tumwongeza mu bikungulwa bye, n'oyo ayagala ebikungulwa by'obulamu bw'ensi tubimuwaako (ebyo bye twamugerera) naye nga talina ku Nkomerero mugabo gwonna."},{"id":21,"translation":"(Ekibabuza) oba balinayo be bagatta ku Allah nga babateerawo amateeka g’eddiini ago Allah g'atakkiriza, era singa si kigambo eky'okusalawo (okulibaawo ku Lunaku lw’Enkomerero mangu ddala) wandiramuddwa wakati waabwe. Era mazima abeeyisa obubi balina ebibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":22,"translation":"(Ku Lunaku olwo) oliraba abeeyisa obubi nga beeraliikirira olw'ebyo bye bakola, era nga ddala ekyo kigenda kubatuukako ate abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balibeera mu bifo by'omu Jjana, balifuna ebyo bye baagala ewa Mukama Omulabirizi Waabwe, ekyo bwe bulungi obusuffu."},{"id":23,"translation":"Ekyo Allah ky'asanyusa nakyo abaddu Be abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu. (Ggwe Nnabbi Muhammadi) bagambe nti (eky'okubatuusaako Obubaka) sikibasabirako mpeera wabula (kye mbaagalamu) kwe kukolagana mu ngeri y’omukwano n'abooluganda. Oyo yenna akola obulungi tubumwongezaamu obulungi obulala, mazima Allah Musonyiyi nnyo Musiimi nnyo."},{"id":24,"translation":"Oba (ekibabuza lwakuba) bagamba nti (Muhmmadi) yajweteka ku Allah ebigambo eby'obulimba? Allah bw'aba ayagadde asobola okuzibikira omutima gwo (singa okola nga bwe bagamba), era Allah n'aggyawo ebitali bituufu n'akakasa amazima n'Ebigambo Bye, mazima Yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba."},{"id":25,"translation":"Era Yye Y'oyo akkiriza okwenenya kwa abaddu Be era n'asonyiwa ebibi, era amanyi ebyo bye mukola."},{"id":26,"translation":"Era ayanukula (okusaba kw'abo) abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu era n'abongera ebirungi Bye, bo abatakkiriza balina ebibonerezo ebikakali."},{"id":27,"translation":"Singa Allah yagaziyiriza ebyenfuna ku baddu be (bonna) balyonoonye mu nsi, wabula assa mu kipimo ekyo ky'aba ayagadde mazima Yye amanyidde ddala ebyomunda era alaba nnyo ebikwata ku baddu Be."},{"id":28,"translation":"Era Ye Y'oyo atonnyesa enkuba oluvannyuma (lw'abantu) okuggwamu essuubi n’okusuubira, era abunyisa okusaasira Kwe, era Yye, Ye Mukuumi atenderezebwa ennyo."},{"id":29,"translation":"Naakamu mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kwe kutondebwa kwe ggulu omusanvu ne nsi. Nebyo ebirimu obulamu ebitambula bye yassa mu byombi. Era yye asobola okubakungaanya wayagalira."},{"id":30,"translation":"Obuzibu bwonna obubatuukako kiba lwa nsonga y'ebyo emikono gyammwe bye giba gikoze ate nga alekera bingi."},{"id":31,"translation":"Era mmwe temuli bayinza kulemesa (Katonda) ku nsi ate era nga oggyeko Allah temulina mukuumi wadde omutaasa."},{"id":32,"translation":"Era mu bubonero bwe mwe Muliro amaato agaseeyeeyera ku nyanja nga galinga ensozi."},{"id":33,"translation":"Bw'aba ayagadde asobola okuyimiriza empewo (amaato) ne gasigala nga gayimiridde ku ngulu kwa yo (ennyanja, nga tegatambula), mazima mw'ekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri buli mugumikiriza ennyo eyeeebaza."},{"id":34,"translation":"Oba ayinza okugabbiza (nebazikirira) olw'ebibi bye baba bakoze, anti bulijjo alekera bingi."},{"id":35,"translation":"Era abo abawakanya Ebigambo Byaffe, bateekwa bamanye nti tebagenda kufuna buddukiro."},{"id":36,"translation":"Buli kintu kyonna kyemuba muweereddwa kya kweyagala kwa bulamu bwa nsi, so nga ebiri ewa Allah bye bisinga obulungi era by'ebyokusigalawo nga by'abo abakkiriza ,era nga Mukama Omulabirizi Waabwe Yekka gwe beesiga."},{"id":37,"translation":"Era beebo abewala ebibi ebinene n'ebyobuwemu era bo bwe baba banyiize basonyiwa."},{"id":38,"translation":"Era beebo abaayanukula Mukama Omulabirizi Waabwe ne bayimirizaawo esswala era nga bulijjo ekigambo kyabwe (kisalwawo nga kiyita mu) kuteesaganya wakati waabwe era nga bagaba kw'ebyo bye tubagabirira."},{"id":39,"translation":"Era na'bo bwe baba batuukiddwako obulumbaganyi, bo beerwanako."},{"id":40,"translation":"Era empeera y'ekibi eba kibi ekifaanana nga kyo, kale nno oyo alekera n'atabagana (ne mu nne) okusasulwa kwe kuli ku Allah, anti mazima Yye (Allah) tayagala bayisa bannaabwe bubi."},{"id":41,"translation":"Omuntu eyeetaasa nga abadde ayisiddwa bubi abo tebabalinaako kkubo (lya kubavunaana)."},{"id":42,"translation":"Mazima ekkubo (ly’okuvunaana n'okubonereza) liri kw'abo abayisa obubi abantu ne boonoona mu nsi awatali nsonga, abo balina ebibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":43,"translation":"Naye omuntu agumiikiriza n'asonyiwa, mazima ddala ekyo kya mu bintu ebikkaatirizibwa (Omukkiriza by'ateekwa okukola)"},{"id":44,"translation":"(Awatali Allah) oyo yenna Allah gw'abuza tayinza kuba na mukuumi, oliraba abeeyisa obubi bwe baliraba ebibonerezo baligamba nti: abaffe waliwo ekkubo eriddayo (ku nsi)."},{"id":45,"translation":"Olibalaba nga baleetebwa we guli (Omuliro) nga bakkakkamu olw'onunyoomoofu nga batunula bwe babbirira eriiso, abo abakkiriza baligamba nti mazima abo abaafaafaaganirwa beebo abaasalwa bo bennyini ne baleetera n'abantu baabwe okusalwa ku Lunaku lw'Enkomerero. Mazima abeeyisa obubi balibeera mu bibonerezo eby'olubeerera."},{"id":46,"translation":"Era tebalifuna bakuumi babataasa ku Allah Oyo yenna Allah gw'abuza tayinza kuba na kkubo (lya kulunngama)."},{"id":47,"translation":"Mwanukule Mukama Omulabirizi Wammwe nga Olunaku terunnatuuka lwe wataliba buddukiro kuwona Allah. Ku lunaku olwo temuliba na buddo, era temuliba na buwakaniro."},{"id":48,"translation":"Bwebaba bagaanye, tetukutumanga kuba kalondoozi ku bo, tovunaanyizibwa okuggyako okutuusa (Obubaka). Era mazima ffe bwe tukombya omuntu ku kusaasira okuva Gyetuli kumusanyusa, naye bwe batuukwako obuzibu olw'ebyo emikono gyabwe bye giba gikoze (nga olwo bakyusa enjogera) anti bulijjo mazima omuntu tasiima."},{"id":49,"translation":"Bwa Allah obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi, atonda ekyo ky'aba ayagadde, agabira oyo gw'aba ayagadde abaana ab’obuwala, era na'gabira oyo gw'aba ayagadde (omulala) abalenzi."},{"id":50,"translation":"Oba abatabika ab’obuwala n’aboobulenzi ate oluusi gw'aba ayagadde amufuula mugumba (anti) mazima Yye Ye Mumanyi ennyo Omuyinza."},{"id":51,"translation":"Tekisaanirangako muntu Allah kwogera naye, okugyako nga amussaako Bubaka, oba n'ayogera naye nga asinziira mabega wa lutimbe (ekyawulawo) oba okutuma Omubaka (Malayika), olwo nno ku lw'okusalawo Kwe n'amutumira ky'aba ayagadde (anti) mazima Yye Waawaggulu nnyo Mugobansonga."},{"id":52,"translation":"Nabwekityo twakutumira (ggwe Nnabbi Muhammadi) omwoyo (Kulaani; eyitibwa mwoyo wano kubanga ewa emyoyo gy’abantu obulamu) nga ekyo kisinziira ku Kiragiro Kyaffe. Wali tomanyi Ekitabo (Kulaani) kye kiki, wadde Obukkiriza, naye twagifuula ekitangaala nga tulunngamya nayo oyo gwe tuba twagadde mu baddu Baffe, era mazima ggwe ddala olunngamya (olagirira) eri ekkubo eggolokofu."},{"id":53,"translation":"Ekkubo lya Allah Oyo Yekka Nnannyini w'ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi. Abange eri Allah ebintu byonna gye bidda."}]},{"id":43,"verses":[{"id":1,"translation":"Haa Miim."},{"id":2,"translation":"Ndayidde Ekitabo ekinnyonnyofu."},{"id":3,"translation":"Mazima Ffe twagissa Kulaani nga eri mu Luwalabu oba olyawo ne mutegeera."},{"id":4,"translation":"Era mazima yo eri ku nsibuko y'ebitabo (Lauh Mahfuudh) ddala yo ya waggulu nnyo ejjudde amagezi."},{"id":5,"translation":"Abaffe tunaabaggyirako ddala okubuulirira olw'okuba muli abantu abasukka ekikomo (abatagoberera mateeka ga Katonda)?"},{"id":6,"translation":"Bannabbi baleka be twatuma mu baasooka?"},{"id":7,"translation":"Tewali Nnabbi yenna yabajjira okuggyako baamujeejanga."},{"id":8,"translation":"Olwo nno ne tuzikiriza abaamaanyi okusinga abo (abatakkiriza b'e Makkah) era ekyatuuka ku baakulembera kimanyiddwa (abalala bandikitutte nga ekyokuyiga)."},{"id":9,"translation":"Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi, ddala bajja kugamba nti yabitonda Nnantakubwakumukono Omumanyi ennyo."},{"id":10,"translation":"Oyo eyabateerawo ensi nga nnyanjuluze n'agibateeramu amakubo mulyoke mulunngame (mutuuke gye mulaga)."},{"id":11,"translation":"Era oyo assa okuva waggulu amazzi nga ga kigero (ekyetaagisa) ne tuzza buggya nago ekitundu ekifu (olwekyeya) bwemutyo bwe mulifulumizibwa (nga muzuukira)."},{"id":12,"translation":"Era Y'Oyo eyatonda emitindo ebiri ebiri gyonna era n'abateerawo amaato n’ebisolo eby'awaka ebyo bye mwebagala."},{"id":13,"translation":"Mube nga mutebenkera ku migongo gyabyo, oluvannyuma musiime ekyengera kya Mukama Omulabirizi Wammwe we mubituulirako, era mugambe nti, Musukkulumu Oyo eyatugondeza kino tetwandibadde bakisobola."},{"id":14,"translation":"Era mazima ddala ffe tuli ba kudda ewa Mukama Omulabirizi Waffe."},{"id":15,"translation":"Naye abatakkiriza bateeka ku Allah abamu ku baddube (nti nabo bakatonda), mazima omuntu muwakanyi omweyolefu."},{"id":16,"translation":"Oba mw'ebyo by'atonda mwe yasalawo okweggyira abawala ate mmwe n'asalawo okubawa abalenzi?!"},{"id":17,"translation":"So nga omu kubo bw'aba aweereddwa amawulire nti afunye omwana (omuwala) agwa mu kiti ky'abo be bapaatiika ku Katonda ekyenyi kye kisiiba kifumye era nga naye munyiikaavu."},{"id":18,"translation":"Abaffe oyo (omuwala,) akuzibwa nga ali mu bya kwenyiriza, era nga yye mu kunnyonnyola taba na nsonga nywevu (gwemuwa Katonda!)."},{"id":19,"translation":"Bamalayika abo, abaddu ba Allah Omusaasizi ne babafuula abakazi! abaffe baaliwo nga batondwa? Obujulizi bwabwe (bwe beepampalika okuwa) bujja kuwandiikibwa era bagenda kubuuzibwa."},{"id":20,"translation":"Era bagamba nti singa Allah Omusaasizi ennyo yayagala tetwandibasinzizza. Ekyo tebakirinaako kumanya kwonna, tebali (mu kukola ekyo) okuggyako bateebereza buteebereza."},{"id":21,"translation":"Abaffe twabawa ekitabo olubereberye lwa kino balyoke babe nga kye beekwatako?"},{"id":22,"translation":"Wabula baagamba nti mazima ffe twasanga bakadde baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli mu buwufu bwabwe mwe tulunngamira."},{"id":23,"translation":"Nabwekityo tetwatuma luberyeberye lwo mu kitundu kyonna mutiisa okuggyako nga babinojjo baamu baagamba nti mazima ffe twasanga bakadde baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe tugoberera."},{"id":24,"translation":"Omubaka waabwe kwe kugamba nti (kiba bwekityo) newaakubadde nga mbaleetedde ekirunngamu okusinga ekyo kye mwasangako bakadde bammwe? Ne bagamba nti mazima ffe, tuwakanya ekyo kye mutumiddwa nakyo."},{"id":25,"translation":"Olwo nno ne tubabonereza, kale tunuulira enkomerero y'abalimbisa bwe yali."},{"id":26,"translation":"Jjukira Ibraahiimu bwe yagamba kitaawe n’abantu be, nti mazima nze nneegaanye ebyo bye musinza."},{"id":27,"translation":"Okuggyako (okusinza) oyo eyantonda anti mazima Yye y'ajja okunnunngamya."},{"id":28,"translation":"(Ibraahiimu)yakiteekawo nga kigambo eky'okusigalawo oluvannyuma lwe, balyoke babe nga badda (eri okwawula Katonda)."},{"id":29,"translation":"Wabula nnawa abo ne bakadde baabwe okweyagalira mu bulamu bwensi, okutuusiza ddala nga amazima gabajjidde (Kulaani) n’Omubaka annyonnyola (amazima ago)."},{"id":30,"translation":"Naye nno amazima bwe gaamala okubajjira ne bagamba nti lino ddogo, era mazima ffe tuliwakanya."},{"id":31,"translation":"Era ne bagamba nti singa Kulaani eno essiddwa ku musajja oweekitiibwa ng'ava mu kimu ku bitundu ebibiri."},{"id":32,"translation":"Abaffe bo be bagabanya okusaasira kwa Katonda Wo, (obwannabbi nga bwe baagala)? Ffe tubagabanyiza ebibabeezaawo mu bulamu bw'ensi, ne tusukkulumya abamu ku balala mu madaala, abamu balyoke bafuule bannaabwe abaweereza, wabula okusaasira kwa Katonda Wo kwe kusinga obulungi kw'ebyo byonna bye bakunngaanya."},{"id":33,"translation":"Singa sikuba nti abantu bonna bajja kufuuka ekibiina kimu (eky'obukaafiiri), buli eyandibadde awakanya Katonda Omusaasizi ennyo twalitadde ku mayumba gaabwe obusolya nga bwa ffeeza ne ku madaala ge balinnyirako (boonoonekere ddala)."},{"id":34,"translation":"Ne ku nnyumba zaabwe twanditaddeko emiryango ne ku bitanda bye bawummulirako (na kwo twanditaddeko ffeeza)."},{"id":35,"translation":"Era (twandibawadde) ebyokwewunda nga bya zzaabu, ebyo byonna nga bya kweyagala kwa bulamu obw'ensi, so nga Enkomerero ewa Mukama Omulabirizi Wo, y'abo abatya Katonda."},{"id":36,"translation":"(N'oyo yenna eyeesulubabba Ebigambo bya Katonda (Kulaani) tumuwendulira Sitaane olwo nno n'eba nga ye mukwano gwe."},{"id":37,"translation":"Era mazima bo bannaabwe (ba Sitaane) ddala babaziyiza okutuuka ku kkubo (eggolokofu) ate mazima bo ne basuubira nti balunngamu."},{"id":38,"translation":"Okutuusa (omuntu oyo eyeesulubabba) lw'alijja Gyetuli, aligamba nti nga ndabye, singa wakati wange naawe waliwo ebbanga eryenkana ne wakati w'ebuvanjuba n'ebugwanjuba, agenda kuba munywanyi mubi!."},{"id":39,"translation":"Mazima mmwe eky'okuba nti mwegattidde mu bibonerezo tekijja kubagasa olwaleero okuva lwe mweyisa obubi mwekka."},{"id":40,"translation":"Abaffe ggwe (Muhammadi) osobola okuwuliza kiggala oba okulaga muzibe ekkubo n'oyo ali mu bubuze obweyolefu?"},{"id":41,"translation":"Singa tukuggyawo (n'ofa nga tetunnaba kubonereza bajeemu abo) mazima abatakkiriza tuba ba kubabonereza."},{"id":42,"translation":"Oba tulikulaga ekyo kye twa balaganyisa anti mazima ffe tusobola."},{"id":43,"translation":"Kale weekwate kw'ekyo ekikuweebwa (Kulaani) anti mazima ggwe oli ku kkubo eggolokofu."},{"id":44,"translation":"Era mazima yyo (Kulaani) kitiibwa gy'oli ne eri abantu bo era lumu mugenda kubuuzibwa (ku ngeri gye mwagigobereramu)."},{"id":45,"translation":"Buuza abo be twatuma olubereberye lwo mu Babaka Baffe nti, abaffe twaleka Katonda Omusaasizi ennyo ne tuteekawo bukatonda obulala obusinzibwa?!"},{"id":46,"translation":"Mazima twatuma Musa n’obubonero Bwaffe nti genda eri Falaawo n'abakungu be, olwo nno n'abagamba nti: mazima nze ndi Mubaka w'Omulabirizi W’ebitonde."},{"id":47,"translation":"Wabula bwe yabajjira n’obubonero Bwaffe wagenda okulaba nga babusekerera."},{"id":48,"translation":"Tetwabalaga kabonero konna okuggyako nga ko kaba kanene okusinga kannaako (wabula era tebakkiriza) ne tubatuusaako ebibonerezo oba olyawo ne beddako (okuva ku kye babaddeko)."},{"id":49,"translation":"(Bwe baalaba ebibonerezo) olwo nno ne bagamba nti owange ggwe omulogo, tusabire Mukama Omulabirizi Wo nga okozesa ebyo bye yakuwa (ebisabisibwa) mazima ffe ddala tujja kulunngama."},{"id":50,"translation":"Bwe twabaggyako ebibonerezo amangu ago bo ne bamenya endagaano."},{"id":51,"translation":"Falaawo n'alangirira mu bantu be n'agamba nti: abange bantu bange obufuzi bwa Misiri si bwange, nga na gino emigga gikulukutira wansi wange abaffe temulaba?!"},{"id":52,"translation":"Wabula nze nsinga ono (Musa) oyo anyomwa, era nga kumpi tasobola na kunnyonnyola (nsonga) yonna."},{"id":53,"translation":"Singa yanaanikibwa ebikomo ebya zaabu oba Bamalayika ne bajja naye nga bamuwerekera (olwo nno) twanditegedde nti Mubaka wa Katonda."},{"id":54,"translation":"(Falaawo) bw'atyo bwe yazannyira ku bwongo bwa abantu be, olwo nno ne bamugondera era mazima bo ne baba abantu aboonoonyi."},{"id":55,"translation":"Bwe baamala okutunyiiza twababonereza ne tubazikiriza n’amazzi bonna."},{"id":56,"translation":"Ne tubafuula abaayita aboogerwako era ne tubafuula eky'okulabirako eri ab'oluvanyuma."},{"id":57,"translation":"Mutabani wa Mariamu (Yisa) bwe yakubirwako ekifaananyi, ogenda okulaba nga abantu bo kibawogganya (olw'essanyu)."},{"id":58,"translation":"Ne bagamba nti abaffe bakatonda baffe be basinga oba yye, tebaakukubira kifaananyi ekyo okuggyako lwa kuwalaaza mpaka, nedda (si ekyo kyokka kye bawakanya) bulijjo bo bantu bawakanyi."},{"id":59,"translation":"(Yisa tali) okuggyako okuba nti muddu Waffe nga abalala, twamugabira ekyengera (obwannabbi) era ne tumufuula ekyokulabirako eri abaaana ba Yisirayiri."},{"id":60,"translation":"Singa twayagala abamu mu mmwe twandibafudde Bamalayika nga basikiragana mu nsi."},{"id":61,"translation":"Era mazima yye (Yisa) kabonero akaliranga okusembera kw'Olunaku lw'Enkomerero, n'olwekyo temukibuusabusaamu n'akamu era mungoberere, lino ly'ekkubo eggolokofu."},{"id":62,"translation":"Era Sitaane tabawugula ku kkubo eggolokofu anti mazima yye ku mmwe mulabe ow'olwatu."},{"id":63,"translation":"(Nnabbi) Isa bwe yajja n'obunnyonnyofu yagamba nti mazima mbajjidde n'ebigambo eby'amagezi era mbannyonnyole ebimu kw'ebyo bye muwakanamu kale mutye Allah era munngondere."},{"id":64,"translation":"Mazima Allah Ye Mukama Omulabirizi Wange era Mukama Omulabirizi Wammwe, kale mumusinze lino lye kkubo eggolokofu."},{"id":65,"translation":"Wabula ebibiina byayawukana nga biva mu bo bennyini (ku nsonga ya Yisa) kale okubonaabona okw'ebibonerezo by'Olunaku oluzito kugenda kubeera kw'abo abeeyisa obubi."},{"id":66,"translation":"Abaffe (balina kye) balindirira okuggyako Enkomerero okuba nga ebatuukako ekibwatukira nga nabo tebamanyi."},{"id":67,"translation":"Aboomukwano ku Lunaku olwo, abamu baliba balabe ba bannaabwe okuggyako abatya Katonda."},{"id":68,"translation":"(Era Katonda alirangirira nti) abange baddu bange, temujja kubaako kutya olwaleero era mmwe temuli ba kunakuwala."},{"id":69,"translation":"Abo abakkiriza ebigambo byaffe era ne baba abeewaayo Gyetuli (Abasiraamu)."},{"id":70,"translation":"Muyingire Ejjana ne bakkiriza bannammwe nga musanyusibwa."},{"id":71,"translation":"Essowani eza zaabu n’a magiraasi biryetoolooozebwa mu bo, era (Ejjana) eribaamu buli kintu emyoyo gye kyagala, era ekiwoomera amaaso, era nga mmwe muli ba kutuula bugenderevu mu yo."},{"id":72,"translation":"Era eyo Ejjana, eyo gye musikiziddwa olw'ebyo bye mwakolanha (ku nsi)."},{"id":73,"translation":"Mulina mu yo ebibala bingi nga ku byo kwe mulya."},{"id":74,"translation":"Mazima aboonoonyi ba kutuula bugenderevu mu bibonerezo by'Omuliro Jahannama."},{"id":75,"translation":"Tegugenda kukendeezebwa ku bo, era nga tebalina na ssuubi lyonna lya kuguvaamu."},{"id":76,"translation":"Tetwabayisa bubi naye bo be baali beeyisa obubi."},{"id":77,"translation":"(Abaliba mu Muliro) balikoowoola nti owange Maaliki (Malayika akuuma Omuliro, tusaba nti) Mukama Omulabirizi Wo atutte (tufe), alibagamba nti mazima mmwe muli ba kugubeeramu (awatali kufa oba okuguvaamu)."},{"id":78,"translation":"Mazima twabaleetera amazima naye abasinga obungi mu mmwe baatamwanga amazima."},{"id":79,"translation":"Bwe baba nga baasalawo ekigambo (eky'okukolera Muhammadi enkwe) naffe twasalawo (okuba nti tezigenda kuyitamu)."},{"id":80,"translation":"Oba balowooza nti mazima ffe tetuwulira ebyo bye balowooza mu mitima gyabwe oba bye bakubaganyaako ebirowoozo, nedda (tetukoma ku kubimanya bumanya, wabula we babikolera) n'abatumwa baffe baba mu maaso gaabwe nga bawandiika."},{"id":81,"translation":"Gamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo aba alina omwana olwo nno nze mbeera omusaale mu bamusinza."},{"id":82,"translation":"Mukama Omulabirizi W'eggulu omusanvu n'ensi (era) Omulabirizi wa Arishi, Musukkulumu nnyo kw'ebyo bye bamujwetekako."},{"id":83,"translation":"Kale baleke balimbe era bazannye okutuusa lwe balisisinkanyizibwa Olunaku lwabwe lwe balagaanyisibwa."},{"id":84,"translation":"Anti Yye Ye Katonda asinzibwa mu ggulu, era ye Katonda asinzibwa ne mu nsi. Era Yye Ye Mugobansonga Omumanyi ennyo."},{"id":85,"translation":"Era yayawukana Oyo, byonna bibye ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, era Yye Yekka y'alina okumanya ebikwata ku Lunaku lw'Enkomerero (ekiseera kya lwo) era Gy'ali gye mulizzibwa."},{"id":86,"translation":"Abo be basinza ne bava ku Ye tebalisobola kuwolereza, beppo oyo aliwa obujulizi mu mazima (y'aliyogera) ate era bo ne baba nga baliba bamanyi amazima."},{"id":87,"translation":"Singa obabuuza nti ani yabatonda? Ddala bajja kugamba nti Allah, kale ate bawugulwa batya!."},{"id":88,"translation":"(Katonda amanyi) ekigambo kye (Muhammad kyayogera olutata nga awanjagira Katonda nti) ayi Mukama Omulabirizi wange mazima abo (be nkowoola) bantu abatakkiriza."},{"id":89,"translation":"Kale nno baleke era ogambe nti mirembe kya ddaaki balimanya."}]},{"id":44,"verses":[{"id":1,"translation":"Haa Miim."},{"id":2,"translation":"Ndayidde Ekitabo ekinnyonnyofu."},{"id":3,"translation":"Mazima Ffe twakissa mu kiro eky'omukisa (anti) mazima Ffe twali tulina okutiisa (abantu)."},{"id":4,"translation":"Mu kyo (ekiro) buli kigambo ekiba kisaliddwawo mwe kigerekerwa."},{"id":5,"translation":"Nga kwo kusalawo okuva Gyetuli (anti) mazima Ffe twali tuteekwa okutuma Ababaka."},{"id":6,"translation":"(Eky'okutuma Ababaka) kusaasira okuva ewa Mukama Omulabirizi Wo (anti) mazima Yye y'awulira ennyo amanyi ennyo."},{"id":7,"translation":"(Yye Katonda) Ye Mukama Omulabirizi W'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, bwe muba muli Bakkiriza abannamaddala."},{"id":8,"translation":"Tewali kirina kusinzibwa okuggyako Yye, awa obulamu era y'abuggyawo. Mukama Omulabirizi Wammwe era Omulabirizi Wa bakadde bammwe abaasooka."},{"id":9,"translation":"Wabula bo (abatakkiriza) bali mu kubuusabuusa, bazannya."},{"id":10,"translation":"Kale lindirira olunaku eggulu lweririreeta omukka omweyolefu (ogulabwa buli omu)."},{"id":11,"translation":"Gugenda kubikka abantu, ekyo kiriba kibonerezo ekirumya ennyo."},{"id":12,"translation":"(Baligamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tugyeko ekibonerezo, mazima ffe tukkirizza."},{"id":13,"translation":"Naye wa gye baliggya okujjukira (batuuke okwebuulirira) ate nga mazima Omubaka annyonnyola obulungi yabajjira."},{"id":14,"translation":"Oluvannnyuma ate ne bamuvaako, era ne bagamba nti (Muhammadi) ayigirizibwa buyigirizibwa era mulalu."},{"id":15,"translation":"Mazima Ffe tumanyi tujja kuggyawo ekibonerezo katono (wabula) mazima mmwe mujja kuddayo (mu butakkiriza bwammwe)."},{"id":16,"translation":"(Wabula bajjukize) Olunaku lwe tulikwata olukwata olwamaanyi (anti) mazima ffe tuli ba kubonereza."},{"id":17,"translation":"Era mazima twagezesa olubereberye lwabwe abantu ba Falaawo, era nga Omubaka Oweekitiibwa yabajjira."},{"id":18,"translation":"(N'agamba nti) munzirize abaddu ba Allah (anti) mazima nze ndi Mubaka omwesigwa."},{"id":19,"translation":"Era (ekyokubiri) mu be nga temwekuluntaliza ku Katonda, mazima nze mbaleetedde obujulizi obw'olwatu."},{"id":20,"translation":"Era mazima nze nsaba obukuumi ewa Mukama Omulabirizi Wange era Mukama Omulabirizi Wammwe muleme kunkuba mayinja."},{"id":21,"translation":"Bwe munaaba temukkiriza bye nngamba kale mundeke (temuntusaako kabi)."},{"id":22,"translation":"(Wabula baamukijjanya) olwo nno n'akoowoola Mukama Omulabirizi We nti mazima abo bantu boonoonyi."},{"id":23,"translation":"(Katonda n'amulagira nti) tambula ekiro n'abaddu bange anti mazima mmwe mujja kuwonderwa."},{"id":24,"translation":"(Bw'omala okusomoka ggwe ne b'oli nabo) ennyanja gireke nga erimu ekkubo (anti) mazima bo, ggye lya kuzikirizibwa."},{"id":25,"translation":"Amalimiro n'ensulo z’amazzi bimeka bye baaleka?."},{"id":26,"translation":"N’ebimera, n’ebifo eby'ekitiibwa."},{"id":27,"translation":"N'ebyengera ebirala bingi bye baali beeyagaliramu."},{"id":28,"translation":"Bwekityo (bwekyali nebaggwawo) netubisikiza abantu abalala."},{"id":29,"translation":"Eggulu n'ensi tebyabakaabira era tebaali ba kulindirizibwa (nti baweebwe akaseera beenenye)."},{"id":30,"translation":"Ddala twawonya abaana ba Yisirayiri ebibonyoobonyo ebinyoomesa."},{"id":31,"translation":"(Bwe twabawonya) Falaawo anti mazima yye yali mwekuza era nga wa mu boonoonyi ennyo."},{"id":32,"translation":"Okusinziira ku kumanya (Kwaffe) twabasukkulumya (abaana ba Yisirayiri) ku bitonde ebirala."},{"id":33,"translation":"Era ne tubawa ebyamagero ebyo ebyalimu okugesezebwa okw'olwatu."},{"id":34,"translation":"Mazima abo (abatakkiriza b'e Makkah) ddala bagamba nti."},{"id":35,"translation":"Tewali kiriwo okuggyako okufa kwaffe okusooka, era tetuli ba kuzuukizibwa."},{"id":36,"translation":"(Okuzuukira bwe kuba nga gyekuli) kale muleete bakadde baffe bwe muba nga mwogera mazima."},{"id":37,"translation":"Abaffe bo be basinga obulungi oba abantu ba Tubbai (bantu be Saba-a abafuzi be Yamani) n'abo abaaliwo olubereberye lwabwe (bonna) twabazikiriza (anti) mazima bo baali bonoonyi."},{"id":38,"translation":"Tetwatonda ggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi nga tuzannya."},{"id":39,"translation":"Era tetwabitonda byombi wabula ku lwa nsonga, naye ddala abasinga obungi ku bo tebamanyi."},{"id":40,"translation":"Mazima olunaku lwokusalawo bonna kye kiseera kyabwe ekyabalagaanyisibwa."},{"id":41,"translation":"Olunaku ow'omukwano lw'ataligasa wa mukwano kintu kyonna, era bo tebagenda kudduukirirwa."},{"id":42,"translation":"Okuggyako oyo Allah gw'alisaasira anti mazima Yye Allah Ye Nnantakubwakumukono Omusaasizi ennyo."},{"id":43,"translation":"Mazima omuti (oguyitibwa) Zakkuumi."},{"id":44,"translation":"Mmere y'aboonoonyi."},{"id":45,"translation":"(Obubi bwagwo ng’omuntu agulidde) guli nga ekyuma ekisaanuuse, gulyeserera mu mbuto (z’abaligulya)."},{"id":46,"translation":"Nga okwesera kw'amazzi agakyamuse."},{"id":47,"translation":"(Olwo nno Katonda aliragira Bamalayika nti) mumukwate (omwonoonyi) olwo nno mumuwalule mu mukasuke mu makkati g’Omuliro Jahiimu."},{"id":48,"translation":"Oluvannyuma mufukirire waggulu ku mutwe gwe ekibonerezo eky’amazzi ageeseze (agoogeddwako)."},{"id":49,"translation":"(Balimugamba) nti: loza (ku kibonerezo anti) mazima ddala ggwe ggwe Waamaanyi Oweekitiibwa (nga bamukudaalira)."},{"id":50,"translation":"Mazima kino ky'ekyo kye mwali mutankana."},{"id":51,"translation":"Mazima abatya Allah baliba mu kifo eky'eddembe."},{"id":52,"translation":"Baliba mu malimiro n’amazzi ag'ensulo."},{"id":53,"translation":"Balyambala engoye eza liiri omuwewufu n’omuzito, nga batudde batunuuliganye."},{"id":54,"translation":"Bwekityo (bwe kiriba) era tulibafumbiza ababeezi ab’amaaso amanene."},{"id":55,"translation":"Balisaba nga bali mu yo buli kibala nga bali mirembe."},{"id":56,"translation":"Nga bali mu yo tebalikomba ku kufa nga ogyeko okufa okwasooka, era ali bawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu."},{"id":57,"translation":"(Byonna) nga bigabwa ebiva ewa Mukama Omulabirizi Wo, okwo kwe kwesiima okusuffu."},{"id":58,"translation":"Era ddala twagyanguya (Kulaani) ku lulimi lwo babe nga beebuulirira (nayo)."},{"id":59,"translation":"Kale lindirira mazima ddala bo balindiridde."}]},{"id":45,"verses":[{"id":1,"translation":"Haa Miim."},{"id":2,"translation":"Okussa Ekitabo kino (Kulaani) kuva ewa Allah Nnantakubwakumukono, Mugobansonga."},{"id":3,"translation":"Mazima mu (ggulu omusanvu n'ensi mulimu obubonero obwenkukunala (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri Abakkiriza."},{"id":4,"translation":"Era ne mu kutondebwa kwammwe, n'ebyo by'asaasaanya mu bitambulira (ku nsi) bubonero eri abantu abakakasa (okubeerawo kwa Katonda n’obuyinza Bwe)."},{"id":5,"translation":"N’okwawukana kw'ekiro n’emisana n'ebyo Allah by'assa okuva waggulu (enkuba) mu bigabwa Bye n'alamusa nabyo ensi oluvannyuma lw'okufa kwayo, n'okutambuza empewo, bubonero eri abantu abategeera."},{"id":6,"translation":"Ebigambo bya Allah ebyo (ebiraga obubonero Bwe) tubikusomera mu butuufu, olwo bigambo ki oluvannyuma lw'okuwakanya Allah n’ebigambo Bye bye balikkiriza?!"},{"id":7,"translation":"Okubonaabona kuli ku buli omuyitirivu w’okulimba omwonoonyi."},{"id":8,"translation":"Awulira Ebigambo bya Allah nga bimusomerwa oluvannyuma n'aakalambira nga yeekuluntaza n'aba ng'atabiwulidde, kale musanyuse nga (omuwa amawulire) g’ebibonerezo ebirumya ennyo."},{"id":9,"translation":"Bw'amanya ekintu kyonna mu Bigambo Byaffe akifuula kya kujeeja, abo balina Ebibonerezo ebinyoomesa."},{"id":10,"translation":"Mu maaso gaabwe Omuliro Jahannama gubalinze era bye bakola tebigenda kubagasa kintu kyonna wadde ab’emikwano be beeteerawo ne bava ku Allah era balina Ebibonerezo ebisuffu."},{"id":11,"translation":"(Kulaani) eno, kyakulunngamya. Naye abo abawakanya Ebigambo bya Mukama Omulabirizi Waabwe balina Ebibonerezo ebimu kw'ebyo ebikambwe ebirumya ennyo."},{"id":12,"translation":"Allah Y'Oyo eyabagondeza ennyanja, amaato gabe nga gatambulirako olw'Ekiragiro Kye, era mube nga musobola okunoonya mu bigabwa Bye, era musobole okwebaza."},{"id":13,"translation":"Era yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, nga byonna biva Gy'ali. Mazima mw'ekyo mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Allah n’Obuyinza Bwe) eri abantu abafumiitiriza."},{"id":14,"translation":"Gamba abo abakkiriza basonyiwe abo abatasuubira (kusisinkana) nnaku za Allah, alyoke asasule abantu olw'ebyo bye baakolanga."},{"id":15,"translation":"Oyo akola emirimu emirungi akolera mwoyo gwe, ate oyo ayonoona (akabi k'okwonoona kwe) kadda eri mwoyo gwe, oluvanyuma eri Mukama Omulabirizi Wammwe gye mulizzibwa."},{"id":16,"translation":"Mazima twawa abaana ba Yisirayiri Ekitabo n’okulamula wakati w'abantu n’obwannabbi ne tubagabirira ebirungi era nebtubasukkulumya ku bantu abalala (abaaliwo ku mulembe gwabwe)."},{"id":17,"translation":"Era twabawa obunnyonnyofu bw'ekigambo (ekikwata ku kutumwa kwa Nnabbi Muhammadi) era tebaayawukana okuggyako luvannyuma lwa kumanya kubajjira (nga ekyo baakikola) olw'obukyayi obwali wakati waabwe, mazima Mukama Omulabirizi Wo agenda kulamula wakati waabwe ku Lunaku lw’Enkomerero mw'ebyo bye baayawukanangamu."},{"id":18,"translation":"Oluvannyuma twakussa (ggwe Muhammadi) ku nkola ennambulukufu ku kigambo (ky'eddiini) kale gigoberere, naye togoberera okwagala kw'abo abatamanyi."},{"id":19,"translation":"Anti mazima bo tebayinza kukuyamba kintu kyonna kukutaasa Allah, era mazima abeeyisa obubi abamu mu bo banywanyi ba bannaabwe, naye Allah Ye Munywanyi w'abamutya."},{"id":20,"translation":"Eno (Kulaani) kitangala eri abantu, era bulunngamu na kusaasira eri abantu abatya Katonda abannamaddala."},{"id":21,"translation":"Abaffe oba abo abeewerebye ebibi basuubira nti tuyinza okubafuula nga abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nga obulamu bwabwe n’okufa kwabwe bifaanana (nedda) okulamula kwabwe kubi."},{"id":22,"translation":"Era Allah yakola eggulu n'ensi mu butuufu, buli mwoyo gulyoke gube nga gusasulwa olw'ebyo bye gwakola era bo si bakulyazaamaanyizibwa."},{"id":23,"translation":"Abaffe olabye oyo okwagala Kwe nga kw'afuula Katonda We, Allah n'amubuza awamu n’okuba nti (omuntu oyo) amanyi ekituufu era (Allah) n'azibikira amatu ge n'omutima gwe, era n'assa ku maaso ge ekibikka, olwo nno ate ani ayinza okumulunngamya oluvannyuma lwa Allah (okumutusa awo), abaffe temwebuulirira?!"},{"id":24,"translation":"Era (abatakkiriza) bagamba nti (obulamu) teri bulala okuggyako obulamu bwaffe obw'okunsi, tufa era ne tuba balamu, tewali kituggya mu bulamu okuggyako myaka (gya muntu) kuggwaako, naye nga tebalina kumanya kwonna ku kikwatako, tebali bo okuggyako bateebereza buteebereza."},{"id":25,"translation":"Ebigambo Byaffe bwe bibasomerwa mu bunnyonnyofu (bwabyo), ekyekwaso kyabwe tekiba okuggyako bagamba (bw'eba nga eriyo okuzuukira kale) mukomyewo bakadde baffe (abaafa) bwe muba mwogera mazima."},{"id":26,"translation":"Bagambe (ggwe Nabbi Muhammadi) nti Allah y'abawa obulamu oluvanyuma n'abatta ate oluvannyuma agenda kubakunngaanya nga abatwala eri Olunaku lw’Enkomerero, teruliimu kubuusabuusa naye abantu abasinga obungi tebamanyi."},{"id":27,"translation":"Bwa Allah Yekka obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi, era Bubwe olunaku Enkomerero lw'eriyimirirawo, Olunaku olwo aboonoonyi balifaafaaganirwa."},{"id":28,"translation":"(Kw'olwo) oliraba buli kibiina nga kifukamidde (olw'okutya). Buli kibiina kiriyitibwa okugenda awali ekitabo kya kyo (ekyo ekirimu emirimu gyabwe era baligambibwa nti) olwaleero muli ba kusasulwa ebyo bye mwali mukola."},{"id":29,"translation":"(Era baligambibwa nti) ekitabo kyaffe kino kiboogerako mu mazima (anti) mazima ffe twawandikanga buli kye mwakolanga."},{"id":30,"translation":"Olwo nno abaakola emirimu emirongoofu Mukama omulabirizi waabwe alibayingiza mu kusaasira Kwe, okwo nno kwe kwesiima okweyolefu."},{"id":31,"translation":"Ate abo abaagaana okukkiriza (Allah alibagamba nti) abaffe ebigambo Byange tebyabasomerwa ne mwekuluntaza ne mubeera abantu aboonoony?!"},{"id":32,"translation":"Era bwe mwagambibwanga nti ddala Endagaano ya Allah ya mazima era nti Olunaku lw'Enkomerero teluliimu kubuusabuusa, mwagambanga nti Enkomerero tetumanyi kye ki (ebigikwatako) tuwammanta biwammante, era ffe tetugirinaako bukakafu."},{"id":33,"translation":"Awo obubi bw'ebyo bye baakola buli beeyoleka era ebibonerezo by'ebyo bye baali bajeeja biribakakatako."},{"id":34,"translation":"Era baligambibwa nti olwaleero tubeerabidde nga bwe mwerabira okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, Omuliro bwe buddo bwammwe era temugenda kufuna badduukirize."},{"id":35,"translation":"Ekyo nno mmwe (ekikibatuusaako) lwakuba nti mazima mmwe Ebigambo bya Allah mwabifuula bya kujeeja era obulamu bw'ensi ne bubagayaaza, n’olwekyo olwaleero si baakugujjibwamu (Omuliro) era tebagenda kugambibwa kwetonda."},{"id":36,"translation":"Ebitendo byonna bya Allah Mukama omulabirizi W'eggulu omusanvu, era Mukama Omulabirizi W'ensi, Mukama Omulabirizi W’ebitonde byonna."},{"id":37,"translation":"Ebitiibwa byonna mu ggulu omusanvu ne mu nsi bibye Yekka, era Yye, Ye Nnantakubwakumukono Mugobansonga."}]},{"id":46,"verses":[{"id":1,"translation":"Haa Miim."},{"id":2,"translation":"Okussa ekitabo kino (Kur’ani) kuva ewa Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga."},{"id":3,"translation":"Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi wabula mu butuufu (nga bwe kisaana okuba nga ddala Katonda yaabikoze), era nga byakubeerawo okumala ekiseera ekigere, wabula bo abakaafuwala besamba ebyo bye batiisibwa (bye babulirirwa) nabyo."},{"id":4,"translation":"Bagambe nti mulaba ebyo bye musaba nemuleka Allah, kale mundage biki bye baatonda ku nsi oba balina omugabo (gw'okutonda) ebyo ebiri mu ggulu omusanvu (bwe kiba bwe kityo) kale mundeetereyo ekitabo ekyaliwo olubereberye lwa kino (Kulaani), oba ebisigala bya yirimu yonna bwe muba nga mwogera mazima!."},{"id":5,"translation":"Ani mubuze okusinga oyo alekawo Allah n'asaba ekyo ekitasobola kumwanukula okutuusa ku lunaku lw’enkomerero! nga nabyo (bye basaba) tebirina kye bimanyi ku kusaba kwabwe."},{"id":6,"translation":"Ng’ate abantu bwe balikunganyizibwa (be baasaba nga) bagenda kuba balabe baabwe era bagenda kwewakana okuba nti ba basinzanga."},{"id":7,"translation":"Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu, abo abawakanya amazima bwe gabajjira bagamba nti lino ddogo lyeyolefu."},{"id":8,"translation":"Oba bagamba nti Nabbi Muhammadi ye yajigunjaawo (Kulaani)! bagambe nti bwemba najigunjaawo temulina kintu kye muyinza kumponya ku Katonda, yye yaasinga okumanya bye muwolompokamu. Ye amala okuba nga mujulizi wakati wange nammwe era yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo."},{"id":9,"translation":"Bagambe nti si nze nsoose mu babaka era simanyi Allah kyanantuusaako, wadde kyanantuusaako, sirina kyengoberera okugyako obubaka obumpebwa era siri nze okugyako omutiisa ow'olwatu."},{"id":10,"translation":"Bagambe nti abaffe mulaba nti singa (Kulaani) eva wa Allah ate mmwe nemugiwakanya, naye nga omujulizi mu baana ba Israil yajulira ku kiringa yo (nti kiva wa Katonda) olwo nno yye) nakkiriza ate mmwe ne mwekuluntaza (olwo mu mbeera eyo kiba kitya), mazima bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi."},{"id":11,"translation":"Abo abaakafuwala nebagamba abo abakkiriza nti (Muhammadi byagamba) singa bibadde birungi (abo) tebanditusoose kugenda gyebiri, naye olwokuba tebalungama nayo, bajja kugamba nti Kulaaani kugunja okwedda."},{"id":12,"translation":"Nga nolubereberye lwayo (waliyo) ekitabo kya Musa nga kyagobererwa nga kya kusaasira n'ekitabo kino (Kulaani kyajja nga) kikakasa (ebyakulembera) nga kiri mu lulimi luwarabu, kibe nga kirabula abo abeeyisa obubi era nga kya kusanyusa eri abalongoosa."},{"id":13,"translation":"Mazima abo abagamba nti Mukama omulabirizi waffe katonda ye ِAllah, oluvanyuma ne babeera beesimbu (mu ddiini) tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala."},{"id":14,"translation":"Abo be ba nannyini jjana, ba kugituulamu obugenderevu nga yempeera olwebyo bye baali bakola."},{"id":15,"translation":"Omuntu twamulagira okuyisa obulungi bakaddebe, nnyina yamwetikka (yali lubuto lwe) mu buzibu era namuzaala mu buzibu, nga olubuto lwe (n'okumuyonsa) n'okumujja ku mabeere emyezi makumi asatu, okutuusa lwatuuka okukakata kwe naaweza emyaka amakumi ana (omuntu mulamu) agamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsobozesa okwebaza ebyengera byo ebyo bye wangabira ,ne bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola emirimu emirongoofu gy'osiima, era nongooseza ezzadde lyange mazima nze nenenyezza nenzira gy'oli era mazima nze ndi mu basiraamu."},{"id":16,"translation":"Abo beebo betukkiriza okuva gye bali ebirungi ebyo bye baakola era netusonyiwa ebisobyo byabwe (era ba mu bantu) ba mu jjana (era eyo) ye ndagaano eyamazima gye baali baalaganyisibwa."},{"id":17,"translation":"Nooyo yenna agamba bakadde be nti mutwale eri, muntiisatiisa nti nja kuzuukizibwa, so ng’ate emirembe mingi egiyiseewo oluberyeberye lwange (ani yali azuukidde), nga bakadde bombi basaba Katonda abayambe, era nga bamugamba (omwana) nti obula! (kyolina okukola) kkiriza, mazima endagaano ya Allah ya mazima. Olwo nno yye (omwana) agamba nti ebyo tebiri okugyako okuba enfumo za baakulembera."},{"id":18,"translation":"Abo nno beebo abaakakatwako ekigambo (ekyokubonerezebwa) mu bibiina ebyayita olubereberye lwabwe nga baava mu majinni ne mu bantu mazima bo be bafafaganirwa."},{"id":19,"translation":"Era buli omu alina amadaala okusinziira kw'ebyo bye bakola era ddala (Katonda) agenda kubawa empeera etuukana n'emirimu gyabwe era bo ssi ba kuyisibwa bubi."},{"id":20,"translation":"Era (mulowooze) ku lunaku abo abaakafuwala lwe balyanjulwa eri omuliro (baligambwa nti) ebirungi bya mmwe mwabimalira mu bulamu bwa mmwe obwensi, ne mweyagala nabyo, kale nno olwaleero mugenda kusasulwa ebibonerezo ebinyoomesa olwengeri gye mwaali mwekuluntazaamu mu nsi awatali nsonga ne ku lwebyo bye mwali mwonoona."},{"id":21,"translation":"Era bajjukize (ggwe Nabbi Muhammadi) muganda wa A’di (Hudu) bwe yalabula abantu be abaali mu bifo ebijjuddemu entuunu z'omusenyu (gyoli nti nsozi) era nga okulabula kungi okwayita olubereberye lwe n'oluvanyuma lwe, (nga ababaka bonna baali bagamba nti) temusinzanga okugyako Allah (era) mazima nze ntya okuba nga mutuukwako ebibonerezo by'olunaku oluzito."},{"id":22,"translation":"Nebagamba nti abaffe otujjidde otuwugule ku bisinzibwa byaffe! (bwekiba bwe kityo), kale tutuuseeko kyotulagaanyisa bw'oba nga oli mu boogera amazima."},{"id":23,"translation":"Naabagamba nti mazima okumanya (ddi? lwe kiribatuukako) kuli eri Katonda era (nze) mbatusaako ebyo bye natumwa nabyo, naye mazima nze mbalaba nga muli bantu abatamanyi."},{"id":24,"translation":"Naye bwe baakiraba nga (kire) ekyetimbye (ku ggulu), nga kyolekedde ensenyi zaabwe, baagamba nti ekyo ekire ekyetimbye kigenda kutuwa nkuba, wabula nedda kyo kyekyo kye mubadde musaba kibatuukeko mangu, kale nno (kyo) mpewo (kikungunta) erimu e bibonerezo e biruma ennyo."},{"id":25,"translation":"Ejja kuzikiriza buli kintu kyonna okusinziira ku kiragiro kya Mukama omulabirizi waayo, olwo nno nebatuuka okuba nga tewali kirabwa okugyako amayumba gaabwe, bwetutyo bwe tusasula abantu abonoonyi."},{"id":26,"translation":"Mazima twabawa obusobozi (abantu ba Huudu) kwebyo bye tutaabawa mmwe (abe Makkah) busobozi ku byo, era nga twabawa amatu n'amaaso n'emitima kyokka amatu gaabwe tegaabagasa kintu kyonna wadde amaaso gaabwe n'emitima gyabwe okuva lwe baali nga bawakanya ebigambo bya Katonda era nebibamalawo ebyo bye bajeejanga."},{"id":27,"translation":"Era mazima twazikiriza ebitundu ebyo ebibeetolodde, era netunyonyola ebigambo oba olyawo nebadda (nebaleka okukaafuwala)."},{"id":28,"translation":"Kale singa baabataasa abo abaaleka Allah ne beteerawo ebisinzibwa ebirala ebibasembeza ewa Katonda (ssi bwegwali) wabula baabula era (endowooza yaabwe) eyo kwali kutemerera kwabwe era nga byali ebyo bye bagunjaawo."},{"id":29,"translation":"Jjukira (gwe Nabbi) bwe twakuleetera ekibinja kya majinni negaba nga gawuliriza Kur’ani, bwe gaatuuka weyali esomerwa ne gagamba nti muwulirize, bwe yamala okusomwa ne gakyusa okudda eri gannaago nga gagalabula (akabi akali mu kujeemera Allah)."},{"id":30,"translation":"Negagamba nti abange bannaffe, mazima ffe tuwulidde ekitabo ekyassibwa oluvanyuma lwa Musa nga kikakasa ebyo ebya kikulembera (nga ddala) kirungamya eri amazima n'eri ekkubo eggolokofu."},{"id":31,"translation":"Abange bannaffe mwanukule omukowooze wa Allah, era mumukkirize (Allah), agya kubasonyiwa ebyonoono bya mmwe era abawonye ebibonerezo ebiruma ennyo."},{"id":32,"translation":"Oyo yenna atayanukula mukowooze wa Katonda siwakulemesa Katonda ku nsi, era talina nga oggyeko Katonda bakuumi (basobola kumuwonya) abo, bali mu bubuze obweyolefu."},{"id":33,"translation":"Abaffe mazima Allah, oyo eyatonda eggulu omusanvu ne nsi, era nga teyakoowa olwokubitonda tebalaba nti asoboleraddala okulamusa abafu! Wewaawo (asobolera ddala, anti) mazima yye muyinza ku buli kintu."},{"id":34,"translation":"Ate olunaku abo abakaafuwala lwe balireetebwa eri omuliro (baligambwa nti) abaffe kino ssi kya mazima!, baligamba nti wewaawo tulayidde Mukama omulabirizi waffe, (Katonda) aligamba nti kale mukombe ku bibonerezo olwebyo bye mwali muwakanya."},{"id":35,"translation":"N’olwekyo (gwe omubaka) gumikiriza nga ababaka abavumu bwe bagumukiriza era tobasabira bibonerezo ku batuukako mangu, naye olunaku lwe baliraba bye balaganyisibwa baliba nga abatawangaala okugyako akaseera katono mu budde obwemisana, (ebyo byonna ebibabuuliddwa) bubaka obutuusiddwa gye muli ate olwo balizikirizibwa okugyako abantu abonoonyi?."}]},{"id":47,"verses":[{"id":1,"translation":"Abo abaakafuwala nebaggya abantu ku kkubo lya Allah (Katonda) yayonoona emirimu gyabwe."},{"id":2,"translation":"Ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu era nebakkiriza ebyo ebyassibwa ku Muhammadi, era nga g’emazima agava ewa Mukama omulabirizi waabwe (abo Katonda) yabasangulako ebisobyo byabwe era naalongoosa embeera yaabwe."},{"id":3,"translation":"Ekyo kiri bwekityo lwakuba nti mazima bo abaakafuwala baagoberera ebitali bituufu, ate nga abo abakkiriza baagoberera amazima agava eri Mukama omulabirizi waabwe, bulijjo Katonda bwatyo akubira abantu ebifaananyi byabwe (bagerageranye)."},{"id":4,"translation":"Olwo bwe muba nga musisinkanye abo abaakafuwala (mu lutalo) muteme ensingo, okutuusiza ddala nga mubanafuyizza, munyweze empingu (zemusiba nazo abawambe) olwo nno kiri gyemuli okubata oluvanyuma (lwo kubawamba) oba okubakkiriza okwenunula, (ekyo mukikole bwemutyo) okutuusa olutalo lweruggwa. Ekyo bwekityo bwekiri, naye singa Katonda yayagala yandibewangulidde, wabula (ekimugaana okukola ekyo) lwakwagala kugezesa abamu mu mmwe ng'akozesa abalala. Era abo abattibwa nga bali mu kulwana mu kkubo lya Katonda, (Katonda) tagenda kwonoona mirimu gyabwe."},{"id":5,"translation":"Ajja kubalungamya era alongoose nembeera yaabwe."},{"id":6,"translation":"Era abayingize e jjana gyeyabategeeza edda."},{"id":7,"translation":"Abange mmwe abakkiriza singa mutaasa Katonda, ajja kubataasa, era anyweze ebigere byammwe (abagumye)."},{"id":8,"translation":"N'abo abaakafuwala okuzikirira kube ku bo, era Katonda yayonoona emirimu gyabwe."},{"id":9,"translation":"Ekyo lwakuba nti mazima bo bakyawa ebyo Katonda byeyassa, olwo nno nayonoona emirimu gyabwe."},{"id":10,"translation":"Abaffe tebatambula mu nsi, olwo nno ne balaba nga bweyali enkomerero yaabo abaaliwo olubereberye lwabwe, (anti) Katonda yabazikiriza. Era abo abaakafuwala ba kutuukwako ekiringa ekyo."},{"id":11,"translation":"Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda ye Mukuumi wa bakkiriza era nga ddala abawakanya Allah tebalina mukuumi."},{"id":12,"translation":"Mazima Katonda ajja kuyingiza abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu e jjana. Ezikulukutira wansi waazo emigga, ate abo abaakafuwala ne beeyagalira (mu bulamu bw'okunsi) era ne balya ng'ensolo bwezirya, kale omuliro bwe buddo bwabwe."},{"id":13,"translation":"Era ebitundu bimeka nga byo byali byamaanyi okusinga ekitundu kyo (Makkah)? ekyo ekyakugoba, abantu be bitundu ebyo twabazikiriza newataba abadduukirira."},{"id":14,"translation":"Abaffe oyo aba ali ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi we ayinza okuba ng'oyo emirimu gye emibi egyamulabisibwa okuba nti mirungi!, era (abantu abo) nebagoberera okwagala kwabwe."},{"id":15,"translation":"(Abaffe) endabika ye jjana eyo abatya Katonda gye balaganyisibwa, erimu emigga egy'amazzi agatayonooneka n'emigga gya mata agatakyuse mpoma yaago, n’emigga egy'omubisi oguliwoomera abanywi n'emigga gy'omubisi omusengejje, nga bali mu yo balifuna ebibala byonna, era balifuna mu yo ekisonyiwo okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe, oyinza okugigerageranya ku oyo owokutuula mu muliro obugenderevu nga era balinywesebwa olwegye lwa mazzi, olwo nno negakutulakutula ebyenda byabwe."},{"id":16,"translation":"Era mu bo mulimu abakuwuliriza (nga balaga nti bagonvu) okutuusa bwe bafuluma okuva wooli, bagamba abo abaweebwa okumanya nti, abadde agambaki emabegako awo?, abo beebo Katonda beyassa envumbo ku mitima gyabwe era nebagoberera okwagala kwabwe."},{"id":17,"translation":"Ate abo abaalungama (Katonda) abongera bulungamu era naabawa okutya kwabwe (Katonda)."},{"id":18,"translation":"Abaffe balina kyebalindirira okugyako ekiseera ekyenkomerero okuba nga kibaggyira kibwatuukira ate nga ddala (obumu) ku bubonero bwakyo bumaze okujja, baligyawa okubuulirirwa kwabwe (okulibagasa ekiseera) bwe kiribagyira!."},{"id":19,"translation":"Kale manya nti mazima tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako Katonda era osabe ekisonyiwo olwe byonoono byo, era abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi obasabire ekisonyiwo, era Katonda amanyi entambula zammwe (nga mujjulukuka okuva mu kifo ne mudda mu kirala n'okuva ku kikolwa ne mudda ku kirala) era amanyi obuddo bwa mmwe."},{"id":20,"translation":"Abo abakkiriza bagamba nti singa essura (eragira olutalo) essibwa, naye essura neemala essibwa nga eyogera mu bulambulukufu nga n'okulwana kwogerwako mu yo, olaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga bakutunuulira entunula ey’omuntu azirise ku lwokutya okufa. Ekyalisinze obulungi gyebali."},{"id":21,"translation":"(Kwe) kugonda, n'ebigambo ebirungi, naye ekigambo bwe kimala okukakata, kale singa batuukiriza bye balagaanyisa Katonda kye kyalisinze obulungi gye bali."},{"id":22,"translation":"Abaffe musuubira nti singa mukulembera (ne muba abafuzi) nti munayonoona mu nsi ne mukutula enganda zammwe."},{"id":23,"translation":"(Abakola ebyo) abo beebo Katonda beyakolimira naabaggala amatu era naaziba amaaso gaabwe."},{"id":24,"translation":"Abaffe tebetegereza Kulaani, oba emitima gyegiriko ekkufulu zaagyo."},{"id":25,"translation":"Mazima abo abakyuka ne badda gyebaava (nebaleka obusiraamu) oluvanyuma lw’obulungamu okuberambikira, Sitane yeyabibalaga nti birungi era nabasuubiza ebyobulimba."},{"id":26,"translation":"Ekyo nno, lwakuba nti mazima bo, bagamba abatayagala Katonda byeyassa, nti tujja kubagondera mu bintu ebimu. Era bulijjo Katonda amanyi ebyama byabwe."},{"id":27,"translation":"Olwo nno baba ngeri ki Malayika bwezibatusaako entuuko zaabwe, nga zikuba ebyenyi byabwe n’obutuuliro bwabwe."},{"id":28,"translation":"Ekyo (bwekityo bwekiriba) olwokuba nti mazima bo baagoberera ebyo ebinyiiza Katonda nebakyawa okusiima kwe, olwo nno naayonoona emirimu gyabwe."},{"id":29,"translation":"Abaffe abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe basuubira nti Katonda tagenda kuggyayo bukukuuzi bwabwe (bwe balina ku Nabbi Muhammadi)."},{"id":30,"translation":"Singa twagala twandibakulaze, olwo nno wandibategedde olwo bubonero bwabwe, era ojja kubategeerera ddala okusinziira ku njogera yaabwe. Era Katonda amanyi emirimu gyammwe."},{"id":31,"translation":"Era tujja kubagezesa okutuusa lwetunategeera abalafubana mu mmwe mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nabagumikiriza, era tujja kugezesa ebigambo bya mmwe."},{"id":32,"translation":"Mazima abo abaakafuwala nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda, nebeesimba mu mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okubeeyoleka, (abo) tebalina kabi konna kebayinza kutuusa ku Katonda, era wa kusazaamu emirimu gyabwe."},{"id":33,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mugondere Katonda, era mugondere omubaka, era temwononanga emirimu gya mmwe."},{"id":34,"translation":"Mazima abo abaakafuwala era nebalemesa abantu e ddiini ya Katonda, oluvanyuma nebafa nga bakafiiri, Katonda tagenda kubasonyiwa."},{"id":35,"translation":"Temufotokereranga ne musaba emirembe ate nga mmwe ba waggulu, era nga Katonda ali wamu na mmwe, era nga tagenda kukendeeza mpeera ya mirimu gya mmwe."},{"id":36,"translation":"Mazima obulamu bwe nsi muzannyo na binyumu, naye bwe mukkiriza era nemutya Katonda, ajja kubawa empeera ya mmwe, ate nga tabasabye mmali ya mmwe."},{"id":37,"translation":"Singa agibasaba nabapeeka mujja kukodowala, olwo nno nassa mu bbanga obukukuuzi bwa mmwe."},{"id":38,"translation":"Abaffe mmwe, mmwe beebo abakowoolwa mube nga muwaayo mu kkubo lya Katonda, olwo nno mu mmwe ne mubaamu akodowala, so nga omuntu akodowala, mazima yekodowalira yekka ng’ate Katonda yatalina kyeyetaaga ate nga mmwe muli betaavu, naye bwe munakyuka (nemuva ku ddiini) ajja kuleeta abantu abalala abatali mmwe, oluvanyuma tebagenda kuba nga mmwe."}]},{"id":48,"verses":[{"id":1,"translation":"Mazima ffe tukugguliddewo oluggulawo olweyolefu."},{"id":2,"translation":"Katonda alyoke akusonyiwe ebyonoono byo ebyakulembera, n'ebyo ebyoluvanyuma, era ajjuze ekyengera kye kye yakuwa, era akulungamye mu kkubo eggolokofu."},{"id":3,"translation":"Era akutaase olutaasa olwa nnamaddala."},{"id":4,"translation":"Yye yooyo eyassa obutebenkevu mu mitima gya bakkiriza babe nga beyongera obukkiriza ku bukkiriza bwabwe (obwasooka), amagye go mu ggulu omusanvu ne nsi gonna ga Katonda, era (bulijjo) Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga."},{"id":5,"translation":"Olwo nno ayingize abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi e jjana, nga emigga gikulukutira wansi waazo, ba kutuula mu zo obugenderevu, era abagyeko ebisobyo bya bwe, ekyo ewa Katonda bwe buwanguzi obunene."},{"id":6,"translation":"Era abonereze abananfusi abasajja n'abannanfusi abakazi, n'abasajja abagatta ebintu ebirala ku Katonda n'abakazi abagatta ebintu ebirala ku Katonda, abalowooza ku Katonda endowooza embi, batukwako enkyukakyuka embi, era Katonda yabasunguwalira nabakolimira era yabategekera omuliro Jahannama (era nga ggwo) buddo bubi."},{"id":7,"translation":"Era amagye go mu ggulu omusanvu n'ensi gonna ga Katonda, era (bulijjo) Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga."},{"id":8,"translation":"Era mazima ffe twakutuma (ggwe Nabbi Muhammadi) nga oli mujulizi era omusanyusa (olwa mawulire agessanyu gowa abakozi bo bulungi) era omutiisa (olwa mawulire ag’ebibonerezo eri abakozi be bibi)."},{"id":9,"translation":"Mulyoke mukkirize Katonda n’omubaka we, era mu muyambe era mumuwe ekitiibwa era (Katonda) mumutendereze enkya ne ggulo."},{"id":10,"translation":"Mazima abo abalangirira obuwagizi bwabwe gyoli mazima balangirira buwagizi bwabwe eri Katonda, omukono gwa Katonda guli waggulu wa mikono gya bwe, kale nno oyo anaamenya endagaano mazima mukugimenya aba yeefiriza yekka, nooyo atuukiriza ekyo kye yaweerako Katonda obweyamu ajja kumuwa empeera ensuffu."},{"id":11,"translation":"Ba nnamalungu abaasigala (ne batagenda Makkah naawe) bajja kugamba nti emmaali yaffe na b’omumaka gaffe bye bya tulobera okugenda n’olwekyo tusabire ekisonyiwo, boogera ne nnimi zaabwe ebyo ebitali mu mitima gyabwe, bagambe nti olwo nno ani alina obuyinza ewa Katonda ku kintu kyonna ekibakwatako singa aba abaagalizza kabi, oba nga abaagalizza eky'omugaso, wabula Katonda amanyidde ddala ensibuko y'ebyo bye mukola."},{"id":12,"translation":"Wabula mwalowooza nti omubaka n’abakkiriza lubeerera tebaali ba kudda eri bantu ba mu maka gaabwe, era ekyo nekinyirizibwa eri emitima gya mmwe, nemulowooza endowooza embi, era nemuba abantu abaggweera mu kubula."},{"id":13,"translation":"Oyo yenna atakkiriza Katonda n’omubaka we, (ka kumujjuutuka) anti mazima ffe twategekera abakafiiri omuliro omukume."},{"id":14,"translation":"Obufuzi obwe ggulu omusanvu n'ensi bwa Katonda, asonyiwa gwaba ayagadde era nabonereza gwaba ayagadde era bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi."},{"id":15,"translation":"Abataagenda (naawe ku lutabaalo lwe Khaibara) bwe mugenda eri eminyago mube nga mugifuna bajja kugamba nti mutuleke tubagoberere, nga baagala okuba nga bakyusa ebigambo bya Katonda (okuba nga eminyago gyabo bokka ebeetaba mu lutabaalo) bagambe nti temutugoberera, bwekityo Katonda bwe yagamba oluberyeberye, olwo nno bajja kugamba nti wabula (mmwe) mutukwatirwa nsaalwa (naye nga si kyekyo) wabula baali tebategeera okugyako katono ddala."},{"id":16,"translation":"Gamba abo abaasigala mu ba nnamalungu, nti lumu mujja kuyitibwa okugenda eri abantu abaamaanyi amayitirivu mube nga mulwanagana nabo oba basiramuke, awo nno singa muligonda (nemutuukiriza ekiragiro) Katonda ajja kubawa empeera ennungi, naye kemulimala muva kwekyo (ne mutalwana) nga bwe mwakyuka olubereberye (bwe mutaalwana) agenda kubabonereza ebibonerezo ebiruma ennyo."},{"id":17,"translation":"Muzibe taliiko kunenyezebwa, n’omulema taliiko kunenyezebwa, wadde omulwadde naye taliiko kunenyezebwa, oyo yenna agondera Katonda n’omubaka we amuyingiza e jjana, emigga nga gikulukutira wansi waazo, ate oyo yenna akyuka (naatamugondera) agenda ku mubonereza ebibonerezo ebiruma ennyo."},{"id":18,"translation":"Katonda yasiima abakkiriza bwe baalangirira obuwagizi bwabwe gyoli (bwe mwali) wansi wo muti olwo nno yamanya ebiri mu mitima gya bwe kwe kussa obutebenkevu ku bo, era nabasasula n'abawa obuwanguzi obwali okumpi."},{"id":19,"translation":"N'eminyago mingi gye baafuna, era (bulijjo) Katonda ye nantakubwa ku mukono mugobansonga."},{"id":20,"translation":"Katonda yabalagaanyisa eminyago mingi gye mulifuna, naye guno gwo naagubanguyiza era naaziyiza emikono gya bantu obutabatuukako (obutabalwanyisa) era (ebyo) bibeere kya kuyiga eri abakkiriza era abalungamye mu kkubo eggolokofu."},{"id":21,"translation":"(Waliyo n'eminyago) emirala gye mutannasobola (kufuna) naye nga mazima Katonda agyetoolodde (gyonna agimanyi) era bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu."},{"id":22,"translation":"Era singa abo abakaafuwala babalwanyisa, ddala bandikubyeyo amabega (ne badduka) era nga tebayinza kufuna mukuumi wadde omudduukirize."},{"id":23,"translation":"Eyo yenkola ya Katonda ebaddewo okuva olubereberye, era enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kukyusibwa."},{"id":24,"translation":"Era yye yooyo eyaziyiza emikono gyabwe ku mmwe era naziyiza emikono gya mmwe ku bo (ne mutalwanagana bwe mwasisinkana) mu makkati gomu Makkah, nga yali amaze okubawa obuwanguzi ku bo, era nga Katonda bulijjo alabira ddala ebyo bye mukola.i"},{"id":25,"translation":"Bo beebo abaakafuwala ne babaziyiza okutuuka ku muzikiti ogwe mizizo, nga n'ebirabo biremeseddwa okutuuka mu bifo byabyo, era singa si basajja abakkiriza n'abakazi abakkiriza, be mutaamanya okuba nti mwali muyinza okubatusaako obulabe (ne mubatta), ne mutuukwako akamogo (akokunenyezebwa okubatta) mu butali bugenderevu, Katonda yandibadde akkiriza ne mwambalagana nabo, (ekyo kyali bwekityo) Katonda abe nga ayingiza mu kusaasira kwe oyo gwaba ayagadde, era singa beeyawula (abakkiriza bokka na batakkiriza bokka) era twandibonerezza abo abaakafuwala mu bo ebibonerezo ebiruma."},{"id":26,"translation":"Jjukira abo abaakafuwala bwe bassa mu mitima gyabwe effutwa, effutwa lyo mu biseera eby'obutamanya, olwonno Katonda nassa obukkakkamu ku mubaka we, ne ku bakkiriza nabanywereza ku kigambo kyo kutya Katonda era nga be baali basinga okukisaanira, era nga be baali ba nannyinikyo era bulijjo Katonda mumanyi wa buli kintu."},{"id":27,"translation":"Mazima Katonda yatuukiririza omubaka we endooto gye yamulaga eya mazima (bwe yaloota nti) ddala mujja kuyingira omuzikiti ogwemizizo Katonda bwaliba ayagadde. (muliguyingira) nga muli mirembe, nga mumwedde emitwe gya mmwe, nga (abalala) mukendezezzaako bukendeeza nga temutya. (Yamanya kye mutaamanya), nateekawo obuwanguzi obwokumpi (nga ekyo tekinnabaawo, bwe mwakola endagaano ye Hudaibiyah)."},{"id":28,"translation":"Katonda yye, yooyo eyatuma omubaka we naleeta obulungamu n'eddiini eya amzima abe ng'alaga ekifo kyaayo ekya waggulu ku madiini gonna, kimala okuba nti Katonda yemujulizi (kw'ekyo)."},{"id":29,"translation":"Muhammadi Mubaka wa Katonda era abo abali naye bakambwe ku bawakanya Allah, basaasiragana wakati waabwe, obalaba nga bakutamye ku maviivi, ne bwebaba bavunnamye ku ttaka, nga banoonya ebigabwa bya Katonda n’okusiima (kwe) obulambe bwabwe bulabika mu byenyi byabwe olwo mukululo gwo kuvunnama, ekyo kye kifaananyi kyabwe mu Tauraati era ekifaananyi kyabwe mu njiri, balinga ekimera ekifulumya omutunsi gwakyo negukiwanirira okutuusa lwe kikakata, olwo nno ne kyetengerera ku nduli yaakyo nekiba nga kisanyusa abalimi. (Abantu abakubiddwako ekifaananyi ekyo) balyoke babe nga abakafiiri banakuwala ku lwabwe, abo abakkiriza mu bo ne bakola emirimu emirongoofu Katonda yabalagaanyisa ekisonyiwo n'empeera ensuffu."}]},{"id":49,"verses":[{"id":1,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temwetumikirizanga mu maaso ga Allah n’omubaka we (nemwogera ku kintu nga omubaka tannakyogerako) era mutye Katonda mazima Katonda muwulizi nnyo mumanyi."},{"id":2,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temusitulanga amaloboozi ga mmwe okusinga ku ddoboozi lya Nabbi, era temumwatuliranga ebigambo nga abamu mu mmwe bwe batuulira bannabwe, emirimu gya mmwe gireme kwononeka nga temugenderedde."},{"id":3,"translation":"Mazima abo abakkakkanya amaloboozi gaabwe awali omubaka wa Katonda, abo beebo Katonda beyatukuza emitima gyabwe babe nga bamutya. Balina ekisonyiwo ne mpeera ensukkulumu."},{"id":4,"translation":"Mazima abo abakukowoolera emabega w’ebisenge abasinga obungi mu bo tebategeera."},{"id":5,"translation":"Singa mazima bo bagumikiriza okutuusa lwofuluma n'ogenda gye bali, kyandibadde kirungi gye bali, era Katonda musonyiyi waakisa nnyo."},{"id":6,"translation":"Abange mmwe abakkiriza singa omwononefu abaleetera amawulire muteekwa okwetegereza, mube nga temutuusa kabi ku bantu mu butamanya, olwo nno nemukeesa nga mwejjusa olwekyo kye mwakoze."},{"id":7,"translation":"Era mumanye nti mazima omubaka wa Allah ali mu mmwe, singa abagondera mu bigambo ebisinga obungi (nga bwe mubiraba), mwandifunye obuzibu, naye ddala Katonda yabaagazisa obukkiriza nabulabisa bulungi eri emitima gya mmwe, na bakyayisa obukafiiri n’obwononefu n’obugyemu, (abo abataliimu mize egimenyeddwa waggulu) bo be balungamu."},{"id":8,"translation":"(Ng’ebyo byonna) birungi era nga byengera ebiva ewa Katonda, era bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga."},{"id":9,"translation":"Ebibinja bibiri mu bakkiriza bwe birwanagananga muteekwa mulongoose wakati wa byombi (mu bitabaganye) ekimu bwekirumba ekirala olwo nno mulwanyise ekyo ekiba kirumbye okutuusa lwekidda eri ekigambo kya Katonda bwekiba kizze kale mutabaganye wakati wa byombi mu bwesimbu, era mukole obwenkanya mazima Katonda ayagala abakola obwenkanya."},{"id":10,"translation":"Ddala abakkiriza ba luganda n’olwekyo mulongoose (mutabaganye) wakati wa baganda ba mmwe, era mutye Katonda mube nga musaasirwa."},{"id":11,"translation":"Abange mmwe abakkiriza abantu (abamu) mu mmwe tebanyomanga bantu bannabwe, anti oluusi bayinza okuba nga be balungi okusinga bo, wadde abakyala okunyoma bakyala bannabwe, anti oluusi bayinza okuba nga be balungi okusinga bo, era temwerengezzanga, era temweyitanga amannya ageemize, erinnya erisinga obubi lyeryo erikakkanya omuntu oluvanyuma lwokuba nti mukkiriza. Omuntu (akola ekyo) bwatenenya, abo bo be beeyisa obubi."},{"id":12,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mwewale okuteebereza okusinga obungi, anti okuteebereza okumu kiba kyonoono, era temwekettanga, era abamu mu mmwe tebageyanga bannabwe, abaffe omu ku mmwe yandiyagadde okulya ennyama ya muganda we nga mufu! Ate nga mwakitamwa dda, era mutye Katonda mazima Katonda akkiriza okwenenya musaasizi nnyo."},{"id":13,"translation":"Abange mmwe abantu mazima ffe twabatonda nga tubaggya mu musajja n’omukazi, era ne tubafuula amawanga neebika mulyoke mumanyagane, mazima abasinga ekitiibwa ewa Katonda yooyo abasinga okumutya, mazima Katonda mumanyi nnyo amanyidde ddala ebintu okuva ku nsibuko yaabyo"},{"id":14,"translation":"Ba nnamalungu baagamba nti tukkirizza, bagambe nti temunnakkiriza, wabula mugambe nti twewaddeyo eri abasiraamu (netuwona okuttibwa oba okuwambibwa) era obukkiriza tebunnayingira mu mitima gya mmwe naye singa mugondera Katonda n’omubakawe tagenda kukendeeza ku mpeera ya mirimu gyammwe kintu kyonna. Mazima Katonda musonyiyi musaasizi nnyo."},{"id":15,"translation":"Mazima abakkiriza abannamaddala beebo abakkiriza Katonda n’omubaka we, ate nebatabuusabuusa (ebyo bye bakkiriza) era nebalafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa emmaali yaabwe ne myooyo gyabwe, abonno, bo, be bakkiriza ab’amazima."},{"id":16,"translation":"Bagambe nti mumanyisa Katonda eddiini ya mmwe ng’ate Katonda amanyi ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, era bulijjo Katonda amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu."},{"id":17,"translation":"Bakweralaasizaako nti baasiramuka, bagambe nti temundalaasizaako busiraamu bwa mmwe, wabula Katonda abenyumiririzaako okuba nti yabalungamya eri obukkiriza bwe muba nga muli ba mazima."},{"id":18,"translation":"Mazima Katonda amanyi ebyekusifu byo mu ggulu omusanvu n'ensi, era Katonda alabira ddala ebyo bye mukola."}]},{"id":50,"verses":[{"id":1,"translation":"Kaaf, ndayidde Kulaani eyekitiibwa (mazima ggwe Muhammadi oli mubaka wa Katonda era olunaku lw’enkomerero lwa kubaawo)."},{"id":2,"translation":"Wabula bewunya okuba nti omutiisa (Nabbi Muhammadi) yabajjira nga ava mu bo olwo nno abatakkiriza nebagamba nti kino kintu kya kitalo."},{"id":3,"translation":"(Nebagamba nti) abaffe bwetufa netufuuka ettaka (ate tuli bakuzzibwa!), bwekiba bwekityo okwo kudda okuli ewala ennyo."},{"id":4,"translation":"(Ekyo kibalemera bwereere okukkiriza anti) mazima tumanyi ekyo ettaka kye libakendezaako (nga lirya emibiri gyabwe) era tulina eggwanika erikuuma (buli kintu)."},{"id":5,"translation":"Wabula (tebakoma kwekyo era) baalimbisa amazima bwe gabajjira olwo nno bo baali mu mbeera ey’ekigambo ekitali kinywevu, (olumu bagamba bati olulala ne bagamba kirala)."},{"id":6,"translation":"Abaffe tebatunula ku ggulu waggulu waabwe (ne balaba) nga bwe twalizimba era netulinyiriza nga teririna bituli."},{"id":7,"translation":"Ne nsi twagiseeteeza era netugissaamu ensozi ennywevu, netumeza mu yo mu buli mutindo oguwa essanyu."},{"id":8,"translation":"Bibe ekizibula amaaso era ekyokubuulirira buli muddu adda eri Katonda."},{"id":9,"translation":"Era tussa amazzi okuva waggulu agoomukisa, olwo nno netumeza nago amalimiro n'empeke ebikungulwa."},{"id":10,"translation":"N’emitende emitumbiivu egirina ebirimba ebyeberese ku binnabyo."},{"id":11,"translation":"Nga byakulya bya baddu, era tulamusa nago (amazzi) ettaka effu eriba likaze, nabwekutyo okuzuukira bwe kuliba."},{"id":12,"translation":"Olubereberye lwabwe (abantu be Makkah) abantu ba Nuhu baalimbisa, n’abantu ababbika Nabbi wabwe mu luzzi, n’abekika kya Thamudu."},{"id":13,"translation":"Nabekika kya Aadi ne Firaawo ne baganda ba Luutu."},{"id":14,"translation":"N’abantu be nsi y’ebibira, n’abantu ba Tubbai, bonna baalimbisa ababaka, olwo nno nebikakata (ebibonerezo) byange bye nalagaanyisa."},{"id":15,"translation":"Abaffe twakoowa olwokutonda okwasooka (tube nga tweganya okubazzaawo)! nedda bo bali mu kutabulwa ku bikwata ku kutonda okupya."},{"id":16,"translation":"Ng’ate ddala twatonda omuntu era tumanyi ekyo omwoyogwe kye gumulabankanya nakyo naye nga ffe tuli okumpi naye okusinga omusuwa (gwe) ogwobulamu."},{"id":17,"translation":"Mu kiseera we bamugyirako ebimukwatako (ba Malayika) abakwatibwako ensonga ababiri, nga bakikola ku mukono ogwa ddyo, n’ogwa kkono nga buli omu atudde ku ludda lwe."},{"id":18,"translation":"Olwo nno (omuntu) tayatula kigambo kyonna okugyako ng’aliko omulondoozi amubeerako buli kiseera."},{"id":19,"translation":"Olwo nno obukambwe bwokufa nebujja mu mazima (nagambibwa nti) kino bulijjo kyobadde weewala."},{"id":20,"translation":"Era engombe nefuuyibwa olwo lwe luliba olunaku olwalagaanyisibwa."},{"id":21,"translation":"Buli muntu alijja nga aliko (Malayika) amugoba n’omujulizi."},{"id":22,"translation":"(Omukozi weebibi aligambwa nti) mazima wali mu bulagajjavu ku nsonga eno, kaakano tukuggyeko ekibikka olwo nno eriiso lyo olwaleero lyogi nnyo."},{"id":23,"translation":"Munne (Malayika eyamuberangako) aligamba nti, bino bye nnina ebimuwaako obujulizi binywevu nnyo."},{"id":24,"translation":"(Katonda aliragira Malayika alijja amugoba n'alimuwaako obujulizi nti) mukasuke mu muliro Jahannama buli ataali mukkiriza omuwalaza we mpaka."},{"id":25,"translation":"Eyekiikanga mu kkubo lyo bulungi, eyabukanga ebikomo (bya mateeka ga Katonda) omubusabuusa."},{"id":26,"translation":"Oyo eyassa ku Allah ekisinzibwa ekirala ekitali Ye, kale nno mumukasuke mu bibonerezo ebikambwe."},{"id":27,"translation":"(Sitane) munywanyiwe aligamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe simubuzanga, wabula (ye yennyini) yali mu bubuze obwewala."},{"id":28,"translation":"(Katonda) aligamba nti temukayanira mu maaso gange nabawa dda okulabula (kwange nga mukyali ku nsi)."},{"id":29,"translation":"Ekigambo tekikyusibwa gyendi (kasita mala okusalawo) era nze siyinza kuba mulyazamanyi eri abaddu."},{"id":30,"translation":"(Mutye) olunaku lwe tuligamba omuliro Jahannama nti abaffe ojjudde, negugamba nti abaffe waliyo enyongeza?."},{"id":31,"translation":"E jjana erisembezebwa eri abo abatya Katonda, nga tekyali wala."},{"id":32,"translation":"Nebagambibwa nti, ekyo kye mwalaganyisibwa nga kya kufunwa oyo yenna eyadda ewa Katonda, n'akuma butiribiri (amateekage)."},{"id":33,"translation":"(Yye yooyo) eyatya Katonda omusaasizi ennyo awamu nokuba nga tamulabako, era najja (olwaleero ku lunaku lw’enkomerero) n’omutima ogwemalira ku Katonda."},{"id":34,"translation":"(Baligambibwa nti) mugiyingire (e jjana) mu mirembe, olwo lwe lunaku olulitandika obulamu obwolubeerera."},{"id":35,"translation":"Balifuna byonna bye baagala nga bali mu yo (e jjana), era tulina ebyo kubongeza."},{"id":36,"translation":"Era emirembe emeka gye twazikiriza olubereberye lwabwe (bano abakuwakanya ggwe Nabbi Muhammadi), nga bo baali bamaanyi okubasinga, nebetoloola ensi (nga bakola buli kye bagala), abaffe waliwo obuwonero."},{"id":37,"translation":"Mazima mwekyo mulimu okubuulirira eri oyo alina omutima oba atega amatu era nga yenna waali (awuliriza)."},{"id":38,"translation":"Era mazima twatonda eggulu omusanvu ne nsi neebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga era tetwatukwako kukoowa kwonna."},{"id":39,"translation":"Kale gumikiriza ebyo bye bagamba, otendereze ebitendo bya Mukama omulabirizi wo nga enjuba tennavaayo, ne nga tennagwa."},{"id":40,"translation":"Era omutendereze ekiro nabuli luvannyuma lwa kuvunnama (okusaala e sswala ezalaalikibwa)."},{"id":41,"translation":"Era wuliriza (ng’olinda) olunaku omukowooze lwalikowoola nga asinziira mu kifo kyo kumpi."},{"id":42,"translation":"Olunaku lwe bali wulira okubwatuka okw'amazima, olwo nno lwe luliba olunaku lw'okufuluma (okuzuukira okuva mu ntaana)."},{"id":43,"translation":"Mazima ffe, ffe tuwa obulamu era netutta, era gye tuli yokka yeeri obuddo."},{"id":44,"translation":"Ku lunaku ettaka lweriyatika neribavaako (nga bazuukira) nebajja misinde (gye tuli), okwo kwe kukungaanya era kuliba kwangu ku ffe."},{"id":45,"translation":"Ffe tusinga okumanya bye bagamba, era ggwe toli ku bo asobola kubawaliriza, n’olwekyo buulirira nga okozesa Kulaani, oyo yenna atya ebitiisa byange."}]},{"id":51,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayidde empewo ezifumuula enfuufu olufumuula."},{"id":2,"translation":"Olwo nno nendayira ebire ebyetikka enkuba olwetikka."},{"id":3,"translation":"N'amaato agaseeyeeya mu mazzi mu bwangu."},{"id":4,"translation":"Era ndayidde Malayika ezigabanya Riziki okusinziira ku kiragiro ekiba kiziweereddwa."},{"id":5,"translation":"Mazima bye mulaganyisibwa bya kutuukirira."},{"id":6,"translation":"Era ddala olunaku lwo kusasula lwa kubaawo."},{"id":7,"translation":"Ndayidde eggulu eryakolebwa mu ngeri ennungi."},{"id":8,"translation":"Mazima mmwe muli mu kigambo ekyawukamu (temussa kimu ku bikwata ku Kulaani)."},{"id":9,"translation":"Awugulwa ku kyo oyo eyabuzibwa (natakkiriza)."},{"id":10,"translation":"Baakolimirwa abo abalimba (aboogera ebitali bituufu ku Nabbi)."},{"id":11,"translation":"Abo abali mu nnyanga ey’okuwakanya nga babulubuuta."},{"id":12,"translation":"Nga babuuza nti olunaku lwo kusasula luliba lwaddi?."},{"id":13,"translation":"Lwe lunaku bo lwe balyokebwa omuliro."},{"id":14,"translation":"(Nga bwe bagambibwa nti) mukombe ebibonerezo bya mmwe, kino ky'ekyo kye mwagambanga nti kibatuusibweko mu bwangu."},{"id":15,"translation":"Mazima abatya Katonda balibeera mu masamba nga mulimu n'ensulo za mazzi."},{"id":16,"translation":"Nga beeyanza ebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa (anti) mazima bo olubereberye lwekyo bali balongoosa."},{"id":17,"translation":"Bebakanga e kiseera kitono mu kiro."},{"id":18,"translation":"Ate nga mu ttumbi babanga mu kwe gayirira."},{"id":19,"translation":"Era nga mu maali yaabwe mulimu omugabo gwo musabi nooyo atafuna kimumala (naye nga tasaba)."},{"id":20,"translation":"Era mu nsi mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe), eri abo abakkiriza obukkiriza obwa nnamaddala."},{"id":21,"translation":"Ne mu mmwe mwennyini (mulimu obubonero) abaffe temulaba."},{"id":22,"translation":"Ne muggulu y'eri riziki za mmwe na byonna bye mulagaanyisibwa."},{"id":23,"translation":"Kale ndayidde Mukama omulabirizi we ggulu n'ensi, nti ekyo bwekityo bwekiri (era nga ekyo buli muntu yenna akimanyi) nga bwe mumanyi nti mwatula."},{"id":24,"translation":"Abaffe ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim abekitiibwa bya kutuukako."},{"id":25,"translation":"Bwe baayingira weyali ne bagamba nti mirembe, (naye) naagamba nti mirembe (wabula muli) bantu abatamanyiddwa."},{"id":26,"translation":"Olwo nno nadda eri abantu be naleeta ennyana y'ente ensava (enjokye)."},{"id":27,"translation":"Nagibasembereza naagamba nti abaffe nga temuulye!."},{"id":28,"translation":"(Bwe bataalya) yawulira nga abatiddemu, ne bagamba nti totya era nebamuwa amawulire agessanyu ag'omwana omulenzi omumanyi ennyo."},{"id":29,"translation":"(Awo wennyini) mukyala we naatuuka nga ayogerera waggulu nakuba ekyenyi kye, era naagamba nti (nze nga ndi) mukadde omugumba (nzaala ntya!)."},{"id":30,"translation":"(Ba Malayika) ne bagamba nti bwekityo Mukama omulabirizi wo bwagambye anti mazima yye bulijjo, ye mugoba nsonga omumanyi ennyo."},{"id":31,"translation":"Ibrahim naagamba nti, ate mmwe ababaka nsonga ki ebaleese?."},{"id":32,"translation":"Nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa eri abantu abonoonyi."},{"id":33,"translation":"Tube nga tubayiwako amayinja agomu bbumba ejjokye."},{"id":34,"translation":"Nga malambe okuva ewa Mukama omulabirizi wo, nga ga (kuzikiriza) abonoonyi abasukkiridde."},{"id":35,"translation":"(Katonda agamba) awo nno twagyamu oyo yenna eyakirimu (ekitundu ekyo) mu bakkiriza."},{"id":36,"translation":"Naye tetwasangamu okugyako enyumba emu eyabasiraamu."},{"id":37,"translation":"Era twaleka mu kyo ekyo kuyiga eri abo abatya ebibonerezo ebiruma ennyo."},{"id":38,"translation":"Era ne Musa (alimu ekyo kuyiga) bwe twamutuma ewa Firawo n’obujulizi obweyolefu."},{"id":39,"translation":"Yagaana (okugoberera Musa) olwokwesigula abali emabega we era nagamba nti (Musa) mulogo oba mulalu."},{"id":40,"translation":"Olwo nno netumukwatako ne ggye rye netubakasuka mu nnyanja nga naye anenyezebwa."},{"id":41,"translation":"Ne mu Bantu ba Aadi (mulimu ekyokuyiga) bwe twabasindikira empewo engumba (etaliimu mukisa tereeta nkuba wadde okuwasisa ebibala)."},{"id":42,"translation":"Nga tereka kintu kyonna kyeyitako okugyako nga ekifuula nga ensaano."},{"id":43,"translation":"Ne mu bantu ba Thamudu (mulimu ekyokuyiga) bwe bagambibwa nti mweyagale okumala akaseera katono."},{"id":44,"translation":"Wabula bo basukka ekiragiro kya Mukama omulabiririzi waabwe, olwo nno okubwatuka okwamaanyi ne kubatuukako nga nabo balaba."},{"id":45,"translation":"Tebaasobola kusituka (badduke) era tebaali ba kuwona."},{"id":46,"translation":"N'abantu ba Nuhu nga bano tebannabaawo (nabo balimu ekyokuyiga anti nabo baazikirizibwa era nabo kya bagwanira) anti mazima bo baali bantu abonoonyi."},{"id":47,"translation":"(N'ebirala ebirimu ekyokuyiga) ne ggulu twalizimba n'obuyinza (bwaffe) era mazima tukyaligaziya."},{"id":48,"translation":"N'ensi twagiseteeza, ddala nga ffe abatesiteesi abasinga."},{"id":49,"translation":"Era twatonda mu buli kintu emitindo ebiri ebiri (ekisajja ne kikazi) oba olyawo ne mujjukira."},{"id":50,"translation":"Kale mudduke mudde eri Katonda mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali."},{"id":51,"translation":"N’olwekyo temussanga ku Katonda ebisinzibwa ebirala, mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali."},{"id":52,"translation":"Bwekityo abo ababakulembera tewali mubaka yabajjira okugyako nga bagamba nti mulogo oba mulalu."},{"id":53,"translation":"Abaffe bakyeramira (nedda ssi bwekiri) wabula bo bantu be wagguzi."},{"id":54,"translation":"Kale baveeko toli ggwe anenyezebwa."},{"id":55,"translation":"Wabula bulirira anti mazima okubulirira kugasa abakkiriza."},{"id":56,"translation":"Era ssaatonda amajinni n’abantu wabula lwakuba nti bansinze."},{"id":57,"translation":"Sibaagalamu Riziki era ssaagala bandiise."},{"id":58,"translation":"Mazima Allah yye yaagabirira nannyini maanyi omusobozi."},{"id":59,"translation":"Mazima abo abalyazaamaanya balina ebyonoono nga ebyonoono bya bannaabwe n’olwekyo tebampapya (kubatuusaako bibonerezo mu bwangu)."},{"id":60,"translation":"Okubonabona kuli eri abo abawakanya olunaku lwabwe olwo lwe baalaganyisibwa (olunaku lw’enkomerero)."}]},{"id":52,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayidde olusozi (Sinaa)."},{"id":2,"translation":"Ndayidde ekitabo ekiwandiike."},{"id":3,"translation":"Mu mpapula ennyanjuluze."},{"id":4,"translation":"Era ndayidde enyumba etaggwako basinza (ba Malayika bagyetoloola olubeerera)."},{"id":5,"translation":"Era ndayidde akasolya (k'eggulu) akasitufu."},{"id":6,"translation":"Era ndayidde ennyanja ezijjudde amazzi."},{"id":7,"translation":"Ddala ebibonerezo bya Mukama omulabirizi wo bya kutuukirira."},{"id":8,"translation":"Tewali kigenda kubiremesa."},{"id":9,"translation":"Ku lunaku eggulu lwe liri yuguuma oluyuguuma."},{"id":10,"translation":"Ensozi nezitambula butambuzi."},{"id":11,"translation":"N’olwekyo okubonabona ku lunaku olwo kuliba ku balimbisa."},{"id":12,"translation":"Abo bo ababeera mu byolusaago nga bazannya."},{"id":13,"translation":"Ku lunaku lwe bali sindikirizibwa olusindikirizibwa, okuyingira omuliro Jahannama."},{"id":14,"translation":"Baligambibwa nti guno gwe muliro ogwo gwe mwali mulimbisa."},{"id":15,"translation":"Abaffe lino ddogo oba mmwe temulaba."},{"id":16,"translation":"Mugwesogge, wabula ka mugumikirize oba temugumikiriza byonna kyekimu gye muli mazima ddala musasulwa ebyo bye mwali mukola."},{"id":17,"translation":"Mazima abatya Katonda baliba mu jjana n'ebyengera."},{"id":18,"translation":"Nga beyagala olwebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa, era Mukama omulabirizi waabwe nabawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu."},{"id":19,"translation":"(Abeeyisa obulungi baligambibwa nti) mulye era munywe, nga muyozayozebwa olwebyo bye mwakola."},{"id":20,"translation":"Baliba besigamye ku bitanda nga bisimbiddwa ennyiriri era tugenda ku bagatta na bakyala abo mu jjana."},{"id":21,"translation":"N'abo abakkiriza, era ezzadde lyabwe neribagoberera mu bukkiriza, twakkiriza ezzadde lyabwe okubagoberera (baleme kufuna kiwubaalo obutaba nabo) era tetulikendeeza ku mirimu gyabwe kintu kyonna, era nga buli muntu (yye) gwe musingo gwebyo bye yakola."},{"id":22,"translation":"Era (nga ogyeko ebyogeddwa waggulu) tulibongeza ebibala n'ennyama ebyo bye baliyagala."},{"id":23,"translation":"(Nga bali mu jjana) baliyayaanira amagiraasi ge byo kunywa, naye nga ssi kujikubiramu lwogoolo wadde ebigambo ebikyafu."},{"id":24,"translation":"Era abalenzi abaliba balabika nga luulu akuumwa ennyo baliba babetoololamu nga babaweereza."},{"id":25,"translation":"Abamu ne boolekera bannaabwe nga bawaanyisiganya ebigambo."},{"id":26,"translation":"Nga bagamba nti mazima ffe mukusooka twabanga mu bantu baffe nga tutya (ebibonerezo bya Katonda)."},{"id":27,"translation":"Allah natugabirira ekyengera, naatuwonya ebibonerezo byo muliro samuumu."},{"id":28,"translation":"(Anti) mazima ffe mu bulamu bw'ensi twamusabanga (twamusinzanga), mazima yye yaayisa obulungi, omusaasizi ennyo."},{"id":29,"translation":"Kale nno buulirira (ggwe Muhammadi) anti ggwe olwe kyengera kya Mukama omulabirizi wo, toli mulaguzi wadde mulalu (nga abamu bwe babijweteka)."},{"id":30,"translation":"Oba bagamba nti (Muhammadi) mutontomi gwetulekedde okukwata kwa walumbe."},{"id":31,"translation":"Bagambe nti mulindirire, anti mazima nze ndi wamu na mmwe mu balindirira."},{"id":32,"translation":"Abaffe amagezi gaabwe ge gabalagira kino oba bo bantu abaabula!."},{"id":33,"translation":"Oba bagamba nti (Muhammadi) yajegunjirawo (Kulaani ssi bwekiri) wabula tebakkiriza."},{"id":34,"translation":"(Bwekiba nga yajigunjaawo) kale baleete ebigambo ebigifaanana bwebaba nga boogera mazima."},{"id":35,"translation":"Oba batondwa awatali kintu (nti tewali Katonda yabatonda!) oba bo be batonda (ebitonde byonna nga nabo mwebali)."},{"id":36,"translation":"Oba be baatonda eggulu omusanvu ne nsi, nedda wabula bo tebakkiriza."},{"id":37,"translation":"Oba be balina amawanika ga Mukama omulabirizi wo, oba bo be balina obuyinza (ku buli kintu)."},{"id":38,"translation":"Oba balina amadaala nga gebakozesa okuwuliriza ebifa waggulu (bwekiba bwekityo) kale abawuliriza baabwe baleete obujulizi obweyolefu."},{"id":39,"translation":"Oba (Katonda) alina abaana ba buwala ate nga mmwe mulina abo bulenzi."},{"id":40,"translation":"Oba obasaba musaala olwo nno bo nebaba nga bakaluubirirwa kusasula."},{"id":41,"translation":"Oba balina okumanya ebyekusifu ne baba nga bo bawandiika (ebyekusifu bye bamanyi nebaba nga tebetaaga ggwe kubategeeza)."},{"id":42,"translation":"Oba baagala kukola nkwe (bakulemese) wabula abo abakaafuwala be bakosebwa enkwe (ezo)."},{"id":43,"translation":"Oba balina ekisinzibwa ekitali Katonda (nga kye kibayinula), Katonda musukkulumu kwebyo bye bamugattako."},{"id":44,"translation":"Olw'obutakkiriza bwabwe ne bwe balaba ekibajjo nga kigwa okuva waggulu (kibazikirize) bandigambye nti bire ebyetuumye."},{"id":45,"translation":"Kale baleke okutuusa lwe balisisinkana olunaku lwabwe, olwo, ku lwo, lwe balizikirizibwa."},{"id":46,"translation":"Olunaku enkwe zaabwe lwe zitalibagasa kintu kyonna, era nga bo tebalidduukirirwa."},{"id":47,"translation":"Awamu n'ekyo mazima abo abeeyisa obubi batuusibwako ebibonerezo (ebirala kuno ku nsi) nga tebannatuuka ku biri, naye abasinga obungi ku bo tebamanyi."},{"id":48,"translation":"Kale gumikiriza ku kusalawo kwa Mukama omulabirizi wo, anti mazima ggwe oli wansi wa kulabirira kwaffe. Era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo, buli lwoliyimirira (okusaala)."},{"id":49,"translation":"Era n'ekiro mutendereze era omutendeze ekiseera we emmunyeenye wezibulira."}]},{"id":53,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayidde emunyeenye bweba nga egudde."},{"id":2,"translation":"Munammwe (Muhammadi) tabulanga kuva ku bulungamu era tayonoonanga."},{"id":3,"translation":"Era tayogera nga asinziira ku kwagala (kwe)."},{"id":4,"translation":"Tebiri byo (byayogera) okugyako okuba nti bubaka obuwereezebwa (gyali nga buva ewa Katonda)."},{"id":5,"translation":"Yabimuyigiriza owamaanyi amayitirivu (Malayika Jiburilu)."},{"id":6,"translation":"Jibriilu nannyini busobozi n'amanyi mubutonde bwe ajudde."},{"id":7,"translation":"Bweyali mu bifo ebisinga okuba ebya waggulu mu bwengula."},{"id":8,"translation":"Oluvanyuma (Jiburilu) yasembera olwo nebaba kumpi (ne Nabbi)."},{"id":9,"translation":"Olwo nno (okusembera) nekuba nga okusemberagana kw'ensonda za kasale ebbiri oba kumpi okusingako awo."},{"id":10,"translation":"Olwo nno (Katonda) naatumira omuddu we ekyo kye yamutumira nga akozesa Jiburilu."},{"id":11,"translation":"Emmeme (ya Nabbi Muhammadi) teyalimba kwebyo bye yalaba."},{"id":12,"translation":"Abaffe mumuwakanya kwekyo kyalaba."},{"id":13,"translation":"Ate nga mazima yamulaba omulundi omulala."},{"id":14,"translation":"Mu kifo awali (omuti) Sidirat munitaha awakuumwa."},{"id":15,"translation":"Weguli awo wewali e jjana ewummulirwamu (bo Malayika mwe bawummulira)."},{"id":16,"translation":"Mu kiseera omuti Asidira bwe gwabikkibwa ekya gubikka."},{"id":17,"translation":"Amaaso (ga Nabbi) tegawuguka wadde okusukka ekyo (kye yali ateekwa okulaba)."},{"id":18,"translation":"Mazima yalaba mu bya magero ebya Mukama omulabirizi we ebinene."},{"id":19,"translation":"Abaffe mulaba Latta ne Uzza."},{"id":20,"translation":"Ne Mannaata ekibumbe ekirala ekyokusatu (bibumbe byali bisinzibwa nga Nabbi tannatumwa)."},{"id":21,"translation":"Abaffe mmwe muzaala abalenzi yye nazaala bawala! (mwe bemutayagala newakubadde abalenzi na bawala ku Katonda kyekimu)."},{"id":22,"translation":"Bwekiba bwekityo eyo ngabanya ejjudde kyekubiira."},{"id":23,"translation":"(Bye musinza) tebirina kyebiri okugyako okuba amannya gemwetuumira mmwe ne bakadde ba mmwe, Katonda tabissangako bujulizi bwonna (era ababisinza) tebalina kye bagoberera okugyako okuteebereza nokugoberera ebyo emyoyo gyabwe bye jaagala, so nga ate obulungamu bwabajjira nga buva ewa Mukama omulabirizi waabwe."},{"id":24,"translation":"Oba kiri nti omuntu asobola okufuna ekyo kye yeegomba (atuuke okwesalirawo okusinza ebibumbe ate naaba nga tavunaanwa)."},{"id":25,"translation":"Wabula nno enkomerero ne ntandikwa bya Katonda yekka (n’olwekyo yekka yaasalawo)."},{"id":26,"translation":"Era ba Malayika bameka abali mu ggulu omusanvu nga okuwolereza kwabwe tekugenda kugasa kintu kyonna okugyako oluvanyuma lwa Katonda okukkiriza gwaliba ayagadde era nasiima."},{"id":27,"translation":"Mazima abo abatakkiriza nkomerero be bayita ba Malayika amannya ag’ekikazi."},{"id":28,"translation":"Era nga tebakirinaako kumanya kwonna, tebagoberera okugyako okuteebereza ate nga ddala okuteebereza tekulina kye kugasa awali amazima."},{"id":29,"translation":"N’olwekyo va kwoyo ayawukana nokubulirira kwaffe, naatayagala okugyako obulamu bw'ensi."},{"id":30,"translation":"Ekyo kye kikomo kyabwe mu kumanya mazima Mukama omulabirizi wo yaasinga okumanya oyo abula naava ku kkubo lye era yaasinga okumanya oyo alungama."},{"id":31,"translation":"Bya Allah yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi (era yye ye nannyini mateeka kwe bikolera) olwo nno alisasula abo abayonoona olwebyo bye bakola era nga alisasula obulungi abo abalongoosa."},{"id":32,"translation":"Abo abeesamba ebyonoono ebinene ne byo buwemu okugyako ebitonotono, (anti) mazima Mukama omulabirizi wo mugazi wa kusonyiwa ye yaasinga okumanya ebikwata ku mmwe, okuva lwe yabatandikawo nga abagya mu ttaka ne mu kiseera we mwaberera mu mbuto za ba Maama ba mmwe, n’olwekyo temwetukuza anti yye yaasinga okumanya ani asinga okumutya."},{"id":33,"translation":"Abaffe olabye oyo akyuka (naava ku mazima)."},{"id":34,"translation":"Era nawaayo katono bwamala ate nammira ddala."},{"id":35,"translation":"Abaffe (ekimukozesa ekyo) lwakuba nti alina okumanya ebyekusifu, olwo nno naaba nga abiraba."},{"id":36,"translation":"Oba tabuulirwanga ebyo ebiri mu bitabo bya Musa."},{"id":37,"translation":"Ne Ibrahim oyo eyatuukiriza (bwe yalaganyisa Katonda)."},{"id":38,"translation":"(Ebyo ebigamba nti) tewali mwoyo gulyetikka kibi kya mulala."},{"id":39,"translation":"Era nti omunu tagenda kufuna okugyako ekyo kye yakolerera."},{"id":40,"translation":"Era nti mazima okukola kwe kya ddaaki kulirabwa."},{"id":41,"translation":"Oluvanyuma alikusasulwamu empeera esinga okuba enzijuvu."},{"id":42,"translation":"Era nti mazima ewa Mukama omulabirizi wo yeeri enkomerero (ya buli kimu)."},{"id":43,"translation":"Era nti mazima yye yaasesa era yaakaabya."},{"id":44,"translation":"Era nti mazima yye yatta era yaawa obulamu."},{"id":45,"translation":"Era nti mazima yatonda emitindo ebiri omusajja n'omukazi."},{"id":46,"translation":"Abagya mu mazzi agazaala bwe gafulumizibwa (negateekebwa mu kifo ekituufu)."},{"id":47,"translation":"Era nti mazima kuli ku ye yekka okusibusa okulala (okuzuukiza)."},{"id":48,"translation":"Era nti mazima yye ya gaggawaza era naayavuwaza."},{"id":49,"translation":"Era nti mazima yye ye Mukama omulabirizi we munyeenye eyitibwa Shiiraa (abakafiiri gye basinzanga)."},{"id":50,"translation":"Era nti mazima yye yazikiriza abe kibiina kya A'adi abasooka."},{"id":51,"translation":"Na be kibiina kya Thamudu era nga teyalekawo (wadde omu)."},{"id":52,"translation":"Na bantu ba Nuhu mu kusooka anti mazima bo be baali basinga okweyisa obubi n'okubula."},{"id":53,"translation":"Era ye yae yazikiriza abantu ba be kitundu ekyavuunikibwa (Sodoma ne gomora)."},{"id":54,"translation":"Olwo nno ne kikibuutikira ekya kibuutikira."},{"id":55,"translation":"Kale olwo kiriwa ku byengera bya Mukama omulabiri wo kyobuusabuusa!."},{"id":56,"translation":"Ono (omubaka Muhammadi) mutiisa ali mu luse lwa batiisa abaakulembera."},{"id":57,"translation":"Enkomerero esembedde."},{"id":58,"translation":"Tewali ayinza kugizzaayo bweriba ezze mpozzi Katonda."},{"id":59,"translation":"Abaffe ebigambo bino bye mujereegerera."},{"id":60,"translation":"Nemuba nga museka nemutakaaba."},{"id":61,"translation":"Nga nammwe muzannya buzannyi."},{"id":62,"translation":"Kale muvunname ku lwa Allah era mumusinze (ekyo kye kisinga ebya mmwe bye mulimu)."}]},{"id":54,"verses":[{"id":1,"translation":"Enkomerero esembedde n'omwezi ne gubejjukamu."},{"id":2,"translation":"Bwe balaba ekya magero bakyawukanamu ne bagamba nti lino ddogo eritakoma."},{"id":3,"translation":"Olwo nno ne balimbisa era ne bagoberera okwagala kwabwe, so nga buli kigambo kirina engeri gye kirina okubaamu (nungi oba mbi)."},{"id":4,"translation":"Ate nga ddala gaabatuukako amawulire ago agaalimu okukanga (okwandibamaze ne batya Katonda)."},{"id":5,"translation":"(Kulaani eno) ejjudde amagezi etuukira ddala wala omuntu, (ekyekitalo) okutiisa kwokka tekumala (kwetagisaako okulungamya kwa Katonda)."},{"id":6,"translation":"Kale baveeko (olindirire) olunaku omukowooze lwalikowoola (abantu) kugenda eri ekintu ekitayagalwa."},{"id":7,"translation":"Amaaso gaabwe nga gatunudde wansi, baliva mu kabburi nga balinga ensenene ezisasaanye."},{"id":8,"translation":"Balisaayirira okugenda eri omukowooze nga abakafiiri bwe bagamba nti, luno lunaku luzito."},{"id":9,"translation":"Oluberyeberye lwabwe, abantu ba Nuhu balimbisa, olwo nno nebalimbisa omuddu waffe ne bagamba mbu muguwaddalu ate naatiisibwatiisibwa."},{"id":10,"translation":"Kyeyava asaba Mukama omulabirizi we nti mazima nze nnemereddwa n’olwekyo nziruukirira."},{"id":11,"translation":"Olwo nno netuggulawo emiryango gya waggulu ne tumuwa amazzi agafukumuka."},{"id":12,"translation":"Era ettaka netulifukumulamu ensulo amazzi (ag’emirundi ebiri) ne gasisinkana okusinziira ku kiragiro ekyagerwa edda."},{"id":13,"translation":"Netumusitulira na bonna abali naye mu lyato eryakolwa mu mbaawo ne misumaali."},{"id":14,"translation":"Nga liddukira (ku mazzi ago) ku lwa buyinza bwaffe, ekyo nga kusasula eri oyo eyali awakanyizibwa."},{"id":15,"translation":"Mazima (ekyafaayo ekyo) twakireka nga kya kuyiga, abaffe waliwo eyeebuliridde?."},{"id":16,"translation":"(Nebalaba nti) ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya!."},{"id":17,"translation":"Mazima Kulaani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde."},{"id":18,"translation":"Abeekika kya Aadi baalimbisa naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya."},{"id":19,"translation":"Mazima ffe twabasindikira kikungunta omukambwe, mu lunaku olwe kikwa ekitaasalako olunaku lwonna."},{"id":20,"translation":"Eyasikulanga abantu (okuva ku ttaka) nga bagwa nga ebikonge by'emitende ebisiguddwa."},{"id":21,"translation":"kale mwetegereze ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya!."},{"id":22,"translation":"Mazima Kulaani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde."},{"id":23,"translation":"Abeekika kya Thamudu baalimbisa okutiisa kwa (Nabbi waabwe Swaleh)."},{"id":24,"translation":"Olwo nno ne bagamba nti abaffe omuntu obuntu omu mu ffe, gwetuba tugoberera (netumala tukikola) olwo nno mazima ffe tujja kuba mu bubuze na bugwi bwa ddalu."},{"id":25,"translation":"Mu ffe fenna ye yaweereddwa obubaka! Nedda ssi bwekiri yye mulimba alina kyalubirira."},{"id":26,"translation":"Enkya bajja kumanya ani mulimba omwerazi."},{"id":27,"translation":"(Anti) mazima ffe tujja kuweereza engamiya nga kikemo gye bali, olwo nno batunuulire nkaliriza era oguminkirize (ku nneeyisa yaabwe embi)."},{"id":28,"translation":"Era bategeeze nti (okuva engamiya lwezze) ddala amazzi ga kugabanyizibwa wakati waabwe nayo, nga buli luwalo lutuukirizibwa, (nyinirwo yaalina okufuna amazzi keebe ngamiya oba bantu)."},{"id":29,"translation":"Olwo nno baakowoola mu nnaabwe neyeesowolayo naafumita (engamiya)."},{"id":30,"translation":"kale mwetegereze ebibonerezo byange n’okulabula byali bitya!."},{"id":31,"translation":"(Anti) mazima twabasindikira olubwatuka lumu, olwo nno ne baba nga ebisubi ebirinyiriddwa (omuzimbi w'ekiraalo nga aby'etooloza ekiraalo nga agenderera okukuuma ebisolo bye)."},{"id":32,"translation":"Mazima Kulaani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde."},{"id":33,"translation":"Abantu ba Luutu baalimbisa obubaka."},{"id":34,"translation":"Mazima ffe twabasindikira kibuyaga owa mayinja (eyabasanyaawo bonna) okugyako abantu b’o mu maka ga Luutu, twabawonya mu ttumbi."},{"id":35,"translation":"Ekyo kyengera okuva gye tuli bwe tutyo nno, bwe tusasula oyo eyeebaza."},{"id":36,"translation":"Mazima (Luutu) yabeekesa okukwata kwaffe wabula nebabuusabuusa okulabula (kwe)."},{"id":37,"translation":"Mazima baagezaako okumusendasenda abawe abagenyi be (babasiyage) olwo nno netuziba amaaso gaabwe, ne bakomba ku bibonerezo byange n'okulabula kwange."},{"id":38,"translation":"Era mazima ebibonerezo ebitasalako bya bazinda mu matulutulu."},{"id":39,"translation":"Kale nno mukombe ku bibonerezo byange n’okulabula kwange."},{"id":40,"translation":"Mazima Kulaani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde."},{"id":41,"translation":"Mazima okulabula kwajjira abantu ba Firawo."},{"id":42,"translation":"Baalimbisa ebigambo byaffe byonna, olwo nno netubakwata enkwata ya Nantakubwa ku mukono, nannyini buyinza."},{"id":43,"translation":"Abakafiiri ba mmwe be balungi okusinga abo! oba (ekibayinula) mulina akalagaane ku butavunaanwa nga kawandiikibwa mu bitabo ebitukuvu ebyasooka."},{"id":44,"translation":"Oba (ekibayinula lwakuba) bagamba nti ffe tuli bangi nga twegasse tusobola okwetaasa."},{"id":45,"translation":"(Zibasanze) ekibiina (ekyo) kijja kuwangulwa era bakubeyo amabega (badduke)."},{"id":46,"translation":"(Byonna bye baliko temuli) wabula olunaku lw’enkomerero ye ndagaano yaabwe era olunaku lw’enkomerero lwelusinga obukalubo n’obukaawu."},{"id":47,"translation":"Mazima abonoonyi bali mu bubuze na bugwi bwa ddalu."},{"id":48,"translation":"(Bandibadde bajjukira) olunaku lwe baliwalulwa ku byenyi byabwe mu muliro (nga bwe bagambibwa nti) mukombe ku bulumi bw’omuliro Sakara."},{"id":49,"translation":"Mazima ffe buli kintu twakitonda mu ngeri nga bwe kisaana okuba."},{"id":50,"translation":"(Ate mu kukola ebintu byonna) ekiragiro kyaffe tekiri okugyako kimu nga kiringa lutemya lwa liiso."},{"id":51,"translation":"Era ddala twazikiriza abafaanana nga mmwe, abaffe waliyo eyebuuliridde."},{"id":52,"translation":"Na buli kintu kyonna kye baakola kiri mu kitabo."},{"id":53,"translation":"Era buli kitono n'ekinene kyawandiikibwa."},{"id":54,"translation":"Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n’emigga (egiriba gikulukutira wansi waazo)."},{"id":55,"translation":"Mu kifo ekya mazima ew’omufuzi nannyini buyinza."}]},{"id":55,"verses":[{"id":1,"translation":"Omusaasizi nannyini kusaasira okugazi."},{"id":2,"translation":"Yayigiriza (omuntu) Kulaani."},{"id":3,"translation":"Yatonda omuntu."},{"id":4,"translation":"Yamuyigiriza okunnyonnyola."},{"id":5,"translation":"Enjuba n’omwezi bitambulira ku nteekateeka (eyabiweebwa)."},{"id":6,"translation":"Ebiddo n’emiti (bivunnama nga bisinza Katonda)."},{"id":7,"translation":"Era eggulu yalisitula era nassaawo obwenkanya."},{"id":8,"translation":"Mube nga temusukka ebipimo (mu kutuukiriza obwenkanya)."},{"id":9,"translation":"Era muyimirizeewo ebipimo mu bwenkanya era temukendezanga minzane."},{"id":10,"translation":"N'ensi yagiteerawo ebitonde."},{"id":11,"translation":"Nga erimu ebibala n’emitende egirina ebirimba."},{"id":12,"translation":"N'ebimera ebye mpeke eziri mu bikuta n’ebimera ebya kawoowo."},{"id":13,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":14,"translation":"Yatonda omuntu mu bumba eggumu eriringa ejjokye."},{"id":15,"translation":"Ate naatonda amajinni mu bitawuliro by’omuliro."},{"id":16,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":17,"translation":"Mukama omulabirizi w’o buvanjuba bwombi, era Mukama omulabirizi w'obugwanjuba bwombi."},{"id":18,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":19,"translation":"Yagatta enyanja ebbiri (ez’amazzi agenjawulo aganyweka na gatanyweka) zesisinkana."},{"id":20,"translation":"Wakati wa zombi waliwo ekyawula, tezigenda kwetabula."},{"id":21,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":22,"translation":"Ate nga mu zombi mwe muva Luulu ne Marijaani (amayinja ag’omuwendo)."},{"id":23,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":24,"translation":"Era gatambula ku lwo buyinza bwe amaato agakolwa ku lwo kutambulira ku nyanja nga galinga ensozi."},{"id":25,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":26,"translation":"Buli kyonna ekigiriko (ensi) kya kuggwawo."},{"id":27,"translation":"Olwo nno wasigalewo obwennyini bwa Mukama omulabirizi wo, nannyini kugulumizibwa era nannyini kitiibwa."},{"id":28,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":29,"translation":"Bimusaba ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi (naye nga) buli lunaku aba ku ngeri ndala (mu kugera kwe)."},{"id":30,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":31,"translation":"Tujja kubateerawo ekiseera mwe tulibalira buli omu abange mmwe ebitonde ebizito ebibiri (amajinni n’abantu)"},{"id":32,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":33,"translation":"Abange mmwe ab'oluse lwa majinni n’oluse lwa bantu, bwe muba musobola okuyita mu bitundu bye ggulu omusanvu n'ensi (mube nga mudduka ku Katonda) kale muyitemu (naye) temuyinza kuyitamu okugyako nga mulina obusobozi."},{"id":34,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":35,"translation":"Musindikirwa mwe ab'emirundi ebiri (amajinni n’abantu) ebitawuliro byo'muliro, n’ekikomo ekisaanuuse (naye temusobola kwetaasa)."},{"id":36,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":37,"translation":"Olwo nno eggulu bwe liribajjuka nerirabika nga ekimuli ekimyufu (olwamaanyi g’omuliro) neriba nga omuzigo omusanuuse."},{"id":38,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":39,"translation":"Ku lunaku olwo ekibi omuntu (kye yakola) tekigenda kubuuzibwa muntu mulala oba ejinni."},{"id":40,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":41,"translation":"Abonoonyi balimanyibwa olw'obubonero bwabwe, olwo nno nebakwatibwa ku nviiri z’o mu buwompo n’ebigere (nebamenyebwamu nebakasukwa mu muliro)."},{"id":42,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":43,"translation":"Baligamba nti guno gwe muliro Jahannama abonoonyi gwe baali balimbisa."},{"id":44,"translation":"Bagenda kwetoloolera wakati waagwo ne wakati w'olwegye oluyitirivu lwokwokya."},{"id":45,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":46,"translation":"Era oyo eyatya okuyimirira mu maaso gq Mukama omulabirizi we alina e jjana bbiri."},{"id":47,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":48,"translation":"Ezirimu amatabi agalanda."},{"id":49,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":50,"translation":"Mu zombi (e jjana) mulimu ensulo bbiri ezikulukuta."},{"id":51,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":52,"translation":"Mu zombi mulimu ku buli kika kya kibala emitindo ebiri ebiri."},{"id":53,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":54,"translation":"(Abalibeeramu) baliba bagalamidde ku byaliiro, nga munda mwabyo mulimu Liiri omuzito, nga ne nimiro za jjana zombi ebibala byamwo bireebeeta (byangu bya kulaba era byangu bya kunoga)."},{"id":55,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":56,"translation":"Mu zo (e jjana) mulimu abakyala abamaaso amakkakkamu (embeerera) nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe (abo abaliba babaweereddwa mu jjana)."},{"id":57,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":58,"translation":"(Olwo bulungi bwabwe) baliba nga Yaakut ne Marijaan (amayinja ag’omuwendo)."},{"id":59,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":60,"translation":"Abaffe empeera y’okukola obulungi (eyinza okuba ekintu ekirala kyonna) okugyako okusasulwa obulungi."},{"id":61,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":62,"translation":"Nga oggyeko ezo ebbiri baakufuna ate e jjana endala bbiri."},{"id":63,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":64,"translation":"Eza kiragala omukwafu."},{"id":65,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":66,"translation":"Mu zombi mulimu ensulo bbiri ezifukumuka amazzi."},{"id":67,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":68,"translation":"Mu zombi mulimu ebibala n’emitende ne nkoma mawanga."},{"id":69,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":70,"translation":"Muzonna awamu zirimu abakyala abalungi be mpisa era abalungi mu ndabika."},{"id":71,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":72,"translation":"Ba nalulungi abatafulumafuluma mu weema."},{"id":73,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":74,"translation":"Nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe, (abo abaliba babaweereddwa mu jjana).²"},{"id":75,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":76,"translation":"Baliba besigamye ku mitto egiriko ebibikka ebya kiragala ne byaliiro ebirungi ennyo."},{"id":77,"translation":"Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni)."},{"id":78,"translation":"Sukkulumu erinnya lya Mukama omulabirizi wo nannyini kugulumizibwa n’okuweebwa ekitiibwa."}]},{"id":56,"verses":[{"id":1,"translation":"Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka."},{"id":2,"translation":"Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa."},{"id":3,"translation":"Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi)."},{"id":4,"translation":"Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana."},{"id":5,"translation":"N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa."},{"id":6,"translation":"Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka."},{"id":7,"translation":"Era mmwe nemuba emitendera esatu."},{"id":8,"translation":"Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza?."},{"id":9,"translation":"Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza?."},{"id":10,"translation":"Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu."},{"id":11,"translation":"Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda)."},{"id":12,"translation":"Nga bali mu jjana ez'ebyengera."},{"id":13,"translation":"Bangi mu bibiina ebyasooka."},{"id":14,"translation":"Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammadi)."},{"id":15,"translation":"(Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo."},{"id":16,"translation":"Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya)."},{"id":17,"translation":"Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu."},{"id":18,"translation":"Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo."},{"id":19,"translation":"Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira."},{"id":20,"translation":"N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo."},{"id":21,"translation":"Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala."},{"id":22,"translation":"N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana."},{"id":23,"translation":"Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri."},{"id":24,"translation":"(Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi)."},{"id":25,"translation":"Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza."},{"id":26,"translation":"Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe."},{"id":27,"translation":"Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya?."},{"id":28,"translation":"Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa."},{"id":29,"translation":"N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye."},{"id":30,"translation":"N'ebisikirize ebigazi."},{"id":31,"translation":"N'amazzi agakulukuta awatali kusalako."},{"id":32,"translation":"N'ebibala ebingi."},{"id":33,"translation":"Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo."},{"id":34,"translation":"N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu."},{"id":35,"translation":"Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda."},{"id":36,"translation":"Olwo nno twabatonda nga mbeerera."},{"id":37,"translation":"Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa."},{"id":38,"translation":"Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo."},{"id":39,"translation":"Bangi mu bibiina ebyasooka."},{"id":40,"translation":"Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammadi)."},{"id":41,"translation":"Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya?."},{"id":42,"translation":"Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze."},{"id":43,"translation":"Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya."},{"id":44,"translation":"Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa."},{"id":45,"translation":"Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya."},{"id":46,"translation":"Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira)."},{"id":47,"translation":"Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba magumba gumba abaffe tulizuukizibwa!."},{"id":48,"translation":"Oba ba kitaffe abaakulembera."},{"id":49,"translation":"Bagambe ggwe (Nabbi Muhammadi) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma."},{"id":50,"translation":"Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa."},{"id":51,"translation":"Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa."},{"id":52,"translation":"Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu."},{"id":53,"translation":"Mulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe)."},{"id":54,"translation":"Olwo nno munywereko amazzi ageeseze."},{"id":55,"translation":"Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta."},{"id":56,"translation":"Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula."},{"id":57,"translation":"Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo)."},{"id":58,"translation":"Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana."},{"id":59,"translation":"Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi!."},{"id":60,"translation":"Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa."},{"id":61,"translation":"Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi."},{"id":62,"translation":"Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira."},{"id":63,"translation":"Abaffe mulaba ebyo bye mulima."},{"id":64,"translation":"Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza!."},{"id":65,"translation":"Singa twagala tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya."},{"id":66,"translation":"(Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa."},{"id":67,"translation":"(Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa."},{"id":68,"translation":"Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa."},{"id":69,"translation":"Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa."},{"id":70,"translation":"Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi)."},{"id":71,"translation":"Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma."},{"id":72,"translation":"Abaffe mmwe mwatonda omuti mwe mugukuma, oba ffe twagutandika."},{"id":73,"translation":"Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro)."},{"id":74,"translation":"Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa."},{"id":75,"translation":"Allah yalayira ebifo by'emunyenye.."},{"id":76,"translation":"Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi."},{"id":77,"translation":"Okuba nti ddala yo Kulaani yakitiibwa."},{"id":78,"translation":"Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu)"},{"id":79,"translation":"Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza)."},{"id":80,"translation":"Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde."},{"id":81,"translation":"Abaffe ebigambo bino (ebya Kulaani) mmwe bye mugayaalirira."},{"id":82,"translation":"Ne mufuula mukifo ky'okwebaza Allah ebyengera byeyabagabirira nga mwe muli n'okussa kulaan, kulimbisa!"},{"id":83,"translation":"Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa)."},{"id":84,"translation":"Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula."},{"id":85,"translation":"Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba."},{"id":86,"translation":"Kale singa mwali temufugibwa (Katonda)."},{"id":87,"translation":"Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima."},{"id":88,"translation":"Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda)."},{"id":89,"translation":"Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera."},{"id":90,"translation":"Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo."},{"id":91,"translation":"(Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olw;okuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo."},{"id":92,"translation":"Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze."},{"id":93,"translation":"(Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi."},{"id":94,"translation":"Nakwesogga muliro Jahiimu."},{"id":95,"translation":"Mazima ebyo ge mazima agannamaddala."},{"id":96,"translation":"Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa."}]},{"id":57,"verses":[{"id":1,"translation":"Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi bitendereza Katonda, era yye ye nnantakubwa ku mukono mugoba nsonga."},{"id":2,"translation":"Bubwe yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi, awa obulamu era natta, era yemuyinza ku buli kintu."},{"id":3,"translation":"Yye ye yasooka era ow'enkomerero, era yye yaali waggulu wa buli kintu, era yaa wansi, nga wansii we tewali kintu kirala, era yye amanyi ebifa ku buli kintu."},{"id":4,"translation":"Yye yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku omukaaga, oluvanyuma n'atumbiira waggulu wa Namulondo okubeera waggulu n'okutumbiira okumusaanira omugulumivu Allah, amanyi ebikka ku nsi nebigifuluma n'ebyo ebikka okuva mu ggulu nebiryambukamu, era yye aba wamu na mmwe wonna wemuba, era Katonda alabira ddala ebyo bye mukola."},{"id":5,"translation":"Bubwe yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi era eri Katonda ebintu byonna gye bizzibwa."},{"id":6,"translation":"Abuliza ekiro mu musana, era naabuliza omusana mu kiro, era yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba."},{"id":7,"translation":"Mukkirize Allah n’omubaka we, era mugabe kwebyo bya yabafuula abasigire mu byo, abo nno abakkiriza mu mmwe era ne bagaba, balina empeera ensuffu."},{"id":8,"translation":"Ye kiki ekibagaana obutakkiriza Allah ng’ate omubaka abakowoola mube nga mukkiriza Mukama omulabirizi wa mmwe, ate nga yabakozesa endagaano (kwekyo), bwe muba abakkiriza (nga mukyali ku ndagaano gyeyabakozesa)."},{"id":9,"translation":"Yye yooyo assa ku mudduwe (Muhammadi) ebigambo ebinnyonnyofu, abe nga abagya mu bizikiza mudde eri ekitangaala, era mazima Katonda mukwata mpola ku mmwe, musaasizi nnyo."},{"id":10,"translation":"Mutya bwe mutayinza kuwaayo mu kkubo lya Katonda ng’ate obusika bwe ggulu omusanvu n'ensi bwa Katonda, oyo eyawaayo mu mmwe nga obuwanguzi (bwe Makkah) tebunnabaawo, era nalwana (tayinza) kwenkana ne yakikola oluvanyuma) bali (abasoose) be be ddaala erya waggulu okusingaabo abaawaayo oluvanyuma era ne balwana. Naye nga bonna Allah yabalagaanyisa (okubasasula) ebirungi, Allah amanyidde ddala ebyo bye mukola."},{"id":11,"translation":"Ani oyo awola Allah oluwola olulungi, olwo nno alumubalizeemu, era nga alina empeera eweesa ekitiibwa."},{"id":12,"translation":"Olunaku lwoliraba abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, nga ekitangaala kyabwe kibali mu maaso gaabwe, ne ku mikono gyabwe egya ddyo nga ba Malayika babagamba nti ekyessanyu kya mmwe olwaleero ze jjana nga gikulukutira wansi waazo emigg, muli ba kuzibeeramu obugenderevu, ekyo kyo kwe kwesiima okusukkulumu."},{"id":13,"translation":"(Fumitiriza) olunaku abananfusi abasajja na bannanfusi abakazi lwe baligamba abo abakkiriza, nti mutulinde tulabise ku kitangaala kya mmwe, walirangirirwa nti mudde emabega wa mmwe (gye muvudde) munoonye ekitangaala, olwo nno waliteekwa wakati waabwe ekikomera nga kiriko omulyango, nga munda waakyo (ku ludda eribeera abakkiriza) waliyo okusaasira, ate nga ebweru waakyo (ku ludda eribeera abannanfuusi) ebibonerezo gyebiriba bisibuka."},{"id":14,"translation":"Balibakowoola (nga bagamba nti mutumma ekitangaala) abaffe tetwali na mmwe, baligamba nti wewaawo, naye mazima mmwe, mwesuula mu bikemo, ne mulindiriza, ne mubuusabuusa ,essuubi ekyavaamu neribagayaaza okutuusa ekigambo kya Katonda lwekyajja era ebigayaaza nebibajja ku Katonda."},{"id":15,"translation":"Kale nno olwaleero temuli ba kuggibwako nunuzi, wadde okugiggya kwabo abakaafuwala (mwenna) obuddo bwa mmwe muliro, ggwo gwe gubagyamu, naye nga buddo bubi."},{"id":16,"translation":"Abaffe ekiseera tekituuse eri abo abakkiriza okuba nga emitima gyabwe gigonda ku lwokwogera ku Allah, ne ku lwebyo ebyamazima ebisse, baleme kuba nga abo abaweebwa ekitabo (Tauraati ne Injili) oluberyeberye, olwo nno ekiseera ekyayitawo ku bo (wakati waabwe ne ba Nabbi) nekiwanvuwa, emitima gyabwe negikakanyala, era bangi mu bo bonoonyi."},{"id":17,"translation":"Mukimanye nti mazima Allah alamusa e Nsi n'okugimeza ng'ebadde ekaze, mazima tubannyonnyodde ebigambo (byaffe) mube nga mutegeera."},{"id":18,"translation":"Mazima abasajja abasaddaaka, na bakyala abasaddaaka, era ne bawola Katonda oluwola olulungi, (bye bawaayo) Katonda abibakubisizaamu, era balina empeera eyekitiibwa."},{"id":19,"translation":"Era abo abakkiriza Allah n'ababaka be, abo bbo be bakkiriza abannamaddala, na balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, balina empeera yaabwe n'ekitangaala kyabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, ate abo abakafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe, abo be ba nannyini muliro."},{"id":20,"translation":"Mumanye nti mazima obulamu bw'ensi muzannyo na binyumo, nakwewunda nakwewaana wakati wa mmwe, nakulaga bungi bwa mmaali na baana, (wabula ebyo tebisaana kubuza muntu) anti bifaananako enkuba (emeza ebirime) ebimera byabyo nebisanyusa abalimi, oluvanyuma nebikula, olwo nno noobiraba nga byengedde, oluvanyuma nebifuuka ebisusunku naye mu bulamu obwenkomerero waliyo ebibonerezo ebikakali. (nga era bwe waliyo) ekisonyiwo n’okusiima ebiva ewa Allah. Obulamu bw'ensi tebulina kye buli okugyako okuba okweyagala okugayaaza obugayaaza."},{"id":21,"translation":"Muvuganye nga mudda eri ekisonyiwo ekiva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe (era nga mudda), eri e jjana obugazi bwayo bwenkana obugazi bwe ggulu ne nsi nga yategekerwa abo abakkiriza Katonda nababaka be. Ebyo bigabwa bya Katonda, abiwa oyo gwaba ayagadde, era Katonda ye nnyini bigabwa ebisuffu."},{"id":22,"translation":"Tewali kabi kabaawo mu nsi, wadde okutuuka ku mmwe okugyako nga kaali mu kitabo nga tetunnaba ku katuusaawo, ddala ekyo kyangu nnyo ku Katonda."},{"id":23,"translation":"Kiri bwekityo, mulyoke muleme kusalirwa kwekyo ekiba kibasubye, era muleme kusanyuukirira olwekyo kyaba abawadde, Katonda bulijjo tayagala mwerazi omwewulize."},{"id":24,"translation":"(Abantu abo) beebo abakodowala ne bakalaatira n’abantu obukodo, oyo yenna akyuka (naava ku biragiro bya Katonda) mazima Katonda yye yaatali mwetaavu, atenderezebwa."},{"id":25,"translation":"Ddala twatuma ababaka baffe nga baleeta obunnyonnyofu netubassaako ekitabo (nga kirimu amateeka) era netubalagira okukozesa Minzaani, abantu babe nga bayimirizaawo obwenkanya, era netussa (wo) ekyuma nga kirimu amaanyi amasuffu n’emigaso (nfaafa) eri abantu, olwo nno Allah alyoke amanye oyo amutaasa era nataasa ababaka be, awamu n’okuba nti (Katonda) talabwa. Mazima Allah wa maanyi, nantakubwa ku mukono."},{"id":26,"translation":"Mazima twatuma Nuhu ne Ibrahim netussa muzadde lyabwe bombi obwa Nabbi n’ekitabo, olwo nno mu bo mulimu omulungamu naye abasinga obungi mu bo bonoonyi."},{"id":27,"translation":"Oluvanyuma twagobereza ku buufu bwabwe ba Nabbi baffe, kwabo twagoberezaako Isa mutabani wa Mariam, netumuwa ne Injil, era twassa mu mitima gyabo abamugoberera okulumiriganwa n'okusaasira, era bakolera ku bu sosodooti bwe baagunjaawo, tetububawandiikangako (wabula bo ba bwegunjirawo) mbu nga banoonya okusiima kwa Katonda, olwo nno ate tebabukolerako nga bwekyali kyetaagisa okubukolerako, kale netuwa abo abakkiriza mu bo empeera yaabwe, era abasinga obungi mu bo bonoonyi."},{"id":28,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mutye Allah era mukkirize n’omubaka we, ajja kubawa okusaasira kwe emirundi ebiri, era abateerewo ekitangaala nga kwe mutambulira, era abasonyiwe, bulijjo Allah musonyiyi nnyo, musaasizi."},{"id":29,"translation":"(Ebyo byonna lwakuba nti) abaweebwa ekitabo babe nga bamanya nti tebalina kintu kyonna ku bigabwa bya Katonda kye balinako buyinza, era bamanye nti ebigabwa byonna biri mu mukono gwa Allah, abiwa gwaba ayagadde, bulijjo Allah ye nanyini bigabwa ebisuffu."}]},{"id":58,"verses":[{"id":1,"translation":"Ddala Katonda awulidde ebigambo byo mukyala ey'emulugunyizza gyoli ku bba era n'awaaba eri Katonda era Katonda abadde awulira ebigambo bye mubadde muwanyisiganya anti Katonda bulijjo awulira era alaba."},{"id":2,"translation":"Abo bonna mu mmwe abagamba bakyala baabwe nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyabwe (abo be bakigamba) tebabangako ba maama baabwe. Ba maama baabwe beebo ababazaala. (mu kwogera batyo) mazima bbo boogera ekigambo ekibi. Mu kiseera kye kimu nga kigunje. Wabula mazima ddala Katonda alekera era asonyiwa."},{"id":3,"translation":"Abo bonna abazira bakazi baabwe olw'okulayira nti kubo balinga bannyaabwe ate oluvanyuma nebaddayo eri ekyo kye baali balayiridde (oyo akikola) ateekwa okuta omuddu nga tannaba kuddayo kulabagana namukyalawe. Ekyo nno kyemuteekwa okukola, anti Allah amanyi nnyo byonna byemukola."},{"id":4,"translation":"Oyo aba tasobodde kuta muddu nga tannalabagana na mukyalawe ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, wabula oyo aba tasobodde ateekwa okuliisa ba masikiini nkaaga. Ekyo kibafuule abakkiriza Allah n'omubakawe, ago mateeka ga Allah era bulijjo abawakanya amateeka g'a Allah, n'abawakanya eddiini ya Allah bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebiruma."},{"id":5,"translation":"Mazima abo abawakanya Allah n'omubakawe baswavu nga abaabasooka bwe baaswazibwa, ate nga twassa amateeka agannyonnyola (Haraamu ne Halaal) naye abo abagawakanya bajja kutuukibwako ebibonerezo ebigenda okubanyoomesa."},{"id":6,"translation":"Olunaku Allah lwalibazuukiza bonna n'ababuulira ebyo byebaakola, Allah yabikunganya n'abikomekkereza. So ng'ate bbo baabyerabira. Bulijjo Allah mujulizi ku buli kintu."},{"id":7,"translation":"Abaffe tomanyi nti mazima Allah amanyi ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, nga tewali kafubo konna kakabe k'abasatu okugyako nga yye waakuna n'okumanyakwe, wadde ak'abataano okugyako nga yye w'amukaaga wadde abatono abatenkana basatu oba abali waggulu w'omukaaga okugyako Allah aba nabo awo wonna webali, oluvanyuma Allah ku lunaku lw’enkomerero agenda kubategeeza ebyo byonna byebaali bakola. Anti Allah amanyi buli kintu kyonna."},{"id":8,"translation":"Abaffe tolaba abo abagaanibwa okukola obufubo (obwenkwe) oluvanyuma ne baddamu ekyo kyenyini ekyabagaanibwa, nga bogeraganya wakati waabwe mu nkukutu olw'okukola ebikyamu n'obulabe n'okujeemera omubaka. Era nga bwe baba bazze gyoli bakulamusa n'ekiramuso ekitali ekyo Katonda kyeyakutekerawo, nga bwe bagamba mu mitima gyaabwe nti lwaki Katonda tatubonereza olwebyo byetwogera. Omuliro Jahannama gwebagenda okuyingira gubamala. Nayo nno nkomerero mbi."},{"id":9,"translation":"Abange mmwe abakkiriza bwe mubanga muteesa mu kyama temuteesanga okukola ekibi kyonna oba obulabe oba okujeemera omubaka. Muteesenga byakukola bulungi nakutya Allah. Era mutye Katonda anti gyali gyemugenda okukunganyirizibwa."},{"id":10,"translation":"Mazima okuteeseganya mu kyama mu ngeri embi n'okukola obulabe kikolwa kya Sitaane (nga nekigendererwa kye) kunyiiza bakkiriza. Ekyo tekiyinza kubaleetera kabi konna, okugyako nga Katonda akkirizza era abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka."},{"id":11,"translation":"Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugambiddwa nti mwefunze mu ntuula (ne banammwe bafune ebifo) mukikole. Allah ajja ku basobozesa okugaziwa, ate bwe muba mugambiddwa okusituka (okuva mu kifo olwensonga yonna) musituke, anti Katonda asitula amadaala mu mmwe abakkiriza n'abo abaweebwa okumanya. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo webyo byonna byemukola."},{"id":12,"translation":"Abange mmwe abakkiriza bwemwagalanga okwogera n'omubaka musookenga ku saddaka, nga temunayogera naye. Ekyo kye kirungi gye muli era kyekisinga era kibatukuliza ddala. Naye bwe muba temulina kyemusadaka mazima Katonda musonyiyi waakisa."},{"id":13,"translation":"Abaffe muzitowereddwa okuwaayo saddaka nga temunnaba kwogera ne Nabbi. Kale bwekibanga kibalemye oba nga ne Katonda abasonyiye, kale nno muyimirizeewo e sswala mutoole e zzaka mugondere Allah n'omubakawe. Mazima Allah amanyidde ddala nnyo ebyo byemukola."},{"id":14,"translation":"Abaffe tewamanya abo abakwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira, abantu abo mu butuufu si ba mu mmwe wadde si ba mu bali (Bebakwanagana nabo) nebatuuka n'okulayira ku bulimba nga ate ddala bamanyi (ekituufu)."},{"id":15,"translation":"Katonda yabategekera ebibonerezo ebikambwe, anti mazima byonna byebaakolanga bibi."},{"id":16,"translation":"(Okulayira kwabwe nti basiramu) baakifuula ekyokuwona, olwo nno nebaziyiza abantu okukola emirimu gya Katonda, bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebinyoomesa."},{"id":17,"translation":"Emaali yaabwe n'abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu mumaaso g'a Allah. Abo be bantu bo mumuliro ab'okugubeeramu obugenderevu."},{"id":18,"translation":"Olunaku Allah lwalibazuukiza bonna nebamulayirira nga bwebaabalayirira mmwe ku nsi nga balowooza nti kyebakoze kyakubagasa. Abange, abo nno beebalimba bennyini."},{"id":19,"translation":"Sitaane yabeefunza okutuusa lweyabeerabiza okwogera ku Allah. Abo nno be bagoberezi ba Sitaane. Mukimanye nti mazima ab'ekibiina kya Sitaane be b'okufafaganirwa."},{"id":20,"translation":"Mazima abo abawakanya Katonda n'omubakawe ba mu bantu abanyoomebwa."},{"id":21,"translation":"(Allah) yakakasa dda nti nze Katonda n'ababaka bange tuli baakuwangula anti Katonda wamaanyi. Nnantakubwa ku mukono."},{"id":22,"translation":"Tewali bantu bonna abakkiriza Allah n'olunaku lw’enkomerero baalibadde batiitiibya abo abawakanya Allah n'omubakawe, kababe ba kitaabwe, oba baana baabwe, oba baganda baabwe, oba nga baaluganda lwabwe olwokumpi. Abo nno (abatakola ekyo) Allah yatebenkeza obukkiriza mu mitima gyabwe, naabawagira naamanyi agava gyali era nga agenda kubayingiza e jjana egikulukutira wansi waazo emigga, nga bakubeera mu zo olubeerera. Katonda yabasiima nga nabo bwebaamusiima. Kisaana kimanyike nti mazima abo b'ebantu ba Katonda abokwesiimira ddala."}]},{"id":59,"verses":[{"id":1,"translation":"Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitendereza Katonda nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mu ssa lyakyo."},{"id":2,"translation":"Y'eyafulumya abo abaakafuwala mu bayudaaya (Ab'ekiika kya ba Banu Nadhiri) mu ngeri y'okubawangangusa okuva mu mayumba gaabwe olufuluma olwasooka. Temulowoozangako mmwe abakkiriza nti (ba Banu Nadhiri) bayinza okugobwa ate bo (ba Banu Nadhiri) baalowooza nti ebigo byabwe bijja kulemesa Katonda okubatuusaako ekyo kyayagala. Katonda nakibatuusaako mu kiseera webaali batakisuubirira. Era Katonda nateeka mu mitima gyabwe okutya okwensusso nga bo bennyini be bemenyera amayumba gaabwe n'emikono gyabwe, n'emikono gya bakkiriza negikola ekyo. Kale nno abategeera mumwe mugyemu ekyokuyiga."},{"id":3,"translation":"Singa tekyali nti Katonda yabawandiikako okubawangangusa yaalibadde ababonereza kuno ku nsi, ate nga ne ku nkomerero abategekedde ebibonerezo byomuliro."},{"id":4,"translation":"Ekyo nno lwansonga yaakuba nti baawakanya Katonda n'omubakawe. Ate nga oyo yenna awakanya Katonda, amanye nti mazima Katonda muyitirivu waakubonereza."},{"id":5,"translation":"Emiti gye ntende gyonna gyemwatema oba jemwaleka nga giyimiridde nga bwegyali, ebyo byonna byakolebwa lwa kiragiro kya Katonda, era alyoke aswaze abo abonoonyi."},{"id":6,"translation":"Eyo emmaali Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza abalabe. (ba Banu Nadhiri) temwebagala nfaransi wadde engamiya okugenda gyebali. Wabula Katonda asobozesa ababakabe okuwangula oyo yenna gwaba ayagadde okuwangulwa, mazima Katonda asobola buli kintu kyonna."},{"id":7,"translation":"Emmaali eyo yonna Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza okuva mu byalo (bya ba Banu Nadhiri ng'olutalo luggweredde mu kutegeeragana) eba y'a Katonda, n'omubakawe, n'aboluganda lwa Nabbi olwokumpi, ne ba mulekwa, ne ba masikiini, n'abatambuze naabo abafunye ebizibu mu ngendo zaabwe. Emmaali eyo ereme kuba nga abeegasa nayo bagagga bokka mu mmwe. Ebyo byonna omubaka byaba abaleetedde mubitwale. Ate ebyo byonna byaba abaziyizza mubireke mutye Katonda anti Katonda muyitirivu w'akubonereza."},{"id":8,"translation":"Na bwe kityo abaavu abaasenguka okuva e (Makkah) ne bagobwa mu mayumba gaabwe ne balesebwa e mmaali yaabwe nga banoonya obulungi n'okusiima kwa Katonda era nga baali bataasa ddiini y'a Katonda n'omubakawe (balinako omugabo). Abo nno b'ebakkiriza abamazima."},{"id":9,"translation":"Abatuuze b'e Madina abaasooka okukkiriza obusiramu (ba Answar) baagala abo abaasengukira gyebali (ba Muhajiruuna), era tebalina nsaalwa yonna kwebyo ebyaweebwa bannabwe (ba Muhajiruna) era nga beeresa newakubadde nga balina obwetaavu bo bennyini. Omuntu awona omulugube, abo nno b'ebokwesiimira ddala."},{"id":10,"translation":"Naabo abajja oluvanyuma lwabwe babasabira nga bagamba nti ayi Katonda tusonyiwe ne baganda baffe abaatukulembera mu bukkiriza, era tossa mu mitima gyaffe nsaalwa yonna eri abo abakkiriza. Ayi Katonda waffe gwe musaasizi oweekisa ekingi."},{"id":11,"translation":"Abaffe tolaba (ggwe Nabbi Muhammadi) abananfuusi abagamba bannabwe abaakafuwala mu bayudaaya nti singa munaaba mugobeddwa naffe tujja kugenda nammwe. Era tetulikkiriza kigambo kyamuntu yenna ku bikwata ku mmwe. Era bwemulirwanyisibwa tugenda kubataasa. Ne Katonda akakasa nti mazima ddala baali balimba."},{"id":12,"translation":"Wabula singa (abayudaaya) bagobwa, abananfuusi tebagenda nabo. Ate ne bwebaba balwanyisiddwa tebabataasa. So nga ne bwebaba bagezezzaako okubataasa babaddukako, n'oluvanyuma nebatafuna kutaasibwa kwonna."},{"id":13,"translation":"(Abakkiriza), mwe mutiibwa mu mitima gyabwe okusinga bwe batya Katonda. Ekyo nno lwakuba nti bbo kibiina ky'abantu abatategeera."},{"id":14,"translation":"(Abayudaaya n'abananfunsi) tebayinza kubalwanyisa nga bali wamu okugyako nga bali mu byalo ebiriko ebigo, oba nga bali mabega w'abisenge. Obulabe wakati waabwe bokka buyitirivu obalowooza okuba nti bali wamu, so nga emitima gyaabwe myawukamu. Ekyo nno lwakuba nti bo kibiina kyabantu abatategeera."},{"id":15,"translation":"(Ba Banu Nadhiri) bafaanana naabo abaabakulembera e mabegako katono (Abakafiiri be Makkah abaawangulwa obubi ennyo ku lutalo lwe Badri) baaloza ku bukaawu bwe bikolwa byabwe (ku nsi) ate nga balinayo ebibonerezo ebiruma ennyo (ku nkomerero)."},{"id":16,"translation":"(Abananfuusi mu kusendasenda abayudaaya) balinga Sitaane bwe gamba omuntu nti kaafuwala. Wabula bwakaafuwala Sitaane emugamba nti nze siri naawe, mazima nze ntya Katonda omulezi w'ebitonde."},{"id":17,"translation":"Enkomerero y'a bombi neeba nga ddala baakubeera mu muliro olubeerera, eyo nno y'empeera y'a beeyisa obubi."},{"id":18,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mutye Allah, era omuntu atunule mu byategekedde olunaku lw'enkya. Bulijjo muteekwa okutya Allah, anti mazima Allah amanyidde ddala buli kye mukola."},{"id":19,"translation":"Temubeera nga abo abaava ku Allah, ekyavaako okuba nga Allah abeerabiza bye baali bateekwa okwekolera, abo nno be bonoonyi."},{"id":20,"translation":"Abantu bo mu muliro tebenkana na bantu ba mu jjana, abo abaliyingira e jjana be bokwesiima."},{"id":21,"translation":"Singa twassa Kulaani eno ku nsozi wandizirabye nga zigonze, era nga zimerenguse olw'okutya Allah. Ebifaananyi ng'ebyo tubikubira abantu bibasoboseze okufumitiriza (bategeere Allah)."},{"id":22,"translation":"Yye Allah, yooyo tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako ye yekka, amanyi ebitalabwa n'ebirabwa. Yye yemusaasizi, oweekisa ekibuna kuno ku nsi, aliba n'ekisa ekyenjawulo ku lunaku lw'enkomerero."},{"id":23,"translation":"Yye Katonda, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, omufuzi wa buli kintu, atuukiridde mu buli kimu, kiwamirembe, akakasa obukkiriza bwa baddube, kalondoozi wa buli kintu, nantakubwa ku mukono, kkirimaanyi, kabwejungira. Katonda wanjawulo nnyo kwe byo bye bamugattako."},{"id":24,"translation":"Yye Allah, yooyo omutonzi, eyatandikawo ebitonde mu kubitonda nga talina kyalabirako, eyafaananya buli kintu nga bwa kyagala, alina amannya amalungi, buli ekiri mu ggulu n'ensi kimutendereza. Era yye Katonda, ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga."}]},{"id":60,"verses":[{"id":1,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temufuulanga abalabe bange era abalabe ba mmwe mikwano gyammwe egy'omunda, so nga baawakanya amazima agaabajjira okuva ewa Katonda ne bagobaganya omubaka awamu nammwe (okuva mu Makkah), olwokuba nti mukkiriza Katonda omulezi wa mmwe. Bwe muba mufulumye olw'okulwana mu kkubo lyange era nga munoonya okusiima kwange, (temukukutanga ne mubabuulira ebyama byammwe) nga mukolagana nabo mu ngeri y'ekyama ate nga nange manyi ebyo bye mukisa ne byemwolesa. Oyo yenna akikola mu mmwe aba avudde ku kkubo ettuufu."},{"id":2,"translation":"Bwe babagwikiriza awantu wonna boolesa obulabe gye muli ne babagalulira emikono gyabwe (mu kubalwanyisa), era ne baboolekeza ennimi zaabwe (mu kubavuma) mu ngeri embi. Era nga beegomba nti singa muwakanya Allah n'omubakawe."},{"id":3,"translation":"Enganda zammwe wadde abaana ba mmwe tebagenda kubagasa ku lunaku lw'enkomerero. Katonda agenda kulamula wakati wa mmwe, anti Katonda alabira ddala ebyo bye mukola."},{"id":4,"translation":"Mazima mulina ekyokulabirako ekirungi ekya Nabbi Ibrahimu n'abakkiriza abaali naye, mu kiseera we baagambira bannaabwe nti mazima ffe tubesammudde n'ebyo bye musinza ebitali Katonda (ali omu). Tubawakanyizza era waliwo wakati waffe nammwe obulabe n'obukyayi obw'olubeerera, mpozzi nga mukkirizza Katonda ali omu. Okugyako ekigambo kya Ibrahim kye yagamba kitaawe oluberyeberye nti nja kwegayirira ddala Katonda akusonyiwe, era sirina kintu kyonna kyenyinza kukugasa ewa Katonda. Ayi Katonda waffe ggwe wekka gwetwesiga. Era tukwenenyerezza. Era gyoli gyetujja okudda."},{"id":5,"translation":"Ayi Mukama Katonda waffe totufuula kikemo eri abo abaagaana okukkiriza era tusonyiwe ayi mukama waffe, anti mazima ggwe nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo."},{"id":6,"translation":"Mazima mulina ekyokulabirako ekirungi ku bo (Nabbi Ibrahim n'abakkiriza abaali naye) ekyo kiri eri buli asuubira okufuna e mpeera okuva ewa Katonda ku lunaku lw'enkomerero. Naye oyo yenna anaaba akyuse (naava ku kukkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero), mazima ddala Katonda yye talina kye yetaaga okuva eri bitondebye, atenderezebwa bulijjo."},{"id":7,"translation":"Wabula Katonda asobola okussa wakati wa mmwe ne be muwalaggana nabo e nkolagana ennungi. Anti Katonda muyinza, era Katonda musonyiyi omusaasizi."},{"id":8,"translation":"Katonda tabagaana ku kolagana naabo ababa tebabalwanyisizza olw'eddiini, era abatabagobaganya mu nsi yammwe mutuuke okuba nga temubayisa bulungi n'okubakolera obwenkanya, anti mazima Katonda ayagala abenkanya."},{"id":9,"translation":"Mazima ddala Katonda abagaana okukolagana naabo abaabalwanyisa olw'eddiini, ne babagobaganya okuva mu nsi yammwe, ne bakola kinene nnyo mu kubagobaganya. Oyo yenna akolagana nabo, abo nno be balyazamanyi."},{"id":10,"translation":"Abange mmwe abakkiriza singa abakyala abakkiriza babajjira nga basenguse mubagezesenga. Yye Allah obukkiriza bwabwe aba abumanyi, bwe mukakasa nti bakkiriza temubaddizanga abakafiiri, abakyala bano tebali Halali ku bakafiiri abo nga n'abakafiiri abo bwe batali halali ku bakyala abo, wabula bo abasajja (Abakafiiri) mubaddize bye baawaayo mu kubawasa, olwo nno tekiba kibi bwe mubawasa nga mubawadde amahare gaabwe. Temwesiba ku kuwoowa okwekikafiiri kwe mwakola nabo. Mubasabe babaddize byemwawaayo nga nabo bwe basobola okusaba bye bawaayo. Ebyo nno kwe kulamula kwa Katonda kwabalamuza. Anti Allaj mumanyi nnyo ateeka buli kintu mussa lyakyo."},{"id":11,"translation":"Singa omukyala w'omu ku mmwe ava mu busiramu nadda mu bukafiiri kemulwanagana nabo ne mumala mufunayo eminyago muteekwa okusasula abo abaddukwako bakyala baabwe ekigero kyekyo kye bawaayo nga babawasa. Bulijjo muteekwa okuba nga mutya Katonda oyo gwemukkiriza."},{"id":12,"translation":"Owange ggwe Nabbi abakkiriza abakyala bwebajja gyoli nga bakuba ekirayiro mu maasogo, nti tebagenda kugatta ku Katonda kintu kyonna, era nga tebagenda kubba, wadde okwenda oba okutta abaana baabwe, era tebajja kusiba ba bbaabwe baana bebazadde mu bwenzi, nga era bwe batagenda kukujeemera mu kukola ekirungi kyonna, naawe nno bawe obukakafu era wegayirire Katonda abasonyiwe, anti mazima ddala Katonda musonyiyi nnyo omusaasizi."},{"id":13,"translation":"Abange mmwe abakkiriza temukwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira. Anti bo tebalina ssuubi ku lunaku lw'enkomerero, nga abakafiiri bwebatalina ssuubi ku bikwata ku bantu abali emagombe."}]},{"id":61,"verses":[{"id":1,"translation":"Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitendereza Katonda nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mu ssa lyakyo."},{"id":2,"translation":"Abange mmwe abakkiriza lwaki mwogera ebyo bye mutakola."},{"id":3,"translation":"Kisunguwalirwa nnyo ewa Katonda okwogera bye mutakola."},{"id":4,"translation":"Mazima Katonda ayagala abo abalwana mu kkubolye, nga basimbye ennyiriri, ne baba nga ekizimbe, nga e bitundu byakyo bikwatagana bulungi."},{"id":5,"translation":"Mu ngeri y'emu bajjukize ekyafaayo kya Musa bwe yagamba abantube nti, lwaki munnyiiza ng'ate mumanyidde ddala nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gweyabatumira. Bwe baabula, Katonda kwekubuza emitima gyabwe, anti Katonda talungamya bantu bajeemu."},{"id":6,"translation":"Era bajjukize e kyafaayo kya Isa mutabani wa Mariam bwe yagamba abaana ba Israel nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gye muli, nga nkakasa Taurat eyankulembera era nga mpa amawulire ag'essanyu ag'omubaka alijja oluvanyuma lwange, nga erinyalye ye Ahmad. Wabula omubaka (Muhammadi) oyo bwe yabajjira n'obubonero obunnyonnyofu, ate bo ne bagamba nti lino ddogo eryeyolefu."},{"id":7,"translation":"Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera Katonda ebyobulimba, so nga bulijjo ayitibwa okujja eri obusiramu. Katonda talungamya bantu abeeyisa obubi."},{"id":8,"translation":"(Mu kukola ekyo) baagala kuzikiza kitangaala kya Katonda n'emimwa gyabwe. Sso nga Katonda waakujjuza e kitangaalakye newakubadde nga abakafiiri tebakyagala."},{"id":9,"translation":"Katonda yooyo eyatuma omubakawe ng'amuwadde obulungamu n'eddiini entuufu. Bulyoke bukye enkya nga yeddiini ewangudde newakubadde nga abagatta ku Katonda ebintu ebirala tebakyagala."},{"id":10,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mwandyagadde mbalagirire ebyettunzi ebiribawonya ebibonerezo ebiruma."},{"id":11,"translation":"(Nabyo) muteekwa okukkiriza Katonda n'omubakawe, ne mulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, nga muwaayo emmaali yammwe, nga nammwe mwennyini mwenyigiramu. Ekyo nno kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi."},{"id":12,"translation":"(Anti bwe mukola ebyo) Katonda ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe, abayingize e jjana ezikulukutiramu emigga era mugenda kufuna obutuulo obulungi mu jjana ez'olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusuffu."},{"id":13,"translation":"Era mufune n'ekirala nga nakyo mukyagala, nakyo kwe kutaasa kwa Katonda n'obuwanguzi obwamangu. Era sanyusa abakkiriza (nti byonna bagenda kubifuna)."},{"id":14,"translation":"Abange mmwe abakkiriza musituke mutaase e ddiini y'a Katonda. Kibe nga Issa mutabani wa Mariam bwe yagamba abagoberezibe abenjawulo nti, baani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda. Abagoberezibe abenjawulo kwe kuddamu nti ffe twewaddeyo okutaasa e ddiini ya Katonda. Ekyavaako ogutundu ku baana ba Israel okukkiriza, n'ekitundu ekirala okukaafuwala. Naffe ne tutaasa abo abakkiriza ku mulabe waabwe, ne bukya enkya nga be bali waggulu."}]},{"id":62,"verses":[{"id":1,"translation":"Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Allah omufuzi wa buli kintu, omutukuvu mu buli kimu, nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo."},{"id":2,"translation":"Yye yooyo eyatuma eri abo abataamanya kusoma na kuwandiika omubaka (Muhammadi) nga ava mu bo ng'abasomera e bigambo bya Katonda era nga abatukuza (okubajja mu bukafiiri) era nga abayigiriza ekitabo (Kulaani) n'ebiva mu Hadith so nga oluberyeberye (nga Nabbi tannatumwa) baali mu bubuze obw'olwatu."},{"id":3,"translation":"Era yamutuma n'eri abalala nga ba mu bo, naye nga balijja luvannyuma lwabwe (nabo be basiramu abalala bonna abakkiriza Nabbi Muhammad abataamulabako okutuusiza ddala ku lunaku lw'enkomerero) era yye Katonda, ye nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo."},{"id":4,"translation":"Ebyo bye birungi bya Katonda byawa oyo gwaba ayagadde. Mazima Katonda ye nannyini birungi ebisukkulumu."},{"id":5,"translation":"Ekifaananyi kyabo abaaweebwa Taurat ne batagikozesa, balinga endogoyi ey'etikka ebitabo (nga tesobola kwe gasa nabiri mu bitabo ebyo), kibi nnyo ekifaananyi ekyo, ekyabo abalimbisa ebigambo bya Katonda. Bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi."},{"id":6,"translation":"Bagambe (ggwe Nabbi Muhammadi) nti abange mmwe abayudaaya bwe muba nga mweyita abaagalwa ba Katonda (mwe mwekka) so ssi abantu abalala, kale nno mwegombe okufa bwe muba nga muli ba mazima."},{"id":7,"translation":"Tebagenda kwe gombera ddala kufa, olwebyo byebaakola. Bulijjo Katonda amanyi nnyo abeeyisa obubi."},{"id":8,"translation":"Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima okwo okufa kwe mudduka kwakubatuukako, oluvanyuma muzzibwe eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabika. Ate nno olwo alyoke abategeeze ebyo byonna bye mwali mukola."},{"id":9,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, bwe baaziinanga olw'esswala (ye jjuma) ku lunaku lw'okutaano, mwanguwenga okugenda eri okwogera ku Katonda, ate muyimirize emirimu. Ekyo kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi."},{"id":10,"translation":"E sswala bweggwa, olwo nno mugende mu nsi munoonye ebigabwa bya Katonda, mwogere nnyo ku Katonda mulyoke mwesiime."},{"id":11,"translation":"Bwe balaba ebyo busuubuzi, oba ebya masanyu, banguwa okugenda gyebiri ne bakuleka nga oyimiridde. Bagambe nti ebya Katonda bye birungi okusinga ebya masanyu n'obusuubuzi, ate nga Katonda yaasinga abagabi bonna."}]},{"id":63,"verses":[{"id":1,"translation":"Abannanfuusi bwe bajja gy'oli (Ggwe Nabbi Muhammadi (ﷺ)) bagamba nti tukkiriza nti mazima ddala ggwe oli Mubaka wa Katonda. Ne Katonda akimanyidde ddala nti mazima gwe oli Mubakawe, ate era Katonda akakasa nti mazima abannanfuusi balimba nnyo."},{"id":2,"translation":"Ekyo kulayira kwabwe (nti basiramu) bakifuula ekyokulwanyisa ekibawonya, olwonno ne balyoka baziyiza abantu okuyingira mu ddiini y'a Katonda. Mazima bibi nnyo ebyo bye baali bakola."},{"id":3,"translation":"Ekyo kiri bwe bityo lwa kuba baalangirira obukkiriza n'ennimi za bwe, so nga munda bakafiiri. Olwo nno e mitima gyabwe negiteekebwako envumbo ne babeera nga tebategeera."},{"id":4,"translation":"Bwo batunulako, e mibiri gyabwe gikusanyusa, bwe boogera toyinza butatwala kigambo kyabwe, balinga ebiti ebyesigamiziddwa ku kisenge nga tebiyinza kwetengerera, buli lwonna lwe bawulira akakuba bagamba nti bubakeeredde, abo be balabe, n'olwekyo beegendereze, Katonda yabakolimira, ggwe ate bandivudde batya ku mazima."},{"id":5,"translation":"Singa baba bagambiddwa nti mujje eri omubaka wa Allah abasabire e kisonyiwo, banyeenya e mitwe n'obalabira ddala nga bajeemye era nga beekuluntazza."},{"id":6,"translation":"Okubasabira e kisonyiwo n'obutabasabira byonna bifaanana, Katonda tagenda kubasonyiwa, anti Katonda talungamya bantu boononyi."},{"id":7,"translation":"Be bamu be bo abagamba nti temuwaayo kintu kyonna eri abo abali awamu n'omubaka wa Katonda okutuusa lwe banamwabulira. So nga amawanika g'omuggulu n'ensi gonna ga Allah. Naye mazima abannanfuusi tebategeera."},{"id":8,"translation":"Baatuuka n'okugamba nti bwe tunadda e Madina (okuva mu lutalo lwa ba Bani Al Mus-twalik) abasinga okuba ab'ekitiibwa bajja kugoba mu (Madinah) abanyoomebwa. So nga e kitiibwa n'obuwanguzi bya Katonda n'omubakawe n'abakkiriza naye mazima abananfusi tebamanyi."},{"id":9,"translation":"Abange mmwe abakkiriza, ebyo bugagga byamwe n'abaana bamwe tebibawugulanga ne bibajja ku kwogera ku Katonda, oyo yenna akikola, abo nno be bokufaafaaganirwa."},{"id":10,"translation":"Era mugabe kwe byo bye twabawa walumbe nga tannatuuka ku omu ku mmwe, naatuuka okulaajana nga agamba nti, ayi mukama omulezi wange singa ondeseewo akabanga ne nsadaakako era ne mbeera mu balongoofu."},{"id":11,"translation":"Sso nga Katonda tagenda kulindiriza mwoyo gwonna entuuko yaagwo bweriba nga etuuse, Katonda bulijjo muyitirivu w'akumanya ebyo byonna bye mukola."}]},{"id":64,"verses":[{"id":1,"translation":"Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda, obufuzi bwonna n'amatendo gonna bibye, anti ye muyinza wa buli kintu."},{"id":2,"translation":"Yye yooyo eyabatonda nga mu mmwe mulimu abawakanya Allah n'abakkiriza. Lubeerera Katonda alaba bye mukola."},{"id":3,"translation":"Yatonda eggulu n'ensi lwa nsonga. Ekifaananyi kye yabatonderako kye kisingira ddala okuba ekirungi. Era gyali gye mugenda okudda."},{"id":4,"translation":"Amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi, era nga bwa manyi bye mukweka ne bye mwolesa. Anti Katonda amanyi ebiri mu bifuba."},{"id":5,"translation":"Abaffe amawulire gaabo abaawakanya Allah oluberyeberye lwa mmwe tegaabatuukako, ekyabaviirako okuba nga bakomba ku bukaawu bwo bukafiri bwabwe. Era bagenda kutuukwakwo e bibonerezo ebiruma."},{"id":6,"translation":"Olwe'nsonga nti ababaka baabwe baabaleeteranga obubaka obujjudde obunnyonnyofu, bo ne bagamba nti omuntu obuntu yajja atulungamye! ekyo ne kibakaafuwaza, ne baba nga tebakyayagala kuwulira kikwata ku bubaka, ne Katonda naaba nga takyabeetaaga. Anti Katonda bulijjo talina kye yataaga, era nga bulijjo atenderezebwa."},{"id":7,"translation":"Abatakkiriza Katonda beerimba nga bagamba nti tebagenda kuzuukizibwa. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammadi nti ssi bwekiri. Ndayira Katonda omulezi wange ddala mujja kuzuukizibwa, oluvanyuma mujja kutegeezebwa ddala ebyo bye mwakola, nekyo nno kyangu nnyo ku Katonda."},{"id":8,"translation":"Kale nno mukkirize Katonda n'omubakawe n'ekitangaala (Kur'ani) kye twassa, ne Katonda bulijjo mumanyi nnyo weebyo bye mukola."},{"id":9,"translation":"Mujjukire olunaku Katonda lwa libakunganya ku lunaku lw'enkomerero, olwo lwe lunaku oluliraga okufaafaganirwa (eri abakafiiri), oyo yenna akkiriza Katonda naakola e mirimu emirungi, Katonda amusangulako ebibibye, era agenda kumuyingiza e jjana ezikulukutiramu e migga, nga baakuzibeeramu lubeerera. Okwo nno kwe kwesiima okuyitirivu."},{"id":10,"translation":"Naye ate abo abaakafuwala ne balimbisa n'ebigambo byaffe, abo nno b'ebantu bo mu muliro, ba kubeera mu gwo olubeerera, eyo nkomerero mbi."},{"id":11,"translation":"Tewali buzibu bwonna butuuka ku muntu okugyako nga Katonda akkirizza, oyo yenna akkiriza Katonda, Katonda alungamya omutimagwe. Mazima bulijjo Katonda mumanyi nnyo wa buli kintu."},{"id":12,"translation":"Mugondere Katonda era mugondere omubakawe. Naye bwe munaayawukana kwe kyo, ye omubaka waffe (tanenyezebwa) obuvunaanyizibwabwe, kwe kutuusa obubaka mu bujjuvu."},{"id":13,"translation":"Allah ye yekka asinzibwa mu butuufu, tewali kisinzibwa mu butuufu okujjako Ye, abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka."},{"id":14,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mazima mu bakyala bammwe n'abaana ba mmwe mulimu abalabe, n'olwekyo mubeegendereze. Naye bwe mubaddiramu ne mubalekera, ne mubasonyiwa, mazima Katonda muyitirivu waakusonyiwa asaasira ennyo."},{"id":15,"translation":"Mazima e byobugagga bya mmwe n'abaana ba mmwe kikemo, ng'ate ewa Allah we wali empeera ensukkulumu."},{"id":16,"translation":"Kale nno mutye Allah nga bwe muba musobodde, muwulire era mugonde, mu ngeri yeemu mugabe ku lwa Katonda, ekyo nno kye kirungi gye muli. Oyo yenna awonyezebwa omulugube gwo mwoyogwe, abo nno be b'okuganyulwa."},{"id":17,"translation":"Singa muwola Katonda oluwola olulungi, alubabalizaamu era n'abasonyiwa ebyonoono bya mmwe, bulijjo Katonda asiima era wa kisa."},{"id":18,"translation":"(Katonda oyo) amanyi ebitalabwako n'ebirabwa, nantalemwa, akola buli kintu nga mukenkufu mu nsonga yonna."}]},{"id":65,"verses":[{"id":1,"translation":"Owange ggwe Nabbi, bwe muba nga muta abakyala ne mubawa ttalaka , mubate nga bali ku mbeera eyobutukuvu (Nga tebali mu Haidhi oba nga tebali munnaku zaabwe ezabuli mwezi), mubalenga n'obwegendereza ebbanga lya Idda (Idda kye kiseera omukyala ateereddwa kyamala nga tannaba kuddira bbaawe eyamuwa ttalaka). Era mutye Katonda omulezi wa mmwe, temwetantalanga okubaggya mu mayumba gaabwe (mwe babadde bawangaalira nga bali mu bufumbo bwa bwe), so nga nabo tebavanga mu mayumba ago okugyako nga bakoze ebikolobero eby'olwatu. Ezo z'ensalo z'amateeka ga Allah. Oyo yenna abuuka ensalo z'amateeka ga Katonda, aba y'eryazaamanyizza, tomanya oba olyawo Allah naaleetawo embeera endala oluvanyuma lw'ekyo."},{"id":2,"translation":"Kale nno bwe baba nga basemberedde okumalako ebbanga lya Idda yaabwe mubaddirengamu, mu ngeri ennungi, oba mwawukane nabo mu ngeri ennungi (ebbanga lya Idda bwe riba liweddeko). Mubeerewo n'abajulizi babiri abeesimbu mu bantu ba mmwe, muwenga obujulizi mu bwe simbu kulwa Katonda, ebyo nno bibuulirirwa nabyo oyo yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero. Bulijjo oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu ng'afunye emitwaana."},{"id":3,"translation":"Era naamugabirira mu ngeri gyatasuubira, era oyo yenna eyeesiga Allah, Allah amumala, anti Allah ekigambokye kye kyenkomeredde, mazima Allah yategeka ekigero kya buli kintu."},{"id":4,"translation":"Abo bonna mu bakyala ba mmwe abatakyagenda mu nsonga za Heidh, bw emutankananga ebbanga lya Idda yaabwe, balindenga emyezi esatu. Wabula abo abatanayingira mu nsonga za Haidh Idda yaabwe emyezi esatu. Naye abo abali embuto ebbanga lyabwe kumala kuzaala. Oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu mu buli kintu."},{"id":5,"translation":"Ekyo kiragiro kya Allah kye yassa gye muli, oyo yenna atya Katonda amusangulako ebibibye ate naamwongeza empeera."},{"id":6,"translation":"(Abakyala abaweereddwa ttalaka) mu basuzenga mu mayumba mwe musula okusinziira ku busobozi bwa mmwe, temubatulugunyanga, nga ekigendererwa kubanyigiriza (balemererwe), naye bwe babanga bali mbuto mubalabirirenga okutuusa lwe bazaala. Ate (bwe babanga bazadde) nebabayonseza abaana, mubasasulenga. Era mukkiriziganye mu ngeri ennungi, naye bwe mubanga mulemaganye olwo nno munoonye omulala anaayonsa."},{"id":7,"translation":"Omusajja alina okulabirira omukyala okusinziira ku busobozibwe, nooyo Katonda gwe yawa ebyenfuna ebinafu naye alabirira omukyala okusinziira nga Katonda bwe yamuwa, Katonda tawaliriza muntu yenna okusukka kwe byo bye yamuwa. Katonda ajja kuteekawo obwangu oluvanyuma lwo buzito."},{"id":8,"translation":"Ebitundu bimeka nga abantu baayo bajeemera Katonda omulezi waabwe n'ababaka beyabatumiranga, ne tubibala olubala oluyitirivu era ne tubibonereza olubonereza olukambwe."},{"id":9,"translation":"(Ebitundu ebyo) ne bikomba ku bukaawu bw'obujeemu bw'abyo, n'eba nga enkomerero y'obujeemu bwabwe kufaafaganirwa."},{"id":10,"translation":"Allah yabategekera ebibonerezo ebikambwe, kale nno mutye Katonda abange mmwe abalina amagezi agategeera, abange mmwe abakkiriza. Anti Katonda yassa gye muli obubaka obujjukiza (Kulaani)."},{"id":11,"translation":"Omubaka nga abasomera ebigambo bya Katonda ebinnyonnyola, nga ekigendererwa kwe kugya mu bizikiza abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi n'abazza mu kitangaala. Oyo yenna akkiriza Katonda n'akola e mirimu e mirungi, Katonda agenda kumuyingiza mu jjana, nga e migga gikulukutira muzo, baakubeera muzo olubeerera. (Omuntu ow'engeri eyo) Katonda yamutebenkereza enfuna (mu bulamu obwo luvannyuma)."},{"id":12,"translation":"Allah yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naazitonda omuwendo gwe gumu, kikka ekiragiro ky'okugera kwe, n'eky'amateekaage wakati we ggulu n'ensi mulyoke mumanye nti, mazima Allah musobozi ku buli kintu, era mazima Katonda mumanyi wa buli kintu."}]},{"id":66,"verses":[{"id":1,"translation":"Owange ggwe Nabbi lwaki oziza ebyo Katonda bye yakukkiriza, nga onoonya okusiimisa bakyalabo. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira."},{"id":2,"translation":"Allah yabateerawo engeri gye muva mu birayiro byemuba mukoze, anti bulijjo aba nammwe, ate nga yye muyitirivu wa kumanya, buli kyakola akikola lwa nsonga."},{"id":3,"translation":"Era jjukira Nabbi bwe yabuulira omu ku bakyalabe (Hafuswa) ekyama, omukyala oyo bwe yamala okwogera ekyama ekyo, ate Katonda n'akitegeeza Nabbi. Nabbi n'amubuulirako ebimu ebirala n'abireka. Nabbi olwa kibuulira omukyala oyo (omukyala n'amubuuza) nti ani yakikugambye (Nabbi n'amuddamu nti) eyakintegeezezza ye muyitirivu w'okumanya omukenkufu (Katonda)."},{"id":4,"translation":"Singa munaaba mwenenyezza mwembiriri (Hafuswa ne Aisha) ewa Katonda (kye kirungi gye muli), anti emitima gya mmwe gyawaganyadde. Naye bwe munamwekalakaasizaako, (mumanye nti) mazima Katonda ali ku luddalwe, ne Jiburilu, n'abakkiriza abalongoofu, ne ba Malayika bonna oluvanyuma lw'ekyo ba kumuyambako."},{"id":5,"translation":"Singa anaba abatadde, Katonda omuleziwe, ajja kumuwaanyisizaamu abakyala abalala abasinga ku mmwe, nga basiramu nnyo, bakkirizza, nga bagonvu nnyo, nga beenenya era nga basinza nnyo Katonda, abatambulira mu kumutya, kababe nga baafumbirwako oba nga tebafumbirwangako."},{"id":6,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mwewonye muwonye n'abantu ba mmwe omuliro, nga gukumirwa ku bantu na mayinja, gukuumibwa ba Malayika abakambwe abaamanyi ennyo, tebajeemera Allah mu kyonna kyaba abalagidde, ate nga bakola ekyo kyonna kye baba balagiddwa."},{"id":7,"translation":"(Ku lunaku lw'enkomerero abawakanya Allah n'omubaka we baligambibwa nti) Abange mmwe abawakanyi temwetonda olwaleero, mazima mugenda kusasulwa ebyo bye mwakola."},{"id":8,"translation":"Abange mmwe abakkiriza mwenenyeze Allah olwenenya olwa namaddala. Omulezi wa mmwe Katonda kikakafu ajja ku basangulako ebyonoono bya mmwe era abayingize ejjana ezikulukutirwamu e migga. Olunaku Allah lwataliweebuula Nabbi na bakkiriza abali naye. Ekitangaala kyabwe nga kibeetoolodde mu maaso ne ku ddyo waabwe, nga bagamba nti ayi omulezi waffe tulekerewo e kitangaala kyaffe era otusonyiwe (ebyonoono byaffe) anti mazima ggwe oli musobozi ku buli kintu."},{"id":9,"translation":"Owange Omubaka, lwanyisa Abatakkiriza n'abannaanfuusi era bakambuwalire, obuddo bwabwe muliro Jahannama, bubi obuddo."},{"id":10,"translation":"Katonda yakubira abatakkiriza Allah n'omubakawe ekifananyi kya muka Nuhu ne muka Luutu. Baali bakyala b'a baddu ababiri mu baddu baffe abalongoofu, naye nno ne babakumpanya (n'obutakkiriza Katonda). Nabbi Nuhu ne Luutu tebaalina kye baagasa bakyala baabwe ewa Katonda. Ne bagambwa (Abakyala bombi) nti muyingire omuliro awamu naabo abaguyingira."},{"id":11,"translation":"Era Katonda yakubira abakkiriza e kifaananyi kya muka Firawo mu kiseera weyasabira (Katonda) nti: Ayi omulezi wange nzimbirayo enyumba gy'oli mu jjana era omponye Firawo n'ebikolwabye, omponye n'abantu abeeyisa obubi."},{"id":12,"translation":"Era Katonda yakuba e kifananyi kya Mariyamu muwala wa Imran oyo eyeekuuma kale netufuuwa mu ye omwoyo ogwava gye tuli era Mariam nakkiriza ebigambo bya Katondawe n'ebitabobye, n'abeera nga ali mu basinza Katonda abagonvu."}]},{"id":67,"verses":[{"id":1,"translation":"Mukama Katonda nanyini buyinza bwonna musukkulumu, era nga muyinza w'abuli kintu."},{"id":2,"translation":"Oyo eyatonda okufa n'obulamu, olwokubageseza alabe ani asinga okukola obulunji. Era ye nantakubwa ku mukono omusonyiyi."},{"id":3,"translation":"Oyo eyatonda eggulu omusanvu nga myaliro, toyinza kulaba mu kutonda kw'omusaasizi kamogo konna w'etegereze abaffe olabamu obukyamu bwonna."},{"id":4,"translation":"Era zzaayo amaaso emirundi nemirundi eriiso lijja ku kuddira nga likooye era nga tolina kyofunyeeyo."},{"id":5,"translation":"Mazima eggulu eriri okumpi n'ensi twalinyiriza nemunyeeye ezaaka, era nga bitawuliro ebigoba Sitani era Sitani ezo twazitegekera ebibonerezo byomuliro saeer."},{"id":6,"translation":"Ate bbo abaawakanya omulezi waabwe twabategekera ebibonerezo by'omuliro Jahannama era buliba buddo bubi."},{"id":7,"translation":"Bwe baligusuulwamu bagenda kuguwulira nga gutokota era nga gufuuwa."},{"id":8,"translation":"Nga gubula okweyuzaamu, era buli lwegunasuulibwangamu ekibinja abakuumi bagwo banababuuzanga nti: temwajjirwa muntu yenna abatiisa (muliro guno)?"},{"id":9,"translation":"Baliddamu nti weewawo omutiisa yatujjira naye netumulimbisa era netumugamba nti Allah tassanga bubaka bwonna, ebyo byemulimu bubuze obuyitirivu."},{"id":10,"translation":"Era baligamba nti singa twali tuwulira oba nga tutegeera (ebyatugambwanga) tetwandibadde bamu kwabo abayingira omuliro."},{"id":11,"translation":"Nebeekakasaako ekyonoono kyabwe okufaafaganirwa kuli ku bantu bo mumuliro."},{"id":12,"translation":"Mazima abo abatya omulezi wabwe awamu n'okuba nga talabika, bagenda kufuna ekisonyiwo n'empeera ennene."},{"id":13,"translation":"Kyekimu mukwese ebigambo byamwe oba mubyatudde mazima yye amanyi ebiri mu bifuba"},{"id":14,"translation":"Abaffe eyatonda ayinza obutamanya nga ate ye muyitirivu w'okumanya era nga mukugu nnyo!."},{"id":15,"translation":"Yye yooyo eyabafuulira ensi enyangu, kale mutambule mu bitundu byayo mulye mu bigabwabye (riziki ze) era jali jemugenda okudda."},{"id":16,"translation":"Musuubidde okuwona oyo ali waggulu ensi n'etabamira singa eba etabanguse."},{"id":17,"translation":"Oba musuubidde okuwona oyo ali waggulu n'atabasindikira muyaga, wabula mujja kumanya okulabula kwange nga bwekwali okukulu."},{"id":18,"translation":"Abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa, naye tewamanya kyennabatusaako."},{"id":19,"translation":"Abaffe tebalaba ebinyonyi ebibuukira waggulu wabwe nga byanjuluza ebiwawaatiro era ngabwebiwumbako, tewali kibikuumira mu bbanga okujjako Katonda omusaasizi, mazima ye alaba buli kintu."},{"id":20,"translation":"Oba ani oyo asobola okubalwanirira n'abataasa atali Katonda omusaasizi, abawakanyi tebalina kyebaliko okujjako mawaggali."},{"id":21,"translation":"Ye abaffe ani oyo ayinza okubagabirira singa Katonda abajjako okugabirira kwe. Wabula baagwa mu kateebe k'okuwalaza empaka n'okwewaggula."},{"id":22,"translation":"Ye abaffe oyo atambula akotese kyenyikye y'abeera kubulungamu oba oyo atambula nga yeegolodde ngali ku kubo eggolokofu?!"},{"id":23,"translation":"Bagambe nti Katonda y'eyabatandikawo n'abassako amatu n'amaaso n'abawa n'emitima wabula mwebaza kitono."},{"id":24,"translation":"Bagambe nti Katonda yoyo eyabassa munsi era nga mugenda kuzuukizibwa mudde jali."},{"id":25,"translation":"Era bagamba nti eyo endagaano eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima!."},{"id":26,"translation":"Bagambe nti okumanya okujjuvu okukwata ku nsonga eyo kuli wa Allah, naye nze ndi mutiisa owolwatu."},{"id":27,"translation":"Bwe baliraba ebibonerezo nga bisembedde, ebyenyi byabo abagaana omukkiriza Allah nomubaka we bigenda kwekaba, awo balyoke bategezebwe nti ekyo nno kye mwagambanga nti kirituukaddi."},{"id":28,"translation":"Bagambe nti, mulaba mutya singa Allah anzikiriza n'abo abali nange oba n'atusaasira anti obuyinza bwonna buli jali, naye ani alitaasa abatakkiriza Allah n'omubaka we ku bibonerezo ebiruma."},{"id":29,"translation":"Bagambe nti yye Katonda omusaasizi gwetukkiriza era yekka gwetwesiga wabula lumu mulimanya ani ali mu bubuze obweyolefu."},{"id":30,"translation":"Bagambe nti mulaba mutya singa amazzi gammwe bukya nga gakalidde ani ayinza okubawa amazzi agakulukuta amayonjo."}]},{"id":68,"verses":[{"id":1,"translation":"Nuuni, yemu kunyukuta ezikola walifu empalabu. Ndayidde ekalamu nebyebajiwandiisa."},{"id":2,"translation":"Mazima Gwe Muhammad ekyengera kyobwa Nabbi omulezi wo kyeyakuwa tekiyinza ku kufuula mulalu."},{"id":3,"translation":"Era ddala mazima olina empeera etakutukawo."},{"id":4,"translation":"Era mazima ddala gwe oli kumpisa enene mubuluunji."},{"id":5,"translation":"Ojja kulaba nga nabo bwebagenda okulaba."},{"id":6,"translation":"Ani kumwenna eyatukwako ekizibu kyeddalu."},{"id":7,"translation":"Mazima omulezi wo amanyidde ddala ani eyabula okuva ku kubolye era nga bwamanyidde ddala abalungamu."},{"id":8,"translation":"Kale nno togondera abo abalimbisa."},{"id":9,"translation":"Bandyagadde nti singa obagondera nabo nebakugondera."},{"id":10,"translation":"Era togeza n'ogondera buli alayiralayira ataliimu nsa."},{"id":11,"translation":"Omugeyi atambuza olugambo."},{"id":12,"translation":"Omukodo, omulumbaganyi omwononefu."},{"id":13,"translation":"Mubi nnyo ate awamu n'ekyo mwana w'abwenzi."},{"id":14,"translation":"Tomugondera olwokuba alina emmali n'abaana."},{"id":15,"translation":"Omuntu oyo bwasomerwa ebigambo byaffe agamba nti nfumo z'abantu abedda."},{"id":16,"translation":"Kulunaku lw’enkomerero tugenda kussa kunyindo ye akabonero akamulamba nga tanayingizibwa muliro."},{"id":17,"translation":"Mazima ffe twagezesa abantu be Makkah bwetwabaleetera enjala nga bwetwagezesa abantu ab'alina enimiro yaabwe abalayira nti baali bagenda kukungula kumakya nnyo, olwo nno baleme kugabirako bantu balala."},{"id":18,"translation":"Wabula beerabira okugamba nti Insh'allah."},{"id":19,"translation":"Katonda n'ajisindikira nabbambula w'omuliro ogwa jizikiriza ekiro nga beebase."},{"id":20,"translation":"Okugenda okukya ngankalu ng'eriinga enkungule."},{"id":21,"translation":"Nebatandika okwekowoola kubudde bwokumakya."},{"id":22,"translation":"Nga bagamba nti muzuukuke mugende mu nimiro yammwe bwe muba ddala nga munakungula nga bwemwagambye."},{"id":23,"translation":"Baatambula nga bogera bwama."},{"id":24,"translation":"Nga bwebagamba nti tebagenda kukkiriza Masikiini yenna kuyingira mu samba yaabwe."},{"id":25,"translation":"Baatambula kumakya okwo nga bakakasa nti bagenda kutuukiriza kyebaali basazeewo eggulo limu."},{"id":26,"translation":"Bwebaalaba ennimiro yaabwe b'agamba nti tuli babuze."},{"id":27,"translation":"Si kye kyokka wabula ffe tummiddwa okukungula ebibala."},{"id":28,"translation":"Eyali abasingako eddiini n'obuntu bulamu nabagamba nti ssabagambye nti obutawaako banaku buba bulyazamanyi bwennyini, era kati kyetuteekwa okukola kwekutendereza Katonda kuba tetunamanya yatusonyiye oba nedda."},{"id":29,"translation":"Olwo nno nebagamba nti yayawukana omulezi waffe mazima twabadde balyazamaanya."},{"id":30,"translation":"Awonno baatandika okuwaanyisiganya ebigambo nga abamu banenya bannabwe."},{"id":31,"translation":"Nebagamba nti mazima ffe tubadde bajeemu."},{"id":32,"translation":"Tusaba Katonda waffe emmali yaffe etokomose atuwanyisizeemu ebirunji, mazima ddala ew'omulezi waffe yokka jetusaba obuyambi."},{"id":33,"translation":"Bwebityo nno ebibonerezo bwebiba naye wabula ebibonerezo by'olunaku lw’enkomerero byebisinga obukakali singa baba ddala nga bamanyi."},{"id":34,"translation":"Mazima abatya Katonda balina ejjana ez'ebyengera ewa Katonda waabwe"},{"id":35,"translation":"Gwe ate abakkiriza twalibayisizza nga abonoonyi?!"},{"id":36,"translation":"Mwabaaki mulamula mutya ebintu!."},{"id":37,"translation":"Simanyi mulinayo ekitabo mwemubisoma."},{"id":38,"translation":"Era nga mukitabo ekyo mulimu nti mwe mulyesalirawo kyemwagala ku lunaku lw'enkomerero."},{"id":39,"translation":"Oba mulina endagano jetwabawa nga etuukira ddala ku lunaku lw'enkomerero ngebawa ebbeetu okwesalirawo nga bwemulaba."},{"id":40,"translation":"Babuuze ani eyesowolayo abe nga akulembera endowooza eyo."},{"id":41,"translation":"Oba balinayo (ababeesiguza) nga babayita babeezi ba Katonda, kale nno bajjanga nabo bwebaba nga bogera mazima."},{"id":42,"translation":"Ku lunaku olulibeera olw'okubikkula ku ntumbwe. Balikowoolwa okuvunnamira Katonda naye nga tebasobola."},{"id":43,"translation":"Nga amaaso gaabwe makakkamu olw'obuswavu, nga bajjudde okunyomebwa so nga ate baakowolwa okuvunnamira Katonda nga bakyali balamu ne batakikola."},{"id":44,"translation":"Kale ndeka noyo alimbisa ebigambo bino tujja kubatwaliriza mpola mpola nga tebamanyi."},{"id":45,"translation":"Era mbalindiriza, mazima entegeka zange nnywevu."},{"id":46,"translation":"Oba obasaba omusaala nebaba nga bakaluubirirwa okusasula."},{"id":47,"translation":"Oba balina okumanya ebyekusifu ne baba nga bo bawandiika ebyekusifu bye bamanyi nebaba nga tebetaaga ggwe kubategeeza."},{"id":48,"translation":"Kale nno beera mugumikiriza ku kusalawo kwa kw'omulezi wo, tobeera nga ow'ekyennyanja (Nabbi Yunus) eyatuuka okukowoola (Katondawe okumutaasa) nga ajjudde obunyiikaavu."},{"id":49,"translation":"Singa teyafuna kyengera ekyava ew'omulezi we (ekyokukiriza okwenenyakwe) yandikasukiddwa mu nsi enkalu (etariiko bulamu) era nga anenyezebwa."},{"id":50,"translation":"Wabula omulezi we yamulekera obwa nabbi era namuteeka mu bantu abalongofu."},{"id":51,"translation":"Abatakkiriza Allah n'omubaka we basemberera ddala okukuzikiriza n'amaaso gaabwe amabi (olw'ekkonda eriri ku myoyo jabwe) bwe bawulira qur'an era ne bagamba nti mazima yye (Nabbi) mulalu."},{"id":52,"translation":"So ng'ate (qur'an) teri okujjako kya kujjukiza eri ebitonde."}]},{"id":69,"verses":[{"id":1,"translation":"Olunaku olwokwolesa amazima (olunaku lw’enkomerero)."},{"id":2,"translation":"Olunaku lwokwolesa amazima kyeki."},{"id":3,"translation":"Naye omanyi olunaku olwokwolesa amazima kyeki."},{"id":4,"translation":"Abantu ba Thamud n'aba A'adi baalimbisa olunaku olwentiisa."},{"id":5,"translation":"Naye abantu ba Thamud bazikirizibwa nakubwatuka okwamanyi."},{"id":6,"translation":"Ate ba A'adi nebazikirizibwa nakibuyaga owamanyi ennyo eyalimu obunyogovu."},{"id":7,"translation":"Jeyabamazaamu ebiro musanvu nenaku munaana awatali kuyimiriramu, walaba abantu nga bagudde eri nga balinga enduli zemitende ezikutuddwako amasanso."},{"id":8,"translation":"Gwe mu kulaba waliwo eyawona."},{"id":9,"translation":"Farawo, n'abamukulembera, n'abo abali kubyalo bya Luutu nebajja nokwonoona."},{"id":10,"translation":"Nebajeemera omubaka womulezi wabwe gwe yabatumira. kye yava abakwata olukwata oluyitirivu."},{"id":11,"translation":"Aba Nuhu amazzi bwegaabooga okubawonya twabasaabaliza mulyato."},{"id":12,"translation":"Olwo nno tulyoke tukibafuulire mwe ekyokwebuulirira era gakitegeere amatu agategeera."},{"id":13,"translation":"Naye engombe bwerifuyibwa olufuuwa olusooka."},{"id":14,"translation":"Era ensi nensozi nebirisitulwa nebimementulwa omulundi gumu."},{"id":15,"translation":"Olwo nno olunaku lw’enkomerero luliba lutuuse."},{"id":16,"translation":"Eggulu ligenda kweyasaamu, nga ku lunaku olwo ligenda kuba ligoonvu ngasi kyamanyi ngabweriri kati"},{"id":17,"translation":"Nga ba Malayika bali kumabbali galyo, nga waggulu waabwe kulunaku olwo ba Malayika munaana beebalisitula Arishi y'omulezi wo."},{"id":18,"translation":"Kulunaku olwo mugenda kuleetebwa mubalibwe tewali kintu kyonna kyemukola kigenda kwekweka."},{"id":19,"translation":"Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwaddyo agenda kugamba nti abange mujje musome ekitabo kyange."},{"id":20,"translation":"Mazima nali nkakasa nti ngenda kubalibwa."},{"id":21,"translation":"Oyo nno agenda kubeera mu bulamu obwesiimisa."},{"id":22,"translation":"Mu jjana ey'a waggulu."},{"id":23,"translation":"Ebibala byayo nga birengejjera kumpi."},{"id":24,"translation":"Kale mulye era munywe muyogeyoge olwebyo byemwakulembeza mu nnaku ezaayita."},{"id":25,"translation":"Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwa kkono aligamba nti zinsanze singa siwereddwa kitabo kyange."},{"id":26,"translation":"Era nessimanya kubalibwa kwange."},{"id":27,"translation":"Waakiri singa bwennafa kyekyamala nessizuukira."},{"id":28,"translation":"Ebyobugagga byange tebingasizza."},{"id":29,"translation":"Sikyalina byakuwoza."},{"id":30,"translation":"Mu kiseera ekyo Katonda agenda kulagira nti mumukwate mumulijje."},{"id":31,"translation":"Bwemumala mumukasuke mu muliro."},{"id":32,"translation":"Bwemumala mumuyiseemu olujegere oluwanvu bwalwo obwenkana emikono nsanvu."},{"id":33,"translation":"Anti yali takkiriza Allah owekitiibwa."},{"id":34,"translation":"Era nga takubiriza kuliisa banaku."},{"id":35,"translation":"N'olwekyo olwaleero wano talinawo nfanfe we"},{"id":36,"translation":"Era talina kulunaku olwo kyakulya okujjako amasira."},{"id":37,"translation":"Ebintu ebitayinza kulibwa okujjako abonoonyi."},{"id":38,"translation":"Ndayira ebyo byemulaba."},{"id":39,"translation":"Nebyo byemutalaba"},{"id":40,"translation":"Mazima qur'an bigambo bya Katonda byeyassa ku mubaka (Nabbi Muhammad) ow'ekitiibwa."},{"id":41,"translation":"Era yo ssi bigambo bya mutontomi. Ngamukkiriza kitono!."},{"id":42,"translation":"Era sibigambo bya mulaguzi. naye mufumitiriza kitono (nemutasobola ku byawula?!)."},{"id":43,"translation":"Yassibwa okuva ew'omulabirizi w’ebitonde."},{"id":44,"translation":"Singa yetantala (Muhammad) natwogeza ebigambo byetutaamutuma."},{"id":45,"translation":"Twalimukutteko n'amanyi."},{"id":46,"translation":"Oluvanyuma netumukutula omusuwa gw'obulamu."},{"id":47,"translation":"Era tewali mumwe ayinza kutulemesa kutuukiriza ekyo."},{"id":48,"translation":"Mazima yyo qur'an kyakwebuulirira eri abatya Katonda."},{"id":49,"translation":"Era mazima ddala tumanyi nti mu mmwe mulimu abalimbisa (qur'an)."},{"id":50,"translation":"Era mazima okujirimbisa (qur'an) kugenda kubeera kwejjusa kunene eri abawakanyi."},{"id":51,"translation":"Era mazima yo qur'an ge mazima aga namaddala."},{"id":52,"translation":"Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa."}]},{"id":70,"verses":[{"id":1,"translation":"\"Mu ngeri y'okunyomerera\" omu kubawakanya Allah\" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja."},{"id":2,"translation":"Bituuke kubawakanya Allah nomubaka we nga tewali agenda kubigaana kubatuukako."},{"id":3,"translation":"Nga biva eri Allah nnyini madaala agalinya muggulu."},{"id":4,"translation":"Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana emyaka emitwalo etaano (ej'okunsi)."},{"id":5,"translation":"Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulunji."},{"id":6,"translation":"Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala."},{"id":7,"translation":"Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi."},{"id":8,"translation":"Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse."},{"id":9,"translation":"Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa."},{"id":10,"translation":"Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku nga nfe we."},{"id":11,"translation":"Bajja kulaba nga omwonoonyi olwokwagala okuwona ebibonerezo byolunaku olwo, aliyagala okwenunula nga awaayo abaanabe."},{"id":12,"translation":"Nemukyalawe ne mugandawe."},{"id":13,"translation":"N'ekika kye ekimukuuma."},{"id":14,"translation":"Nabantu bonna abali munsi, nga ekyo akikola awone ebibonerezo bya Allah."},{"id":15,"translation":"Tekigenda kuba nga bwayagala, mazima ayolekedde omuliro ogubumbujja."},{"id":16,"translation":"Ogusiriiriza ddala eddiba."},{"id":17,"translation":"Gugenda kukowoola buli eyakubayo amabega nakyuka okuva ku mazima."},{"id":18,"translation":"Era nga yakungaanyanga emmali najitereka \"natajjaamu mugabo gujitukuza\"."},{"id":19,"translation":"Mazima omuntu yatondebwa nga wamulugube."},{"id":20,"translation":"Nga bwatuukibwako akabi ayitirira okutya."},{"id":21,"translation":"Ate bwaba afunye akalungi ayitirira obukodo."},{"id":22,"translation":"Okujjako abo abayimirizaawo esswala."},{"id":23,"translation":"Abo nga okusaala kwabwe kwalubeerera."},{"id":24,"translation":"Era abo mu by'obugagga byabwe mulimu omugabo ogumanyiddwa."},{"id":25,"translation":"Ogw'abasabilizi n'abo abatalina naye nga bessaamu ensa ne batasaba."},{"id":26,"translation":"Era bebo abakakasa okubeerawo kw'olunaku lw'enkomerero."},{"id":27,"translation":"Era abo abatya ebibonerezo by'omulezi waabwe."},{"id":28,"translation":"mazima ebibonerezo by'omulezi wabwe sibyangu byakuwonwa."},{"id":29,"translation":"Era abo abakuuma obwerere bwabwe."},{"id":30,"translation":"Okujjako ku bakyala babwe oba abazaana abali mu mikono jabwe, anti bo tebanenyezebwa kwabo."},{"id":31,"translation":"Omuntu asukka kw'abo, abo nno be babuusi bensalo."},{"id":32,"translation":"Era abantu abalungi abogeddwako waggulu, bebatuukiriza obwesigwa bwabwe nendagaano zaabwe."},{"id":33,"translation":"Era abo abeesimbu mu bujulizi bwabwe."},{"id":34,"translation":"Era abo abasaala esswala zaabwe mu bujjuvu."},{"id":35,"translation":"Abo nno balibeera mu Jjana nga bagulumizibwa."},{"id":36,"translation":"Lwaki abatakkiriza Allah bajja joolinga banguwa \"so nga ate bakulimbisa\"."},{"id":37,"translation":"Nga bali ku mukono gwo ogwa ddyo ne ku mukono ogwa kkono mu bibinja."},{"id":38,"translation":"Buli omu kubo asuubira okuyingizibwa ejjana eyebyengera."},{"id":39,"translation":"Nedda sibwekiri, mazima ffe twabakola nga tubajja mwebyo byebamanyi."},{"id":40,"translation":"Ndayira omutonzi era omulezi nannyini buvanjuba nobugwanjuba, mazima ffe tusobolera ddala."},{"id":41,"translation":"Mazima ffe tusobola okubawanyisaamu abalunji ababasinga era tetuli ffe baakulemesebwa."},{"id":42,"translation":"Kale baleke balimbe era bazannye okutuusa lwe balisisinkanyizibwa olunaku lwabwe lwe balaganyisibwa."},{"id":43,"translation":"Olunaku lwebalifuluma mu ntaana zaabwe nga baduma nga balinga abagenda eri bendera ebatereddwawo."},{"id":44,"translation":"Nga amaaso gabwe makakkamu, obuswavu nga bubabuutikidde, olwo lwe lunaku lwe balaganyisibwa."}]},{"id":71,"verses":[{"id":1,"translation":"Mazima ffe twatuma Nuhu eri abantu be. Nti tiisa abantubo ebibonerezo abiruma ennyo nga tebinabajjira."},{"id":2,"translation":"Naabagamba nti abange bantu nange mazima nze ndi mutiisa owolwatu."},{"id":3,"translation":"Nti musinze Allah era mu mutye nange mungondere."},{"id":4,"translation":"Olwo nno ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe (bye mwakola nga temunnaba kukkiriza mubaka era alyoke abawonye okuzikirira n'ebibonerezo ebibamalawo olumu). Abalindirize abatuuse ku ntuuko ze yabagerera. Mazima entuuko za Allah bweziba zituuse tezirindirizibwa singa mumanyi."},{"id":5,"translation":"Awamu nekyo tebakkiriza, Nuhu n'agamba nti ayi omulezi wange nkowodde abantu bange ekiro n'emisana."},{"id":6,"translation":"Wabula okukowoola kwange tekubongedde okujjako okunnesamba."},{"id":7,"translation":"Mazima buli lwembadde mbakowoola badde eri okusonyiwa kwo bassa ennwe zaabwe mu matu gaabwe, ne beebikka engoye zaabwe, ne bakalambira era ne beekuluntaza olw'ekuluntaza."},{"id":8,"translation":"Ate era mazima mbakowodde mulwatu."},{"id":9,"translation":"Era oluvanyuma njogedde nabo mu lujjudde nga bwenjogedde nabo kinnomu."},{"id":10,"translation":"Nembagamba nti mwegayirire omulezi wammwe kubanga mazima yye bulijjo musonyiyi."},{"id":11,"translation":"Olwonno ajja kubatonnyeseza enkuba ey'omuddiringanwa."},{"id":12,"translation":"Era abawe mu buunji emmaali n'abaana, abawe n'amasamba abateeremu n'emigga."},{"id":13,"translation":"Naye lwaki Allah temumuwa kitiibwa."},{"id":14,"translation":"Sso nga yabatonda ngabayisa mumitendera ejenjawulo."},{"id":15,"translation":"Abaffe temulaba engeri Allah jeyakolamu eggulu omusanvu nga myaliiro."},{"id":16,"translation":"Nassaamu omwezi nga kitangaala nassamu n'enjuba ng'eyaka."},{"id":17,"translation":"Allah yabatandika ng'abajja muttaka nemujja nga mukula nga ebimera bwe bikula."},{"id":18,"translation":"Oluvanyuma abazza mu ttaka nga era bwagenda okubazuukiza alibajjemu bulambalamba (nga temuyise mu mitendera nga ebimera)."},{"id":19,"translation":"Era Allah yabateerawo ensi nga esoboka okuwangalirwako."},{"id":20,"translation":"Mube nga musobola okutambulira muyo nga mukwata amakubo ge muba mwagadde."},{"id":21,"translation":"Nuhu kwekugamba nti, ayi mukama wange mazima ddala abantu abo banjemedde nebasalawo okugoberera oyo yenna emmaali ye n'abaana be bebitayongera okujjako okufafaganirwa."},{"id":22,"translation":"Nebakola ekwe sinziggu (bwebagezaako okutta Nuhu)."},{"id":23,"translation":"Era nebagamba nti temugeza nemuva ku ba Katonda ba mmwe naddala Wadda ne Suwa'a ne Yaguutha ne Yauuqa ne Nasira."},{"id":24,"translation":"Nabwekityo baabuza abantu banji (Nange -Muhammad okusaasira kubeere kuyye- kyenva nkusaba nti) mukama Katonda abantu abeyisa obubi tobongera okujjako okubula."},{"id":25,"translation":"Olwobwonoonyi bwabwe baazikiziribwa nebayingizibwa n'amataba era nebayingirizibwa omuliro era tebaafuna abataasa yenna."},{"id":26,"translation":"Nuhu kwekugamba nti, ayi omulezi wange toleka kunsi yenna atakukkirizza n'omubaka wo"},{"id":27,"translation":"Mazima Dala gwe bw'onabalekawo bajja kubuza abaddu bo era buli gwebanazaala ajja kuba mwononefu omuwakanyi."},{"id":28,"translation":"Ayi Mukama Katonda omulezi wange nsonyiwa ne bakadde bange na buli yenna anaayingira mu nju yange nga mukkiriza, era nkusaba osonyiwe abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakyaala, wabula bo abeeyisa obubi tobongera okujjako okuzikirira."}]},{"id":72,"verses":[{"id":1,"translation":"Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti nafuna obubaka nga waliwo amajinni agamu agaawuliriza nga nsoma qur'an negagamba nti mazima qur'an tujiwulidde nga yewuunyisa."},{"id":2,"translation":"Elungamya oyo ajiwuliriza okudda eri obulungamu era naffe tujikkirizza, era tetugenda kuddayo kugatta kumulezi wadde kintu kirala."},{"id":3,"translation":"Era mazima ekitiibwa kya Mukama Katonda omulezi waffe kisukkulumu, tayinza kuba nti yeteerawo omukyala wadde omwana."},{"id":4,"translation":"Era mazima ddala ababuyabuya muffe baayogera nga ku Allah ebigambo ebitemerera."},{"id":5,"translation":"Era mazima ddala ffe twalowoozanga nti abantu na majjini baali tebayinza kwogera ku Allah byabulimba."},{"id":6,"translation":"Era mazima Waliwo abantu abamu abaasabanga obuyambi okuva eri amajinni ekyagongera okuwaganyala."},{"id":7,"translation":"Era mazima ddala amajinni gaalowooza nga bwemwalowooza nti Katonda talizuukiza muntu yenna."},{"id":8,"translation":"Era mazima ffe tubadde tugezaako okugenda ku ggulu netulisanga nga lijjudde abakuumi abakambwe nebitawuliro."},{"id":9,"translation":"Era mazima ffe waliwo enfo zetwatulangamu netuwuliriza ebifaayo, naye kati agezaako okuwuliriza asanga ebitawuliro nga bimuteeze."},{"id":10,"translation":"Wabula tetumanyi mu kukola ekyo kwali kulumya bitonde ebiri ku nsi oba Mukama Katonda omulezi wabyo yabyagaliza bulungamu."},{"id":11,"translation":"Mazima nemuffe mulimu abalongoofu n'abatali era tuli ebibiina ebyenjawulo."},{"id":12,"translation":"Era ffe tuli bakakafu nti tetuyinza kulemesa Allah kunsi era nga bwetutayinza kumulemesa ne tumuddukako."},{"id":13,"translation":"Era mazima ddala bwe twawulira obulungamu twabukkiriza, era oyo yenna akkiriza Mukama Katonda omulezi we tayinza kutya butasasulwa oba okunyigirizibwa."},{"id":14,"translation":"Mazima ddala muffe mulimu abasiramu nga bwemulimu abaabula. Oyo yenna asiramuka, abonno bebaba banoonya amazima mu bwegendereza."},{"id":15,"translation":"Wabula bo abaabula bebagenda okubeera enku z'omuliro Jahannama."},{"id":16,"translation":"Naye singa abantu banywerera ku kkubo ettuufu twalibawadde enkuba mu bunji."},{"id":17,"translation":"Tulyoke tubageseze ngeri ki jebebazaamu ebyengera, oyo yenna eyeesamba ebigambo bya Katonda omulezi we agenda kumubonereza n'ebibonerezo ebikambwe."},{"id":18,"translation":"Mazima ddala emizikiti jakusinzizamu Allah yekka, kale nno temugatta ku Katonda ekintu kyonna."},{"id":19,"translation":"Era mazima ddala omuddu wa Allah (Nabbi Muhammad) bweyayimirira nga asaala amajinni gaasembera negamwetoloola kumpi kumwetuumako nga gali mu bibinja."},{"id":20,"translation":"Bagambe (Gwe Nabbi Muhammad) nti mazima nze nsinza era nkowoola mulezi wange ate si mugattako kintu kirala kyonna."},{"id":21,"translation":"bagambe nti tekiri mu mikono jange okubajjirawo obuzibu obuba bubatuuseeko nga bwe kitali mu busobozi bwange okubafunira obulungamu."},{"id":22,"translation":"Era bagambe nti mazima nze tewali muntu yenna ayinza kumponya bibonerezo bya Allah singa mba mujeemedde. Era sisobola kufuna buddukiro watali wawe."},{"id":23,"translation":"Nekiba nga ekisigadde kubatuusako bubaka obuva eri Allah, naye abo bonna abajeemera Allah n'omubakawe baakuyingira omuliro Jahannama, era nga b'akugubeeramu olubeerera."},{"id":24,"translation":"Okutuusizza ddala bwe balibanga balabye ebyo ebyabalagaanyisibwa olwo nno lwe bajja okukakasa nti ani alina omutaasa omunafu nejje ettono."},{"id":25,"translation":"Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti mazima nze simanyi oba ebibonerezo byemulaganyisibwa biri kumpi oba byakujja oluvanyuma lwebbanga eggwanvu."},{"id":26,"translation":"Ye yekka, Katonda yaamanyi ebitamanyiddwa ng'ate talina yenna gwabikkulira byaamabye."},{"id":27,"translation":"Okujjako oyo gwaba alonze okubeera omubaka (kale nno oyo amubikkulira ebimu ku byamabye) era amuteerawo obukuumi bwa Malayika nga bamwetolodde, Sitani obutasobola kumutuukako."},{"id":28,"translation":"Nabbi alyoke amanye nti mazima ba Nabbi baatuukiriza obubaka bwa Katonda omulezi waabwe (nga naye bwa butuukiriza) era bamanye nti amanyi ebyo byonna bye bakola ng'era bwamanyi buli kintu kyonna."}]},{"id":73,"verses":[{"id":1,"translation":"Owange ggwe eyeebikkirira (olwokutya okwakutuukako bwewafuna obubaka okuva ku Malayika Jiburilu omulundi ogwasoka)."},{"id":2,"translation":"Yimilira ekilo osaale mpozzi lekayo akaseera katono."},{"id":3,"translation":"Oyinza okusaala ekitundu kye kiro oba okukendezaako katono."},{"id":4,"translation":"Oba oyinza okwongerako era soma qur'an olusoma."},{"id":5,"translation":"Mazima ffe tujja kukutikka ekigambo ekizito."},{"id":6,"translation":"Mazima dala eswala enzuukukire y'esinga okubuulirira omuntu (olw'okwerekereza otulo) era nga nebisomerwamu byebisinga okusomwa munsoma ennambulukufu."},{"id":7,"translation":"Mazima olina mubiseela byemisana ebyokukola binji tebiyinza okulemesa okusoma qur'an."},{"id":8,"translation":"Era tendereza erinnya lya Mukama Katonda omuleziwo, e kiseera kyonna."},{"id":9,"translation":"Omulezi era nannyini buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okujjako yye, kale nno gwoba wesigamako."},{"id":10,"translation":"Era ogumikirize kw'ebyo bye boogera era obaveeko mu ngeri enungi."},{"id":11,"translation":"Era ndekera abalimbisa, abagagga fugge, era obalindirize akaseera katono."},{"id":12,"translation":"Mazima tulina empingu n'omuliro Jahiim."},{"id":13,"translation":"N'ebyokulya ebitamirika n'ebibonerezo ebiruma."},{"id":14,"translation":"Olunaku ensi n'ensozi lwebirinyeenya era ensozi ne zifuuka entuumo z'omusenyu ogufuumuka."},{"id":15,"translation":"mazima ffe twabatumira omubaka nga yajja okubawaako obujulizi okufaananako nga bwe twatumira Farawo omubaka."},{"id":16,"translation":"Wabula Faraawo yajeemera omubaka, kyetwava tumukwata olukwata olwamanyi."},{"id":17,"translation":"Kakati bwe mujeema muliwona mutya olunaku olulifuula abaana abato abakadde."},{"id":18,"translation":"Ate nga eggulu ligenda kuyulikamu olwebiribaawo ku lunaku olwo, nga ate Katonda kyalagaanyisa kiteekwa okutuukirira."},{"id":19,"translation":"(Bwekiba nga bwekityo bwekiri), mazima ddala qur'an mujitwale nga kyakwebuulirira. N'olwekyo ayagala okuwona ateekeddwa okukwata ekkubo erimuzza eri Katonda omulezi we."},{"id":20,"translation":"Mazima Katonda wo akimanyi nti oyimirira ekiro ng'osaala emirundi egimu kumpi bibiri byakusatu byekiro, oluusi kimu kyakubiri nga n'olumu kimu kyakusatu era nga naabamu ku bakkiriza abali naawe bwebatyo bwe bakola nga ate Katonda yaawa ebiragiro ebikola ekiro n'emisana, era nga amanyi nti temuyinza kumalayo kiro kyonna nga mukola ngamusiinza kye yava abawa ekisonyiwo, kale nno musome kyemuba musobodde mu qur'an nga musaala ekiro anti amanyi nti mu mmwe mulimu abalwadde nga n'abalala bagenda kubeera mu safari nga batambudde mu nsi olwokunoonya ebigabilirwa bya Allah nga nabandi bagenda kubeera mu ntabaalo z'okuweereza mu kkubo lya Katonda n'olwekyo musome ekyo kye muba musobodde mu qur'an nga musaala esswala ya tahajjudi(eyomuttumbi) era muyimirizeewo esswala eza faradha (ezetteeka) mutoole ne zzaka mu ngeri y'emu muwole Katonda oluwola olulunji nga muwaayo saddaaka. Akalungi konna kemweterekera nemukawaayo kulwa Allah mugenda ku kasanga mu maaso ge. Okukola ekyo kirunji era kyekirimu empeera ennene era musabe Katonda ekisonyiwo mazima yye musonyiyi oweekisa."}]},{"id":74,"verses":[{"id":1,"translation":"Owange ggwe eyeebikiridde (olwokutya Malayika Jiburilu lwe yakuleetera obubaka okuva eri Katonda)."},{"id":2,"translation":"Golokoka otiise abantu ebibonerezo bya Katonda."},{"id":3,"translation":"Ne Mukama Katondawo yekka gwoba ogulumiza."},{"id":4,"translation":"N'engoyezo zitukuze."},{"id":5,"translation":"Amasanamu geewalire ddala."},{"id":6,"translation":"Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu kuno kunsi."},{"id":7,"translation":"Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kw'omuleziwo."},{"id":8,"translation":"Engombe bwerifuuyibwa (kulunaku lwokuzuukira)."},{"id":9,"translation":"Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito."},{"id":10,"translation":"Terugenda kuba lwangu eri abatakkiriza Allah n'ababaka be."},{"id":11,"translation":"Owange ggwe Nabbi Muhammad ndeka nooyo gwe nnetondera."},{"id":12,"translation":"Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu."},{"id":13,"translation":"Nemuwa nabaana abatutumufu."},{"id":14,"translation":"Ne mugaziyiriza olugaziya (ebyenfuna obukulembeze n'ekitiibwa)."},{"id":15,"translation":"Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo."},{"id":16,"translation":"Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (qur'an)."},{"id":17,"translation":"Nja kumussaako ebibonerezo ebizito."},{"id":18,"translation":"Anti mazima yye (Al Walid bin Mugiira) yalowooza era naasalawo okuvvoola qur'an."},{"id":19,"translation":"Nakolimirwa okusinziira ku ngeri jeyasalawo."},{"id":20,"translation":"Oluvanyuma era yakolimirwa ku ngeri jeyasalawo."},{"id":21,"translation":"Oluvanyuma yakirowozaako."},{"id":22,"translation":"Olwo nno ne yeekaba najja emitaafu."},{"id":23,"translation":"Ne kyaddirira ebituufu yabivaako neyekuluntaza."},{"id":24,"translation":"Olwo nno n'alangirira nti ebigambo Muhammad byazze nabyo temuli wabula ddogo erijjibwa ku balogo abasooka."},{"id":25,"translation":"Era byayogera tebisukka kuba bigambo bya muntu!"},{"id":26,"translation":"(Katonda naagamba nti:) nja kumuyingiza omuliro Saqar."},{"id":27,"translation":"Naye omanyi Saqar kyeki."},{"id":28,"translation":"Gwo muliro ogutagenda kulekawo kintu wadde okukitaliza."},{"id":29,"translation":"Gwokera ddala negusiriiza eddiba lyomuntu."},{"id":30,"translation":"Gukuumibwa ba Malayika kkumi na mwenda."},{"id":31,"translation":"Ate omulimu gwokukuuma omuliro tetwaguwa okujjako ba Malayika, era omuwendo gwabwe tetwaguteekawo okujjako nga kikemo eri abatakkiriza Katonda, so nga abo abaweebwa ekitabo ekyo kibongera kukakasa (ebyo bye balina), ate bo abakkiriza (abagoberezi ba Nabbi Muhammad) kyongera kunyweza bukkiriza bwabwe, era ab'aweebwa ekitabo n'abakkiriza babe nga tebasigalamu kakunkuna, wabula nga (abanafunsi) abalina obulwadde mu mitima jabwe n'abatakkiriza bagamba nti Katonda kiki kyagenderera mu kifananyi kino, bwatyo nno Katonda abuza nalungamya oyo gwaba ayagadde, ate tewali amanyi jje lya Mukama Katondawo okujjako yye, ebyo byonna ebyogeddwa tewali kibigendererwamu okujjako okubuulirira omuntu."},{"id":32,"translation":"Nedda (tekiri ng'abantu abamu bwe balowooza), mazima ndayidde omwezi."},{"id":33,"translation":"Ne ndayira n'ekiro mu kiseera we kiggwerako."},{"id":34,"translation":"Ne ndayira n'amakya ngabusasaana."},{"id":35,"translation":"Mazima ggwo (omuliro Saqar) kye kimu ku binene."},{"id":36,"translation":"Ebyandibadde bibuulirira omuntu."},{"id":37,"translation":"Eri oyo aba ayagadde mu mmwe okudda eri Katondawe oba okumwesamba."},{"id":38,"translation":"Buli muntu agenda kubeera musingo gwa mirimuje."},{"id":39,"translation":"Okujjako abo abalibeera ku mukono ogwaddyo."},{"id":40,"translation":"Bagenda kubeera mu jjana nga babuuza."},{"id":41,"translation":"Ku bonoonyi."},{"id":42,"translation":"Nga babagamba nti ki ekibayingizza omuliro saqar."},{"id":43,"translation":"Baligamba nti tetwalinga mu basaaze."},{"id":44,"translation":"Era tetwaliisanga banaku."},{"id":45,"translation":"Twabeeranga nabakubi bambekuulo."},{"id":46,"translation":"Era twali tulimbisa olunaku lw'enkomerero."},{"id":47,"translation":"Okutuusa okufa lw'ekwatutuukako."},{"id":48,"translation":"Kale tebagenda kuganyulwa mu kuwolereza kwa bawolereza."},{"id":49,"translation":"Kakano kiki ekibaddusa okuva ku kubuulirira kwa (qur'an kuno)."},{"id":50,"translation":"Nga balinga entulege ezigobeddwa."},{"id":51,"translation":"Ezidduka empologoma."},{"id":52,"translation":"Wabula buli omu mubo ayagala aweebwe ebiwandiiko ebibikuddwa."},{"id":53,"translation":"Nedda ekituufu kiri nti bbo tebakkiriza nkomerero."},{"id":54,"translation":"Mazima ddala yo (qur'an) kyakubuulirira."},{"id":55,"translation":"Oyo aba ayagadde yeebulirira nayo."},{"id":56,"translation":"Wabula tebayinza kwebuulirira okujjako nga Allah ayagadde, kuba yye ye nanyini kutiibwa era ye nanyini kusonyiwa."}]},{"id":75,"verses":[{"id":1,"translation":"Tewali kingaana kulayira lunaku lwakuzuukira."},{"id":2,"translation":"Era nga bwewatali kingaana kulayira omwoyo ogwejjusa."},{"id":3,"translation":"Abaffe omuntu alowooza nti tetugenda kusobola kuzzaawo magumbage."},{"id":4,"translation":"Nedda tukisobolera ddala nga bwetulisobola okuzzaawo ennwe zaabwe."},{"id":5,"translation":"Wabula omuntu emirundi egisinga ayagala nnyo okuwangaalira mu kwonoona."},{"id":6,"translation":"Ngabuuza (mu ngeri ey'okujerega n'okuwakanya) nti olunaku lwokuzuukira lulibaawo ddi."},{"id":7,"translation":"Ddala lugenga kubaawo nga n'amaaso g'abantu galiralambala olwokutya."},{"id":8,"translation":"Ekitangala kyomwezi kigenda kuggwawo."},{"id":9,"translation":"Enjuba n'omwezi birigattibwa (nga tewakyasobola kubaawo kiro namisana)."},{"id":10,"translation":"Ku lunaku olwo omuntu agenda kugamba nti nzirukirewa!."},{"id":11,"translation":"Kyekyo ddala, tewagenda kubaawo muntu weyekweka."},{"id":12,"translation":"Obuddo ku lunaku olwo bujja kuba eri mulezi wo."},{"id":13,"translation":"Ku lunaku olwo omuntu agenda kutegeezebwa ebyo byonna byeyakulembeza nebyeyasembyaayo."},{"id":14,"translation":"Wabula ate ddala omuntu ye yennyini amanyi bye yakola ne byataakola (newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayeetonda)."},{"id":15,"translation":"Newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayetonda."},{"id":16,"translation":"Bwoba osoma qur'an toyanguyiriza nga olowooza nti kyekinakuyamba okujinyweeza."},{"id":17,"translation":"Anti okujikungaanya kuli kuffe nga era bwekiri kuffe okujinywereza ku lulimi lwo ngojisoma."},{"id":18,"translation":"Kale nno bwetumala okujikusomera (nga tujiyisa ku Jiburilu) goberera ensoma yaayo."},{"id":19,"translation":"Oluvanyuma mazima dala okujinnyonnyola kuli kuffe."},{"id":20,"translation":"(Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala omuntu okwebuulirira nabyo) wabula ebyembi mwe mwagala ebyokufuna byensi ebyamangu."},{"id":21,"translation":"Nemuleka ebyolunaku lw’enkomerero."},{"id":22,"translation":"Ebyenyi bya bantu abamu ku lunaku olwo bigenda kuba nga bitemagana."},{"id":23,"translation":"Bigenda kutunula kumulezi waabyo."},{"id":24,"translation":"Ate nga ebyenyi bya bantu abalala bigenda kuba binyikaavu."},{"id":25,"translation":"Nga bimanyidde ddala nti bigenda kutuukibwako akabi akanene akamenya nenkizi."},{"id":26,"translation":"Naye omwoyo bwegutuuka mu ddokooli (mukiseera kyokufa)."},{"id":27,"translation":"Abantu webagambira nti ani alina eddagala eriyinza okumuwonya."},{"id":28,"translation":"Wabula yye ngamaze okukakasa nti agenda kufa."},{"id":29,"translation":"Entumbwe ne yeegatta ku ntumbwe."},{"id":30,"translation":"Eri omulezi wo nga jaali mukutwalibwa akaseera ako."},{"id":31,"translation":"Naye nga omufu teyasaddaaka wadde okusaala."},{"id":32,"translation":"Wabula yalimbisa ebigambo bya Allah nabyesamba."},{"id":33,"translation":"Olwo nno naatambula nadda eri abantu be nga yeeraga."},{"id":34,"translation":"(Aligambibwa nti ekyo) ekikutuuseeko kikugwanidde era ddala kikugwanidde (owange ggwe omwonoonyi)."},{"id":35,"translation":"Ate era kikugwanidde ng'ate era ddala kikugwanidde."},{"id":36,"translation":"Omuntu alowooza nti ayinza okulekwa neyeeyisa nga bwayagala."},{"id":37,"translation":"Tajjukira nti yasooka kuba tondo lyamazzi agazaala agateekebwa mu nabaana."},{"id":38,"translation":"Oluvanyuma naafuuka ekisayisayi, olwo Katonda naamutonda namussaako byonna ebimufuula omuntu."},{"id":39,"translation":"Natuula okutonda okwo kwamitendera ebiri, omusajja n'omukazi."},{"id":40,"translation":"Abaffe oyo eyakola omuntu mu ngeri eyo tasobola kulamusa bafu?!."}]},{"id":76,"verses":[{"id":1,"translation":"Omuntu tajjukira nti waayitawo ekiseera kinene nga tayogerwako (nga tannatondebwa)."},{"id":2,"translation":"Mazima ffe twatonda omuntu nga ava mu kwetabula kwamazzi (ag'omusajja n'omukazi) ngatumugezesebwa mu bulamu bwe. Kyetwava tumuwa okuwulira n'okulaba."},{"id":3,"translation":"Mazima ddala twamulaga ekkubo, kiri jali yeebaze asiinze Katonda omu oba ajeeme awakanye."},{"id":4,"translation":"Mazima ddala abatakkiriza Allah n'ababaka be twabategekera enjegere n'amakoligo n'omuliro ogutuntumuka."},{"id":5,"translation":"Mazima abakozi bobulungi bagenda kunywa ekyokunywa nga kitabuddwa mu kaafuura."},{"id":6,"translation":"Olwo nno luliba luzzi abaddu b'a Katonda abeeyisa obulunji kwebagendanga okunywa, lugenda kukulukuta nga buli muntu lumutuukako waali."},{"id":7,"translation":"(Bagenda kutuuka kwebyo kubanga) kuno kunsi baatuukiriza nga naziri zaabwe (okweyama), era nga batya olunaku olwo obuzibu bwalwo obugenda okubuutikira ensi n'eggulu."},{"id":8,"translation":"Era baliisa abanaku ne bamulekwa nabasibe emmere awamu n'okuba nti bo bennyini bajetaaga."},{"id":9,"translation":"Nga bagamba nti mazima tubaliisa lwa Allah tetubaagalamu mpeera wadde okwebaza."},{"id":10,"translation":"(Ekitukozesa bino lwakuba nti) mazima ddala ffe tutya engeri jetulisisinkanamu omulezi waffe ku lunaku ebyenyi (bya bantu) lwe birijjula emitaafu nga byekabye."},{"id":11,"translation":"N'olwekyo nno Allah wakubawonya obuzibu bw'olunaku olwo era abawe okutangalijja kwe byenyi awamu n'essanyu."},{"id":12,"translation":"Era wakubasasula olwobugumikiriza, nga abayingiza e jjana omuli ebyambalo bya Siliki (awamu nokuba nti kunsi abasajja baaziyizibwa okumwambala)."},{"id":13,"translation":"Balituula mu ntebe ez'omuwendo nga besigamye, tebagenda kutukwako kwokya kwanjuba wadde obutiti."},{"id":14,"translation":"Era nga mulimu emiti ejiribakolera ebisiikirize, era nga nebibala byamu bigenda kuba byangu byakunoga."},{"id":15,"translation":"Baligabulirwa ku sowane eza feeza era bakunywera ku jiraasi ezitemagana."},{"id":16,"translation":"Ziritemegana anti ziriba zaakolebwa mu feeza, ziriba zimala bumazi okubeeramu ekyokunywa ekimalawo obwetaavu bwoyo anywa."},{"id":17,"translation":"Era bagenda kuweebwa eby'okunywa ebiri mu jiraasi nga bitabuddwamu entangawuzi."},{"id":18,"translation":"Eyo nno egenda kuba nsulo mu jjana eyitibwa \"Salsabiila\"."},{"id":19,"translation":"Bagenda kuweerezebwanga abaweereza abolubeerera, nga bwobatunulako bwoti olaba lu'ulu'u asasanyiziddwa."},{"id":20,"translation":"Buli wonotunulanga mu jjana ng'olaba ebyengera ebisuffu n'obwanannyini obutaliiko komo."},{"id":21,"translation":"Baliba bambadde engoye eza Siliki omuweweevu owakiragala ne Siliki omuzito, era bagenda kuba bawundiddwa nebikomo ebya feeza, era omulezi waabwe agenda kubawa ebyokunywa ebitukuvu."},{"id":22,"translation":"Baligambwa nti Mazima ebyo byonna yempeera yammwe, era okutegana kwa mwe kusiimiddwa."},{"id":23,"translation":"Mazima ffe twakussaako qur'an okussa owange gwe Nabbi Muhammad."},{"id":24,"translation":"Kale nno beera mugumikiriza ku kugera kw'omulezi wo, togezaako okugondera omwonoonyi oba omuwakanyi yenna."},{"id":25,"translation":"Era yogeranga kulinnya lya ly'omulezi wo kumakya n'olweggulo."},{"id":26,"translation":"Ne mukiro muvunamire ng'osaala era omutendereze mu ttumbi ebbanga gwanvu."},{"id":27,"translation":"Mazima abatakkiriza basinga kwagala biruji byansi ebyamangu, ne basuulayo gwannaggamba ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero oluzito."},{"id":28,"translation":"Ffe twabatonda ne tugumya ebiyungo byabwe, era nga bwetuba twagadde tuyinza okubazikiriza ne tuleeta abantu abalala."},{"id":29,"translation":"Mazima obubaka bwa qur'an buno kya kwebulirira era nga kyakujjukiza, n'olwekyo aba ayagadde asanye y'eteerewo ekkubo erimutuusa eri omulezi we."},{"id":30,"translation":"Era temusobola kwagala ekintu kyonna okujjako nga Allah ayagadde, mazima Allah lubeerera amanyi, assa buli kintu mussa lyakyo."},{"id":31,"translation":"Ayingiza oyo gwaba ayagadde mu kusaasirakwe, ate bbo abalyazamanyi yabategekera ebibonerezo ebiruma."}]},{"id":77,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana."},{"id":2,"translation":"Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabenje."},{"id":3,"translation":"Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba)."},{"id":4,"translation":"Era ndayidde Malayika ezikka okuva muggulu nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba."},{"id":5,"translation":"Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Allah nga byakujjukiza."},{"id":6,"translation":"Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa."},{"id":7,"translation":"Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo."},{"id":8,"translation":"Emunyeenye lwezirijjibwawo (newataba kitangaala kyaazo)."},{"id":9,"translation":"Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango)."},{"id":10,"translation":"Era ensozi bwezirimerengulwa."},{"id":11,"translation":"Era ababaka ba Allah bwebaliweebwa akadde k'okuwa obujulizi kwabo bebaatumwamu."},{"id":12,"translation":"Kulunaku olwakeleyezebwa bawe obujulizi kubibiina byabwe."},{"id":13,"translation":"Bigenda kubaawo ku lunaku olwokusalawo n'okulamula wakati w'ebitonde."},{"id":14,"translation":"Abaffe omanyi olunaku lw'okusalawo kyekki!."},{"id":15,"translation":"Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa."},{"id":16,"translation":"Abaffe tetwazikiriza ababasokawo."},{"id":17,"translation":"Netubagoberezaako abalala."},{"id":18,"translation":"Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi."},{"id":19,"translation":"Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalimbisa."},{"id":20,"translation":"Abaffe tetwabakola nga tubajja mu mazzi aganyomebwa."},{"id":21,"translation":"Netugateeka mukifo ekigakuuma."},{"id":22,"translation":"Okutuusa ebbanga eggere erimanyiddwa."},{"id":23,"translation":"Netuteekateeka okutondebwa okutonda okwo tuli bateesiteesi abasinga obulunji."},{"id":24,"translation":"Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abaliimbisa."},{"id":25,"translation":"Abaffe ensi tetwajikola nga ekungaanya."},{"id":26,"translation":"Abalamu n'abafu (bonna ngabali muyo)."},{"id":27,"translation":"Netujiteekamu ensozi ezijinyweza entumbiivu ne tubawa amazzi amalunji."},{"id":28,"translation":"Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abaliimbisa."},{"id":29,"translation":"Ku lunaku lw'enkomerero abawakanyi baliragirwa nti mugende eri ebyo bye mwali mulimbisa."},{"id":30,"translation":"Mugende eri ekisiikirize ekyomuliro ngakirimu ebitundu bisatu."},{"id":31,"translation":"Wabula tebaliba na kibasiikiriza wadde ekibataasa ennimi z'amuliro."},{"id":32,"translation":"Mazima omuliro ogwo gukasuka ebitawuliro nga biringa ebizimbe ebigulumivu."},{"id":33,"translation":"Ebitawuliro ebyo nga biringa engamiya ez'akyenvu (obunene bwazo)."},{"id":34,"translation":"Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abaliimbisa."},{"id":35,"translation":"Olwo lunaku lwebatagenda kwogera."},{"id":36,"translation":"Wadde okukkirizibwa okwetonda."},{"id":37,"translation":"Kulunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa."},{"id":38,"translation":"Luno lwe lunaku lw'okulamula tubakunganyizza mwenna n'aba bakulembera."},{"id":39,"translation":"Bwe muba mulina engeri jemuyinza okwebulankanyamu kale munnebulankanyeko."},{"id":40,"translation":"Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abaliimbisa."},{"id":41,"translation":"Naye mazima abatya Allah bagenda kubeera mu bisiikirize n'emigga egikulukuta."},{"id":42,"translation":"N'ebibala byebaliba bagala."},{"id":43,"translation":"Abeeyisa obulunji baligambibwa nti mulye era munywe, nga muyozayozebwa olwebyo bye mwakola."},{"id":44,"translation":"Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulunji."},{"id":45,"translation":"Kulunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa."},{"id":46,"translation":"Kuno kunsi abatakkiriza Allah n'omubaka we bagambwa nti) mulye, era mweyagale kitono, wabula mumanye nti muli bonoonyi era mukimanye nti waliyo enkomerero."},{"id":47,"translation":"Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abaliimbisa."},{"id":48,"translation":"Bwebalagirwa okusaala tebasaala."},{"id":49,"translation":"Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abaliimbisa."},{"id":50,"translation":"Olwo bigamboki ebitali qur'an byebagenda okukkiriza."}]},{"id":78,"verses":[{"id":1,"translation":"Beebuuzaganya ku ki?"},{"id":2,"translation":"Bebuuza ku kigambo e kinene."},{"id":3,"translation":"Amawulire ago gebayawukaniramu ddala."},{"id":4,"translation":"Ekyo ssi bwekiri, bajja kumanya."},{"id":5,"translation":"Nedda era oluvanyuma bajja kumanyira ddala."},{"id":6,"translation":"Abaffe tetwabafuula e nsi ekyaliiro."},{"id":7,"translation":"N’ensozi ne tuzifuula enkondo (ezijinyweza obutayuuga)!"},{"id":8,"translation":"Ne tubatonda mu ngeri bbiri (omukazi n’omusajja)."},{"id":9,"translation":"Ne tufuula okwebaka kwa mmwe nga kiwummulo!"},{"id":10,"translation":"Ne tufuula ekiro ekyambalo ekibabikka (olw’enzikiza yaakyo)"},{"id":11,"translation":"Ne tufuula emisana nga mwemunonyezebwa eky’okubabeezaawo."},{"id":12,"translation":"Ne tuzimba waggulu wamwe emyaliiro emigumu musanvu."},{"id":13,"translation":"Ne tuteekawo ettaala (enjuba) eyaka."},{"id":14,"translation":"Ne tussa okuva mu bire by’enkuba amazzi agafukumuka."},{"id":15,"translation":"Tulyoke tumeze nago empeke n’ebimera."},{"id":16,"translation":"N’amalimiro amasaakaativu."},{"id":17,"translation":"Mazima olunaku lw’okulamula lulina ekiseera kyalwo ekigere."},{"id":18,"translation":"Olwo Lwe lunaku engombe lw'erifuuyibwa ne mujja nga muli bibinja."},{"id":19,"translation":"N’eggulu liliggulwawo ne libeerako emiryango."},{"id":20,"translation":"N’ensozi nezitambuzibwa nezijibwa mubifo byazo ne zibanga ezitabangawo."},{"id":21,"translation":"Mazima omuliro Jahannama weeguli gulinze."},{"id":22,"translation":"Nga bwe buddo bw’abo abayisa ekomo mukwonoona."},{"id":23,"translation":"Baakugubeeramu ebyeya nebyeya."},{"id":24,"translation":"Nga bali mu gwo tebagenda kufuna buweerero wadde ak'okunywa akaweweeza."},{"id":25,"translation":"Okujjako olweje n’amasira Ag'olusaayisaayi."},{"id":26,"translation":"Nga y’empeera ebasaanira."},{"id":27,"translation":"Kubanga baali tebasuubira era nga tebakkiliza lunaku lw'okubalibwa."},{"id":28,"translation":"Ne balimbisa n'obubonero bwaffe olulimbisa."},{"id":29,"translation":"So ng’ate buli kintu twakikuuma mu bujjuvu era mu buwandiike."},{"id":30,"translation":"Kale baligambibwa kulunaku olwo mukombe ku kibabu kyebibonerezo olwebikolwa byamwe kubanga tetujja kubongera okujjako ebibonerezo."},{"id":31,"translation":"Mazima abatya Allah bajja kufuna okwesiima (okulimu buli kyonna kye baagala)."},{"id":32,"translation":"Ekifo ngakirimu amalimiro n’emizabbibu."},{"id":33,"translation":"N’abawala ab’amabeere amatutu (ngabavubuka)"},{"id":34,"translation":"N’amagiraasi agajjudde eby’okunywa."},{"id":35,"translation":"Nga bali mu yo (e jjana) tebagenda kuwulira bigambo bya butaliimu wadde eby’obulimba."},{"id":36,"translation":"Nga y’empeera okuva eri omulezi wo, nga kuweebwa okumatiza okutaliiko kubalilira"},{"id":37,"translation":"Oyo nanyini Gulu omusanvu n’ensi n’ebiri wakati wa byombi, oweekisa ekingi, tebalyetantala kwogeraganya naye."},{"id":38,"translation":"Jibriilu ne ba malayika abalala ku lunaku lwe baliyimirira nga bali mu nyiriri nga bonna tewali ayogera okujjako oyo yekka Katonda omusaasizi, gw’aliba akkiriza okwogera ate n'ayogera bituufu."},{"id":39,"translation":"Olwo lwe lunaku olw’amazima. Omuntu ayagala emirembe alwetegekere afune ekimuzza eri Katonda we ngamusiimye."},{"id":40,"translation":"Mazima tubatiisizza ebibonerezo ebiri okumpi ennyo. Olunaku omuntu lw’aliraba kulunaku olwo emikonoje bye jaakola, atakkiriza Allah nomubaka we aligamba nti: zinsanze nze kale singa nfuuse ettaka!."}]},{"id":79,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira Malayika ezisikambula emyoyo j’abajeemu mu bukambwe (mukiseera kyokufa)."},{"id":2,"translation":"Era ndayira Malayika ezisowola mumpola emyoyo jabakkiriza Allah nomubaka we olusowola olwangu."},{"id":3,"translation":"Era ndayira Malayika eziwugira mu bbanga oluwuga."},{"id":4,"translation":"Era ndayira Malayika ezivuganya oluvuganya mukuteka munkola Allah byaaba alagidde."},{"id":5,"translation":"Ne ndayira ne Malayika ezissa mu nkola ebiragiro Byange"},{"id":6,"translation":"Mukimanye nti ebitonde byonna bigenda kuzikirira ku lunaku buli kintu kyonna lwe kirikankanyizibwa musisi nga engombe efuuyiddwa."},{"id":7,"translation":"Oluvanyuma luligobererwa olufuuwa olw'okubiri (olw'okuzuukira)."},{"id":8,"translation":"Emitima j’abatakkiriza Allah n'omubaka we ku lunaku olwo jiribeera mu kutya."},{"id":9,"translation":"Amaaso gaabwe nga makkakkamu olwokutya."},{"id":10,"translation":"Bagamba (nga bajerega), nti \"Mazima ddala tuliddizibwawo mu bulamu oluvanyuma lwokufa nga bwetulimu kati?\""},{"id":11,"translation":"Bwe tuliba tumaze okufuuka amagumba amamerengufu?"},{"id":12,"translation":"Bongerako ne bagamba nti (ekyonno bwekiriba bwekityo) kuliba kudda kwa kufaafaaganirwa."},{"id":13,"translation":"Mazima okuzuukira lugenda kubeera olukanga lumu lwokka (olufuuwa lwengombe lumu)"},{"id":14,"translation":"Baligenda okulaba abantu bonna nga bali kungulu kunsi."},{"id":15,"translation":"Abaffe wamanyako ku kyafaayo kya Nabbi Musa?"},{"id":16,"translation":"Mukiseera Katonda weyakoowoolera Musa nga (Musa) ali mu lusenyi olutukuvu 'Tuwa'?"},{"id":17,"translation":"N'amugamba nti genda eri Firaawo kubanga ye asusse ekkomo mu bujeemu ne mu buwakanyi."},{"id":18,"translation":"Omugambe nti, walyetukuzza n'okkiriza Allah mukama Katonda wo."},{"id":19,"translation":"Ndyoke mbe nga nkulungamya eri Katonda wo obeere nga omutya."},{"id":20,"translation":"Nabbi Musa n’alaga Faraawo obujulizi obwenkukunala."},{"id":21,"translation":"Faraawo naalimbisa era n’ajeema."},{"id":22,"translation":"Oluvannyuma n'abikuba amabega era n’akola kaweefube w'okubirwanyisa."},{"id":23,"translation":"N’akungaanya abantu omuli amaje ge, abakungu be, n’abalogo nakowoola nagamba:"},{"id":24,"translation":"nze omulezi wamwe (Katonda) ow'awaggulu."},{"id":25,"translation":"Allah namukwatako n’amubonereza era n’amuzikiriza olw’ekisobyo ekyasembayo n’ekyasooka."},{"id":26,"translation":"Mazima mu ekyo (eky’okuzikiriza Firaawo) mulimu ebyokuyiga eri oyo atya Allah (katonda)."},{"id":27,"translation":"Abaffe, mwe be mweraba mwe musinga obuzibu okutonda okusinga eggulu? Allah yaliziimba oluzimba olwewunyisa."},{"id":28,"translation":"Awamu n'obunene bweliliko yaliwanika n'alitereeza."},{"id":29,"translation":"Era n'aleeta enzikiza yaalyo (ekilo) era n’ajjayo ekitangaala kyalyo."},{"id":30,"translation":"N’ensi oluvanyuma lwebyo yajaliira najitekamu buli kimu."},{"id":31,"translation":"Muyo mwennyini mweyajja amazzi gaayo namalundiro gaayo."},{"id":32,"translation":"N’ensozi yazisimba n'azinyweeza ensi."},{"id":33,"translation":"Ebyo yabikola lwa kugasa mmwe n'ensolo za mmwe."},{"id":34,"translation":"Akabenje akanene bwe kalijja (olwo lwe luliba olunaku lw'enkomerero)."},{"id":35,"translation":"Olunaku lw’alijjukira omuntu ebyo byonna bye yakola."},{"id":36,"translation":"Omuliro Jahiimu negulagibwa eri yenna alaba."},{"id":37,"translation":"Naye Oyo yenna eyasukka ekkomo mu kujeema kunsi"},{"id":38,"translation":"N’asukkulumya obulamu bw’ensi ku bw'enkomerero"},{"id":39,"translation":"Mazima omuliro Jahiimu bwe buddo bwe."},{"id":40,"translation":"N'oyo aliba nga yatya okuyimirira mu maaso ga Mukama we (Katonda). N’aziyiza omwoyo gwe ku by’obwagazi."},{"id":41,"translation":"Mazima e jjana, bwe buddo bwe."},{"id":42,"translation":"Bakubuuza gwe (Nabbi Muhammad) ebikwata ku lunaku lw’enkomerero, nti lulibaawo ddi."},{"id":43,"translation":"Wa j'onojja okulwogerako?"},{"id":44,"translation":"Eri omulezi wo Allah yewali ebilukwatako."},{"id":45,"translation":"Mazima dala ggwe oli mutiisa eri oyo alutya."},{"id":46,"translation":"Mazima olunaku lwebaliraba enkomelero balibanga abataatuula ku nsi okujjako akaseera k'olweggulo oba ak'okunkya!"}]},{"id":80,"verses":[{"id":1,"translation":"Nabbi Muhammad azze emitaafu, n’akyuka emabega."},{"id":2,"translation":"Olwamuzibe okujja jaali."},{"id":3,"translation":"Naye ki ki ekikumanyisa ob'olyawo muzibe oyo aneetukuza."},{"id":4,"translation":"Oba anebulilira okwebuulira nekumugasa."},{"id":5,"translation":"Naye ate oyo eyeegaggawaza nga yeematira."},{"id":6,"translation":"Ate ggwe gwe weemalira?"},{"id":7,"translation":"Bw’ateetukuza kiki ekinaakubaako?"},{"id":8,"translation":"Naye oyo akujjidde ng’ayanguwa (muzibe)."},{"id":9,"translation":"Era ng’atya Katonda."},{"id":10,"translation":"Ate ggwe gw’otofaako."},{"id":11,"translation":"Nedda si bwe kyandibadde, mazima yyo (Qur'ani) kya kwe buulirira."},{"id":12,"translation":"Oyo aba ayagadde yeebulirira nayo."},{"id":13,"translation":"Eri mu biwandiiko eby’ekitiibwa ennyo."},{"id":14,"translation":"Ebisitufu era ebitukuvu."},{"id":15,"translation":"Qur'an eri mu mikono ja Babalayika abawandiisi."},{"id":16,"translation":"Ab'ebitiibwa, abagoonvu."},{"id":17,"translation":"Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Allah katonda we?"},{"id":18,"translation":"Omuntu talaba kintu ki Allah mwe yamutonda?"},{"id":19,"translation":"Yamutonda mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera byonna ebiri mutuukako."},{"id":20,"translation":"Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa"},{"id":21,"translation":"Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli."},{"id":22,"translation":"Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde (Allah)."},{"id":23,"translation":"Wabula omuntu tatuukiriza ebyo Katonda by’amulagira okukola."},{"id":24,"translation":"Omuntu ateekwa okutunuulira by’alya emitendera jebiyitamu."},{"id":25,"translation":"Mazima ffe tufuukirira amazzi olufukirira olusaanidde."},{"id":26,"translation":"Oluvanyuma netulyoka twaasa ettaka olwaasa olusaanira ebimera."},{"id":27,"translation":"Olwono ne tumeza mu lyo empeke."},{"id":28,"translation":"N'emizabbibu n’ebimera ebizimba omubiri."},{"id":29,"translation":"N’emizayituni n’emitende."},{"id":30,"translation":"N’ennimiro ezisaakaatidde."},{"id":31,"translation":"N’ebibala n’omuddo oguliibwako e bisolo."},{"id":32,"translation":"Bibagase n’ebisolo bya mwe."},{"id":33,"translation":"Naye okuboggola bwe kuliba kuzze."},{"id":34,"translation":"Olunaku olwo omuntu lwalidduka mugandawe,"},{"id":35,"translation":"Nemaama we, nekitaawe."},{"id":36,"translation":"Nemukyala we, n’abaana be."},{"id":37,"translation":"Buli muntu ku lunaku olwo ajja kuba ku nsonga emukwatako yekka."},{"id":38,"translation":"Ebyenyi ebimu ku lunaku olwo bigenda kuba byakaayakana."},{"id":39,"translation":"Nga biriko akamwenyumwenyu, nga bisanyufu."},{"id":40,"translation":"Ate ebyenyi ebirala bigenda kuba nga bigubye."},{"id":41,"translation":"Nga ekizikiza kibibisse."},{"id":42,"translation":"Abo nno be b'awakanya Allah (katonda) nomubaka we, aboonoonyi."}]},{"id":81,"verses":[{"id":1,"translation":"Enjuba bw'erizingwako."},{"id":2,"translation":"Era n’emunyeenye nga zikunkumuse."},{"id":3,"translation":"Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zijjibwawo)."},{"id":4,"translation":"Era nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako)."},{"id":5,"translation":"N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa."},{"id":6,"translation":"Era nga n’enyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja)."},{"id":7,"translation":"Era nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga jiri wamu (Emirungi nga jiri n’emirungi, emibi nga jiri n’emibi)."},{"id":8,"translation":"Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa."},{"id":9,"translation":"Nti Kibi ki ekyamussa?."},{"id":10,"translation":"Era ebitabo bwe biribeera nga bisasaanyiziddwa (nga buli kitabo omuli ebyo byeyakola kunsi kituuka ku nannyini kyo)."},{"id":11,"translation":"Eggulu bwe liriba lijjiddwawo."},{"id":12,"translation":"Era nga n’omuliro gukoleezeddwa."},{"id":13,"translation":"Nga n’ejjana esembezeddwa."},{"id":14,"translation":"Olwo omuntu alimanya ekyo kye yakola (kibe kirunji oba kibi)."},{"id":15,"translation":"Ndayira e munyeenye ezibulawo."},{"id":16,"translation":"Ezibula emisana ne zirabika ekiro."},{"id":17,"translation":"Era ndayira ekiro bwe kiba nga kyolekedde okuggwaawo."},{"id":18,"translation":"Era Allah alayira amakya g’obudde nga busaasaana."},{"id":19,"translation":"Mazima Qur'an bigambo bya Katonda byeyassa ku mubaka (Nabbi Muhammad) ow'ekitiibwa."},{"id":20,"translation":"Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nannyini Arishi (Allah)."},{"id":21,"translation":"Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa."},{"id":22,"translation":"Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu."},{"id":23,"translation":"Mazima ddala ye (Muhammad) yamulaba (Jiburilu) mu bweyolefu nga ajjudde obwengula."},{"id":24,"translation":"Era tali (Nabbi Muhammad) ku bigambo ebyekwese (ebikwata ku bubaka obuva eri Katonda n'ebigambo by'omu gulu) ayinza obutatuukiriza."},{"id":25,"translation":"Ebigambo bya Qur'an Muhammad byayogera si bigambo bya sitaani omukolimire."},{"id":26,"translation":"Naye ddala mulaga wa?"},{"id":27,"translation":"Qur’an yyo teri okujjako okuba nti kya kubuulirira eri ebitonde."},{"id":28,"translation":"Eri oyo omu mumwe aba ayagadde okulungama."},{"id":29,"translation":"Naye ate temujja kwagala okujjako nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde."}]},{"id":82,"verses":[{"id":1,"translation":"Eggulu bwe ririba lyeyasizzaamu."},{"id":2,"translation":"N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana."},{"id":3,"translation":"N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde."},{"id":4,"translation":"Ne Kabbuli (entaana) bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo)."},{"id":5,"translation":"Olwo omuntu alimanya ebyo byeyakulembeza okukola ne byeyasembyayo."},{"id":6,"translation":"Owange ggwe omuntu kale kiki ekyakugayaaza okukujja ku muleziwo (Katonda) Omugabi."},{"id":7,"translation":"Oyo eyakutonda n’akutereeza era n’akwenkanyankanya."},{"id":8,"translation":"Mu kifaananyi kyonna kye yayagala mwe yakutondera."},{"id":9,"translation":"Nedda, wabula mulimbisa olunaku olw’okusasulwa (olw’enkomerero)."},{"id":10,"translation":"Mazima muliko abakuumi (Ba Malayika)."},{"id":11,"translation":"Abeekitiibwa abawandiisi (abawandiika ebyo byonna byemukola)"},{"id":12,"translation":"Bamanyi ebyo byonna byemukola."},{"id":13,"translation":"Mazima abakozi b’obulungi balibeera mu byengera."},{"id":14,"translation":"Era mazima abakozi b’ebibi bagenda kubeera mu muliro oguyitibwa Jahiimu."},{"id":15,"translation":"Bagenda kuguyingira ku lunaku olw’okusasulwa (olw'enkomerero)."},{"id":16,"translation":"Tebagenda ku gwebulankanyako."},{"id":17,"translation":"Ki ekikumanyisa olunaku olw'okusasulwa (olw’enkomerero)."},{"id":18,"translation":"Naye ddala on'omanyira ku ki olunaku olwokusasulwa (Katonda yakiddamu olwokuggumiza obukulu bw’olunaku olwo)."},{"id":19,"translation":"Olunaku omwoyo lwe gutaliba na buyinza bugasa mwoyo mulala na kintu kyonna. Era ebiragiro ku lunaku olwo biriba bya Katonda yekka."}]},{"id":83,"verses":[{"id":1,"translation":"Okuzikirira kuli ku abo abakendeeza ebipimo."},{"id":2,"translation":"Abo nga bwebaba nga beebapimirwa, basaba ebipimo byabwe bijjuzibwe."},{"id":3,"translation":"So nga bo bwe baba nga be babapima era nga bebalenga abantu abalala, oba be bapima, bakendeeza ebipimo byabwe."},{"id":4,"translation":"Abaffe tebakakasa nti mazima ddala baakuzuukizibwa."},{"id":5,"translation":"Ku lunaku oluzito (olw'enkomerero)."},{"id":6,"translation":"Olunaku abantu lwe baliyimirira mu maaso g'omulezi w’ebitonde."},{"id":7,"translation":"Mazima ddala ebiwandiiko by’emirimu j’aboonoonyi biri mu Sijjiin."},{"id":8,"translation":"Naye omanyi Sijjiin kye ki?"},{"id":9,"translation":"Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebibi by’omuntu."},{"id":10,"translation":"Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa."},{"id":11,"translation":"Abo abalimbisa olunaku lw’okusasulirwamu (olw’enkomerero)."},{"id":12,"translation":"Era tewali alimbisa lunaku olwo okujjako oyo omwononyi era asukka ensalo z’amateeka ga Allah (Katonda)."},{"id":13,"translation":"Omuntu oyo bwasomerwa ebigambo byaffe (Allah) agamba nti nfumo z'abantu abedda."},{"id":14,"translation":"Nedda, ssi bwekiri; wabula bye baali bakola (ebyonoono) byetuuma ku mitima jabwe."},{"id":15,"translation":"Mazima ddala abatakkiriza ku lunaku olwo baakuziyizibwa okulaba Omulezi waabwe (Katonda)."},{"id":16,"translation":"Oluvanyuma mazima ddala baakuyingira omuliro Jahiimu."},{"id":17,"translation":"Oluvanyuma bagenda kugambibwa nti ekyo kye mwalimbisanga."},{"id":18,"translation":"Mazima ddala ebiwandiiko by’abakozi b’obulungi biri mu elliyyiina."},{"id":19,"translation":"Naye omanyi elliyyiina kye ki?"},{"id":20,"translation":"Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu buli kimu ekilunji omuntu kyeyakola."},{"id":21,"translation":"Bakisemberera Ba malayika abali okumpi ne Katonda era nebakijulira."},{"id":22,"translation":"Mazima abakozi b’obulungi bagenda kubeera mu byengera."},{"id":23,"translation":"Nga bali ku bitanda ebiwunde nga batunuulira ebintu ebibeetoolodde."},{"id":24,"translation":"Ebyenyi byabwe ngabwobitunulako ebyengera bibijjudde nessanyu"},{"id":25,"translation":"Baligabulwanga omubisi (ogw’omu jjana) omusaanikire obulungi."},{"id":26,"translation":"Olunaagunywangako ng'owulira akawoowo ka misk (akawunya obulunji). Kale olw'ebyo byowulidde, abaagala okuvuganya mu kukola emirimu emirungi bavuganye."},{"id":27,"translation":"Omubisi ogwo gugenda kutabulwa mu Tasnim."},{"id":28,"translation":"Tasnim nsulo erinywebwangako abaliba basembezeddwa eri Allah."},{"id":29,"translation":"Mazima abantu abo abaali abajeemu baalinga ku nsi nga basekerera abakkiriza."},{"id":30,"translation":"Bwe baabayitangako nga babageyesa amaaso."},{"id":31,"translation":"Era bwe baddanga mu bantu baabwe nga beewaana."},{"id":32,"translation":"Bwe baabalabanga abakkiriza nga bagamba nti mazima abo babuze!."},{"id":33,"translation":"Ate nga tebatumwangako kubeera nga bebalondoola emirimu jabasilaamu."},{"id":34,"translation":"Kati olwaleero (kulunaku lw'enkomerero) abo abakkiriza bajja kubeera nga bebasekerera abatakkiriza."},{"id":35,"translation":"Nga bali ku bitanda ebiwunde nga batunuulira ebintu ebibeetoolodde."},{"id":36,"translation":"Nga bwe bagamba nti abaffe abatakkiriza basasuddwa bye baalinga bakola."}]},{"id":84,"verses":[{"id":1,"translation":"Eggulu bwe liryeyasaamu."},{"id":2,"translation":"Ne ligondera ekiragiro kya Mukama waalyo, era nga bwe kyandibadde."},{"id":3,"translation":"Ensi bw'eriseeteezebwa."},{"id":4,"translation":"N'ewandula ebigirimu n'esigala nga njereere."},{"id":5,"translation":"Negondera ekiragiro kya Mukama waalyo, era nga bwe kyandibadde."},{"id":6,"translation":"Owange ggwe omuntu! Otakabana olutakabana (okukola e mirimu) ng'odda eri omulezi wo. Era oli wakumusisinkana."},{"id":7,"translation":"Kale nno omuntu aliweebwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwa ddyo."},{"id":8,"translation":"Agenda kubalibwa olubala olwangu."},{"id":9,"translation":"Era ajja kudda eri banne nga musanyufu."},{"id":10,"translation":"Naye oyo aliweebwa ekitabokye e mabega w'omugongogwe."},{"id":11,"translation":"Agenda kukuba e biwoobe."},{"id":12,"translation":"Era wakwesonkeka omuliro Sa-iira."},{"id":13,"translation":"Kubanga yabeeranga (ku nsi) mu bantube nga musanyufu (mu ng'ajemera amateeka ga Mukama Katonda)."},{"id":14,"translation":"Mazima Dala yalowooza nti tagenda kuzuukira."},{"id":15,"translation":"So ng'ate mazima Dala Katondawe (omuleziwe) yalinga amulaba."},{"id":16,"translation":"Ndayira ekire ekimyufu (ekibaawo ng'enjuba yakagwa)."},{"id":17,"translation":"Era ndayira n'ekiro n'ebyo bye kikungaanya."},{"id":18,"translation":"Era ndayira omwezi bwe guba gujjudde."},{"id":19,"translation":"Mujja kukyusibwakyusibwa (mu mbeera za mmwe nga muva mu mbeera okudda ku ndala)."},{"id":20,"translation":"Naye lwaki tebakkiriza!"},{"id":21,"translation":"Ne qur'an bwe basomerwa tebavunnama."},{"id":22,"translation":"Wabula e nsonga ebagaana okuvunnama lwakuba nti abatakkiriza Allah n'omubaka we balimbisa qur'an."},{"id":23,"translation":"Ate nga Allah amannyidde ddala bye bakweka (mu mitima jabwe)."},{"id":24,"translation":"Basanyuse n'ebibonerezo ebiruma."},{"id":25,"translation":"Okujjako abakkiriza era ne bakola emirimu emilunji. Abo be bagenda okufuna empeera etakutukawo."}]},{"id":85,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi)."},{"id":2,"translation":"Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero)"},{"id":3,"translation":"Era ndayira oyo aliwaayo obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku lunaku lw’enkomerero)."},{"id":4,"translation":"Katonda yagoba mu kusaasirakwe abo ab'asima agannya okubonererezaamu abakkiriza."},{"id":5,"translation":"Gebaakumamu omuliro ogubumbujja."},{"id":6,"translation":"Olwo ngabbo batudde awo ku mabbali waagwo."},{"id":7,"translation":"Era nga bo (bennyini) balaba buli kyonna kyebakola ku bakkiriza."},{"id":8,"translation":"Tebaalina kye baali babavunaana okujjako olwokuba bakkiriza Allah oweekitiibwa atenderezebwa."},{"id":9,"translation":"Oyo Alina obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi. Era Allah alaba buli kintu."},{"id":10,"translation":"Mazima abo abaawalagganya abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, bakutuukibwako ebibonerezo by’omuliro Jahannama era balina ebibonerezo by’omuliro ogwokya ennyo."},{"id":11,"translation":"Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirunji bajja kufuna ejjana nga mukulukutira muyo emigga. Okwo nno kwe kwesiima okwannamaddala."},{"id":12,"translation":"Mazima okukwata kwa Mukamaawo kwamaanyi nnyo."},{"id":13,"translation":"Mazima Dala yye ye mutandisi wa buli kintu era yewookubizzaawo."},{"id":14,"translation":"Era yemusonyiyi ennyo, era ayagala ennyo mukwno je."},{"id":15,"translation":"Nanyini Arishi, Oweekitiibwa."},{"id":16,"translation":"Akola buli ky’aba ayagadde."},{"id":17,"translation":"Wali owulidde ku kyafaayo ky’amaje."},{"id":18,"translation":"Aga Firawo n’abantu ba Thamuud?"},{"id":19,"translation":"Wabula abo abatakkiriza bali mu kulimbisa."},{"id":20,"translation":"So nga Allah abeetoolodde."},{"id":21,"translation":"Wabula yo qur'an (eyassibwa ku Nabbi Muhammad) ya kitiibwa."},{"id":22,"translation":"Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri."}]},{"id":86,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira eggulu ne munyeenye ezirabika ekiro."},{"id":2,"translation":"Naye omanyi emunyeenye ezirabika ekiro kye ki?"},{"id":3,"translation":"Z’emunyeenye ezaaka ennyo ekitangaala kyazo ne kiyita mu nzikiza ne kituuka ku nsi."},{"id":4,"translation":"Buli muntu yenna aliko abakuumi (Ba Malayika)."},{"id":5,"translation":"Kale nno omuntu yalibadde atunuulira kye yatondebwamu."},{"id":6,"translation":"Yatondebwa ng’ajjibwa mu mazzi agasammuka mubwangu obwamanyi."},{"id":7,"translation":"Nga gava wakati w’omugongo gw'omusajja n’amasaabiro g'omukazi."},{"id":8,"translation":"Mazima ddala oyo (Katonda) asobolera ddala okumuzzaawo oluvanyuma lw'okufa."},{"id":9,"translation":"Ku lunaku ebyama byonna lwe biribikkulwa."},{"id":10,"translation":"Omuntu tagenda kuba na maanyi gonna yadde omutaasa."},{"id":11,"translation":"Era ndayira egulu ewava enkuba etonnya nga eddingana."},{"id":12,"translation":"Ne ndayira n’ettaka eryeyasa olw’okumeza ebimera."},{"id":13,"translation":"Mazima dala yo (qur'an) kigambo ekyawula wakati w’amazima n’obulimba."},{"id":14,"translation":"Qur'an si ya lusaago."},{"id":15,"translation":"Mazima abatakkiriza basala enkwe."},{"id":16,"translation":"Nange nenkola enteekateeka zange (Allah)"},{"id":17,"translation":"Abatakkiriza Allah n'omubaka we byeyajja nabyo balindirize, nange mbawadde akaseera katono."}]},{"id":87,"verses":[{"id":1,"translation":"Tendereza erinnya ly’omuleziwo ow'awaggulu."},{"id":2,"translation":"Oyo eyatonda n'atereeza."},{"id":3,"translation":"Era eyateekateeka buli kintu n'akyenkanyankanya."},{"id":4,"translation":"Oyo ameza omuddo oguliibwa ebisolo."},{"id":5,"translation":"Oluvanyuma agufuula omukalu."},{"id":6,"translation":"Tujja kukusomesa (qur'an) obeere nga teweerabira."},{"id":7,"translation":"Okujjako ebyo Allah by’anaaba ayagadde okukwerabiza. Mazima Dala yye y’amanyi ebyogerwa mu lwatu ne mu kyama."},{"id":8,"translation":"Tujja kukwanguyiza amateeka gabeere mangu."},{"id":9,"translation":"Kale buulirira, okubuulirira bwe kuba nga kunaagasa."},{"id":10,"translation":"Anaaganyulwa oyo atya Allah (Katonda)."},{"id":11,"translation":"Omwonoonyi ajja ku kwesamba okubuulirira okwo."},{"id":12,"translation":"Oyo alyesogga omuliro omunene."},{"id":13,"translation":"Ng’amaze okusonsekebwa mu muliro ogwo, tagenda kufa wadde okufuna obulamu (obwesiimisa)."},{"id":14,"translation":"Mazima yeesiimye omuntu e eyeetukuza."},{"id":15,"translation":"N’ayogera ku linnya ly’omuleziwe era n’asaala."},{"id":16,"translation":"Wabula mwe musukkulumya obulamu obw’ensi."},{"id":17,"translation":"So nga obulamu obw'enkomerero bwe businga obulungi era bwe bwokusigalawo."},{"id":18,"translation":"Mazima bino biri mu biwandiiko ebyasooka."},{"id":19,"translation":"Ebiwandiiko bya Ibrahim ne Musa."}]},{"id":88,"verses":[{"id":1,"translation":"Abaffe wali ofunye okunyumizibwa ku kibuutikira (eky’olunaku lw'enkomerero)?"},{"id":2,"translation":"Olunaku olwo ebyenyi bigenda kuba nga biswavu."},{"id":3,"translation":"Nga bitawaana, nga bikoowu."},{"id":4,"translation":"Byakwesonseka omuliro ogwengeredde."},{"id":5,"translation":"Bigenda kunywesebwa ku luzzi olweseze."},{"id":6,"translation":"Abantu abo tebagenda kubeera na kya kulya kyonna okujjako emiti ej'amaggwa"},{"id":7,"translation":"Ejitaliimu kiriisa wadde okuwonya enjala."},{"id":8,"translation":"Ebyenyi ebirala bigenda kubeera mu byengera."},{"id":9,"translation":"Bigenda kusiima olw’okutakabana kw'abyo."},{"id":10,"translation":"Ngabiru mujjana ey'a waggulu."},{"id":11,"translation":"Togenda kuwulira mu yo bigambo bya butaliimu."},{"id":12,"translation":"Mu jjana mulimu ensulo ezikulukuta."},{"id":13,"translation":"mulimu ebitanda ebisitufu (Ebiwunde)."},{"id":14,"translation":"N’ebikopo ebinywerwamu ebitegekeddwa."},{"id":15,"translation":"N’emitto ejisimbiddwa ennyiriri."},{"id":16,"translation":"N’ebyaliiro nga byanjuluziddwa."},{"id":17,"translation":"Abaffe tebatunuulira (olutunuulira olw’okuyiga) engamiya ngeri ki bwe yatondebwa?"},{"id":18,"translation":"N’eggulu nga bwe lyasitulwa!"},{"id":19,"translation":"N’ensozi engeri jezaasimbwamu?"},{"id":20,"translation":"N’ensi engeri jeyaseetezebwamu."},{"id":21,"translation":"Kale nno jukiza owange gwe (Nabbi Muhammad) kubanga oli mujjukiza."},{"id":22,"translation":"Toliiwo kubakaka."},{"id":23,"translation":"Naye abo abanaava ku bigambobyo ne bajeema."},{"id":24,"translation":"Allah ajja kumubonereza ebibonerezo ebisinga okuba ebikakali."},{"id":25,"translation":"Mazima ddala jetuli y’eri obuddo bwabwe."},{"id":26,"translation":"Oluvanyuma mazima dala okubalibwa kwabwe kuli ku ffe."}]},{"id":89,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira emambya."},{"id":2,"translation":"N’ebiro ekumi."},{"id":3,"translation":"N’ebibiri bibiri n’ebyensusuuba."},{"id":4,"translation":"N’ekiro bwekiba nga kitambula (nga kijja oba nga kivaawo)."},{"id":5,"translation":"Abaffe mu kulayira okwo temuliimu kwebuulirira eri oyo alina amagezi."},{"id":6,"translation":"Tolaba owange gwe omubaka engeri omuleziwo nebyo byeyatuusa ku bantu b'ekika kya A'adi."},{"id":7,"translation":"Aba-Irama abawagguufu."},{"id":8,"translation":"Ekika ekyo ewatatondebwangayo babafaanana mu nsi."},{"id":9,"translation":"N’ebyo bye yatuusa ku ba Thamuud ab'ayasaanga enjazi mu lusenyi."},{"id":10,"translation":"N'ebyo bye yatuusa ku Firaawo nannyini nkondo."},{"id":11,"translation":"Abo bonna (aboogeddwako) beewaggula kuno ku nsi."},{"id":12,"translation":"Ne bayitiriza nnyo obwonoonefu."},{"id":13,"translation":"Omuleziwo (Katonda) kye yava abafukirira ebibonerezo eby'enjawulo."},{"id":14,"translation":"Mazima ddala Omuleziwo (Katonda) abalindiridde."},{"id":15,"translation":"Wabula omuntu, Omuleziwe (Katonda) bw'amugezesa n'amugabira ebirunji, omuntu oyo agamba nti omulezi wange ampadde."},{"id":16,"translation":"Ate bw'aba amugezesezza n'amufundiza ebyenfunaye agamba nti omulezi wange (Katonda) anzikakkanyiza."},{"id":17,"translation":"Nedda, wabula temuyisa bulungi ba Mulekwa."},{"id":18,"translation":"Era temwekubiriza kuliisa banaku."},{"id":19,"translation":"Era mulya emmaali ya ba Mulekwa, olulya olunene."},{"id":20,"translation":"Era mwagala eby'enfuna olwagala okuyitiridde."},{"id":21,"translation":"Nedda eyo si y'enkola entuufu ey’ebintu, era ensi bwe ribeera nga ebetenteddwa."},{"id":22,"translation":"Omuleziwo n'ajja ne Ba Malayika nebajja nga basimbye ennyiriri."},{"id":23,"translation":"Era kwolwo omuliro Jahannama gulireetebwa, olwonno omuntu alijjukira (bye yakola ku nsi) naye okujjukira kuno kugenda ku mugasaaki."},{"id":24,"translation":"Agenda kugamba: zinsanze nze. Singa nategekera obulamu bwange buno."},{"id":25,"translation":"Olunaku olwo (Katonda) ebibonerezo by'agenda okubonereza nabyo tewali n'omu yali abibonerezzaako."},{"id":26,"translation":"Era ensiba jalisiba ku lunaku olwo tewali yali agisibyeko."},{"id":27,"translation":"Owange gwe omwoyo omutebenkevu (omuntu)."},{"id":28,"translation":"Dda eri Omuleziwo ng'oli musimu era ng'osiimiddwa."},{"id":29,"translation":"Era yingira mu baddu bange (abalongoofu)."},{"id":30,"translation":"Era oyingire mu jjana yange."}]},{"id":90,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira ekibuga kino (Makkah)."},{"id":2,"translation":"Nga naawe (Muhammad) oli mutuuze mu kibuga kino."},{"id":3,"translation":"Era ndayira omuzadde ne baazaala."},{"id":4,"translation":"Mazima twatonda omuntu nga lubeerera abeera mu kutawaana."},{"id":5,"translation":"Alowooza nti tewali n’omu ayinza ku musobola."},{"id":6,"translation":"Ng’agamba nti nsaasanyiza emmaali nyinji nnyo."},{"id":7,"translation":"Alowooza nti tewali n’omu amulaba."},{"id":8,"translation":"Tetwamuwa amaaso abiri g'alabisa."},{"id":9,"translation":"N’olulimi n’emimwa ebiri."},{"id":10,"translation":"Era ne tumulungamya okumanya amakubo abiri (ery'ebirungi n'ery'ebibi)."},{"id":11,"translation":"Kale singa yabikozesa mu kuvvuunuka obizibu (bw'olunaku lw'enkomerero n'aba nga akozesa bye yafuna naafunamu enkomerero)."},{"id":12,"translation":"Abaffe obuzibu obumanyi (n'ekiyinza okubukuyambako)?"},{"id":13,"translation":"Kuta muddu oba omuzaana."},{"id":14,"translation":"Oba okuliisa mu kiseera eky’enjala;"},{"id":15,"translation":"Mulekwa, owooluganda olw’okumpi;"},{"id":16,"translation":"Oba omwavu lunkupe."},{"id":17,"translation":"Ate era aliisa n’abeera mu abo abakkiriza abalaamiragana obugumiikiriza nga bwe balaamiragana n'okusaasiragana."},{"id":18,"translation":"Abo nno b'ebananyini mukono ogwa dyo"},{"id":19,"translation":"Naye abo abawakanya obubonero bwaffe baakubeera ku mukono ogwa kkono."},{"id":20,"translation":"Bagenda kubeera mu muliro omusaanikire."}]},{"id":91,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira enjuba n’okwaka kwayo."},{"id":2,"translation":"Era ndayira omwezi bweguba nga gugoberedde enjuba (ng’egudde)"},{"id":3,"translation":"Era ndayira obudde obw’emisana ngabweerudde enjuba."},{"id":4,"translation":"Era ndayira ekiro bwe kiba nga kibisse ebiri kunsi."},{"id":5,"translation":"Era ndayira eggulu n’eyalitonda nokutondebwa kwaalyo okunene."},{"id":6,"translation":"Era ndayira ensi n’oyo eyajaalirila"},{"id":7,"translation":"Era ndayira omuntu n’eyamutonda."},{"id":8,"translation":"N’aguwa (omwoyo) okwawula wakati w’ekibi n’ekirung."},{"id":9,"translation":"Yesiimye alongoosa omwoyogwe okugujja mu bibi."},{"id":10,"translation":"Era aviiriddemu awo oyo agunnyika mu bibi."},{"id":11,"translation":"Abantu ba thamuud, olw'obwonoonefu bwabwe baalimbisa (omubaka waabwe)."},{"id":12,"translation":"Asinga obwonoonefu mu bo bwe yeesowolayo (naafumita engamiya)."},{"id":13,"translation":"Omubaka wa Allah n’abagamba “muleke engamiya ya Allah n’okunywa kwayo”."},{"id":14,"translation":"Kyokka ne bamulimbisa ne bajifumita. Katonda omulezi wabwe (Allah) waabwe kwe kubabuutikira nebibonerezo olw’obwonoonefu bwabwe awatali n’omu kuwona"},{"id":15,"translation":"Era tatya nkomerero y'ekyo (eky'okubazikiriza)."}]},{"id":92,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira ekiro bwe kiba kibisse (ensi)."},{"id":2,"translation":"Ndayira n'obudde bwemisana bwe buba nga bwetadde."},{"id":3,"translation":"Ndayira oyo eyatonda ebintu ebisajja n’ebikazi."},{"id":4,"translation":"Mazima dala okulafuubana kwa mwe si kwe kumu."},{"id":5,"translation":"Nabwekityo omuntu awaayo ekintu kyonna ng’atya Katonda."},{"id":6,"translation":"Nakkiriza ebirungi. (ebiva mu kukkiriza Katonda)."},{"id":7,"translation":"Tujja kumwanguyiza ekubo erimutuusa eri obwangu."},{"id":8,"translation":"Naye oyo akodowala ne yeegaggasa (ng’alowooza nti ebiri ewa Katonda tabyetaaga)."},{"id":9,"translation":"N’alimbisa obubaka obwakkira ku Nabbi Muhammad."},{"id":10,"translation":"Tujja kumwanguyiza okutuuka eri obuzibu."},{"id":11,"translation":"Era obugaggabwe tebugenda kumugasa ng’ayingidde okuzikirira (olw’ebikolwa bye ebibi)"},{"id":12,"translation":"Mazima kuli ku ffe okulungamya."},{"id":13,"translation":"Era mazima ebikwata ku nkomerero ne nsi biri mu buyinza bwaffe."},{"id":14,"translation":"Mbeekesa omuliro oguteta."},{"id":15,"translation":"Taliguyingira okujjako oyo omwonoonefu ennyo (atakkiriza Allah nomubaka we)"},{"id":16,"translation":"Oyo alimbisa (ebigambo bya Katonda) era nabyawukanako."},{"id":17,"translation":"Era ajja kugwesambisibwa (omuliro) oyo atya Allah"},{"id":18,"translation":"Oyo awaayo ku by'alina ng’anoonya okwetukuza eri Allah (so si lwa kabandabe oba okwatiikirira)"},{"id":19,"translation":"Nga tawaayo lwa kusasulwa muntu yenna gweyali akoledde ekirungi."},{"id":20,"translation":"Wabula okunoonya okusiimwa ew'omuleziwe Owa waggulu ennyo."},{"id":21,"translation":"Mazima ddala ajja kusiima (ky’anaasasulwa)."}]},{"id":93,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira ekiseera ky’a kalasa mayanzi."},{"id":2,"translation":"Era ndayira ekiro bwekiba nga kikutte."},{"id":3,"translation":"Omulezi wo (Allah) takwabuliranga (gwe Nabbi Muhammad) era takukyawanga."},{"id":4,"translation":"Era enkomerero y’ennunji gyoli okusinga entandikwa."},{"id":5,"translation":"Era Omulezi wo ajja kukuwa naawe osiime."},{"id":6,"translation":"Teyakusanga ng’oli mulekwa n'akulabirira?"},{"id":7,"translation":"Era yakusanga nga tomanyi bikwatagana kubyabukkiriza n'ekitabo?"},{"id":8,"translation":"Era yakusanga oli mwavu n’akugaggawaza."},{"id":9,"translation":"Kale nno mulekwa tomukaayuukiranga."},{"id":10,"translation":"Era n'omuntu asaba tomuboggoleranga."},{"id":11,"translation":"era ekyengera kyonna Omuleziwo Allah ky’abanga akuwadde kinyumyengako."}]},{"id":94,"verses":[{"id":1,"translation":"Tetwakwanjululiza ekifubakyo (eri obwa Nabbi n’okumanya ebigambo eby’amagezi)."},{"id":2,"translation":"Era netukuwewulira obuzito obwakuliko."},{"id":3,"translation":"Obuzito obwo obwalibadde bukubendula omugongo."},{"id":4,"translation":"Era netusitula okukwogerako buli wamu"},{"id":5,"translation":"mazima ddala buli awabeera obuzibu, wabaawo obwangu"},{"id":6,"translation":"Mazima ddala buli awabeera obuzibu wabaawo obwangu."},{"id":7,"translation":"Bwoba nga omaze okukola emirimu (egikuyimirizaawo ku nsi) olwo nno yimirira (osinze Katondawo)."},{"id":8,"translation":"Era eri Omuleziwo Allah j’oba oteeka e ssuubilyo lyonna."}]},{"id":95,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira ekibala ekiyitibwa Tiin n’ekibala ekiyitibwa Zaitun."},{"id":2,"translation":"Era ndayira olusozi lw’e Sinai."},{"id":3,"translation":"Ndayidde n'ekibuga (Makkah) eky’emirembe"},{"id":4,"translation":"Mazima twakola omuntu mu kifaananyi ekisinga ekirunji."},{"id":5,"translation":"oluvanyuma tumuzzaayo wansi mu ddaala erisembayo."},{"id":6,"translation":"Okujjako abo abakkiriza ne bakola emirimu emirunji, bagenda kufuna empeera etalina kkomo."},{"id":7,"translation":"Bwekiba bw'ekityo (ate gwe omuntu) olimbisa otya olunaku lw'enkomerero."},{"id":8,"translation":"Abbe Allah siyemulamuzi asinga okuba omwenkanya era owamazima!?."}]},{"id":96,"verses":[{"id":1,"translation":"Soma ng'otandika ne linnya ly'omulezi wo oyo eyatonda (buli kintu)."},{"id":2,"translation":"Yatonda omuntu nga amujja mu kisaayisaayi."},{"id":3,"translation":"Soma, kuba Omulezi wo (Katonda) ye mugabi asinga."},{"id":4,"translation":"Oyo eyayigiriza omuntu okuwandiika n'ekkalaamu."},{"id":5,"translation":"Yayigiriza omuntu ebyo (omuntu) bye yali tamanyi."},{"id":6,"translation":"Nedda, mazima omuntu agenda n'asukka ekkomo."},{"id":7,"translation":"Olw’okweraba nti yeemalirira (olw’ebyo by’aba alina)."},{"id":8,"translation":"Mazima ddala eri Omuleziwo (Katonda) y’eri obuddo."},{"id":9,"translation":"Olabye omuntu aziyiza"},{"id":10,"translation":"(Agaana) omuddu wa Katonda bw’aba ng'asaala."},{"id":11,"translation":"Olaba otya gwebagaana singa aba kubulungamu"},{"id":12,"translation":"Oba nga alagirwa abantu okutya Allah."},{"id":13,"translation":"Olaba oyo (agaana asaala) singa aba alimbisa era ng'ava ku mazima."},{"id":14,"translation":"Abaffe tamanyi (oyo alimbisa) nti Mazima Allah alaba ebyo by’akola."},{"id":15,"translation":"Nedda bw’anaaba teyeekomyeko (ku bikolwa ebyo) tujja kumuwalula nga tumukutte ku kawompo."},{"id":16,"translation":"Akawompo ako akajjudde obulimba n’okusobya."},{"id":17,"translation":"Kale ayitanga abawagizibe (mubujeemu) bamutaase."},{"id":18,"translation":"Naffe tujja kukoowoola ba Malayika abakambwe abakuumi b’omuliro (abatuusa ebibonerezo ku bajeemu)."},{"id":19,"translation":"Nedda (Owange Nabbi Muhammad) togonderanga omuntu ng’oyo, kale vunnamanga (ng'osinza) Katonda era weeyongere okusembera j'ali."}]},{"id":97,"verses":[{"id":1,"translation":"Mazima ffe twassa qur'an mu kiro ekiyitibwa Layila-tul-kadri (e kiro ekyokugera era ekyekitiibwa)."},{"id":2,"translation":"Era kki ekikumanyisa Layila-tul-kadri kye ki?"},{"id":3,"translation":"Layila-tul-kadri kiro kirunji okusinga emyezi olukumi (1000)."},{"id":4,"translation":"Mukiro ekyo, ba malayika bakka nga ne Jiburilu mwali ku lw’ekiragiro ky'omulezi waabwe (Katonda). Nga bajja na buli kiragiro."},{"id":5,"translation":"Ekiro ekyo kya mirembe myereere, okutuusa obudde okukya."}]},{"id":98,"verses":[{"id":1,"translation":"Abajeemu mu bantu abaweebwa ebitabo, n'abo abagatta ebintu ebirala ku Katonda, tebaali baakuva ku nzikiriza yaabwe enkyamu okutuusa nga obunnyonnyofu bubajjidde."},{"id":2,"translation":"Nga, ye Mubaka (Nabbi Muhammad) eyatumwa okuva ewa Katonda, nga asoma ekitabo ekitukuvu (qur'an)."},{"id":3,"translation":"Empapula ezo ezatukuzibwa zirimu amateeka amalambulukufu."},{"id":4,"translation":"Era abantu abo abaweebwa ekitabo tebayawukanayawukana okutuusa nga obunyonnyofu bumaze okubajjira."},{"id":5,"translation":"So nga ate tebaalagirwa okujjako okusinza Allah yekka nga buli kyebakola bakikola ku lulwe yekka, awatali ku mugattako kantu konna, era nga bateekwa okuyimirizaawo eswala n’okutoola Zzaka, era nga eyo y'eddiini ennambulukufu."},{"id":6,"translation":"Mazima abo abaajeema mu bantu abaaweebwa ekitabo n’abo abagatta ku Allah ebintu ebirala bakuyingira omuliro Jahannama mwe bagenda okubeera olubeerera. Abo nno be babi okusinga ebitonde ebirala byonna."},{"id":7,"translation":"Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi be balungi okusinga ebitonde byonna."},{"id":8,"translation":"Empeera yaabwe ew'omulezi waabwe jjana eyitibwa Aden (eyoluberera) emigga jikulukutira mu yo. Baakujibeeramu olubeerera. Allah yabasiima nabo ne bamusiima. Ebyo nno bigenda kufunwa oyo eyatya omuleziwe (Katonda)."}]},{"id":99,"verses":[{"id":1,"translation":"Ensi bweriba eyuguumizziddwa oluyuguuma lwayo."},{"id":2,"translation":"Era ensi n'efulumya (nga ewandula) ebyo byonna ebijirimu."},{"id":3,"translation":"Omuntu aligamba nga yeebuuza nti! ebadde ki?"},{"id":4,"translation":"Ku lunaku olwo egenda kuttottola ebigambo byonna ebikwata ku ebyo ebyakolebwanga ku yyo."},{"id":5,"translation":"Nti mazima omulezi wo y'aliba ajiragidde okwogera ebyo."},{"id":6,"translation":"Abantu ku lunaku olwo baliva mu ntaana zaabwe nga bali mu bibinja babe nga balagibwa emirimu jaabwe."},{"id":7,"translation":"Omuntu eyakola omulimu omulungi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba."},{"id":8,"translation":"N'omuntu eyakola omulimu omubi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba."}]},{"id":100,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira embalaasi enzilusi ngabwezivaamu amaloboozi"},{"id":2,"translation":"Nezimansula ensasi z’omuliro olw’okukoona enjazi."},{"id":3,"translation":"Ezizinda abalabe ku makya ennyo."},{"id":4,"translation":"Nezisiikuula enfuufu n'okudduka kwazo."},{"id":5,"translation":"Neziyingira mu balabe wakati."},{"id":6,"translation":"Mazima ddala omuntu mutomi eri omuleziwe."},{"id":7,"translation":"Era mazima ye (omuntu) ku ky'obutomi mujulizi."},{"id":8,"translation":"Era mazima yye muyitirivu nnyo mu kwagala ebilunji (emaali)."},{"id":9,"translation":"Abaffe (omuntu) tamanyi ebiri mu ntaana bwe biriba bizuukiziddwa."},{"id":10,"translation":"N’ebiri mu bifuba ne byolesebwa."},{"id":11,"translation":"Mazima Katonda omulezi waabwe nga bulijjo ne ku lunaku olwo agenda kuba ng'amanyi byonna ebibakwatako."}]},{"id":101,"verses":[{"id":1,"translation":"Ekikoona (ekyentiisa)."},{"id":2,"translation":"Ekikoona kye ki?"},{"id":3,"translation":"Naye omanyi ekikoona kye ki?"},{"id":4,"translation":"Lwe lunaku abantu lwe balibeera nga ebiwojjolo ebisaasaanye."},{"id":5,"translation":"N’ensozi lwe zirifuuka nga pamba omusuunsule afuumuuka."},{"id":6,"translation":"Naye, omuntu alibeera n'emirimu emirunji nga jizitowa (okusinga ebibibye)."},{"id":7,"translation":"Oyo nno agenda kubeera mu bulamu obwesiimisa."},{"id":8,"translation":"Ate oyo aliwewukirwa emirimu je emirunji (ebibi bye n’ebisinga obuzito)."},{"id":9,"translation":"Oyo nno, obuddo n'obutuulo bwe muliro oguyitibwa “Haawiya”."},{"id":10,"translation":"Naye omanyi ‘Haawiya’ kye ki?"},{"id":11,"translation":"Gwe muliro ogwengeredde (ogwokya ennyo)."}]},{"id":102,"verses":[{"id":1,"translation":"Okunoonya okufuna ebinji, kubalabankanyizza (ne kubajja ku kugondera amateeka ga Katonda)."},{"id":2,"translation":"Okutuusa lwemuliyingira kabbuli (entaana)."},{"id":3,"translation":"Nedda, kyaddaki mujja kumanya (mu kiseera ky'okufa)"},{"id":4,"translation":"Oluvanyuma era kyaddaki mujja kumanya (nga muyingidde kabbuli)"},{"id":5,"translation":"Nedda, singa mubadde mumanyi mu bukakafu bw'okumanya (temwandirabankanyiziddwa na kukungaanya bingi)"},{"id":6,"translation":"Mujja kulabira ddala omuliro “Jahiim”."},{"id":7,"translation":"oluvanyuma era omuliro ogwo mujja kugulaba mugutegeerere ddala."},{"id":8,"translation":"Ate ddala oluvanyuma mugenda kubuuzibwa kubyengera bye mwafuna ku nsi (mwabifuna mu makubo ki, era mwabisaasaanya mu makubo ki)."}]},{"id":103,"verses":[{"id":1,"translation":"Ndayira omulembe (buli mulembe)"},{"id":2,"translation":"Mazima ddala omuntu yenna j'ava yenkana ali mu kufaafaaganirwa."},{"id":3,"translation":"Okujjako abo abakkiriza Katonda (mu nzikiriza entuufu) ate ne bakola emirimu emirunji, era ne balaamirigana okukoleranga ku mazima (mu bulamu bwabwe bwonna) era ne balaamiragana okubeera abagumikiriza (mu bulamu bwabwe bwonna)."}]},{"id":104,"verses":[{"id":1,"translation":"Okubonaabona okwamaanyi kugenda kubeera ku buli muntu atambuza engambo, ageya banne n'abajja obumogo."},{"id":2,"translation":"Oyo akungaanya ebyo bugagga n’abituuma."},{"id":3,"translation":"Alowooza nti eby'obugaggabye byakumukuumira ku nsi olubeerera."},{"id":4,"translation":"Nedda, ajja kukanyugwa mu muliro oguyitibwa “Hutwama”."},{"id":5,"translation":"Ye omanyi “Hutwama” kye ki?"},{"id":6,"translation":"(Hutwama) muliro gwa Allah omukume, ogubumbujja."},{"id":7,"translation":"Ogwo ogwokya negutuukira ddala ku mitima."},{"id":8,"translation":"Mazima ddala omuliro ogwo (Hutwama) ku bantu abo (abogeddwaako) gugenda kubabuutikira."},{"id":9,"translation":"Mu midumu emiwanvu."}]},{"id":105,"verses":[{"id":1,"translation":"Tewamanya Katonda kyeyakola ejje ly’enjovu?"},{"id":2,"translation":"Enkwe zaabwe tezaagwa butaka?"},{"id":3,"translation":"N'abasindikira ebinyonyi nga bijjira mu bibinja."},{"id":4,"translation":"Nga bibakanyugira amayinja amookye."},{"id":5,"translation":"Nebafuuka nga omuddo ogugaayiddwa ensolo ne gufuluma nga gufuuse obusa."}]},{"id":106,"verses":[{"id":1,"translation":"Ku olw'embera nempangaala ya ba Quraish."},{"id":2,"translation":"okumanyiira kwaabwe okw'okutambula engendo mu butiti ne mu kyeya."},{"id":3,"translation":"Bateekwa basinze Katonda nannyini nyumba eno (Kaaba)."},{"id":4,"translation":"Oyo Katonda eyabawa eby'okulya, n’abawonya enjala, n’abawa emirembe, ne bataba mu kutya."}]},{"id":107,"verses":[{"id":1,"translation":"Olabye oyo alimbisa olunaku lw'enkomerero."},{"id":2,"translation":"Oyo nno y’oyo awalagganya ba mulekwa."},{"id":3,"translation":"Era nga takubiriza kuliisa banaku."},{"id":4,"translation":"Okubonaabona kuli kubasaaze"},{"id":5,"translation":"Abo abalagajjalira eswala zaabwe."},{"id":6,"translation":"Abo abakola bandabe."},{"id":7,"translation":"Era abamma bannaabwe ebintu ebitasaana kumma."}]},{"id":108,"verses":[{"id":1,"translation":"Mazima ffe twakuwa ebirungi binji, (mu ebyo mwe muli n'oluzzi Kauthara olw'omu jjana)."},{"id":2,"translation":"N'olwekyo wenywereze ku kusaala kulw'omuleziwo, era osale n’ebisolo, nga osaddaaka ku lulwe."},{"id":3,"translation":"Mazima oyo akuwalagganya, (ng'akuvuma era n'okukujeeja) yye yewenkuggu."}]},{"id":109,"verses":[{"id":1,"translation":"Bagambe nti, abange mwe abatakkiriza (abawakanyi)."},{"id":2,"translation":"sisiinza ebyo byemusinza (amasanamu, lubaale, n'ebirala)."},{"id":3,"translation":"Wadde namwe temusiinza oyo gwe nsinza (ali omu mu bwa Katonda bwe)."},{"id":4,"translation":"Era siri waakusinza ebyo bye musinza."},{"id":5,"translation":"Wadde namwe temusinza oyo gwe nsinza (ali omu mu bwa Katonda bwe)."},{"id":6,"translation":"Mulina enkola yammwe (ey'okusinza ba Katonda abanji, nange nina enkola yange (ey'okusinza Katonda omu yekka)."}]},{"id":110,"verses":[{"id":1,"translation":"Okutaasa kwa Allah n’obuwanguzi bwe bwebinajja."},{"id":2,"translation":"N’olaba abantu nga bayingira eddiini ya Katonda mu bibinja;"},{"id":3,"translation":"Otenderezanga Mukama Katondawo (omulezi wo) n’ebitendobye, era omwetondere, mazima yye akkiriza okwenenya."}]},{"id":111,"verses":[{"id":1,"translation":"Mu Hadith eri mu kitabo kya Bukhari Nabbi yagenda kukasozi naakuba wuuli abantu banji bajja nga balowooza nti waliyo ebya maguzi, Nabbi bweyatandika okubabuulira ebikwata ku Katonda, Abu Lahbi naakasuka emikono nga bwagamba nti kino kyotukunganyirizza era kyotuyitidde?! Zikirira. Allah kwe kumwanukula mu suura eno naagamba nti: (jizikirire emikono ja Abu Lahbi (j'awuuba), era naye kenyini azikilire."},{"id":2,"translation":"Eby'obugaggabye tebimugasizza, wadde n’ebirala byeyafuna, (nga ekitiibwa)."},{"id":3,"translation":"Ajja kwesonseka omuliro ogubumbujja."},{"id":4,"translation":"Ne mukyalawe omwetissi w’enku (naye bwatyo)."},{"id":5,"translation":"Munsingoye mulimu omuguwa omulange."}]},{"id":112,"verses":[{"id":1,"translation":"Gwe Nabbi Muhammad bagambe nti Katonda ali omu mu bwa Katondabwe (era nga yye yekka ateekeddwa okusinzibwa)."},{"id":2,"translation":"Katonda y'akola ku byetaago by'ebitonde byonna."},{"id":3,"translation":"Tazaala, era teyazaalibwa."},{"id":4,"translation":"Era teri kintu kyonna kimwenkana."}]},{"id":113,"verses":[{"id":1,"translation":"Gamba nti, nsaba obukuumi ew'omulezi afuga okukya kw’obudde."},{"id":2,"translation":"Mu bubi bw’ebyo byeyatonda."},{"id":3,"translation":"Ne mububi bw’ekiro nga kikutte."},{"id":4,"translation":"Ne mu bubi bw’abakazi abalogo abasiba ebifundikwa (ne babifuuwamu nga balaamiriza)."},{"id":5,"translation":"Ne mu bubi obuva mu mukozi wensaalwa ng'akoze ensaalwa."}]},{"id":114,"verses":[{"id":1,"translation":"Gamba nti, nsaba obukuumi okuva eri Mukama omulabirizi wa bantu."},{"id":2,"translation":"Omufuzi w'abantu"},{"id":3,"translation":"Asinzibwa abantu."},{"id":4,"translation":"Amponye obubi bw’omulabankanya sitaani omwekwesi"},{"id":5,"translation":"Oyo alabankanya (emitima ejiri) mu bifuba by'abantu."},{"id":6,"translation":"(Sitaani) ow’omu majiinni ne sitaani ow’omu bantu."}]}]
